الشعراء
Ash-Shu'araa
Translation: Luganda - African Institution · Open the surah
بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ
طسٓمٓ
Open ayah 26:1Twaa Siin Miim.
تِلۡكَ ءَايَٰتُ ٱلۡكِتَٰبِ ٱلۡمُبِينِ
Open ayah 26:2Ebyo bye bigambo by'ekitabo ekinnyonnyola.
لَعَلَّكَ بَٰخِعٞ نَّفۡسَكَ أَلَّا يَكُونُواْ مُؤۡمِنِينَ
Open ayah 26:3Olabika nga ayagala okwetta olw'okuba bagaanye okuba abakkiriza.
إِن نَّشَأۡ نُنَزِّلۡ عَلَيۡهِم مِّنَ ٱلسَّمَآءِ ءَايَةٗ فَظَلَّتۡ أَعۡنَٰقُهُمۡ لَهَا خَٰضِعِينَ
Open ayah 26:4Singa twagadde twandissizza ku bo okuva mu ggulu akabonero, ensingo zaabwe nezikugondera olubeerera.
وَمَا يَأۡتِيهِم مِّن ذِكۡرٖ مِّنَ ٱلرَّحۡمَٰنِ مُحۡدَثٍ إِلَّا كَانُواْ عَنۡهُ مُعۡرِضِينَ
Open ayah 26:5Tewali bubaka bwonna bupya kuva wa Katonda Omusaasizi ennyo wabula bo babuwakanya.
فَقَدۡ كَذَّبُواْ فَسَيَأۡتِيهِمۡ أَنۢبَٰٓؤُاْ مَا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ
Open ayah 26:6Nebaba nga mazima balimbisa, bigenda kubajjira ebigambo ebyo bye baali bajeeja
أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ إِلَى ٱلۡأَرۡضِ كَمۡ أَنۢبَتۡنَا فِيهَا مِن كُلِّ زَوۡجٖ كَرِيمٍ
Open ayah 26:7Abaffe tebatunuulira nsi ne balaba bimeka bye twameza mu yo mu buli mutindo oguvaamu emigaso.
إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ
Open ayah 26:8Mazima mu ekyo ddala mulimu akabonero (akalaga obuyinza bwaffe), wabula bangi mu bo tebakkiriza.
وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ
Open ayah 26:9Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi ennyo.
وَإِذۡ نَادَىٰ رَبُّكَ مُوسَىٰٓ أَنِ ٱئۡتِ ٱلۡقَوۡمَ ٱلظَّٰلِمِينَ
Open ayah 26:10Era jjukira ekiseera Mukama omulabiriziwo bwe yakoowoola Musa (naamulagira) nti: genda eri abantu abeeyisa obubi.
قَوۡمَ فِرۡعَوۡنَۚ أَلَا يَتَّقُونَ
Open ayah 26:11Abantu ba Firaawo (obagambe nti) abaffe tebatya Katonda!.
قَالَ رَبِّ إِنِّيٓ أَخَافُ أَن يُكَذِّبُونِ
Open ayah 26:12(Musa) naagamba nti: mazima nze ntya okuba nga bannimbisa.
وَيَضِيقُ صَدۡرِي وَلَا يَنطَلِقُ لِسَانِي فَأَرۡسِلۡ إِلَىٰ هَٰرُونَ
Open ayah 26:13Ekifuba kyange ne kifunda olulimi lwange ne rutayatula, n'olwekyo lagira Haruna (annyambeko).
وَلَهُمۡ عَلَيَّ ذَنۢبٞ فَأَخَافُ أَن يَقۡتُلُونِ
Open ayah 26:14Ate banninako omusango, ntya nti bayinza okunzita.
قَالَ كَلَّاۖ فَٱذۡهَبَا بِـَٔايَٰتِنَآۖ إِنَّا مَعَكُم مُّسۡتَمِعُونَ
Open ayah 26:15(Katonda) naagamba nti nedda mugende n'obubonero bwaffe mazima ffe tuli wamu na mmwe tuwulira (tugoberera buli ekigenda mu maaso).
فَأۡتِيَا فِرۡعَوۡنَ فَقُولَآ إِنَّا رَسُولُ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ
Open ayah 26:16Mugende ewa Firaawo mumugambe nti mazima ffe tutumiddwa Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.
أَنۡ أَرۡسِلۡ مَعَنَا بَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ
Open ayah 26:17(Atugambye nti) tuwe abaana ba Israil tugende nabo.
قَالَ أَلَمۡ نُرَبِّكَ فِينَا وَلِيدٗا وَلَبِثۡتَ فِينَا مِنۡ عُمُرِكَ سِنِينَ
Open ayah 26:18(Firaawo) naagamba nti tetwakukuliza mu ffe okuva nga oli mwana muto, era nga wawangaalira mu ffe emyaka mingi ku buwangaazibwo.
وَفَعَلۡتَ فَعۡلَتَكَ ٱلَّتِي فَعَلۡتَ وَأَنتَ مِنَ ٱلۡكَٰفِرِينَ
Open ayah 26:19Era nookola ekikolwakyo ekyo kye wakola e kyakufuula okuba mu batasiima bye bakolerwa.
قَالَ فَعَلۡتُهَآ إِذٗا وَأَنَا۠ مِنَ ٱلضَّآلِّينَ
Open ayah 26:20(Musa) naagamba nti nnakikola bwe nnali nkyali mu babuze.
فَفَرَرۡتُ مِنكُمۡ لَمَّا خِفۡتُكُمۡ فَوَهَبَ لِي رَبِّي حُكۡمٗا وَجَعَلَنِي مِنَ ٱلۡمُرۡسَلِينَ
Open ayah 26:21Olwo nno nembadduka bwe nnabatya, awo Mukama omulabirizi wange nangabira okumanya e nsonga era nanteeka mu babaka.
وَتِلۡكَ نِعۡمَةٞ تَمُنُّهَا عَلَيَّ أَنۡ عَبَّدتَّ بَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ
Open ayah 26:22Ne'kyo e kyengera (eky'okundera n'okukulira mu mmwe) okindalaasaako naye nga ggwe abaana ba Israil wabafuula abaddu.
قَالَ فِرۡعَوۡنُ وَمَا رَبُّ ٱلۡعَٰلَمِينَ
Open ayah 26:23Firaawo naagamba nti Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna gwoyogerako yaani?.
قَالَ رَبُّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَآۖ إِن كُنتُم مُّوقِنِينَ
Open ayah 26:24Musa naagamba nti Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi n'ebiri wakati wa byombi bwe muba nga mwetegereza ebintu.
قَالَ لِمَنۡ حَوۡلَهُۥٓ أَلَا تَسۡتَمِعُونَ
Open ayah 26:25(Firaawo) kwe kugamba abaali naye awo nti: abaffe temuwulira (nga bwabijweteka).
قَالَ رَبُّكُمۡ وَرَبُّ ءَابَآئِكُمُ ٱلۡأَوَّلِينَ
Open ayah 26:26(Musa) naagamba nti ye Mukama omulabirizi wa mmwe, era Mukama omulabirizi wa bakadde ba mmwe abaasooka.
قَالَ إِنَّ رَسُولَكُمُ ٱلَّذِيٓ أُرۡسِلَ إِلَيۡكُمۡ لَمَجۡنُونٞ
Open ayah 26:27(Firaawo) naagamba nti: mazima omubaka wa mmwe oyo eyatumiddwa gye muli mulalu.
قَالَ رَبُّ ٱلۡمَشۡرِقِ وَٱلۡمَغۡرِبِ وَمَا بَيۡنَهُمَآۖ إِن كُنتُمۡ تَعۡقِلُونَ
Open ayah 26:28(Musa) naagamba nti (ye) Mukama omulabirizi w'ebuvanjuba n'ebugwanjuba n'ebyo ebiri wakati wa byombi singa mubadde mutegeera.
قَالَ لَئِنِ ٱتَّخَذۡتَ إِلَٰهًا غَيۡرِي لَأَجۡعَلَنَّكَ مِنَ ٱلۡمَسۡجُونِينَ
Open ayah 26:29(Firaawo) naagamba nti mazima singa oteekawo Katonda omulala atali nze nja kukuteera ddala mu b'okusibwa.
قَالَ أَوَلَوۡ جِئۡتُكَ بِشَيۡءٖ مُّبِينٖ
Open ayah 26:30(Musa) naagamba nti ne bwennaaba nkuleetedde ekintu ekyeyolefu (ekiraga obutuufu bw'ebyo bye ngamba).
قَالَ فَأۡتِ بِهِۦٓ إِن كُنتَ مِنَ ٱلصَّٰدِقِينَ
Open ayah 26:31(Firaawo) naagamba nti kale kireete bwoba nga oli mu boogera amazima.
فَأَلۡقَىٰ عَصَاهُ فَإِذَا هِيَ ثُعۡبَانٞ مُّبِينٞ
Open ayah 26:32Awo nno Musa naasuula omuggogwe, okugenda okulaba nga musota omweyolefu.
وَنَزَعَ يَدَهُۥ فَإِذَا هِيَ بَيۡضَآءُ لِلنَّٰظِرِينَ
Open ayah 26:33Era naggyayo omukonogwe okugenda okulaba nga ggwo gwakaayakanira abalabi.
قَالَ لِلۡمَلَإِ حَوۡلَهُۥٓ إِنَّ هَٰذَا لَسَٰحِرٌ عَلِيمٞ
Open ayah 26:34(Firaawo) naagamba abo abaali batudde waali nti mazima ono mulogo kafulu.
يُرِيدُ أَن يُخۡرِجَكُم مِّنۡ أَرۡضِكُم بِسِحۡرِهِۦ فَمَاذَا تَأۡمُرُونَ
Open ayah 26:35Ayagala kubaggya mu nsi yammwe ku lw'eddogolye kati mugamba ki.
قَالُوٓاْ أَرۡجِهۡ وَأَخَاهُ وَٱبۡعَثۡ فِي ٱلۡمَدَآئِنِ حَٰشِرِينَ
Open ayah 26:36Ne bagamba nti mulagaanyise ne Mugandawe (ddi na wwa) aw'okubasisinkana era otume mu bitundu eby'enjawulo abakungaanya abalogo.
يَأۡتُوكَ بِكُلِّ سَحَّارٍ عَلِيمٖ
Open ayah 26:37Bajja kukuleetera buli mulogo kakensa.
فَجُمِعَ ٱلسَّحَرَةُ لِمِيقَٰتِ يَوۡمٖ مَّعۡلُومٖ
Open ayah 26:38Olwo nno abalogo ne bakungaanyizibwa mu kiseera ekiragaane ku lunaku olumanyiddwa.
وَقِيلَ لِلنَّاسِ هَلۡ أَنتُم مُّجۡتَمِعُونَ
Open ayah 26:39Abantu baagambibwa nti abaffe mmwe munajja.
لَعَلَّنَا نَتَّبِعُ ٱلسَّحَرَةَ إِن كَانُواْ هُمُ ٱلۡغَٰلِبِينَ
Open ayah 26:40Sikulwa nga tunaagoberera abalogo bwe banaaba bo nga be bawangudde.
فَلَمَّا جَآءَ ٱلسَّحَرَةُ قَالُواْ لِفِرۡعَوۡنَ أَئِنَّ لَنَا لَأَجۡرًا إِن كُنَّا نَحۡنُ ٱلۡغَٰلِبِينَ
Open ayah 26:41Abalogo bwe bajja baagamba Firaawo nti mazima tuteekwa okuweebwa empeera bwe tunaaba nga ffe tuwangudde.
قَالَ نَعَمۡ وَإِنَّكُمۡ إِذٗا لَّمِنَ ٱلۡمُقَرَّبِينَ
Open ayah 26:42(Firaawo) naagamba nti weewaawo era mazima mmwe singa kinaaba bwe kityo mujja kubeera ba ku lusegere.
قَالَ لَهُم مُّوسَىٰٓ أَلۡقُواْ مَآ أَنتُم مُّلۡقُونَ
Open ayah 26:43Musa naabagamba nti kale mwanje kye mwanja.
فَأَلۡقَوۡاْ حِبَالَهُمۡ وَعِصِيَّهُمۡ وَقَالُواْ بِعِزَّةِ فِرۡعَوۡنَ إِنَّا لَنَحۡنُ ٱلۡغَٰلِبُونَ
Open ayah 26:44Nebasuula e miguwa gya bwe n'emiggo gya bwe era ne bagamba nti ku lw'ekitiibwa kya Firaawo mazima ffe tujja okuwangula.
فَأَلۡقَىٰ مُوسَىٰ عَصَاهُ فَإِذَا هِيَ تَلۡقَفُ مَا يَأۡفِكُونَ
Open ayah 26:45Olwo nno Musa naasuula omuggogwe okugenda okulaba nga gwo gumira buli kye baali bagunjizzaawo.
فَأُلۡقِيَ ٱلسَّحَرَةُ سَٰجِدِينَ
Open ayah 26:46Awo nno abalogo ne beeyala nga bavunnama.
قَالُوٓاْ ءَامَنَّا بِرَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ
Open ayah 26:47Nebagamba nti tukkirizza Mukama Omulabirizi w'ebitonde.
رَبِّ مُوسَىٰ وَهَٰرُونَ
Open ayah 26:48Mukama omulabirizi wa Musa ne Haruna.
قَالَ ءَامَنتُمۡ لَهُۥ قَبۡلَ أَنۡ ءَاذَنَ لَكُمۡۖ إِنَّهُۥ لَكَبِيرُكُمُ ٱلَّذِي عَلَّمَكُمُ ٱلسِّحۡرَ فَلَسَوۡفَ تَعۡلَمُونَۚ لَأُقَطِّعَنَّ أَيۡدِيَكُمۡ وَأَرۡجُلَكُم مِّنۡ خِلَٰفٖ وَلَأُصَلِّبَنَّكُمۡ أَجۡمَعِينَ
Open ayah 26:49Firaawo naagamba nti: mukkirizza byagamba nga sinnaba kubawa lukusa, (kirabika) nti mazima yye ye mukulu wa mmwe oyo eyabayigiriza eddogo, kale nno mujja kukitegeera, nja ku bakutulako e mikono gya mmwe n'amagulu ga mmwe nga bwe nkuggyako okugulu okwa ddyo, omukono nkuggyako gwa kkono, era ddala mwenna nja ku bakomerera ku musaalaba.
قَالُواْ لَا ضَيۡرَۖ إِنَّآ إِلَىٰ رَبِّنَا مُنقَلِبُونَ
Open ayah 26:50Ne bagamba nti ekyo tekiriimu buzibu, (anti) mazima ffe tujja kuba tudda eri Mukama omulabirizi waffe.
إِنَّا نَطۡمَعُ أَن يَغۡفِرَ لَنَا رَبُّنَا خَطَٰيَٰنَآ أَن كُنَّآ أَوَّلَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ
Open ayah 26:51Mazima ffe tululunkanira okuba nga Mukama omulabirizi waffe atusonyiwa ebyonoono byaffe bwe tuba nga ffe abakkiriza abasooka.
۞وَأَوۡحَيۡنَآ إِلَىٰ مُوسَىٰٓ أَنۡ أَسۡرِ بِعِبَادِيٓ إِنَّكُم مُّتَّبَعُونَ
Open ayah 26:52Era netutumira Musa nti tambula ekiro n'abaddu bange, mazima mmwe mujja kulondoolwa.
فَأَرۡسَلَ فِرۡعَوۡنُ فِي ٱلۡمَدَآئِنِ حَٰشِرِينَ
Open ayah 26:53Firaawo naatuma mu bibuga abakungaanya (eggye era naagamba nti).
إِنَّ هَٰٓؤُلَآءِ لَشِرۡذِمَةٞ قَلِيلُونَ
Open ayah 26:54Mazima abo kabiina ka bantu batono.
وَإِنَّهُمۡ لَنَا لَغَآئِظُونَ
Open ayah 26:55Era mazima bbo batunyiizizza.
وَإِنَّا لَجَمِيعٌ حَٰذِرُونَ
Open ayah 26:56Era nga bulijjo mazima ffe nga tukolera wamu tuli abantu abeekengera.
فَأَخۡرَجۡنَٰهُم مِّن جَنَّٰتٖ وَعُيُونٖ
Open ayah 26:57(Okusinziira ku nteekateeka zaabwe ne bye bakola ate) twabaggya mu malimiro ne nsulo ezikulukuta.
وَكُنُوزٖ وَمَقَامٖ كَرِيمٖ
Open ayah 26:58N'amawanika n'ebifo eby'ekitiibwa.
كَذَٰلِكَۖ وَأَوۡرَثۡنَٰهَا بَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ
Open ayah 26:59Bwe tutyo nno ne tubisikiza abaana ba Israil.
فَأَتۡبَعُوهُم مُّشۡرِقِينَ
Open ayah 26:60Olwo nno nebabagoberera nga busaasaana.
فَلَمَّا تَرَٰٓءَا ٱلۡجَمۡعَانِ قَالَ أَصۡحَٰبُ مُوسَىٰٓ إِنَّا لَمُدۡرَكُونَ
Open ayah 26:61Ebibinja byombi bwe byalengeragana abantu ba Musa baagamba nti mazima ffe bajja kutukwata (batutte).
قَالَ كَلَّآۖ إِنَّ مَعِيَ رَبِّي سَيَهۡدِينِ
Open ayah 26:62(Musa) naagamba nti nedda mazima Mukama omulabirizi wange ali nange ajja kundaga eky'okukola.
فَأَوۡحَيۡنَآ إِلَىٰ مُوسَىٰٓ أَنِ ٱضۡرِب بِّعَصَاكَ ٱلۡبَحۡرَۖ فَٱنفَلَقَ فَكَانَ كُلُّ فِرۡقٖ كَٱلطَّوۡدِ ٱلۡعَظِيمِ
Open ayah 26:63Awo nno ne tutumira Musa nti kuba omuggogwo ku nnyanja, olwo neebajjukamu, buli kibajjo ne kiba nga olusozi olunene.
وَأَزۡلَفۡنَا ثَمَّ ٱلۡأٓخَرِينَ
Open ayah 26:64Netusembeza awo abalala (Firaawo ne ggyerye nabo ne bayingira e kkubo Musa lye yakuba ku nnyanja).
وَأَنجَيۡنَا مُوسَىٰ وَمَن مَّعَهُۥٓ أَجۡمَعِينَ
Open ayah 26:65Netuwonya Musa n'abaali naye bonna.
ثُمَّ أَغۡرَقۡنَا ٱلۡأٓخَرِينَ
Open ayah 26:66Oluvanyuma ne tuzikiriza abasigadde.
إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ
Open ayah 26:67Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebaali bakkiriza.
وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ
Open ayah 26:68Era mazima Mukama omulabiriziwo yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi.
وَٱتۡلُ عَلَيۡهِمۡ نَبَأَ إِبۡرَٰهِيمَ
Open ayah 26:69Era basomere ebigambo ebikwata ku Ibrahim.
إِذۡ قَالَ لِأَبِيهِ وَقَوۡمِهِۦ مَا تَعۡبُدُونَ
Open ayah 26:70Bwe yagamba kitaawe n'abantu be nti musinza biki.
قَالُواْ نَعۡبُدُ أَصۡنَامٗا فَنَظَلُّ لَهَا عَٰكِفِينَ
Open ayah 26:71Nebagamba nti tusinza amasanamu tubeera we gali era ne tugawa ebiseera bingi mu kugasinza.
قَالَ هَلۡ يَسۡمَعُونَكُمۡ إِذۡ تَدۡعُونَ
Open ayah 26:72(Ibrahim) naagamba nti abaffe bwe musaba gabawulira.
أَوۡ يَنفَعُونَكُمۡ أَوۡ يَضُرُّونَ
Open ayah 26:73Oba gabagasa oba gasobola okubatuusaako akabi.
قَالُواْ بَلۡ وَجَدۡنَآ ءَابَآءَنَا كَذَٰلِكَ يَفۡعَلُونَ
Open ayah 26:74Nebagamba nti nedda wabula bwe tutyo bakadde baffe bye twasanga bakola.
قَالَ أَفَرَءَيۡتُم مَّا كُنتُمۡ تَعۡبُدُونَ
Open ayah 26:75Naagamba nti mulaba ebyo bye musinza.
أَنتُمۡ وَءَابَآؤُكُمُ ٱلۡأَقۡدَمُونَ
Open ayah 26:76Mmwe ne bakadde ba mmwe abaabakulembera.
فَإِنَّهُمۡ عَدُوّٞ لِّيٓ إِلَّا رَبَّ ٱلۡعَٰلَمِينَ
Open ayah 26:77Mazima byo balabe bange, okugyako Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.
ٱلَّذِي خَلَقَنِي فَهُوَ يَهۡدِينِ
Open ayah 26:78Oyo eyantonda, yye y'annungamya.
وَٱلَّذِي هُوَ يُطۡعِمُنِي وَيَسۡقِينِ
Open ayah 26:79Era yye yooyo andiisa nannyweesa.
وَإِذَا مَرِضۡتُ فَهُوَ يَشۡفِينِ
Open ayah 26:80Era bwe ndwala yye y'amponya.
وَٱلَّذِي يُمِيتُنِي ثُمَّ يُحۡيِينِ
Open ayah 26:81Era yooyo anzita ate nampa obulamu.
وَٱلَّذِيٓ أَطۡمَعُ أَن يَغۡفِرَ لِي خَطِيٓـَٔتِي يَوۡمَ ٱلدِّينِ
Open ayah 26:82Era yye gwe ndulunkanira abe nga ansonyiwa ebyonoono byange ku lunaku lw'okusasulwa.
رَبِّ هَبۡ لِي حُكۡمٗا وَأَلۡحِقۡنِي بِٱلصَّٰلِحِينَ
Open ayah 26:83Ayi Mukama omulabirizi ngabira okumanya ensonga era onsisinkanye abalongoofu.
وَٱجۡعَل لِّي لِسَانَ صِدۡقٖ فِي ٱلۡأٓخِرِينَ
Open ayah 26:84Era onteerewo okwogerwako obulungi mu balijja oluvanyuma.
وَٱجۡعَلۡنِي مِن وَرَثَةِ جَنَّةِ ٱلنَّعِيمِ
Open ayah 26:85Era onteeke mu balisikira e jjana ey'ebyengera.
وَٱغۡفِرۡ لِأَبِيٓ إِنَّهُۥ كَانَ مِنَ ٱلضَّآلِّينَ
Open ayah 26:86Era sonyiwa Kitange mazima yye yali mu babuze.
وَلَا تُخۡزِنِي يَوۡمَ يُبۡعَثُونَ
Open ayah 26:87Era tonswazanga olunaku lwe balizuukizibwa.
يَوۡمَ لَا يَنفَعُ مَالٞ وَلَا بَنُونَ
Open ayah 26:88Olunaku emmaali n'abaana lwe bitaligasa.
إِلَّا مَنۡ أَتَى ٱللَّهَ بِقَلۡبٖ سَلِيمٖ
Open ayah 26:89Okugyako (aliganyulwa) yooyo alijja ewa Katonda n'omutima omuyonjo.
وَأُزۡلِفَتِ ٱلۡجَنَّةُ لِلۡمُتَّقِينَ
Open ayah 26:90E jjana erisembezebwa eri abatya Katonda.
وَبُرِّزَتِ ٱلۡجَحِيمُ لِلۡغَاوِينَ
Open ayah 26:91N'omuliro ne gulagibwa eri ababuze.
وَقِيلَ لَهُمۡ أَيۡنَ مَا كُنتُمۡ تَعۡبُدُونَ
Open ayah 26:92Era bagenda kugambibwa nti biriwa ebyo bye mwasinzanga.
مِن دُونِ ٱللَّهِ هَلۡ يَنصُرُونَكُمۡ أَوۡ يَنتَصِرُونَ
Open ayah 26:93Ne muleka Katonda, abaffe bisobola okubataasa oba byo bisobola okwetaasa.
فَكُبۡكِبُواْ فِيهَا هُمۡ وَٱلۡغَاوُۥنَ
Open ayah 26:94Olwo nno ne bakasukibwa mu gwo bo n'ababuze.
وَجُنُودُ إِبۡلِيسَ أَجۡمَعُونَ
Open ayah 26:95Na bonna abali muggye lya Ibuliisu.
قَالُواْ وَهُمۡ فِيهَا يَخۡتَصِمُونَ
Open ayah 26:96Baligamba nga bali mu gwo nga bakaayagana (nti).
تَٱللَّهِ إِن كُنَّا لَفِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٍ
Open ayah 26:97Tulayira Katonda nti mazima ddala twali mu bubuze obw'olwatu.
إِذۡ نُسَوِّيكُم بِرَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ
Open ayah 26:98Bwe twabenkanya (mmwe) ne Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.
وَمَآ أَضَلَّنَآ إِلَّا ٱلۡمُجۡرِمُونَ
Open ayah 26:99Era tewali yatubuza okugyako aboonoonyi.
فَمَا لَنَا مِن شَٰفِعِينَ
Open ayah 26:100N'olwekyo tetulina bawolereza.
وَلَا صَدِيقٍ حَمِيمٖ
Open ayah 26:101Wadde ow'omukwano alumirwa.
فَلَوۡ أَنَّ لَنَا كَرَّةٗ فَنَكُونَ مِنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ
Open ayah 26:102Naye singa tubadde tulina omukisa (okudda ku nsi) ne tuba mu bakkiriza.
إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ
Open ayah 26:103Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza.
وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ
Open ayah 26:104Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaazizi.
كَذَّبَتۡ قَوۡمُ نُوحٍ ٱلۡمُرۡسَلِينَ
Open ayah 26:105Abantu ba Nuhu baalimbisa ababaka.
إِذۡ قَالَ لَهُمۡ أَخُوهُمۡ نُوحٌ أَلَا تَتَّقُونَ
Open ayah 26:106Mu kiseera muganda waabwe Nuhu we yabagambira nti abaffe temutya (Katonda).
إِنِّي لَكُمۡ رَسُولٌ أَمِينٞ
Open ayah 26:107Mazima nze gye muli ndi mubaka omwesigwa.
فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ
Open ayah 26:108Kale mutye Katonda era mungondere.
وَمَآ أَسۡـَٔلُكُمۡ عَلَيۡهِ مِنۡ أَجۡرٍۖ إِنۡ أَجۡرِيَ إِلَّا عَلَىٰ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ
Open ayah 26:109Era sikibasabirako mpeera, empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.
فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ
Open ayah 26:110Kale mutye Katonda era mungondere.
۞قَالُوٓاْ أَنُؤۡمِنُ لَكَ وَٱتَّبَعَكَ ٱلۡأَرۡذَلُونَ
Open ayah 26:111Nebagamba nti abaffe tukukkirize nga abakugoberedde be ba wansi.
قَالَ وَمَا عِلۡمِي بِمَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ
Open ayah 26:112Naagamba nti: mmanya ntya bye baali bakola.
إِنۡ حِسَابُهُمۡ إِلَّا عَلَىٰ رَبِّيۖ لَوۡ تَشۡعُرُونَ
Open ayah 26:113Okubalibwa kwa bwe tekuli okugyako kuli ku Mukama omulabirizi wange singa mubadde mumanyi.
وَمَآ أَنَا۠ بِطَارِدِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ
Open ayah 26:114Ate nze siri wa kugoba bakkiriza (olw'okuba ba wansi).
إِنۡ أَنَا۠ إِلَّا نَذِيرٞ مُّبِينٞ
Open ayah 26:115Nze siri okugyako omutiisa ow'olwatu.
قَالُواْ لَئِن لَّمۡ تَنتَهِ يَٰنُوحُ لَتَكُونَنَّ مِنَ ٱلۡمَرۡجُومِينَ
Open ayah 26:116Nebagamba nti: owange Nuhu bwo teekomeko ojja kubeerera ddala mu b'okukubwa amayinja.
قَالَ رَبِّ إِنَّ قَوۡمِي كَذَّبُونِ
Open ayah 26:117Naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mazima abantu bange bannimbisizza.
فَٱفۡتَحۡ بَيۡنِي وَبَيۡنَهُمۡ فَتۡحٗا وَنَجِّنِي وَمَن مَّعِيَ مِنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ
Open ayah 26:118Kale salawo wakati wange nabo olusalawo olwannamaddala, era omponye owonye n'abakkiriza bendi nabo.
فَأَنجَيۡنَٰهُ وَمَن مَّعَهُۥ فِي ٱلۡفُلۡكِ ٱلۡمَشۡحُونِ
Open ayah 26:119Ne tumuwonya n'abo abaali naye mu lyato eryali lijjudde.
ثُمَّ أَغۡرَقۡنَا بَعۡدُ ٱلۡبَاقِينَ
Open ayah 26:120Oluvanyuma twazikiriza abaasigala.
إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ
Open ayah 26:121Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza.
وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ
Open ayah 26:122Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi.
كَذَّبَتۡ عَادٌ ٱلۡمُرۡسَلِينَ
Open ayah 26:123Abantu ba A’di baalimbisa ababaka.
إِذۡ قَالَ لَهُمۡ أَخُوهُمۡ هُودٌ أَلَا تَتَّقُونَ
Open ayah 26:124Mu kiseera muganda waabwe Hudu lwe yabagamba nti abaffe temutya (Katonda)!.
إِنِّي لَكُمۡ رَسُولٌ أَمِينٞ
Open ayah 26:125Mazima nze gye muli ndi mubaka omwesigwa.
فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ
Open ayah 26:126Kale mutye Katonda era mungondere.
وَمَآ أَسۡـَٔلُكُمۡ عَلَيۡهِ مِنۡ أَجۡرٍۖ إِنۡ أَجۡرِيَ إِلَّا عَلَىٰ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ
Open ayah 26:127Era sikibasabirako mpeera empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.
أَتَبۡنُونَ بِكُلِّ رِيعٍ ءَايَةٗ تَعۡبَثُونَ
Open ayah 26:128Abaffe muzimba ku buli katunnumba ekijjukizo nga muzannya buzannyi.
وَتَتَّخِذُونَ مَصَانِعَ لَعَلَّكُمۡ تَخۡلُدُونَ
Open ayah 26:129Era nemweteerawo amayumba amagundiivu nga mulinga abalibeerawo olubeerera.
وَإِذَا بَطَشۡتُم بَطَشۡتُمۡ جَبَّارِينَ
Open ayah 26:130Ate bwe mukwata (abalabe ba mmwe) mukwata enkwata eya ba kirimaanyi (abanyigiriza bannaabwe).
فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ
Open ayah 26:131Kale mutye Katonda era mungondere.
وَٱتَّقُواْ ٱلَّذِيٓ أَمَدَّكُم بِمَا تَعۡلَمُونَ
Open ayah 26:132Era mutye oyo abagabirira ebyo bye mumanyi.
أَمَدَّكُم بِأَنۡعَٰمٖ وَبَنِينَ
Open ayah 26:133Abagabirira ebisolo ebirundibwa era n'abaana.
وَجَنَّٰتٖ وَعُيُونٍ
Open ayah 26:134N'amalimiro n'emigga.
إِنِّيٓ أَخَافُ عَلَيۡكُمۡ عَذَابَ يَوۡمٍ عَظِيمٖ
Open ayah 26:135Mazima nze ku lwa mmwe ntya ebibonerezo by'olunaku oluzibu.
قَالُواْ سَوَآءٌ عَلَيۡنَآ أَوَعَظۡتَ أَمۡ لَمۡ تَكُن مِّنَ ٱلۡوَٰعِظِينَ
Open ayah 26:136Nebagamba nti kyekimu obuuliridde oba toli mu babuulirira.
إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا خُلُقُ ٱلۡأَوَّلِينَ
Open ayah 26:137Tekiri kino (eky'okubuulirira kwokola) okugyako nkola ya baasooka.
وَمَا نَحۡنُ بِمُعَذَّبِينَ
Open ayah 26:138Era ffe tetuli ba kubonerezebwa.
فَكَذَّبُوهُ فَأَهۡلَكۡنَٰهُمۡۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ
Open ayah 26:139Nebamulimbisa olwo nno ne tubazikiriza, mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza.
وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ
Open ayah 26:140Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi.
كَذَّبَتۡ ثَمُودُ ٱلۡمُرۡسَلِينَ
Open ayah 26:141Abantu ba Thamud baalimbisa ababaka.
إِذۡ قَالَ لَهُمۡ أَخُوهُمۡ صَٰلِحٌ أَلَا تَتَّقُونَ
Open ayah 26:142Mu kiseera muganda waabwe Swalehe we yabagambira nti abaffe temutya (Katonda)!.
إِنِّي لَكُمۡ رَسُولٌ أَمِينٞ
Open ayah 26:143Mazima nze gye muli ndi mubaka mwesigwa.
فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ
Open ayah 26:144Kale mutye Katonda era mungondere.
وَمَآ أَسۡـَٔلُكُمۡ عَلَيۡهِ مِنۡ أَجۡرٍۖ إِنۡ أَجۡرِيَ إِلَّا عَلَىٰ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ
Open ayah 26:145Era sikibasabirako mpeera empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.
أَتُتۡرَكُونَ فِي مَا هَٰهُنَآ ءَامِنِينَ
Open ayah 26:146(Mulowooza nti) mujja kulekebwa mirembe mu bintu ebiri wano.
فِي جَنَّٰتٖ وَعُيُونٖ
Open ayah 26:147(Nga muli) mu malimiro n'emigga.
وَزُرُوعٖ وَنَخۡلٖ طَلۡعُهَا هَضِيمٞ
Open ayah 26:148N'ebimera n'emitende egiweese enkota enzito.
وَتَنۡحِتُونَ مِنَ ٱلۡجِبَالِ بُيُوتٗا فَٰرِهِينَ
Open ayah 26:149Era nemukola amayumba mu nsozi mu ngeri y'ekikugu.
فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ
Open ayah 26:150Kale mutye Katonda era mungondere.
وَلَا تُطِيعُوٓاْ أَمۡرَ ٱلۡمُسۡرِفِينَ
Open ayah 26:151Era temugondera ekigambo ky'abasukka e nsalosalo za Katonda.
ٱلَّذِينَ يُفۡسِدُونَ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَا يُصۡلِحُونَ
Open ayah 26:152Abo aboonoona mu nsi nebatalongoosa.
قَالُوٓاْ إِنَّمَآ أَنتَ مِنَ ٱلۡمُسَحَّرِينَ
Open ayah 26:153Nebagamba nti mazima ggwe oli wa mu baloge.
مَآ أَنتَ إِلَّا بَشَرٞ مِّثۡلُنَا فَأۡتِ بِـَٔايَةٍ إِن كُنتَ مِنَ ٱلصَّٰدِقِينَ
Open ayah 26:154Toli ggwe okugyako muntu nga ffe, kale leeta akabonero bwoba nga oli mu boogera amazima.
قَالَ هَٰذِهِۦ نَاقَةٞ لَّهَا شِرۡبٞ وَلَكُمۡ شِرۡبُ يَوۡمٖ مَّعۡلُومٖ
Open ayah 26:155Naagamba nti engamiya yiino, erina okunywa (ku lunaku lwayo) nammwe munywe ku lunaku olumanyiddwa.
وَلَا تَمَسُّوهَا بِسُوٓءٖ فَيَأۡخُذَكُمۡ عَذَابُ يَوۡمٍ عَظِيمٖ
Open ayah 26:156Temugituusangako kabi ne bibakwata e bibonerezo by'olunaku oluzito.
فَعَقَرُوهَا فَأَصۡبَحُواْ نَٰدِمِينَ
Open ayah 26:157Wabula baagifumita (neefa) olwo nno ne baba nga bejjusa.
فَأَخَذَهُمُ ٱلۡعَذَابُۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ
Open ayah 26:158Ebibonerezo ne bibatuukako mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga, naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza.
وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ
Open ayah 26:159Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi.
كَذَّبَتۡ قَوۡمُ لُوطٍ ٱلۡمُرۡسَلِينَ
Open ayah 26:160Abantu ba Luutu baalimbisa ababaka.
إِذۡ قَالَ لَهُمۡ أَخُوهُمۡ لُوطٌ أَلَا تَتَّقُونَ
Open ayah 26:161Mu kiseera Muganda waabwe Luutu we yabagambira nti abaffe temutya (Katonda)!.
إِنِّي لَكُمۡ رَسُولٌ أَمِينٞ
Open ayah 26:162Mazima nze gye muli ndi mubaka omwesigwa.
فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ
Open ayah 26:163Kale mutye Katonda era mungondere.
وَمَآ أَسۡـَٔلُكُمۡ عَلَيۡهِ مِنۡ أَجۡرٍۖ إِنۡ أَجۡرِيَ إِلَّا عَلَىٰ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ
Open ayah 26:164Era ssi kibasabirako mpeera empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.
أَتَأۡتُونَ ٱلذُّكۡرَانَ مِنَ ٱلۡعَٰلَمِينَ
Open ayah 26:165Abaffe mu bitonde byonna ne mwagalamu basajja!.
وَتَذَرُونَ مَا خَلَقَ لَكُمۡ رَبُّكُم مِّنۡ أَزۡوَٰجِكُمۚ بَلۡ أَنتُمۡ قَوۡمٌ عَادُونَ
Open ayah 26:166Ne muleka ekyo Mukama omulabirizi wa mmwe kye yabatondera mu abo be mwafumbiriganwa nabo, wabula mmwe muli bantu abasukka ebikomo.
قَالُواْ لَئِن لَّمۡ تَنتَهِ يَٰلُوطُ لَتَكُونَنَّ مِنَ ٱلۡمُخۡرَجِينَ
Open ayah 26:167Nebagamba nti owange Luutu bwoteekomeko ojja kubeerera ddala mu bafulumizibwa (ne bagobwa mu nsi eno).
قَالَ إِنِّي لِعَمَلِكُم مِّنَ ٱلۡقَالِينَ
Open ayah 26:168Naagamba nti mazima ndi omu ku batamwa ekikolwa kya mmwe (eky'ebisiyaga).
رَبِّ نَجِّنِي وَأَهۡلِي مِمَّا يَعۡمَلُونَ
Open ayah 26:169Ayi Mukama omulabirizi wange mponya n'abantu bange mu ebyo bye bakola.
فَنَجَّيۡنَٰهُ وَأَهۡلَهُۥٓ أَجۡمَعِينَ
Open ayah 26:170Netumuwonya n'abantu be bonna.
إِلَّا عَجُوزٗا فِي ٱلۡغَٰبِرِينَ
Open ayah 26:171Okugyako omukazi omukadde omu eyali mu baasigala.
ثُمَّ دَمَّرۡنَا ٱلۡأٓخَرِينَ
Open ayah 26:172Oluvanyuma twazikiriza abalala (bonna).
وَأَمۡطَرۡنَا عَلَيۡهِم مَّطَرٗاۖ فَسَآءَ مَطَرُ ٱلۡمُنذَرِينَ
Open ayah 26:173Netubatonnyesaako enkuba, mazima yali mbi nnyo enkuba y'abo abaalabulwa (ne bateebuulirira).
إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ
Open ayah 26:174Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga kinene naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza.
وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ
Open ayah 26:175Era mazima Mukama omulabiriziwo ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi.
كَذَّبَ أَصۡحَٰبُ لۡـَٔيۡكَةِ ٱلۡمُرۡسَلِينَ
Open ayah 26:176Abantu b'o mu kitundu eky'ekibira baalimbisa ababaka.
إِذۡ قَالَ لَهُمۡ شُعَيۡبٌ أَلَا تَتَّقُونَ
Open ayah 26:177Mu kiseera Swaibu bwe yabagamba nti abaffe temutya (Katonda)!.
إِنِّي لَكُمۡ رَسُولٌ أَمِينٞ
Open ayah 26:178Mazima gye muli ndi Mubaka omwesigwa.
فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ
Open ayah 26:179Kale mutye Katonda era mungondere.
وَمَآ أَسۡـَٔلُكُمۡ عَلَيۡهِ مِنۡ أَجۡرٍۖ إِنۡ أَجۡرِيَ إِلَّا عَلَىٰ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ
Open ayah 26:180Era sikibasabirako mpeera empeera yange teri okugyako ku Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.
۞أَوۡفُواْ ٱلۡكَيۡلَ وَلَا تَكُونُواْ مِنَ ٱلۡمُخۡسِرِينَ
Open ayah 26:181Era mutuukirizenga okupima temubeera mu abo abafiiriza abalala.
وَزِنُواْ بِٱلۡقِسۡطَاسِ ٱلۡمُسۡتَقِيمِ
Open ayah 26:182Mupimisenga ebipimo ebituufu.
وَلَا تَبۡخَسُواْ ٱلنَّاسَ أَشۡيَآءَهُمۡ وَلَا تَعۡثَوۡاْ فِي ٱلۡأَرۡضِ مُفۡسِدِينَ
Open ayah 26:183Temukendeerezanga abantu ebintu bya bwe, temukolanga ebibi mu nsi ne muba aboonoonyi.
وَٱتَّقُواْ ٱلَّذِي خَلَقَكُمۡ وَٱلۡجِبِلَّةَ ٱلۡأَوَّلِينَ
Open ayah 26:184Era mutye oyo eyabatonda n'atonda n'emirembe egyasooka.
قَالُوٓاْ إِنَّمَآ أَنتَ مِنَ ٱلۡمُسَحَّرِينَ
Open ayah 26:185Nebagamba nti mazima ggwe oli mu baloge.
وَمَآ أَنتَ إِلَّا بَشَرٞ مِّثۡلُنَا وَإِن نَّظُنُّكَ لَمِنَ ٱلۡكَٰذِبِينَ
Open ayah 26:186Toli ggwe okugyako muntu nga ffe, era tukulowooza okuba nti oli mu balimba.
فَأَسۡقِطۡ عَلَيۡنَا كِسَفٗا مِّنَ ٱلسَّمَآءِ إِن كُنتَ مِنَ ٱلصَّٰدِقِينَ
Open ayah 26:187Kale nno tusuuleko ekibajjo okuva waggulu bwoba nga oli mu boogera amazima.
قَالَ رَبِّيٓ أَعۡلَمُ بِمَا تَعۡمَلُونَ
Open ayah 26:188Naagamba nti Mukama omulabirizi wange yaasinga okumanya ebyo bye mukola.
فَكَذَّبُوهُ فَأَخَذَهُمۡ عَذَابُ يَوۡمِ ٱلظُّلَّةِۚ إِنَّهُۥ كَانَ عَذَابَ يَوۡمٍ عَظِيمٍ
Open ayah 26:189Wabula baamulimbisa ne bibakwata ebibonerezo ku lunaku ekire lwe kyabasiikiriza. Mazima kyo kyali kibonerezo kya lunaku oluzito.
إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗۖ وَمَا كَانَ أَكۡثَرُهُم مُّؤۡمِنِينَ
Open ayah 26:190Mazima mu ekyo mulimu eky'okuyiga naye abasinga obungi mu bo tebakkiriza.
وَإِنَّ رَبَّكَ لَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلرَّحِيمُ
Open ayah 26:191Era mazima Mukama omulabiriziwo, ddala yye ye nantakubwa ku mukono omusaasizi.
وَإِنَّهُۥ لَتَنزِيلُ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ
Open ayah 26:192Era mazima yyo (Kur’ani) yassibwa Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.
نَزَلَ بِهِ ٱلرُّوحُ ٱلۡأَمِينُ
Open ayah 26:193Yakka nayo mwoyo omwesigwa (Jiburilu).
عَلَىٰ قَلۡبِكَ لِتَكُونَ مِنَ ٱلۡمُنذِرِينَ
Open ayah 26:194(Naagissa) ku mutima gwo olyoke obe mu batiisa (abantu okukola ebibi).
بِلِسَانٍ عَرَبِيّٖ مُّبِينٖ
Open ayah 26:195Nga eri mu lulimi oluwarabu olutegeerekeka.
وَإِنَّهُۥ لَفِي زُبُرِ ٱلۡأَوَّلِينَ
Open ayah 26:196Era mazima yo eyogerwako mu bitabo eby'edda ebyasooka.
أَوَلَمۡ يَكُن لَّهُمۡ ءَايَةً أَن يَعۡلَمَهُۥ عُلَمَٰٓؤُاْ بَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ
Open ayah 26:197Abaffe tekibamala kuba bujulizi okuba nti bagimanyi abayivu b'abaana ba Israil.
وَلَوۡ نَزَّلۡنَٰهُ عَلَىٰ بَعۡضِ ٱلۡأَعۡجَمِينَ
Open ayah 26:198Singa twagissa ku bamu mu batali bawarabu.
فَقَرَأَهُۥ عَلَيۡهِم مَّا كَانُواْ بِهِۦ مُؤۡمِنِينَ
Open ayah 26:199Olwo nno (omu kubo) naagibasomera tebandigikkirizza.
كَذَٰلِكَ سَلَكۡنَٰهُ فِي قُلُوبِ ٱلۡمُجۡرِمِينَ
Open ayah 26:200Bwe kityo twagiyingiza mu mitima gy'aboonoonyi.
لَا يُؤۡمِنُونَ بِهِۦ حَتَّىٰ يَرَوُاْ ٱلۡعَذَابَ ٱلۡأَلِيمَ
Open ayah 26:201Tebagenda kugikkiriza okutuusa lwe baliraba ebibonerezo ebiruma.
فَيَأۡتِيَهُم بَغۡتَةٗ وَهُمۡ لَا يَشۡعُرُونَ
Open ayah 26:202Ebiribajjira ekibwatukira nga bo tebategedde.
فَيَقُولُواْ هَلۡ نَحۡنُ مُنظَرُونَ
Open ayah 26:203Olwo nno bagambe nti abaffe tusobola okulindirizibwa.
أَفَبِعَذَابِنَا يَسۡتَعۡجِلُونَ
Open ayah 26:204Abaffe ebibonerezo byaffe bye basaba okubaleetera amangu?.
أَفَرَءَيۡتَ إِن مَّتَّعۡنَٰهُمۡ سِنِينَ
Open ayah 26:205Okiraba nti singa tubawangaazizza emyaka (egiwera).
ثُمَّ جَآءَهُم مَّا كَانُواْ يُوعَدُونَ
Open ayah 26:206Oluvanyuma ne bibajjira ebyo bye balagaanyisibwa.
مَآ أَغۡنَىٰ عَنۡهُم مَّا كَانُواْ يُمَتَّعُونَ
Open ayah 26:207Tebiyinza kubayamba ebyo bye baaweebwa okweyagaliramu.
وَمَآ أَهۡلَكۡنَا مِن قَرۡيَةٍ إِلَّا لَهَا مُنذِرُونَ
Open ayah 26:208Tewali kitundu kye twazikiriza okugyako nga kimaze kufuna batiisa (ba Nabbi).
ذِكۡرَىٰ وَمَا كُنَّا ظَٰلِمِينَ
Open ayah 26:209(Kyabanga bwe kityo) lwa kubabuulirira, tetubangako balyazaamaanyi.
وَمَا تَنَزَّلَتۡ بِهِ ٱلشَّيَٰطِينُ
Open ayah 26:210Era Sitane ssi ze zaajissa (Kur’ani).
وَمَا يَنۢبَغِي لَهُمۡ وَمَا يَسۡتَطِيعُونَ
Open ayah 26:211Era tekizisaanira era nga tezikisobola.
إِنَّهُمۡ عَنِ ٱلسَّمۡعِ لَمَعۡزُولُونَ
Open ayah 26:212(Ku lw'ensonga nti) mazima zaaziyizibwa okuwulira ebifa mu ggulu.
فَلَا تَدۡعُ مَعَ ٱللَّهِ إِلَٰهًا ءَاخَرَ فَتَكُونَ مِنَ ٱلۡمُعَذَّبِينَ
Open ayah 26:213(N'olwekyo) bwoba osinza Katonda tomugattako kintu kirala (anti bwokikola) obeera wa mu balibonerezebwa.
وَأَنذِرۡ عَشِيرَتَكَ ٱلۡأَقۡرَبِينَ
Open ayah 26:214Era tiisa ab'oluganda lwo ab'okumpi.
وَٱخۡفِضۡ جَنَاحَكَ لِمَنِ ٱتَّبَعَكَ مِنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ
Open ayah 26:215Era kakkanya ekiwawaatiro kyo (weewombeke) eri oyo aba akugoberedde mu bakkiriza.
فَإِنۡ عَصَوۡكَ فَقُلۡ إِنِّي بَرِيٓءٞ مِّمَّا تَعۡمَلُونَ
Open ayah 26:216Wabula bwe bakujeemera gamba nti mazima nze nnesambye ebyo bye mukola.
وَتَوَكَّلۡ عَلَى ٱلۡعَزِيزِ ٱلرَّحِيمِ
Open ayah 26:217Era weekwate ku nantakubwa ku mukono omusaasizi.
ٱلَّذِي يَرَىٰكَ حِينَ تَقُومُ
Open ayah 26:218Oyo akulaba woobeerera nga oyimiridde (mu kusaala).
وَتَقَلُّبَكَ فِي ٱلسَّٰجِدِينَ
Open ayah 26:219Era n'alaba okwekyusakyusakwo mu bavunnama.
إِنَّهُۥ هُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ
Open ayah 26:220Mazima yye y'awulira ennyo omumanyi.
هَلۡ أُنَبِّئُكُمۡ عَلَىٰ مَن تَنَزَّلُ ٱلشَّيَٰطِينُ
Open ayah 26:221Abaffe mbategeeze Sitane zikka ku ani.
تَنَزَّلُ عَلَىٰ كُلِّ أَفَّاكٍ أَثِيمٖ
Open ayah 26:222Zikka ku buli musazi w'abigambo omwonoonyi.
يُلۡقُونَ ٱلسَّمۡعَ وَأَكۡثَرُهُمۡ كَٰذِبُونَ
Open ayah 26:223Abo abasaasaanya bye bawulira naye nga abasinga obungi mu bo balimba.
وَٱلشُّعَرَآءُ يَتَّبِعُهُمُ ٱلۡغَاوُۥنَ
Open ayah 26:224Era abatontomi, ababuze be babagoberera.
أَلَمۡ تَرَ أَنَّهُمۡ فِي كُلِّ وَادٖ يَهِيمُونَ
Open ayah 26:225Abaffe tolaba nti babulubuutira mu buli lusenyi.
وَأَنَّهُمۡ يَقُولُونَ مَا لَا يَفۡعَلُونَ
Open ayah 26:226Era nti mazima bbo boogera bye batakola.
إِلَّا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ وَذَكَرُواْ ٱللَّهَ كَثِيرٗا وَٱنتَصَرُواْ مِنۢ بَعۡدِ مَا ظُلِمُواْۗ وَسَيَعۡلَمُ ٱلَّذِينَ ظَلَمُوٓاْ أَيَّ مُنقَلَبٖ يَنقَلِبُونَ
Open ayah 26:227Okugyako abo abakkiriza ne bakola emirimu emirungi ne boogera nnyo ku Katonda era ne baba nga beetaasa oluvanyuma lw'okuba nti bayisibwa bubi, era mazima abo abeeyisa obubi bagenda kumanya buddo ki gye balidda.