الفرقان
Al-Furqaan
Translation: Luganda - African Institution · Open the surah
بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ
تَبَارَكَ ٱلَّذِي نَزَّلَ ٱلۡفُرۡقَانَ عَلَىٰ عَبۡدِهِۦ لِيَكُونَ لِلۡعَٰلَمِينَ نَذِيرًا
Open ayah 25:1Musukkulumu oyo eyassa Kur’ani ku mudduwe eyawula wakati w'amazima n'obulimba alyoke abeere omutiisa eri ebitonde.
ٱلَّذِي لَهُۥ مُلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَلَمۡ يَتَّخِذۡ وَلَدٗا وَلَمۡ يَكُن لَّهُۥ شَرِيكٞ فِي ٱلۡمُلۡكِ وَخَلَقَ كُلَّ شَيۡءٖ فَقَدَّرَهُۥ تَقۡدِيرٗا
Open ayah 25:2Oyo (Katonda) bubwe yekka obufuzi bw'eggulu omusanvu n'ensi era teyeeteerawo mwana era talina amwegattako mu bufuzi era yatonda buli kintu naakikola olukola olukisaanira.
وَٱتَّخَذُواْ مِن دُونِهِۦٓ ءَالِهَةٗ لَّا يَخۡلُقُونَ شَيۡـٔٗا وَهُمۡ يُخۡلَقُونَ وَلَا يَمۡلِكُونَ لِأَنفُسِهِمۡ ضَرّٗا وَلَا نَفۡعٗا وَلَا يَمۡلِكُونَ مَوۡتٗا وَلَا حَيَوٰةٗ وَلَا نُشُورٗا
Open ayah 25:3Ate (abatakkiriza) bamuvaako ne beeteerawo ba katonda abalala abatalina kintu kyonna kye batonda so ng'ate bbo baatondebwa, era nga tebalina buyinza kwetuusaako kabi oba ekirungi, era tebalina buyinza ku kufa wadde ku bulamu wadde ku kuzuukira.
وَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّآ إِفۡكٌ ٱفۡتَرَىٰهُ وَأَعَانَهُۥ عَلَيۡهِ قَوۡمٌ ءَاخَرُونَۖ فَقَدۡ جَآءُو ظُلۡمٗا وَزُورٗا
Open ayah 25:4Abaakaafuwala bagamba nti ebigambo (bya Muhammad) tebirina kye biri okugyako okuba nti bulimba bwe yagunjaawo, era abantu abalala ne bamuyamba ku bwo, olwo nno ne baba nga baleese okweyisa obubi n'okutemerera.
وَقَالُوٓاْ أَسَٰطِيرُ ٱلۡأَوَّلِينَ ٱكۡتَتَبَهَا فَهِيَ تُمۡلَىٰ عَلَيۡهِ بُكۡرَةٗ وَأَصِيلٗا
Open ayah 25:5Era ne bagamba nti (byayogera) nfumo z'abaasooka, yasaba ne zimuwandiikirwa olwo nno zimusomerwa enkya n'eggulo.
قُلۡ أَنزَلَهُ ٱلَّذِي يَعۡلَمُ ٱلسِّرَّ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ إِنَّهُۥ كَانَ غَفُورٗا رَّحِيمٗا
Open ayah 25:6Bagambe nti (Kur’ani) yagissa oyo amanyi ebyama byo mu ggulu omusanvu ne nsi, mazima yye (Katonda) bulijjo musonyiyi musaasizi.
وَقَالُواْ مَالِ هَٰذَا ٱلرَّسُولِ يَأۡكُلُ ٱلطَّعَامَ وَيَمۡشِي فِي ٱلۡأَسۡوَاقِ لَوۡلَآ أُنزِلَ إِلَيۡهِ مَلَكٞ فَيَكُونَ مَعَهُۥ نَذِيرًا
Open ayah 25:7Era baagamba nti: ono mubaka wangeriki alya emmere naatambula mu butale!, singa Malayika yassibwa gyali naabeera mutiisa awamu naye (nga amuyambako).
أَوۡ يُلۡقَىٰٓ إِلَيۡهِ كَنزٌ أَوۡ تَكُونُ لَهُۥ جَنَّةٞ يَأۡكُلُ مِنۡهَاۚ وَقَالَ ٱلظَّٰلِمُونَ إِن تَتَّبِعُونَ إِلَّا رَجُلٗا مَّسۡحُورًا
Open ayah 25:8Oba eby'obugagga nebissibwa gyali (okuva mu ggulu) oba abe nga alina e nnimiro mwalya. Era abeeyisa ne bagamba nti temulina gwe mugoberera okugyako omusajja omuloge.
ٱنظُرۡ كَيۡفَ ضَرَبُواْ لَكَ ٱلۡأَمۡثَٰلَ فَضَلُّواْ فَلَا يَسۡتَطِيعُونَ سَبِيلٗا
Open ayah 25:9Laba engeri gye bakukubira ebifaananyi, olwo nno ne babula, n'olwekyo tebayinza kufuna kkubo libazza (ku mazima).
تَبَارَكَ ٱلَّذِيٓ إِن شَآءَ جَعَلَ لَكَ خَيۡرٗا مِّن ذَٰلِكَ جَنَّٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ وَيَجۡعَل لَّكَ قُصُورَۢا
Open ayah 25:10Musukkulumu oyo singa aba ayagadde yaalikuteereddewo ebirungi okusinga ebyo, (nga nabyo) g'emalimiro agakulukutiramu emigga era naakuteerawo embiri.
بَلۡ كَذَّبُواْ بِٱلسَّاعَةِۖ وَأَعۡتَدۡنَا لِمَن كَذَّبَ بِٱلسَّاعَةِ سَعِيرًا
Open ayah 25:11Wabula (ekibaleetera obuzibu kwe kuba nti) balimbisa olunaku lw'enkomerero, ate nga twategekera abalimbisa olunaku lw'enkomerero omuliro Saira.
إِذَا رَأَتۡهُم مِّن مَّكَانِۭ بَعِيدٖ سَمِعُواْ لَهَا تَغَيُّظٗا وَزَفِيرٗا
Open ayah 25:12(Omuliro ogwo) bwe gulibalaba okusinziira ewala baliwulira mu gwo okutokota n'okududuma.
وَإِذَآ أُلۡقُواْ مِنۡهَا مَكَانٗا ضَيِّقٗا مُّقَرَّنِينَ دَعَوۡاْ هُنَالِكَ ثُبُورٗا
Open ayah 25:13Bwe balisuulibwa mu gwo, nga buli omu asuulibwa mu kifo ekifunda nga balijjiddwa, olwo nno balikaaba yaaye.
لَّا تَدۡعُواْ ٱلۡيَوۡمَ ثُبُورٗا وَٰحِدٗا وَٱدۡعُواْ ثُبُورٗا كَثِيرٗا
Open ayah 25:14Baligambibwa nti temukaaba ‘yaaye’ mulundi gumu, mukaabe ‘yaaye’ emirundi mingi.
قُلۡ أَذَٰلِكَ خَيۡرٌ أَمۡ جَنَّةُ ٱلۡخُلۡدِ ٱلَّتِي وُعِدَ ٱلۡمُتَّقُونَۚ كَانَتۡ لَهُمۡ جَزَآءٗ وَمَصِيرٗا
Open ayah 25:15Bagambe nti ekyo (eky'okuyingira omuliro) kye kirungi oba e jjana ey'olubeerera eyo eyalagaanyisibwa abatya Katonda, egenda kubeera mpeera gye bali era nga buddo.
لَّهُمۡ فِيهَا مَا يَشَآءُونَ خَٰلِدِينَۚ كَانَ عَلَىٰ رَبِّكَ وَعۡدٗا مَّسۡـُٔولٗا
Open ayah 25:16Muyo bagenda kufuna bye baagala baakubeeramu obugenderevu (ekyo) ku Mukama omulabiriziwo ndagaano erina okukuumwa obutiribiri.
وَيَوۡمَ يَحۡشُرُهُمۡ وَمَا يَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ فَيَقُولُ ءَأَنتُمۡ أَضۡلَلۡتُمۡ عِبَادِي هَٰٓؤُلَآءِ أَمۡ هُمۡ ضَلُّواْ ٱلسَّبِيلَ
Open ayah 25:17N'olunaku lwalibakungaanya n'ebyo bye basinza ne baleka Katonda alibagamba nti mmwe mwabuza abaddu bange abo oba be baabulwa ekkubo.
قَالُواْ سُبۡحَٰنَكَ مَا كَانَ يَنۢبَغِي لَنَآ أَن نَّتَّخِذَ مِن دُونِكَ مِنۡ أَوۡلِيَآءَ وَلَٰكِن مَّتَّعۡتَهُمۡ وَءَابَآءَهُمۡ حَتَّىٰ نَسُواْ ٱلذِّكۡرَ وَكَانُواْ قَوۡمَۢا بُورٗا
Open ayah 25:18Baligamba nti: wasukkuluma Mukama. Tekitugwanirangako kweteerawo bakuumi balala ne tukuvaako, wabula wabeeyagaza ne bakadde baabwe okutuusa lwe beerabira okutendereza ne baba abantu ab'okuzikirira.
فَقَدۡ كَذَّبُوكُم بِمَا تَقُولُونَ فَمَا تَسۡتَطِيعُونَ صَرۡفٗا وَلَا نَصۡرٗاۚ وَمَن يَظۡلِم مِّنكُمۡ نُذِقۡهُ عَذَابٗا كَبِيرٗا
Open ayah 25:19(Katonda alibagamba nti) mazima babalimbisizza ku ebyo bye mwogera temusobola kweggyako bibonerezo wadde okutaasibwa, oyo yenna eyeeyisa obubi mu mmwe tumukombesa ku bibonerezo ebikambwe.
وَمَآ أَرۡسَلۡنَا قَبۡلَكَ مِنَ ٱلۡمُرۡسَلِينَ إِلَّآ إِنَّهُمۡ لَيَأۡكُلُونَ ٱلطَّعَامَ وَيَمۡشُونَ فِي ٱلۡأَسۡوَاقِۗ وَجَعَلۡنَا بَعۡضَكُمۡ لِبَعۡضٖ فِتۡنَةً أَتَصۡبِرُونَۗ وَكَانَ رَبُّكَ بَصِيرٗا
Open ayah 25:20Era tetwatuma olubereberye lwo babaka okugyako nga mazima bbo baliira ddala emmere nga batambula ne mu butale, era netufuula abamu ku mmwe ekikemo eri abalala, abaffe munagumiikiriza, bulijjo Mukama omulabiriziwo alabira ddala.
۞وَقَالَ ٱلَّذِينَ لَا يَرۡجُونَ لِقَآءَنَا لَوۡلَآ أُنزِلَ عَلَيۡنَا ٱلۡمَلَٰٓئِكَةُ أَوۡ نَرَىٰ رَبَّنَاۗ لَقَدِ ٱسۡتَكۡبَرُواْ فِيٓ أَنفُسِهِمۡ وَعَتَوۡ عُتُوّٗا كَبِيرٗا
Open ayah 25:21Abo abatasuubira kutusisinkana ne bagamba nti singa twassibwako ba Malayika oba netulaba Mukama omulabirizi waffe, mazima beekuza nnyo mu myoyo gya bwe ne babula olubula oluyitirivu.
يَوۡمَ يَرَوۡنَ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةَ لَا بُشۡرَىٰ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُجۡرِمِينَ وَيَقُولُونَ حِجۡرٗا مَّحۡجُورٗا
Open ayah 25:22Olunaku lwe baliraba ba Malayika tewaliba mawulire ga ssanyu ku lunaku olwo eri aboonoonyi, era (ba Malayika) baligamba nti: kikafuuwe tekigenda kubaawo (omu ku mmwe okuyingira (e jjana).
وَقَدِمۡنَآ إِلَىٰ مَا عَمِلُواْ مِنۡ عَمَلٖ فَجَعَلۡنَٰهُ هَبَآءٗ مَّنثُورًا
Open ayah 25:23Awo nno tulidda ku buli mulimu gwe baakola ne tugufuula olufufugge olufuumuddwa.
أَصۡحَٰبُ ٱلۡجَنَّةِ يَوۡمَئِذٍ خَيۡرٞ مُّسۡتَقَرّٗا وَأَحۡسَنُ مَقِيلٗا
Open ayah 25:24Abantu b'o mu jjana ku lunaku olwo be baliba n'obutuulo obulungi, era be baliba n'ebifo ebirungi ebiwummulirwamu
وَيَوۡمَ تَشَقَّقُ ٱلسَّمَآءُ بِٱلۡغَمَٰمِ وَنُزِّلَ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةُ تَنزِيلًا
Open ayah 25:25N'olunaku eggulu lwe liriyatikamu ne riba nga lijjudde ebire, era ba Malayika ne bassibwa olussibwa.
ٱلۡمُلۡكُ يَوۡمَئِذٍ ٱلۡحَقُّ لِلرَّحۡمَٰنِۚ وَكَانَ يَوۡمًا عَلَى ٱلۡكَٰفِرِينَ عَسِيرٗا
Open ayah 25:26Obufuzi obwa nnamaddala ku lunaku olwo buliba bwa Mukama Katonda ow'ekisa ekingi, lugenda kuba lunaku luzito nnyo ku bakaafiiri.
وَيَوۡمَ يَعَضُّ ٱلظَّالِمُ عَلَىٰ يَدَيۡهِ يَقُولُ يَٰلَيۡتَنِي ٱتَّخَذۡتُ مَعَ ٱلرَّسُولِ سَبِيلٗا
Open ayah 25:27Era olunaku eyeeyisa obubi lwaliruma engaloze aligamba nti zinsanze, singa nateekawo ekkubo erinnyunga ku Mubaka.
يَٰوَيۡلَتَىٰ لَيۡتَنِي لَمۡ أَتَّخِذۡ فُلَانًا خَلِيلٗا
Open ayah 25:28Nga ndabye nze singa ssaafuula gundi w'amukwano.
لَّقَدۡ أَضَلَّنِي عَنِ ٱلذِّكۡرِ بَعۡدَ إِذۡ جَآءَنِيۗ وَكَانَ ٱلشَّيۡطَٰنُ لِلۡإِنسَٰنِ خَذُولٗا
Open ayah 25:29Mazima yambuza nanzigya ku kubuulirira oluvanyuma lw'okuba nti kwanzijira, anti bulijjo Sitane ayabulira omuntu.
وَقَالَ ٱلرَّسُولُ يَٰرَبِّ إِنَّ قَوۡمِي ٱتَّخَذُواْ هَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانَ مَهۡجُورٗا
Open ayah 25:30Omubaka aligamba nti ayi Mukama omulabirizi wange, mazima abantu bange Kur’ani eno baagifuula kifulukwa.
وَكَذَٰلِكَ جَعَلۡنَا لِكُلِّ نَبِيٍّ عَدُوّٗا مِّنَ ٱلۡمُجۡرِمِينَۗ وَكَفَىٰ بِرَبِّكَ هَادِيٗا وَنَصِيرٗا
Open ayah 25:31Era bwe kityo buli Nabbi twamuteerawo omulabe nga ava mu boonoonyi, era Mukama omulabiriziwo amala okuba nga ye mulungamya era omutaasa.
وَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَوۡلَا نُزِّلَ عَلَيۡهِ ٱلۡقُرۡءَانُ جُمۡلَةٗ وَٰحِدَةٗۚ كَذَٰلِكَ لِنُثَبِّتَ بِهِۦ فُؤَادَكَۖ وَرَتَّلۡنَٰهُ تَرۡتِيلٗا
Open ayah 25:32Abo abaakaafuwala ne bagamba nti singa Kur’ani yassibwa ku ye omulundi gumu, twagissa bwe tutyo (mu bitundu tundu) tube nga tunyweza nayo omutimagwo era ne tugikusomera olusoma (mpola mpola).
وَلَا يَأۡتُونَكَ بِمَثَلٍ إِلَّا جِئۡنَٰكَ بِٱلۡحَقِّ وَأَحۡسَنَ تَفۡسِيرًا
Open ayah 25:33Tebalina lwe bakuleetera kyakulabirako wabula nga tukuleetera amazima n'ennyinyonnyola esinga obulungi.
ٱلَّذِينَ يُحۡشَرُونَ عَلَىٰ وُجُوهِهِمۡ إِلَىٰ جَهَنَّمَ أُوْلَٰٓئِكَ شَرّٞ مَّكَانٗا وَأَضَلُّ سَبِيلٗا
Open ayah 25:34Abo abaliwalulirwa ku byenyi bya bwe nga batwalibwa mu muliro Jahannama, abo be bali mu kifo ekisinga obubi era be basinga okubula okuva ku kkubo.
وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا مُوسَى ٱلۡكِتَٰبَ وَجَعَلۡنَا مَعَهُۥٓ أَخَاهُ هَٰرُونَ وَزِيرٗا
Open ayah 25:35Mazima twawa Musa ekitabo ne tumussaako Mugandawe Haruna nga muyambi.
فَقُلۡنَا ٱذۡهَبَآ إِلَى ٱلۡقَوۡمِ ٱلَّذِينَ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا فَدَمَّرۡنَٰهُمۡ تَدۡمِيرٗا
Open ayah 25:36Netugamba nti mwembi mugende eri abantu abaalimbisa ebigambo byaffe, olwo nno ne tubazikiriza oluzikiriza.
وَقَوۡمَ نُوحٖ لَّمَّا كَذَّبُواْ ٱلرُّسُلَ أَغۡرَقۡنَٰهُمۡ وَجَعَلۡنَٰهُمۡ لِلنَّاسِ ءَايَةٗۖ وَأَعۡتَدۡنَا لِلظَّٰلِمِينَ عَذَابًا أَلِيمٗا
Open ayah 25:37N'abantu ba Nuhu bwe baalimbisa ababaka twabazikiririza mu mazzi netubafuula eky'okulabirako eri abantu.Era twategekera abeeyisa obubi ebibonerezo ebiruma.
وَعَادٗا وَثَمُودَاْ وَأَصۡحَٰبَ ٱلرَّسِّ وَقُرُونَۢا بَيۡنَ ذَٰلِكَ كَثِيرٗا
Open ayah 25:38Era twazikiriza abantu ba A’di, n'aba Thamud, era ne ba nannyini luzzi, era netuzikiriza n'abantu b'emirembe emirala mingi wakati w'abo.
وَكُلّٗا ضَرَبۡنَا لَهُ ٱلۡأَمۡثَٰلَۖ وَكُلّٗا تَبَّرۡنَا تَتۡبِيرٗا
Open ayah 25:39Buli mulembe ku egyo twabakubiranga ebifaananyi (ebyabo abaabasookawo), era buli bamu ku abo twabazikiriza oluzikirira (olw'obugyemu bwa bwe).
وَلَقَدۡ أَتَوۡاْ عَلَى ٱلۡقَرۡيَةِ ٱلَّتِيٓ أُمۡطِرَتۡ مَطَرَ ٱلسَّوۡءِۚ أَفَلَمۡ يَكُونُواْ يَرَوۡنَهَاۚ بَلۡ كَانُواْ لَا يَرۡجُونَ نُشُورٗا
Open ayah 25:40(Abagatta ku Katonda ebintu ebirala ab'e Makkah baali batambula e gendo zaabwe) mazima baatuuka mu kitundu ekya fukumulwako ebibonerezo ebibi (amayinja agaakuba ab'omulembe gwa Luutu). Abaffe baali tebakiraba (ne beebuulirira) wabula baali tebasuubira kuzuukira.
وَإِذَا رَأَوۡكَ إِن يَتَّخِذُونَكَ إِلَّا هُزُوًا أَهَٰذَا ٱلَّذِي بَعَثَ ٱللَّهُ رَسُولًا
Open ayah 25:41Era bwe baba bakulabye tebalina ngeri gye bakulaba okugyako ekyokujeeja obujeeja (nga bwe bagamba) nti ono yooyo Katonda gwatumye nga Mubaka!.
إِن كَادَ لَيُضِلُّنَا عَنۡ ءَالِهَتِنَا لَوۡلَآ أَن صَبَرۡنَا عَلَيۡهَاۚ وَسَوۡفَ يَعۡلَمُونَ حِينَ يَرَوۡنَ ٱلۡعَذَابَ مَنۡ أَضَلُّ سَبِيلًا
Open ayah 25:42Ali kumpi nnyo okutubuza nga atujja ku ba katonda baffe singa tunaaba tetunyweredde ku kusinza bbo, era bajja kumanya mu kiseera webanaalabira ebibonerezo ani eyabula okuva ku kkubo (eggolokofu).
أَرَءَيۡتَ مَنِ ٱتَّخَذَ إِلَٰهَهُۥ هَوَىٰهُ أَفَأَنتَ تَكُونُ عَلَيۡهِ وَكِيلًا
Open ayah 25:43Abaffe olaba oyo afuula okwagalakwe nga ye Katonda we, abaffe ggwe onoobeera ku ye omweyimirize.
أَمۡ تَحۡسَبُ أَنَّ أَكۡثَرَهُمۡ يَسۡمَعُونَ أَوۡ يَعۡقِلُونَۚ إِنۡ هُمۡ إِلَّا كَٱلۡأَنۡعَٰمِ بَلۡ هُمۡ أَضَلُّ سَبِيلًا
Open ayah 25:44Oba olowooza nti abasinga obungi mu bo bawulira ebigambo bya Katonda, oba babitegeera, tebalina kye bali ku ebyo okugyako balinga nsolo, wabula bo be baabula okuva ku kkubo eggolokofu.
أَلَمۡ تَرَ إِلَىٰ رَبِّكَ كَيۡفَ مَدَّ ٱلظِّلَّ وَلَوۡ شَآءَ لَجَعَلَهُۥ سَاكِنٗا ثُمَّ جَعَلۡنَا ٱلشَّمۡسَ عَلَيۡهِ دَلِيلٗا
Open ayah 25:45Abaffe tolaba Mukama omulabiriziwo engeri gyawanvuyaamu ekisiikirize, singa yayagala yaali kirese nga kiyimiridde mu kifo kimu, ate twafuula enjuba nga y'eraga okubaawo n'okutambula kw'ekisiikirize.
ثُمَّ قَبَضۡنَٰهُ إِلَيۡنَا قَبۡضٗا يَسِيرٗا
Open ayah 25:46Bwe tumala tukikwata ne tukiggyawo nga tukiggyawo mpola mpola.
وَهُوَ ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُمُ ٱلَّيۡلَ لِبَاسٗا وَٱلنَّوۡمَ سُبَاتٗا وَجَعَلَ ٱلنَّهَارَ نُشُورٗا
Open ayah 25:47Era yye (Katonda) yooyo eyabateerawo ekiro nga kibikka, naabateerawo n'okwebaka nga kuwummula naateekawo obudde obw'emisana nga mwe musaasaanira (olw'okunoonya eky'okulya).
وَهُوَ ٱلَّذِيٓ أَرۡسَلَ ٱلرِّيَٰحَ بُشۡرَۢا بَيۡنَ يَدَيۡ رَحۡمَتِهِۦۚ وَأَنزَلۡنَا مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ طَهُورٗا
Open ayah 25:48Era yye yooyo asindika empewo nga zisaasaanya amawulire ag'essanyu (enkuba) nga ekyo kiri wansi wa mikono gya kusaasirakwe, era tussa okuva mu ggulu amazzi amayonjo.
لِّنُحۡـِۧيَ بِهِۦ بَلۡدَةٗ مَّيۡتٗا وَنُسۡقِيَهُۥ مِمَّا خَلَقۡنَآ أَنۡعَٰمٗا وَأَنَاسِيَّ كَثِيرٗا
Open ayah 25:49Tube nga tuzza buggya ekitundu ekikaze era tuganywese bingi mu bye twatonda (nga) ebisolo n'abantu bangi.
وَلَقَدۡ صَرَّفۡنَٰهُ بَيۡنَهُمۡ لِيَذَّكَّرُواْ فَأَبَىٰٓ أَكۡثَرُ ٱلنَّاسِ إِلَّا كُفُورٗا
Open ayah 25:50Era mazima twaginnyonnyola (Kur’ani) mu bo babe nga beebuulirira wabula abantu abasinga obungi ne bagaana era nebakalambirira ku bukaafiiri.
وَلَوۡ شِئۡنَا لَبَعَثۡنَا فِي كُلِّ قَرۡيَةٖ نَّذِيرٗا
Open ayah 25:51Singa twayagala buli kitundu twandikitumidde omutiisa, (naye twasalawo obeere omubaka eri bonna).
فَلَا تُطِعِ ٱلۡكَٰفِرِينَ وَجَٰهِدۡهُم بِهِۦ جِهَادٗا كَبِيرٗا
Open ayah 25:52N'olwekyo togondera bakaafiiri (kozesa Kur’ani) obalwanyise olulwana olw'amanyi.
۞وَهُوَ ٱلَّذِي مَرَجَ ٱلۡبَحۡرَيۡنِ هَٰذَا عَذۡبٞ فُرَاتٞ وَهَٰذَا مِلۡحٌ أُجَاجٞ وَجَعَلَ بَيۡنَهُمَا بَرۡزَخٗا وَحِجۡرٗا مَّحۡجُورٗا
Open ayah 25:53Era (Katonda) yooyo eyagatta amazzi ag'ennyanja ebbiri (ez'enjawulo), gano malungi nnyo era nga ganywebwa ate nga gali g'amunnyu teganywebwa, era yassa wakati wa gombi ekyawula era ekiziyiza ekigagaana okwetabula.
وَهُوَ ٱلَّذِي خَلَقَ مِنَ ٱلۡمَآءِ بَشَرٗا فَجَعَلَهُۥ نَسَبٗا وَصِهۡرٗاۗ وَكَانَ رَبُّكَ قَدِيرٗا
Open ayah 25:54Era yye yooyo eyatonda omuntu nga amuggya mu mazzi, (mu muntu oyo yennyini) naggyamu ab'oluganda n'abako. Bulijjo Mukama omulabiriziwo muyinza.
وَيَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ مَا لَا يَنفَعُهُمۡ وَلَا يَضُرُّهُمۡۗ وَكَانَ ٱلۡكَافِرُ عَلَىٰ رَبِّهِۦ ظَهِيرٗا
Open ayah 25:55(Ate abantu balekawo Katonda) ne basinza ebintu ebirala ebitali Katonda ebyo ebitabagasa era ebitayinza kubatuusaako kabi, era bulijjo omukaafiiri ayamba Sitane mu kulwanyisa Mukama omulabiriziwe.
وَمَآ أَرۡسَلۡنَٰكَ إِلَّا مُبَشِّرٗا وَنَذِيرٗا
Open ayah 25:56Era tetwakutuma okugyako nga oli omusanyusa era omutiisa.
قُلۡ مَآ أَسۡـَٔلُكُمۡ عَلَيۡهِ مِنۡ أَجۡرٍ إِلَّا مَن شَآءَ أَن يَتَّخِذَ إِلَىٰ رَبِّهِۦ سَبِيلٗا
Open ayah 25:57Gamba nti: (kino kye nkola) sikibasabaako mpeera (era sirina kye njagala) okugyako oyo asalawo okweteerawo ekkubo erimutwala eri Mukama omulabiriziwe.
وَتَوَكَّلۡ عَلَى ٱلۡحَيِّ ٱلَّذِي لَا يَمُوتُ وَسَبِّحۡ بِحَمۡدِهِۦۚ وَكَفَىٰ بِهِۦ بِذُنُوبِ عِبَادِهِۦ خَبِيرًا
Open ayah 25:58Era weekwate ku mulamu oyo atafa, era otendereze ebitendobye. Kimala okuba nti yye amanyidde ddala ebyonoono bya baddube.
ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ وَمَا بَيۡنَهُمَا فِي سِتَّةِ أَيَّامٖ ثُمَّ ٱسۡتَوَىٰ عَلَى ٱلۡعَرۡشِۖ ٱلرَّحۡمَٰنُ فَسۡـَٔلۡ بِهِۦ خَبِيرٗا
Open ayah 25:59Oyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi n'ebiri wakati wa byombi mu nnaku mukaaga oluvanyuma naatereera ku Arishi (Katonda) omusaasizi ow'ekisa ekingi (bwoba oyagala okumumanya) buuza abakenkufu ku bimukwatako.
وَإِذَا قِيلَ لَهُمُ ٱسۡجُدُواْۤ لِلرَّحۡمَٰنِ قَالُواْ وَمَا ٱلرَّحۡمَٰنُ أَنَسۡجُدُ لِمَا تَأۡمُرُنَا وَزَادَهُمۡ نُفُورٗا۩
Open ayah 25:60(Abakaafiiri) bwe bagambibwa nti muvunnamire omusaasizi ow'ekisa ekingi (Katonda), bagamba nti omusaasizi ow'ekisa ekingi oyo yaani! Tumale gavunnamira oyo gwotulagira (nga tetumanyi) ne kibongera kwesamba (ddiini).
تَبَارَكَ ٱلَّذِي جَعَلَ فِي ٱلسَّمَآءِ بُرُوجٗا وَجَعَلَ فِيهَا سِرَٰجٗا وَقَمَرٗا مُّنِيرٗا
Open ayah 25:61Musukkulumu oyo eyassa mu ggulu ebifo ebibeeramu emmunyeenye, era nassaamu ettaala (enjuba eyaka) n'omwezi oguwa ekitangaala.
وَهُوَ ٱلَّذِي جَعَلَ ٱلَّيۡلَ وَٱلنَّهَارَ خِلۡفَةٗ لِّمَنۡ أَرَادَ أَن يَذَّكَّرَ أَوۡ أَرَادَ شُكُورٗا
Open ayah 25:62Era yye yooyo eyassaawo ekiro n'emisana nga bigoberegana (yabiteerawo) oyo ayagala okwebuulirira oba ayagala okwebaza.
وَعِبَادُ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلَّذِينَ يَمۡشُونَ عَلَى ٱلۡأَرۡضِ هَوۡنٗا وَإِذَا خَاطَبَهُمُ ٱلۡجَٰهِلُونَ قَالُواْ سَلَٰمٗا
Open ayah 25:63Bo abaddu ba Katonda beebo abatambula ku nsi nga bakkakkamu. Abatategeera bwe boogera nabo (ebintu by'ekiyaaye) bo baddamu nti mirembe.
وَٱلَّذِينَ يَبِيتُونَ لِرَبِّهِمۡ سُجَّدٗا وَقِيَٰمٗا
Open ayah 25:64Era beebo kulwa Mukama omulabirizi waabwe abasula nga bavunnama era abayimirira (nga basaala).
وَٱلَّذِينَ يَقُولُونَ رَبَّنَا ٱصۡرِفۡ عَنَّا عَذَابَ جَهَنَّمَۖ إِنَّ عَذَابَهَا كَانَ غَرَامًا
Open ayah 25:65Era beebo abagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tuwuguleko ebibonerezo by'omuliro Jahannama anti mazima ebibonerezo byagwo bya lubeerera.
إِنَّهَا سَآءَتۡ مُسۡتَقَرّٗا وَمُقَامٗا
Open ayah 25:66Mazima ggwo kifo era butuulo bubi.
وَٱلَّذِينَ إِذَآ أَنفَقُواْ لَمۡ يُسۡرِفُواْ وَلَمۡ يَقۡتُرُواْ وَكَانَ بَيۡنَ ذَٰلِكَ قَوَامٗا
Open ayah 25:67(Abaddu ba Katonda) era beebo bwe baba nga bagabye tebadiibuuda era tebaganiriza, okuwaayo kwa bwe kuli wakati w'ebyo byombi.
وَٱلَّذِينَ لَا يَدۡعُونَ مَعَ ٱللَّهِ إِلَٰهًا ءَاخَرَ وَلَا يَقۡتُلُونَ ٱلنَّفۡسَ ٱلَّتِي حَرَّمَ ٱللَّهُ إِلَّا بِٱلۡحَقِّ وَلَا يَزۡنُونَۚ وَمَن يَفۡعَلۡ ذَٰلِكَ يَلۡقَ أَثَامٗا
Open ayah 25:68Era beebo abatasinza kintu kirala awamu ne Katonda, era abatatta muntu oyo Katonda gwe yaziza okugyako nga waliwo ensonga, era abatayenda, omuntu akola ekimu ku ebyo agenda kusisinkana (e bibonerezo) bye bibi (bye).
يُضَٰعَفۡ لَهُ ٱلۡعَذَابُ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ وَيَخۡلُدۡ فِيهِۦ مُهَانًا
Open ayah 25:69(Si kye kyokka wabula) ebibonerezobye bigenda kubazibwamu ku lunaku lw'enkomerero era waakubituulamu obugenderevu mu ngeri enyoomesa.
إِلَّا مَن تَابَ وَءَامَنَ وَعَمِلَ عَمَلٗا صَٰلِحٗا فَأُوْلَٰٓئِكَ يُبَدِّلُ ٱللَّهُ سَيِّـَٔاتِهِمۡ حَسَنَٰتٖۗ وَكَانَ ٱللَّهُ غَفُورٗا رَّحِيمٗا
Open ayah 25:70Okugyako oyo alyenenya nakkiriza naakola emirimu emirungi. Abo nno Katonda ebibi bya bwe agenda kubawaanyisizaamu ebirungi. Era bulijjo Katonda musonyiyi musaasizi.
وَمَن تَابَ وَعَمِلَ صَٰلِحٗا فَإِنَّهُۥ يَتُوبُ إِلَى ٱللَّهِ مَتَابٗا
Open ayah 25:71Omuntu yenna ayeenenya naakola emirimu emirungi, mazima yye aba yeemenyedde Katonda olw'emenya olwannamaddala.
وَٱلَّذِينَ لَا يَشۡهَدُونَ ٱلزُّورَ وَإِذَا مَرُّواْ بِٱللَّغۡوِ مَرُّواْ كِرَامٗا
Open ayah 25:72(Abaddu ba Katonda) era beebo tebawa bujulizi ku bigambo bya bulimba, era bwe bayita mu bifo omukolerwa ebitali bya magezi bayitawo nga beewa ekitiibwa.
وَٱلَّذِينَ إِذَا ذُكِّرُواْ بِـَٔايَٰتِ رَبِّهِمۡ لَمۡ يَخِرُّواْ عَلَيۡهَا صُمّٗا وَعُمۡيَانٗا
Open ayah 25:73Era beebo bwe bajjukizibwa ebigambo bya Mukama omulabirizi waabwe tebabidduka nga ba kiggala oba ba muzibe.
وَٱلَّذِينَ يَقُولُونَ رَبَّنَا هَبۡ لَنَا مِنۡ أَزۡوَٰجِنَا وَذُرِّيَّٰتِنَا قُرَّةَ أَعۡيُنٖ وَٱجۡعَلۡنَا لِلۡمُتَّقِينَ إِمَامًا
Open ayah 25:74Era beebo abagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe, tuwe nga oggya mu betwafumbiriganwa nabo era nga oggya ne mu zadde lyaffe ekitebenkeza amaaso gaffe, era otufuule abakulembeze baabo abakutya.
أُوْلَٰٓئِكَ يُجۡزَوۡنَ ٱلۡغُرۡفَةَ بِمَا صَبَرُواْ وَيُلَقَّوۡنَ فِيهَا تَحِيَّةٗ وَسَلَٰمًا
Open ayah 25:75Abo nno bagenda kusasulwa nga baweebwa ebifo bya waggulu olw'obugumiikiriza bwe baakola. Nga bali mu byo bagenda kuweebwa ebiramuso ne ssalaamu (eziriva mu ba Malayika).
خَٰلِدِينَ فِيهَاۚ حَسُنَتۡ مُسۡتَقَرّٗا وَمُقَامٗا
Open ayah 25:76Baakubeeramu olubeerera nga butebenkero era butuulo obulungi.
قُلۡ مَا يَعۡبَؤُاْ بِكُمۡ رَبِّي لَوۡلَا دُعَآؤُكُمۡۖ فَقَدۡ كَذَّبۡتُمۡ فَسَوۡفَ يَكُونُ لِزَامَۢا
Open ayah 25:77Bagambe (ggwe Muhammad abo abawakanya Katonda) nti Katonda talina kimutawaanya lwa kuba nti temumusaba, mazima mwalimbisa era mu bwangu mujja kutuukibwako e bibonerezo ebyakakata edda ku mmwe.