النساء

An-Nisaa

The Women · Surah 4 · Ayahs: 176 · Medinan

Translation: Luganda - African Institution · Open the surah

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

  1. يَٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ ٱتَّقُواْ رَبَّكُمُ ٱلَّذِي خَلَقَكُم مِّن نَّفۡسٖ وَٰحِدَةٖ وَخَلَقَ مِنۡهَا زَوۡجَهَا وَبَثَّ مِنۡهُمَا رِجَالٗا كَثِيرٗا وَنِسَآءٗۚ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ ٱلَّذِي تَسَآءَلُونَ بِهِۦ وَٱلۡأَرۡحَامَۚ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ عَلَيۡكُمۡ رَقِيبٗا

    Open ayah 4:1

    Abange mmwe abantu mutye Mukama Katonda wa mmwe oyo eyabatonda nga abaggya mu muntu omu, (Adam) ate n’atonda nga agya mu ye mukyalawe (Haawa) ate mu bombi nagyamu abasajja n’abakyala bangi, era mutye Katonda oyo gwemukozesa erinnya lye nga musaba, era mutye enganda (muzikuume temuzikutula), mazima Katonda buli kiseera abataddeko eriiso egyogi.

  2. وَءَاتُواْ ٱلۡيَتَٰمَىٰٓ أَمۡوَٰلَهُمۡۖ وَلَا تَتَبَدَّلُواْ ٱلۡخَبِيثَ بِٱلطَّيِّبِۖ وَلَا تَأۡكُلُوٓاْ أَمۡوَٰلَهُمۡ إِلَىٰٓ أَمۡوَٰلِكُمۡۚ إِنَّهُۥ كَانَ حُوبٗا كَبِيرٗا

    Open ayah 4:2

    (Bwe mukitegeera nti abataddeko eriiso gyogi kale) ne bamulekwa mubawe emmaali yaabwe, ennungi temugiwaanyisangamu embi, era emmaali yaabwe temugiryanga nga mugigatta mu yammwe, mazima ddala okukola ekyo kibi kinene.

  3. وَإِنۡ خِفۡتُمۡ أَلَّا تُقۡسِطُواْ فِي ٱلۡيَتَٰمَىٰ فَٱنكِحُواْ مَا طَابَ لَكُم مِّنَ ٱلنِّسَآءِ مَثۡنَىٰ وَثُلَٰثَ وَرُبَٰعَۖ فَإِنۡ خِفۡتُمۡ أَلَّا تَعۡدِلُواْ فَوَٰحِدَةً أَوۡ مَا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُكُمۡۚ ذَٰلِكَ أَدۡنَىٰٓ أَلَّا تَعُولُواْ

    Open ayah 4:3

    Bwemutyanga obutakola bwenkanya eri bamulekwa (Abawala bemwasigaza okulabirira temubawasa) olwonno muwase abakyala abalala abo ababa babasanyusizza owa babiri, owa basatu, n’owabana, wabula bwemutyanga obutakola bwenkanya, kale omu, oba oyo omuzaana yenna gwemuba mulina mu mikono gyammwe, ekyo kyekirungi okuwona obuzibu bwokwekubiira.

  4. وَءَاتُواْ ٱلنِّسَآءَ صَدُقَٰتِهِنَّ نِحۡلَةٗۚ فَإِن طِبۡنَ لَكُمۡ عَن شَيۡءٖ مِّنۡهُ نَفۡسٗا فَكُلُوهُ هَنِيٓـٔٗا مَّرِيٓـٔٗا

    Open ayah 4:4

    Kikakafu muwe Abakyala Amahare gaabwe, naye bwebaba nga bbo babasonyiye ekintu kyonna ku Mahare mu mwoyo omulungi, ekyo mukirye nga mweyagala, nga muli mirembe.

  5. وَلَا تُؤۡتُواْ ٱلسُّفَهَآءَ أَمۡوَٰلَكُمُ ٱلَّتِي جَعَلَ ٱللَّهُ لَكُمۡ قِيَٰمٗا وَٱرۡزُقُوهُمۡ فِيهَا وَٱكۡسُوهُمۡ وَقُولُواْ لَهُمۡ قَوۡلٗا مَّعۡرُوفٗا

    Open ayah 4:5

    Abo abatasobola kwemalirira ku kukozesa mmaali, temubawanga emmaali yammwe, eyo Katonda gyeyabateerawo nga yeetambuza obulamu bwa mmwe, era mubawenga ku yo gyebeetaaga ku byokulya era mubambazenga, era mwogerenga nabo ebigambo ebirungi.

  6. وَٱبۡتَلُواْ ٱلۡيَتَٰمَىٰ حَتَّىٰٓ إِذَا بَلَغُواْ ٱلنِّكَاحَ فَإِنۡ ءَانَسۡتُم مِّنۡهُمۡ رُشۡدٗا فَٱدۡفَعُوٓاْ إِلَيۡهِمۡ أَمۡوَٰلَهُمۡۖ وَلَا تَأۡكُلُوهَآ إِسۡرَافٗا وَبِدَارًا أَن يَكۡبَرُواْۚ وَمَن كَانَ غَنِيّٗا فَلۡيَسۡتَعۡفِفۡۖ وَمَن كَانَ فَقِيرٗا فَلۡيَأۡكُلۡ بِٱلۡمَعۡرُوفِۚ فَإِذَا دَفَعۡتُمۡ إِلَيۡهِمۡ أَمۡوَٰلَهُمۡ فَأَشۡهِدُواْ عَلَيۡهِمۡۚ وَكَفَىٰ بِٱللَّهِ حَسِيبٗا

    Open ayah 4:6

    Mugezese ba mulekwa (mpola mpola) bwebatuuka mu kiseera ekyokuwasa (oba okufumbirwa) bwe mubalabamu obusobozi (bwo kulabirira ebyabwe) olwonno mubawe emmaali yaabwe. (Mu kiseera wemubeerera nga mugibakuumira) temugiryanga mu ngeri ey’okudiibuuda, era n’okugirya eggweewo mangu nga tebannakula. Oyo anaabanga omugagga asaana yesseemu ensa (agyesonyiwe) oyo anaabanga omwavu alyengako mu ngeri y’akintu kiramu. Bwe mutuusanga okubawa emmaali yaabwe muleetengawo abajulizi, kimala okubeera nti Katonda ye mubazi.

  7. لِّلرِّجَالِ نَصِيبٞ مِّمَّا تَرَكَ ٱلۡوَٰلِدَانِ وَٱلۡأَقۡرَبُونَ وَلِلنِّسَآءِ نَصِيبٞ مِّمَّا تَرَكَ ٱلۡوَٰلِدَانِ وَٱلۡأَقۡرَبُونَ مِمَّا قَلَّ مِنۡهُ أَوۡ كَثُرَۚ نَصِيبٗا مَّفۡرُوضٗا

    Open ayah 4:7

    Abaana ab’obulenzi balina omugabo gwebafuna mwebyo bakadde baabwe bombi byebalese, n’aboluganda byebaba balese, n'abaana ab'obuwala balina omugabo mwebyo bakadde baabwe bombi n'aboluganda byebaba balese, kabibe bitono oba bingi, (buli omu afuna) omugabo omugereke.

  8. وَإِذَا حَضَرَ ٱلۡقِسۡمَةَ أُوْلُواْ ٱلۡقُرۡبَىٰ وَٱلۡيَتَٰمَىٰ وَٱلۡمَسَٰكِينُ فَٱرۡزُقُوهُم مِّنۡهُ وَقُولُواْ لَهُمۡ قَوۡلٗا مَّعۡرُوفٗا

    Open ayah 4:8

    Ab’oluganda ab'okumpi ne bamulekwa n’abanaku bwebabaawo nga emmaali y’omufu egabwa mubagabirenga ko, era mubagambe ebigambo ebirungi.

  9. وَلۡيَخۡشَ ٱلَّذِينَ لَوۡ تَرَكُواْ مِنۡ خَلۡفِهِمۡ ذُرِّيَّةٗ ضِعَٰفًا خَافُواْ عَلَيۡهِمۡ فَلۡيَتَّقُواْ ٱللَّهَ وَلۡيَقُولُواْ قَوۡلٗا سَدِيدًا

    Open ayah 4:9

    (Abakuza) bateekwa okutya nti singa baba balese emabega waabwe abaana abato, nga baalibeeraliikirizza, bateekwa okutya Katonda, era boogere ebigambo ebituufu.

  10. إِنَّ ٱلَّذِينَ يَأۡكُلُونَ أَمۡوَٰلَ ٱلۡيَتَٰمَىٰ ظُلۡمًا إِنَّمَا يَأۡكُلُونَ فِي بُطُونِهِمۡ نَارٗاۖ وَسَيَصۡلَوۡنَ سَعِيرٗا 

    Open ayah 4:10

    Mazima abo abalya emmaali y’abamulekwa mu ngeri enkyamu, mazima mu mbuto zaabwe balya muliro mwereere, era bagenda kuyingira omuliro oguyitibwa Saer.

  11. يُوصِيكُمُ ٱللَّهُ فِيٓ أَوۡلَٰدِكُمۡۖ لِلذَّكَرِ مِثۡلُ حَظِّ ٱلۡأُنثَيَيۡنِۚ فَإِن كُنَّ نِسَآءٗ فَوۡقَ ٱثۡنَتَيۡنِ فَلَهُنَّ ثُلُثَا مَا تَرَكَۖ وَإِن كَانَتۡ وَٰحِدَةٗ فَلَهَا ٱلنِّصۡفُۚ وَلِأَبَوَيۡهِ لِكُلِّ وَٰحِدٖ مِّنۡهُمَا ٱلسُّدُسُ مِمَّا تَرَكَ إِن كَانَ لَهُۥ وَلَدٞۚ فَإِن لَّمۡ يَكُن لَّهُۥ وَلَدٞ وَوَرِثَهُۥٓ أَبَوَاهُ فَلِأُمِّهِ ٱلثُّلُثُۚ فَإِن كَانَ لَهُۥٓ إِخۡوَةٞ فَلِأُمِّهِ ٱلسُّدُسُۚ مِنۢ بَعۡدِ وَصِيَّةٖ يُوصِي بِهَآ أَوۡ دَيۡنٍۗ ءَابَآؤُكُمۡ وَأَبۡنَآؤُكُمۡ لَا تَدۡرُونَ أَيُّهُمۡ أَقۡرَبُ لَكُمۡ نَفۡعٗاۚ فَرِيضَةٗ مِّنَ ٱللَّهِۗ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ عَلِيمًا حَكِيمٗا

    Open ayah 4:11

    Katonda abakalaatira ku baana ba mmwe, nga omwana omulenzi afuna emigabo gya bawala babiri, bwebaba nga baana bawala nebasukka ku babiri basikira bibiri bya kusatu (/ )by’emmaali omufu gyaba alese, bwaba muwala omu afuna kimu kya kubiri (/) olwonno bazadde b’omufu, buli omu kubo naafuna kimu kya mukaaga (/) ku mmaali gyaba alese bwaba nga aleseewo omwana ow’obulenzi, bwaba nga talina mwana w’abulenzi, abazadde b’ombiriri nebamusikira maamawe aba atwala kimu kya kusatu (/), bwaba aleseewo bagandabe olwo maamawe afuna kimu kya mukaaga (/), ebyo byonna bikolebwa oluvanyuma lwokutuukiriza ekiraamo kye yalaama oba ebbanja, bazadde ba mmwe n’abaana ba mmwe temumanyi ani kubonna asinga okuba ow’omugaso gyemuli, eno y’engaba ya Katonda (gye muteekeddwa okugoberera) anti bulijjo mazima ddala Katonda amanyi nnyo ate nga buli kintu akikola kusinziira ku nsonga.

  12. ۞وَلَكُمۡ نِصۡفُ مَا تَرَكَ أَزۡوَٰجُكُمۡ إِن لَّمۡ يَكُن لَّهُنَّ وَلَدٞۚ فَإِن كَانَ لَهُنَّ وَلَدٞ فَلَكُمُ ٱلرُّبُعُ مِمَّا تَرَكۡنَۚ مِنۢ بَعۡدِ وَصِيَّةٖ يُوصِينَ بِهَآ أَوۡ دَيۡنٖۚ وَلَهُنَّ ٱلرُّبُعُ مِمَّا تَرَكۡتُمۡ إِن لَّمۡ يَكُن لَّكُمۡ وَلَدٞۚ فَإِن كَانَ لَكُمۡ وَلَدٞ فَلَهُنَّ ٱلثُّمُنُ مِمَّا تَرَكۡتُمۚ مِّنۢ بَعۡدِ وَصِيَّةٖ تُوصُونَ بِهَآ أَوۡ دَيۡنٖۗ وَإِن كَانَ رَجُلٞ يُورَثُ كَلَٰلَةً أَوِ ٱمۡرَأَةٞ وَلَهُۥٓ أَخٌ أَوۡ أُخۡتٞ فَلِكُلِّ وَٰحِدٖ مِّنۡهُمَا ٱلسُّدُسُۚ فَإِن كَانُوٓاْ أَكۡثَرَ مِن ذَٰلِكَ فَهُمۡ شُرَكَآءُ فِي ٱلثُّلُثِۚ مِنۢ بَعۡدِ وَصِيَّةٖ يُوصَىٰ بِهَآ أَوۡ دَيۡنٍ غَيۡرَ مُضَآرّٖۚ وَصِيَّةٗ مِّنَ ٱللَّهِۗ وَٱللَّهُ عَلِيمٌ حَلِيمٞ

    Open ayah 4:12

    (Mmwe Abasajja) mufuna kimu kya kubiri (/) mwebyo bakyala ba mmwe byebaba balese bwebaba nga bafudde tebalese mwana (oba abazzukulu,) bwebaba balese omwana, olwo nno mufuna kimu kyakuna (/) mwebyo byebaba balese, (nga bino bikolebwa (oluvanyuma lwe kiraamo kyebaba balaamye oba ebbanja. Nabo abakyala bafuna kimu kya kuna (/) kwebyo byemuba mulese bwe mubanga temulina mwana gwemulese. Bwe muba mulina omwana olwonno bafuna kimu kya munaana (/) kwebyo byemuba mulese, (Bino bikolebwa) oluvanyuma lwokutuukiriza ekiraamo kyemuba mulaamye oba ebbanja, omusajja bwaba asikirwa nga talese baana wadde bazadde, naye nga alina mugandawe oba mwannyina (gwalese) buli omu ku bombi afuna kimu kya mukaaga (/) bwebaba nga basukkawo olwo bonna beegattira mu kimu kyakusatu (/), (kino kikolebwa) oluvanyuma lwokutuukiriza ekiraamo ekiba kirekeddwa oba ebbanja, ekitaliimu kunyigiriza (eri abaserikale) bino byonna nga kiraamo gyemuli okuva eri Katonda wa mmwe, era bulijjo Katonda amanyi nnyo waakisa.

  13. تِلۡكَ حُدُودُ ٱللَّهِۚ وَمَن يُطِعِ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ يُدۡخِلۡهُ جَنَّٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَاۚ وَذَٰلِكَ ٱلۡفَوۡزُ ٱلۡعَظِيمُ

    Open ayah 4:13

    Ago mateeka ga Katonda, omuntu yenna agondera Katonda n’omubakawe alimuyingiza e jjana ezikulukutiramu emigga, baakuzibeeramu obugenderevu, era okwo kwekwesiima okusukkulumu.

  14. وَمَن يَعۡصِ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ وَيَتَعَدَّ حُدُودَهُۥ يُدۡخِلۡهُ نَارًا خَٰلِدٗا فِيهَا وَلَهُۥ عَذَابٞ مُّهِينٞ

    Open ayah 4:14

    N’oyo ajeemera Katonda n'omubakawe, naamenya amateekage agenda ku muyingiza omuliro, nga waakugubeeramu obugenderevu, era wa kutuusibwako ebibonerezo ebinyoomesa.

  15. وَٱلَّٰتِي يَأۡتِينَ ٱلۡفَٰحِشَةَ مِن نِّسَآئِكُمۡ فَٱسۡتَشۡهِدُواْ عَلَيۡهِنَّ أَرۡبَعَةٗ مِّنكُمۡۖ فَإِن شَهِدُواْ فَأَمۡسِكُوهُنَّ فِي ٱلۡبُيُوتِ حَتَّىٰ يَتَوَفَّىٰهُنَّ ٱلۡمَوۡتُ أَوۡ يَجۡعَلَ ٱللَّهُ لَهُنَّ سَبِيلٗا

    Open ayah 4:15

    Naabo abakyala ba mmwe ababa bakoze eby’obwenzi mubateekeko abajulizi bana () nga bava mu mmwe, bwebabawaako obujulizi olwonno abakyala abo mubasibire mu mayumba okutuusa okufa lwekulibatuukako, oba Katonda naabateerawo enkola endala.

  16. وَٱلَّذَانِ يَأۡتِيَٰنِهَا مِنكُمۡ فَـَٔاذُوهُمَاۖ فَإِن تَابَا وَأَصۡلَحَا فَأَعۡرِضُواْ عَنۡهُمَآۗ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ تَوَّابٗا رَّحِيمًا

    Open ayah 4:16

    Naabo bombi mu mmwe ababa bakikoze mubabonerezenga, naye bwebeenenya nebeeyisa obulungi mubaleke, mazima Katonda akkiriza okwenenya musaasizi.

  17. إِنَّمَا ٱلتَّوۡبَةُ عَلَى ٱللَّهِ لِلَّذِينَ يَعۡمَلُونَ ٱلسُّوٓءَ بِجَهَٰلَةٖ ثُمَّ يَتُوبُونَ مِن قَرِيبٖ فَأُوْلَٰٓئِكَ يَتُوبُ ٱللَّهُ عَلَيۡهِمۡۗ وَكَانَ ٱللَّهُ عَلِيمًا حَكِيمٗا

    Open ayah 4:17

    Mazima okwenenya okukkirizibwa ewa Katonda kwekwabantu abo abakola ebibi mu butamanya oluvanyuma nebeenenya mangu ddala abonno Katonda akkiriza okwenenya kwabwe, anti bulijjo Katonda amanyi nnyo era agoba nsonga.

  18. وَلَيۡسَتِ ٱلتَّوۡبَةُ لِلَّذِينَ يَعۡمَلُونَ ٱلسَّيِّـَٔاتِ حَتَّىٰٓ إِذَا حَضَرَ أَحَدَهُمُ ٱلۡمَوۡتُ قَالَ إِنِّي تُبۡتُ ٱلۡـَٰٔنَ وَلَا ٱلَّذِينَ يَمُوتُونَ وَهُمۡ كُفَّارٌۚ أُوْلَٰٓئِكَ أَعۡتَدۡنَا لَهُمۡ عَذَابًا أَلِيمٗا

    Open ayah 4:18

    Okwenenya tekukkirizibwa nga kuva mwabo abakola ebibi okutuusa omu ku bo okufa lwekumusemberera naagamba nti kaakati neenenyezza, wadde abo abafa nga bakafiiri, abo (bonna) twabategekera ebibonerezo ebiruma.

  19. يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا يَحِلُّ لَكُمۡ أَن تَرِثُواْ ٱلنِّسَآءَ كَرۡهٗاۖ وَلَا تَعۡضُلُوهُنَّ لِتَذۡهَبُواْ بِبَعۡضِ مَآ ءَاتَيۡتُمُوهُنَّ إِلَّآ أَن يَأۡتِينَ بِفَٰحِشَةٖ مُّبَيِّنَةٖۚ وَعَاشِرُوهُنَّ بِٱلۡمَعۡرُوفِۚ فَإِن كَرِهۡتُمُوهُنَّ فَعَسَىٰٓ أَن تَكۡرَهُواْ شَيۡـٔٗا وَيَجۡعَلَ ٱللَّهُ فِيهِ خَيۡرٗا كَثِيرٗا

    Open ayah 4:19

    Abange mmwe abakkiriza temukkirizibwa kusikira bakyala lwampaka, era temubanyigirizanga mube nga mutwala ebimu kwebyo byemwabawa, mpozzi nga bakoze obwenzi obweyolefu, (bwekiba ekyo) mukolagane nabo mu ngeri ennungi, bwe muba temukyabaagala, muyinza okutamwa ekintu ate Katonda naakissaamu ebirungi bingi.

  20. وَإِنۡ أَرَدتُّمُ ٱسۡتِبۡدَالَ زَوۡجٖ مَّكَانَ زَوۡجٖ وَءَاتَيۡتُمۡ إِحۡدَىٰهُنَّ قِنطَارٗا فَلَا تَأۡخُذُواْ مِنۡهُ شَيۡـًٔاۚ أَتَأۡخُذُونَهُۥ بُهۡتَٰنٗا وَإِثۡمٗا مُّبِينٗا 

    Open ayah 4:20

    Singa mwagadde okuwaanyisa omukyala mu kifo kyomukyala omulala, omu ku bo nebwe muba nga mwamuwa endulundu ye mmaali, temubaggyangako kintu kyonna ku yo, musobole okugitwala mu ngeri yobulimba era nga kivve ekyeyolefu!!

  21. وَكَيۡفَ تَأۡخُذُونَهُۥ وَقَدۡ أَفۡضَىٰ بَعۡضُكُمۡ إِلَىٰ بَعۡضٖ وَأَخَذۡنَ مِنكُم مِّيثَٰقًا غَلِيظٗا

    Open ayah 4:21

    Ate mugitwala mutya nga buli omu ku mmwe yamala dda okutuuka eri munne! (Abakyala abo) nebaggya ku mmwe endagaano ennyweevu.

  22. وَلَا تَنكِحُواْ مَا نَكَحَ ءَابَآؤُكُم مِّنَ ٱلنِّسَآءِ إِلَّا مَا قَدۡ سَلَفَۚ إِنَّهُۥ كَانَ فَٰحِشَةٗ وَمَقۡتٗا وَسَآءَ سَبِيلًا

    Open ayah 4:22

    Temuwasanga abakyala ba kitammwe bebaawasa, okugyako ebyo byemwakola emabega (nga temunnamanya tteeka lino) mazima ekikolwa ekyo kya buwemu, ekisunguwaza Katonda, era nga nkola mbi.

  23. حُرِّمَتۡ عَلَيۡكُمۡ أُمَّهَٰتُكُمۡ وَبَنَاتُكُمۡ وَأَخَوَٰتُكُمۡ وَعَمَّٰتُكُمۡ وَخَٰلَٰتُكُمۡ وَبَنَاتُ ٱلۡأَخِ وَبَنَاتُ ٱلۡأُخۡتِ وَأُمَّهَٰتُكُمُ ٱلَّٰتِيٓ أَرۡضَعۡنَكُمۡ وَأَخَوَٰتُكُم مِّنَ ٱلرَّضَٰعَةِ وَأُمَّهَٰتُ نِسَآئِكُمۡ وَرَبَٰٓئِبُكُمُ ٱلَّٰتِي فِي حُجُورِكُم مِّن نِّسَآئِكُمُ ٱلَّٰتِي دَخَلۡتُم بِهِنَّ فَإِن لَّمۡ تَكُونُواْ دَخَلۡتُم بِهِنَّ فَلَا جُنَاحَ عَلَيۡكُمۡ وَحَلَٰٓئِلُ أَبۡنَآئِكُمُ ٱلَّذِينَ مِنۡ أَصۡلَٰبِكُمۡ وَأَن تَجۡمَعُواْ بَيۡنَ ٱلۡأُخۡتَيۡنِ إِلَّا مَا قَدۡ سَلَفَۗ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ غَفُورٗا رَّحِيمٗا

    Open ayah 4:23

    Temukkirizibwa (kiri haramu) okuwasa ba maama ba mmwe, ne bawala ba mmwe ne bannyina mmwe, neba senga mmwe, ne baganda ba bamaama ba mmwe, ne bawala ba baganda ba mmwe, ne bawala ba bannyinammwe, ne ba maama ba mmwe abo abaabayonsa, nebannyinammwe bemwayonka ku bbeere erimu, ne bamaama ba bakyala ba mmwe n’abaana abajja ne bannyabwe abo ababa bakulidde mu maka gammwe, nga bazaalibwa bakyala ba mmwe abo bemwalabagana nabo, bwe muba temwalabaganako nabo, temulina mutawaana (era temukkirizibwa) baka batabani ba mmwe abo abava ku migongo gyammwe, era temukkirizibwa kugatta wakati wa bakyala ab’oluganda okugyako ebyo byemwakola edda emabega, anti bulijjo Katonda musonyiyi musaasizi.

  24. ۞وَٱلۡمُحۡصَنَٰتُ مِنَ ٱلنِّسَآءِ إِلَّا مَا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُكُمۡۖ كِتَٰبَ ٱللَّهِ عَلَيۡكُمۡۚ وَأُحِلَّ لَكُم مَّا وَرَآءَ ذَٰلِكُمۡ أَن تَبۡتَغُواْ بِأَمۡوَٰلِكُم مُّحۡصِنِينَ غَيۡرَ مُسَٰفِحِينَۚ فَمَا ٱسۡتَمۡتَعۡتُم بِهِۦ مِنۡهُنَّ فَـَٔاتُوهُنَّ أُجُورَهُنَّ فَرِيضَةٗۚ وَلَا جُنَاحَ عَلَيۡكُمۡ فِيمَا تَرَٰضَيۡتُم بِهِۦ مِنۢ بَعۡدِ ٱلۡفَرِيضَةِۚ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ عَلِيمًا حَكِيمٗا

    Open ayah 4:24

    Era temukkirizibwa kuwasa bakyala bafumbo mpozzi abo bemuba mufunye mu mikono gyammwe mu ngeri yo bufuge, bino byonna Katonda abibataddeko nga kiragiro ekiva gyali. Mukkirizibwa okuwasa abatali abo, nga mukozesa emmaali yammwe. Mubafune mu bufumbo obutukuvu so ssi mu bwenzi, abo bwe mubanga musanyuse nabo, mubawe Amahare gaabwe, nga Katonda bweyakiraalika. Temulina kibi kwekyo kyemuba mukkaanyizzaako oluvanyuma lw’okugereka Amahare. Mazima ddala Katonda bulijjo mumanyi nnyo ate agoba nsonga.

  25. وَمَن لَّمۡ يَسۡتَطِعۡ مِنكُمۡ طَوۡلًا أَن يَنكِحَ ٱلۡمُحۡصَنَٰتِ ٱلۡمُؤۡمِنَٰتِ فَمِن مَّا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُكُم مِّن فَتَيَٰتِكُمُ ٱلۡمُؤۡمِنَٰتِۚ وَٱللَّهُ أَعۡلَمُ بِإِيمَٰنِكُمۚ بَعۡضُكُم مِّنۢ بَعۡضٖۚ فَٱنكِحُوهُنَّ بِإِذۡنِ أَهۡلِهِنَّ وَءَاتُوهُنَّ أُجُورَهُنَّ بِٱلۡمَعۡرُوفِ مُحۡصَنَٰتٍ غَيۡرَ مُسَٰفِحَٰتٖ وَلَا مُتَّخِذَٰتِ أَخۡدَانٖۚ فَإِذَآ أُحۡصِنَّ فَإِنۡ أَتَيۡنَ بِفَٰحِشَةٖ فَعَلَيۡهِنَّ نِصۡفُ مَا عَلَى ٱلۡمُحۡصَنَٰتِ مِنَ ٱلۡعَذَابِۚ ذَٰلِكَ لِمَنۡ خَشِيَ ٱلۡعَنَتَ مِنكُمۡۚ وَأَن تَصۡبِرُواْ خَيۡرٞ لَّكُمۡۗ وَٱللَّهُ غَفُورٞ رَّحِيمٞ

    Open ayah 4:25

    Nooyo aba talina mu mmwe busobozi okuba nga awasa abaana baboobwe abakkiriza, awase mwabo emikono gyammwe begyaafuna nga eminyago mu bawala ba mmwe abakkiriza, Katonda amanyidde ddala obukkiriza bwa mmwe, mwenna abamu bava mu bannaabwe. Wabula mubawase kasita bakama baabwe bakkiriza era mubawe Amahare gaabwe mu buntu bulamu, bateekeddwa okuba abensa nga si bamalaaya wadde ab'eteerawo baganzi baabwe, bwebaba bafumbiddwa ate nebayingira mu bwenzi, mubasseeko kitundu kya kibonerezo, ekiweebwa abakyala abaana ba'boobwe. Ekyo nno (ekyokubawasa) kyoyo aba atidde mu mmwe okugwa mu kibi kyobwenzi, naye singa muba musobodde okugumiikiriza ekyo kyekisinga obulungi gyemuli, era bulijjo Katonda musonyiyi, musaasizi.

  26. يُرِيدُ ٱللَّهُ لِيُبَيِّنَ لَكُمۡ وَيَهۡدِيَكُمۡ سُنَنَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِكُمۡ وَيَتُوبَ عَلَيۡكُمۡۗ وَٱللَّهُ عَلِيمٌ حَكِيمٞ

    Open ayah 4:26

    Katonda ayagala okubannyonnyola era abalungamye ku nkola y’abo abaabakulembera, era akkirize okwenenya kwa mmwe. Bulijjo Katonda mumanyi nnyo ate agoba nsonga.

  27. وَٱللَّهُ يُرِيدُ أَن يَتُوبَ عَلَيۡكُمۡ وَيُرِيدُ ٱلَّذِينَ يَتَّبِعُونَ ٱلشَّهَوَٰتِ أَن تَمِيلُواْ مَيۡلًا عَظِيمٗا

    Open ayah 4:27

    Era Katonda ayagala akkirize okwenenya kwa mmwe, ate bo abagoberera okwagala kwabwe baagala Katonda mumuviireko ddala.

  28. يُرِيدُ ٱللَّهُ أَن يُخَفِّفَ عَنكُمۡۚ وَخُلِقَ ٱلۡإِنسَٰنُ ضَعِيفٗا

    Open ayah 4:28

    Bulijjo Katonda ayagala kubanguyiza, anti omuntu yatondebwa nga munafu.

  29. يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَأۡكُلُوٓاْ أَمۡوَٰلَكُم بَيۡنَكُم بِٱلۡبَٰطِلِ إِلَّآ أَن تَكُونَ تِجَٰرَةً عَن تَرَاضٖ مِّنكُمۡۚ وَلَا تَقۡتُلُوٓاْ أَنفُسَكُمۡۚ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ بِكُمۡ رَحِيمٗا

    Open ayah 4:29

    Abange mmwe abakkiriza, temulyanga emmaali yammwe wakati wa mmwe mu bukyamu, okugyako nga kubadde kusuubulagana nga kusinziira ku kutegeeragana wakati wa mmwe, temwetemulanga. Mazima Katonda bulijjo waakisa ku mmwe.

  30. وَمَن يَفۡعَلۡ ذَٰلِكَ عُدۡوَٰنٗا وَظُلۡمٗا فَسَوۡفَ نُصۡلِيهِ نَارٗاۚ وَكَانَ ذَٰلِكَ عَلَى ٱللَّهِ يَسِيرًا 

    Open ayah 4:30

    Omuntu akola ekintu ekyo mu bulumbaganyi n’obulyazamanyi, tugenda kumuyingiza omuliro, era ekyo ku Katonda kigenda kuba kyangu.

  31. إِن تَجۡتَنِبُواْ كَبَآئِرَ مَا تُنۡهَوۡنَ عَنۡهُ نُكَفِّرۡ عَنكُمۡ سَيِّـَٔاتِكُمۡ وَنُدۡخِلۡكُم مُّدۡخَلٗا كَرِيمٗا

    Open ayah 4:31

    Bwemwewala ebibi ebinene ebibagaanwa, tujja kubasangulako ebibi ebitonotono era tubayingize ennyingiza ey’ekitiibwa.

  32. وَلَا تَتَمَنَّوۡاْ مَا فَضَّلَ ٱللَّهُ بِهِۦ بَعۡضَكُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٖۚ لِّلرِّجَالِ نَصِيبٞ مِّمَّا ٱكۡتَسَبُواْۖ وَلِلنِّسَآءِ نَصِيبٞ مِّمَّا ٱكۡتَسَبۡنَۚ وَسۡـَٔلُواْ ٱللَّهَ مِن فَضۡلِهِۦٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمٗا

    Open ayah 4:32

    Temuluvuwaliranga ebyo Katonda byeyasukkulumya nabyo abamu mu mmwe ku balala, Abasajja balina omugabo kw’ekyo kyebaba bakoze, nga n’abakyala bwebalina omugabo kwekyo kyebaba bakoze, era bulijjo musabe Katonda abawe ku birungibye, mazima Katonda mumanyi wa buli kintu.

  33. وَلِكُلّٖ جَعَلۡنَا مَوَٰلِيَ مِمَّا تَرَكَ ٱلۡوَٰلِدَانِ وَٱلۡأَقۡرَبُونَۚ وَٱلَّذِينَ عَقَدَتۡ أَيۡمَٰنُكُمۡ فَـَٔاتُوهُمۡ نَصِيبَهُمۡۚ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ شَهِيدًا

    Open ayah 4:33

    Nabuli omu twamuteerawo abasikira ebyo abazadde ababiri n’aboluganda byebaba balese, n’abo bebyakakatako ebirayiro byammwe (ab'omukago), kale mubawe omugabo gwabwe, mazima ddala Katonda mujulizi ku buli kintu.

  34. ٱلرِّجَالُ قَوَّٰمُونَ عَلَى ٱلنِّسَآءِ بِمَا فَضَّلَ ٱللَّهُ بَعۡضَهُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٖ وَبِمَآ أَنفَقُواْ مِنۡ أَمۡوَٰلِهِمۡۚ فَٱلصَّٰلِحَٰتُ قَٰنِتَٰتٌ حَٰفِظَٰتٞ لِّلۡغَيۡبِ بِمَا حَفِظَ ٱللَّهُۚ وَٱلَّٰتِي تَخَافُونَ نُشُوزَهُنَّ فَعِظُوهُنَّ وَٱهۡجُرُوهُنَّ فِي ٱلۡمَضَاجِعِ وَٱضۡرِبُوهُنَّۖ فَإِنۡ أَطَعۡنَكُمۡ فَلَا تَبۡغُواْ عَلَيۡهِنَّ سَبِيلًاۗ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ عَلِيّٗا كَبِيرٗا

    Open ayah 4:34

    Abasajja be balabirira Abakyala olwenkizo Katonda gyeyawa abamu ku bannaabwe, ne ku lwemmaali Abasajja gyebasasaanya, kale nno abakyala abalongoofu baba bawulize ku lwa Katonda, b'ekuumira ba bbaabwe.Kwekyo Katonda kyeyabakuumisa. bo abo bemutya okuba nga bajeema mubabuulirire era mubasenguke mu buliri, era mubakubemu. Bwebaba babagondedde temulina kyemubavunaana, mazima Katonda waawaggulu nnyo wa kitiibwa.

  35. وَإِنۡ خِفۡتُمۡ شِقَاقَ بَيۡنِهِمَا فَٱبۡعَثُواْ حَكَمٗا مِّنۡ أَهۡلِهِۦ وَحَكَمٗا مِّنۡ أَهۡلِهَآ إِن يُرِيدَآ إِصۡلَٰحٗا يُوَفِّقِ ٱللَّهُ بَيۡنَهُمَآۗ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ عَلِيمًا خَبِيرٗا

    Open ayah 4:35

    Bwe muba nga mutidde enjawukana wakati wa bafumbo ababiri, muweerezeeyo omutabaganya okuva ku ludda lwo mwami n’omutabaganya omulala okuva ku ludda lwomukyala, bwebaba nga bombi bagenderera kulongoosa, Katonda ajja kukwanaganya wakati waabwe bombi. Mazima Katonda bulijjo amanyi nnyo ategeera buli kyonna ekikwata ku baddube.

  36. ۞وَٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ وَلَا تُشۡرِكُواْ بِهِۦ شَيۡـٔٗاۖ وَبِٱلۡوَٰلِدَيۡنِ إِحۡسَٰنٗا وَبِذِي ٱلۡقُرۡبَىٰ وَٱلۡيَتَٰمَىٰ وَٱلۡمَسَٰكِينِ وَٱلۡجَارِ ذِي ٱلۡقُرۡبَىٰ وَٱلۡجَارِ ٱلۡجُنُبِ وَٱلصَّاحِبِ بِٱلۡجَنۢبِ وَٱبۡنِ ٱلسَّبِيلِ وَمَا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُكُمۡۗ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُحِبُّ مَن كَانَ مُخۡتَالٗا فَخُورًا

    Open ayah 4:36

    Era musinze Katonda awatali ku mugattako kintu kyonna, n’abazadde ababiri mubayise bulungi, bwekityo n’aboluganda, ne bamulekwa n’abanaku ne muliraanwa ow’okumpi, nemuliraanwa ow'ewala, ne munno ow'okumpi n'omutambuze ali mu bwetaavu, n’abo emikono gyammwe begyafuna ng’eminyago, mazima Katonda tayagala muntu yeekuluntaza omwewulize.

  37. ٱلَّذِينَ يَبۡخَلُونَ وَيَأۡمُرُونَ ٱلنَّاسَ بِٱلۡبُخۡلِ وَيَكۡتُمُونَ مَآ ءَاتَىٰهُمُ ٱللَّهُ مِن فَضۡلِهِۦۗ وَأَعۡتَدۡنَا لِلۡكَٰفِرِينَ عَذَابٗا مُّهِينٗا

    Open ayah 4:37

    Abo beebo abakodowala nebalagira na bantu abalala okuba abakodo, nebakweka Katonda byeyabawa mu birungibye. Era Abakafiiri twabategekera ebibonerezo ebinyomesa.

  38. وَٱلَّذِينَ يُنفِقُونَ أَمۡوَٰلَهُمۡ رِئَآءَ ٱلنَّاسِ وَلَا يُؤۡمِنُونَ بِٱللَّهِ وَلَا بِٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِۗ وَمَن يَكُنِ ٱلشَّيۡطَٰنُ لَهُۥ قَرِينٗا فَسَآءَ قَرِينٗا

    Open ayah 4:38

    (Era ebyo byebibonerezo) byabo abawaayo emmaali yaabwe ku lwa bantu okubalaba, nga tebakkiriza Katonda wadde olunaku lw’enkomerero. Omuntu yenna Sitane gwabera nga ye munne, aba afunye owomukwano omubi.

  39. وَمَاذَا عَلَيۡهِمۡ لَوۡ ءَامَنُواْ بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِ وَأَنفَقُواْ مِمَّا رَزَقَهُمُ ٱللَّهُۚ وَكَانَ ٱللَّهُ بِهِمۡ عَلِيمًا

    Open ayah 4:39

    Kiki ekyandibatuseeko singa bakkiriza Katonda n’olunaku lw’enkomerero, ne bagaba kwebyo Katonda bye yabawa. Anti bulijjo Katonda amanyi ebibakwatako.

  40. إِنَّ ٱللَّهَ لَا يَظۡلِمُ مِثۡقَالَ ذَرَّةٖۖ وَإِن تَكُ حَسَنَةٗ يُضَٰعِفۡهَا وَيُؤۡتِ مِن لَّدُنۡهُ أَجۡرًا عَظِيمٗا 

    Open ayah 4:40

    Mazima Katonda talyazamaanya wadde akantu akatono ennyo, bwekiba kirungi akibazaamu anti bulijjo awa okuva gyali empeera ensukkulumu.

  41. فَكَيۡفَ إِذَا جِئۡنَا مِن كُلِّ أُمَّةِۭ بِشَهِيدٖ وَجِئۡنَا بِكَ عَلَىٰ هَٰٓؤُلَآءِ شَهِيدٗا

    Open ayah 4:41

    Guliba gutya bwetuligya mu buli kibiina omujulizi, ggwe netukuleeta ng’omujulizi kwabo.

  42. يَوۡمَئِذٖ يَوَدُّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَعَصَوُاْ ٱلرَّسُولَ لَوۡ تُسَوَّىٰ بِهِمُ ٱلۡأَرۡضُ وَلَا يَكۡتُمُونَ ٱللَّهَ حَدِيثٗا

    Open ayah 4:42

    Olunaku olwo abo Abakaafuwala nebajeemera omubaka balyegomba singa ettaka libamira, era tebalisobola kukweka Katonda kigambo kyonna.

  43. يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَقۡرَبُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَأَنتُمۡ سُكَٰرَىٰ حَتَّىٰ تَعۡلَمُواْ مَا تَقُولُونَ وَلَا جُنُبًا إِلَّا عَابِرِي سَبِيلٍ حَتَّىٰ تَغۡتَسِلُواْۚ وَإِن كُنتُم مَّرۡضَىٰٓ أَوۡ عَلَىٰ سَفَرٍ أَوۡ جَآءَ أَحَدٞ مِّنكُم مِّنَ ٱلۡغَآئِطِ أَوۡ لَٰمَسۡتُمُ ٱلنِّسَآءَ فَلَمۡ تَجِدُواْ مَآءٗ فَتَيَمَّمُواْ صَعِيدٗا طَيِّبٗا فَٱمۡسَحُواْ بِوُجُوهِكُمۡ وَأَيۡدِيكُمۡۗ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ عَفُوًّا غَفُورًا

    Open ayah 4:43

    Abange mmwe Abakkiriza temusembereranga e sswala nga mutamidde,(okutuusa lwegubaggwako) ne muba nga mutegeera byemwogera (era temusembereranga e sswala) nga mulina Janaba okugyako ayita obuyisi mu muzigiti okutuusa nga munaabye, bwe muba abalwadde, oba nga muli ku safari, oba omu ku mmwe ng’avudde mu kumala ekyetaago (ekyobutonde) oba nga mukutte ku bakyala, ne mutafuna mazzi, olwonno mwetukuze nga mukozesa ettaka eddungi, musiige ebyenyi byammwe n’emikono gyammwe, mazima Katonda bulijjo alekera era asonyiwa.

  44. أَلَمۡ تَرَ إِلَى ٱلَّذِينَ أُوتُواْ نَصِيبٗا مِّنَ ٱلۡكِتَٰبِ يَشۡتَرُونَ ٱلضَّلَٰلَةَ وَيُرِيدُونَ أَن تَضِلُّواْ ٱلسَّبِيلَ

    Open ayah 4:44

    Tolaba abo abaaweebwa omugabo mu kitabo, baasalawo okutwala obubuze era nebaagala nammwe mubulwe ekkubo.

  45. وَٱللَّهُ أَعۡلَمُ بِأَعۡدَآئِكُمۡۚ وَكَفَىٰ بِٱللَّهِ وَلِيّٗا وَكَفَىٰ بِٱللَّهِ نَصِيرٗا

    Open ayah 4:45

    Bulijjo Katonda amanyi nnyo ebikwata ku balabe ba mmwe, Katonda amala okuba nga ye mukuumi, era Katonda amala okuba nga ye mutaasa.

  46. مِّنَ ٱلَّذِينَ هَادُواْ يُحَرِّفُونَ ٱلۡكَلِمَ عَن مَّوَاضِعِهِۦ وَيَقُولُونَ سَمِعۡنَا وَعَصَيۡنَا وَٱسۡمَعۡ غَيۡرَ مُسۡمَعٖ وَرَٰعِنَا لَيَّۢا بِأَلۡسِنَتِهِمۡ وَطَعۡنٗا فِي ٱلدِّينِۚ وَلَوۡ أَنَّهُمۡ قَالُواْ سَمِعۡنَا وَأَطَعۡنَا وَٱسۡمَعۡ وَٱنظُرۡنَا لَكَانَ خَيۡرٗا لَّهُمۡ وَأَقۡوَمَ وَلَٰكِن لَّعَنَهُمُ ٱللَّهُ بِكُفۡرِهِمۡ فَلَا يُؤۡمِنُونَ إِلَّا قَلِيلٗا

    Open ayah 4:46

    Mu Bayudaaya, mulimu abakyusa ebigambo nebabikozesa mu bukyamu, nebaba nga bagamba nti tuwulidde era tujeemye. Wulira naye Katonda aleme kukuwuliza, era siriwala. Nga bakyusakyusa ebigambo nennimi zaabwe, era nga bagezaako okussa ebituli mu ddiini. Singa bagamba nti tuwulidde era tugonze wulira era tulabirire, kyandibadde kirungi nnyo gyebali era nga kituufu, wabula Katonda yabakolimira olwobukafiiri bwabwe, tebakkiriza okugyako katono nnyo.

  47. يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ ءَامِنُواْ بِمَا نَزَّلۡنَا مُصَدِّقٗا لِّمَا مَعَكُم مِّن قَبۡلِ أَن نَّطۡمِسَ وُجُوهٗا فَنَرُدَّهَا عَلَىٰٓ أَدۡبَارِهَآ أَوۡ نَلۡعَنَهُمۡ كَمَا لَعَنَّآ أَصۡحَٰبَ ٱلسَّبۡتِۚ وَكَانَ أَمۡرُ ٱللَّهِ مَفۡعُولًا

    Open ayah 4:47

    Abange mmwe abaaweebwa ekitabo mukkirize ebyo byetwassa nga bikakasa ebyo byemulina, nga tetunnaba kukyusa byenyi netubizza emabega, oba netubakolimira nga bwetwakolimira abantu b’olunaku lwomukaaga. Ekigambo kya Katonda bulijjo kiteekwa okutuukirira.

  48. إِنَّ ٱللَّهَ لَا يَغۡفِرُ أَن يُشۡرَكَ بِهِۦ وَيَغۡفِرُ مَا دُونَ ذَٰلِكَ لِمَن يَشَآءُۚ وَمَن يُشۡرِكۡ بِٱللَّهِ فَقَدِ ٱفۡتَرَىٰٓ إِثۡمًا عَظِيمًا

    Open ayah 4:48

    Mazima Katonda tasonyiwa kumugattako kintu kirala asonyiwa ebirala ebitali ekyo kwoyo gwaba ayagadde, oyo yenna agatta ku Katonda ekinti ekirala, mazima aba agunjizzaawo ekibi kinene nnyo.

  49. أَلَمۡ تَرَ إِلَى ٱلَّذِينَ يُزَكُّونَ أَنفُسَهُمۚ بَلِ ٱللَّهُ يُزَكِّي مَن يَشَآءُ وَلَا يُظۡلَمُونَ فَتِيلًا

    Open ayah 4:49

    Tolaba abo abeetukuza! ekituufu kiri nti Katonda atukuza oyo gwaba ayagadde, era tebagenda kulyazaamanyizibwa wadde omuwula gwentende ogumu.

  50. ٱنظُرۡ كَيۡفَ يَفۡتَرُونَ عَلَى ٱللَّهِ ٱلۡكَذِبَۖ وَكَفَىٰ بِهِۦٓ إِثۡمٗا مُّبِينًا 

    Open ayah 4:50

    Laba engeri gyebatemerera Katonda obulimba, ekyo kimala bumazi okuba nti kibi ekyolwatu.

  51. أَلَمۡ تَرَ إِلَى ٱلَّذِينَ أُوتُواْ نَصِيبٗا مِّنَ ٱلۡكِتَٰبِ يُؤۡمِنُونَ بِٱلۡجِبۡتِ وَٱلطَّٰغُوتِ وَيَقُولُونَ لِلَّذِينَ كَفَرُواْ هَٰٓؤُلَآءِ أَهۡدَىٰ مِنَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ سَبِيلًا

    Open ayah 4:51

    Tolaba abo abaaweebwa omugabo mu kitabo, bakkiririza mu buli kisinzibwa ekitali Katonda era nebakkiririza mu Sitane, era nga bagamba abakafiiri nti, abo ekkubo lyabwe ly’elisinga erya bakkiriza okuba ettuufu.

  52. أُوْلَٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ لَعَنَهُمُ ٱللَّهُۖ وَمَن يَلۡعَنِ ٱللَّهُ فَلَن تَجِدَ لَهُۥ نَصِيرًا

    Open ayah 4:52

    Abo nno beebo Katonda beyakolimira, ate nga oyo yenna Katonda gweyakolimira, toyinza kumufunira mutaasa yenna.

  53. أَمۡ لَهُمۡ نَصِيبٞ مِّنَ ٱلۡمُلۡكِ فَإِذٗا لَّا يُؤۡتُونَ ٱلنَّاسَ نَقِيرًا

    Open ayah 4:53

    Abaffe, balina omugabo gwonna mu bufuzi! bwekiba bwekityo tebandiwadde muntu yenna kantu konna nebwekandibadde kenkana akatuli k’omulamwa gwe ntende.

  54. أَمۡ يَحۡسُدُونَ ٱلنَّاسَ عَلَىٰ مَآ ءَاتَىٰهُمُ ٱللَّهُ مِن فَضۡلِهِۦۖ فَقَدۡ ءَاتَيۡنَآ ءَالَ إِبۡرَٰهِيمَ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحِكۡمَةَ وَءَاتَيۡنَٰهُم مُّلۡكًا عَظِيمٗا

    Open ayah 4:54

    Oba bakwatibwa ensalwa olwebyo Katonda byeyawa abantu (Nabbi Muhammad n’abamukkiriza) so nga ate twawa aboolulyo lwa Nabbi Ibrahim ekitabo n’ebigambo ebyamagezi era netubawa obufuzi obugazi.

  55. فَمِنۡهُم مَّنۡ ءَامَنَ بِهِۦ وَمِنۡهُم مَّن صَدَّ عَنۡهُۚ وَكَفَىٰ بِجَهَنَّمَ سَعِيرًا

    Open ayah 4:55

    (Ne mwabo abaaweebwa omugabo mu kitabo) mulimu abakkiriza obubaka bwa Nabbi Muhammad, ate mulimu abaziyiza abantu okubukkiriza, kimala okuba nga Jahannama gwemuliro ogugenda okubookya.

  56. إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِـَٔايَٰتِنَا سَوۡفَ نُصۡلِيهِمۡ نَارٗا كُلَّمَا نَضِجَتۡ جُلُودُهُم بَدَّلۡنَٰهُمۡ جُلُودًا غَيۡرَهَا لِيَذُوقُواْ ٱلۡعَذَابَۗ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ عَزِيزًا حَكِيمٗا

    Open ayah 4:56

    Mazima abo abaawakanya ebigambo byaffe, ddala tujja kubayingiza omuliro, buli lwegalisiriira amaliba g’emibiri gyabwe, nga tubassaako amaliba amalala, balyoke bakombe ku bibonerezo. Mazima Katonda bulijjo nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.

  57. وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ سَنُدۡخِلُهُمۡ جَنَّٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَآ أَبَدٗاۖ لَّهُمۡ فِيهَآ أَزۡوَٰجٞ مُّطَهَّرَةٞۖ وَنُدۡخِلُهُمۡ ظِلّٗا ظَلِيلًا

    Open ayah 4:57

    Ate bbo Abakkiriza nebakola emirimu emirungi, tujja kubayingiza mu jjana ezikulukutiramu emigga, nga baakubeeramu lubeerera, balina mu zo Abakyala abatukuvu era tugenda kubakkiriza batuule mu bisiikirize ebisaakaativu.

  58. ۞إِنَّ ٱللَّهَ يَأۡمُرُكُمۡ أَن تُؤَدُّواْ ٱلۡأَمَٰنَٰتِ إِلَىٰٓ أَهۡلِهَا وَإِذَا حَكَمۡتُم بَيۡنَ ٱلنَّاسِ أَن تَحۡكُمُواْ بِٱلۡعَدۡلِۚ إِنَّ ٱللَّهَ نِعِمَّا يَعِظُكُم بِهِۦٓۗ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ سَمِيعَۢا بَصِيرٗا

    Open ayah 4:58

    Mazima Katonda abalagira okutuukiriza obuvunaanyizibwa eri abo bemuteekwa okubukolera, era bwemutuula mu nsonga wakati w’abantu mubalamule mu bwenkanya, mazima Katonda kisuffu kyabakalaatira, mazima Katonda bulijjo awulira ate ng’alaba.

  59. يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ أَطِيعُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُواْ ٱلرَّسُولَ وَأُوْلِي ٱلۡأَمۡرِ مِنكُمۡۖ فَإِن تَنَٰزَعۡتُمۡ فِي شَيۡءٖ فَرُدُّوهُ إِلَى ٱللَّهِ وَٱلرَّسُولِ إِن كُنتُمۡ تُؤۡمِنُونَ بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِۚ ذَٰلِكَ خَيۡرٞ وَأَحۡسَنُ تَأۡوِيلًا

    Open ayah 4:59

    Abange mmwe Abakkiriza mugondere Katonda mugondere n’omubaka n’abakulembeze mu mmwe, bwe mufuna obutakkaanya ku nsonga yonna mugizze eri Katonda n’omubaka, bwe muba mukkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero ekyo kyekirungi era kyekivaamu ebibala ebirungi.

  60. أَلَمۡ تَرَ إِلَى ٱلَّذِينَ يَزۡعُمُونَ أَنَّهُمۡ ءَامَنُواْ بِمَآ أُنزِلَ إِلَيۡكَ وَمَآ أُنزِلَ مِن قَبۡلِكَ يُرِيدُونَ أَن يَتَحَاكَمُوٓاْ إِلَى ٱلطَّٰغُوتِ وَقَدۡ أُمِرُوٓاْ أَن يَكۡفُرُواْ بِهِۦۖ وَيُرِيدُ ٱلشَّيۡطَٰنُ أَن يُضِلَّهُمۡ ضَلَٰلَۢا بَعِيدٗا 

    Open ayah 4:60

    Tolaba abo abagamba nti bakkiriza ebyassibwa gyoli, n’ebyassibwa oluberyeberyelwo, baagala okuba nga beramuza ebintu ebikyamu ebitali mu mateeka g’a Katonda, so nga baalagirwa okubiwakanya, era bulijjo Sitane ayagala ababuze olubula olusuffu.

  61. وَإِذَا قِيلَ لَهُمۡ تَعَالَوۡاْ إِلَىٰ مَآ أَنزَلَ ٱللَّهُ وَإِلَى ٱلرَّسُولِ رَأَيۡتَ ٱلۡمُنَٰفِقِينَ يَصُدُّونَ عَنكَ صُدُودٗا

    Open ayah 4:61

    Bwebaba bagambiddwa nti mujje eri ebyo Katonda byeyassa, era mujje eri omubaka, olaba abananfusi nga bakwemululako olwemulula.

  62. فَكَيۡفَ إِذَآ أَصَٰبَتۡهُم مُّصِيبَةُۢ بِمَا قَدَّمَتۡ أَيۡدِيهِمۡ ثُمَّ جَآءُوكَ يَحۡلِفُونَ بِٱللَّهِ إِنۡ أَرَدۡنَآ إِلَّآ إِحۡسَٰنٗا وَتَوۡفِيقًا

    Open ayah 4:62

    Butya nga batuukiddwako omuswiba olwebyo byebaakola, olwonno nebakujjira nga balayira Katonda nti, ekigendererwa kyaffe tekyabadde kirala kyonna okugyako okulongoosa n'okutereeza.

  63. أُوْلَٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ يَعۡلَمُ ٱللَّهُ مَا فِي قُلُوبِهِمۡ فَأَعۡرِضۡ عَنۡهُمۡ وَعِظۡهُمۡ وَقُل لَّهُمۡ فِيٓ أَنفُسِهِمۡ قَوۡلَۢا بَلِيغٗا

    Open ayah 4:63

    Abo nno beebo, Katonda baamanyi ebiri mu mitima gyaabwe, n'olwekyo baawukaneko era obabuulirire, era obagambe ekigambo ekiggumivu ekinaabatuuka ku mitima.

  64. وَمَآ أَرۡسَلۡنَا مِن رَّسُولٍ إِلَّا لِيُطَاعَ بِإِذۡنِ ٱللَّهِۚ وَلَوۡ أَنَّهُمۡ إِذ ظَّلَمُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ جَآءُوكَ فَٱسۡتَغۡفَرُواْ ٱللَّهَ وَٱسۡتَغۡفَرَ لَهُمُ ٱلرَّسُولُ لَوَجَدُواْ ٱللَّهَ تَوَّابٗا رَّحِيمٗا

    Open ayah 4:64

    Tewali Mubaka gwe twatuma okugyako nga ateekwa kugonderwa kulwobuyinza bwa Katonda, kale singa bo lwebaba beeyisizza obubi bajja gyoli, nebeegayirira Katonda n’omubaka naabasabira ekisonyiwo ewa Katonda, baalisanze Katonda nga akkiriza okwenenya era nga wa kisa.

  65. فَلَا وَرَبِّكَ لَا يُؤۡمِنُونَ حَتَّىٰ يُحَكِّمُوكَ فِيمَا شَجَرَ بَيۡنَهُمۡ ثُمَّ لَا يَجِدُواْ فِيٓ أَنفُسِهِمۡ حَرَجٗا مِّمَّا قَضَيۡتَ وَيُسَلِّمُواْ تَسۡلِيمٗا

    Open ayah 4:65

    Ndayidde Mukama Katonda wo tebayinza kubeera bakkiriza abannamaddala okugyako nga ggwe gwebasalawo okubalamula mu buli kintu kyebaba bakaayaganyeeko, ate nebatasigaza mu mitima gyabwe kakuku ku ngeri gyoba osazeewo era nebakkiriza olukkiriza olulambulukufu.

  66. وَلَوۡ أَنَّا كَتَبۡنَا عَلَيۡهِمۡ أَنِ ٱقۡتُلُوٓاْ أَنفُسَكُمۡ أَوِ ٱخۡرُجُواْ مِن دِيَٰرِكُم مَّا فَعَلُوهُ إِلَّا قَلِيلٞ مِّنۡهُمۡۖ وَلَوۡ أَنَّهُمۡ فَعَلُواْ مَا يُوعَظُونَ بِهِۦ لَكَانَ خَيۡرٗا لَّهُمۡ وَأَشَدَّ تَثۡبِيتٗا

    Open ayah 4:66

    Singa mazima ddala ffe twalaalika ku bo nti mwette, oba muve mu mayumba gammwe tebandikikoze okugyako batono ku bo, singa baakola ebyo ebibabuulirwa kyandibadde kirungi gyebali, era kyekyalisinze okubanywereza ku bukkiriza.

  67. وَإِذٗا لَّأٓتَيۡنَٰهُم مِّن لَّدُنَّآ أَجۡرًا عَظِيمٗا

    Open ayah 4:67

    Olwo nno twandibawadde okuva gyetuli empeera ensukkulumu.

  68. وَلَهَدَيۡنَٰهُمۡ صِرَٰطٗا مُّسۡتَقِيمٗا

    Open ayah 4:68

    Era twalibalungamizza mu kkubo eggolokofu.

  69. وَمَن يُطِعِ ٱللَّهَ وَٱلرَّسُولَ فَأُوْلَٰٓئِكَ مَعَ ٱلَّذِينَ أَنۡعَمَ ٱللَّهُ عَلَيۡهِم مِّنَ ٱلنَّبِيِّـۧنَ وَٱلصِّدِّيقِينَ وَٱلشُّهَدَآءِ وَٱلصَّٰلِحِينَۚ وَحَسُنَ أُوْلَٰٓئِكَ رَفِيقٗا

    Open ayah 4:69

    Abantu abagondera Katonda n’omubaka, abo nno beebokubeera awamu naabo Katonda beyawa ebyengera mu ba Nabbi n’abakkiriza abaamazima, n'abafiira mu ntalo zeddiini n'abalongoofu. Abo balungi nnyo okuba nga be bantu boobeera nabo.

  70. ذَٰلِكَ ٱلۡفَضۡلُ مِنَ ٱللَّهِۚ وَكَفَىٰ بِٱللَّهِ عَلِيمٗا 

    Open ayah 4:70

    Obulungi obwo bwonna buva wa Katonda, kimala bumazi okuba nti Katonda amanyi byonna.

  71. يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ خُذُواْ حِذۡرَكُمۡ فَٱنفِرُواْ ثُبَاتٍ أَوِ ٱنفِرُواْ جَمِيعٗا

    Open ayah 4:71

    Abange mmwe Abakkiriza mubagalire ebyokulwanyisa byammwe, mutambulire mu bibinja, oba mutambulire wamu mwenna.

  72. وَإِنَّ مِنكُمۡ لَمَن لَّيُبَطِّئَنَّ فَإِنۡ أَصَٰبَتۡكُم مُّصِيبَةٞ قَالَ قَدۡ أَنۡعَمَ ٱللَّهُ عَلَيَّ إِذۡ لَمۡ أَكُن مَّعَهُمۡ شَهِيدٗا

    Open ayah 4:72

    Mazima mujja kubeera mu mmwe abantu abanafuya bannaabwe, nga singa mutuukwako obuzibu mu lutalo bagamba nti Katonda yannyambye okuba nti saabadde nabo mu lutalo.

  73. وَلَئِنۡ أَصَٰبَكُمۡ فَضۡلٞ مِّنَ ٱللَّهِ لَيَقُولَنَّ كَأَن لَّمۡ تَكُنۢ بَيۡنَكُمۡ وَبَيۡنَهُۥ مَوَدَّةٞ يَٰلَيۡتَنِي كُنتُ مَعَهُمۡ فَأَفُوزَ فَوۡزًا عَظِيمٗا

    Open ayah 4:73

    Naye ate singa muba mugonnomoddwako ebirungi okuva ewa Katonda, ajja kugamba nga walinga awatabangawo nkolagana wakati wa mmwe naye nti nga ndabye nze, singa nabadde nabo nenganyulwa oluganyulwa olunene.

  74. ۞فَلۡيُقَٰتِلۡ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ ٱلَّذِينَ يَشۡرُونَ ٱلۡحَيَوٰةَ ٱلدُّنۡيَا بِٱلۡأٓخِرَةِۚ وَمَن يُقَٰتِلۡ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ فَيُقۡتَلۡ أَوۡ يَغۡلِبۡ فَسَوۡفَ نُؤۡتِيهِ أَجۡرًا عَظِيمٗا

    Open ayah 4:74

    Bateekeddwa okulwana mu kkubo lya Katonda abo abalekawo obulamu obwensi nebatwala obwenkomerero, oyo yenna alwanirira eddiini ya Katonda naamala attibwa, oba naawangula, tugenda kumuwa empeera ensukkulumu.

  75. وَمَا لَكُمۡ لَا تُقَٰتِلُونَ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ وَٱلۡمُسۡتَضۡعَفِينَ مِنَ ٱلرِّجَالِ وَٱلنِّسَآءِ وَٱلۡوِلۡدَٰنِ ٱلَّذِينَ يَقُولُونَ رَبَّنَآ أَخۡرِجۡنَا مِنۡ هَٰذِهِ ٱلۡقَرۡيَةِ ٱلظَّالِمِ أَهۡلُهَا وَٱجۡعَل لَّنَا مِن لَّدُنكَ وَلِيّٗا وَٱجۡعَل لَّنَا مِن لَّدُنكَ نَصِيرًا

    Open ayah 4:75

    Ngeriki bwemutalwana mu kutaasa ddiini ya Katonda, n'okutaasa abanyigirizibwa mu basajja n'abakyala n'abaana, nebatuuka okugamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tuggye mu nsi eno, abantu baamu abanyigiriza bannaabwe, otuteerewo okuva gyoli omukuumi era otuteerewo okuva gyoli omutaasa.

  76. ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ يُقَٰتِلُونَ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِۖ وَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ يُقَٰتِلُونَ فِي سَبِيلِ ٱلطَّٰغُوتِ فَقَٰتِلُوٓاْ أَوۡلِيَآءَ ٱلشَّيۡطَٰنِۖ إِنَّ كَيۡدَ ٱلشَّيۡطَٰنِ كَانَ ضَعِيفًا

    Open ayah 4:76

    Abo abakkiriza, balwana nga bali mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, bo abakafiiri balwana mu kuweereza mu kubo lyobubuze n'obwonoonefu, kale mulwanyise banne ba Sitane, anti bulijjo enkwe za Sitane nafu ddala.

  77. أَلَمۡ تَرَ إِلَى ٱلَّذِينَ قِيلَ لَهُمۡ كُفُّوٓاْ أَيۡدِيَكُمۡ وَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتُواْ ٱلزَّكَوٰةَ فَلَمَّا كُتِبَ عَلَيۡهِمُ ٱلۡقِتَالُ إِذَا فَرِيقٞ مِّنۡهُمۡ يَخۡشَوۡنَ ٱلنَّاسَ كَخَشۡيَةِ ٱللَّهِ أَوۡ أَشَدَّ خَشۡيَةٗۚ وَقَالُواْ رَبَّنَا لِمَ كَتَبۡتَ عَلَيۡنَا ٱلۡقِتَالَ لَوۡلَآ أَخَّرۡتَنَآ إِلَىٰٓ أَجَلٖ قَرِيبٖۗ قُلۡ مَتَٰعُ ٱلدُّنۡيَا قَلِيلٞ وَٱلۡأٓخِرَةُ خَيۡرٞ لِّمَنِ ٱتَّقَىٰ وَلَا تُظۡلَمُونَ فَتِيلًا

    Open ayah 4:77

    Tolaba abo abaagambwa nti mulekere awo okulwana, era muyimirizeewo e sswala, era mutoole e Zakka, naye ate bwe baalagirwa okulwana, wagenda okulaba ng’abamu mu bo batya abantu, nga balinga abatya Katonda. Si nakindi n’okusingawo, nebagamba nti ayi Mukama Katonda waffe lwaki otulaaliseeko okulwana, singa otulindirizzaako okumala akaseera katono, gamba Ggwe (Nabbi Muhammad) nti ebyokweyagala kwensi byabutaliimu, era enkomerero yenungi eri atya Katonda, era nga temugenda kulyazamanyizibwa wadde omuwula gwe ntende.

  78. أَيۡنَمَا تَكُونُواْ يُدۡرِككُّمُ ٱلۡمَوۡتُ وَلَوۡ كُنتُمۡ فِي بُرُوجٖ مُّشَيَّدَةٖۗ وَإِن تُصِبۡهُمۡ حَسَنَةٞ يَقُولُواْ هَٰذِهِۦ مِنۡ عِندِ ٱللَّهِۖ وَإِن تُصِبۡهُمۡ سَيِّئَةٞ يَقُولُواْ هَٰذِهِۦ مِنۡ عِندِكَۚ قُلۡ كُلّٞ مِّنۡ عِندِ ٱللَّهِۖ فَمَالِ هَٰٓؤُلَآءِ ٱلۡقَوۡمِ لَا يَكَادُونَ يَفۡقَهُونَ حَدِيثٗا

    Open ayah 4:78

    Wonna wemuba muli okufa kugenda kubatuukako, newaakubadde nga muli mu mizimbo eminywevu (bankers), abantu abamu bwebatuukwako ekirungi bagamba nti ekyo kivudde wa Katonda, so nga bwebatuukwako ekibi bagamba nti kino kivudde ku ggwe, Gamba (Ggwe Muhammad) byonna biva wa Katonda, abantu abo bali kumpi babe nga tebategeera kintu kyonna.

  79. مَّآ أَصَابَكَ مِنۡ حَسَنَةٖ فَمِنَ ٱللَّهِۖ وَمَآ أَصَابَكَ مِن سَيِّئَةٖ فَمِن نَّفۡسِكَۚ وَأَرۡسَلۡنَٰكَ لِلنَّاسِ رَسُولٗاۚ وَكَفَىٰ بِٱللَّهِ شَهِيدٗا

    Open ayah 4:79

    Buli kirungi ekikutuukako kiva wa Katonda, ate buli kibi ekikutuukako kiva ku ggwe kennyini, era twakutuma eri abantu nga oli Mubaka, bulijjo kimala okuba nga Katonda yemujulizi.

  80. مَّن يُطِعِ ٱلرَّسُولَ فَقَدۡ أَطَاعَ ٱللَّهَۖ وَمَن تَوَلَّىٰ فَمَآ أَرۡسَلۡنَٰكَ عَلَيۡهِمۡ حَفِيظٗا 

    Open ayah 4:80

    Omuntu agondera omubaka mazima aba agondedde Katonda, n’omuntu akola ekyennyume kyekyo tetukutumanga (Ggwe Muhammad) kubera kalondoozi ku bo.

  81. وَيَقُولُونَ طَاعَةٞ فَإِذَا بَرَزُواْ مِنۡ عِندِكَ بَيَّتَ طَآئِفَةٞ مِّنۡهُمۡ غَيۡرَ ٱلَّذِي تَقُولُۖ وَٱللَّهُ يَكۡتُبُ مَا يُبَيِّتُونَۖ فَأَعۡرِضۡ عَنۡهُمۡ وَتَوَكَّلۡ عَلَى ٱللَّهِۚ وَكَفَىٰ بِٱللَّهِ وَكِيلًا

    Open ayah 4:81

    (Bwebabeera wooli) bagamba nti bawulize gyoli, naye bwebava wooli ekitundu ku bo nebasula nga basala entotto okwawukana ku byebayogedde, era Katonda awandiika entotto zonna zebasula bakola, baveeko wekwate ku Katonda, bulijjo kimala okuba nga Katonda ye mukuumi.

  82. أَفَلَا يَتَدَبَّرُونَ ٱلۡقُرۡءَانَۚ وَلَوۡ كَانَ مِنۡ عِندِ غَيۡرِ ٱللَّهِ لَوَجَدُواْ فِيهِ ٱخۡتِلَٰفٗا كَثِيرٗا

    Open ayah 4:82

    Abaffe, tebekkenneenya Kur’ani, singa teyava wa Katonda bandigisanzeemu okukontana kungi.

  83. وَإِذَا جَآءَهُمۡ أَمۡرٞ مِّنَ ٱلۡأَمۡنِ أَوِ ٱلۡخَوۡفِ أَذَاعُواْ بِهِۦۖ وَلَوۡ رَدُّوهُ إِلَى ٱلرَّسُولِ وَإِلَىٰٓ أُوْلِي ٱلۡأَمۡرِ مِنۡهُمۡ لَعَلِمَهُ ٱلَّذِينَ يَسۡتَنۢبِطُونَهُۥ مِنۡهُمۡۗ وَلَوۡلَا فَضۡلُ ٱللَّهِ عَلَيۡكُمۡ وَرَحۡمَتُهُۥ لَٱتَّبَعۡتُمُ ٱلشَّيۡطَٰنَ إِلَّا قَلِيلٗا

    Open ayah 4:83

    Bwebajjirwa e kigambo e kyemirembe oba e kyentiisa bakiraalaasa, so singa bakizza eri omubaka oba abo abakwatibwako ensonga mu bo, bandikitegedde abo abalina obusobozi bwokusengejja amakulu gaayo, singa tebyali birungi Katonda byabawa n’okusaasira kwe mwandigoberedde Sitane mpozzi abatono mu mmwe.

  84. فَقَٰتِلۡ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ لَا تُكَلَّفُ إِلَّا نَفۡسَكَۚ وَحَرِّضِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَۖ عَسَى ٱللَّهُ أَن يَكُفَّ بَأۡسَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْۚ وَٱللَّهُ أَشَدُّ بَأۡسٗا وَأَشَدُّ تَنكِيلٗا

    Open ayah 4:84

    Kale nno lwaana ng’oweereza mu kkubo lya Katonda, towalirizibwa (kutwala muntu yenna ku lutalo) okugyako mwoyo gwo. Bo abakkiriza bakubirize (okulwana) olwo nno Katonda abe nga akomya akabi kaabo ab'akaafuwala, bulijjo Katonda y’asinga amaanyi era y’asinga okubonereza.

  85. مَّن يَشۡفَعۡ شَفَٰعَةً حَسَنَةٗ يَكُن لَّهُۥ نَصِيبٞ مِّنۡهَاۖ وَمَن يَشۡفَعۡ شَفَٰعَةٗ سَيِّئَةٗ يَكُن لَّهُۥ كِفۡلٞ مِّنۡهَاۗ وَكَانَ ٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ مُّقِيتٗا

    Open ayah 4:85

    Omuntu akolerera munne afune e kirungi naye afunako omugabo, n’omuntu akolerera munne atuukweko e kibi atukwako e kibi kyekyo. Bulijjo Katonda yennyini buyinza ku buli kintu.

  86. وَإِذَا حُيِّيتُم بِتَحِيَّةٖ فَحَيُّواْ بِأَحۡسَنَ مِنۡهَآ أَوۡ رُدُّوهَآۗ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٍ حَسِيبًا

    Open ayah 4:86

    Bwe muba nga mulamusiddwa n'ekiramuso kyonna mwanukule nga n'ekiramuso ekisingako ku kiri obulungi, oba mwanukuze nakiri kyennyini kyebabalamusizza nakyo, bulijjo Katonda asobolera ddala okubala buli kintu.

  87. ٱللَّهُ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۚ لَيَجۡمَعَنَّكُمۡ إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ لَا رَيۡبَ فِيهِۗ وَمَنۡ أَصۡدَقُ مِنَ ٱللَّهِ حَدِيثٗا

    Open ayah 4:87

    Katonda ateekeddwa okusinzibwa ali omu tewali kintu kyonna kisaana kusinzibwa okugyako yye, mazima ddala agenda kubakunganya ku lunaku lw’enkomerero awatali kubuusabuusa, ate bulijjo ani ayogera amazima okusinga Katonda!

  88. ۞فَمَا لَكُمۡ فِي ٱلۡمُنَٰفِقِينَ فِئَتَيۡنِ وَٱللَّهُ أَرۡكَسَهُم بِمَا كَسَبُوٓاْۚ أَتُرِيدُونَ أَن تَهۡدُواْ مَنۡ أَضَلَّ ٱللَّهُۖ وَمَن يُضۡلِلِ ٱللَّهُ فَلَن تَجِدَ لَهُۥ سَبِيلٗا

    Open ayah 4:88

    Lwaki Abannanfusi mubalinako e ndaba ya mirundi ebiri, so nga Katonda olwebyo byebakola yabavuunika (nebadda mu bukafiiri) kaakati mmwe mwagala kulungamya oyo Katonda gweyabuza oyo yenna Katonda gwabuza tosobola kumufunira kkubo.

  89. وَدُّواْ لَوۡ تَكۡفُرُونَ كَمَا كَفَرُواْ فَتَكُونُونَ سَوَآءٗۖ فَلَا تَتَّخِذُواْ مِنۡهُمۡ أَوۡلِيَآءَ حَتَّىٰ يُهَاجِرُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِۚ فَإِن تَوَلَّوۡاْ فَخُذُوهُمۡ وَٱقۡتُلُوهُمۡ حَيۡثُ وَجَدتُّمُوهُمۡۖ وَلَا تَتَّخِذُواْ مِنۡهُمۡ وَلِيّٗا وَلَا نَصِيرًا

    Open ayah 4:89

    Beegomba nnyo okuba nga mukaafuwala nga bwe baakaafuwala, olwo nno mufaanagane, temuggya mu bo ab'emikwano beppo nga basenguse nebadda ku kkubo lya Katonda, naye bwe batakikola mubakwate, mubatte wonna wemubagwikiriza, temuggya mu bo wa mukwano yenna wadde omutaasa.

  90. إِلَّا ٱلَّذِينَ يَصِلُونَ إِلَىٰ قَوۡمِۭ بَيۡنَكُمۡ وَبَيۡنَهُم مِّيثَٰقٌ أَوۡ جَآءُوكُمۡ حَصِرَتۡ صُدُورُهُمۡ أَن يُقَٰتِلُوكُمۡ أَوۡ يُقَٰتِلُواْ قَوۡمَهُمۡۚ وَلَوۡ شَآءَ ٱللَّهُ لَسَلَّطَهُمۡ عَلَيۡكُمۡ فَلَقَٰتَلُوكُمۡۚ فَإِنِ ٱعۡتَزَلُوكُمۡ فَلَمۡ يُقَٰتِلُوكُمۡ وَأَلۡقَوۡاْ إِلَيۡكُمُ ٱلسَّلَمَ فَمَا جَعَلَ ٱللَّهُ لَكُمۡ عَلَيۡهِمۡ سَبِيلٗا 

    Open ayah 4:90

    Okugyako abo ababa baddukidde eri abantu bemulina nabo endagaano (e yobutatabaalagana), oba abo abajja gyemuli nga tebandi yagadde kubalwanyisa mmwe, oba okulwanyisa abantu baabwe, singa Katonda yayagala (abantu abo) yandi babateeredde nebabalwanyisa. Bweba nga tebabalumbaganye nebatabalwanyisa, era nebalangirira emirembe ku mmwe, nammwe Katonda mu buli ngeri yonna tabakkiriza kubalwanyisa.

  91. سَتَجِدُونَ ءَاخَرِينَ يُرِيدُونَ أَن يَأۡمَنُوكُمۡ وَيَأۡمَنُواْ قَوۡمَهُمۡ كُلَّ مَا رُدُّوٓاْ إِلَى ٱلۡفِتۡنَةِ أُرۡكِسُواْ فِيهَاۚ فَإِن لَّمۡ يَعۡتَزِلُوكُمۡ وَيُلۡقُوٓاْ إِلَيۡكُمُ ٱلسَّلَمَ وَيَكُفُّوٓاْ أَيۡدِيَهُمۡ فَخُذُوهُمۡ وَٱقۡتُلُوهُمۡ حَيۡثُ ثَقِفۡتُمُوهُمۡۚ وَأُوْلَٰٓئِكُمۡ جَعَلۡنَا لَكُمۡ عَلَيۡهِمۡ سُلۡطَٰنٗا مُّبِينٗا

    Open ayah 4:91

    Ate mujja kusanga abalala nga bo baagala babe mirembe nammwe, mu kiseera kyekimu babe mirembe n'abantu baabwe, buli wonna webaddizibwa eri obukafiiri babubbinkiramu. Bwebaba tebabavuddeeko era nebalangirira e mirembe ku mmwe, nebaziyiza e mikono gyabwe, (abo) mubakwate era mubatte wonna wemubagwikiriza, era kwabo twabawa mmwe olukusa olujjuvu okubakolako.

  92. وَمَا كَانَ لِمُؤۡمِنٍ أَن يَقۡتُلَ مُؤۡمِنًا إِلَّا خَطَـٔٗاۚ وَمَن قَتَلَ مُؤۡمِنًا خَطَـٔٗا فَتَحۡرِيرُ رَقَبَةٖ مُّؤۡمِنَةٖ وَدِيَةٞ مُّسَلَّمَةٌ إِلَىٰٓ أَهۡلِهِۦٓ إِلَّآ أَن يَصَّدَّقُواْۚ فَإِن كَانَ مِن قَوۡمٍ عَدُوّٖ لَّكُمۡ وَهُوَ مُؤۡمِنٞ فَتَحۡرِيرُ رَقَبَةٖ مُّؤۡمِنَةٖۖ وَإِن كَانَ مِن قَوۡمِۭ بَيۡنَكُمۡ وَبَيۡنَهُم مِّيثَٰقٞ فَدِيَةٞ مُّسَلَّمَةٌ إِلَىٰٓ أَهۡلِهِۦ وَتَحۡرِيرُ رَقَبَةٖ مُّؤۡمِنَةٖۖ فَمَن لَّمۡ يَجِدۡ فَصِيَامُ شَهۡرَيۡنِ مُتَتَابِعَيۡنِ تَوۡبَةٗ مِّنَ ٱللَّهِۗ وَكَانَ ٱللَّهُ عَلِيمًا حَكِيمٗا

    Open ayah 4:92

    Tekigwanira mukkiriza yenna kutta mukkiriza, okugyako mubutanwa. Oyo yenna atta omukkiriza mubutanwa ateekwa okuta omuddu omukkiriza, nga ateekwa n'okusasula olufuubanja eri abantu b'omufu okugyako nga bamusonyiye, singa abadde wa mu bantu bemulina nabo obulabe nga ate ye mukkiriza, olwo omussi ateekwa okuta omuddu omukkiriza, naye singa abadde wa mu bantu bemulina nabo endagaano yobutatabaalagana olufubanja luteekwa okuweebwa eri abantu okwo nga ogasseeko okuta omuddu omukkiriza, omuntu aba tasobodde kufuna lufubanja lwawaayo ateekwa okusiiba emyezi ebiri nga gigoberegana, ebyo bikolebwa kulwokusaba Katonda ekisonyiwo. Bulijjo Katonda mumanyi nnyo mugoba nsonga.

  93. وَمَن يَقۡتُلۡ مُؤۡمِنٗا مُّتَعَمِّدٗا فَجَزَآؤُهُۥ جَهَنَّمُ خَٰلِدٗا فِيهَا وَغَضِبَ ٱللَّهُ عَلَيۡهِ وَلَعَنَهُۥ وَأَعَدَّ لَهُۥ عَذَابًا عَظِيمٗا

    Open ayah 4:93

    Omuntu atta omukkiriza mu bugenderevu empeera ye muliro Jahannama, w'akugubeeramu bugenderevu, era Katonda yamusunguwalira, naamukolimira, era naamutegekera ebibonerezo ebiyitirivu.

  94. يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِذَا ضَرَبۡتُمۡ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ فَتَبَيَّنُواْ وَلَا تَقُولُواْ لِمَنۡ أَلۡقَىٰٓ إِلَيۡكُمُ ٱلسَّلَٰمَ لَسۡتَ مُؤۡمِنٗا تَبۡتَغُونَ عَرَضَ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا فَعِندَ ٱللَّهِ مَغَانِمُ كَثِيرَةٞۚ كَذَٰلِكَ كُنتُم مِّن قَبۡلُ فَمَنَّ ٱللَّهُ عَلَيۡكُمۡ فَتَبَيَّنُوٓاْۚ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ بِمَا تَعۡمَلُونَ خَبِيرٗا

    Open ayah 4:94

    Abange mmwe abakkiriza bwe muba nga mutambudde mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, mwetegerezenga, omuntu bwabatooleranga ssalaamu temumugamba nti toli mukkiriza, nemululunkanira ebyokufuna byensi (bwegiba minyago) ewa Katonda weewali eminyago emingi, ebyo byemwagala okukola so nno bwemwakolanga mu kusoka, Katonda nabagonnomolako e kyengera (kyo bukkiriza) n'olwekyo muteekwa okwetegereza, anti mazima Katonda bulijjo amanyi nnyo byemukola.

  95. لَّا يَسۡتَوِي ٱلۡقَٰعِدُونَ مِنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ غَيۡرُ أُوْلِي ٱلضَّرَرِ وَٱلۡمُجَٰهِدُونَ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ بِأَمۡوَٰلِهِمۡ وَأَنفُسِهِمۡۚ فَضَّلَ ٱللَّهُ ٱلۡمُجَٰهِدِينَ بِأَمۡوَٰلِهِمۡ وَأَنفُسِهِمۡ عَلَى ٱلۡقَٰعِدِينَ دَرَجَةٗۚ وَكُلّٗا وَعَدَ ٱللَّهُ ٱلۡحُسۡنَىٰۚ وَفَضَّلَ ٱللَّهُ ٱلۡمُجَٰهِدِينَ عَلَى ٱلۡقَٰعِدِينَ أَجۡرًا عَظِيمٗا

    Open ayah 4:95

    Abatagenda ku lutalo mu bakkiriza nga tebalina kisonyiyisa tebayinza kwenkana naabo abalafuubana nebaweereza mu kkubo lya Katonda nga bawaayo emmaali yaabwe n’obulamu bwabwe, Katonda yasukkulumya eddaala abalafuubana mu kkubolye nga bakozesa emmaali yaabwe n’obulamu bwabwe ku batagenda mu lutalo. Nabuli bamu Katonda yabalagaanyisa okubasasula e birungi. Naye Katonda yasukkulumya abalafuubana mu kkubolye ku batagenze mu lutalo, nga agenda kubasasula empeera ensuffu.

  96. دَرَجَٰتٖ مِّنۡهُ وَمَغۡفِرَةٗ وَرَحۡمَةٗۚ وَكَانَ ٱللَّهُ غَفُورٗا رَّحِيمًا

    Open ayah 4:96

    Ebyo byonna nga kuliba kusitulwa madaala nakusonyiwa nakusaasira ebiriva eri Katonda, bulijjo Katonda musonyiyi nnyo wa kisa.

  97. إِنَّ ٱلَّذِينَ تَوَفَّىٰهُمُ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةُ ظَالِمِيٓ أَنفُسِهِمۡ قَالُواْ فِيمَ كُنتُمۡۖ قَالُواْ كُنَّا مُسۡتَضۡعَفِينَ فِي ٱلۡأَرۡضِۚ قَالُوٓاْ أَلَمۡ تَكُنۡ أَرۡضُ ٱللَّهِ وَٰسِعَةٗ فَتُهَاجِرُواْ فِيهَاۚ فَأُوْلَٰٓئِكَ مَأۡوَىٰهُمۡ جَهَنَّمُۖ وَسَآءَتۡ مَصِيرًا

    Open ayah 4:97

    Mazima abo ba Malayika be batuusaako okufa nga bakyeyisa bubi, ba Malayika babagamba nti mubadde mweyisa mutya, bo nebaddamu nti tubadde tunyigirizibwa mu nsi (ba Malayika) nebagamba nti abaffe ensi ya Katonda teyali ngazi nemusengukako, abo nno obuddo bwabwe muliro Jahannama era nga buddo bubi ddala.

  98. إِلَّا ٱلۡمُسۡتَضۡعَفِينَ مِنَ ٱلرِّجَالِ وَٱلنِّسَآءِ وَٱلۡوِلۡدَٰنِ لَا يَسۡتَطِيعُونَ حِيلَةٗ وَلَا يَهۡتَدُونَ سَبِيلٗا

    Open ayah 4:98

    Okugyako abo abanyigirizibwa mu basajja n'a bakyala n'abaana abatalina busobozi, era nga balina obuzibu bwokumanya ekkubo lyo kukwata.

  99. فَأُوْلَٰٓئِكَ عَسَى ٱللَّهُ أَن يَعۡفُوَ عَنۡهُمۡۚ وَكَانَ ٱللَّهُ عَفُوًّا غَفُورٗا

    Open ayah 4:99

    Abo nno Katonda abasonyiwa, bulijjo Katonda alekera era musonyiyi nnyo.

  100. ۞وَمَن يُهَاجِرۡ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ يَجِدۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ مُرَٰغَمٗا كَثِيرٗا وَسَعَةٗۚ وَمَن يَخۡرُجۡ مِنۢ بَيۡتِهِۦ مُهَاجِرًا إِلَى ٱللَّهِ وَرَسُولِهِۦ ثُمَّ يُدۡرِكۡهُ ٱلۡمَوۡتُ فَقَدۡ وَقَعَ أَجۡرُهُۥ عَلَى ٱللَّهِۗ وَكَانَ ٱللَّهُ غَفُورٗا رَّحِيمٗا 

    Open ayah 4:100

    Oyo yenna asenguka olwokuweereza mu kkubo lya Katonda afuna ebifo bingi ebyokubudamamu n'obulamu obulungi, omuntu aleka amaka ge naasenguka ku lwa Katonda n'omubaka we naye naafa (nga tannatuuka) empeera ye eba emaze okukakata ewa Katonda, Katonda bulijjo musonyiyi musaasizi.

  101. وَإِذَا ضَرَبۡتُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَلَيۡسَ عَلَيۡكُمۡ جُنَاحٌ أَن تَقۡصُرُواْ مِنَ ٱلصَّلَوٰةِ إِنۡ خِفۡتُمۡ أَن يَفۡتِنَكُمُ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْۚ إِنَّ ٱلۡكَٰفِرِينَ كَانُواْ لَكُمۡ عَدُوّٗا مُّبِينٗا 

    Open ayah 4:101

    Bwe mubanga mutambudde mu nsi, si kibi okuba nga musala ku sswala kavuna mwekengera nga abo Abaakaafuwala bayinza okubatuusaako akabi, anti bulijjo Abakafiiri balabe ba mmwe aboolwatu.

  102. وَإِذَا كُنتَ فِيهِمۡ فَأَقَمۡتَ لَهُمُ ٱلصَّلَوٰةَ فَلۡتَقُمۡ طَآئِفَةٞ مِّنۡهُم مَّعَكَ وَلۡيَأۡخُذُوٓاْ أَسۡلِحَتَهُمۡۖ فَإِذَا سَجَدُواْ فَلۡيَكُونُواْ مِن وَرَآئِكُمۡ وَلۡتَأۡتِ طَآئِفَةٌ أُخۡرَىٰ لَمۡ يُصَلُّواْ فَلۡيُصَلُّواْ مَعَكَ وَلۡيَأۡخُذُواْ حِذۡرَهُمۡ وَأَسۡلِحَتَهُمۡۗ وَدَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَوۡ تَغۡفُلُونَ عَنۡ أَسۡلِحَتِكُمۡ وَأَمۡتِعَتِكُمۡ فَيَمِيلُونَ عَلَيۡكُم مَّيۡلَةٗ وَٰحِدَةٗۚ وَلَا جُنَاحَ عَلَيۡكُمۡ إِن كَانَ بِكُمۡ أَذٗى مِّن مَّطَرٍ أَوۡ كُنتُم مَّرۡضَىٰٓ أَن تَضَعُوٓاْ أَسۡلِحَتَكُمۡۖ وَخُذُواْ حِذۡرَكُمۡۗ إِنَّ ٱللَّهَ أَعَدَّ لِلۡكَٰفِرِينَ عَذَابٗا مُّهِينٗا 

    Open ayah 4:102

    Ggwe (Nabbi Muhammad) bwobanga mu lutalo n’abakkiriza, nobakulembera mu kusaala, ekibinja ekimu ku bo kiyimiriranga naawe musaale, era nga babagalidde ebyokulwanyisa byaabwe, bwebamala okuvunnama bagende bayimirire emabega wa mmwe ate ekibinja ekirala abatannasaala bajje babe nga basaala naawe, bateekeddwa okuba obulindaala nga babagalidde ebyokulwanyisa byaabwe, abo Abakaafuwala bandyagadde singa mugayaalirira ebyokulwanyisa byammwe n'ebintu byammwe, nebabagwako ekiyiifuyiifu tewali kibi ku mmwe bwe muba nga mulina obuzibu olwenkuba oba nga mubadde balwadde okuba nga mussa wansi ebyokulwanyisa byammwe naye era mubeere bulindaala, mazima Katonda yategekera Abakafiiri ebibonerezo ebinyoomesa.

  103. فَإِذَا قَضَيۡتُمُ ٱلصَّلَوٰةَ فَٱذۡكُرُواْ ٱللَّهَ قِيَٰمٗا وَقُعُودٗا وَعَلَىٰ جُنُوبِكُمۡۚ فَإِذَا ٱطۡمَأۡنَنتُمۡ فَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَۚ إِنَّ ٱلصَّلَوٰةَ كَانَتۡ عَلَى ٱلۡمُؤۡمِنِينَ كِتَٰبٗا مَّوۡقُوتٗا 

    Open ayah 4:103

    Bwemumala e sswala, mutendereze Katonda mu kuyimirira ne mu kutuula ne mu kugalamira, ate bwe muba mu mirembe musaale e sswala mu ngeri eyaabulijjo. Mazima e sswala yalaalikibwa ku Bakkiriza nga esaalibwa mu biseera ebigere.

  104. وَلَا تَهِنُواْ فِي ٱبۡتِغَآءِ ٱلۡقَوۡمِۖ إِن تَكُونُواْ تَأۡلَمُونَ فَإِنَّهُمۡ يَأۡلَمُونَ كَمَا تَأۡلَمُونَۖ وَتَرۡجُونَ مِنَ ٱللَّهِ مَا لَا يَرۡجُونَۗ وَكَانَ ٱللَّهُ عَلِيمًا حَكِيمًا 

    Open ayah 4:104

    Temunafuwa nga mulondoola omulabe, bwe muba nga mulumwa mazima nabo balumwa nga bwemulumwa, ate nga mmwe musuubira ewa Katonda bo kyebatasuubira, bulijjo Katonda amanyi nnyo era mugoba nsonga.

  105. إِنَّآ أَنزَلۡنَآ إِلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبَ بِٱلۡحَقِّ لِتَحۡكُمَ بَيۡنَ ٱلنَّاسِ بِمَآ أَرَىٰكَ ٱللَّهُۚ وَلَا تَكُن لِّلۡخَآئِنِينَ خَصِيمٗا 

    Open ayah 4:105

    Mazima ffe twassa gyoli ekitabo mu butuufu, obe nga olamula wakati w’abantu nga okozesa ebyo Katonda bye yakuwa, era towolerezanga abakumpanya.

  106. وَٱسۡتَغۡفِرِ ٱللَّهَۖ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ غَفُورٗا رَّحِيمٗا 

    Open ayah 4:106

    Era weegayirire Katonda, mazima Katonda musonyiyi nnyo waakisa.

  107. وَلَا تُجَٰدِلۡ عَنِ ٱلَّذِينَ يَخۡتَانُونَ أَنفُسَهُمۡۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُحِبُّ مَن كَانَ خَوَّانًا أَثِيمٗا 

    Open ayah 4:107

    Towakanira abo abeelyazaamanya, bulijjo Katonda tayagala muntu mukumpanya omwonoonefu.

  108. يَسۡتَخۡفُونَ مِنَ ٱلنَّاسِ وَلَا يَسۡتَخۡفُونَ مِنَ ٱللَّهِ وَهُوَ مَعَهُمۡ إِذۡ يُبَيِّتُونَ مَا لَا يَرۡضَىٰ مِنَ ٱلۡقَوۡلِۚ وَكَانَ ٱللَّهُ بِمَا يَعۡمَلُونَ مُحِيطًا 

    Open ayah 4:108

    Beekweka abantu nebatasonyiwalira Katonda, so nga bulijjo aba nabo bwebasula nga abayiiya ebigambo byatayagala, ate nga bulijjo Katonda yetoolodde bye bakola.

  109. هَٰٓأَنتُمۡ هَٰٓؤُلَآءِ جَٰدَلۡتُمۡ عَنۡهُمۡ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا فَمَن يُجَٰدِلُ ٱللَّهَ عَنۡهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ أَم مَّن يَكُونُ عَلَيۡهِمۡ وَكِيلٗا 

    Open ayah 4:109

    Abaffe mmwe beebo ababawakanira mu bulamu obwensi kati ani aliboogerera ewa Katonda ku lunaku lwokuzuukira! oba ani alibeera omweyimirize waabwe!

  110. وَمَن يَعۡمَلۡ سُوٓءًا أَوۡ يَظۡلِمۡ نَفۡسَهُۥ ثُمَّ يَسۡتَغۡفِرِ ٱللَّهَ يَجِدِ ٱللَّهَ غَفُورٗا رَّحِيمٗا 

    Open ayah 4:110

    Omuntu akola ekibi oba neyeeyisa obubi naye neyeegayirira Katonda, asanga Katonda nga musonyiyi nnyo omusaasizi.

  111. وَمَن يَكۡسِبۡ إِثۡمٗا فَإِنَّمَا يَكۡسِبُهُۥ عَلَىٰ نَفۡسِهِۦۚ وَكَانَ ٱللَّهُ عَلِيمًا حَكِيمٗا

    Open ayah 4:111

    Omuntu akola ekibi akikolera mwoyo gwe, bulijjo Katonda mumanyi nnyo agoba nsonga.

  112. وَمَن يَكۡسِبۡ خَطِيٓـَٔةً أَوۡ إِثۡمٗا ثُمَّ يَرۡمِ بِهِۦ بَرِيٓـٔٗا فَقَدِ ٱحۡتَمَلَ بُهۡتَٰنٗا وَإِثۡمٗا مُّبِينٗا

    Open ayah 4:112

    Ate omuntu akola ekisobyo, oba ekyonoono ate naakissa ku muntu atakikoze, mazima aba yeetisse ekikolwa ekyobulimba era nga kibi ekyolwatu.

  113. وَلَوۡلَا فَضۡلُ ٱللَّهِ عَلَيۡكَ وَرَحۡمَتُهُۥ لَهَمَّت طَّآئِفَةٞ مِّنۡهُمۡ أَن يُضِلُّوكَ وَمَا يُضِلُّونَ إِلَّآ أَنفُسَهُمۡۖ وَمَا يَضُرُّونَكَ مِن شَيۡءٖۚ وَأَنزَلَ ٱللَّهُ عَلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحِكۡمَةَ وَعَلَّمَكَ مَا لَمۡ تَكُن تَعۡلَمُۚ وَكَانَ فَضۡلُ ٱللَّهِ عَلَيۡكَ عَظِيمٗا

    Open ayah 4:113

    Singa si kisa kya Katonda n'okusaasirakwe bya kulinako, (Ggwe Muhammad) ekibiina mu bo kyaliyagadde okukubuza, byonna byebakola beebuza bokka, tebayinza kukutuusako kabi konna nga Katonda assa ku ggwe ekitabo (Kur’ani) n’ebigambo ebya magezi (Hadith) era nga yakumanyisa n'ebyo byewali tomanyi era bulijjo e birungi bya Katonda byakuwa bingi nnyo.

  114. ۞لَّا خَيۡرَ فِي كَثِيرٖ مِّن نَّجۡوَىٰهُمۡ إِلَّا مَنۡ أَمَرَ بِصَدَقَةٍ أَوۡ مَعۡرُوفٍ أَوۡ إِصۡلَٰحِۭ بَيۡنَ ٱلنَّاسِۚ وَمَن يَفۡعَلۡ ذَٰلِكَ ٱبۡتِغَآءَ مَرۡضَاتِ ٱللَّهِ فَسَوۡفَ نُؤۡتِيهِ أَجۡرًا عَظِيمٗا

    Open ayah 4:114

    Tewali bulungi mu mboozi zaabwe ezisinga obungi, okugyako oyo alagira abantu okusaddaaka oba obuntu bulamu oba okutabaganya wakati w’abantu, omuntu akola ebyo nga anoonya kusiima kwa Katonda tugenda kumuwa empeera ensukkulumu.

  115. وَمَن يُشَاقِقِ ٱلرَّسُولَ مِنۢ بَعۡدِ مَا تَبَيَّنَ لَهُ ٱلۡهُدَىٰ وَيَتَّبِعۡ غَيۡرَ سَبِيلِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ نُوَلِّهِۦ مَا تَوَلَّىٰ وَنُصۡلِهِۦ جَهَنَّمَۖ وَسَآءَتۡ مَصِيرًا

    Open ayah 4:115

    N'omuntu ayawukana ku Mubaka oluvanyuma lwo bulungamu okumweyoleka, naakwata ekkubo eritali lya bakkiriza tumulekera ekyo kyaaba asazeewo, era tugenda kumukasuka mu muliro Jahannama, obwo nno buddo bubi ddala.

  116. إِنَّ ٱللَّهَ لَا يَغۡفِرُ أَن يُشۡرَكَ بِهِۦ وَيَغۡفِرُ مَا دُونَ ذَٰلِكَ لِمَن يَشَآءُۚ وَمَن يُشۡرِكۡ بِٱللَّهِ فَقَدۡ ضَلَّ ضَلَٰلَۢا بَعِيدًا

    Open ayah 4:116

    Mazima Katonda tasonyiwa ku mugattako kintu, so nga asonyiwa ekitali ekyo eri oyo gwaba ayagadde, oyo yenna agatta ku Katonda ekintu aba abuze olubula oluyitirivu.

  117. إِن يَدۡعُونَ مِن دُونِهِۦٓ إِلَّآ إِنَٰثٗا وَإِن يَدۡعُونَ إِلَّا شَيۡطَٰنٗا مَّرِيدٗا

    Open ayah 4:117

    Buli byebasaba ebitali ye baabituuma amannya ag’ekikazi, era ddala tebasaba (mu nkola yaabwe eyo) okugyako Sitane eyeewaggula.

  118. لَّعَنَهُ ٱللَّهُۘ وَقَالَ لَأَتَّخِذَنَّ مِنۡ عِبَادِكَ نَصِيبٗا مَّفۡرُوضٗا

    Open ayah 4:118

    Katonda yagikolimira era neegamba nti nja kutwala ekitundu ekiwera mu baddubo.

  119. وَلَأُضِلَّنَّهُمۡ وَلَأُمَنِّيَنَّهُمۡ وَلَأٓمُرَنَّهُمۡ فَلَيُبَتِّكُنَّ ءَاذَانَ ٱلۡأَنۡعَٰمِ وَلَأٓمُرَنَّهُمۡ فَلَيُغَيِّرُنَّ خَلۡقَ ٱللَّهِۚ وَمَن يَتَّخِذِ ٱلشَّيۡطَٰنَ وَلِيّٗا مِّن دُونِ ٱللَّهِ فَقَدۡ خَسِرَ خُسۡرَانٗا مُّبِينٗا

    Open ayah 4:119

    Njakubabuliza ddala, era nja kubawanga ebisuubizo ebyobulimba, era nja kubalagirira ddala bawummule amatu g’ebisolo ebirundibwa era nja kubalagirira nga ddala bakyuse entonda ya Katonda. N’omuntu afuula Sitane mukwanogwe naaleka Katonda mazima aba afaafaganiddwa olufaafaganirwa olwolwatu.

  120. يَعِدُهُمۡ وَيُمَنِّيهِمۡۖ وَمَا يَعِدُهُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ إِلَّا غُرُورًا 

    Open ayah 4:120

    (Sitane) abalagaanyisa naabawa n’ebisuubizo ebyo bulimba, Sitane byonna byabalagaanyisa tebiri okugyako byabutaliimu.

  121. أُوْلَٰٓئِكَ مَأۡوَىٰهُمۡ جَهَنَّمُ وَلَا يَجِدُونَ عَنۡهَا مَحِيصٗا

    Open ayah 4:121

    (Abagoberera Sitane) abo obuddo bwa bwe muliro Jahannama, era nga tebagenda kufuna buddukiro kuguwona.

  122. وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ سَنُدۡخِلُهُمۡ جَنَّٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَآ أَبَدٗاۖ وَعۡدَ ٱللَّهِ حَقّٗاۚ وَمَنۡ أَصۡدَقُ مِنَ ٱللَّهِ قِيلٗا

    Open ayah 4:122

    Naabo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu tujja kubayingiza e jjana nga emigga jikulukutira mu zo, baakuzibeeramu obugenderevu, eyo nga ndagaano ey’amazima Katonda gyabawadde, ate ani asinga Katonda okwogera ebigambo eby’amazima.

  123. لَّيۡسَ بِأَمَانِيِّكُمۡ وَلَآ أَمَانِيِّ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِۗ مَن يَعۡمَلۡ سُوٓءٗا يُجۡزَ بِهِۦ وَلَا يَجِدۡ لَهُۥ مِن دُونِ ٱللَّهِ وَلِيّٗا وَلَا نَصِيرٗا

    Open ayah 4:123

    (Okuyingira e jjana) tekigenda kusinziira ku kwagala kwa mmwe oba abaaweebwa e kitabo kye baagala, (enkola eri nti) omuntu akola ekibi kiri musasulwa, era nga oggyeko Katonda tewaliba mukuumi yenna wadde omutaasa.

  124. وَمَن يَعۡمَلۡ مِنَ ٱلصَّٰلِحَٰتِ مِن ذَكَرٍ أَوۡ أُنثَىٰ وَهُوَ مُؤۡمِنٞ فَأُوْلَٰٓئِكَ يَدۡخُلُونَ ٱلۡجَنَّةَ وَلَا يُظۡلَمُونَ نَقِيرٗا

    Open ayah 4:124

    N’omuntu akola emirimu emirongoofu kaabe musajja oba mukazi nga mukkiriza, abo nno baakuyingira e jjana, era tebagenda kuyisibwa bubi wadde mu kantu akatono.

  125. وَمَنۡ أَحۡسَنُ دِينٗا مِّمَّنۡ أَسۡلَمَ وَجۡهَهُۥ لِلَّهِ وَهُوَ مُحۡسِنٞ وَٱتَّبَعَ مِلَّةَ إِبۡرَٰهِيمَ حَنِيفٗاۗ وَٱتَّخَذَ ٱللَّهُ إِبۡرَٰهِيمَ خَلِيلٗا

    Open ayah 4:125

    Ani ali mu ddiini e nnungi okusinga oyo aba yeewadde ewa Katonda, era nga mukozi wa birungi, era n'agoberera e nkola ya Ibrahim e yobutakkiririza mu bisinzibwa byonna ebitali Katonda omu, era nga Katonda yafuula Ibrahim mukwano gwe owenjawulo.

  126. وَلِلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۚ وَكَانَ ٱللَّهُ بِكُلِّ شَيۡءٖ مُّحِيطٗا

    Open ayah 4:126

    Era bya Katonda byonna ebiri mu ggulu omusanvu ne nsi, era bulijjo Katonda amanyi ekifa ku buli kintu.

  127. وَيَسۡتَفۡتُونَكَ فِي ٱلنِّسَآءِۖ قُلِ ٱللَّهُ يُفۡتِيكُمۡ فِيهِنَّ وَمَا يُتۡلَىٰ عَلَيۡكُمۡ فِي ٱلۡكِتَٰبِ فِي يَتَٰمَى ٱلنِّسَآءِ ٱلَّٰتِي لَا تُؤۡتُونَهُنَّ مَا كُتِبَ لَهُنَّ وَتَرۡغَبُونَ أَن تَنكِحُوهُنَّ وَٱلۡمُسۡتَضۡعَفِينَ مِنَ ٱلۡوِلۡدَٰنِ وَأَن تَقُومُواْ لِلۡيَتَٰمَىٰ بِٱلۡقِسۡطِۚ وَمَا تَفۡعَلُواْ مِنۡ خَيۡرٖ فَإِنَّ ٱللَّهَ كَانَ بِهِۦ عَلِيمٗا

    Open ayah 4:127

    Bakubuuza ku nsonga za bakyala, bagambe nti Katonda ajja kubaanukula ebikwata ku bakyala, era nga bwajja okubategeeza ebibasomerwa mu kitabo (Kur’ani) ku nsonga zaaba mulekwa abakyala, abo bemutawa ekyo ekiteekwa okuweebwa (Amahare), ate nemwagala okubawasa era abategeeza ebikwata ku baana abato abateesobola, era nga bwajja okubategeeza nti muteekwa okukola ku nsonga z’a bamulekwa mu bwesimbu, era mukimanye nti e kirungi kyonna kyemukola Katonda akimanyidde ddala.

  128. وَإِنِ ٱمۡرَأَةٌ خَافَتۡ مِنۢ بَعۡلِهَا نُشُوزًا أَوۡ إِعۡرَاضٗا فَلَا جُنَاحَ عَلَيۡهِمَآ أَن يُصۡلِحَا بَيۡنَهُمَا صُلۡحٗاۚ وَٱلصُّلۡحُ خَيۡرٞۗ وَأُحۡضِرَتِ ٱلۡأَنفُسُ ٱلشُّحَّۚ وَإِن تُحۡسِنُواْ وَتَتَّقُواْ فَإِنَّ ٱللَّهَ كَانَ بِمَا تَعۡمَلُونَ خَبِيرٗا

    Open ayah 4:128

    Omukyala bwatyanga bba okumuyisa obubi, oba okumusuulawo, si kibi ku bombi okukola ekiyinza okubatabaganya era (bulijjo) okutegeeragana kwekusinga obulungi. Naye omuntu bulijjo agwa olubege ku mulugube, naye singa mulongoosezza nemutya Katonda, bulijjo Katonda byemukola abimanyi nnyo.

  129. وَلَن تَسۡتَطِيعُوٓاْ أَن تَعۡدِلُواْ بَيۡنَ ٱلنِّسَآءِ وَلَوۡ حَرَصۡتُمۡۖ فَلَا تَمِيلُواْ كُلَّ ٱلۡمَيۡلِ فَتَذَرُوهَا كَٱلۡمُعَلَّقَةِۚ وَإِن تُصۡلِحُواْ وَتَتَّقُواْ فَإِنَّ ٱللَّهَ كَانَ غَفُورٗا رَّحِيمٗا

    Open ayah 4:129

    Wabula temugenda kusobola kukola bwenkanya wakati wa bakyala (obuli %) ne bwe muba nga kye mwandi yagadde, wabula temubasuulira ngawo ddala, omukyala nemumuleka nga alengejja nga omuwanike, naye singa mutegeeraganye, era nemutya Katonda, mazima bulijjo Katonda musonyiyi nnyo musaasizi.

  130. وَإِن يَتَفَرَّقَا يُغۡنِ ٱللَّهُ كُلّٗا مِّن سَعَتِهِۦۚ وَكَانَ ٱللَّهُ وَٰسِعًا حَكِيمٗا 

    Open ayah 4:130

    Naye (omwami n'omukyala abafumbo) singa baawukana buli omu Katonda ajja kumumalira ebyetaagobye nga ajja mu bigabwabye e bingi, bulijjo Katonda mugazi nnyo mu buli kimu era agoba nsonga.

  131. وَلِلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۗ وَلَقَدۡ وَصَّيۡنَا ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ مِن قَبۡلِكُمۡ وَإِيَّاكُمۡ أَنِ ٱتَّقُواْ ٱللَّهَۚ وَإِن تَكۡفُرُواْ فَإِنَّ لِلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۚ وَكَانَ ٱللَّهُ غَنِيًّا حَمِيدٗا

    Open ayah 4:131

    Byonna ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi bya Katonda, era mazima twalaamira abo abaaweebwa ekitabo oluberyeberye lwa mmwe, nammwe netubalaamira nti mutye Katonda, wabula bwemugyema mazima ddala bya Katonda ebyo ebiri mu ggulu omusanvu nebiri mu nsi. Era bulijjo Katonda talina kyeyetaaga era atenderezebwa.

  132. وَلِلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۚ وَكَفَىٰ بِٱللَّهِ وَكِيلًا

    Open ayah 4:132

    Era bya Katonda ebyo ebiri mu ggulu omusanvu nebyo ebiri mu nsi. Era bulijo Katonda yaakola ku nsonga z’ebitonde byonna.

  133. إِن يَشَأۡ يُذۡهِبۡكُمۡ أَيُّهَا ٱلنَّاسُ وَيَأۡتِ بِـَٔاخَرِينَۚ وَكَانَ ٱللَّهُ عَلَىٰ ذَٰلِكَ قَدِيرٗا

    Open ayah 4:133

    (Okukakasa ekyo) singa aba ayagadde asobola okubagyawo abange mmwe abantu naaleeta abalala, bulijjo Katonda kwekyo musobozi.

  134. مَّن كَانَ يُرِيدُ ثَوَابَ ٱلدُّنۡيَا فَعِندَ ٱللَّهِ ثَوَابُ ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةِۚ وَكَانَ ٱللَّهُ سَمِيعَۢا بَصِيرٗا

    Open ayah 4:134

    Omuntu ayagala empeera y’okunsi, Katonda yaafuga empeera y’okunsi n'e yokunkomerero bulijjo Katonda awulira era alaba nnyo.

  135. ۞يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ كُونُواْ قَوَّٰمِينَ بِٱلۡقِسۡطِ شُهَدَآءَ لِلَّهِ وَلَوۡ عَلَىٰٓ أَنفُسِكُمۡ أَوِ ٱلۡوَٰلِدَيۡنِ وَٱلۡأَقۡرَبِينَۚ إِن يَكُنۡ غَنِيًّا أَوۡ فَقِيرٗا فَٱللَّهُ أَوۡلَىٰ بِهِمَاۖ فَلَا تَتَّبِعُواْ ٱلۡهَوَىٰٓ أَن تَعۡدِلُواْۚ وَإِن تَلۡوُۥٓاْ أَوۡ تُعۡرِضُواْ فَإِنَّ ٱللَّهَ كَانَ بِمَا تَعۡمَلُونَ خَبِيرٗا

    Open ayah 4:135

    Abange mmwe abakkiriza mubeere abalwanirira obwenkanya, abajulira ku lwa Katonda, ensonga nebweba ekwata ku mmwe mwennyini, oba abazadde bombi, n'aboluganda olwokumpi (aweebwako obujulizi) kaabe mugagga oba mwavu bombi bantu ba Katonda okusinga okuba nti ba mmwe, kale nno temugoberera okwagala kwa mmwe nemutakola bwenkanya. bwemunaakyusa amazima oba nemugaana okuwa obujulizi, mazima ddala Katonda bulijjo amanyidde ddala byemukola.

  136. يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ ءَامِنُواْ بِٱللَّهِ وَرَسُولِهِۦ وَٱلۡكِتَٰبِ ٱلَّذِي نَزَّلَ عَلَىٰ رَسُولِهِۦ وَٱلۡكِتَٰبِ ٱلَّذِيٓ أَنزَلَ مِن قَبۡلُۚ وَمَن يَكۡفُرۡ بِٱللَّهِ وَمَلَٰٓئِكَتِهِۦ وَكُتُبِهِۦ وَرُسُلِهِۦ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِ فَقَدۡ ضَلَّ ضَلَٰلَۢا بَعِيدًا

    Open ayah 4:136

    Abange mmwe abakkiriza mukkirize Katonda n’omubakawe, n’ekitabo kyeyassa ku mubakawe, era n’ekitabo kyeyassa oluberyeberye, oyo yenna atakkiririza mu Katonda ne ba Malayika be n'ebitabo bye n’ababaka be n’olunaku lw’enkomerero aba abuze olubula oluyitirivu.

  137. إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ثُمَّ كَفَرُواْ ثُمَّ ءَامَنُواْ ثُمَّ كَفَرُواْ ثُمَّ ٱزۡدَادُواْ كُفۡرٗا لَّمۡ يَكُنِ ٱللَّهُ لِيَغۡفِرَ لَهُمۡ وَلَا لِيَهۡدِيَهُمۡ سَبِيلَۢا

    Open ayah 4:137

    Mazima abo abakkiriza, ate nebakaafuwala, ate nebakkiriza, oluvanyuma nebakaafuwala, ate nebeeyongerera ddala obwa kiwagi, Katonda si wakubasonyiwa wadde okubalungamya ku kkubo e ggolokofu.

  138. بَشِّرِ ٱلۡمُنَٰفِقِينَ بِأَنَّ لَهُمۡ عَذَابًا أَلِيمًا

    Open ayah 4:138

    Sanyusa abannanfusi nga obategeeza nti balina ebibonerezo ebiruma.

  139. ٱلَّذِينَ يَتَّخِذُونَ ٱلۡكَٰفِرِينَ أَوۡلِيَآءَ مِن دُونِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَۚ أَيَبۡتَغُونَ عِندَهُمُ ٱلۡعِزَّةَ فَإِنَّ ٱلۡعِزَّةَ لِلَّهِ جَمِيعٗا

    Open ayah 4:139

    (Abannanfusi) abo abafuula abakafiiri mikwano gyabwe, nebaleka abakkiriza, abaffe baba babanonyaako kitiibwa! Mazima bulijjo ebitiibwa byonna bya Katonda.

  140. وَقَدۡ نَزَّلَ عَلَيۡكُمۡ فِي ٱلۡكِتَٰبِ أَنۡ إِذَا سَمِعۡتُمۡ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ يُكۡفَرُ بِهَا وَيُسۡتَهۡزَأُ بِهَا فَلَا تَقۡعُدُواْ مَعَهُمۡ حَتَّىٰ يَخُوضُواْ فِي حَدِيثٍ غَيۡرِهِۦٓ إِنَّكُمۡ إِذٗا مِّثۡلُهُمۡۗ إِنَّ ٱللَّهَ جَامِعُ ٱلۡمُنَٰفِقِينَ وَٱلۡكَٰفِرِينَ فِي جَهَنَّمَ جَمِيعًا 

    Open ayah 4:140

    Nga ate mazima (Katonda) yassa ku mmwe mu kitabo nti bwemuwuliranga ebigambo bya Katonda nga biwakanyizibwa, era nga bijolongwa temutuulanga wamu nabo abakola ekyo okutuusa lwebadda ku mboozi endala, (ate nga mazima ddala bulijjo kimanyiddwa nti) mazima Katonda agenda kukunganya abakafiiri n’abananfusi bonna abayingize omuliro Jahannama.

  141. ٱلَّذِينَ يَتَرَبَّصُونَ بِكُمۡ فَإِن كَانَ لَكُمۡ فَتۡحٞ مِّنَ ٱللَّهِ قَالُوٓاْ أَلَمۡ نَكُن مَّعَكُمۡ وَإِن كَانَ لِلۡكَٰفِرِينَ نَصِيبٞ قَالُوٓاْ أَلَمۡ نَسۡتَحۡوِذۡ عَلَيۡكُمۡ وَنَمۡنَعۡكُم مِّنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَۚ فَٱللَّهُ يَحۡكُمُ بَيۡنَكُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِۚ وَلَن يَجۡعَلَ ٱللَّهُ لِلۡكَٰفِرِينَ عَلَى ٱلۡمُؤۡمِنِينَ سَبِيلًا

    Open ayah 4:141

    (Era Abannanfusi) beebo bulijjo abalindirira ekintu ekinaatuuka ku mmwe, bwemufuna obuwanguzi okuva ewa Katonda bagamba nti bulijjo tetuli nammwe, abakafiiri bwebaba nga beebafunyeeyo ku buwanguzi babagamba nti tetwabayamba netubataasa ku bakkiriza, wabula Katonda agenda kulamula wakati wa mmwe ku lunaku lw’enkomerero, ate nga Katonda tagenda kuwa Bakafiiri kkubo lyebayinza kuwanguliramu Bakkiriza.

  142. إِنَّ ٱلۡمُنَٰفِقِينَ يُخَٰدِعُونَ ٱللَّهَ وَهُوَ خَٰدِعُهُمۡ وَإِذَا قَامُوٓاْ إِلَى ٱلصَّلَوٰةِ قَامُواْ كُسَالَىٰ يُرَآءُونَ ٱلنَّاسَ وَلَا يَذۡكُرُونَ ٱللَّهَ إِلَّا قَلِيلٗا

    Open ayah 4:142

    Mazima Abannafunsi bakwenyakwenya Katonda, kale naye waakubakwenyakwenya, era bwebayimirira okusaala bayimirira lwabuwaze, nga bagenderera kulaga bantu era tebatendereza Katonda okugyako katono nnyo.

  143. مُّذَبۡذَبِينَ بَيۡنَ ذَٰلِكَ لَآ إِلَىٰ هَٰٓؤُلَآءِ وَلَآ إِلَىٰ هَٰٓؤُلَآءِۚ وَمَن يُضۡلِلِ ٱللَّهُ فَلَن تَجِدَ لَهُۥ سَبِيلٗا

    Open ayah 4:143

    Ba nampa wengwa (wakati wa Bakkiriza na Bakafiiri) nga tebayinza kubalibwa ku bali oba ku bano, bulijjo omuntu Katonda gwabuza tayinza kumufunira kkubo. (lidda eri bulungamu).

  144. يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَتَّخِذُواْ ٱلۡكَٰفِرِينَ أَوۡلِيَآءَ مِن دُونِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَۚ أَتُرِيدُونَ أَن تَجۡعَلُواْ لِلَّهِ عَلَيۡكُمۡ سُلۡطَٰنٗا مُّبِينًا

    Open ayah 4:144

    Abange mmwe abakkiriza temufuula nga abakafiiri mikwano gyammwe nfiira bulago nemuleka abakkiriza, mwandiyagadde okwewaako obujulizi obwolwatu ewa Katonda.

  145. إِنَّ ٱلۡمُنَٰفِقِينَ فِي ٱلدَّرۡكِ ٱلۡأَسۡفَلِ مِنَ ٱلنَّارِ وَلَن تَجِدَ لَهُمۡ نَصِيرًا

    Open ayah 4:145

    Mazima Abannanfusi bagenda kubeera ku mwaliiro ogusemberayo ddala wansi mu muliro, ate nga togenda kubafunira mutaasa.

  146. إِلَّا ٱلَّذِينَ تَابُواْ وَأَصۡلَحُواْ وَٱعۡتَصَمُواْ بِٱللَّهِ وَأَخۡلَصُواْ دِينَهُمۡ لِلَّهِ فَأُوْلَٰٓئِكَ مَعَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَۖ وَسَوۡفَ يُؤۡتِ ٱللَّهُ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ أَجۡرًا عَظِيمٗا

    Open ayah 4:146

    Okugyako abo abeenenya, nebalongoosa, nebekwata ku Katonda, nga neddiini yaabwe bagikola kulwa Katonda yekka, abo nno bagenda kuba wamu nabakkiriza. Ate nga Katonda abakkiriza agenda kubawa empeera ensukkulumu.

  147. مَّا يَفۡعَلُ ٱللَّهُ بِعَذَابِكُمۡ إِن شَكَرۡتُمۡ وَءَامَنتُمۡۚ وَكَانَ ٱللَّهُ شَاكِرًا عَلِيمٗا

    Open ayah 4:147

    Singa mwebaza Katonda, era nemukkiriza, ate olwo Katonda aliba ababonerereza lwaki! ate nga bulijjo Katonda mwebaza era mumanyi nnyo.

  148. ۞لَّا يُحِبُّ ٱللَّهُ ٱلۡجَهۡرَ بِٱلسُّوٓءِ مِنَ ٱلۡقَوۡلِ إِلَّا مَن ظُلِمَۚ وَكَانَ ٱللَّهُ سَمِيعًا عَلِيمًا

    Open ayah 4:148

    Katonda tayagala kwatuukiriza kigambo kibi (ku muntu) okugyako oyo aba alangiddwa obwereere, bulijjo Katonda awulira era amanyi nnyo.

  149. إِن تُبۡدُواْ خَيۡرًا أَوۡ تُخۡفُوهُ أَوۡ تَعۡفُواْ عَن سُوٓءٖ فَإِنَّ ٱللَّهَ كَانَ عَفُوّٗا قَدِيرًا

    Open ayah 4:149

    Bwemwolesa ekirungi, oba nemukikweka, oba nemusonyiwa abayisizza obubi, mazima bulijjo Katonda alekera, muyinza nnyo.

  150. إِنَّ ٱلَّذِينَ يَكۡفُرُونَ بِٱللَّهِ وَرُسُلِهِۦ وَيُرِيدُونَ أَن يُفَرِّقُواْ بَيۡنَ ٱللَّهِ وَرُسُلِهِۦ وَيَقُولُونَ نُؤۡمِنُ بِبَعۡضٖ وَنَكۡفُرُ بِبَعۡضٖ وَيُرِيدُونَ أَن يَتَّخِذُواْ بَيۡنَ ذَٰلِكَ سَبِيلًا 

    Open ayah 4:150

    Mazima abo abajeemera Katonda n’ababakabe, nebagezaako okwawula wakati wa Katonda n’ababakabe, era nebagamba nti tukkirizaako abamu abalala tetubakkiriza, nebaagala okuteekawo ekkubo wakati weebyo ebibiri, (babe nga mwebatambulira).

  151. أُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡكَٰفِرُونَ حَقّٗاۚ وَأَعۡتَدۡنَا لِلۡكَٰفِرِينَ عَذَابٗا مُّهِينٗا

    Open ayah 4:151

    Abo nno beebatakkiriza abannamaddala. Era nga abakafiiri twabategekera ebibonerezo ebinyoomesa.

  152. وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ بِٱللَّهِ وَرُسُلِهِۦ وَلَمۡ يُفَرِّقُواْ بَيۡنَ أَحَدٖ مِّنۡهُمۡ أُوْلَٰٓئِكَ سَوۡفَ يُؤۡتِيهِمۡ أُجُورَهُمۡۚ وَكَانَ ٱللَّهُ غَفُورٗا رَّحِيمٗا

    Open ayah 4:152

    Ate abo abakkiriza Katonda n'ababaka be nebatayawula wakati w’omu kubo, abo nno Katonda agenda kubawa empeera yaabwe, bulijjo Katonda musonyiyi wa kisa nnyo.

  153. يَسۡـَٔلُكَ أَهۡلُ ٱلۡكِتَٰبِ أَن تُنَزِّلَ عَلَيۡهِمۡ كِتَٰبٗا مِّنَ ٱلسَّمَآءِۚ فَقَدۡ سَأَلُواْ مُوسَىٰٓ أَكۡبَرَ مِن ذَٰلِكَ فَقَالُوٓاْ أَرِنَا ٱللَّهَ جَهۡرَةٗ فَأَخَذَتۡهُمُ ٱلصَّٰعِقَةُ بِظُلۡمِهِمۡۚ ثُمَّ ٱتَّخَذُواْ ٱلۡعِجۡلَ مِنۢ بَعۡدِ مَا جَآءَتۡهُمُ ٱلۡبَيِّنَٰتُ فَعَفَوۡنَا عَن ذَٰلِكَۚ وَءَاتَيۡنَا مُوسَىٰ سُلۡطَٰنٗا مُّبِينٗا

    Open ayah 4:153

    Abaaweebwa ekitabo bakusaba okuba nga bafuna ekitabo okuva mu ggulu, ate nga mazima kyebaasaba Musa kyali kinene okusinga ekyo, bwebaagamba nti tulage Katonda mubweyolefu. Olwokweyisa kwabwe okubi laddu yabakuba (ate oluvanyuma Katonda yabalamusa), ate neb’eteerawo ennyana nebagisinza, so nga obunnyonyofu bwali bwabajjira dda, ekyo nno nakyo twakisonyiwa, so nga ate twali twawa Musa obujulizi obwenkukunala (obukakasa obwa Nabbi bwa Musa).

  154. وَرَفَعۡنَا فَوۡقَهُمُ ٱلطُّورَ بِمِيثَٰقِهِمۡ وَقُلۡنَا لَهُمُ ٱدۡخُلُواْ ٱلۡبَابَ سُجَّدٗا وَقُلۡنَا لَهُمۡ لَا تَعۡدُواْ فِي ٱلسَّبۡتِ وَأَخَذۡنَا مِنۡهُم مِّيثَٰقًا غَلِيظٗا

    Open ayah 4:154

    Netuleebeseza waggulu waabwe olusozi, bwebataagoberera, endagaano gyetwabakozesa nti baali bateekwa okugoberera (enjigiriza ya Taurat) netubagamba nti muyingire omulyango gw’ekibuga (Bait Makdis) nga muvunnamye (kyebataakola) era twabalagira obutavuba ku lunaku lwa mukaaga (ekiragiro kyebaamenya) era twabakozesa endagaano enzito.

  155. فَبِمَا نَقۡضِهِم مِّيثَٰقَهُمۡ وَكُفۡرِهِم بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ وَقَتۡلِهِمُ ٱلۡأَنۢبِيَآءَ بِغَيۡرِ حَقّٖ وَقَوۡلِهِمۡ قُلُوبُنَا غُلۡفُۢۚ بَلۡ طَبَعَ ٱللَّهُ عَلَيۡهَا بِكُفۡرِهِمۡ فَلَا يُؤۡمِنُونَ إِلَّا قَلِيلٗا

    Open ayah 4:155

    Ekyabatuusa kwebyo, kuba nti baamenya endagaano zaabwe, n’okuwakanya amateeka g’a Katonda, n’okutta kwabwe ba Nabbi ekitaali kituufu, era nekulwokugamba kwabwe nti, emitima gyaffe mizibikivu, ekituufu kiri nti Katonda yeeyagibikka olw'obukaafiiri bwabwe, tebayinza kukkiriza okugyako kitono nnyo.

  156. وَبِكُفۡرِهِمۡ وَقَوۡلِهِمۡ عَلَىٰ مَرۡيَمَ بُهۡتَٰنًا عَظِيمٗا

    Open ayah 4:156

    Era nekulwobukafiiri bwabwe, n’okutemerera Mariam ekigambo ekinene.

  157. وَقَوۡلِهِمۡ إِنَّا قَتَلۡنَا ٱلۡمَسِيحَ عِيسَى ٱبۡنَ مَرۡيَمَ رَسُولَ ٱللَّهِ وَمَا قَتَلُوهُ وَمَا صَلَبُوهُ وَلَٰكِن شُبِّهَ لَهُمۡۚ وَإِنَّ ٱلَّذِينَ ٱخۡتَلَفُواْ فِيهِ لَفِي شَكّٖ مِّنۡهُۚ مَا لَهُم بِهِۦ مِنۡ عِلۡمٍ إِلَّا ٱتِّبَاعَ ٱلظَّنِّۚ وَمَا قَتَلُوهُ يَقِينَۢا

    Open ayah 4:157

    Era nekulwekigambo kyabwe bwebagamba nti, mazima ffe tumaze okutta Masiya Issa Mutabani wa Mariam omubaka wa Katonda so nga tebaamutta, wadde okumukomerera ku musaalaba, wabula kyabalabikiranga abasse yye, naye mazima ddala abaayawukana mu nsonga eno bali mu kubuusabuusa ku bigikwatako, tebalina bukakafu ku yo wabula okugoberera okuteebereza, naye nga ddala tebaamutta.

  158. بَل رَّفَعَهُ ٱللَّهُ إِلَيۡهِۚ وَكَانَ ٱللَّهُ عَزِيزًا حَكِيمٗا

    Open ayah 4:158

    Wabula Katonda yamusitula n’amutwala gyali, era bulijjo Katonda ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.

  159. وَإِن مِّنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ إِلَّا لَيُؤۡمِنَنَّ بِهِۦ قَبۡلَ مَوۡتِهِۦۖ وَيَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ يَكُونُ عَلَيۡهِمۡ شَهِيدٗا

    Open ayah 4:159

    Mazima tewali n’omu mwabo ab'aweebwa e kitabo okugyako nga agenda ku mukkiriza nga tannafa, nga ne ku lunaku lw’enkomerero agenda kubawaako obujulizi.

  160. فَبِظُلۡمٖ مِّنَ ٱلَّذِينَ هَادُواْ حَرَّمۡنَا عَلَيۡهِمۡ طَيِّبَٰتٍ أُحِلَّتۡ لَهُمۡ وَبِصَدِّهِمۡ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ كَثِيرٗا 

    Open ayah 4:160

    Okusinziira kukweyisa obubi kwa ba Yudaaya, twaziza ku bo ebirungi ebyali bibakkiriziddwa, ne ku lwo kwekiika kwabwe mu kkubo lya Katonda.

  161. وَأَخۡذِهِمُ ٱلرِّبَوٰاْ وَقَدۡ نُهُواْ عَنۡهُ وَأَكۡلِهِمۡ أَمۡوَٰلَ ٱلنَّاسِ بِٱلۡبَٰطِلِۚ وَأَعۡتَدۡنَا لِلۡكَٰفِرِينَ مِنۡهُمۡ عَذَابًا أَلِيمٗا

    Open ayah 4:161

    Nekulwokutwalanga kwabwe Ribbah, so ng’ate baagigaanibwa, nekulwokulya kwabwe emmaali y’abantu mu bukyamu, era twateekerateekera abakafiiri mu bo ebibonerezo ebiruma.

  162. لَّٰكِنِ ٱلرَّٰسِخُونَ فِي ٱلۡعِلۡمِ مِنۡهُمۡ وَٱلۡمُؤۡمِنُونَ يُؤۡمِنُونَ بِمَآ أُنزِلَ إِلَيۡكَ وَمَآ أُنزِلَ مِن قَبۡلِكَۚ وَٱلۡمُقِيمِينَ ٱلصَّلَوٰةَۚ وَٱلۡمُؤۡتُونَ ٱلزَّكَوٰةَ وَٱلۡمُؤۡمِنُونَ بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِ أُوْلَٰٓئِكَ سَنُؤۡتِيهِمۡ أَجۡرًا عَظِيمًا

    Open ayah 4:162

    Wabula abamanyi ba kakensa mu bo n’abakkiriza ebyassibwa gyoli, n'ebyassibwa oluberyeberyelwo, era abayimirizaawo e sswala, nebawaayo nezzaka, era abakkiriza Katonda n’olunaku lwe nkomerero, abo nno tugenda kubawa mpeera ensukkulumu.

  163. ۞إِنَّآ أَوۡحَيۡنَآ إِلَيۡكَ كَمَآ أَوۡحَيۡنَآ إِلَىٰ نُوحٖ وَٱلنَّبِيِّـۧنَ مِنۢ بَعۡدِهِۦۚ وَأَوۡحَيۡنَآ إِلَىٰٓ إِبۡرَٰهِيمَ وَإِسۡمَٰعِيلَ وَإِسۡحَٰقَ وَيَعۡقُوبَ وَٱلۡأَسۡبَاطِ وَعِيسَىٰ وَأَيُّوبَ وَيُونُسَ وَهَٰرُونَ وَسُلَيۡمَٰنَۚ وَءَاتَيۡنَا دَاوُۥدَ زَبُورٗا

    Open ayah 4:163

    Mazima ffe twakuwa ggwe (Nabbi Muhammad) obubaka nga bwetwawa Nuhu obubaka, neba Nabbi bangi oluvanyumalwe, era twawa Ibrahim obubaka ne Ismail ne Ishaka ne Yakubu ne bazzukulu ba Yakubu, ne Isa ne Ayub ne Yunus ne Haruna ne Sulaiman, ne Dauda netumuwa Zaburi.

  164. وَرُسُلٗا قَدۡ قَصَصۡنَٰهُمۡ عَلَيۡكَ مِن قَبۡلُ وَرُسُلٗا لَّمۡ نَقۡصُصۡهُمۡ عَلَيۡكَۚ وَكَلَّمَ ٱللَّهُ مُوسَىٰ تَكۡلِيمٗا

    Open ayah 4:164

    N’ababaka abalala twabakunyumiza dda ate nga ababaka abalala tetwabakunyumiza, era mazima Katonda yayogera ne Musa olwogera (nga tewali Mubaka wakati waabwe).

  165. رُّسُلٗا مُّبَشِّرِينَ وَمُنذِرِينَ لِئَلَّا يَكُونَ لِلنَّاسِ عَلَى ٱللَّهِ حُجَّةُۢ بَعۡدَ ٱلرُّسُلِۚ وَكَانَ ٱللَّهُ عَزِيزًا حَكِيمٗا

    Open ayah 4:165

    Ababaka abo bonna bajjanga nga bawa amawulire agasanyusa, nga n'abandi bawa amawulire agalabula, abantu baleme kuba na byekwaso ku Katonda kasita yamala okubatumira ababaka, bulijjo Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.

  166. لَّٰكِنِ ٱللَّهُ يَشۡهَدُ بِمَآ أَنزَلَ إِلَيۡكَۖ أَنزَلَهُۥ بِعِلۡمِهِۦۖ وَٱلۡمَلَٰٓئِكَةُ يَشۡهَدُونَۚ وَكَفَىٰ بِٱللَّهِ شَهِيدًا

    Open ayah 4:166

    (Ekyo kimala abantu okuba nga naawe bakukkiriza naye abayudaaya n’ababafaanana bweba nga tebakukkirizza) kasita Katonda akakasa nti (ekitabo) ekyassibwa ku ggwe kyassibwa ku lwakumanya kwa Katonda n’okusalawokwe ne ba Malayika ekyo kyennyini kyebakakasa, naye nga bulijjo Katonda yeemalirira okuwa obujulizi n’okukakasa ekintu kyonna.

  167. إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَصَدُّواْ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ قَدۡ ضَلُّواْ ضَلَٰلَۢا بَعِيدًا

    Open ayah 4:167

    Mazima abo abaakaafuwala nebassa emisanvu mu kkubo lya Katonda, mazima baabula olubula oluyitirivu.

  168. إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَظَلَمُواْ لَمۡ يَكُنِ ٱللَّهُ لِيَغۡفِرَ لَهُمۡ وَلَا لِيَهۡدِيَهُمۡ طَرِيقًا

    Open ayah 4:168

    Mazima abo abaakaafuwala era nebeeyisa obubi, Katonda si waakubasonyiwa wadde okubalungamya mu kkubo.

  169. إِلَّا طَرِيقَ جَهَنَّمَ خَٰلِدِينَ فِيهَآ أَبَدٗاۚ وَكَانَ ذَٰلِكَ عَلَى ٱللَّهِ يَسِيرٗا

    Open ayah 4:169

    Mpozzi ekkubo erigenda mu muliro Jahannama gwebalibeeramu obugenderevu, era bulijjo ekyo ku Katonda kyangu nnyo.

  170. يَٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ قَدۡ جَآءَكُمُ ٱلرَّسُولُ بِٱلۡحَقِّ مِن رَّبِّكُمۡ فَـَٔامِنُواْ خَيۡرٗا لَّكُمۡۚ وَإِن تَكۡفُرُواْ فَإِنَّ لِلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ وَكَانَ ٱللَّهُ عَلِيمًا حَكِيمٗا 

    Open ayah 4:170

    Abange mmwe abantu, omubaka yabajjira nga aleeta amazima okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, kale mukkirize, kye kirungi gyemuli, naye bwe munaakaafuwala mazima ddala ebiri mu ggulu omusanvu ne nsi bya Katonda, bulijjo Katonda mumanyi nnyo agoba nsonga.

  171. يَٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ لَا تَغۡلُواْ فِي دِينِكُمۡ وَلَا تَقُولُواْ عَلَى ٱللَّهِ إِلَّا ٱلۡحَقَّۚ إِنَّمَا ٱلۡمَسِيحُ عِيسَى ٱبۡنُ مَرۡيَمَ رَسُولُ ٱللَّهِ وَكَلِمَتُهُۥٓ أَلۡقَىٰهَآ إِلَىٰ مَرۡيَمَ وَرُوحٞ مِّنۡهُۖ فَـَٔامِنُواْ بِٱللَّهِ وَرُسُلِهِۦۖ وَلَا تَقُولُواْ ثَلَٰثَةٌۚ ٱنتَهُواْ خَيۡرٗا لَّكُمۡۚ إِنَّمَا ٱللَّهُ إِلَٰهٞ وَٰحِدٞۖ سُبۡحَٰنَهُۥٓ أَن يَكُونَ لَهُۥ وَلَدٞۘ لَّهُۥ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۗ وَكَفَىٰ بِٱللَّهِ وَكِيلٗا

    Open ayah 4:171

    Abange mmwe abaaweebwa ekitabo temusukkanga ekyetaagisa, nga mutuukiriza eddiini yammwe, era temwogeranga ku Katonda okugyako amazima, mazima ddala Masiya Isa mutabani wa Mariam mubaka wa Katonda, era kigambokye, kyeyawa Mariam, era mwoyo ogwava gyali. Kale temugamba nti basatu, ekyo mukikomye, kyekirungi gyemuli, mazima ddala Katonda ali Katonda omu, yayawukana (tasaana) kuba namwana, bibye byonna ebiri mu ggulu omusanvu n'ebiri mu nsi , bulijjo kimala okuba nti Katonda y’ayimiriddeko ensonga ya buli kintu.

  172. لَّن يَسۡتَنكِفَ ٱلۡمَسِيحُ أَن يَكُونَ عَبۡدٗا لِّلَّهِ وَلَا ٱلۡمَلَٰٓئِكَةُ ٱلۡمُقَرَّبُونَۚ وَمَن يَسۡتَنكِفۡ عَنۡ عِبَادَتِهِۦ وَيَسۡتَكۡبِرۡ فَسَيَحۡشُرُهُمۡ إِلَيۡهِ جَمِيعٗا

    Open ayah 4:172

    Masiya tayinza butayagala kuba muddu wa Katonda, wadde ba Malayika abali kumwanjo nabo tebayinza butakyagala, oyo yenna atayagala kuyitibwa muddu wa Katonda neyeekuluntaza, (Katonda) ajja kubazuukiza bonna abazze gyali ku lunaku lw’enkomerero.

  173. فَأَمَّا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ فَيُوَفِّيهِمۡ أُجُورَهُمۡ وَيَزِيدُهُم مِّن فَضۡلِهِۦۖ وَأَمَّا ٱلَّذِينَ ٱسۡتَنكَفُواْ وَٱسۡتَكۡبَرُواْ فَيُعَذِّبُهُمۡ عَذَابًا أَلِيمٗا وَلَا يَجِدُونَ لَهُم مِّن دُونِ ٱللَّهِ وَلِيّٗا وَلَا نَصِيرٗا

    Open ayah 4:173

    Kale nno abo abakkiriza nebakola emirimu emirungi, Katonda ajja kubasasula empeera y’emirimu gyaabwe mu bujjuvu, ate abongere n’ebirungi ebirala ebiva gyali, naye abo abawakanya nebawaganyala, abo wa kubabonereza ebibonerezo ebiruma ennyo, ate tebagenda kubaayo gwebafuna atali Katonda nga mukwano gwaabwe wadde nga mutaasa.

  174. يَٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ قَدۡ جَآءَكُم بُرۡهَٰنٞ مِّن رَّبِّكُمۡ وَأَنزَلۡنَآ إِلَيۡكُمۡ نُورٗا مُّبِينٗا

    Open ayah 4:174

    Abange mmwe abantu mazima bwabajjira obubonero obwenkukunala, era nga twassa gyemuli ekitangaala ekyeyolefu (Kur’ani).

  175. فَأَمَّا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ بِٱللَّهِ وَٱعۡتَصَمُواْ بِهِۦ فَسَيُدۡخِلُهُمۡ فِي رَحۡمَةٖ مِّنۡهُ وَفَضۡلٖ وَيَهۡدِيهِمۡ إِلَيۡهِ صِرَٰطٗا مُّسۡتَقِيمٗا

    Open ayah 4:175

    Naye abo abakkiriza Katonda nebeenywereza ku ye, abo nno agenda kubayingiza (e jjana) nga kusaasira okuva gyali (era alibawa) ebigabwa (ebirala), era abalungamyenga eri ekkubo eribatuusa gyali, nga kkubo ggolokofu.

  176. يَسۡتَفۡتُونَكَ قُلِ ٱللَّهُ يُفۡتِيكُمۡ فِي ٱلۡكَلَٰلَةِۚ إِنِ ٱمۡرُؤٌاْ هَلَكَ لَيۡسَ لَهُۥ وَلَدٞ وَلَهُۥٓ أُخۡتٞ فَلَهَا نِصۡفُ مَا تَرَكَۚ وَهُوَ يَرِثُهَآ إِن لَّمۡ يَكُن لَّهَا وَلَدٞۚ فَإِن كَانَتَا ٱثۡنَتَيۡنِ فَلَهُمَا ٱلثُّلُثَانِ مِمَّا تَرَكَۚ وَإِن كَانُوٓاْ إِخۡوَةٗ رِّجَالٗا وَنِسَآءٗ فَلِلذَّكَرِ مِثۡلُ حَظِّ ٱلۡأُنثَيَيۡنِۗ يُبَيِّنُ ٱللَّهُ لَكُمۡ أَن تَضِلُّواْۗ وَٱللَّهُ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمُۢ

    Open ayah 4:176

    Bakubuuza (ggwe Nabbi Muhammad) ku muntu afa naataleka bazadde oba abaana wabula nga alese bagandabe, gamba nti Katonda ajja kubannyonnyola ebikwata ku kusikira omuntu oyo, omuntu bwafa nga talina mwana, naye nga alina mwannyina, oyo afuna kimu kyakubiri kwebyo byaba alese, era naye asikira mwannyina singa (Mwannyina afa) nga talese mwana, bannyina bwebaba babiri bafuna bibiri byakusatu kw'ebyo byaba alese, bwebaba b’aluganda nga basajja na bakazi, omusajja afuna omugabo gwabakazi babiri, Katonda abannyonnyola (amateekage) mube nga temubula, bulijjo Katonda mumanyi waabuli kintu.