طه

Taa-Haa

Taa-Haa · Surah 20 · Ayahs: 135 · Meccan

Translation: Luganda - African Institution · Open the surah

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

  1. Twa-haa.

  2. مَآ أَنزَلۡنَا عَلَيۡكَ ٱلۡقُرۡءَانَ لِتَشۡقَىٰٓ

    Open ayah 20:2

    Tetwakussaako Kur’ani obe nga ozitoowererwa.

  3. إِلَّا تَذۡكِرَةٗ لِّمَن يَخۡشَىٰ

    Open ayah 20:3

    Wabula twagikussaako nga kya kujjukiza eri oyo atya Katonda.

  4. تَنزِيلٗا مِّمَّنۡ خَلَقَ ٱلۡأَرۡضَ وَٱلسَّمَٰوَٰتِ ٱلۡعُلَى

    Open ayah 20:4

    (Kur’ani eno) yassibwa okuva eri oyo eyatonda ensi n'eggulu eryewanise.

  5. ٱلرَّحۡمَٰنُ عَلَى ٱلۡعَرۡشِ ٱسۡتَوَىٰ

    Open ayah 20:5

    Katonda omusaasizi ow'ekisa ekingi, yatebenkera ku Arish.

  6. لَهُۥ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَا وَمَا تَحۡتَ ٱلثَّرَىٰ

    Open ayah 20:6

    Bibye ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, n'ebyo ebiri wakati wa byombi, n'ebyo ebiri wansi w'ettaka.

  7. وَإِن تَجۡهَرۡ بِٱلۡقَوۡلِ فَإِنَّهُۥ يَعۡلَمُ ٱلسِّرَّ وَأَخۡفَى

    Open ayah 20:7

    Singa olina ekigambo kyonna kyoyatudde (k'obe nga tokyatudde) anti mazima yye amanyi ekyekyama n'ekisinga okubeera ekikweke.

  8. ٱللَّهُ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۖ لَهُ ٱلۡأَسۡمَآءُ ٱلۡحُسۡنَىٰ

    Open ayah 20:8

    Katonda y'oyo ewatali kisinzibwa kya mazima okugyako yye. Y'alina amannya agasinga obulungi.

  9. وَهَلۡ أَتَىٰكَ حَدِيثُ مُوسَىٰٓ

    Open ayah 20:9

    Abaffe kwakujjira okwogera (ku kyafaayo) kya Musa.

  10. إِذۡ رَءَا نَارٗا فَقَالَ لِأَهۡلِهِ ٱمۡكُثُوٓاْ إِنِّيٓ ءَانَسۡتُ نَارٗا لَّعَلِّيٓ ءَاتِيكُم مِّنۡهَا بِقَبَسٍ أَوۡ أَجِدُ عَلَى ٱلنَّارِ هُدٗى 

    Open ayah 20:10

    Mu kiseera weyalabira omuliro alyoke agambe abantube nti (mutuule) wano, mazima nze nengende omuliro (kangendeyo) sikulwa nga mbaleetera okuva gye guli eryanda si nakindi nensanga awali omuliro obulungamu.

  11. فَلَمَّآ أَتَىٰهَا نُودِيَ يَٰمُوسَىٰٓ

    Open ayah 20:11

    Musa bwe yagutuukako yakoowoolwa nti: owange ggwe Musa.

  12. إِنِّيٓ أَنَا۠ رَبُّكَ فَٱخۡلَعۡ نَعۡلَيۡكَ إِنَّكَ بِٱلۡوَادِ ٱلۡمُقَدَّسِ طُوٗى

    Open ayah 20:12

    Mazima nze, nze Mukama omulabiriziwo kale ggyamu engattozo, anti mazima ggwe oli mu lusenyi olutukuvu oluyitibwa Tuwa.

  13. وَأَنَا ٱخۡتَرۡتُكَ فَٱسۡتَمِعۡ لِمَا يُوحَىٰٓ

    Open ayah 20:13

    Era mazima nze nkulonze okubeera (omubaka) wange, kale nno wuliriza obubaka obukussibwako.

  14. إِنَّنِيٓ أَنَا ٱللَّهُ لَآ إِلَٰهَ إِلَّآ أَنَا۠ فَٱعۡبُدۡنِي وَأَقِمِ ٱلصَّلَوٰةَ لِذِكۡرِيٓ

    Open ayah 20:14

    Mazima nze, nze Katonda nga tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako nze, kale nno nsinza, oyimirizeewo e sswala obeere nga onjogerako mu yo.

  15. إِنَّ ٱلسَّاعَةَ ءَاتِيَةٌ أَكَادُ أُخۡفِيهَا لِتُجۡزَىٰ كُلُّ نَفۡسِۭ بِمَا تَسۡعَىٰ

    Open ayah 20:15

    Anti mazima ekiseera (ebitonde lwe birizuukizibwa) kijja kutuuka mbula kukikweka (nange mbe nga sikimanya, ate bo bakimanyira wa), olwo nno (bwe kiriba kituuse) buli mwoyo gulyoke gusasulwe ebyo bye gwatakabanira.

  16. فَلَا يَصُدَّنَّكَ عَنۡهَا مَن لَّا يُؤۡمِنُ بِهَا وَٱتَّبَعَ هَوَىٰهُ فَتَرۡدَىٰ

    Open ayah 20:16

    Kale nno takulabankanya okukuggya ku kukolerera ekiseera ekyo, oyo yenna atakikkiriza nga agoberera kwagalakwe (nekikuviirako) okuzikirira.

  17. وَمَا تِلۡكَ بِيَمِينِكَ يَٰمُوسَىٰ

    Open ayah 20:17

    Owange Musa kiki ekiri mu mukono gwo ogwa ddyo?.

  18. قَالَ هِيَ عَصَايَ أَتَوَكَّؤُاْ عَلَيۡهَا وَأَهُشُّ بِهَا عَلَىٰ غَنَمِي وَلِيَ فِيهَا مَـَٔارِبُ أُخۡرَىٰ

    Open ayah 20:18

    Naagamba nti ogwo muggo gwange, gunyamba nga ntambula, era gwe nneeyambisa okukuba ebikoola embuzi zange (ziryoke zirye) era nina mugwo emigaso emirala.

  19. قَالَ أَلۡقِهَا يَٰمُوسَىٰ

    Open ayah 20:19

    Katonda naagamba owange Musa gukasuke wansi.

  20. فَأَلۡقَىٰهَا فَإِذَا هِيَ حَيَّةٞ تَسۡعَىٰ 

    Open ayah 20:20

    Naagukasuka, okugenda okulaba nga gwo musota ogutambula.

  21. قَالَ خُذۡهَا وَلَا تَخَفۡۖ سَنُعِيدُهَا سِيرَتَهَا ٱلۡأُولَىٰ

    Open ayah 20:21

    Katonga naagamba gukwate, era totya, tujja kuguzza ku mbeera yaagwo ey'abulijjo.

  22. وَٱضۡمُمۡ يَدَكَ إِلَىٰ جَنَاحِكَ تَخۡرُجۡ بَيۡضَآءَ مِنۡ غَيۡرِ سُوٓءٍ ءَايَةً أُخۡرَىٰ

    Open ayah 20:22

    Yingiza omukono gwo mu nkwawazo, gugenda kuvaayo nga mweru nga ate tegutuukiddwako kabi, nakyo nga ky'amagero kirala.

  23. لِنُرِيَكَ مِنۡ ءَايَٰتِنَا ٱلۡكُبۡرَى

    Open ayah 20:23

    Olwo nno tulyoke tukulage obubonero bwaffe obunene.

  24. ٱذۡهَبۡ إِلَىٰ فِرۡعَوۡنَ إِنَّهُۥ طَغَىٰ

    Open ayah 20:24

    Genda ewa Firaawo mazima yye yabula (naafuuka kiwagi).

  25. قَالَ رَبِّ ٱشۡرَحۡ لِي صَدۡرِي

    Open ayah 20:25

    (Musa) naagamba nti ayi Mukama Omulabirizi wange, nyanjululiza ekifuba kyange.

  26. وَيَسِّرۡ لِيٓ أَمۡرِي

    Open ayah 20:26

    Era onsobozese omulimu gwange.

  27. وَٱحۡلُلۡ عُقۡدَةٗ مِّن لِّسَانِي

    Open ayah 20:27

    Era ojje okwesiba mu lulimi lwange.

  28. يَفۡقَهُواْ قَوۡلِي

    Open ayah 20:28

    Bategeere ebigambo byange.

  29. وَٱجۡعَل لِّي وَزِيرٗا مِّنۡ أَهۡلِي

    Open ayah 20:29

    Era onteerewo omuyambi nga ava mu b'oluganda lwange.

  30. هَٰرُونَ أَخِي 

    Open ayah 20:30

    (Nga ye) Haruna muganda wange.

  31. ٱشۡدُدۡ بِهِۦٓ أَزۡرِي

    Open ayah 20:31

    Nkusaba oggumize naye obusobozi bwange.

  32. وَأَشۡرِكۡهُ فِيٓ أَمۡرِي

    Open ayah 20:32

    Era omugatte (ku nze) mu mulimu gwange.

  33. كَيۡ نُسَبِّحَكَ كَثِيرٗا

    Open ayah 20:33

    Olwo nno tube nga tukutendereza nnyo.

  34. وَنَذۡكُرَكَ كَثِيرًا

    Open ayah 20:34

    Era tukwogereko nnyo.

  35. إِنَّكَ كُنتَ بِنَا بَصِيرٗا

    Open ayah 20:35

    Mazima ggwe bulijjo otulabira ddala.

  36. قَالَ قَدۡ أُوتِيتَ سُؤۡلَكَ يَٰمُوسَىٰ

    Open ayah 20:36

    (Katonda) naagamba nti owange Musa, oweereddwa ebisabwa byo.

  37. وَلَقَدۡ مَنَنَّا عَلَيۡكَ مَرَّةً أُخۡرَىٰٓ

    Open ayah 20:37

    Era mazima twakugabira ekyengera omulundi omulala (oluberyeberye lwa kino).

  38. إِذۡ أَوۡحَيۡنَآ إِلَىٰٓ أُمِّكَ مَا يُوحَىٰٓ

    Open ayah 20:38

    Mu kiseera bwe twatumira eri Maamawo ekyo kye twamutumira.

  39. أَنِ ٱقۡذِفِيهِ فِي ٱلتَّابُوتِ فَٱقۡذِفِيهِ فِي ٱلۡيَمِّ فَلۡيُلۡقِهِ ٱلۡيَمُّ بِٱلسَّاحِلِ يَأۡخُذۡهُ عَدُوّٞ لِّي وَعَدُوّٞ لَّهُۥۚ وَأَلۡقَيۡتُ عَلَيۡكَ مَحَبَّةٗ مِّنِّي وَلِتُصۡنَعَ عَلَىٰ عَيۡنِيٓ

    Open ayah 20:39

    (Netumugamba) nti musse mu sanduke (bwomala) ogisse ku mazzi (g'omugga) amazzi gajja kumukasuka ku lubalama, olwo nno omulabe wange era nga mulabe we ajja kumutwala, era nakussaako ggwe (Musa) okwagala okuva gyendi, era olyoke obeere mu kulabirirwa kwange.

  40. إِذۡ تَمۡشِيٓ أُخۡتُكَ فَتَقُولُ هَلۡ أَدُلُّكُمۡ عَلَىٰ مَن يَكۡفُلُهُۥۖ فَرَجَعۡنَٰكَ إِلَىٰٓ أُمِّكَ كَيۡ تَقَرَّ عَيۡنُهَا وَلَا تَحۡزَنَۚ وَقَتَلۡتَ نَفۡسٗا فَنَجَّيۡنَٰكَ مِنَ ٱلۡغَمِّ وَفَتَنَّٰكَ فُتُونٗاۚ فَلَبِثۡتَ سِنِينَ فِيٓ أَهۡلِ مَدۡيَنَ ثُمَّ جِئۡتَ عَلَىٰ قَدَرٖ يَٰمُوسَىٰ 

    Open ayah 20:40

    Jjukira ekiseera mwannyoko bwe yatambula (naatuuka ku bantu bo mu maka ga Firaawo), naagamba nti abaffe mbalagirire omuntu anaamulabirira, olwo netukuzza ewa Maamawo, eriiso lye liryoke litebenkere (omutima gumubeere wamu), era aleme kunakuwala, (era jjukira nti lumu) watta omuntu wabula netukuwonya okweraliikirira era twakugezesa n'ebigezo bingi, nootuula emyaka egiwera mu bantu be Madiana. Oluvanyuma owange Musa bwomaze nojja wano Katonda nga bwe yakugerera.

  41. وَٱصۡطَنَعۡتُكَ لِنَفۡسِي

    Open ayah 20:41

    Era nkwawudde nga oli wange (nkuwadde obubaka).

  42. ٱذۡهَبۡ أَنتَ وَأَخُوكَ بِـَٔايَٰتِي وَلَا تَنِيَا فِي ذِكۡرِي

    Open ayah 20:42

    Genda ggwe ne mugandawo, nga mututte obubonero bwange, kyokka temukoowanga okunjogerako.

  43. ٱذۡهَبَآ إِلَىٰ فِرۡعَوۡنَ إِنَّهُۥ طَغَىٰ

    Open ayah 20:43

    Mugende mwembiriri ewa Firaawo, mazima yeewaggula.

  44. فَقُولَا لَهُۥ قَوۡلٗا لَّيِّنٗا لَّعَلَّهُۥ يَتَذَكَّرُ أَوۡ يَخۡشَىٰ

    Open ayah 20:44

    Mumugambe ebigambo ebigonvu, alyoke ajjukire era atye.

  45. قَالَا رَبَّنَآ إِنَّنَا نَخَافُ أَن يَفۡرُطَ عَلَيۡنَآ أَوۡ أَن يَطۡغَىٰ

    Open ayah 20:45

    (Musa ne Haruna) nebagamba nti, ayi Mukama omulabirizi waffe mazima ffe tutya, ayinza okutubonyaabonya ennyo, oba (yye) okweyongera okwewaggula.

  46. قَالَ لَا تَخَافَآۖ إِنَّنِي مَعَكُمَآ أَسۡمَعُ وَأَرَىٰ

    Open ayah 20:46

    (Katonda) naagamba nti temutya mazima nze ndi wamu nammwe mpulira era ndaba.

  47. فَأۡتِيَاهُ فَقُولَآ إِنَّا رَسُولَا رَبِّكَ فَأَرۡسِلۡ مَعَنَا بَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ وَلَا تُعَذِّبۡهُمۡۖ قَدۡ جِئۡنَٰكَ بِـَٔايَةٖ مِّن رَّبِّكَۖ وَٱلسَّلَٰمُ عَلَىٰ مَنِ ٱتَّبَعَ ٱلۡهُدَىٰٓ

    Open ayah 20:47

    Kale nno mugende gyali mwembiriri mumugambe nti mazima ffe fembi tuli babaka ba Mukama omulabiriziwo, tuleke tugende n'abaana ba Israil era tobabonyaabonya. Mazima tukujjidde n'ekyamagero okuva ewa Mukama omulabiriziwo, era bulijjo emirembe gibeera ku oyo agoberera obulungamu.

  48. إِنَّا قَدۡ أُوحِيَ إِلَيۡنَآ أَنَّ ٱلۡعَذَابَ عَلَىٰ مَن كَذَّبَ وَتَوَلَّىٰ

    Open ayah 20:48

    Mazima ffe tuweereddwa obubaka nti, mazima ebibonerezo bibeera ku oyo yenna alimbisa naava ku kituufu.

  49. قَالَ فَمَن رَّبُّكُمَا يَٰمُوسَىٰ

    Open ayah 20:49

    (Oluvanyuma bombi baatuuka ewa Firaawo), naagamba nti owange Musa olwo ani Mukama omulabirizi wa mmwe mwembiriri?.

  50. قَالَ رَبُّنَا ٱلَّذِيٓ أَعۡطَىٰ كُلَّ شَيۡءٍ خَلۡقَهُۥ ثُمَّ هَدَىٰ 

    Open ayah 20:50

    (Musa) naagamba nti Mukama omulabirizi waffe y'oyo eyawa buli kintu obutonde bwakyo, oluvanyuma naakirungamya (ku ngeri gye kiteekwa okuwangaalamu).

  51. قَالَ فَمَا بَالُ ٱلۡقُرُونِ ٱلۡأُولَىٰ

    Open ayah 20:51

    (Firaawo) naagamba (bwe guba bwe gutyo) emirembe egyakulembera gyo gibalibwa gitya.

  52. قَالَ عِلۡمُهَا عِندَ رَبِّي فِي كِتَٰبٖۖ لَّا يَضِلُّ رَبِّي وَلَا يَنسَى

    Open ayah 20:52

    (Musa) naagamba nti ebigifaako biri wa Mukama omulabirizi wange nga biri mu kitabo (byawandiikibwa dda), Mukama omulabirizi wange takola kikyamu era teyeerabira.

  53. ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُمُ ٱلۡأَرۡضَ مَهۡدٗا وَسَلَكَ لَكُمۡ فِيهَا سُبُلٗا وَأَنزَلَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ فَأَخۡرَجۡنَا بِهِۦٓ أَزۡوَٰجٗا مِّن نَّبَاتٖ شَتَّىٰ

    Open ayah 20:53

    (Omulabirizi wange) oyo eyabateerawo ensi nga kyaliiro, naabateera mu yo amakubo, era nassa okuva waggulu amazzi netumeza nago emitendera ebiri mu bimera ebitali bimu.

  54. كُلُواْ وَٱرۡعَوۡاْ أَنۡعَٰمَكُمۡۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّأُوْلِي ٱلنُّهَىٰ

    Open ayah 20:54

    (Netugamba nti) mulye era mulunde ebisolo bya mmwe. Mazima mu ekyo mulimu obubonero eri ab'amagezi.

  55. ۞مِنۡهَا خَلَقۡنَٰكُمۡ وَفِيهَا نُعِيدُكُمۡ وَمِنۡهَا نُخۡرِجُكُمۡ تَارَةً أُخۡرَىٰ

    Open ayah 20:55

    Mulyo (ettaka) mwe twabatonda era mulyo mwe tubazza era mulyo mwe tulibaggya omulundi omulala.

  56. وَلَقَدۡ أَرَيۡنَٰهُ ءَايَٰتِنَا كُلَّهَا فَكَذَّبَ وَأَبَىٰ

    Open ayah 20:56

    Era mazima twamulaga (Firaawo) obubonero bwaffe bwonna naalimbisa era naagaana.

  57. قَالَ أَجِئۡتَنَا لِتُخۡرِجَنَا مِنۡ أَرۡضِنَا بِسِحۡرِكَ يَٰمُوسَىٰ

    Open ayah 20:57

    (Firaawo) naagamba nti owange Musa ekikuleese kutuggya mu nsi yaffe olw'eddogolyo.

  58. فَلَنَأۡتِيَنَّكَ بِسِحۡرٖ مِّثۡلِهِۦ فَٱجۡعَلۡ بَيۡنَنَا وَبَيۡنَكَ مَوۡعِدٗا لَّا نُخۡلِفُهُۥ نَحۡنُ وَلَآ أَنتَ مَكَانٗا سُوٗى

    Open ayah 20:58

    Kale nno naffe tujja kukuleetera eddogo eriringa lyo, teeka wakati waffe naawe endagaano, gye tutajja kwawukanako ffe wadde ggwe, (tusisinkane mu) kifo ekikiriziganyiziddwako (enjuyi zombi).

  59. قَالَ مَوۡعِدُكُمۡ يَوۡمُ ٱلزِّينَةِ وَأَن يُحۡشَرَ ٱلنَّاسُ ضُحٗى

    Open ayah 20:59

    (Musa) naagamba nti endagaano yammwe (tusisinkane) olunaku lw'okwenyiriza, era abantu balagirwanga okukungaana mu kalasa mayanzi.

  60. فَتَوَلَّىٰ فِرۡعَوۡنُ فَجَمَعَ كَيۡدَهُۥ ثُمَّ أَتَىٰ 

    Open ayah 20:60

    Olwo nno Firaawo yavaawo, naagenda n’agattagatta enkwe ze oluvanyuma najja (ku lunaku olulagaanye).

  61. قَالَ لَهُم مُّوسَىٰ وَيۡلَكُمۡ لَا تَفۡتَرُواْ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبٗا فَيُسۡحِتَكُم بِعَذَابٖۖ وَقَدۡ خَابَ مَنِ ٱفۡتَرَىٰ

    Open ayah 20:61

    Musa naabagamba (abalogo) nti: nga mulabye nnyo! Temutemerera Katonda obulimba naabasanyawo, n'ebibonerezo, era bulijjo afaafaaganirwa oyo agunjawo obulimba.

  62. فَتَنَٰزَعُوٓاْ أَمۡرَهُم بَيۡنَهُمۡ وَأَسَرُّواْ ٱلنَّجۡوَىٰ

    Open ayah 20:62

    (Abalogo), ekigambo kyabwe nebakyawukanamu wakati waabwe, wabula olukiiko lwali mu kyama.

  63. قَالُوٓاْ إِنۡ هَٰذَٰنِ لَسَٰحِرَٰنِ يُرِيدَانِ أَن يُخۡرِجَاكُم مِّنۡ أَرۡضِكُم بِسِحۡرِهِمَا وَيَذۡهَبَا بِطَرِيقَتِكُمُ ٱلۡمُثۡلَىٰ

    Open ayah 20:63

    Nebagamba nti mazima bano bombi balogo, baagala babaggye mu nsi yammwe, olw'eddogo lyabwe bombi era baggyewo enkola ya mmwe ennungi.

  64. فَأَجۡمِعُواْ كَيۡدَكُمۡ ثُمَّ ٱئۡتُواْ صَفّٗاۚ وَقَدۡ أَفۡلَحَ ٱلۡيَوۡمَ مَنِ ٱسۡتَعۡلَىٰ

    Open ayah 20:64

    Musse kimu mu kusalawo kwa mmwe, olwo nno mulumbe nga muli lunyiriri lumu, era mazima anaawangula olwa leero y'anaaba yeesiimye.

  65. قَالُواْ يَٰمُوسَىٰٓ إِمَّآ أَن تُلۡقِيَ وَإِمَّآ أَن نَّكُونَ أَوَّلَ مَنۡ أَلۡقَىٰ

    Open ayah 20:65

    Nebagamba nti owange Musa ggwe (osooka) okusuula omuggo oba ffe tube abasooka okusuula.

  66. قَالَ بَلۡ أَلۡقُواْۖ فَإِذَا حِبَالُهُمۡ وَعِصِيُّهُمۡ يُخَيَّلُ إِلَيۡهِ مِن سِحۡرِهِمۡ أَنَّهَا تَسۡعَىٰ

    Open ayah 20:66

    (Musa) naagamba nti wabula mmwe musuule, okugenda okulaba nga emiguwa gyabwe n'emiggo gyabwe, olw'eddogo lyabwe nga gimulabikira nti mazima ddala gitambula.

  67. فَأَوۡجَسَ فِي نَفۡسِهِۦ خِيفَةٗ مُّوسَىٰ

    Open ayah 20:67

    Musa naafuna okutya mu mutima gwe.

  68. قُلۡنَا لَا تَخَفۡ إِنَّكَ أَنتَ ٱلۡأَعۡلَىٰ

    Open ayah 20:68

    Netumugamba nti totya, mazima, ggwe ajja okuwangula.

  69. وَأَلۡقِ مَا فِي يَمِينِكَ تَلۡقَفۡ مَا صَنَعُوٓاْۖ إِنَّمَا صَنَعُواْ كَيۡدُ سَٰحِرٖۖ وَلَا يُفۡلِحُ ٱلسَّاحِرُ حَيۡثُ أَتَىٰ

    Open ayah 20:69

    Era suula ekyo ekiri mu mukono gwo ogwa ddyo (nga gwe muggo), gujja kumira ebyo bye bakoze. Anti mazima ddala bye bakoze nkwe za mulogo ate nga omulogo buli waaba tawangula.

  70. فَأُلۡقِيَ ٱلسَّحَرَةُ سُجَّدٗا قَالُوٓاْ ءَامَنَّا بِرَبِّ هَٰرُونَ وَمُوسَىٰ 

    Open ayah 20:70

    (Bwe yakola ekyo) abalogo bonna nebagwa nga bavunnama, nebagamba nti tukkirizza Mukama omulabirizi wa Haruna ne Musa.

  71. قَالَ ءَامَنتُمۡ لَهُۥ قَبۡلَ أَنۡ ءَاذَنَ لَكُمۡۖ إِنَّهُۥ لَكَبِيرُكُمُ ٱلَّذِي عَلَّمَكُمُ ٱلسِّحۡرَۖ فَلَأُقَطِّعَنَّ أَيۡدِيَكُمۡ وَأَرۡجُلَكُم مِّنۡ خِلَٰفٖ وَلَأُصَلِّبَنَّكُمۡ فِي جُذُوعِ ٱلنَّخۡلِ وَلَتَعۡلَمُنَّ أَيُّنَآ أَشَدُّ عَذَابٗا وَأَبۡقَىٰ

    Open ayah 20:71

    (Firaawo) naagamba nti, mumukkirizza mutya nga sinnaba kubakkiriza, (kirabika) nti mazima yye ye mukulu wa mmwe oyo eyabayigiriza eddogo, n'olwekyo nja kutemerako ddala emikono gyammwe n'amagulu gammwe, (ngantema) omukono ogwa ddyo n'okugulu okwa kkono, era nja kubabamba ku ndoddo z'emitende, era mugenda kumanyira ddala nti ani ku fenna asinza ebibonerezo era ow'okusigalawo.

  72. قَالُواْ لَن نُّؤۡثِرَكَ عَلَىٰ مَا جَآءَنَا مِنَ ٱلۡبَيِّنَٰتِ وَٱلَّذِي فَطَرَنَاۖ فَٱقۡضِ مَآ أَنتَ قَاضٍۖ إِنَّمَا تَقۡضِي هَٰذِهِ ٱلۡحَيَوٰةَ ٱلدُّنۡيَآ

    Open ayah 20:72

    (Abalogo) nebagamba tetujja kukulembeza ku mazima ameeyolefu, agamaze okutujjira, wadde okukulembeza ku oyo eyatonda, kale ggwe, salawo kyosalawo, mazima osobola kusalawo ku buno obulamu obw'ensi.

  73. إِنَّآ ءَامَنَّا بِرَبِّنَا لِيَغۡفِرَ لَنَا خَطَٰيَٰنَا وَمَآ أَكۡرَهۡتَنَا عَلَيۡهِ مِنَ ٱلسِّحۡرِۗ وَٱللَّهُ خَيۡرٞ وَأَبۡقَىٰٓ

    Open ayah 20:73

    Mazima ffe tukkirizza Mukama omulabirizi waffe, abe nga atusonyiwa ebisobyo byaffe, era atusonyiwe ebyo byotuwaliriza okukola eby'eddogo, era bulijjo Katonda y'asinga obulungi era ow'okusigalawo.

  74. إِنَّهُۥ مَن يَأۡتِ رَبَّهُۥ مُجۡرِمٗا فَإِنَّ لَهُۥ جَهَنَّمَ لَا يَمُوتُ فِيهَا وَلَا يَحۡيَىٰ

    Open ayah 20:74

    Mazima oyo yenna alijja nga mwonoonyi ewa Mukama omulabiriziwe, mazima agenda kuyingira omuliro Jahannama tagenda kufa nga ali mu gwo wadde okubeera omulamu.

  75. وَمَن يَأۡتِهِۦ مُؤۡمِنٗا قَدۡ عَمِلَ ٱلصَّٰلِحَٰتِ فَأُوْلَٰٓئِكَ لَهُمُ ٱلدَّرَجَٰتُ ٱلۡعُلَىٰ

    Open ayah 20:75

    Ate oyo alimujjira nga mukkiriza, era nga yakola emirimu emirongoofu, abo bagenda kuweebwa amadaala aga waggulu.

  76. جَنَّٰتُ عَدۡنٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَاۚ وَذَٰلِكَ جَزَآءُ مَن تَزَكَّىٰ

    Open ayah 20:76

    (Amadaala ago) e jjana ez'olubeerera, nga emigga gikulukutira wansi waazo, baakutuula mu zo obugenderevu, era eyo y'empeera y'oyo eyeetukuza.

  77. وَلَقَدۡ أَوۡحَيۡنَآ إِلَىٰ مُوسَىٰٓ أَنۡ أَسۡرِ بِعِبَادِي فَٱضۡرِبۡ لَهُمۡ طَرِيقٗا فِي ٱلۡبَحۡرِ يَبَسٗا لَّا تَخَٰفُ دَرَكٗا وَلَا تَخۡشَىٰ

    Open ayah 20:77

    Era mazima twatumira Musa nti, tambula ekiro n'abaddu bange (abaana ba Israil) obakubire ku nyanja ekkubo ekkalu, totya (mulabe) kubasanga, era totya (nyanja kubasaanyawo).

  78. فَأَتۡبَعَهُمۡ فِرۡعَوۡنُ بِجُنُودِهِۦ فَغَشِيَهُم مِّنَ ٱلۡيَمِّ مَا غَشِيَهُمۡ

    Open ayah 20:78

    Olwo nno Firaawo yabagoberera n'eggyerye, olwo nebabikkibwa amazzi ago (Katonda) geyasalawo gababikke.

  79. وَأَضَلَّ فِرۡعَوۡنُ قَوۡمَهُۥ وَمَا هَدَىٰ

    Open ayah 20:79

    Bwatyo Firawo yabuza abantube era (naye) teyalungama.

  80. يَٰبَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ قَدۡ أَنجَيۡنَٰكُم مِّنۡ عَدُوِّكُمۡ وَوَٰعَدۡنَٰكُمۡ جَانِبَ ٱلطُّورِ ٱلۡأَيۡمَنَ وَنَزَّلۡنَا عَلَيۡكُمُ ٱلۡمَنَّ وَٱلسَّلۡوَىٰ 

    Open ayah 20:80

    Abange abaana ba (Israil) mazima twabawonya omulabe wa mmwe, era twabalagaanyisa mu kifo ekiri ku ludda olwa ddyo ku lusozi, (wetwayogerera ne Musa era wetwamuweera Taurat) era twabassiza Manna ne Saliwa (ekisooka mmere ekirala nva).

  81. كُلُواْ مِن طَيِّبَٰتِ مَا رَزَقۡنَٰكُمۡ وَلَا تَطۡغَوۡاْ فِيهِ فَيَحِلَّ عَلَيۡكُمۡ غَضَبِيۖ وَمَن يَحۡلِلۡ عَلَيۡهِ غَضَبِي فَقَدۡ هَوَىٰ

    Open ayah 20:81

    (okwo netwongerako nti), mulye mu buli kirungi mu ebyo bye tubagabira temusukka ekikomo mu kwo (okulya) nemukakatwako obusungu bwange, era bulijjo oyo yenna gwe bukakatako obusungu bwange aba abuze.

  82. وَإِنِّي لَغَفَّارٞ لِّمَن تَابَ وَءَامَنَ وَعَمِلَ صَٰلِحٗا ثُمَّ ٱهۡتَدَىٰ

    Open ayah 20:82

    Era mazima nze ndi musonyiyi, eri oyo eyeenenya naakola emirimu emirongoofu, ate bulijjo naabeera ku bulungamu.

  83. ۞وَمَآ أَعۡجَلَكَ عَن قَوۡمِكَ يَٰمُوسَىٰ

    Open ayah 20:83

    (Musa bwe yatuuka ku lusozi, Katonda naamugamba nti) owange Musa, kiki ekikwanguyizza nooleka abantu bo.

  84. قَالَ هُمۡ أُوْلَآءِ عَلَىٰٓ أَثَرِي وَعَجِلۡتُ إِلَيۡكَ رَبِّ لِتَرۡضَىٰ

    Open ayah 20:84

    Naagamba nti bo, baabo bangoberera, nze nyanguye okujja gyoli Mukama omulabirizi wange, obe nga osiima.

  85. قَالَ فَإِنَّا قَدۡ فَتَنَّا قَوۡمَكَ مِنۢ بَعۡدِكَ وَأَضَلَّهُمُ ٱلسَّامِرِيُّ

    Open ayah 20:85

    (Katonda) naagamba nti, mazima twakemye abantubo nga ovuddeyo, Saamiriyyu naababuza.

  86. فَرَجَعَ مُوسَىٰٓ إِلَىٰ قَوۡمِهِۦ غَضۡبَٰنَ أَسِفٗاۚ قَالَ يَٰقَوۡمِ أَلَمۡ يَعِدۡكُمۡ رَبُّكُمۡ وَعۡدًا حَسَنًاۚ أَفَطَالَ عَلَيۡكُمُ ٱلۡعَهۡدُ أَمۡ أَرَدتُّمۡ أَن يَحِلَّ عَلَيۡكُمۡ غَضَبٞ مِّن رَّبِّكُمۡ فَأَخۡلَفۡتُم مَّوۡعِدِي

    Open ayah 20:86

    Olwo nno Musa nadda eri abantu be, nga musunguwavu nga mwennyamivu, naagamba nti abange bantu bange. Abaffe Mukama omulabirizi wa mmwe teyabalagaanyisa endagaano ennungi, ekiseera ekiragaane kye kyabawanvuwako, oba mwayagala mutuukibweko obusungu okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, olwo nno nemuva ku ndagaano yange.

  87. قَالُواْ مَآ أَخۡلَفۡنَا مَوۡعِدَكَ بِمَلۡكِنَا وَلَٰكِنَّا حُمِّلۡنَآ أَوۡزَارٗا مِّن زِينَةِ ٱلۡقَوۡمِ فَقَذَفۡنَٰهَا فَكَذَٰلِكَ أَلۡقَى ٱلسَّامِرِيُّ

    Open ayah 20:87

    Nebagamba nti: Endagaanoyo tetwagivuddeko lwa kweyagalira kwaffe, wabula mazima ffe twatikkiddwa ebizito mu by'okwewunda bya bantu ba (Firaawo) olwo nno netubikasuka ( mu muliro) bwatyo Saamiriyyu bwe yasudde.

  88. فَأَخۡرَجَ لَهُمۡ عِجۡلٗا جَسَدٗا لَّهُۥ خُوَارٞ فَقَالُواْ هَٰذَآ إِلَٰهُكُمۡ وَإِلَٰهُ مُوسَىٰ فَنَسِيَ

    Open ayah 20:88

    Olwo (Saamiriyyu) naabakoleramu ennyana erina omubiri, era nga engonga, nebagamba nti ono ye Katonda wa mmwe, era Katonda wa Musa wabula Musa yeerabidde, (naagenda so nga Katonda yamulese wano).

  89. أَفَلَا يَرَوۡنَ أَلَّا يَرۡجِعُ إِلَيۡهِمۡ قَوۡلٗا وَلَا يَمۡلِكُ لَهُمۡ ضَرّٗا وَلَا نَفۡعٗا

    Open ayah 20:89

    Abaffe tebaalaba nti ennyana eyo, yali tesobola kubaddamu kigambo kyonna, era nga tefuga kubatuusaako kabi wadde omugaso.

  90. وَلَقَدۡ قَالَ لَهُمۡ هَٰرُونُ مِن قَبۡلُ يَٰقَوۡمِ إِنَّمَا فُتِنتُم بِهِۦۖ وَإِنَّ رَبَّكُمُ ٱلرَّحۡمَٰنُ فَٱتَّبِعُونِي وَأَطِيعُوٓاْ أَمۡرِي 

    Open ayah 20:90

    Ate nga mazima Haruna yali amaze okubagamba mu kusooka nti abange bantu bange, mazima mukemeddwa olweyo (ennyana), era mazima Mukama omulabirizi wa mmwe, ye Katonda omusaasizi kale nno mungoberere era mugondere ekiragiro kyange.

  91. قَالُواْ لَن نَّبۡرَحَ عَلَيۡهِ عَٰكِفِينَ حَتَّىٰ يَرۡجِعَ إِلَيۡنَا مُوسَىٰ

    Open ayah 20:91

    Nebagamba nti, tetugenda kulekayo kugisinza, okutuusa Musa lwanadda gye tuli.

  92. قَالَ يَٰهَٰرُونُ مَا مَنَعَكَ إِذۡ رَأَيۡتَهُمۡ ضَلُّوٓاْ

    Open ayah 20:92

    (Musa bwe yakomawo) yagamba nti owange Haruna bwe walabye nga babuze ki ekyakugaanye.

  93. أَلَّا تَتَّبِعَنِۖ أَفَعَصَيۡتَ أَمۡرِي

    Open ayah 20:93

    Okungoberera (n'obanenya nga bwenkoze) abaffe wajeemedde ekiragiro kyange.

  94. قَالَ يَبۡنَؤُمَّ لَا تَأۡخُذۡ بِلِحۡيَتِي وَلَا بِرَأۡسِيٓۖ إِنِّي خَشِيتُ أَن تَقُولَ فَرَّقۡتَ بَيۡنَ بَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ وَلَمۡ تَرۡقُبۡ قَوۡلِي

    Open ayah 20:94

    (Haruna) naagamba nti owange mwana wa nnyabo tonsika kirevu, wadde omutwe gwange, mazima nze natidde ggwe okugamba nti, wayawukanyizza abaana ba Israil, nootalinda kigambo kyange.

  95. قَالَ فَمَا خَطۡبُكَ يَٰسَٰمِرِيُّ

    Open ayah 20:95

    (Musa) naagamba nti ate ggwe Saamiriyyu, kiki ekyakukozesezza ekyo?.

  96. قَالَ بَصُرۡتُ بِمَا لَمۡ يَبۡصُرُواْ بِهِۦ فَقَبَضۡتُ قَبۡضَةٗ مِّنۡ أَثَرِ ٱلرَّسُولِ فَنَبَذۡتُهَا وَكَذَٰلِكَ سَوَّلَتۡ لِي نَفۡسِي

    Open ayah 20:96

    (Saamiruyyi) naagamba nti nalabye kye bataalabye olwo nno nenjoola olubatu lw'ettaka omubaka (Jiburilu) weyayise, nenkolamu ennyana nze bwentyo bwe nnalabye.

  97. قَالَ فَٱذۡهَبۡ فَإِنَّ لَكَ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ أَن تَقُولَ لَا مِسَاسَۖ وَإِنَّ لَكَ مَوۡعِدٗا لَّن تُخۡلَفَهُۥۖ وَٱنظُرۡ إِلَىٰٓ إِلَٰهِكَ ٱلَّذِي ظَلۡتَ عَلَيۡهِ عَاكِفٗاۖ لَّنُحَرِّقَنَّهُۥ ثُمَّ لَنَنسِفَنَّهُۥ فِي ٱلۡيَمِّ نَسۡفًا

    Open ayah 20:97

    (Musa) naagamba nti kale genda, mazima ossiddwako ekibonerezo mu bulamu obw'ensi, ekya tewali kukwataganako, era mazima oweereddwa ekiseera ekigere, togenda ku kyawukanako era tunula (olabe) Katondawo oyo gwe wamaliddeko ebiseera nga osinza, oluvanyuma tugenda kumumansira ddala mu mazzi olumansa.

  98. إِنَّمَآ إِلَٰهُكُمُ ٱللَّهُ ٱلَّذِي لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۚ وَسِعَ كُلَّ شَيۡءٍ عِلۡمٗا

    Open ayah 20:98

    Mazima Katonda wa mmwe ye Katonda oyo awatali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako yye, yamalayo buli kintu kyonna mu kumanya.

  99. كَذَٰلِكَ نَقُصُّ عَلَيۡكَ مِنۡ أَنۢبَآءِ مَا قَدۡ سَبَقَۚ وَقَدۡ ءَاتَيۡنَٰكَ مِن لَّدُنَّا ذِكۡرٗا

    Open ayah 20:99

    Bwe kityo tukutegeeza amawulire agakwata ku bya kulembera era mazima twakuwa okuva gye tuli ekijjukizza (Kur’ani).

  100. مَّنۡ أَعۡرَضَ عَنۡهُ فَإِنَّهُۥ يَحۡمِلُ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ وِزۡرًا 

    Open ayah 20:100

    Omuntu agyawukanako mazima agenda kwetikka ku lunaku lw'enkomerero ebibi (ayingizibwe omuliro).

  101. خَٰلِدِينَ فِيهِۖ وَسَآءَ لَهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ حِمۡلٗا 

    Open ayah 20:101

    Baakutuula mu gwo olubeerera, omugugu gwabwe ku lunaku lw'enkomerero gugenda kubeera mubi.

  102. يَوۡمَ يُنفَخُ فِي ٱلصُّورِۚ وَنَحۡشُرُ ٱلۡمُجۡرِمِينَ يَوۡمَئِذٖ زُرۡقٗا 

    Open ayah 20:102

    Olunaku engombe lwe rifuuyibwa, era ku lunaku olwo tugenda kukungaanya aboonoonyi nga amaaso gabatwaakadde.

  103. يَتَخَٰفَتُونَ بَيۡنَهُمۡ إِن لَّبِثۡتُمۡ إِلَّا عَشۡرٗا 

    Open ayah 20:103

    Baliyogeraganya mu bwama, nga bagamba nti: tetumaze ku nsi okugyako ennaku kkumi (zokka).

  104. نَّحۡنُ أَعۡلَمُ بِمَا يَقُولُونَ إِذۡ يَقُولُ أَمۡثَلُهُمۡ طَرِيقَةً إِن لَّبِثۡتُمۡ إِلَّا يَوۡمٗا 

    Open ayah 20:104

    Ffe tusinga okumanya bye boogera, mu kiseera abasinga okutegeera bwe baagamba nti temwatuula ku nsi okugyako olunaku lumu lwokka.

  105. وَيَسۡـَٔلُونَكَ عَنِ ٱلۡجِبَالِ فَقُلۡ يَنسِفُهَا رَبِّي نَسۡفٗا 

    Open ayah 20:105

    Bakubuuza ekirituuka ku nsozi, gamba nti Mukama omulabirizi wange agenda kuzisaanyaawo olusaanyawo (zibe nga enfuufu).

  106. فَيَذَرُهَا قَاعٗا صَفۡصَفٗا 

    Open ayah 20:106

    Olwo nno agireke nga museetwe nga nkalu.

  107. لَّا تَرَىٰ فِيهَا عِوَجٗا وَلَآ أَمۡتٗا 

    Open ayah 20:107

    Nga tolaba mu yo makoona wadde obutunnumba.

  108. يَوۡمَئِذٖ يَتَّبِعُونَ ٱلدَّاعِيَ لَا عِوَجَ لَهُۥۖ وَخَشَعَتِ ٱلۡأَصۡوَاتُ لِلرَّحۡمَٰنِ فَلَا تَسۡمَعُ إِلَّا هَمۡسٗا 

    Open ayah 20:108

    Olunaku olwo baligoberera omukoowooze awatali kuwalira, amaloboozi gonna negakkakkanira Katonda, togenda kuwulira mpozzi olukwakwayo (lwokka).

  109. يَوۡمَئِذٖ لَّا تَنفَعُ ٱلشَّفَٰعَةُ إِلَّا مَنۡ أَذِنَ لَهُ ٱلرَّحۡمَٰنُ وَرَضِيَ لَهُۥ قَوۡلٗا 

    Open ayah 20:109

    Ku lunaku olwo okuwolereza tekugenda kugasa, okugyako oyo Katonda omusaasizi gwaliba akkirizza era naasiima byayogera.

  110. يَعۡلَمُ مَا بَيۡنَ أَيۡدِيهِمۡ وَمَا خَلۡفَهُمۡ وَلَا يُحِيطُونَ بِهِۦ عِلۡمٗا 

    Open ayah 20:110

    (Katonda) y’amanyi ebiri mu maaso gaabwe, n'ebiri emabega waabwe ate tebayinza kubimanya nebabimalayo.

  111. ۞وَعَنَتِ ٱلۡوُجُوهُ لِلۡحَيِّ ٱلۡقَيُّومِۖ وَقَدۡ خَابَ مَنۡ حَمَلَ ظُلۡمٗا

    Open ayah 20:111

    Ebyenyi bigenda kugondera oyo (Katonda) omulamu, eyeeyimirizaawo yekka, mazima aliba aweebuuse oyo alyetikka okweyisa obubi.

  112. وَمَن يَعۡمَلۡ مِنَ ٱلصَّٰلِحَٰتِ وَهُوَ مُؤۡمِنٞ فَلَا يَخَافُ ظُلۡمٗا وَلَا هَضۡمٗا

    Open ayah 20:112

    Ate oyo akola emirimu emirongoofu nga naye mukkiriza, talitya kulyazaamaanyizibwa, era nga era bwatagenda kutya kunyigirizibwa.

  113. وَكَذَٰلِكَ أَنزَلۡنَٰهُ قُرۡءَانًا عَرَبِيّٗا وَصَرَّفۡنَا فِيهِ مِنَ ٱلۡوَعِيدِ لَعَلَّهُمۡ يَتَّقُونَ أَوۡ يُحۡدِثُ لَهُمۡ ذِكۡرٗا

    Open ayah 20:113

    Mu ngeri bwetyo, twagissa Kur’ani nga eri mu lulimi luwarabu, netunnyonnyola mu yo buli kika kya bitiisa, olwo nno babe nga batya Katonda, oba bafune okubuulirirwa.

  114. فَتَعَٰلَى ٱللَّهُ ٱلۡمَلِكُ ٱلۡحَقُّۗ وَلَا تَعۡجَلۡ بِٱلۡقُرۡءَانِ مِن قَبۡلِ أَن يُقۡضَىٰٓ إِلَيۡكَ وَحۡيُهُۥۖ وَقُل رَّبِّ زِدۡنِي عِلۡمٗا

    Open ayah 20:114

    Wa waggulu nnyo Katonda omufuzi owa mazima, (gwe Muhmmad) toyanguyiriza noosoma Kur’ani nga obubaka obukuweebwa tebunnagwayo, era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange nyongera okumanya.

  115. وَلَقَدۡ عَهِدۡنَآ إِلَىٰٓ ءَادَمَ مِن قَبۡلُ فَنَسِيَ وَلَمۡ نَجِدۡ لَهُۥ عَزۡمٗا

    Open ayah 20:115

    Era mazima twakozesa Adam oluberyeberye endagaano, kyokka neyeerabira era tetwamusangamu bunywevu (obutakola ebyo ebyamugaanibwa).

  116. وَإِذۡ قُلۡنَا لِلۡمَلَٰٓئِكَةِ ٱسۡجُدُواْ لِأٓدَمَ فَسَجَدُوٓاْ إِلَّآ إِبۡلِيسَ أَبَىٰ

    Open ayah 20:116

    Era jjukira ekiseera bwe twagamba ba Malayika nti muvunnamire Adam nebavunnama okugyako Ibuliisu (Sitane) yagaana.

  117. فَقُلۡنَا يَٰٓـَٔادَمُ إِنَّ هَٰذَا عَدُوّٞ لَّكَ وَلِزَوۡجِكَ فَلَا يُخۡرِجَنَّكُمَا مِنَ ٱلۡجَنَّةِ فَتَشۡقَىٰٓ

    Open ayah 20:117

    Netugamba nti owange Adam mazima ono (Sitane) mulabewo, era mulabe wa Mukyalawo, temukkirizanga naabafulumya mu jjana nemwonooneka.

  118. إِنَّ لَكَ أَلَّا تَجُوعَ فِيهَا وَلَا تَعۡرَىٰ

    Open ayah 20:118

    Mazima olina ggwe, obutawulira njala mu yo, (e jjana) wadde okuyita obwereere.

  119. وَأَنَّكَ لَا تَظۡمَؤُاْ فِيهَا وَلَا تَضۡحَىٰ

    Open ayah 20:119

    Era nti mazima ggwe, togenda kuwulira nyonta, nga oli mu yo wadde okwokebwa omusana.

  120. فَوَسۡوَسَ إِلَيۡهِ ٱلشَّيۡطَٰنُ قَالَ يَٰٓـَٔادَمُ هَلۡ أَدُلُّكَ عَلَىٰ شَجَرَةِ ٱلۡخُلۡدِ وَمُلۡكٖ لَّا يَبۡلَىٰ 

    Open ayah 20:120

    Sitane yamulabankanya, naamugamba nti owange Adam, abaffe nkulagirire omuti oguwa obulamu obw'olubeerera, n'obufuzi obutaggwaawo.

  121. فَأَكَلَا مِنۡهَا فَبَدَتۡ لَهُمَا سَوۡءَٰتُهُمَا وَطَفِقَا يَخۡصِفَانِ عَلَيۡهِمَا مِن وَرَقِ ٱلۡجَنَّةِۚ وَعَصَىٰٓ ءَادَمُ رَبَّهُۥ فَغَوَىٰ

    Open ayah 20:121

    Olwo nno (Adam ne Haawa) nebalya ku muti, obwereere bwabwe nebubalabikira, nebatandika okwebikka ebikoola byo mu jjana, era nekiba nti Adam yajeemera Mukama omulabiriziwe naabula.

  122. ثُمَّ ٱجۡتَبَٰهُ رَبُّهُۥ فَتَابَ عَلَيۡهِ وَهَدَىٰ

    Open ayah 20:122

    Oluvanyuma Mukama omulabiriziwe, yamusembeza nakkiriza okwenenyakwe era naamulungamya.

  123. قَالَ ٱهۡبِطَا مِنۡهَا جَمِيعَۢاۖ بَعۡضُكُمۡ لِبَعۡضٍ عَدُوّٞۖ فَإِمَّا يَأۡتِيَنَّكُم مِّنِّي هُدٗى فَمَنِ ٱتَّبَعَ هُدَايَ فَلَا يَضِلُّ وَلَا يَشۡقَىٰ

    Open ayah 20:123

    (Katonda) naagamba nti mwenna mugiveemu (mwe ababiri ne sitaane), abamu mu mmwe baliba balabe ba bannaabwe naye bwe buliba bubajjidde obulungamu, okuva gyendi oyo yenna aligoberera okulungamya kwange, tagenda kubula, wadde okwonooneka.

  124. وَمَنۡ أَعۡرَضَ عَن ذِكۡرِي فَإِنَّ لَهُۥ مَعِيشَةٗ ضَنكٗا وَنَحۡشُرُهُۥ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ أَعۡمَىٰ

    Open ayah 20:124

    Ate oyo ava ku kubuulirira kwange, mazima abeera mu bulamu obunyiga, ate ku lunaku lw'enkomerero tugenda kumuzuukiza nga muzibe.

  125. قَالَ رَبِّ لِمَ حَشَرۡتَنِيٓ أَعۡمَىٰ وَقَدۡ كُنتُ بَصِيرٗا

    Open ayah 20:125

    Aligamba nti ayi Mukama omulabirizi wange, lwaki onzuukizza nga ndi muzibe, nga ate mazima nali ndaba.

  126. قَالَ كَذَٰلِكَ أَتَتۡكَ ءَايَٰتُنَا فَنَسِيتَهَاۖ وَكَذَٰلِكَ ٱلۡيَوۡمَ تُنسَىٰ

    Open ayah 20:126

    (Katonda) naagamba nti bwe kityo, ebigambo byaffe byakujjira noobyerabira, mu ngeri y'emu olwa leero werabiddwa.

  127. وَكَذَٰلِكَ نَجۡزِي مَنۡ أَسۡرَفَ وَلَمۡ يُؤۡمِنۢ بِـَٔايَٰتِ رَبِّهِۦۚ وَلَعَذَابُ ٱلۡأٓخِرَةِ أَشَدُّ وَأَبۡقَىٰٓ

    Open ayah 20:127

    Bwe kityo bwe tusasula oyo eyayonoona naatakkiriza bigambo bya Mukama omulabiriziwe, ate nga lubeerera ebibonerezo by'o ku lunaku lw'enkomerero, bye bisinga obukakali era bye by'olubeerera.

  128. أَفَلَمۡ يَهۡدِ لَهُمۡ كَمۡ أَهۡلَكۡنَا قَبۡلَهُم مِّنَ ٱلۡقُرُونِ يَمۡشُونَ فِي مَسَٰكِنِهِمۡۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّأُوْلِي ٱلنُّهَىٰ

    Open ayah 20:128

    Abaffe tekibayigiriza, eky'okuba nti emirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwabwe (bano), nga batambula mu bitundu bya bali (betwazikiriza) mazima mu ekyo mulimu eby'okuyiga eri ab'amagezi.

  129. وَلَوۡلَا كَلِمَةٞ سَبَقَتۡ مِن رَّبِّكَ لَكَانَ لِزَامٗا وَأَجَلٞ مُّسَمّٗى

    Open ayah 20:129

    Era singa si kigambo ekyakulembera nga kyava ewa Mukama omulabiriziwo, era singa tekiri nti entuuko ya buli omu ngere olwo kyandibadde kikakafu (okubazikiriza).

  130. فَٱصۡبِرۡ عَلَىٰ مَا يَقُولُونَ وَسَبِّحۡ بِحَمۡدِ رَبِّكَ قَبۡلَ طُلُوعِ ٱلشَّمۡسِ وَقَبۡلَ غُرُوبِهَاۖ وَمِنۡ ءَانَآيِٕ ٱلَّيۡلِ فَسَبِّحۡ وَأَطۡرَافَ ٱلنَّهَارِ لَعَلَّكَ تَرۡضَىٰ 

    Open ayah 20:130

    Kale nno gumiikiriza ku ebyo bye boogera, era otendereze ebitendo bya Mukama omulabiriziwo, nga enjuba tennavaayo n'era nga tennagwa, era ne mu kiseera ky'ekiro mutendereze ne ku ssaawa ez'emisana olwo nno obeere mu basiima.

  131. وَلَا تَمُدَّنَّ عَيۡنَيۡكَ إِلَىٰ مَا مَتَّعۡنَا بِهِۦٓ أَزۡوَٰجٗا مِّنۡهُمۡ زَهۡرَةَ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا لِنَفۡتِنَهُمۡ فِيهِۚ وَرِزۡقُ رَبِّكَ خَيۡرٞ وَأَبۡقَىٰ

    Open ayah 20:131

    Era totunuzanga amaaso go eri ebyo bye tweyagaza nabyo abaafumbiriganwa mu bo (abakaafiiri), nga bya kwewunda bya bulamu bwansi, tubakeme nabyo. Era bulijjo okugabirira kwa Mukama omulabiriziwo kwe kusinga obulungi era kwe kw'olubeerera.

  132. وَأۡمُرۡ أَهۡلَكَ بِٱلصَّلَوٰةِ وَٱصۡطَبِرۡ عَلَيۡهَاۖ لَا نَسۡـَٔلُكَ رِزۡقٗاۖ نَّحۡنُ نَرۡزُقُكَۗ وَٱلۡعَٰقِبَةُ لِلتَّقۡوَىٰ

    Open ayah 20:132

    Era lagira abantu bo okusaala, era ogumiikirize ku kwo (okusaala), tetukusaba nti weegabirire, ffe tukugabirira. Enkomerero eri mu kutya Katonda.

  133. وَقَالُواْ لَوۡلَا يَأۡتِينَا بِـَٔايَةٖ مِّن رَّبِّهِۦٓۚ أَوَلَمۡ تَأۡتِهِم بَيِّنَةُ مَا فِي ٱلصُّحُفِ ٱلۡأُولَىٰ

    Open ayah 20:133

    Era (abakaafiiri) bagamba nti singa atuleetera akabonero okuva ewa Mukama omulabiriziwe, naye abaffe tebwabajjira obunnyonnyofu, bw'ebyo obuli mu bitabo ebyasooka.

  134. وَلَوۡ أَنَّآ أَهۡلَكۡنَٰهُم بِعَذَابٖ مِّن قَبۡلِهِۦ لَقَالُواْ رَبَّنَا لَوۡلَآ أَرۡسَلۡتَ إِلَيۡنَا رَسُولٗا فَنَتَّبِعَ ءَايَٰتِكَ مِن قَبۡلِ أَن نَّذِلَّ وَنَخۡزَىٰ

    Open ayah 20:134

    Era singa twabazikiriza n'ebibonerezo oluberyeberyelwe, (Nabbi Muhammad nga tannatumwa) bandigambye nti ayi Mukama omulabirizi waffe, singa watutumira omubaka, olwo nno netugoberera ebigambo byo, netutatuuka ku kukkakkanyizibwa netuswaala.

  135. قُلۡ كُلّٞ مُّتَرَبِّصٞ فَتَرَبَّصُواْۖ فَسَتَعۡلَمُونَ مَنۡ أَصۡحَٰبُ ٱلصِّرَٰطِ ٱلسَّوِيِّ وَمَنِ ٱهۡتَدَىٰ

    Open ayah 20:135

    Gamba nti buli omu alindiridde, kale mulindirire, lumu mulimanya, baani abaali ku kkubo eggolokofu, era ani yalungama.