مريم
Maryam
Translation: Luganda - African Institution · Open the surah
بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ
كٓهيعٓصٓ
Open ayah 19:1Kaaf Haa Yaa Ain Swad.
ذِكۡرُ رَحۡمَتِ رَبِّكَ عَبۡدَهُۥ زَكَرِيَّآ
Open ayah 19:2Okwogera ku kusaasira kwa Mukama Omulabiriziwo kwe yawa omudduwe Zakaria.
إِذۡ نَادَىٰ رَبَّهُۥ نِدَآءً خَفِيّٗا
Open ayah 19:3Mu kiseera bwe yasaba Mukama Omulabiriziwe okusaba okw'ekyama.
قَالَ رَبِّ إِنِّي وَهَنَ ٱلۡعَظۡمُ مِنِّي وَٱشۡتَعَلَ ٱلرَّأۡسُ شَيۡبٗا وَلَمۡ أَكُنۢ بِدُعَآئِكَ رَبِّ شَقِيّٗا
Open ayah 19:4Naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange, mazima nze amagumba gannyenjebuse, n'omutwe gubunye envi, ate nga ssirekererwangako ayi Mukama Omulabirizi wange buli lwe nkusaba.
وَإِنِّي خِفۡتُ ٱلۡمَوَٰلِيَ مِن وَرَآءِي وَكَانَتِ ٱمۡرَأَتِي عَاقِرٗا فَهَبۡ لِي مِن لَّدُنكَ وَلِيّٗا
Open ayah 19:5Era mazima nze, nneekengedde ab'omusaayi gwange (bayinza okweyisa obubi) oluvanyuma lwange, ate nga ne Mukyala wange mugumba awo nno nkusaba ompe okuva gyoli omwana.
يَرِثُنِي وَيَرِثُ مِنۡ ءَالِ يَعۡقُوبَۖ وَٱجۡعَلۡهُ رَبِّ رَضِيّٗا
Open ayah 19:6Anaansikira, era asikire ab'olulyo lwa Yakubu, era omufuule asiimibwa ayi Mukama Omulabirizi wange.
يَٰزَكَرِيَّآ إِنَّا نُبَشِّرُكَ بِغُلَٰمٍ ٱسۡمُهُۥ يَحۡيَىٰ لَمۡ نَجۡعَل لَّهُۥ مِن قَبۡلُ سَمِيّٗا
Open ayah 19:7(Naayanukulwa nti) owange Zakaria mazima ffe tukuwa amawulire ag'essanyu nti ogenda kufuna omwana omulenzi, nga erinya lye ye Yahaya (erinnya) lye tutassangawo oluberyeberye aliyitibwa.
قَالَ رَبِّ أَنَّىٰ يَكُونُ لِي غُلَٰمٞ وَكَانَتِ ٱمۡرَأَتِي عَاقِرٗا وَقَدۡ بَلَغۡتُ مِنَ ٱلۡكِبَرِ عِتِيّٗا
Open ayah 19:8(Zakaria) naagamba nti omwana omulenzi (oyo) nnaamufuna ntya, nga Mukyala wange mugumba nga n’olwo bukadde nfuuse mugogge!.
قَالَ كَذَٰلِكَ قَالَ رَبُّكَ هُوَ عَلَيَّ هَيِّنٞ وَقَدۡ خَلَقۡتُكَ مِن قَبۡلُ وَلَمۡ تَكُ شَيۡـٔٗا
Open ayah 19:9(Malayika) naagamba nti (bwe kityo bwe kirina okuba), Mukama Omulabiriziwo agambye nti: ekyo ku nze kyangu era mazima nakutonda nga mu kusooka tewali kintu kyonna.
قَالَ رَبِّ ٱجۡعَل لِّيٓ ءَايَةٗۖ قَالَ ءَايَتُكَ أَلَّا تُكَلِّمَ ٱلنَّاسَ ثَلَٰثَ لَيَالٖ سَوِيّٗا
Open ayah 19:10(Zakaria) naagamba nti ayi Mukama Omulabirizi wange nteeraawo akabonero (akanaalaga nti omukyala ali lubuto) naamugamba nti bwe butayogera na bantu okumala ebiro bisatu ebijjudde (awamu n'okuba nga oli mulamu).
فَخَرَجَ عَلَىٰ قَوۡمِهِۦ مِنَ ٱلۡمِحۡرَابِ فَأَوۡحَىٰٓ إِلَيۡهِمۡ أَن سَبِّحُواْ بُكۡرَةٗ وَعَشِيّٗا
Open ayah 19:11Awo nno yafuluma, naasisinkana abantu be nga ava mu ssinzizo naabalagira (nga tayogera, wabula nga akozesa bubonero) nti muteendereze, (Katonda) enkya n'olweggulo.
يَٰيَحۡيَىٰ خُذِ ٱلۡكِتَٰبَ بِقُوَّةٖۖ وَءَاتَيۡنَٰهُ ٱلۡحُكۡمَ صَبِيّٗا
Open ayah 19:12(Yahaya naalagirwa nti) owange Yahaya ekitabo (Tawurat) kikwate na maanyi, era twamuwa okumanya ensonga nga akyali muto.
وَحَنَانٗا مِّن لَّدُنَّا وَزَكَوٰةٗۖ وَكَانَ تَقِيّٗا
Open ayah 19:13Era twamussaawo nga kulumirwa (bantu) okuva gye tuli era nga butukuvu, era yali mutya Katonda.
وَبَرَّۢا بِوَٰلِدَيۡهِ وَلَمۡ يَكُن جَبَّارًا عَصِيّٗا
Open ayah 19:14Era nga yayisa bulungi bakaddebe bombi era tabangako mwekuluntaze omujeemu.
وَسَلَٰمٌ عَلَيۡهِ يَوۡمَ وُلِدَ وَيَوۡمَ يَمُوتُ وَيَوۡمَ يُبۡعَثُ حَيّٗا
Open ayah 19:15Era emirembe gibeere ku ye olunaku lwe yazaalibwa, n'olunaku lwalifa, n'olunaku lwalizuukizibwa nga mulamu.
وَٱذۡكُرۡ فِي ٱلۡكِتَٰبِ مَرۡيَمَ إِذِ ٱنتَبَذَتۡ مِنۡ أَهۡلِهَا مَكَانٗا شَرۡقِيّٗا
Open ayah 19:16Era yogera nga ojja mu kitabo (Kur’ani ebikwata ku) Mariam bwe yeesamba abantube nadda ku ludda olw'ebuvanjuba.
فَٱتَّخَذَتۡ مِن دُونِهِمۡ حِجَابٗا فَأَرۡسَلۡنَآ إِلَيۡهَا رُوحَنَا فَتَمَثَّلَ لَهَا بَشَرٗا سَوِيّٗا
Open ayah 19:17Naateekawo olutimbe baleme kumulaba awo nno twamutumira mwoyo waffe (Jiburilu) naamweyoleka nga muntu ddala.
قَالَتۡ إِنِّيٓ أَعُوذُ بِٱلرَّحۡمَٰنِ مِنكَ إِن كُنتَ تَقِيّٗا
Open ayah 19:18(Mariam) naagamba nti nsaba Mukama Katonda Omusaasizi akuntaaseeko bwoba nga otya Katonda (ndeka tonsemberera).
قَالَ إِنَّمَآ أَنَا۠ رَسُولُ رَبِّكِ لِأَهَبَ لَكِ غُلَٰمٗا زَكِيّٗا
Open ayah 19:19(Malayika) naamugamba nti mazima nze ndi mubaka okuva ewa Mukama Omulabiriziwo nkuleetedde omwana omulenzi omutukuvu.
قَالَتۡ أَنَّىٰ يَكُونُ لِي غُلَٰمٞ وَلَمۡ يَمۡسَسۡنِي بَشَرٞ وَلَمۡ أَكُ بَغِيّٗا
Open ayah 19:20Mariam naagamba nti nyinza ntya okufuna omwana nga tewali muntu yankutteko, ate nga sibangako malaaya!.
قَالَ كَذَٰلِكِ قَالَ رَبُّكِ هُوَ عَلَيَّ هَيِّنٞۖ وَلِنَجۡعَلَهُۥٓ ءَايَةٗ لِّلنَّاسِ وَرَحۡمَةٗ مِّنَّاۚ وَكَانَ أَمۡرٗا مَّقۡضِيّٗا
Open ayah 19:21(Malayika naagamba nti) bwe kityo bwe kirina okuba, Mukama Omulabiriziwo agambye nti kyo ku nze kyangu. Era tube nga tumufuula akabonero eri abantu (akalaga obuyinza bwa Katonda), era nga kusaasira okuva gye tuli, era kyali ekigambo ekyasalibwawo (edda).
۞فَحَمَلَتۡهُ فَٱنتَبَذَتۡ بِهِۦ مَكَانٗا قَصِيّٗا
Open ayah 19:22(Mariam) n'aba olubuto lwa Issa, neyeesamba nalwo okuva mu bantu okulaga eri ekifo ekyesudde.
فَأَجَآءَهَا ٱلۡمَخَاضُ إِلَىٰ جِذۡعِ ٱلنَّخۡلَةِ قَالَتۡ يَٰلَيۡتَنِي مِتُّ قَبۡلَ هَٰذَا وَكُنتُ نَسۡيٗا مَّنسِيّٗا
Open ayah 19:23Awo nno ebisa nebimusindiikiriza naasibira wansi w'omutende, naagamba nti, ndabye nze singa nnafa nga kino tekinnabaawo nemba ekyerabiddwa ekitakyafiibwako.
فَنَادَىٰهَا مِن تَحۡتِهَآ أَلَّا تَحۡزَنِي قَدۡ جَعَلَ رَبُّكِ تَحۡتَكِ سَرِيّٗا
Open ayah 19:24(Malayika) naamukoowoola nga asinziira wansi we nti tonakuwala, mazima Mukama omulabiriziwo atadde wansi wo omwaala.
وَهُزِّيٓ إِلَيۡكِ بِجِذۡعِ ٱلنَّخۡلَةِ تُسَٰقِطۡ عَلَيۡكِ رُطَبٗا جَنِيّٗا
Open ayah 19:25Weenyenyeze omutende gujja kukusuulira entende embisi, ezituuse okunoga.
فَكُلِي وَٱشۡرَبِي وَقَرِّي عَيۡنٗاۖ فَإِمَّا تَرَيِنَّ مِنَ ٱلۡبَشَرِ أَحَدٗا فَقُولِيٓ إِنِّي نَذَرۡتُ لِلرَّحۡمَٰنِ صَوۡمٗا فَلَنۡ أُكَلِّمَ ٱلۡيَوۡمَ إِنسِيّٗا
Open ayah 19:26Olwo nno, lya ku (ntende) era onywe ku (mwaala) otebenkere amaaso (obeere bulungi), wonna woolabira omuntu yenna, ggwe mugambe nti neeyamye ku lwa Katonda Omusaasizi okusirika, ssigenda kwogera na muntu yenna olwa leero.
فَأَتَتۡ بِهِۦ قَوۡمَهَا تَحۡمِلُهُۥۖ قَالُواْ يَٰمَرۡيَمُ لَقَدۡ جِئۡتِ شَيۡـٔٗا فَرِيّٗا
Open ayah 19:27Naamuleeta eri abantube nga amusitudde nebagamba nti owange Mariam mazima okoze ekintu ekisasamaza.
يَٰٓأُخۡتَ هَٰرُونَ مَا كَانَ أَبُوكِ ٱمۡرَأَ سَوۡءٖ وَمَا كَانَتۡ أُمُّكِ بَغِيّٗا
Open ayah 19:28Owange mwannyina wa Haruna, Kitaawo tabangako muntu mukozi wa kibi, era ne Maamawo tabangako Malaaya!.
فَأَشَارَتۡ إِلَيۡهِۖ قَالُواْ كَيۡفَ نُكَلِّمُ مَن كَانَ فِي ٱلۡمَهۡدِ صَبِيّٗا
Open ayah 19:29(Mariam) naasonga ku mwana, (bali) nebagamba tuyinza tutya okwogera n'omwana ali ku kaali omuwere.
قَالَ إِنِّي عَبۡدُ ٱللَّهِ ءَاتَىٰنِيَ ٱلۡكِتَٰبَ وَجَعَلَنِي نَبِيّٗا
Open ayah 19:30(Omwana) naagamba nti mazima nze ndi muddu wa Katonda, ampadde ekitabo (enjiri) era nanfuula Nabbi.
وَجَعَلَنِي مُبَارَكًا أَيۡنَ مَا كُنتُ وَأَوۡصَٰنِي بِٱلصَّلَوٰةِ وَٱلزَّكَوٰةِ مَا دُمۡتُ حَيّٗا
Open ayah 19:31Era nanfuula ow'omukisa wonna wennabanga, era ankuutidde okusaala, n'okutoola Zakka, ebbanga lye nnaamala nga ndi mulamu.
وَبَرَّۢا بِوَٰلِدَتِي وَلَمۡ يَجۡعَلۡنِي جَبَّارٗا شَقِيّٗا
Open ayah 19:32Era (ankuutidde) okuyisa obulungi Maama wange, era tanfudde eyeekuza, omwonoonefu.
وَٱلسَّلَٰمُ عَلَيَّ يَوۡمَ وُلِدتُّ وَيَوۡمَ أَمُوتُ وَيَوۡمَ أُبۡعَثُ حَيّٗا
Open ayah 19:33Era emirembe gibeere ku nze olunaku lwe nnazaalibwa, n'olunaku lwe ndifa, n'olunaku lwe ndizuukizibwa nemba omulamu.
ذَٰلِكَ عِيسَى ٱبۡنُ مَرۡيَمَۖ قَوۡلَ ٱلۡحَقِّ ٱلَّذِي فِيهِ يَمۡتَرُونَ
Open ayah 19:34Oyo ye Issa Mutabani wa Mariam, ekigambo eky'amazima ekyo (abeeyita abagoberezibe) kye babuusabuusa.
مَا كَانَ لِلَّهِ أَن يَتَّخِذَ مِن وَلَدٖۖ سُبۡحَٰنَهُۥٓۚ إِذَا قَضَىٰٓ أَمۡرٗا فَإِنَّمَا يَقُولُ لَهُۥ كُن فَيَكُونُ
Open ayah 19:35Katonda tekimusaanira kweteerawo mwana. Anti yye musukkulumu (ku buli kintu), bwasalawo ekintu mazima akigamba nti ba, nekiba.
وَإِنَّ ٱللَّهَ رَبِّي وَرَبُّكُمۡ فَٱعۡبُدُوهُۚ هَٰذَا صِرَٰطٞ مُّسۡتَقِيمٞ
Open ayah 19:36Era mazima ddala Katonda ye Mukama omulabirizi wange, era Omulabirizi wa mmwe, kale mumusinze, eryo ly'ekkubo eggolokofu.
فَٱخۡتَلَفَ ٱلۡأَحۡزَابُ مِنۢ بَيۡنِهِمۡۖ فَوَيۡلٞ لِّلَّذِينَ كَفَرُواْ مِن مَّشۡهَدِ يَوۡمٍ عَظِيمٍ
Open ayah 19:37Wabula ebibiina bya bantu byayawukana (ku nsonga ya Issa), n'olwekyo okubonaabona kugenda kubeera ku abo abaakaafuwala (nebabikka amazima agakwata ku Issa) ku lunaku olunene abantu bonna lwe balibaako.
أَسۡمِعۡ بِهِمۡ وَأَبۡصِرۡ يَوۡمَ يَأۡتُونَنَا لَٰكِنِ ٱلظَّٰلِمُونَ ٱلۡيَوۡمَ فِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٖ
Open ayah 19:38Bagenda kuba nga bawulira nnyo era nga balaba nnyo, olunaku lwe balitujjira naye abeeyisa obubi olwa leero (kuno ku nsi) bali mu bubuze obw'olwatu
وَأَنذِرۡهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡحَسۡرَةِ إِذۡ قُضِيَ ٱلۡأَمۡرُ وَهُمۡ فِي غَفۡلَةٖ وَهُمۡ لَا يُؤۡمِنُونَ
Open ayah 19:39Batiise (Ggwe Muhammad) olunaku lw'okwejjusa mu kiseera ekigambo lwe kirisalibwawo, (abalongoofu bayingire e jjana aboonoonyi bayingire omuliro), wabula bo olwa leero bali mu bugayaavu era bbo tebakkiriza.
إِنَّا نَحۡنُ نَرِثُ ٱلۡأَرۡضَ وَمَنۡ عَلَيۡهَا وَإِلَيۡنَا يُرۡجَعُونَ
Open ayah 19:40Mazima ffe, ffe tulisikira ensi n'abagiriko era gye tuli gye balizzibwa.
وَٱذۡكُرۡ فِي ٱلۡكِتَٰبِ إِبۡرَٰهِيمَۚ إِنَّهُۥ كَانَ صِدِّيقٗا نَّبِيًّا
Open ayah 19:41Era yogera nga ojja mu kitabo (kino Kur’ani) ebikwata ku Ibrahim, mazima yye yali mukkiriza ow'amazima era nga Nabbi.
إِذۡ قَالَ لِأَبِيهِ يَٰٓأَبَتِ لِمَ تَعۡبُدُ مَا لَا يَسۡمَعُ وَلَا يُبۡصِرُ وَلَا يُغۡنِي عَنكَ شَيۡـٔٗا
Open ayah 19:42Mujjukire (Ibrahim) bwe yagamba Kitaawe nti owange Taata lwaki osinza ebitawulira, era ebitalaba, era ebitayinza kukugasa mu kintu kyonna.
يَٰٓأَبَتِ إِنِّي قَدۡ جَآءَنِي مِنَ ٱلۡعِلۡمِ مَا لَمۡ يَأۡتِكَ فَٱتَّبِعۡنِيٓ أَهۡدِكَ صِرَٰطٗا سَوِيّٗا
Open ayah 19:43Owange Taata mazima nze nzigyiddwa okumanya okutaakujjira, n'olwekyo ngoberera, nja kukulungamya ku kkubo eggolokofu.
يَٰٓأَبَتِ لَا تَعۡبُدِ ٱلشَّيۡطَٰنَۖ إِنَّ ٱلشَّيۡطَٰنَ كَانَ لِلرَّحۡمَٰنِ عَصِيّٗا
Open ayah 19:44Owange Taata tosinzanga Sitane, mazima Sitane yajeemera Katonda omusaasizi.
يَٰٓأَبَتِ إِنِّيٓ أَخَافُ أَن يَمَسَّكَ عَذَابٞ مِّنَ ٱلرَّحۡمَٰنِ فَتَكُونَ لِلشَّيۡطَٰنِ وَلِيّٗا
Open ayah 19:45Owange Taata mazima nze ntya ebibonerezo okuva ewa Katonda omusaasizi okukutuukako, olwo n'oba mukwano gwa Sitane.
قَالَ أَرَاغِبٌ أَنتَ عَنۡ ءَالِهَتِي يَٰٓإِبۡرَٰهِيمُۖ لَئِن لَّمۡ تَنتَهِ لَأَرۡجُمَنَّكَۖ وَٱهۡجُرۡنِي مَلِيّٗا
Open ayah 19:46(Kitaawe) naagamba nti owange Ibrahim oyagala kuva ku ba Katonda bange, bwotookikomye nja kukukuba amayinja, nviira mangu ssaagala kukulaba.
قَالَ سَلَٰمٌ عَلَيۡكَۖ سَأَسۡتَغۡفِرُ لَكَ رَبِّيٓۖ إِنَّهُۥ كَانَ بِي حَفِيّٗا
Open ayah 19:47Ibrahim naagamba nti emirembe gibe ku ggwe, nja kwegayirira Mukama Omulabirizi wange akusonyiwe, mazima yye bulijjo annumirwa.
وَأَعۡتَزِلُكُمۡ وَمَا تَدۡعُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ وَأَدۡعُواْ رَبِّي عَسَىٰٓ أَلَّآ أَكُونَ بِدُعَآءِ رَبِّي شَقِيّٗا
Open ayah 19:48Nja kubaviira (mbaleke) n'ebyo bye musinza nemuva ku Katonda era nja kusaba Mukama Omulabirizi wange, nkakasa siyinza kuba mwonoonefu olw'okusinza Mukama Omulabirizi wange.
فَلَمَّا ٱعۡتَزَلَهُمۡ وَمَا يَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ وَهَبۡنَا لَهُۥٓ إِسۡحَٰقَ وَيَعۡقُوبَۖ وَكُلّٗا جَعَلۡنَا نَبِيّٗا
Open ayah 19:49Bwe yabaviira naabaleka n'ebyo bye basinza nebalekawo Katonda, twamugabira Ishak, ne Yakubu buli omu ku bombi twamufuula Nabbi.
وَوَهَبۡنَا لَهُم مِّن رَّحۡمَتِنَا وَجَعَلۡنَا لَهُمۡ لِسَانَ صِدۡقٍ عَلِيّٗا
Open ayah 19:50Era twabagabira okuva mu kusaasira kwaffe, netubateerawo okwogerwako okw'amazima okubafuula ab'awaggulu.
وَٱذۡكُرۡ فِي ٱلۡكِتَٰبِ مُوسَىٰٓۚ إِنَّهُۥ كَانَ مُخۡلَصٗا وَكَانَ رَسُولٗا نَّبِيّٗا
Open ayah 19:51Yogera mu Kitabo (Kur’ani) ebikwata ku Musa, mazima yye yali mulondemu, era yali mubaka era Nabbi.
وَنَٰدَيۡنَٰهُ مِن جَانِبِ ٱلطُّورِ ٱلۡأَيۡمَنِ وَقَرَّبۡنَٰهُ نَجِيّٗا
Open ayah 19:52Twamukoowoola ku ludda olwa ddyo olw'olusozi (Sinai), netumusembeza nga twogera naye.
وَوَهَبۡنَا لَهُۥ مِن رَّحۡمَتِنَآ أَخَاهُ هَٰرُونَ نَبِيّٗا
Open ayah 19:53Era netumuwa okuva mu kusasira kwaffe Mugandawe Haruna nga (naye) Nabbi.
وَٱذۡكُرۡ فِي ٱلۡكِتَٰبِ إِسۡمَٰعِيلَۚ إِنَّهُۥ كَانَ صَادِقَ ٱلۡوَعۡدِ وَكَانَ رَسُولٗا نَّبِيّٗا
Open ayah 19:54Era yogera nga ojja mu Kitabo (Kur’ani) ebikwata ku Ismail, mazima yye yali mutuukiriza wa ndagaano, era yali Mubaka nga Nabbi.
وَكَانَ يَأۡمُرُ أَهۡلَهُۥ بِٱلصَّلَوٰةِ وَٱلزَّكَوٰةِ وَكَانَ عِندَ رَبِّهِۦ مَرۡضِيّٗا
Open ayah 19:55Yalinga alagira abantu be okusaala n'okutoola Zakka. Era bulijjo nga asiimwa ewa Mukama Omulabiriziwe.
وَٱذۡكُرۡ فِي ٱلۡكِتَٰبِ إِدۡرِيسَۚ إِنَّهُۥ كَانَ صِدِّيقٗا نَّبِيّٗا
Open ayah 19:56Era yogera nga ojja mu kitabo (Kur’ani) ebikwata ku Idrisa, mazima yye yali musuffu mu mazima nga Nabbi.
وَرَفَعۡنَٰهُ مَكَانًا عَلِيًّا
Open ayah 19:57Era twamusitula netumuwa ekifo ekya waggulu.
أُوْلَٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ أَنۡعَمَ ٱللَّهُ عَلَيۡهِم مِّنَ ٱلنَّبِيِّـۧنَ مِن ذُرِّيَّةِ ءَادَمَ وَمِمَّنۡ حَمَلۡنَا مَعَ نُوحٖ وَمِن ذُرِّيَّةِ إِبۡرَٰهِيمَ وَإِسۡرَٰٓءِيلَ وَمِمَّنۡ هَدَيۡنَا وَٱجۡتَبَيۡنَآۚ إِذَا تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتُ ٱلرَّحۡمَٰنِ خَرُّواْۤ سُجَّدٗاۤ وَبُكِيّٗا۩
Open ayah 19:58Abo beebo Katonda beyagabira ebyengera mu ba Nabbi nga bava mu bazzukulu ba Adam, ne mu abo betwatwala ne Nuhu mu lyato, ne mu bazzukulu ba Ibrahim, ne Israil ne mu abo betwalungamya, era netubaawula. Ebigambo bya Katonda omusaasizi buli lwe byabasomerwanga bakkanga wansi nga bavunnama era nga bakaaba.
۞فَخَلَفَ مِنۢ بَعۡدِهِمۡ خَلۡفٌ أَضَاعُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَٱتَّبَعُواْ ٱلشَّهَوَٰتِۖ فَسَوۡفَ يَلۡقَوۡنَ غَيًّا
Open ayah 19:59Olwo nno oluvanyuma lwabwe wajjayo abaabaddira mu bigere, abataafa ku sswala, era nebagoberera eby'obwagazi, luliba lumu bagenda kusisinkana okufaafaaganirwa n'okuzikirira.
إِلَّا مَن تَابَ وَءَامَنَ وَعَمِلَ صَٰلِحٗا فَأُوْلَٰٓئِكَ يَدۡخُلُونَ ٱلۡجَنَّةَ وَلَا يُظۡلَمُونَ شَيۡـٔٗا
Open ayah 19:60Okugyako oyo eyeenenya, era nakkiriza era naakola emirimu emirongoofu, abo bagenda kuyingira e jjana era tebagenda kulyazaamaanyizibwa kintu kyonna.
جَنَّٰتِ عَدۡنٍ ٱلَّتِي وَعَدَ ٱلرَّحۡمَٰنُ عِبَادَهُۥ بِٱلۡغَيۡبِۚ إِنَّهُۥ كَانَ وَعۡدُهُۥ مَأۡتِيّٗا
Open ayah 19:61(Baliyingira) e jjana ez'olubeerera, ezo Katonda omusaasizi ze yalagaanyisa abaddube nga tebazirabyeko, mazima endagaano ye erina kutuukirira.
لَّا يَسۡمَعُونَ فِيهَا لَغۡوًا إِلَّا سَلَٰمٗاۖ وَلَهُمۡ رِزۡقُهُمۡ فِيهَا بُكۡرَةٗ وَعَشِيّٗا
Open ayah 19:62Tebagenda kuwulira mu yo (e jjana) luyoogaano wabula (baliwulira) bigambo bya mirembe byereere baliweebwa riziki yaabwe mu yo enkya n'olweggulo.
تِلۡكَ ٱلۡجَنَّةُ ٱلَّتِي نُورِثُ مِنۡ عِبَادِنَا مَن كَانَ تَقِيّٗا
Open ayah 19:63Eyo ye jjana, eyo gye tulisikiza, abamu ku baddu baffe, oyo eyali atya Katonda.
وَمَا نَتَنَزَّلُ إِلَّا بِأَمۡرِ رَبِّكَۖ لَهُۥ مَا بَيۡنَ أَيۡدِينَا وَمَا خَلۡفَنَا وَمَا بَيۡنَ ذَٰلِكَۚ وَمَا كَانَ رَبُّكَ نَسِيّٗا
Open ayah 19:64Era ffe (ba Malayika) tetukka okugyako lwa kiragiro kya Mukama Omulabiriziwo, bibye byonna ebiri mu maaso gaffe n'ebiri emabega waffe, n’ebyo ebiri wakati wa byombi era Mukama omulabiriziwo tabeerangako eyeerabira.
رَّبُّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَا فَٱعۡبُدۡهُ وَٱصۡطَبِرۡ لِعِبَٰدَتِهِۦۚ هَلۡ تَعۡلَمُ لَهُۥ سَمِيّٗا
Open ayah 19:65(Katonda) ye Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi, n'ebyo ebiri wakati wa byombi kale nno musinze ogumiikirize ku kumusinza (bwotokola ekyo) abaffe omanyiiyo amufaanana?.
وَيَقُولُ ٱلۡإِنسَٰنُ أَءِذَا مَا مِتُّ لَسَوۡفَ أُخۡرَجُ حَيًّا
Open ayah 19:66Omuntu agamba nti bwendiba nfudde ate ndiggyibwa (mu ntaana) nga ndi mulamu!.
أَوَلَا يَذۡكُرُ ٱلۡإِنسَٰنُ أَنَّا خَلَقۡنَٰهُ مِن قَبۡلُ وَلَمۡ يَكُ شَيۡـٔٗا
Open ayah 19:67Abaffe omuntu tajjukira nti mazima ffe twamutonda omulundi ogwasooka nga yali tabangako kintu kyonna.
فَوَرَبِّكَ لَنَحۡشُرَنَّهُمۡ وَٱلشَّيَٰطِينَ ثُمَّ لَنُحۡضِرَنَّهُمۡ حَوۡلَ جَهَنَّمَ جِثِيّٗا
Open ayah 19:68N'olwekyo ndayidde Mukama omulabiriziwo, ddala tugenda kubazuukiza ne (Sitane) nazo tuzizuukize, oluvanyuma tugenda kubaleetera ddala awali omuliro Jahannama nga bakutaamiridde.
ثُمَّ لَنَنزِعَنَّ مِن كُلِّ شِيعَةٍ أَيُّهُمۡ أَشَدُّ عَلَى ٱلرَّحۡمَٰنِ عِتِيّٗا
Open ayah 19:69Oluvanyuma ddala tugenda kuggya mu buli kibiina buli yenna eyali asinga okwewaggula ku Katonda ow'ekisa ekingi.
ثُمَّ لَنَحۡنُ أَعۡلَمُ بِٱلَّذِينَ هُمۡ أَوۡلَىٰ بِهَا صِلِيّٗا
Open ayah 19:70Oluvanyuma ffe tuliba tumanyi nnyo abo abasinga okusaanira okugwesogga.
وَإِن مِّنكُمۡ إِلَّا وَارِدُهَاۚ كَانَ عَلَىٰ رَبِّكَ حَتۡمٗا مَّقۡضِيّٗا
Open ayah 19:71Tewali n'omu yenna ku mmwe okugyako w'a kuguyitako, ekyo ku Mukama omulabiriziwo kikakafu ekyaggwa edda.
ثُمَّ نُنَجِّي ٱلَّذِينَ ٱتَّقَواْ وَّنَذَرُ ٱلظَّٰلِمِينَ فِيهَا جِثِيّٗا
Open ayah 19:72Oluvanyuma tuliwonya abo abatya Katonda, olwo nno tuleke mu gwo abeeyisa obubi nga bagangalamye.
وَإِذَا تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتُنَا بَيِّنَٰتٖ قَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لِلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ أَيُّ ٱلۡفَرِيقَيۡنِ خَيۡرٞ مَّقَامٗا وَأَحۡسَنُ نَدِيّٗا
Open ayah 19:73Bwe bisomebwa ku bo ebigambo byaffe nga binnyonnyofu, abo abaakaafuwala bagamba abo abakkiriza, nti ku bibiina ebibiri kiriwa ekirina ekifo ekirungi? era abalina enkungaana ezisinga obulungi.
وَكَمۡ أَهۡلَكۡنَا قَبۡلَهُم مِّن قَرۡنٍ هُمۡ أَحۡسَنُ أَثَٰثٗا وَرِءۡيٗا
Open ayah 19:74Mirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwa bwe, nga abo be baali basinza ebintu ebirungi nendabika ennungi.
قُلۡ مَن كَانَ فِي ٱلضَّلَٰلَةِ فَلۡيَمۡدُدۡ لَهُ ٱلرَّحۡمَٰنُ مَدًّاۚ حَتَّىٰٓ إِذَا رَأَوۡاْ مَا يُوعَدُونَ إِمَّا ٱلۡعَذَابَ وَإِمَّا ٱلسَّاعَةَ فَسَيَعۡلَمُونَ مَنۡ هُوَ شَرّٞ مَّكَانٗا وَأَضۡعَفُ جُندٗا
Open ayah 19:75Bagambe nti oyo yenna abeera mu bubuze, Katonda omusaasizi amulindiriza olulindiriza, okutuusa nga balabye bye baalagaanyisibwa, kabibe bibonerezo oba essaawa ey'enkomerero olwo nno bagenda kumanya ani alina ekifo ekibi era ani alina eggye erinafu.
وَيَزِيدُ ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ ٱهۡتَدَوۡاْ هُدٗىۗ وَٱلۡبَٰقِيَٰتُ ٱلصَّٰلِحَٰتُ خَيۡرٌ عِندَ رَبِّكَ ثَوَابٗا وَخَيۡرٞ مَّرَدًّا
Open ayah 19:76Ate abo abaalungama Katonda abongera bulungamu, byo ebisigalawo ebirungi y'empeera esinga obulungi ewa Mukama omulabiriziwo, eyo nga mpeera era nga bwe buddo obusinga obulungi.
أَفَرَءَيۡتَ ٱلَّذِي كَفَرَ بِـَٔايَٰتِنَا وَقَالَ لَأُوتَيَنَّ مَالٗا وَوَلَدًا
Open ayah 19:77Abaffe olabye oyo alimbisa ebigambo byaffe, era naagamba nti (ne ku nkomerero) ngenda kuweebwa emmaali n'abaana.
أَطَّلَعَ ٱلۡغَيۡبَ أَمِ ٱتَّخَذَ عِندَ ٱلرَّحۡمَٰنِ عَهۡدٗا
Open ayah 19:78Abaffe yasobola okulaba ebyekusifu, oba yafuna ewa Katonda omusaasizi endagaano, (atuuke okugamba nti aliba ne mmaali n'abaana ku nkomerero).
كَلَّاۚ سَنَكۡتُبُ مَا يَقُولُ وَنَمُدُّ لَهُۥ مِنَ ٱلۡعَذَابِ مَدّٗا
Open ayah 19:79Si bwe guli, tujja kuwandiika buli kyayogera tumulindirize ku bibonerezo olulindiriza.
وَنَرِثُهُۥ مَا يَقُولُ وَيَأۡتِينَا فَرۡدٗا
Open ayah 19:80Olwo nno tweddize ebyo bye yagamba, ate nga agenda kutujjira nga ali yekka nga talina kyalina.
وَٱتَّخَذُواْ مِن دُونِ ٱللَّهِ ءَالِهَةٗ لِّيَكُونُواْ لَهُمۡ عِزّٗا
Open ayah 19:81Era beeteerawo bye basinza nebaleka Katonda omu, mbu olwo balyoke babeere eri bano abataddewo abawi b'obuwagizi.
كَلَّاۚ سَيَكۡفُرُونَ بِعِبَادَتِهِمۡ وَيَكُونُونَ عَلَيۡهِمۡ ضِدًّا
Open ayah 19:82Ssi bwe guli, bajja kuwakanya eky'okubasinza bafuuke ekyennyume kyabwe.
أَلَمۡ تَرَ أَنَّآ أَرۡسَلۡنَا ٱلشَّيَٰطِينَ عَلَى ٱلۡكَٰفِرِينَ تَؤُزُّهُمۡ أَزّٗا
Open ayah 19:83Tolaba nti mazima ffe tusindika Sitane eri abakaafiiri nga zibawagira oluwagira.
فَلَا تَعۡجَلۡ عَلَيۡهِمۡۖ إِنَّمَا نَعُدُّ لَهُمۡ عَدّٗا
Open ayah 19:84Toyanguya kubasabira kuzikirira, mazima ennaku zaabwe tuzibabalira bubalizi.
يَوۡمَ نَحۡشُرُ ٱلۡمُتَّقِينَ إِلَى ٱلرَّحۡمَٰنِ وَفۡدٗا
Open ayah 19:85(Bategeeze) olunaku lwe tulikunganya abatya Katonda, netubatwala ewa Katonda omusaasizi nga bagenyi.
وَنَسُوقُ ٱلۡمُجۡرِمِينَ إِلَىٰ جَهَنَّمَ وِرۡدٗا
Open ayah 19:86Ate tusindiikirize aboonoonyi, nga tubatwala ku muliro Jahannama nga balinga ensolo ezigenda okunywa amazzi.
لَّا يَمۡلِكُونَ ٱلشَّفَٰعَةَ إِلَّا مَنِ ٱتَّخَذَ عِندَ ٱلرَّحۡمَٰنِ عَهۡدٗا
Open ayah 19:87Tebaliba na buyinza bwa kuwolereza, wabula oyo eyafuna endagaano ewa Mukama Katonda ow'ekisa ekingi.
وَقَالُواْ ٱتَّخَذَ ٱلرَّحۡمَٰنُ وَلَدٗا
Open ayah 19:88(Abatakkiriza) bagamba nti Katonda omusaasizi yeeteerawo omwana.
لَّقَدۡ جِئۡتُمۡ شَيۡـًٔا إِدّٗا
Open ayah 19:89Mazima mu kwogera ekyo muleese ekintu ekibi ennyo.
تَكَادُ ٱلسَّمَٰوَٰتُ يَتَفَطَّرۡنَ مِنۡهُ وَتَنشَقُّ ٱلۡأَرۡضُ وَتَخِرُّ ٱلۡجِبَالُ هَدًّا
Open ayah 19:90Eggulu omusanvu kumpi okweyuza olw'ekyo, n'ensi ebula okwatikayatika n'ensozi kumpi kugwa nga zimogosemogose.
أَن دَعَوۡاْ لِلرَّحۡمَٰنِ وَلَدٗا
Open ayah 19:91Olw'okugamba nti Mukama Katonda Omusaasizi alina omwana.
وَمَا يَنۢبَغِي لِلرَّحۡمَٰنِ أَن يَتَّخِذَ وَلَدًا
Open ayah 19:92Ate nga tekigwana ku Katonda omusaasizi kweteerawo mwana.
إِن كُلُّ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ إِلَّآ ءَاتِي ٱلرَّحۡمَٰنِ عَبۡدٗا
Open ayah 19:93Tewali kitonde kiri mu ggulu musanvu n'ensi okugyako nga kigenda kujja ewa Katonda omusaasizi nga kiri mu ngeri ya buddu.
لَّقَدۡ أَحۡصَىٰهُمۡ وَعَدَّهُمۡ عَدّٗا
Open ayah 19:94Mazima yabakomekkereza, era naababala olubala.
وَكُلُّهُمۡ ءَاتِيهِ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ فَرۡدًا
Open ayah 19:95Era bonna bagenda kumujjira olunaku lw'enkomerero kinnoomu.
إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ سَيَجۡعَلُ لَهُمُ ٱلرَّحۡمَٰنُ وُدّٗا
Open ayah 19:96Mazima abo abakkiriza nebakola emirimu emirungi, Katonda ajja kubateerawo okwagalwa.
فَإِنَّمَا يَسَّرۡنَٰهُ بِلِسَانِكَ لِتُبَشِّرَ بِهِ ٱلۡمُتَّقِينَ وَتُنذِرَ بِهِۦ قَوۡمٗا لُّدّٗا
Open ayah 19:97Mazima (Kur’ani) twagifuula nnyangu ku lulimilwo, obe nga osanyusa nayo abo abatya Katonda, ate obe nga otiisa nayo abo abayitirivu b'okugiwakanya.
وَكَمۡ أَهۡلَكۡنَا قَبۡلَهُم مِّن قَرۡنٍ هَلۡ تُحِسُّ مِنۡهُم مِّنۡ أَحَدٍ أَوۡ تَسۡمَعُ لَهُمۡ رِكۡزَۢا
Open ayah 19:98(Abantu ba) mirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwa bwe (bano abalimbisa Kur’ani), abaffe olina gwolabako mu bo, oba gwowulizaako olukwakwayo.