الكهف
Al-Kahf
Translation: Luganda - African Institution · Open the surah
بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ
ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ ٱلَّذِيٓ أَنزَلَ عَلَىٰ عَبۡدِهِ ٱلۡكِتَٰبَ وَلَمۡ يَجۡعَل لَّهُۥ عِوَجَاۜ
Open ayah 18:1Ebitendo byonna bya Katonda oyo eyassa ku mudduwe (Muhammad) ekitabo (Kur’ani) naatakiteekamu bukyamu bwonna.
قَيِّمٗا لِّيُنذِرَ بَأۡسٗا شَدِيدٗا مِّن لَّدُنۡهُ وَيُبَشِّرَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ٱلَّذِينَ يَعۡمَلُونَ ٱلصَّٰلِحَٰتِ أَنَّ لَهُمۡ أَجۡرًا حَسَنٗا
Open ayah 18:2Wabula nga kyesimbu abe nga atiisa nakyo ebibonerezo ebikakali ebiva gyali era awe nakyo amawulire ag'essanyu abakkiriza abo abakola emirimu emirongoofu (nga abategeeza) nti mazima balina empeera ennungi.
مَّٰكِثِينَ فِيهِ أَبَدٗا
Open ayah 18:3Baakugibeeramu olubeerera.
وَيُنذِرَ ٱلَّذِينَ قَالُواْ ٱتَّخَذَ ٱللَّهُ وَلَدٗا
Open ayah 18:4Era atiise abo abagamba nti Katonda yeeteerawo omwana.
مَّا لَهُم بِهِۦ مِنۡ عِلۡمٖ وَلَا لِأٓبَآئِهِمۡۚ كَبُرَتۡ كَلِمَةٗ تَخۡرُجُ مِنۡ أَفۡوَٰهِهِمۡۚ إِن يَقُولُونَ إِلَّا كَذِبٗا
Open ayah 18:5Kye batalinaako kumanya kwonna wadde bakadde baabwe, kibi nnyo ekigambo ekiva mu mimwa gya bwe. Bye boogera temuli okugyako bulimba bwereere.
فَلَعَلَّكَ بَٰخِعٞ نَّفۡسَكَ عَلَىٰٓ ءَاثَٰرِهِمۡ إِن لَّمۡ يُؤۡمِنُواْ بِهَٰذَا ٱلۡحَدِيثِ أَسَفًا
Open ayah 18:6Olw'okunnyolwa, olabika nga obula kwetta ku lwa bwe olw'okuba tebakkiriza bigambo bino.
إِنَّا جَعَلۡنَا مَا عَلَى ٱلۡأَرۡضِ زِينَةٗ لَّهَا لِنَبۡلُوَهُمۡ أَيُّهُمۡ أَحۡسَنُ عَمَلٗا
Open ayah 18:7Mazima ffe twassa ku nsi ebigiriko nga bya kuginyiriza olwo nno tubagezese ani asinga okukola ebirungi.
وَإِنَّا لَجَٰعِلُونَ مَا عَلَيۡهَا صَعِيدٗا جُرُزًا
Open ayah 18:8Mazima ffe tugenda kufuula ebigiriko ettaka ekkalu.
أَمۡ حَسِبۡتَ أَنَّ أَصۡحَٰبَ ٱلۡكَهۡفِ وَٱلرَّقِيمِ كَانُواْ مِنۡ ءَايَٰتِنَا عَجَبًا
Open ayah 18:9Oba olowooza nti ddala abantu bo mu mpuku, n'ekiwandiiko ekibakwatako baali baakyewunyo nnyo okusinga eby'amagero byaffe ebirala.
إِذۡ أَوَى ٱلۡفِتۡيَةُ إِلَى ٱلۡكَهۡفِ فَقَالُواْ رَبَّنَآ ءَاتِنَا مِن لَّدُنكَ رَحۡمَةٗ وَهَيِّئۡ لَنَا مِنۡ أَمۡرِنَا رَشَدٗا
Open ayah 18:10Mu kiseera abavubuka bwe beewogoma mu mpuku nebagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tuwe okusaasira okuva gyoli era otwanguyize ensonga yaffe gye tuliko otuwe obulungamu.
فَضَرَبۡنَا عَلَىٰٓ ءَاذَانِهِمۡ فِي ٱلۡكَهۡفِ سِنِينَ عَدَدٗا
Open ayah 18:11Netukuba ku matu gaabwe (ekibikka) nga bali mu mpuku (nebeebaka) emyaka mingi.
ثُمَّ بَعَثۡنَٰهُمۡ لِنَعۡلَمَ أَيُّ ٱلۡحِزۡبَيۡنِ أَحۡصَىٰ لِمَا لَبِثُوٓاْ أَمَدٗا
Open ayah 18:12Oluvanyuma twabazuukusa kimanyike nti, kiriwa ku bibiina ebibiri ekisinga okwogera ekituufu ku bbanga lye baamalamu.
نَّحۡنُ نَقُصُّ عَلَيۡكَ نَبَأَهُم بِٱلۡحَقِّۚ إِنَّهُمۡ فِتۡيَةٌ ءَامَنُواْ بِرَبِّهِمۡ وَزِدۡنَٰهُمۡ هُدٗى
Open ayah 18:13Mazima ffe tukunyumiza ekyafaayo kya bwe mu butuufu, mazima bo baali bavubuka abakkiriza Mukama omulabirizi waabwe era netubongera obulungamu.
وَرَبَطۡنَا عَلَىٰ قُلُوبِهِمۡ إِذۡ قَامُواْ فَقَالُواْ رَبُّنَا رَبُّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ لَن نَّدۡعُوَاْ مِن دُونِهِۦٓ إِلَٰهٗاۖ لَّقَدۡ قُلۡنَآ إِذٗا شَطَطًا
Open ayah 18:14Era twasiba ekimyu ku mitima gyabwe bwe baayimirira (mu buvumu) nebagamba nti Mukama omulabirizi waffe ye Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi, n'olwekyo tetuyinza ku mulekawo ne tusaba Katonda mulala yenna era bwe tukikola mazima tuba twogedde ekigambo ekibi.
هَٰٓؤُلَآءِ قَوۡمُنَا ٱتَّخَذُواْ مِن دُونِهِۦٓ ءَالِهَةٗۖ لَّوۡلَا يَأۡتُونَ عَلَيۡهِم بِسُلۡطَٰنِۭ بَيِّنٖۖ فَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّنِ ٱفۡتَرَىٰ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبٗا
Open ayah 18:15Abo abantu baffe baamulekawo (Katonda) nebeeteerawo ba katonda abalala, kale nno singa babaleetako obujulizi obweyolefu, naye ani eyeeyisa obubi okusinga oyo agunja ku Katonda ebigambo eby'obulimba.
وَإِذِ ٱعۡتَزَلۡتُمُوهُمۡ وَمَا يَعۡبُدُونَ إِلَّا ٱللَّهَ فَأۡوُۥٓاْ إِلَى ٱلۡكَهۡفِ يَنشُرۡ لَكُمۡ رَبُّكُم مِّن رَّحۡمَتِهِۦ وَيُهَيِّئۡ لَكُم مِّنۡ أَمۡرِكُم مِّرۡفَقٗا
Open ayah 18:16Bwe mwabaawukanako nemwawukana ne ku bye basinza, nga oggyeko Katonda (Omu) olwo nno mugende mu mpuku Mukama omulabirizi wa mmwe ajja kubanjuliriza okumu ku kusaasirakwe era ajja kubateerawo okulumirwa ekigambo kya mmwe.
۞وَتَرَى ٱلشَّمۡسَ إِذَا طَلَعَت تَّزَٰوَرُ عَن كَهۡفِهِمۡ ذَاتَ ٱلۡيَمِينِ وَإِذَا غَرَبَت تَّقۡرِضُهُمۡ ذَاتَ ٱلشِّمَالِ وَهُمۡ فِي فَجۡوَةٖ مِّنۡهُۚ ذَٰلِكَ مِنۡ ءَايَٰتِ ٱللَّهِۗ مَن يَهۡدِ ٱللَّهُ فَهُوَ ٱلۡمُهۡتَدِۖ وَمَن يُضۡلِلۡ فَلَن تَجِدَ لَهُۥ وَلِيّٗا مُّرۡشِدٗا
Open ayah 18:17Awo nno walabanga enjuba bwe yavangayo nga ekyuka nga eva ku mukono ogwa ddyo ogw'e mpuku yaabwe, ate nga bwegwa nga ebaleka ku mukono ogwa kkono nebaba nga beetaayiza mu bugazi bw'empuku ekyo kamu ku bubonero bwa Katonda (ku buyinza bwe nobusobozibwe) oyo yenna Katonda gwalungamya yye yemulungamu ate oyo gwaba abuzizza toyinza kumufunira muyambi amulungamya.
وَتَحۡسَبُهُمۡ أَيۡقَاظٗا وَهُمۡ رُقُودٞۚ وَنُقَلِّبُهُمۡ ذَاتَ ٱلۡيَمِينِ وَذَاتَ ٱلشِّمَالِۖ وَكَلۡبُهُم بَٰسِطٞ ذِرَاعَيۡهِ بِٱلۡوَصِيدِۚ لَوِ ٱطَّلَعۡتَ عَلَيۡهِمۡ لَوَلَّيۡتَ مِنۡهُمۡ فِرَارٗا وَلَمُلِئۡتَ مِنۡهُمۡ رُعۡبٗا
Open ayah 18:18Era (bwe wabalaba nga) nga osuubira nti tebeebase so nga beebase nga tubakyusa ku ddyo ne ku kkono nga n'embwa yaabwe egolodde emikono gyayo nga eri ku mulyango (gw'empuku) nga singa obakubako eriiso waalikyuse noobadduka era wandijjudde okubatya.
وَكَذَٰلِكَ بَعَثۡنَٰهُمۡ لِيَتَسَآءَلُواْ بَيۡنَهُمۡۚ قَالَ قَآئِلٞ مِّنۡهُمۡ كَمۡ لَبِثۡتُمۡۖ قَالُواْ لَبِثۡنَا يَوۡمًا أَوۡ بَعۡضَ يَوۡمٖۚ قَالُواْ رَبُّكُمۡ أَعۡلَمُ بِمَا لَبِثۡتُمۡ فَٱبۡعَثُوٓاْ أَحَدَكُم بِوَرِقِكُمۡ هَٰذِهِۦٓ إِلَى ٱلۡمَدِينَةِ فَلۡيَنظُرۡ أَيُّهَآ أَزۡكَىٰ طَعَامٗا فَلۡيَأۡتِكُم بِرِزۡقٖ مِّنۡهُ وَلۡيَتَلَطَّفۡ وَلَا يُشۡعِرَنَّ بِكُمۡ أَحَدًا
Open ayah 18:19Era bwe tutyo twabazuukusa babe nga beebuuzaganya wakati waabwe (ku kyabatuukako) omwogezi omu ku bo naagamba nti wano mumazeewo bbangaki? nebagamba nti tumazeewo lunaku oba kitundu kya lunaku nebagamba nti Mukama omulabirizi wa mmwe yaasinga okumanya ebbanga lye mumazeewo kale mutume omu ku mmwe, agende mu kibuga ne Sente zammwe zino alabe mmere ki esinga obulungi eriyo abaleetereyo ku yo eky'okulya, wabula atambule nga yeegendereza tewali muntu n'omu asaanidde kubamanya.
إِنَّهُمۡ إِن يَظۡهَرُواْ عَلَيۡكُمۡ يَرۡجُمُوكُمۡ أَوۡ يُعِيدُوكُمۡ فِي مِلَّتِهِمۡ وَلَن تُفۡلِحُوٓاْ إِذًا أَبَدٗا
Open ayah 18:20Anti mazima bo bwe banaabazuula bajja kubakuba amayinja oba ssi ekyo babazzeeyo mu ddiini yaabwe olwo nno temugenda kwesiima olubeerera.
وَكَذَٰلِكَ أَعۡثَرۡنَا عَلَيۡهِمۡ لِيَعۡلَمُوٓاْ أَنَّ وَعۡدَ ٱللَّهِ حَقّٞ وَأَنَّ ٱلسَّاعَةَ لَا رَيۡبَ فِيهَآ إِذۡ يَتَنَٰزَعُونَ بَيۡنَهُمۡ أَمۡرَهُمۡۖ فَقَالُواْ ٱبۡنُواْ عَلَيۡهِم بُنۡيَٰنٗاۖ رَّبُّهُمۡ أَعۡلَمُ بِهِمۡۚ قَالَ ٱلَّذِينَ غَلَبُواْ عَلَىٰٓ أَمۡرِهِمۡ لَنَتَّخِذَنَّ عَلَيۡهِم مَّسۡجِدٗا
Open ayah 18:21Nabwetutyo twasobozesa abantu okubazuula olwo nno bamanye nti mazima endagaano ya Katonda ya mazima, era bamanye nti mazima essaawa (esembayo) teriimu kubuusabuusa. (Era) jjukira (abakaafiiri ) bwe baakaayana ku nsonga yaabwe (abamu), nebagamba nti mubazimbeko ekizimbe, Mukama omulabirizi waabwe y'asinga okumanya ebibakwatako, ate abalina ekigambo ekisinga obulungi nebagamba nti tujja kubazimbako omuzikiti.
سَيَقُولُونَ ثَلَٰثَةٞ رَّابِعُهُمۡ كَلۡبُهُمۡ وَيَقُولُونَ خَمۡسَةٞ سَادِسُهُمۡ كَلۡبُهُمۡ رَجۡمَۢا بِٱلۡغَيۡبِۖ وَيَقُولُونَ سَبۡعَةٞ وَثَامِنُهُمۡ كَلۡبُهُمۡۚ قُل رَّبِّيٓ أَعۡلَمُ بِعِدَّتِهِم مَّا يَعۡلَمُهُمۡ إِلَّا قَلِيلٞۗ فَلَا تُمَارِ فِيهِمۡ إِلَّا مِرَآءٗ ظَٰهِرٗا وَلَا تَسۡتَفۡتِ فِيهِم مِّنۡهُمۡ أَحَدٗا
Open ayah 18:22(Abantu abamu) bajja kugamba nti baali basatu, nga embwa yaabwe yaakuna, abamu bagambe nti baali bataano nga embwa yaabwe yamukaaga nga kujweteka ku byebatamanyi. Abalala bajja kugamba nti baali musanvu nga embwa yaabwe ya munaana gamba nti Mukama omulabirizi wange y'asinga okumanya omuwendo gwabwe, tewali abamanyi okugyako bantu batono, n'olwekyo towakana ku bibakwatako okugyako okuwakana okwokungulu era tewebuuzanga ku muntu yenna ku nsonga ebakwatako.
وَلَا تَقُولَنَّ لِشَاْيۡءٍ إِنِّي فَاعِلٞ ذَٰلِكَ غَدًا
Open ayah 18:23Era togambanga ku kintu kyonna, nti mazima nze ngenda kukikola enkya.
إِلَّآ أَن يَشَآءَ ٱللَّهُۚ وَٱذۡكُر رَّبَّكَ إِذَا نَسِيتَ وَقُلۡ عَسَىٰٓ أَن يَهۡدِيَنِ رَبِّي لِأَقۡرَبَ مِنۡ هَٰذَا رَشَدٗا
Open ayah 18:24Okugyako nga ogasseeko nti Katonda bwanaaba ayagadde, era yogera ku Mukama omulabiriziwo wooba nga weerabidde, era gamba nti nsuubira nti Mukama omulabirizi wange ajja ku nnungamya eri obujulizi obusinga ku buno, (eky'abavubuka bo mu mpuku okulaga obwa Nabbi bwange).
وَلَبِثُواْ فِي كَهۡفِهِمۡ ثَلَٰثَ مِاْئَةٖ سِنِينَ وَٱزۡدَادُواْ تِسۡعٗا
Open ayah 18:25Era baatuula mu mpuku yaabwe emyaka bikumi bisatu (ku mbala ey'enjuba) ate nebeeyongera mu mwenda (kumbala ey'omwezi).
قُلِ ٱللَّهُ أَعۡلَمُ بِمَا لَبِثُواْۖ لَهُۥ غَيۡبُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ أَبۡصِرۡ بِهِۦ وَأَسۡمِعۡۚ مَا لَهُم مِّن دُونِهِۦ مِن وَلِيّٖ وَلَا يُشۡرِكُ فِي حُكۡمِهِۦٓ أَحَدٗا
Open ayah 18:26Gamba nti Katonda y'asinga okumanya ebbanga lye baamalamu, yekka y'amanyi ebyekusifu by'omu ggulu omusanvu n'ensi, weewuunye okulaba kwe n'okuwulira kwe (okuba nti byetoolodde buli kintu, n'olwekyo) tebalina nga oggyeko yye (Katonda) mutaasa. Era mu kusalawo kwe teyeegatta na muntu mulala yenna ( wabula bulijjo asalawo yekka).
وَٱتۡلُ مَآ أُوحِيَ إِلَيۡكَ مِن كِتَابِ رَبِّكَۖ لَا مُبَدِّلَ لِكَلِمَٰتِهِۦ وَلَن تَجِدَ مِن دُونِهِۦ مُلۡتَحَدٗا
Open ayah 18:27Era soma ebyo ebyassibwa gyoli nga bya mu kitabo kya Mukama omulabiriziwo tewali akyusa bigambobye era togenda kufuna buddukiro etali wuwe.
وَٱصۡبِرۡ نَفۡسَكَ مَعَ ٱلَّذِينَ يَدۡعُونَ رَبَّهُم بِٱلۡغَدَوٰةِ وَٱلۡعَشِيِّ يُرِيدُونَ وَجۡهَهُۥۖ وَلَا تَعۡدُ عَيۡنَاكَ عَنۡهُمۡ تُرِيدُ زِينَةَ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۖ وَلَا تُطِعۡ مَنۡ أَغۡفَلۡنَا قَلۡبَهُۥ عَن ذِكۡرِنَا وَٱتَّبَعَ هَوَىٰهُ وَكَانَ أَمۡرُهُۥ فُرُطٗا
Open ayah 18:28Wenyweze nga obeera wamu n'abo abasaba Mukama Omulabirizi waabwe enkya n'olweggulo nga baluubirira kuba ku luddalwe, tobaggyako amaaso (nootunuulira babinojjo) nga ogenderera kufuna eby'okwewunda by'obulamu bwensi, era togondera oyo yenna gwe twagayaaza omutimagwe naatatwogerako naagoberera okwagalakwe embeera ye yonna neeba bwonoonyi.
وَقُلِ ٱلۡحَقُّ مِن رَّبِّكُمۡۖ فَمَن شَآءَ فَلۡيُؤۡمِن وَمَن شَآءَ فَلۡيَكۡفُرۡۚ إِنَّآ أَعۡتَدۡنَا لِلظَّٰلِمِينَ نَارًا أَحَاطَ بِهِمۡ سُرَادِقُهَاۚ وَإِن يَسۡتَغِيثُواْ يُغَاثُواْ بِمَآءٖ كَٱلۡمُهۡلِ يَشۡوِي ٱلۡوُجُوهَۚ بِئۡسَ ٱلشَّرَابُ وَسَآءَتۡ مُرۡتَفَقًا
Open ayah 18:29Gamba nti gano ge mazima agavudde ewa Mukama omulabirizi wa mmwe kale ayagala akkirize n'anayagala akaafuwale, mazima ffe abeeyisa obubi twabateekerateekera omuliro, lugenda kubeetoolola olugo lwa gwo, buli lwe banaasabanga okuweebwa amazzi balinywesebwa amazzi agalinga olutabu lw'ekyuma olulyoka ebyenyi. Kiriba kya kunywa kibi era nga n'obutuulo buliba bubi.
إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ إِنَّا لَا نُضِيعُ أَجۡرَ مَنۡ أَحۡسَنَ عَمَلًا
Open ayah 18:30Mazima abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu mazima ffe tetugenda butasasula mpeera y'oyo eyalongoosa emirimu.
أُوْلَٰٓئِكَ لَهُمۡ جَنَّٰتُ عَدۡنٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهِمُ ٱلۡأَنۡهَٰرُ يُحَلَّوۡنَ فِيهَا مِنۡ أَسَاوِرَ مِن ذَهَبٖ وَيَلۡبَسُونَ ثِيَابًا خُضۡرٗا مِّن سُندُسٖ وَإِسۡتَبۡرَقٖ مُّتَّكِـِٔينَ فِيهَا عَلَى ٱلۡأَرَآئِكِۚ نِعۡمَ ٱلثَّوَابُ وَحَسُنَتۡ مُرۡتَفَقٗا
Open ayah 18:31Abo nno bagenda kufuna e jjana ey'olubeerera nga emigga gikulukutira wansi waabwe. nga bali mu yo baliba beesigamye, nga batudde ku ntebe ensitufu, eyo nno mpeera nnungi era nga n'obutuulo buliba bulungi.
۞وَٱضۡرِبۡ لَهُم مَّثَلٗا رَّجُلَيۡنِ جَعَلۡنَا لِأَحَدِهِمَا جَنَّتَيۡنِ مِنۡ أَعۡنَٰبٖ وَحَفَفۡنَٰهُمَا بِنَخۡلٖ وَجَعَلۡنَا بَيۡنَهُمَا زَرۡعٗا
Open ayah 18:32Era bakubire ekifaananyi ky'abasajja babiri nga omu ku bo twamuwa ennimiro bbiri eze Nzabibu zetwassaako olukomera olw'emitende, ate wakati waazo netussaamu ebirime ebirala.
كِلۡتَا ٱلۡجَنَّتَيۡنِ ءَاتَتۡ أُكُلَهَا وَلَمۡ تَظۡلِم مِّنۡهُ شَيۡـٔٗاۚ وَفَجَّرۡنَا خِلَٰلَهُمَا نَهَرٗا
Open ayah 18:33Ennimiro zombi zaabala bulungi, tewali katundu kataabala, era nga twassa wakati waazo emigga.
وَكَانَ لَهُۥ ثَمَرٞ فَقَالَ لِصَٰحِبِهِۦ وَهُوَ يُحَاوِرُهُۥٓ أَنَا۠ أَكۡثَرُ مِنكَ مَالٗا وَأَعَزُّ نَفَرٗا
Open ayah 18:34(Omu ku basajja ababiri) naaba nga afunye amakungula (amalungi) naagamba munne nga anyumya naye nti nze nkusinza emmaali era nga bwe nkusinza abantu.
وَدَخَلَ جَنَّتَهُۥ وَهُوَ ظَالِمٞ لِّنَفۡسِهِۦ قَالَ مَآ أَظُنُّ أَن تَبِيدَ هَٰذِهِۦٓ أَبَدٗا
Open ayah 18:35Olwo nno naayingira ennimiro yye nga yeeyisizza bubi yennyini, naagamba nti sirowooza nti bino biyinza okuggwawo.
وَمَآ أَظُنُّ ٱلسَّاعَةَ قَآئِمَةٗ وَلَئِن رُّدِدتُّ إِلَىٰ رَبِّي لَأَجِدَنَّ خَيۡرٗا مِّنۡهَا مُنقَلَبٗا
Open ayah 18:36Era nga bwe ssirowooza nti essaawa ey'enkomerero egenda kubaawo (katugambe nti kibaddewo) bwe ndizzibwa ewa Mukama omulabirizi wange ngenda kufuna ebisinga obulungi ku bino.
قَالَ لَهُۥ صَاحِبُهُۥ وَهُوَ يُحَاوِرُهُۥٓ أَكَفَرۡتَ بِٱلَّذِي خَلَقَكَ مِن تُرَابٖ ثُمَّ مِن نُّطۡفَةٖ ثُمَّ سَوَّىٰكَ رَجُلٗا
Open ayah 18:37Munne naamuddamu nga amugamba nti owakanyizza oyo eyakutonda nga akuggya mu ttaka oluvanyuma naakuggya mu mazzi agazaala oluvanyuma naakukola nga oli Muntu omujjuvu.
لَّٰكِنَّا۠ هُوَ ٱللَّهُ رَبِّي وَلَآ أُشۡرِكُ بِرَبِّيٓ أَحَدٗا
Open ayah 18:38Naye nze ngamba nti mazima yye Katonda ye Mukama omulabirizi wange era siyinza kugatta ku Mukama Mulabirizi wange mulala yenna.
وَلَوۡلَآ إِذۡ دَخَلۡتَ جَنَّتَكَ قُلۡتَ مَا شَآءَ ٱللَّهُ لَا قُوَّةَ إِلَّا بِٱللَّهِۚ إِن تَرَنِ أَنَا۠ أَقَلَّ مِنكَ مَالٗا وَوَلَدٗا
Open ayah 18:39Kale singa ggwe bwe wabadde oyingira ennimiroyo wagambye nti: ekyo kyonna Katonda kyaba ayagadde kyekiba, tewali maanyi okugyako nga Katonda y'agagabye, newaakubadde nga ondaba nga nze nnina emmaali ntono n'abaana batono obutenkana ggwe.
فَعَسَىٰ رَبِّيٓ أَن يُؤۡتِيَنِ خَيۡرٗا مِّن جَنَّتِكَ وَيُرۡسِلَ عَلَيۡهَا حُسۡبَانٗا مِّنَ ٱلسَّمَآءِ فَتُصۡبِحَ صَعِيدٗا زَلَقًا
Open ayah 18:40Nina essuubi nti Mukama omulabirizi wange lumu alimpa ebirungi okusinga ennimiroyo ate naasindikira eyiyo kibuyaga okuva waggulu neekeesa enkya ttaka jjereere.
أَوۡ يُصۡبِحَ مَآؤُهَا غَوۡرٗا فَلَن تَسۡتَطِيعَ لَهُۥ طَلَبٗا
Open ayah 18:41Oba amazzi gaamu negafuuka gakkekwa n'oba nga tosobola kugazuula.
وَأُحِيطَ بِثَمَرِهِۦ فَأَصۡبَحَ يُقَلِّبُ كَفَّيۡهِ عَلَىٰ مَآ أَنفَقَ فِيهَا وَهِيَ خَاوِيَةٌ عَلَىٰ عُرُوشِهَا وَيَقُولُ يَٰلَيۡتَنِي لَمۡ أُشۡرِكۡ بِرَبِّيٓ أَحَدٗا
Open ayah 18:42Era ebibalabye byatuukwako obuzibu, nebukya nga akuba mu bibatubye olw'okufiirwa ebyo bye yassaamu, nga alaba ennimiro ebutamidde ku birimba byayo naagamba nti: zinsanze nze, singa saagatta kintu ku Mukama omulabirizi wange.
وَلَمۡ تَكُن لَّهُۥ فِئَةٞ يَنصُرُونَهُۥ مِن دُونِ ٱللَّهِ وَمَا كَانَ مُنتَصِرًا
Open ayah 18:43Nga oggyeko Katonda yali tayinza kufuna kibinja kimutaasa nga naye bwe yali tasobola kwetaasa.
هُنَالِكَ ٱلۡوَلَٰيَةُ لِلَّهِ ٱلۡحَقِّۚ هُوَ خَيۡرٞ ثَوَابٗا وَخَيۡرٌ عُقۡبٗا
Open ayah 18:44Awo obwesige bwonna bwalina kubeera mu Katonda ow'amazima yekka, anti bulijjo yye yaasinga empeera ennungi, era y'alina enkomerero esinga obulungi.
وَٱضۡرِبۡ لَهُم مَّثَلَ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا كَمَآءٍ أَنزَلۡنَٰهُ مِنَ ٱلسَّمَآءِ فَٱخۡتَلَطَ بِهِۦ نَبَاتُ ٱلۡأَرۡضِ فَأَصۡبَحَ هَشِيمٗا تَذۡرُوهُ ٱلرِّيَٰحُۗ وَكَانَ ٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ مُّقۡتَدِرًا
Open ayah 18:45Era bakubire ekifaananyi eky'obulamu obw'ensi bulinga amazzi getutonnyesa okuva waggulu, nebyetabula nago ebimera byo ku nsi (olwo nno) nebikula nebikungulwa nebifuuka ebisusunku nga empewo ebikunguzza. Bulijjo Katonda ku buli kintu muyinza.
ٱلۡمَالُ وَٱلۡبَنُونَ زِينَةُ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۖ وَٱلۡبَٰقِيَٰتُ ٱلصَّٰلِحَٰتُ خَيۡرٌ عِندَ رَبِّكَ ثَوَابٗا وَخَيۡرٌ أَمَلٗا
Open ayah 18:46Emmaali n'abaana byakwewunda bya bulamu bwansi, emirimu emirungi egisigalawo gye gisinga obulungi ewa Mukama omulabiriziwo, okuba nga ye mpeera era nga lye ssuubi erisinga obulungi.
وَيَوۡمَ نُسَيِّرُ ٱلۡجِبَالَ وَتَرَى ٱلۡأَرۡضَ بَارِزَةٗ وَحَشَرۡنَٰهُمۡ فَلَمۡ نُغَادِرۡ مِنۡهُمۡ أَحَدٗا
Open ayah 18:47Era (fumiitiriza ku) lunaku lwe tulitambuza ensozi olwo nno oliraba ensi nga njereere era tulibakunganya bonna, tetugenda kusubwa n'omu yenna.
وَعُرِضُواْ عَلَىٰ رَبِّكَ صَفّٗا لَّقَدۡ جِئۡتُمُونَا كَمَا خَلَقۡنَٰكُمۡ أَوَّلَ مَرَّةِۭۚ بَلۡ زَعَمۡتُمۡ أَلَّن نَّجۡعَلَ لَكُم مَّوۡعِدٗا
Open ayah 18:48Olwo nno balyanjulwa ewa Mukama Omulabiriziwo nga bali mu nnyiriri (Katonda aligamba nti) mazima muzze gye tuli nga bwe twabatonda ku mulundi ogwasooka naye mwalowooza nti tetwali baakubateerawo kiseera kigere.
وَوُضِعَ ٱلۡكِتَٰبُ فَتَرَى ٱلۡمُجۡرِمِينَ مُشۡفِقِينَ مِمَّا فِيهِ وَيَقُولُونَ يَٰوَيۡلَتَنَا مَالِ هَٰذَا ٱلۡكِتَٰبِ لَا يُغَادِرُ صَغِيرَةٗ وَلَا كَبِيرَةً إِلَّآ أَحۡصَىٰهَاۚ وَوَجَدُواْ مَا عَمِلُواْ حَاضِرٗاۗ وَلَا يَظۡلِمُ رَبُّكَ أَحَدٗا
Open ayah 18:49Ekitabo kya buli omu kigenda kuleetebwa olwo nno noolaba aboonoonyi nga batya olw'ebyo ebikirimu, baligamba nti: nga tulabye kitabo kya ngeriki kino! Tekirekaayo katono oba kinene okugyako nga kikikomekkereza, bagenda kusanga nga buli kye baakola weekiri. Mukama omulabiriziwo tagenda kulyazaamaanya muntu yenna.
وَإِذۡ قُلۡنَا لِلۡمَلَٰٓئِكَةِ ٱسۡجُدُواْ لِأٓدَمَ فَسَجَدُوٓاْ إِلَّآ إِبۡلِيسَ كَانَ مِنَ ٱلۡجِنِّ فَفَسَقَ عَنۡ أَمۡرِ رَبِّهِۦٓۗ أَفَتَتَّخِذُونَهُۥ وَذُرِّيَّتَهُۥٓ أَوۡلِيَآءَ مِن دُونِي وَهُمۡ لَكُمۡ عَدُوُّۢۚ بِئۡسَ لِلظَّٰلِمِينَ بَدَلٗا
Open ayah 18:50Era jjukira bwe twagamba ba Malayika nti muvunnamire Adam nebamuvunnamira okugyako Ibuliisu (Sitane) eyali owo mu Majinni olwo nno naayawukana ku kiragiro kya Mukama omulabiriziwe, abaffe ate mmwe oyo gwe mufuula n'ezaddelye abataasa ba mmwe (nze) Katonda nemunvaako ate nga bo balabe ba mmwe, nga okwo kuwanyisiganya kubi abeeyisa obubi kwebakola.
۞مَّآ أَشۡهَدتُّهُمۡ خَلۡقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَلَا خَلۡقَ أَنفُسِهِمۡ وَمَا كُنتُ مُتَّخِذَ ٱلۡمُضِلِّينَ عَضُدٗا
Open ayah 18:51Sibayitanga kubaawo nga eggulu omusanvu ne nsi bitondebwa wadde okutondebwa kwabwe era sibangako waakweteerawo ababuza nga be bayambi (bange).
وَيَوۡمَ يَقُولُ نَادُواْ شُرَكَآءِيَ ٱلَّذِينَ زَعَمۡتُمۡ فَدَعَوۡهُمۡ فَلَمۡ يَسۡتَجِيبُواْ لَهُمۡ وَجَعَلۡنَا بَيۡنَهُم مَّوۡبِقٗا
Open ayah 18:52Era (mufumiitirize) olunaku (Katonda) lwalibagamba nti muyite be mwangattako abo be mwagambanga (nti nabo ba katonda) olwo nno bali bayita nebatabaanukula era netussa wakati waabwe ekibaawula.
وَرَءَا ٱلۡمُجۡرِمُونَ ٱلنَّارَ فَظَنُّوٓاْ أَنَّهُم مُّوَاقِعُوهَا وَلَمۡ يَجِدُواْ عَنۡهَا مَصۡرِفٗا
Open ayah 18:53Aboonoonyi baliraba omuliro, olwo nno bagenda kumanyira ddala nti mazima bo baakugugwamu era tebagenda kufuna buwonero bwonna ku gwo.
وَلَقَدۡ صَرَّفۡنَا فِي هَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانِ لِلنَّاسِ مِن كُلِّ مَثَلٖۚ وَكَانَ ٱلۡإِنسَٰنُ أَكۡثَرَ شَيۡءٖ جَدَلٗا
Open ayah 18:54Mazima tunnyonnyodde abantu mu Kur’ani eno (nga tukozesa) buli kifaananyi mazima omuntu y'asinga ebintu byonna okuwalaaza empaka.
وَمَا مَنَعَ ٱلنَّاسَ أَن يُؤۡمِنُوٓاْ إِذۡ جَآءَهُمُ ٱلۡهُدَىٰ وَيَسۡتَغۡفِرُواْ رَبَّهُمۡ إِلَّآ أَن تَأۡتِيَهُمۡ سُنَّةُ ٱلۡأَوَّلِينَ أَوۡ يَأۡتِيَهُمُ ٱلۡعَذَابُ قُبُلٗا
Open ayah 18:55Tewali kyagaana bantu kukkiriza obulungamu bwe bwabajjira, era teri kyabagaana kwegayirira Mukama omulabirizi waabwe, mpozzi nga baali balindirira kujjirwa ekyo ekyatuuka ku baasooka oba ebibonerezo bibajjire babirabe lwatu.
وَمَا نُرۡسِلُ ٱلۡمُرۡسَلِينَ إِلَّا مُبَشِّرِينَ وَمُنذِرِينَۚ وَيُجَٰدِلُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِٱلۡبَٰطِلِ لِيُدۡحِضُواْ بِهِ ٱلۡحَقَّۖ وَٱتَّخَذُوٓاْ ءَايَٰتِي وَمَآ أُنذِرُواْ هُزُوٗا
Open ayah 18:56Era tetwatuma babaka okugyako lwa kuwa mawulire agasanyusa (eri abakozi b'obulungi), era nga bawa amawulire agatiisa (eri abakozi b’obubi), abo abaakaafuwala bawakana mu bukyamu nga bagenderera okugyawo nabwo amazima, ebigambo byange (n'ebintu ebirala) bye batiisibwa nabyo nebabifuula eby'olusaago.
وَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّن ذُكِّرَ بِـَٔايَٰتِ رَبِّهِۦ فَأَعۡرَضَ عَنۡهَا وَنَسِيَ مَا قَدَّمَتۡ يَدَاهُۚ إِنَّا جَعَلۡنَا عَلَىٰ قُلُوبِهِمۡ أَكِنَّةً أَن يَفۡقَهُوهُ وَفِيٓ ءَاذَانِهِمۡ وَقۡرٗاۖ وَإِن تَدۡعُهُمۡ إِلَى ٱلۡهُدَىٰ فَلَن يَهۡتَدُوٓاْ إِذًا أَبَدٗا
Open ayah 18:57Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo ajjukizibwa ebigambo bya Mukama omulabiriziwe naabivaako, neyeerabira ebyo emikono gye bye gyakulembeza (okukola), mazima ffe twassa ku mitima gya bwe ekibikka, babe nga tebabitegeera ne mu matu gaabwe mulimu envumbo era nebwobayita okujja eri obulungamu tebagenda kulungama olubeerera bwe baba bwe batyo.
وَرَبُّكَ ٱلۡغَفُورُ ذُو ٱلرَّحۡمَةِۖ لَوۡ يُؤَاخِذُهُم بِمَا كَسَبُواْ لَعَجَّلَ لَهُمُ ٱلۡعَذَابَۚ بَل لَّهُم مَّوۡعِدٞ لَّن يَجِدُواْ مِن دُونِهِۦ مَوۡئِلٗا
Open ayah 18:58Ne Mukama omulabiriziwo omusonyiyi ennyo nannyini kusaasira, singa abadde waakuvunaanirawo olw'ebyo bye bakola yandibatuusizzaako ekibonerezo mu bwangu, wabula balina ekiseera ekigere (bwe kirituuka) tebagenda kufuna buddukiro babe nga bakiwona.
وَتِلۡكَ ٱلۡقُرَىٰٓ أَهۡلَكۡنَٰهُمۡ لَمَّا ظَلَمُواْ وَجَعَلۡنَا لِمَهۡلِكِهِم مَّوۡعِدٗا
Open ayah 18:59Ebitundu ebyo (bye muliraanye, abantu bamu) twabazikiriza bwe beeyisa obubi era okuzikirira kwa bwe twakuwa ekiseera kwe mwe kwalina okutuukira.
وَإِذۡ قَالَ مُوسَىٰ لِفَتَىٰهُ لَآ أَبۡرَحُ حَتَّىٰٓ أَبۡلُغَ مَجۡمَعَ ٱلۡبَحۡرَيۡنِ أَوۡ أَمۡضِيَ حُقُبٗا
Open ayah 18:60Era jjukira Musa bwe yagamba omuweerezawe nti sijja kulekeraawo kutambula okutuusa lwe tunaatuuka enyanja ebbiri wezisisinkanira oba mmala byeya (kale mbimale).
فَلَمَّا بَلَغَا مَجۡمَعَ بَيۡنِهِمَا نَسِيَا حُوتَهُمَا فَٱتَّخَذَ سَبِيلَهُۥ فِي ٱلۡبَحۡرِ سَرَبٗا
Open ayah 18:61Olwo nno bwe baatuuka bombi ekifo wezisisinkanira beerabira ekyenyanja kyabwe nekikola ekkubo lyakyo munyanja nga kireseewo omuwulukwa.
فَلَمَّا جَاوَزَا قَالَ لِفَتَىٰهُ ءَاتِنَا غَدَآءَنَا لَقَدۡ لَقِينَا مِن سَفَرِنَا هَٰذَا نَصَبٗا
Open ayah 18:62Bwe baayita ku kifo ekyo (Musa) yagamba omuweerezawe nti leeta eno eky'okulya kyaffe mazima olugendo lwaffe luno tulusanzeemu obukalubo.
قَالَ أَرَءَيۡتَ إِذۡ أَوَيۡنَآ إِلَى ٱلصَّخۡرَةِ فَإِنِّي نَسِيتُ ٱلۡحُوتَ وَمَآ أَنسَىٰنِيهُ إِلَّا ٱلشَّيۡطَٰنُ أَنۡ أَذۡكُرَهُۥۚ وَٱتَّخَذَ سَبِيلَهُۥ فِي ٱلۡبَحۡرِ عَجَبٗا
Open ayah 18:63(Omuweerezawe) naagamba nti ojjukira wetwawummulidde ku lwazi, mazima nze neerabidde ekyenyanja tewali kyanneerabizza kukijjukira okugyako Sitane era awo wekyakoledde ekkubo mu nnyanja mu ngeri eyeewuunyisa.
قَالَ ذَٰلِكَ مَا كُنَّا نَبۡغِۚ فَٱرۡتَدَّا عَلَىٰٓ ءَاثَارِهِمَا قَصَصٗا
Open ayah 18:64(Musa) naagamba nti ekyo kyennyini kye tubadde tunoonya, olwo nno nebadda emabega nga bwe bazze nga banoonya ekifo (ekyo).
فَوَجَدَا عَبۡدٗا مِّنۡ عِبَادِنَآ ءَاتَيۡنَٰهُ رَحۡمَةٗ مِّنۡ عِندِنَا وَعَلَّمۡنَٰهُ مِن لَّدُنَّا عِلۡمٗا
Open ayah 18:65Nebasanga omuddu mu baddu baffe gwe twawa okusaasira okuva gye tuli, era netumuyigiriza okuva gye tuli okumanya (okw'enjawulo).
قَالَ لَهُۥ مُوسَىٰ هَلۡ أَتَّبِعُكَ عَلَىٰٓ أَن تُعَلِّمَنِ مِمَّا عُلِّمۡتَ رُشۡدٗا
Open ayah 18:66Musa naamugamba nti abaffe (onzikiriza) nkugoberere olwo nno obe nga onjigiriza ku bulungamu bwe wayigirizibwa?.
قَالَ إِنَّكَ لَن تَسۡتَطِيعَ مَعِيَ صَبۡرٗا
Open ayah 18:67(Hidhiri) naamuddamu nti mazima ggwe tojja kusobola kugumiikiriza nga oli nange.
وَكَيۡفَ تَصۡبِرُ عَلَىٰ مَا لَمۡ تُحِطۡ بِهِۦ خُبۡرٗا
Open ayah 18:68Onoogumiikiriza otya ku bintu byotalinaako kumanya.
قَالَ سَتَجِدُنِيٓ إِن شَآءَ ٱللَّهُ صَابِرٗا وَلَآ أَعۡصِي لَكَ أَمۡرٗا
Open ayah 18:69(Musa) naagamab nti Katonda bwanaaba akkirizza ojja ku nsanga nga ndi mugumiikiriza era sigenda kukujeemera mu kintu kyonna.
قَالَ فَإِنِ ٱتَّبَعۡتَنِي فَلَا تَسۡـَٔلۡنِي عَن شَيۡءٍ حَتَّىٰٓ أُحۡدِثَ لَكَ مِنۡهُ ذِكۡرٗا
Open ayah 18:70(Hidhiri) naagamba nti bwoba osazeewo okungoberera, tombuuza ku kintu kyonna okutuusa lwe nnaakufunira kye nkikubuulirako.
فَٱنطَلَقَا حَتَّىٰٓ إِذَا رَكِبَا فِي ٱلسَّفِينَةِ خَرَقَهَاۖ قَالَ أَخَرَقۡتَهَا لِتُغۡرِقَ أَهۡلَهَا لَقَدۡ جِئۡتَ شَيۡـًٔا إِمۡرٗا
Open ayah 18:71Olwo nno nebagenda, okutuusa nga bamaze okulinnya eryato (Hidhiri) naalissaako ekituli, (Musa) naagamba nti olitaddeko ekituli ozikirize abantu abalirimu mazima okoze ekintu kibi.
قَالَ أَلَمۡ أَقُلۡ إِنَّكَ لَن تَسۡتَطِيعَ مَعِيَ صَبۡرٗا
Open ayah 18:72(Hidhiri) naagamba nti: saakugambye nti mazima ggwe tojja kusobola kugumiikiriza nga oli nange.
قَالَ لَا تُؤَاخِذۡنِي بِمَا نَسِيتُ وَلَا تُرۡهِقۡنِي مِنۡ أَمۡرِي عُسۡرٗا
Open ayah 18:73(Musa) naagamba nti tonvunaana olw'ekyo kye nneerabidde era tontuusaako olw'ekigambo kyange (eky'okubeera naawe) buzito bwonna.
فَٱنطَلَقَا حَتَّىٰٓ إِذَا لَقِيَا غُلَٰمٗا فَقَتَلَهُۥ قَالَ أَقَتَلۡتَ نَفۡسٗا زَكِيَّةَۢ بِغَيۡرِ نَفۡسٖ لَّقَدۡ جِئۡتَ شَيۡـٔٗا نُّكۡرٗا
Open ayah 18:74Olwo nno nebagenda okutuusa lwe baasanga omulenzi, (Hidhiri) naamutta (Musa) naagamba nti osse omuntu atalina musango, atalina gwasse, mazima ekintu kyokoze kivve.
۞قَالَ أَلَمۡ أَقُل لَّكَ إِنَّكَ لَن تَسۡتَطِيعَ مَعِيَ صَبۡرٗا
Open ayah 18:75(Hidhiri) naagamba nti ssaakugambye nti mazima ggwe tojja kusobola kugumiikiriza nga oli nange.
قَالَ إِن سَأَلۡتُكَ عَن شَيۡءِۭ بَعۡدَهَا فَلَا تُصَٰحِبۡنِيۖ قَدۡ بَلَغۡتَ مِن لَّدُنِّي عُذۡرٗا
Open ayah 18:76(Musa) naagamba nti kenkubuuza ku kintu ekirala kyonna oluvanyuma lwa kino tonzikiriza kubeera naawe, mazima ofunye ensonga ekusonyiyisa ku nze.
فَٱنطَلَقَا حَتَّىٰٓ إِذَآ أَتَيَآ أَهۡلَ قَرۡيَةٍ ٱسۡتَطۡعَمَآ أَهۡلَهَا فَأَبَوۡاْ أَن يُضَيِّفُوهُمَا فَوَجَدَا فِيهَا جِدَارٗا يُرِيدُ أَن يَنقَضَّ فَأَقَامَهُۥۖ قَالَ لَوۡ شِئۡتَ لَتَّخَذۡتَ عَلَيۡهِ أَجۡرٗا
Open ayah 18:77Nebagenda bombi okutuusa lwe batuuka ku bantu b'omukitundu, nebasaba abantu baamu okubawa emmere naye baagaana okubafuula abagenyi baabwe, wabula baasanga mu kyo (ekitundu) ekisenge nga kyagala kugwa (Hidhiri) naakiddaabiriza (Musa) naagamba nti singa oyagadde waalikisabiddeko empeera (noosasulwa).
قَالَ هَٰذَا فِرَاقُ بَيۡنِي وَبَيۡنِكَۚ سَأُنَبِّئُكَ بِتَأۡوِيلِ مَا لَمۡ تَسۡتَطِع عَّلَيۡهِ صَبۡرًا
Open ayah 18:78(Hidhiri) naagamba nti: wano nze naawe wetwawukanidde, (wabula) ngenda kukubuulira amakulu g'ebyo byotaasobodde kugumiikiriza.
أَمَّا ٱلسَّفِينَةُ فَكَانَتۡ لِمَسَٰكِينَ يَعۡمَلُونَ فِي ٱلۡبَحۡرِ فَأَرَدتُّ أَنۡ أَعِيبَهَا وَكَانَ وَرَآءَهُم مَّلِكٞ يَأۡخُذُ كُلَّ سَفِينَةٍ غَصۡبٗا
Open ayah 18:79Lyo eryato lyabadde, lya ba Masikiini nga bapakasiza ku nnyanja, nagenderedde okulissaako akamogo, anti, mu maaso eyo waabaddeyo Kabaka nga atwala buli lyato eddungi mu ngeri ya bunyazi.
وَأَمَّا ٱلۡغُلَٰمُ فَكَانَ أَبَوَاهُ مُؤۡمِنَيۡنِ فَخَشِينَآ أَن يُرۡهِقَهُمَا طُغۡيَٰنٗا وَكُفۡرٗا
Open ayah 18:80Ate yye omulenzi bakaddebe bombi baali bakkiriza, netutya yye (omulenzi) okubatuusaako obuzibu bwokubula n'okukaafuwala.
فَأَرَدۡنَآ أَن يُبۡدِلَهُمَا رَبُّهُمَا خَيۡرٗا مِّنۡهُ زَكَوٰةٗ وَأَقۡرَبَ رُحۡمٗا
Open ayah 18:81Olwo nno twayagadde Mukama Omulabirizi wa bombi abawaanyisizeemu bombi ekirungi okusinga yye mubutukuvu, era asinga okuba omusaasizi.
وَأَمَّا ٱلۡجِدَارُ فَكَانَ لِغُلَٰمَيۡنِ يَتِيمَيۡنِ فِي ٱلۡمَدِينَةِ وَكَانَ تَحۡتَهُۥ كَنزٞ لَّهُمَا وَكَانَ أَبُوهُمَا صَٰلِحٗا فَأَرَادَ رَبُّكَ أَن يَبۡلُغَآ أَشُدَّهُمَا وَيَسۡتَخۡرِجَا كَنزَهُمَا رَحۡمَةٗ مِّن رَّبِّكَۚ وَمَا فَعَلۡتُهُۥ عَنۡ أَمۡرِيۚ ذَٰلِكَ تَأۡوِيلُ مَا لَمۡ تَسۡطِع عَّلَيۡهِ صَبۡرٗا
Open ayah 18:82Ate kyo ekisenge kyabadde kya balenzi babiri bamulekwa mu kibuga (ekyo), wansi waakyo waabaddeyo eby'ogugagga bya bombi era nga Kitaabwe wa bombi yali mulongoofu, olwo nno Mukama omulabiriziwo yayagala bombi okumala okusajjakula, olwo nno baggyeyo eby'obugagga byabwe bombi, ekyo nga kusaasira okuva eri Mukama Omulabiriziwo, era ssaakikoze lwa kusalawo kwange (wabula) bubaka obwavudde eri (Katonda), okwo nno kwe kunnyonnyola byotasobodde kugumiikiriza.
وَيَسۡـَٔلُونَكَ عَن ذِي ٱلۡقَرۡنَيۡنِۖ قُلۡ سَأَتۡلُواْ عَلَيۡكُم مِّنۡهُ ذِكۡرًا
Open ayah 18:83Bakubuuza ebikwata ku Dhul Karinaini, bagambe nti nja kubayitiramu ku bimukwatako.
إِنَّا مَكَّنَّا لَهُۥ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَءَاتَيۡنَٰهُ مِن كُلِّ شَيۡءٖ سَبَبٗا
Open ayah 18:84Mazima ffe twamuwa obusobozi mu nsi, era twamuwa ku buli kintu okumanya engeri gye kikolebwamu.
فَأَتۡبَعَ سَبَبًا
Open ayah 18:85Olwo nno naagoberera enkola (eyo).
حَتَّىٰٓ إِذَا بَلَغَ مَغۡرِبَ ٱلشَّمۡسِ وَجَدَهَا تَغۡرُبُ فِي عَيۡنٍ حَمِئَةٖ وَوَجَدَ عِندَهَا قَوۡمٗاۖ قُلۡنَا يَٰذَا ٱلۡقَرۡنَيۡنِ إِمَّآ أَن تُعَذِّبَ وَإِمَّآ أَن تَتَّخِذَ فِيهِمۡ حُسۡنٗا
Open ayah 18:86Okutuusa lwe yatuuka enjuba gyegwa, naagisanga nga erabika nga egwa mu luzzi olw'ettosi, era mu kitundu ekyo naasangayo abantu, netumugamba nti owange Dhul Karinaini, bwoba oyagadde osobola okubabonereza oba oyinza okubakolamu ekirungi.
قَالَ أَمَّا مَن ظَلَمَ فَسَوۡفَ نُعَذِّبُهُۥ ثُمَّ يُرَدُّ إِلَىٰ رَبِّهِۦ فَيُعَذِّبُهُۥ عَذَابٗا نُّكۡرٗا
Open ayah 18:87(Dhul Karinaini) naagamba nti oyo aneeyisa obubi tujja kumubonereza, ate oluvanyuma alizzibwa ewa Mukama Omulabirizewe, naamubonereza ebibonerezo ebisuffu.
وَأَمَّا مَنۡ ءَامَنَ وَعَمِلَ صَٰلِحٗا فَلَهُۥ جَزَآءً ٱلۡحُسۡنَىٰۖ وَسَنَقُولُ لَهُۥ مِنۡ أَمۡرِنَا يُسۡرٗا
Open ayah 18:88Naye oyo akkiriza naakola emirimu emirungi, agenda kusasulwa empeera ennungi era tugenda kumugamba ebigambo ebyangu okuva gye tuli.
ثُمَّ أَتۡبَعَ سَبَبًا
Open ayah 18:89Ate oluvanyuma naagoberera enkola eyo.
حَتَّىٰٓ إِذَا بَلَغَ مَطۡلِعَ ٱلشَّمۡسِ وَجَدَهَا تَطۡلُعُ عَلَىٰ قَوۡمٖ لَّمۡ نَجۡعَل لَّهُم مِّن دُونِهَا سِتۡرٗا
Open ayah 18:90Okutuusa lwe yatuuka enjuba gyeva naagisanga nga eviirayo ku bantu abo betutaawa kya kwebikka kuwona kwokya kwayo.
كَذَٰلِكَۖ وَقَدۡ أَحَطۡنَا بِمَا لَدَيۡهِ خُبۡرٗا
Open ayah 18:91Bwe tutyo bwe twakikola ate mazima byonna bye yalina, okumanya kwaffe kwali kubyetoolodde.
ثُمَّ أَتۡبَعَ سَبَبًا
Open ayah 18:92Ate oluvanyuma bwe yamala naagoberera enkola y'emu.
حَتَّىٰٓ إِذَا بَلَغَ بَيۡنَ ٱلسَّدَّيۡنِ وَجَدَ مِن دُونِهِمَا قَوۡمٗا لَّا يَكَادُونَ يَفۡقَهُونَ قَوۡلٗا
Open ayah 18:93Okutuusa lwe yatuuka wakati w'ensozi ebbiri, naasanga wakati wa zombiriri abantu, kumpi nga tebategeera kigambo kyonna.
قَالُواْ يَٰذَا ٱلۡقَرۡنَيۡنِ إِنَّ يَأۡجُوجَ وَمَأۡجُوجَ مُفۡسِدُونَ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَهَلۡ نَجۡعَلُ لَكَ خَرۡجًا عَلَىٰٓ أَن تَجۡعَلَ بَيۡنَنَا وَبَيۡنَهُمۡ سَدّٗا
Open ayah 18:94Nebagamba nti owange Dhul Karinaini mazima Yajuuja ne Majuuja boonoonyi mu nsi abaffe tukuteerewo empeera (tukupakase) obe nga otuteera wakati waffe nabo ekikomera.
قَالَ مَا مَكَّنِّي فِيهِ رَبِّي خَيۡرٞ فَأَعِينُونِي بِقُوَّةٍ أَجۡعَلۡ بَيۡنَكُمۡ وَبَيۡنَهُمۡ رَدۡمًا
Open ayah 18:95Naagamba nti ekyo kyonna Mukama Omulabirizi wange kyanansobozesa kinaaba kirungi, kale munyambe n'amaanyi nja kuteeka wakati wa mmwe nabo ekikomera (ekigumu).
ءَاتُونِي زُبَرَ ٱلۡحَدِيدِۖ حَتَّىٰٓ إِذَا سَاوَىٰ بَيۡنَ ٱلصَّدَفَيۡنِ قَالَ ٱنفُخُواْۖ حَتَّىٰٓ إِذَا جَعَلَهُۥ نَارٗا قَالَ ءَاتُونِيٓ أُفۡرِغۡ عَلَيۡهِ قِطۡرٗا
Open ayah 18:96Mundeetere ebitundu tundu bye byuma (bye baaleeta) okutuusa lwe yajjuza ebyuma mu bbanga eriri wakati w'ensozi ebbiri, naagamba nti mufuuwe (emivubo) okutuusa ekyuma lwe yakifuula omuliro naagamba nti mundeetere ekikomo ekisaanuuse naakifukirirako.
فَمَا ٱسۡطَٰعُوٓاْ أَن يَظۡهَرُوهُ وَمَا ٱسۡتَطَٰعُواْ لَهُۥ نَقۡبٗا
Open ayah 18:97(Yajuuja ne Majuuja) tebasobolangako kukirinya era nga bwe batasobolangako kukiwummulamu kituli.
قَالَ هَٰذَا رَحۡمَةٞ مِّن رَّبِّيۖ فَإِذَا جَآءَ وَعۡدُ رَبِّي جَعَلَهُۥ دَكَّآءَۖ وَكَانَ وَعۡدُ رَبِّي حَقّٗا
Open ayah 18:98(Dhul Karinaini) naagamba nti kuno kusaasira okuva eri Mukama Omulabirizi wange, n'olwekyo endagaano ya Mukama Omulabirizi wange bwelituuka, agenda kukifuula ekimerengufu, anti bulijjo endagaano ya Mukama omulabirizi wange ya mazima.
۞وَتَرَكۡنَا بَعۡضَهُمۡ يَوۡمَئِذٖ يَمُوجُ فِي بَعۡضٖۖ وَنُفِخَ فِي ٱلصُّورِ فَجَمَعۡنَٰهُمۡ جَمۡعٗا
Open ayah 18:99Tulireka abamu ku bo nebaba nga beekuluumulira mu bannaabwe nga balinga amayengo. Era engombe egenda kufuuyibwa olwo nno bonna tubakunganye.
وَعَرَضۡنَا جَهَنَّمَ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡكَٰفِرِينَ عَرۡضًا
Open ayah 18:100Ku lunaku olwo tugenda kusoosootola omuliro Jahannama eri abakaafiiri olusoosootola.
ٱلَّذِينَ كَانَتۡ أَعۡيُنُهُمۡ فِي غِطَآءٍ عَن ذِكۡرِي وَكَانُواْ لَا يَسۡتَطِيعُونَ سَمۡعًا
Open ayah 18:101Abo amaaso gaabwe agaali mu kubikkibwa nebatosobola kunjogerako era baali tebasobola kuwulira.
أَفَحَسِبَ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ أَن يَتَّخِذُواْ عِبَادِي مِن دُونِيٓ أَوۡلِيَآءَۚ إِنَّآ أَعۡتَدۡنَا جَهَنَّمَ لِلۡكَٰفِرِينَ نُزُلٗا
Open ayah 18:102Abaffe abo abakaafuwala basuubira okufuula abaddu bange abakuumi baabwe nze nebandekawo, nze nebansuulirira, mazima ffe twateekateeka Jahannama nga bwe butuulo bwa bakaafiiri.
قُلۡ هَلۡ نُنَبِّئُكُم بِٱلۡأَخۡسَرِينَ أَعۡمَٰلًا
Open ayah 18:103Abaffe tubabuulire abasinga okufaafaganirwa emirimu gya bwe.
ٱلَّذِينَ ضَلَّ سَعۡيُهُمۡ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا وَهُمۡ يَحۡسَبُونَ أَنَّهُمۡ يُحۡسِنُونَ صُنۡعًا
Open ayah 18:104Beebo okukola kwa bwe okubeera okwonoonefu mu bulamu obw'ensi, so nga ate bo balowooza nti bakola bulungi.
أُوْلَٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِـَٔايَٰتِ رَبِّهِمۡ وَلِقَآئِهِۦ فَحَبِطَتۡ أَعۡمَٰلُهُمۡ فَلَا نُقِيمُ لَهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ وَزۡنٗا
Open ayah 18:105Abo beebo abawakanya ebigambo bya Mukama omulabirizi waabwe, era nebawakanya okumusisinkana, olwo nno emirimu gya bwe negifaafaagana, n'olwekyo ku lunaku lw'enkomerero, tetugenda kubalabamu buzito bwonna.
ذَٰلِكَ جَزَآؤُهُمۡ جَهَنَّمُ بِمَا كَفَرُواْ وَٱتَّخَذُوٓاْ ءَايَٰتِي وَرُسُلِي هُزُوًا
Open ayah 18:106Bwe kityo nno empeera yaabwe muliro Jahannama olw'ebyo bye baawakanya era nebafuula obubonero bwange n'ababaka bange ekisekererwa.
إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ كَانَتۡ لَهُمۡ جَنَّٰتُ ٱلۡفِرۡدَوۡسِ نُزُلًا
Open ayah 18:107Mazima abo abakkiriza era nebakola emirimu emirongoofu, e jjana eza Firidausi, bwe buliba obutuulo bwa bwe.
خَٰلِدِينَ فِيهَا لَا يَبۡغُونَ عَنۡهَا حِوَلٗا
Open ayah 18:108Bakuzibeeramu olubeerera tebagenda kwetaaga kukyusibwa kuva mu zo.
قُل لَّوۡ كَانَ ٱلۡبَحۡرُ مِدَادٗا لِّكَلِمَٰتِ رَبِّي لَنَفِدَ ٱلۡبَحۡرُ قَبۡلَ أَن تَنفَدَ كَلِمَٰتُ رَبِّي وَلَوۡ جِئۡنَا بِمِثۡلِهِۦ مَدَدٗا
Open ayah 18:109Gamba nti singa ennyanja zaali nga ye bwino (akozesebwa mu kuwandiika) ebigambo bya Mukama omulabirizi wange, ennyanja zandikalidde, nga ebigambo bya Mukama omulabirizi wange tebinnagwayo, nebwetandireese ennyanja ezenkana eziriwo zibe nga ziziyamba.
قُلۡ إِنَّمَآ أَنَا۠ بَشَرٞ مِّثۡلُكُمۡ يُوحَىٰٓ إِلَيَّ أَنَّمَآ إِلَٰهُكُمۡ إِلَٰهٞ وَٰحِدٞۖ فَمَن كَانَ يَرۡجُواْ لِقَآءَ رَبِّهِۦ فَلۡيَعۡمَلۡ عَمَلٗا صَٰلِحٗا وَلَا يُشۡرِكۡ بِعِبَادَةِ رَبِّهِۦٓ أَحَدَۢا
Open ayah 18:110Bagambe nti mazima nze ndi muntu nga mmwe, (wabula) nfuna obubaka nga bugamba nti mazima Katonda wa mmwe ali omu, kale nno, buli yenna asuubira okusisinkana Mukama omulabiriziwe ateekwa okukola emirimu emirungi era mu kusinza n’atagatta kintu kyonna ku Mukama Omulabiriziwe.