الأنبياء
Al-Anbiyaa
Translation: Luganda - African Institution · Open the surah
بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ
ٱقۡتَرَبَ لِلنَّاسِ حِسَابُهُمۡ وَهُمۡ فِي غَفۡلَةٖ مُّعۡرِضُونَ
Open ayah 21:1Kusemberedde abantu okubalibwa kwa bwe nga bo bali mu butafaayo, era nga bo bakola byennyume.
مَا يَأۡتِيهِم مِّن ذِكۡرٖ مِّن رَّبِّهِم مُّحۡدَثٍ إِلَّا ٱسۡتَمَعُوهُ وَهُمۡ يَلۡعَبُونَ
Open ayah 21:2Tewali kujjukiza kwonna kubajjira okupya okuva ewa Mukama omulabirizi waabwe okugyako okuba nti bakuwuliriza nga bwe bazannya.
لَاهِيَةٗ قُلُوبُهُمۡۗ وَأَسَرُّواْ ٱلنَّجۡوَى ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ هَلۡ هَٰذَآ إِلَّا بَشَرٞ مِّثۡلُكُمۡۖ أَفَتَأۡتُونَ ٱلسِّحۡرَ وَأَنتُمۡ تُبۡصِرُونَ
Open ayah 21:3Emitima gya bwe nga miragajjavu, abo abeeyisa obubi ne boogera mu kyama nga bagamba nti, abaffe ono alina kyali okugyako okuba nti muntu nga mmwe, abaffe mugenda ku ddogo nga nammwe mulabira ddala!.
قَالَ رَبِّي يَعۡلَمُ ٱلۡقَوۡلَ فِي ٱلسَّمَآءِ وَٱلۡأَرۡضِۖ وَهُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ
Open ayah 21:4(Nabbi Muhammad) naagamba nti: Mukama omulabirizi wange amanyi ekigambo ekiri mu ggulu ne mu nsi era yye y'awulira ennyo, amanyi ennyo.
بَلۡ قَالُوٓاْ أَضۡغَٰثُ أَحۡلَٰمِۭ بَلِ ٱفۡتَرَىٰهُ بَلۡ هُوَ شَاعِرٞ فَلۡيَأۡتِنَا بِـَٔايَةٖ كَمَآ أُرۡسِلَ ٱلۡأَوَّلُونَ
Open ayah 21:5(Wabula Abakaafiiri) baagamba nti: okwo kulogojjana mu kuloota oba ye yennyini yaabyegunjirawo, si nakindi yye mutontomi, (bwaba ayagala tukkirize byagamba) kale atuleetere akabonero nga abaasooka bwe baatumwa.
مَآ ءَامَنَتۡ قَبۡلَهُم مِّن قَرۡيَةٍ أَهۡلَكۡنَٰهَآۖ أَفَهُمۡ يُؤۡمِنُونَ
Open ayah 21:6Tewali kitundu kye twazikiriza nga abantu ba mu bakkiriza, abaffe bo be banakkiriza!.
وَمَآ أَرۡسَلۡنَا قَبۡلَكَ إِلَّا رِجَالٗا نُّوحِيٓ إِلَيۡهِمۡۖ فَسۡـَٔلُوٓاْ أَهۡلَ ٱلذِّكۡرِ إِن كُنتُمۡ لَا تَعۡلَمُونَ
Open ayah 21:7Oluberyeberyelwo tetwatumanga okugyako basajja nga tubawa obubaka kale mubuuze abalina okumanya bwe muba nga temumanyi.
وَمَا جَعَلۡنَٰهُمۡ جَسَدٗا لَّا يَأۡكُلُونَ ٱلطَّعَامَ وَمَا كَانُواْ خَٰلِدِينَ
Open ayah 21:8Era tetwafuula (ba Nabbi) mubiri nga tebalya mmere (nga ba Malayika) era tebaali ba kubeera mu nsi lubeerera.
ثُمَّ صَدَقۡنَٰهُمُ ٱلۡوَعۡدَ فَأَنجَيۡنَٰهُمۡ وَمَن نَّشَآءُ وَأَهۡلَكۡنَا ٱلۡمُسۡرِفِينَ
Open ayah 21:9Oluvanyuma twabatuukiririza endagaano (gye twabawa) netubawonya awamu n'abo be twayagala era netuzikiriza abaayonoona ekisukkiridde.
لَقَدۡ أَنزَلۡنَآ إِلَيۡكُمۡ كِتَٰبٗا فِيهِ ذِكۡرُكُمۡۚ أَفَلَا تَعۡقِلُونَ
Open ayah 21:10Mazima twabassiza ekitabo (Kur’ane) nga kirimu okwogera ku kitiibwa kya mmwe abaffe temutegeera!.
وَكَمۡ قَصَمۡنَا مِن قَرۡيَةٖ كَانَتۡ ظَالِمَةٗ وَأَنشَأۡنَا بَعۡدَهَا قَوۡمًا ءَاخَرِينَ
Open ayah 21:11Ebyalo bimeka bye twazikiriza ebyali byeyisa obubi olwo nno netuleeta abantu abalala (oluvanyuma lwa bwe).
فَلَمَّآ أَحَسُّواْ بَأۡسَنَآ إِذَا هُم مِّنۡهَا يَرۡكُضُونَ
Open ayah 21:12Bwe baamala okumanya nti ebibonerezo byaffe bijja olwo nnonebabidduka.
لَا تَرۡكُضُواْ وَٱرۡجِعُوٓاْ إِلَىٰ مَآ أُتۡرِفۡتُمۡ فِيهِ وَمَسَٰكِنِكُمۡ لَعَلَّكُمۡ تُسۡـَٔلُونَ
Open ayah 21:13(Baagambibwa) nti temudduka era mudde eri ebyo bye mubadde mweyagaliramu era mudde mu mayumba gammwe luliba lumu mulibuuzibwa.
قَالُواْ يَٰوَيۡلَنَآ إِنَّا كُنَّا ظَٰلِمِينَ
Open ayah 21:14Nebagamba nti: zitusanze mazima ffe twali tweyisa bubi.
فَمَا زَالَت تِّلۡكَ دَعۡوَىٰهُمۡ حَتَّىٰ جَعَلۡنَٰهُمۡ حَصِيدًا خَٰمِدِينَ
Open ayah 21:15Okuwanjaga kwa bwe okwo kwali bwe kutyo okutuusa lwe twabafuula nga ennimiro ekunguddwa ne ggwawo.
وَمَا خَلَقۡنَا ٱلسَّمَآءَ وَٱلۡأَرۡضَ وَمَا بَيۡنَهُمَا لَٰعِبِينَ
Open ayah 21:16Tetwatonda eggulu n'ensi n'ebiri wakati wa byombi nga bya muzannyo.
لَوۡ أَرَدۡنَآ أَن نَّتَّخِذَ لَهۡوٗا لَّٱتَّخَذۡنَٰهُ مِن لَّدُنَّآ إِن كُنَّا فَٰعِلِينَ
Open ayah 21:17Singa twayagala kweteerawo muzannyo, twaligukoze mu bano abali eno gye tuli singa twali ba kukikola.
بَلۡ نَقۡذِفُ بِٱلۡحَقِّ عَلَى ٱلۡبَٰطِلِ فَيَدۡمَغُهُۥ فَإِذَا هُوَ زَاهِقٞۚ وَلَكُمُ ٱلۡوَيۡلُ مِمَّا تَصِفُونَ
Open ayah 21:18Wabula tukasuka amazima ku bulimba negabuggyawo, olwo nno bwo nebuvaawo era mugenda kubonerezebwa olw'ebyo bye mwogera.
وَلَهُۥ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ وَمَنۡ عِندَهُۥ لَا يَسۡتَكۡبِرُونَ عَنۡ عِبَادَتِهِۦ وَلَا يَسۡتَحۡسِرُونَ
Open ayah 21:19Bibye ebyo byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi, n'abo abali waali tebeekuluntaza ku kumusinza era tebakaluubirirwa.
يُسَبِّحُونَ ٱلَّيۡلَ وَٱلنَّهَارَ لَا يَفۡتُرُونَ
Open ayah 21:20Batendereza (Katonda) emisana n'ekiro tebakoowa.
أَمِ ٱتَّخَذُوٓاْ ءَالِهَةٗ مِّنَ ٱلۡأَرۡضِ هُمۡ يُنشِرُونَ
Open ayah 21:21Oba beeteerawo ba Katonda nga ba ku nsi nga bo be balizuukiza (abafu).
لَوۡ كَانَ فِيهِمَآ ءَالِهَةٌ إِلَّا ٱللَّهُ لَفَسَدَتَاۚ فَسُبۡحَٰنَ ٱللَّهِ رَبِّ ٱلۡعَرۡشِ عَمَّا يَصِفُونَ
Open ayah 21:22Singa (ensi n'eggulu) byalimu ba katonda abalala atali Katonda omu byombi byaliyonoonese, (ekyo nno kikulage) nti yasukkuluma Katonda Mukama omulabirizi wa Arishi kw'ebyo bye boogera.
لَا يُسۡـَٔلُ عَمَّا يَفۡعَلُ وَهُمۡ يُسۡـَٔلُونَ
Open ayah 21:23Tabuuzibwa ku byakola ate bo babuuzibwa.
أَمِ ٱتَّخَذُواْ مِن دُونِهِۦٓ ءَالِهَةٗۖ قُلۡ هَاتُواْ بُرۡهَٰنَكُمۡۖ هَٰذَا ذِكۡرُ مَن مَّعِيَ وَذِكۡرُ مَن قَبۡلِيۚ بَلۡ أَكۡثَرُهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ ٱلۡحَقَّۖ فَهُم مُّعۡرِضُونَ
Open ayah 21:24Abo bateekawo ba katonda ne baleka Katonda omu, gamba nti muleete obujulizi bwa mmwe (ku ekyo). Kuno kwe kubuulirira abali nange era kwe kubuulirira kw'abo abaakulembera wabula abasinga obungi mu bo (Abakaafiiri) tebamanyi mazima olwo nno bo bagakuba amabega.
وَمَآ أَرۡسَلۡنَا مِن قَبۡلِكَ مِن رَّسُولٍ إِلَّا نُوحِيٓ إِلَيۡهِ أَنَّهُۥ لَآ إِلَٰهَ إِلَّآ أَنَا۠ فَٱعۡبُدُونِ
Open ayah 21:25Era tetwatuma oluberyeberyelwo Mubaka yenna okugyako nga tumutumira obubaka nti tewali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako nze (Katonda) kale munsinze.
وَقَالُواْ ٱتَّخَذَ ٱلرَّحۡمَٰنُ وَلَدٗاۗ سُبۡحَٰنَهُۥۚ بَلۡ عِبَادٞ مُّكۡرَمُونَ
Open ayah 21:26Era baagamba nti: Katonda ow'ekisa ekingi yeeteerawo omwana, musukkulumu (ku ebyo byonna) wabula (ba malayika bebamugattako) baddu abaweebwa ekitiibwa.
لَا يَسۡبِقُونَهُۥ بِٱلۡقَوۡلِ وَهُم بِأَمۡرِهِۦ يَعۡمَلُونَ
Open ayah 21:27Tebayinza kumukulembera na kigambo era bbo bakolera ku kiragirokye.
يَعۡلَمُ مَا بَيۡنَ أَيۡدِيهِمۡ وَمَا خَلۡفَهُمۡ وَلَا يَشۡفَعُونَ إِلَّا لِمَنِ ٱرۡتَضَىٰ وَهُم مِّنۡ خَشۡيَتِهِۦ مُشۡفِقُونَ
Open ayah 21:28Amanyi ebyo ebiri mu maaso gaabwe n'ebyo ebiri emabega waabwe, tebagenda kuwolereza okugyako oyo gwaliba asiimye nabo olw'okumutya beegendereza.
۞وَمَن يَقُلۡ مِنۡهُمۡ إِنِّيٓ إِلَٰهٞ مِّن دُونِهِۦ فَذَٰلِكَ نَجۡزِيهِ جَهَنَّمَۚ كَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلظَّٰلِمِينَ
Open ayah 21:29Oyo yenna mubo agamba nti mazima nze ndi Katonda naaleka Katonda omu, oyo tugenda kumusasula omuliro Jahannama. Bwe tutyo bwe tusasula abeeyisa obubi.
أَوَلَمۡ يَرَ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ أَنَّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ كَانَتَا رَتۡقٗا فَفَتَقۡنَٰهُمَاۖ وَجَعَلۡنَا مِنَ ٱلۡمَآءِ كُلَّ شَيۡءٍ حَيٍّۚ أَفَلَا يُؤۡمِنُونَ
Open ayah 21:30Abo abaakaafuwala tebakiraba nti mazima eggulu omusanvu n'ensi byali kitole netubyabuluzaamu era netuggya mu mazzi buli kintu ekiramu abaffe tebakkiriza!.
وَجَعَلۡنَا فِي ٱلۡأَرۡضِ رَوَٰسِيَ أَن تَمِيدَ بِهِمۡ وَجَعَلۡنَا فِيهَا فِجَاجٗا سُبُلٗا لَّعَلَّهُمۡ يَهۡتَدُونَ
Open ayah 21:31Era netussa mu nsi ensozi ebe nga tebayuuza era netussa mu yo amakubo kibayambe okumanya gye balaga.
وَجَعَلۡنَا ٱلسَّمَآءَ سَقۡفٗا مَّحۡفُوظٗاۖ وَهُمۡ عَنۡ ءَايَٰتِهَا مُعۡرِضُونَ
Open ayah 21:32Era netufuula eggulu akasolya akakuumibwa, wabula bbo tebafaayo ku bya magero bya byo (ebya byonna ebyogeddwa waggulu).
وَهُوَ ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلَّيۡلَ وَٱلنَّهَارَ وَٱلشَّمۡسَ وَٱلۡقَمَرَۖ كُلّٞ فِي فَلَكٖ يَسۡبَحُونَ
Open ayah 21:33Era (Katonda) yye yooyo eyatonda ekiro n'emisana n'enjuba n'omwezi buli kimu kiri mu bbanga (nga byonna) biwuga.
وَمَا جَعَلۡنَا لِبَشَرٖ مِّن قَبۡلِكَ ٱلۡخُلۡدَۖ أَفَإِيْن مِّتَّ فَهُمُ ٱلۡخَٰلِدُونَ
Open ayah 21:34Era tetuwanga muntu yenna oluberyeberyelwo buwangaazi obw'olubeerera, bwoba ofudde bo be b'okubeerawo olubeerera.
كُلُّ نَفۡسٖ ذَآئِقَةُ ٱلۡمَوۡتِۗ وَنَبۡلُوكُم بِٱلشَّرِّ وَٱلۡخَيۡرِ فِتۡنَةٗۖ وَإِلَيۡنَا تُرۡجَعُونَ
Open ayah 21:35Buli muntu wa kukomba ku kufa era tubagezesa n'obubi n'obulungi nga kikemo era gye tuli gye mulizzibwa.
وَإِذَا رَءَاكَ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ إِن يَتَّخِذُونَكَ إِلَّا هُزُوًا أَهَٰذَا ٱلَّذِي يَذۡكُرُ ءَالِهَتَكُمۡ وَهُم بِذِكۡرِ ٱلرَّحۡمَٰنِ هُمۡ كَٰفِرُونَ
Open ayah 21:36Abaakaafuwala bwe bakulaba tebakufuula okugyako eky'omuzannyo (ne bagamba) nti ono y'oyo ayogera ku bye musinza nga nabo bawakanya okwogera ku Katonda ow'ekisa ekingi.
خُلِقَ ٱلۡإِنسَٰنُ مِنۡ عَجَلٖۚ سَأُوْرِيكُمۡ ءَايَٰتِي فَلَا تَسۡتَعۡجِلُونِ
Open ayah 21:37Omuntu yatondebwa nga ayanguyiriza nja ku balaga obubonerero bwange kale temunsaba kubanguyiriza bibonerezo.
وَيَقُولُونَ مَتَىٰ هَٰذَا ٱلۡوَعۡدُ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ
Open ayah 21:38Era abakaafiiri bagamba nti ekiragaanyiso ekyo kiribaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima.
لَوۡ يَعۡلَمُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ حِينَ لَا يَكُفُّونَ عَن وُجُوهِهِمُ ٱلنَّارَ وَلَا عَن ظُهُورِهِمۡ وَلَا هُمۡ يُنصَرُونَ
Open ayah 21:39Abo abaakaafuwala singa bamanyi (ekiribaawo) mu kiseera we batalisobolera kuziyiza muliro kutuuka ku byenyi bya bwe wadde e migongo gya bwe, era nga tebagenda kutaasibwa.
بَلۡ تَأۡتِيهِم بَغۡتَةٗ فَتَبۡهَتُهُمۡ فَلَا يَسۡتَطِيعُونَ رَدَّهَا وَلَا هُمۡ يُنظَرُونَ
Open ayah 21:40Wabula biribatuukako kibwatukira nebibakanga, tebalisobola kubizzayo era si baakulindirizibwa.
وَلَقَدِ ٱسۡتُهۡزِئَ بِرُسُلٖ مِّن قَبۡلِكَ فَحَاقَ بِٱلَّذِينَ سَخِرُواْ مِنۡهُم مَّا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ
Open ayah 21:41Mazima ababaka (bangi) baagyejebwa olubereberyelwo, nebituuka ku abo abaabanyoomanga ebyo bye baalinga bajeeja. (Abo abaali babajeeja baatuukibwako ebibonerezo bye baali bajeeja)
قُلۡ مَن يَكۡلَؤُكُم بِٱلَّيۡلِ وَٱلنَّهَارِ مِنَ ٱلرَّحۡمَٰنِۚ بَلۡ هُمۡ عَن ذِكۡرِ رَبِّهِم مُّعۡرِضُونَ
Open ayah 21:42Bagambe nti ani abakuuma ekiro n'emisana okubawonya ekyandibatuseeko okuva ewa Katonda ow'ekisa ekingi wabula bbo abatakkiriza beesamba okwogera ku Mukama omulabirizi waabwe.
أَمۡ لَهُمۡ ءَالِهَةٞ تَمۡنَعُهُم مِّن دُونِنَاۚ لَا يَسۡتَطِيعُونَ نَصۡرَ أَنفُسِهِمۡ وَلَا هُم مِّنَّا يُصۡحَبُونَ
Open ayah 21:43Abaffe balina ba katonda abalibawonya ku ffe abatali ffe (ba katonda baabwe bennyini) tebagenda kusobola kwetaasa era tebagenda kufuna gwe baliba naye abawonya ku ffe.
بَلۡ مَتَّعۡنَا هَٰٓؤُلَآءِ وَءَابَآءَهُمۡ حَتَّىٰ طَالَ عَلَيۡهِمُ ٱلۡعُمُرُۗ أَفَلَا يَرَوۡنَ أَنَّا نَأۡتِي ٱلۡأَرۡضَ نَنقُصُهَا مِنۡ أَطۡرَافِهَآۚ أَفَهُمُ ٱلۡغَٰلِبُونَ
Open ayah 21:44Wabula twabawa bo ne bakitaabwe okweyagala, okutuusa obuwangaazi lwe bwabawanvuwako, abaffe tebalaba nti mazima ffe, tuddira ensi netugikendeeza okuva ku nsalo zaayo abaffe bo be b'okulema!.
قُلۡ إِنَّمَآ أُنذِرُكُم بِٱلۡوَحۡيِۚ وَلَا يَسۡمَعُ ٱلصُّمُّ ٱلدُّعَآءَ إِذَا مَا يُنذَرُونَ
Open ayah 21:45Bagambe nti mazima mbatiisa nga nkozesa obubaka, wabula ba kiggala tebawulira kukoowoola bwe baba balabuddwa.
وَلَئِن مَّسَّتۡهُمۡ نَفۡحَةٞ مِّنۡ عَذَابِ رَبِّكَ لَيَقُولُنَّ يَٰوَيۡلَنَآ إِنَّا كُنَّا ظَٰلِمِينَ
Open ayah 21:46So nga bwe balituukwako akatundu ku bibonerezo bya Mukama omulabiriziwo bagenda kugambira ddala nti zitusanze mazima ffe tubadde tweyisa bubi.
وَنَضَعُ ٱلۡمَوَٰزِينَ ٱلۡقِسۡطَ لِيَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ فَلَا تُظۡلَمُ نَفۡسٞ شَيۡـٔٗاۖ وَإِن كَانَ مِثۡقَالَ حَبَّةٖ مِّنۡ خَرۡدَلٍ أَتَيۡنَا بِهَاۗ وَكَفَىٰ بِنَا حَٰسِبِينَ
Open ayah 21:47Tugenda kussaawo minzane entuufu ezirikozesebwa ku lunaku lw'enkomerero, olwo nno tewali muntu aliryazaamaanyizibwa kintu kyonna, ne bwe kiriba kyenkana obuzito bwe mpeke ya khardali tugenda kukireeta. Kimala bumazi okuba nti ffe tuliba ababazi.
وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا مُوسَىٰ وَهَٰرُونَ ٱلۡفُرۡقَانَ وَضِيَآءٗ وَذِكۡرٗا لِّلۡمُتَّقِينَ
Open ayah 21:48Twawa Musa ne Haruna amateeka (Taurat) agaawula wakati wa mazima n'obulimba era nga kitangaaala era nga kya kubuulirira eri abatya Katonda.
ٱلَّذِينَ يَخۡشَوۡنَ رَبَّهُم بِٱلۡغَيۡبِ وَهُم مِّنَ ٱلسَّاعَةِ مُشۡفِقُونَ
Open ayah 21:49Abo abatya Mukama omulabirizi waabwe awamu n'okuba nga tebamulaba era nga nabo beeraliikirira ekiseera ky'enkomerero.
وَهَٰذَا ذِكۡرٞ مُّبَارَكٌ أَنزَلۡنَٰهُۚ أَفَأَنتُمۡ لَهُۥ مُنكِرُونَ
Open ayah 21:50Eno (k’urane) kubuulirira okw'omukisa kwe twassa, abaffe mugiwakanya?.
۞وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَآ إِبۡرَٰهِيمَ رُشۡدَهُۥ مِن قَبۡلُ وَكُنَّا بِهِۦ عَٰلِمِينَ
Open ayah 21:51Mazima twawa Ibrahim obulungamubwe okuva oluberyeberye era twali tumanyi ebimukwatako.
إِذۡ قَالَ لِأَبِيهِ وَقَوۡمِهِۦ مَا هَٰذِهِ ٱلتَّمَاثِيلُ ٱلَّتِيٓ أَنتُمۡ لَهَا عَٰكِفُونَ
Open ayah 21:52Jjukira bwe yagamba kitaawe n'abantu be nti: bifaananyi ki bino, ebyo mmwe bye mulemeddeko!.
قَالُواْ وَجَدۡنَآ ءَابَآءَنَا لَهَا عَٰبِدِينَ
Open ayah 21:53Nebagamba nti twasanga bakadde baffe nga byebasinza.
قَالَ لَقَدۡ كُنتُمۡ أَنتُمۡ وَءَابَآؤُكُمۡ فِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٖ
Open ayah 21:54(Ibrahim) naagamba nti mazima mmwe ne bakadde ba mmwe mwali mu bubuze obw'olwatu.
قَالُوٓاْ أَجِئۡتَنَا بِٱلۡحَقِّ أَمۡ أَنتَ مِنَ ٱللَّٰعِبِينَ
Open ayah 21:55Nebagamba nti otuleetedde mazima oba oli mu ba kazannyirizi.
قَالَ بَل رَّبُّكُمۡ رَبُّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ ٱلَّذِي فَطَرَهُنَّ وَأَنَا۠ عَلَىٰ ذَٰلِكُم مِّنَ ٱلشَّٰهِدِينَ
Open ayah 21:56Naagamba nti wabula Mukama omulabirizi wa mmwe, ye Mukama omulabirizi w'eggulu (omusanvu) n'ensi oyo eyabitonda nange ku ekyo ndi omu ku bajulizi.
وَتَٱللَّهِ لَأَكِيدَنَّ أَصۡنَٰمَكُم بَعۡدَ أَن تُوَلُّواْ مُدۡبِرِينَ
Open ayah 21:57Era ndayira Katonda amasanamu ga mmwe nja kugasalira amagezi singa munaaba mugaleseewo ne mubaako wemulaga.
فَجَعَلَهُمۡ جُذَٰذًا إِلَّا كَبِيرٗا لَّهُمۡ لَعَلَّهُمۡ إِلَيۡهِ يَرۡجِعُونَ
Open ayah 21:58(Yagabetenta) naagafuula bubajjo okugyako (essanamu) erigasinga obunene, olwo nno badde gye liri (lye baba babuuza).
قَالُواْ مَن فَعَلَ هَٰذَا بِـَٔالِهَتِنَآ إِنَّهُۥ لَمِنَ ٱلظَّٰلِمِينَ
Open ayah 21:59(Bwe badda) nebagamba nti ani akoze kino ku ba katonda baffe, mazima yye ali mu beeyisa obubi.
قَالُواْ سَمِعۡنَا فَتٗى يَذۡكُرُهُمۡ يُقَالُ لَهُۥٓ إِبۡرَٰهِيمُ
Open ayah 21:60Nebagamba nti twawulidde omuvubuka ayitibwa Ibrahim nga agoogerako.
قَالُواْ فَأۡتُواْ بِهِۦ عَلَىٰٓ أَعۡيُنِ ٱلنَّاسِ لَعَلَّهُمۡ يَشۡهَدُونَ
Open ayah 21:61Nebagamba nti kale mumuleete mu maaso g'abantu bamuweeko obujulizi.
قَالُوٓاْ ءَأَنتَ فَعَلۡتَ هَٰذَا بِـَٔالِهَتِنَا يَٰٓإِبۡرَٰهِيمُ
Open ayah 21:62(Bwe baamutuusa) nebamugamba nti: Gwe wakoze kino ku ba katonda baffe owange Ibrahim!.
قَالَ بَلۡ فَعَلَهُۥ كَبِيرُهُمۡ هَٰذَا فَسۡـَٔلُوهُمۡ إِن كَانُواْ يَنطِقُونَ
Open ayah 21:63Naabagamba nti: nedda omukulu waabwe ono ye yakikoze, kale mubabuuze bwe baba nga baatula.
فَرَجَعُوٓاْ إِلَىٰٓ أَنفُسِهِمۡ فَقَالُوٓاْ إِنَّكُمۡ أَنتُمُ ٱلظَّٰلِمُونَ
Open ayah 21:64Nebeetunulako nebagamba nti mazima mmwe, mmwe abeeyisa obubi.
ثُمَّ نُكِسُواْ عَلَىٰ رُءُوسِهِمۡ لَقَدۡ عَلِمۡتَ مَا هَٰٓؤُلَآءِ يَنطِقُونَ
Open ayah 21:65Ate oluvanyuma (lw'ekyo) beekyusa, (mu kifo ky'okwenenya baalemera ku bukaafiiri era nebagamba nti) mazima okimanyi nti amasanamu ago tegoogera.
قَالَ أَفَتَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ مَا لَا يَنفَعُكُمۡ شَيۡـٔٗا وَلَا يَضُرُّكُمۡ
Open ayah 21:66(Ibrahim) naagamba nti ate muva ku Katonda nemusinza ebitabagasa kantu konna wadde okubatuusaako akabi.
أُفّٖ لَّكُمۡ وَلِمَا تَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِۚ أَفَلَا تَعۡقِلُونَ
Open ayah 21:67Kivve ku mmwe, lwaki musinza ebintu ebirala nemuleka Katonda abaffe temutegeera!.
قَالُواْ حَرِّقُوهُ وَٱنصُرُوٓاْ ءَالِهَتَكُمۡ إِن كُنتُمۡ فَٰعِلِينَ
Open ayah 21:68Nebagamba nti (oba bwatyo bwagamba) mumwokye mutaase ba katonda ba mmwe bwe muba nga mulina kye munaakola.
قُلۡنَا يَٰنَارُ كُونِي بَرۡدٗا وَسَلَٰمًا عَلَىٰٓ إِبۡرَٰهِيمَ
Open ayah 21:69Netugamba nti owange muliro beera bunnyogovu era mirembe ku Ibrahim.
وَأَرَادُواْ بِهِۦ كَيۡدٗا فَجَعَلۡنَٰهُمُ ٱلۡأَخۡسَرِينَ
Open ayah 21:70Baayagala okumukolera olukwe naye twabafuula abataalufunamu.
وَنَجَّيۡنَٰهُ وَلُوطًا إِلَى ٱلۡأَرۡضِ ٱلَّتِي بَٰرَكۡنَا فِيهَا لِلۡعَٰلَمِينَ
Open ayah 21:71Netumuwonya netuwonya ne Luutu netubatwala mu nsi gye twawa omukisa ku lw'ebitonde.
وَوَهَبۡنَا لَهُۥٓ إِسۡحَٰقَ وَيَعۡقُوبَ نَافِلَةٗۖ وَكُلّٗا جَعَلۡنَا صَٰلِحِينَ
Open ayah 21:72Twamugabira Ishaka ne Yakubu nga nnyongeza, bonna twabafuula balongoofu.
وَجَعَلۡنَٰهُمۡ أَئِمَّةٗ يَهۡدُونَ بِأَمۡرِنَا وَأَوۡحَيۡنَآ إِلَيۡهِمۡ فِعۡلَ ٱلۡخَيۡرَٰتِ وَإِقَامَ ٱلصَّلَوٰةِ وَإِيتَآءَ ٱلزَّكَوٰةِۖ وَكَانُواْ لَنَا عَٰبِدِينَ
Open ayah 21:73Era twabafuula abakulembeze nga balungamya olw'ekiragiro kyaffe, era twabatumira nti (bateekwa) okukola obulungi n'okuyimirizaawo e sswala n'okutoola zzaka era baali batusinza.
وَلُوطًا ءَاتَيۡنَٰهُ حُكۡمٗا وَعِلۡمٗا وَنَجَّيۡنَٰهُ مِنَ ٱلۡقَرۡيَةِ ٱلَّتِي كَانَت تَّعۡمَلُ ٱلۡخَبَٰٓئِثَۚ إِنَّهُمۡ كَانُواْ قَوۡمَ سَوۡءٖ فَٰسِقِينَ
Open ayah 21:74Ne Luutu twamuwa okusengejja ensonga n'okumanya era twamuwonya netumuggya mu kitundu ekyali kikola ebyonoono mazima bo baali bantu ba kibi aboonoonyi.
وَأَدۡخَلۡنَٰهُ فِي رَحۡمَتِنَآۖ إِنَّهُۥ مِنَ ٱلصَّٰلِحِينَ
Open ayah 21:75Era twamuyingiza mu kusaasira kwaffe mazima yye wa mu balongoofu.
وَنُوحًا إِذۡ نَادَىٰ مِن قَبۡلُ فَٱسۡتَجَبۡنَا لَهُۥ فَنَجَّيۡنَٰهُ وَأَهۡلَهُۥ مِنَ ٱلۡكَرۡبِ ٱلۡعَظِيمِ
Open ayah 21:76Era (mujjukire) Nuhu bwe yasaba oluberyeberye nga abantu (bamulemeredde) netwanukula okusaba kwe netumuwonya wamu n’abantube mu kabi akanene.
وَنَصَرۡنَٰهُ مِنَ ٱلۡقَوۡمِ ٱلَّذِينَ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَآۚ إِنَّهُمۡ كَانُواْ قَوۡمَ سَوۡءٖ فَأَغۡرَقۡنَٰهُمۡ أَجۡمَعِينَ
Open ayah 21:77Netumutaasa ku bantu abo abaalimbisa ebigambo byaffe, mazima bbo baali bantu ba kibi netubazikiriza bonna.
وَدَاوُۥدَ وَسُلَيۡمَٰنَ إِذۡ يَحۡكُمَانِ فِي ٱلۡحَرۡثِ إِذۡ نَفَشَتۡ فِيهِ غَنَمُ ٱلۡقَوۡمِ وَكُنَّا لِحُكۡمِهِمۡ شَٰهِدِينَ
Open ayah 21:78Era mujjukire Dauda ne Sulaiman mu kiseera bombi bwe baalamula omusango ogukwata ku nnimiro, embuzi z’abantu bwe zaaliiramu, era ku kulamula kwabwe twali bajulizi.
فَفَهَّمۡنَٰهَا سُلَيۡمَٰنَۚ وَكُلًّا ءَاتَيۡنَا حُكۡمٗا وَعِلۡمٗاۚ وَسَخَّرۡنَا مَعَ دَاوُۥدَ ٱلۡجِبَالَ يُسَبِّحۡنَ وَٱلطَّيۡرَۚ وَكُنَّا فَٰعِلِينَ
Open ayah 21:79(Omusango ogwo) twawa Sulaiman okutegeera obulungi, naye buli omu twamuwa okugoba ensonga n’okumanya, era twagondeza Dauda ensozi nga zitendereza, n’ebinyonyi bwe bityo, (buli lwe yatenderezanga nga nabyo bitendereza). Era ebyo twali tusobolera ddala okubikola.
وَعَلَّمۡنَٰهُ صَنۡعَةَ لَبُوسٖ لَّكُمۡ لِتُحۡصِنَكُم مِّنۢ بَأۡسِكُمۡۖ فَهَلۡ أَنتُمۡ شَٰكِرُونَ
Open ayah 21:80Era twamuyigiriza okukola ebyambalo bya mmwe (eby'entalo) biryoke bibakuume ku buzibu bwa mmwe, abaffe mmwe mwebaza!.
وَلِسُلَيۡمَٰنَ ٱلرِّيحَ عَاصِفَةٗ تَجۡرِي بِأَمۡرِهِۦٓ إِلَى ٱلۡأَرۡضِ ٱلَّتِي بَٰرَكۡنَا فِيهَاۚ وَكُنَّا بِكُلِّ شَيۡءٍ عَٰلِمِينَ
Open ayah 21:81Era Sulaiman twamugondeza empewo ekungunta nga etambulira ku kiragirokye neEgenda eri ensi eyo gye twawa omukisa. Era twali tumanyi buli kintu.
وَمِنَ ٱلشَّيَٰطِينِ مَن يَغُوصُونَ لَهُۥ وَيَعۡمَلُونَ عَمَلٗا دُونَ ذَٰلِكَۖ وَكُنَّا لَهُمۡ حَٰفِظِينَ
Open ayah 21:82Ne mu zi Sitane mwalimu ezibbira mu nnyanja ku lulwe nga zikola n'emirimu emirala egitali ogwo era ffe twazikuumanga.
۞وَأَيُّوبَ إِذۡ نَادَىٰ رَبَّهُۥٓ أَنِّي مَسَّنِيَ ٱلضُّرُّ وَأَنتَ أَرۡحَمُ ٱلرَّٰحِمِينَ
Open ayah 21:83Era (jjukira) Ayubu bwe yakoowoola Mukama omulabiriziwe nti mazima nze ntuukiddwako obuzibu, era ggwe musasizi asinga abasaasizi bonna.
فَٱسۡتَجَبۡنَا لَهُۥ فَكَشَفۡنَا مَا بِهِۦ مِن ضُرّٖۖ وَءَاتَيۡنَٰهُ أَهۡلَهُۥ وَمِثۡلَهُم مَّعَهُمۡ رَحۡمَةٗ مِّنۡ عِندِنَا وَذِكۡرَىٰ لِلۡعَٰبِدِينَ
Open ayah 21:84Twamwanukula (okusaba) kwe netumuggyako obuzibu obwali bumutuuseeko netumuwa abantube (abaali bafudde) netumuwa n’abalala awamu nabali, ekyo nga kusaasira okuva gye tuli era nga kya kubuulirira eri abasinza (Katonda).
وَإِسۡمَٰعِيلَ وَإِدۡرِيسَ وَذَا ٱلۡكِفۡلِۖ كُلّٞ مِّنَ ٱلصَّٰبِرِينَ
Open ayah 21:85Era (jjukira) Ismail ne Idrisa ne Zulikifuli bonna ba mu bagumiikiriza.
وَأَدۡخَلۡنَٰهُمۡ فِي رَحۡمَتِنَآۖ إِنَّهُم مِّنَ ٱلصَّٰلِحِينَ
Open ayah 21:86Era twabayingiza mu kusaasira kwaffe mazima bo ba mu balongoofu.
وَذَا ٱلنُّونِ إِذ ذَّهَبَ مُغَٰضِبٗا فَظَنَّ أَن لَّن نَّقۡدِرَ عَلَيۡهِ فَنَادَىٰ فِي ٱلظُّلُمَٰتِ أَن لَّآ إِلَٰهَ إِلَّآ أَنتَ سُبۡحَٰنَكَ إِنِّي كُنتُ مِنَ ٱلظَّٰلِمِينَ
Open ayah 21:87Era (jjukira) ekyafaayo kya nannyini kyenyanja (Yunus) bwe yagenda nga musunguwavu naalowooza nti tetugenda kumusobola, ate bwe yamala okubeera mu kizikiza yakoowoola nti tewali kisinzibwa kyonna okugyako ggwe wasukkuluma (Mukama wange) mazima nze mbadde mu beeyisa obubi.
فَٱسۡتَجَبۡنَا لَهُۥ وَنَجَّيۡنَٰهُ مِنَ ٱلۡغَمِّۚ وَكَذَٰلِكَ نُـۨجِي ٱلۡمُؤۡمِنِينَ
Open ayah 21:88Awo nno twayanukula okusabakwe ne tumuwonya okweraliikirira, era bwe tutyo bwe tuwonya abakkiriza.
وَزَكَرِيَّآ إِذۡ نَادَىٰ رَبَّهُۥ رَبِّ لَا تَذَرۡنِي فَرۡدٗا وَأَنتَ خَيۡرُ ٱلۡوَٰرِثِينَ
Open ayah 21:89Era jjukira Zakaria bwe yakoowoola Mukama omulabiriziwe (naagamba nti) ayi Mukama omulabirizi wange tondeka bwannamunigina (ne bwompa ezzadde nsigala ndi mukkiriza) anti ggwe osinga abasigalawo bonna.
فَٱسۡتَجَبۡنَا لَهُۥ وَوَهَبۡنَا لَهُۥ يَحۡيَىٰ وَأَصۡلَحۡنَا لَهُۥ زَوۡجَهُۥٓۚ إِنَّهُمۡ كَانُواْ يُسَٰرِعُونَ فِي ٱلۡخَيۡرَٰتِ وَيَدۡعُونَنَا رَغَبٗا وَرَهَبٗاۖ وَكَانُواْ لَنَا خَٰشِعِينَ
Open ayah 21:90Awo nno twayanukula okusabakwe, era netumuwa Yahaya netusobozesa mukyalawe okuzaala, mazima bbo baalinga bettanira okukola ebirungi era nga batusaba ku lw'okwagala okufuna ebirungi bye tulina ne ku lw'okutya ebibonerezo byaffe era baalinga batugondera.
وَٱلَّتِيٓ أَحۡصَنَتۡ فَرۡجَهَا فَنَفَخۡنَا فِيهَا مِن رُّوحِنَا وَجَعَلۡنَٰهَا وَٱبۡنَهَآ ءَايَةٗ لِّلۡعَٰلَمِينَ
Open ayah 21:91Era (jjukira) ekyafaayo ky'omukyala (Mariyamu) oyo eyakuuma obwereerebwe olwo nno netumufuuwamu omwoyo ogwava gye tuli netumufuula yye n’omwanawe nga kya kulabirako eri ebitonde byonna.
إِنَّ هَٰذِهِۦٓ أُمَّتُكُمۡ أُمَّةٗ وَٰحِدَةٗ وَأَنَا۠ رَبُّكُمۡ فَٱعۡبُدُونِ
Open ayah 21:92Mazima kino ekibiina kyammwe kiri ekibiina kimu nange nze Mukama omulabirizi wa mmwe kale munsinze.
وَتَقَطَّعُوٓاْ أَمۡرَهُم بَيۡنَهُمۡۖ كُلٌّ إِلَيۡنَا رَٰجِعُونَ
Open ayah 21:93(Naye abantu) baayawukana mu kigambo ky'eddiini yaabwe wakati waabwe (wabula) bonna gye tuli gye bagenda okudda.
فَمَن يَعۡمَلۡ مِنَ ٱلصَّٰلِحَٰتِ وَهُوَ مُؤۡمِنٞ فَلَا كُفۡرَانَ لِسَعۡيِهِۦ وَإِنَّا لَهُۥ كَٰتِبُونَ
Open ayah 21:94Oyo akola omulimu omulungi gwonna nga mukkiriza tayinza butasasulwa olw'okutakabanakwe era mazima tumuwandiikira (emirimugye).
وَحَرَٰمٌ عَلَىٰ قَرۡيَةٍ أَهۡلَكۡنَٰهَآ أَنَّهُمۡ لَا يَرۡجِعُونَ
Open ayah 21:95Kizira ku kitundu kyonna kye twazikiriza (okudda ku nsi) mazima bo tebayinza kudda.
حَتَّىٰٓ إِذَا فُتِحَتۡ يَأۡجُوجُ وَمَأۡجُوجُ وَهُم مِّن كُلِّ حَدَبٖ يَنسِلُونَ
Open ayah 21:96Okutuusa nga Yaajuuja ne Majuuja bagguliddwa era nga nabo bagenda kufukumuka nga bava mu buli kkubo.
وَٱقۡتَرَبَ ٱلۡوَعۡدُ ٱلۡحَقُّ فَإِذَا هِيَ شَٰخِصَةٌ أَبۡصَٰرُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ يَٰوَيۡلَنَا قَدۡ كُنَّا فِي غَفۡلَةٖ مِّنۡ هَٰذَا بَلۡ كُنَّا ظَٰلِمِينَ
Open ayah 21:97Endagaano eya mazima neba nga esembedde olwo nno oligenda okulaba nga amaaso gaabo abaakaafuwala galalambadde (olw'entiisa nebagamba nti) zitusanze ekintu kino tubadde tukigayaaliridde si kyokka wabula tubadde tweyisa bubi.
إِنَّكُمۡ وَمَا تَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ حَصَبُ جَهَنَّمَ أَنتُمۡ لَهَا وَٰرِدُونَ
Open ayah 21:98Mazima mwe n'ebyo bye musinza nemuva ku Katonda mugenda kubeera nku za Jahannama (omuliro) mwe muli ba kuguyingira.
لَوۡ كَانَ هَٰٓؤُلَآءِ ءَالِهَةٗ مَّا وَرَدُوهَاۖ وَكُلّٞ فِيهَا خَٰلِدُونَ
Open ayah 21:99Singa ebyo (bye musinza) nga baali ba Katonda ddala tebyandiguyingidde naye bonna ba kugubeeramu bugenderevu.
لَهُمۡ فِيهَا زَفِيرٞ وَهُمۡ فِيهَا لَا يَسۡمَعُونَ
Open ayah 21:100Balituukibwako nga bali mu gwo okuyiriitira era tebagenda kuwulira nga bali mu gwo.
إِنَّ ٱلَّذِينَ سَبَقَتۡ لَهُم مِّنَّا ٱلۡحُسۡنَىٰٓ أُوْلَٰٓئِكَ عَنۡهَا مُبۡعَدُونَ
Open ayah 21:101Mazima abo be twamanya edda nti bagenda kubeera balongoofu abo nno bagenda kubeera wala n’omuliro.
لَا يَسۡمَعُونَ حَسِيسَهَاۖ وَهُمۡ فِي مَا ٱشۡتَهَتۡ أَنفُسُهُمۡ خَٰلِدُونَ
Open ayah 21:102Tebagenda kuwulira lukwakwayo lwa gwo era mazima bo ku ebyo emyoyo gya bwe gye byagala ba kubeera mu byo obugenderevu.
لَا يَحۡزُنُهُمُ ٱلۡفَزَعُ ٱلۡأَكۡبَرُ وَتَتَلَقَّىٰهُمُ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةُ هَٰذَا يَوۡمُكُمُ ٱلَّذِي كُنتُمۡ تُوعَدُونَ
Open ayah 21:103Ebikangabwa ebisinga okuba ebyamanyi tebigenda kubatiisa, ba Malayika balibaaniriza nga babayozaayoza nti luno lwe lunaku lwa mmwe olwo lwe mwali mulagaanyisibwa..
يَوۡمَ نَطۡوِي ٱلسَّمَآءَ كَطَيِّ ٱلسِّجِلِّ لِلۡكُتُبِۚ كَمَا بَدَأۡنَآ أَوَّلَ خَلۡقٖ نُّعِيدُهُۥۚ وَعۡدًا عَلَيۡنَآۚ إِنَّا كُنَّا فَٰعِلِينَ
Open ayah 21:104Olunaku lwe tulizingako eggulu nga eggwandiikiro bwe rizingako ebiwandiiko. Mu ngeri y'emu nga bwe twatandika ebitonde bwe tugenda okubizikiriza, nga kikakafu ku ffe anti mazima ekyo tusobolera ddala okukikola.
وَلَقَدۡ كَتَبۡنَا فِي ٱلزَّبُورِ مِنۢ بَعۡدِ ٱلذِّكۡرِ أَنَّ ٱلۡأَرۡضَ يَرِثُهَا عِبَادِيَ ٱلصَّٰلِحُونَ
Open ayah 21:105Mazima twawandiika mu Zaburi oluvanyuma lw'okuwandiika ku Lauhil Mahfuudhwi nti mazima ensi egenda kusikirwa abaddu bange abalongoofu.
إِنَّ فِي هَٰذَا لَبَلَٰغٗا لِّقَوۡمٍ عَٰبِدِينَ
Open ayah 21:106Mazima ebyo, (ebyogeddwako wano) kwe kubuulirira okwannamaddala eri abantu abasinza Katonda.
وَمَآ أَرۡسَلۡنَٰكَ إِلَّا رَحۡمَةٗ لِّلۡعَٰلَمِينَ
Open ayah 21:107Tetwakutuma ggwe (Nabbi Muhammad) okugyako nga oli kya kusaabira eri ebitonde.
قُلۡ إِنَّمَا يُوحَىٰٓ إِلَيَّ أَنَّمَآ إِلَٰهُكُمۡ إِلَٰهٞ وَٰحِدٞۖ فَهَلۡ أَنتُم مُّسۡلِمُونَ
Open ayah 21:108Bagambe (Ggwe Nabbi Muhammad) nti mazima mpeebwa obubaka (nga obubaka bugamba) nti: mazima Katonda wa mmwe ali Katonda omu, abaffe mmwe munaasiramuka?.
فَإِن تَوَلَّوۡاْ فَقُلۡ ءَاذَنتُكُمۡ عَلَىٰ سَوَآءٖۖ وَإِنۡ أَدۡرِيٓ أَقَرِيبٌ أَم بَعِيدٞ مَّا تُوعَدُونَ
Open ayah 21:109Kale nno bwe bamala nebaawukana ku ekyo, (nebatasiramuka) olwo nno ggwe bagambe nti mwenna mbawulizza kyenkanyi (nga tewali gwe ndeseeyo) era siri nze amanyi nti bye mulagaanyisibwa biri kumpi oba biri wala.
إِنَّهُۥ يَعۡلَمُ ٱلۡجَهۡرَ مِنَ ٱلۡقَوۡلِ وَيَعۡلَمُ مَا تَكۡتُمُونَ
Open ayah 21:110Mazima yye (Katonda) amanyi bye mwolesa nga mwogera era nga bwamanyi n'ebyo bye mukweka.
وَإِنۡ أَدۡرِي لَعَلَّهُۥ فِتۡنَةٞ لَّكُمۡ وَمَتَٰعٌ إِلَىٰ حِينٖ
Open ayah 21:111Era simanyi obanga (okubalindiriza n'atabakangavvulirawo) nga kikemo gye muli era nga kubaleka kweyagala okutuusa ebbanga eggere.
قَٰلَ رَبِّ ٱحۡكُم بِٱلۡحَقِّۗ وَرَبُّنَا ٱلرَّحۡمَٰنُ ٱلۡمُسۡتَعَانُ عَلَىٰ مَا تَصِفُونَ
Open ayah 21:112(Nabbi Muhammad) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange salawo mu butuufu (wakati wange n'abo abannimbisa) era Mukama omulabirizi waffe omusaasizi ow'ekisa ekingi gwe tusaba obuyambi ku ebyo bye mwogera.