الحج
Al-Hajj
Translation: Luganda - African Institution · Open the surah
بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ
يَٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ ٱتَّقُواْ رَبَّكُمۡۚ إِنَّ زَلۡزَلَةَ ٱلسَّاعَةِ شَيۡءٌ عَظِيمٞ
Open ayah 22:1Abange mmwe abantu, mutye Mukama omulabirizi wa mmwe anti mazima okukankana (kw'ensi) nga enkomerero etuuse kiriba kintu kinene nnyo.
يَوۡمَ تَرَوۡنَهَا تَذۡهَلُ كُلُّ مُرۡضِعَةٍ عَمَّآ أَرۡضَعَتۡ وَتَضَعُ كُلُّ ذَاتِ حَمۡلٍ حَمۡلَهَا وَتَرَى ٱلنَّاسَ سُكَٰرَىٰ وَمَا هُم بِسُكَٰرَىٰ وَلَٰكِنَّ عَذَابَ ٱللَّهِ شَدِيدٞ
Open ayah 22:2Olunaku lw'olikulaba (okukankana) buli Mukyala muzadde talissa mwoyo ku mwana (gwe yazaala) n'ayonsa, ate buli aliba alina olubuto lugenda kuvaamu, era oliraba abantu nga balinga abatamidde so nga tebatamidde (ekiribatuusa ku ekyo) lwa kuba nti mazima ebibonerezo bya Katonda biyitirivu.
وَمِنَ ٱلنَّاسِ مَن يُجَٰدِلُ فِي ٱللَّهِ بِغَيۡرِ عِلۡمٖ وَيَتَّبِعُ كُلَّ شَيۡطَٰنٖ مَّرِيدٖ
Open ayah 22:3Mu ba ntu mulimu awakana ku bikwata ku Katonda nga talina kumanya kwonna, n'aba nga agoberera kyewaggula Sitane.
كُتِبَ عَلَيۡهِ أَنَّهُۥ مَن تَوَلَّاهُ فَأَنَّهُۥ يُضِلُّهُۥ وَيَهۡدِيهِ إِلَىٰ عَذَابِ ٱلسَّعِيرِ
Open ayah 22:4(Sitane) kyamuwandiikwako nti ddala buli amwewa mazima yye amubuza era n'aba nga amuzza eri ebibonerezo by'omuliro.
يَٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ إِن كُنتُمۡ فِي رَيۡبٖ مِّنَ ٱلۡبَعۡثِ فَإِنَّا خَلَقۡنَٰكُم مِّن تُرَابٖ ثُمَّ مِن نُّطۡفَةٖ ثُمَّ مِنۡ عَلَقَةٖ ثُمَّ مِن مُّضۡغَةٖ مُّخَلَّقَةٖ وَغَيۡرِ مُخَلَّقَةٖ لِّنُبَيِّنَ لَكُمۡۚ وَنُقِرُّ فِي ٱلۡأَرۡحَامِ مَا نَشَآءُ إِلَىٰٓ أَجَلٖ مُّسَمّٗى ثُمَّ نُخۡرِجُكُمۡ طِفۡلٗا ثُمَّ لِتَبۡلُغُوٓاْ أَشُدَّكُمۡۖ وَمِنكُم مَّن يُتَوَفَّىٰ وَمِنكُم مَّن يُرَدُّ إِلَىٰٓ أَرۡذَلِ ٱلۡعُمُرِ لِكَيۡلَا يَعۡلَمَ مِنۢ بَعۡدِ عِلۡمٖ شَيۡـٔٗاۚ وَتَرَى ٱلۡأَرۡضَ هَامِدَةٗ فَإِذَآ أَنزَلۡنَا عَلَيۡهَا ٱلۡمَآءَ ٱهۡتَزَّتۡ وَرَبَتۡ وَأَنۢبَتَتۡ مِن كُلِّ زَوۡجِۭ بَهِيجٖ
Open ayah 22:5Abange mmwe abantu bwe muba nga mulina okubuusabuusa ku kuzuukira (mukimanye) nti mazima ffe twabatonda nga tubajja mu ttaka (okusinziira ku jajja mmwe Adam nga bwe yatondebwa) oluvanyuma (ne tuba nga) tubatonda mu mazzi agazaala nate oluvanyuma netubajja mu kisaayisaayi oluvanyuma ekifuuka ekinyamanyama ekituukiridde mu butonde bwakyo n'ekitatuukiridde olwo nno tube nga tubalaga (obuyinza bwaffe) olwo nno netukuumira mu nnabaana ekyo kye tuba twagadde okumala ebbanga eggere oluvanyuma tubafulumya nga muli bawere ate oluvanyuma mube nga mufuuka abakulu, ne mu mmwe mulimu abafa (nga bakyali) era mu mmwe mulimu abazzibwayo eri obuwangaazi obusinga okuba obunafu (n'akaddiwa nga takyesobola) n'aba nga takyasobola kumanya kintu kyonna oluvanyuma lw'okuba nga yali amanyi (ekirala ekiraga nti okuzuukira kulibaayo) ogenda noolaba ensi ng'ekaze naye ketugitonnyesaako enkuba edda buto n'etinta n'emeza buli mutindo gwa bimera ebirungi.
ذَٰلِكَ بِأَنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلۡحَقُّ وَأَنَّهُۥ يُحۡيِ ٱلۡمَوۡتَىٰ وَأَنَّهُۥ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ
Open ayah 22:6Ekyo nno lwakuba nti mazima Katonda yye ye w'amazima era mazima yye agenda kulamusa abafu. Era nti mazima yye muyinza ku buli kintu.
وَأَنَّ ٱلسَّاعَةَ ءَاتِيَةٞ لَّا رَيۡبَ فِيهَا وَأَنَّ ٱللَّهَ يَبۡعَثُ مَن فِي ٱلۡقُبُورِ
Open ayah 22:7Era nti mazima essaawa ey'enkomerero ejja, teriimu kubuusabuusa era nti mazima ddala Katonda agenda kuzuukiza abali mu kabbuli.
وَمِنَ ٱلنَّاسِ مَن يُجَٰدِلُ فِي ٱللَّهِ بِغَيۡرِ عِلۡمٖ وَلَا هُدٗى وَلَا كِتَٰبٖ مُّنِيرٖ
Open ayah 22:8Mu bantu mulimu oyo awakanya ebikwata ku Katonda nga tasinziira ku kumanya wadde okulungamizibwa oba ekitabo ekiraga obutangaavu.
ثَانِيَ عِطۡفِهِۦ لِيُضِلَّ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِۖ لَهُۥ فِي ٱلدُّنۡيَا خِزۡيٞۖ وَنُذِيقُهُۥ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ عَذَابَ ٱلۡحَرِيقِ
Open ayah 22:9(Mu ngeri y’okulengezza n’okwekuza) aweta ensingoye abe nga ajja abantu ku kkubo lya Katonda, atuusibwako okuswazibwa mu nsi era tugenda kumukombesa ku lunaku lw'enkomerero ku bibonerezo ebyokya.
ذَٰلِكَ بِمَا قَدَّمَتۡ يَدَاكَ وَأَنَّ ٱللَّهَ لَيۡسَ بِظَلَّٰمٖ لِّلۡعَبِيدِ
Open ayah 22:10(Aligambibwa nti) ekyo kikutUuseeko olw'ebyo e mikonogyo bye gyakola edda (ku nsi) era mazima Katonda talyazAamaanya baddu.
وَمِنَ ٱلنَّاسِ مَن يَعۡبُدُ ٱللَّهَ عَلَىٰ حَرۡفٖۖ فَإِنۡ أَصَابَهُۥ خَيۡرٌ ٱطۡمَأَنَّ بِهِۦۖ وَإِنۡ أَصَابَتۡهُ فِتۡنَةٌ ٱنقَلَبَ عَلَىٰ وَجۡهِهِۦ خَسِرَ ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةَۚ ذَٰلِكَ هُوَ ٱلۡخُسۡرَانُ ٱلۡمُبِينُ
Open ayah 22:11Ne mu bantu mulimu asinza Katonda ng'ali ku ndeboolebo (ya bukkiriza) n'olwekyo bwatuukibwako ekirungi akkalira nakyo ate bwatuukibwako ekikemo oba okugesezebwa atalantuka n'agwira ku kyenyikye (naava ku ddiini) olwo nno naafiirwa ensi n'enkomerero okwo kwe kufaafaaganirwa okw'olwatu.
يَدۡعُواْ مِن دُونِ ٱللَّهِ مَا لَا يَضُرُّهُۥ وَمَا لَا يَنفَعُهُۥۚ ذَٰلِكَ هُوَ ٱلضَّلَٰلُ ٱلۡبَعِيدُ
Open ayah 22:12Alekawo Katonda n'aasinza ebyo ebitamutuusaako kabi era ebitamutuusaako mugaso okwo kwe kubula okwewala.
يَدۡعُواْ لَمَن ضَرُّهُۥٓ أَقۡرَبُ مِن نَّفۡعِهِۦۚ لَبِئۡسَ ٱلۡمَوۡلَىٰ وَلَبِئۡسَ ٱلۡعَشِيرُ
Open ayah 22:13Asaba oyo akabiike nga ke kali okumpi okusinga omugasogwe, mubi nnyo asuubirwa okutaasa era mubi nnyo asuubirwa okuba nga ye w'omukwano.
إِنَّ ٱللَّهَ يُدۡخِلُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ جَنَّٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُۚ إِنَّ ٱللَّهَ يَفۡعَلُ مَا يُرِيدُ
Open ayah 22:14Mazima Katonda agenda kuyingiza e jjana abo abaakola emirimu emirungi, nga emigga gikulukutira wansi, waazo, mazima Katonda akola ekyo kyaba ayagadde.
مَن كَانَ يَظُنُّ أَن لَّن يَنصُرَهُ ٱللَّهُ فِي ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةِ فَلۡيَمۡدُدۡ بِسَبَبٍ إِلَى ٱلسَّمَآءِ ثُمَّ لۡيَقۡطَعۡ فَلۡيَنظُرۡ هَلۡ يُذۡهِبَنَّ كَيۡدُهُۥ مَا يَغِيظُ
Open ayah 22:15Omuntu alowooza nti Katonda tagenda kutaasa Mubakawe kuno ku nsi ne ku nkomerero kimugwanidde akasuke omuguwa waggulu ku kasolya oluvanyuma yeerippe (yeetuge) olwo nno alabe abaffe byakola bisobola okumuwonya byatayagala.
وَكَذَٰلِكَ أَنزَلۡنَٰهُ ءَايَٰتِۭ بَيِّنَٰتٖ وَأَنَّ ٱللَّهَ يَهۡدِي مَن يُرِيدُ
Open ayah 22:16(Katonda nga bwe yannyonnyola obuyinzabwe mu kusobola okuzuukiza abafu), mu ngeri y'emu annyonnyola engeri gye yassaamu Kur’ani naagamba nti) era bwe tutyo twagissa (Kur'ani) nga bigambo ebinnyonnyola (obulungi) era mazima Katonda alungamya gwaba ayagadde.
إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَٱلَّذِينَ هَادُواْ وَٱلصَّٰبِـِٔينَ وَٱلنَّصَٰرَىٰ وَٱلۡمَجُوسَ وَٱلَّذِينَ أَشۡرَكُوٓاْ إِنَّ ٱللَّهَ يَفۡصِلُ بَيۡنَهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ شَهِيدٌ
Open ayah 22:17Mazima abo abakkiriza (Nabbi Muhammad) n'abakkiriza eddiini ye Kiyudaaya (ku mulembe gwayo) n'abatasinza masanamu (nga Nabbi Muhammad tannatumwa) n'abakkiriza mu ddiini ye Kikurisitaayo (ku mulembe gwayo) n'abo abasinza omuliro, n'abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala mazima Katonda agenda kusalawo wakati waabwe (ku ebyo bye baali basinza) ku lunaku lw'enkomerero. Anti mazima Katonda ku buli kintu mujulizi.
أَلَمۡ تَرَ أَنَّ ٱللَّهَ يَسۡجُدُۤ لَهُۥۤ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَن فِي ٱلۡأَرۡضِ وَٱلشَّمۡسُ وَٱلۡقَمَرُ وَٱلنُّجُومُ وَٱلۡجِبَالُ وَٱلشَّجَرُ وَٱلدَّوَآبُّ وَكَثِيرٞ مِّنَ ٱلنَّاسِۖ وَكَثِيرٌ حَقَّ عَلَيۡهِ ٱلۡعَذَابُۗ وَمَن يُهِنِ ٱللَّهُ فَمَا لَهُۥ مِن مُّكۡرِمٍۚ إِنَّ ٱللَّهَ يَفۡعَلُ مَا يَشَآءُ۩
Open ayah 22:18Abaffe tolaba nti mazima Katonda bamuvunnamira abali mu ggulu omusanvu n'abo abali mu nsi n'enjuba n'omwezi n'emunyenye n'ensozi n'emiti n'ebisolo, nga n'abantu bangi nnyo (abamuvunnamira), era nga n'abantu bangi bakakatwako ebibonerezo (olwo butamuvunnamira) era omuntu Katonda gwaba ataddeko okunyoomebwa kale tayinza kufuna amussaamu kitiibwa. Anti mazima Katonda akola ekyo kyaba ayagadde.
۞هَٰذَانِ خَصۡمَانِ ٱخۡتَصَمُواْ فِي رَبِّهِمۡۖ فَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ قُطِّعَتۡ لَهُمۡ ثِيَابٞ مِّن نَّارٖ يُصَبُّ مِن فَوۡقِ رُءُوسِهِمُ ٱلۡحَمِيمُ
Open ayah 22:19Bino ebibinja by'abantu ba mirundi ebiri baayawukana mu kutongoza Mukama omulabirizi waabwe, kale nekibeera nga, abakaafuwala batungirwa engoye nga za mu muliro nga bagenda kufukirirwa ku mitwe gya bwe amazzi ag'olwegye.
يُصۡهَرُ بِهِۦ مَا فِي بُطُونِهِمۡ وَٱلۡجُلُودُ
Open ayah 22:20Nga amazzi ago birisaanusibwa nagwo ebiri mu mbuto zaabwe n'amaliba gaabwe.
وَلَهُم مَّقَٰمِعُ مِنۡ حَدِيدٖ
Open ayah 22:21Era nga bagenda kukubwanga ennyondo ezaakolebwa mu kyuma.
كُلَّمَآ أَرَادُوٓاْ أَن يَخۡرُجُواْ مِنۡهَا مِنۡ غَمٍّ أُعِيدُواْ فِيهَا وَذُوقُواْ عَذَابَ ٱلۡحَرِيقِ
Open ayah 22:22Buli bwe baliba baagala okufuluma mu muliro ogwo ku olw'obulumi obulibatuukako mu gwo nga bazzibwa mu gwo (nga bagambibwa nti) era mukombe ku bukaawu bwe bibonerezo by'omuliro ogwokya ennyo.
إِنَّ ٱللَّهَ يُدۡخِلُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ جَنَّٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ يُحَلَّوۡنَ فِيهَا مِنۡ أَسَاوِرَ مِن ذَهَبٖ وَلُؤۡلُؤٗاۖ وَلِبَاسُهُمۡ فِيهَا حَرِيرٞ
Open ayah 22:23Mazima Katonda agenda kuyingiza mu jjana abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu nga emigga gikulukutira wansi waazo. Nga bali mu zo, balyambazibwa ebikomo ebya zaabu ne Luulu nga n'engoye zebagenda okwambala ziriba za Siliki.
وَهُدُوٓاْ إِلَى ٱلطَّيِّبِ مِنَ ٱلۡقَوۡلِ وَهُدُوٓاْ إِلَىٰ صِرَٰطِ ٱلۡحَمِيدِ
Open ayah 22:24Era nga baalungamizibwa (ku nsi) eri ekigambo ekisinga obulungi (eky'okwawula Katonda n'okumusuuta) era nga balungamizibwa eri ekkubo eritenderezebwa.
إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَيَصُدُّونَ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ وَٱلۡمَسۡجِدِ ٱلۡحَرَامِ ٱلَّذِي جَعَلۡنَٰهُ لِلنَّاسِ سَوَآءً ٱلۡعَٰكِفُ فِيهِ وَٱلۡبَادِۚ وَمَن يُرِدۡ فِيهِ بِإِلۡحَادِۭ بِظُلۡمٖ نُّذِقۡهُ مِنۡ عَذَابٍ أَلِيمٖ
Open ayah 22:25Mazima abo abaakaafuwala era nebaziyiza abantu ku kkubo lya Katonda n’omuzikiti gw'emizizo ogwo gwe twateerawo abantu nga omutuuze weguli n'owewala bonna benkana, omuntu yenna ayagala okukoleramu obukyamu tumukombya ku bibonerezo ebiruma ennyo.
وَإِذۡ بَوَّأۡنَا لِإِبۡرَٰهِيمَ مَكَانَ ٱلۡبَيۡتِ أَن لَّا تُشۡرِكۡ بِي شَيۡـٔٗا وَطَهِّرۡ بَيۡتِيَ لِلطَّآئِفِينَ وَٱلۡقَآئِمِينَ وَٱلرُّكَّعِ ٱلسُّجُودِ
Open ayah 22:26Era jjukira ekiseera bwe twalaga Ibrahimu ekifo ky'enyumba (Kaaba), era ne mugamba nti tongattangako ekintu kyonna era tukuza e nyumba yange eri abagyetooloola n'abayimiriramu n'abakutama abavunnama (nga basaala).
وَأَذِّن فِي ٱلنَّاسِ بِٱلۡحَجِّ يَأۡتُوكَ رِجَالٗا وَعَلَىٰ كُلِّ ضَامِرٖ يَأۡتِينَ مِن كُلِّ فَجٍّ عَمِيقٖ
Open ayah 22:27Era koowoola abantu baggye okukola Hijja, bagenda ku kujjira abatambuza ebigere, n'abalijjira ku nsolo enkovvu nga bava mu buli kkubo eryewala.
لِّيَشۡهَدُواْ مَنَٰفِعَ لَهُمۡ وَيَذۡكُرُواْ ٱسۡمَ ٱللَّهِ فِيٓ أَيَّامٖ مَّعۡلُومَٰتٍ عَلَىٰ مَا رَزَقَهُم مِّنۢ بَهِيمَةِ ٱلۡأَنۡعَٰمِۖ فَكُلُواْ مِنۡهَا وَأَطۡعِمُواْ ٱلۡبَآئِسَ ٱلۡفَقِيرَ
Open ayah 22:28Bagende balabe ebibagasa, era batendereze erinnya lya Katonda mu nnaku ezimanyiddwa olw'ebyo bye yabagabira mu bisolo eby'awaka (ebirundibwa) kale mulye ku byo era muliise omwetaavu omwavu.
ثُمَّ لۡيَقۡضُواْ تَفَثَهُمۡ وَلۡيُوفُواْ نُذُورَهُمۡ وَلۡيَطَّوَّفُواْ بِٱلۡبَيۡتِ ٱلۡعَتِيقِ
Open ayah 22:29Ekyo nga kiwedde babe nga bamaliriza emikolo gya bwe era batuukirize bye beeyama era betooloole e nyumba kaasangwawo.
ذَٰلِكَۖ وَمَن يُعَظِّمۡ حُرُمَٰتِ ٱللَّهِ فَهُوَ خَيۡرٞ لَّهُۥ عِندَ رَبِّهِۦۗ وَأُحِلَّتۡ لَكُمُ ٱلۡأَنۡعَٰمُ إِلَّا مَا يُتۡلَىٰ عَلَيۡكُمۡۖ فَٱجۡتَنِبُواْ ٱلرِّجۡسَ مِنَ ٱلۡأَوۡثَٰنِ وَٱجۡتَنِبُواْ قَوۡلَ ٱلزُّورِ
Open ayah 22:30Ebyo (babikola lwa kuwa Mukama Katonda kitiibwa) era bulijjo buli yenna agulumiza emizizo gya Katonda ekyo kye kirungi gyali mu maaso g'a Mukama omulabiriziwe. Era mwakkirizibwa okulya (ennyama y'e) bisolo ebirundibwa, okugyako ebyo ebibasomerwa mu ngeri y'emu mwewale amasanamu olw'obubi bwago, era mwewale ebigambo ebitemerere.
حُنَفَآءَ لِلَّهِ غَيۡرَ مُشۡرِكِينَ بِهِۦۚ وَمَن يُشۡرِكۡ بِٱللَّهِ فَكَأَنَّمَا خَرَّ مِنَ ٱلسَّمَآءِ فَتَخۡطَفُهُ ٱلطَّيۡرُ أَوۡ تَهۡوِي بِهِ ٱلرِّيحُ فِي مَكَانٖ سَحِيقٖ
Open ayah 22:31Mulina kubeera abeewa Katonda yekka nga temumugattako kintu kirala kyonna, oyo yenna agatta ku Katonda ekintu ekirala aba nga awanuse waggulu ebinyonyi nebimusikula oba empewo neemusuula mu kifo eky'ewala ennyo.
ذَٰلِكَۖ وَمَن يُعَظِّمۡ شَعَٰٓئِرَ ٱللَّهِ فَإِنَّهَا مِن تَقۡوَى ٱلۡقُلُوبِ
Open ayah 22:32(Ebyo eby'okukola Hijja n'okusala ebisolo biragiro bya Katonda) era bulijjo omuntu agulumiza obubonero bwa Katonda mazima ekyo kibalibwa mu bikolwa by'emitima egitya Katonda.
لَكُمۡ فِيهَا مَنَٰفِعُ إِلَىٰٓ أَجَلٖ مُّسَمّٗى ثُمَّ مَحِلُّهَآ إِلَى ٱلۡبَيۡتِ ٱلۡعَتِيقِ
Open ayah 22:33Mulina mu byo (ebirabo bye muwaayo mu Hijja) emigaso (nga okubyebagala n'okunywa amata gaabyo) okutuusa ebbanga eggere, oluvanyuma ekifo wezirina okusalirwa kwe kuba nga zituuka awali e nyumba kaasangwawo.
وَلِكُلِّ أُمَّةٖ جَعَلۡنَا مَنسَكٗا لِّيَذۡكُرُواْ ٱسۡمَ ٱللَّهِ عَلَىٰ مَا رَزَقَهُم مِّنۢ بَهِيمَةِ ٱلۡأَنۡعَٰمِۗ فَإِلَٰهُكُمۡ إِلَٰهٞ وَٰحِدٞ فَلَهُۥٓ أَسۡلِمُواْۗ وَبَشِّرِ ٱلۡمُخۡبِتِينَ
Open ayah 22:34Buli bantu twabateerawo emikolo gy'okusaddaaka ebisolo balyoke babe nga boogera ku linnya lya Katonda olw'ebyo bye yabagabira mu bisolo ebirundibwa, yye Katonda wa mmwe ali Katonda omu, yye gwe muba mu siramuka ku lulwe, era sanyusa (ggwe Muhammad) abo abatebenkedde (ku kusinza Katonda.)
ٱلَّذِينَ إِذَا ذُكِرَ ٱللَّهُ وَجِلَتۡ قُلُوبُهُمۡ وَٱلصَّٰبِرِينَ عَلَىٰ مَآ أَصَابَهُمۡ وَٱلۡمُقِيمِي ٱلصَّلَوٰةِ وَمِمَّا رَزَقۡنَٰهُمۡ يُنفِقُونَ
Open ayah 22:35(Bo) beebo, Katonda buli lwayogerwako emitima gya bwe gitya era abagumiikiriza ku ebyo ebiba bibatuuseeko era abayimirizaawo e sswala era abawaayo ku ebyo bye tubagabira.
وَٱلۡبُدۡنَ جَعَلۡنَٰهَا لَكُم مِّن شَعَٰٓئِرِ ٱللَّهِ لَكُمۡ فِيهَا خَيۡرٞۖ فَٱذۡكُرُواْ ٱسۡمَ ٱللَّهِ عَلَيۡهَا صَوَآفَّۖ فَإِذَا وَجَبَتۡ جُنُوبُهَا فَكُلُواْ مِنۡهَا وَأَطۡعِمُواْ ٱلۡقَانِعَ وَٱلۡمُعۡتَرَّۚ كَذَٰلِكَ سَخَّرۡنَٰهَا لَكُمۡ لَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ
Open ayah 22:36Ne ngamiya twazibateerawo nga za mu bubonero bwa Katonda, mulina mu zo ebirungi, kale muzoogerereko erinnya lya Katonda nga muziteeseteese okuzisala (bwe muzisiba okugulu okumu nezisigala nga ziyimiridde ku asatu) olwo nno embuto zaazo bwe zigwa ku ttaka mukkirizibwa okuzirya, era muliiseeko atalina n'omwetaavu, bwe tutyo twazibagondeza mube nga mwebaza.
لَن يَنَالَ ٱللَّهَ لُحُومُهَا وَلَا دِمَآؤُهَا وَلَٰكِن يَنَالُهُ ٱلتَّقۡوَىٰ مِنكُمۡۚ كَذَٰلِكَ سَخَّرَهَا لَكُمۡ لِتُكَبِّرُواْ ٱللَّهَ عَلَىٰ مَا هَدَىٰكُمۡۗ وَبَشِّرِ ٱلۡمُحۡسِنِينَ
Open ayah 22:37Ennyama ya zo n'omusayi gwa zo tebituuka ku Katonda naye atuukwako okumutya okuva mu mmwe, bwatyo yazibagondeza mube nga mutendereza Katonda olw'ebyo bye yabalungamyamu era sanyusa abalongoosa.
۞إِنَّ ٱللَّهَ يُدَٰفِعُ عَنِ ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْۗ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُحِبُّ كُلَّ خَوَّانٖ كَفُورٍ
Open ayah 22:38Mazima Katonda alwanirira abo abakkiriza, mazima Katonda tayagala oyo yenna omukumpanya omuwakanyi.
أُذِنَ لِلَّذِينَ يُقَٰتَلُونَ بِأَنَّهُمۡ ظُلِمُواْۚ وَإِنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ نَصۡرِهِمۡ لَقَدِيرٌ
Open ayah 22:39Kikkiriziddwa (okwerwanako) eri abo abalwanyisibwa mu ngeri y'okuba nti mazima bo balyazaamaanyizibwa era mazima bulijjo Mukama Katonda asobolera ddala okubataasa.
ٱلَّذِينَ أُخۡرِجُواْ مِن دِيَٰرِهِم بِغَيۡرِ حَقٍّ إِلَّآ أَن يَقُولُواْ رَبُّنَا ٱللَّهُۗ وَلَوۡلَا دَفۡعُ ٱللَّهِ ٱلنَّاسَ بَعۡضَهُم بِبَعۡضٖ لَّهُدِّمَتۡ صَوَٰمِعُ وَبِيَعٞ وَصَلَوَٰتٞ وَمَسَٰجِدُ يُذۡكَرُ فِيهَا ٱسۡمُ ٱللَّهِ كَثِيرٗاۗ وَلَيَنصُرَنَّ ٱللَّهُ مَن يَنصُرُهُۥٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَقَوِيٌّ عَزِيزٌ
Open ayah 22:40(Bo) beebo abaagobwa mu mayumba gaabwe awatali nsonga okugyako okuba nga bagamba nti: Katonda ye Mukama omulabirizi waffe, singa Katonda tajjawo bantu ng'akozesa abalala, amasinzizo ga bakabona, n'amakanisa ga ba Kurisitayo, n'amasinzizo ga ba Yudaaya n'emizikiti gy'abasiraamu, omwogererwa ennyo ku linnya lya Katonda byandimenyeddwa era Katonda ajja kutaasiza ddala abo abamutaasa, mazima Katonda wa maanyi Nantakubwa ku mukono.
ٱلَّذِينَ إِن مَّكَّنَّٰهُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ أَقَامُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتَوُاْ ٱلزَّكَوٰةَ وَأَمَرُواْ بِٱلۡمَعۡرُوفِ وَنَهَوۡاْ عَنِ ٱلۡمُنكَرِۗ وَلِلَّهِ عَٰقِبَةُ ٱلۡأُمُورِ
Open ayah 22:41(Katonda baataasa) beebo bwe tuba tubatebenkezza mu nsi bayimirizaawo e sswala nebatoola zzaka nebalagira okuyisa obulungi, nebaziyiza okuyisa obubi era enkomerero y'ebintu byonna ya Katonda.
وَإِن يُكَذِّبُوكَ فَقَدۡ كَذَّبَتۡ قَبۡلَهُمۡ قَوۡمُ نُوحٖ وَعَادٞ وَثَمُودُ
Open ayah 22:42Singa bakulimbisa mazima oluberyeberye lwa bwe abantu ba Nuhu na ba A’di na ba Thamud baalimbisa.
وَقَوۡمُ إِبۡرَٰهِيمَ وَقَوۡمُ لُوطٖ
Open ayah 22:43Nabwekityo n'abantu ba Ibrahim n'abantu ba Luutu.
وَأَصۡحَٰبُ مَدۡيَنَۖ وَكُذِّبَ مُوسَىٰۖ فَأَمۡلَيۡتُ لِلۡكَٰفِرِينَ ثُمَّ أَخَذۡتُهُمۡۖ فَكَيۡفَ كَانَ نَكِيرِ
Open ayah 22:44N'abantu be Madiyana. Ne Musa yalimbisibwa nennindiriza abakaafiiri oluvanyuma nnabakwata, naye okubonereza kwange kwali kutya!.
فَكَأَيِّن مِّن قَرۡيَةٍ أَهۡلَكۡنَٰهَا وَهِيَ ظَالِمَةٞ فَهِيَ خَاوِيَةٌ عَلَىٰ عُرُوشِهَا وَبِئۡرٖ مُّعَطَّلَةٖ وَقَصۡرٖ مَّشِيدٍ
Open ayah 22:45Ebitundu bimeka bye twazikiriza nga byo biri mu kweyisa bubi! (nga nabuli kati) obusolya bwa byo buguddemu n'enzizi ezitakyakimwako mazzi n'ebizimbe ebyali bizimbiddwa obulungi.
أَفَلَمۡ يَسِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَتَكُونَ لَهُمۡ قُلُوبٞ يَعۡقِلُونَ بِهَآ أَوۡ ءَاذَانٞ يَسۡمَعُونَ بِهَاۖ فَإِنَّهَا لَا تَعۡمَى ٱلۡأَبۡصَٰرُ وَلَٰكِن تَعۡمَى ٱلۡقُلُوبُ ٱلَّتِي فِي ٱلصُّدُورِ
Open ayah 22:46Abaffe tebatambulako mu nsi nebafuna emitima gye bategeera nagyo oba amatu ge bawulira nago, mazima amaaso si ge gaziba naye emitima egiri mu bifuba gye giziba.
وَيَسۡتَعۡجِلُونَكَ بِٱلۡعَذَابِ وَلَن يُخۡلِفَ ٱللَّهُ وَعۡدَهُۥۚ وَإِنَّ يَوۡمًا عِندَ رَبِّكَ كَأَلۡفِ سَنَةٖ مِّمَّا تَعُدُّونَ
Open ayah 22:47Bakugamba obatuuseeko ebibonerezo mu bwangu naye Katonda tayinza kwawukana ku ndagaanoye (ajja kubibatuusaako ku lunaku lw'enkomerero) era mazima olunaku lumu ewa Mukama omulabiriziwo lulinga emyaka lukumi mu mbala ya mmwe.
وَكَأَيِّن مِّن قَرۡيَةٍ أَمۡلَيۡتُ لَهَا وَهِيَ ظَالِمَةٞ ثُمَّ أَخَذۡتُهَا وَإِلَيَّ ٱلۡمَصِيرُ
Open ayah 22:48Era ebitundu bimeka bye nnalindiriza so nga byo byali mu kweyisa bubi naye oluvanyuma nembikwata era gyendi yokka y'eri obuddo.
قُلۡ يَٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ إِنَّمَآ أَنَا۠ لَكُمۡ نَذِيرٞ مُّبِينٞ
Open ayah 22:49Gamba (Ggwe Muhammad) abange mmwe abantu mazima nze gye muli ndi mutiisa ow'olwatu.
فَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ لَهُم مَّغۡفِرَةٞ وَرِزۡقٞ كَرِيمٞ
Open ayah 22:50Bo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu balina ekisonyiwo n'okugabirirwa okw'ekitiibwa.
وَٱلَّذِينَ سَعَوۡاْ فِيٓ ءَايَٰتِنَا مُعَٰجِزِينَ أُوْلَٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلۡجَحِيمِ
Open ayah 22:51Naabo abeewaayo okulemesa ebigambo byaffe, abo be ba nannyini muliro Jahiimu.
وَمَآ أَرۡسَلۡنَا مِن قَبۡلِكَ مِن رَّسُولٖ وَلَا نَبِيٍّ إِلَّآ إِذَا تَمَنَّىٰٓ أَلۡقَى ٱلشَّيۡطَٰنُ فِيٓ أُمۡنِيَّتِهِۦ فَيَنسَخُ ٱللَّهُ مَا يُلۡقِي ٱلشَّيۡطَٰنُ ثُمَّ يُحۡكِمُ ٱللَّهُ ءَايَٰتِهِۦۗ وَٱللَّهُ عَلِيمٌ حَكِيمٞ
Open ayah 22:52Tetwatuma oluberyeberyelwo mubaka yenna oba Nabbi okugyako nga bwayagala okusoma (obubaka obumuweereddwa) Sitaane agezaako okusonseka ebigambo mu kusomwakwe, olwo nno Katonda najjawo ebyo Sitane byagezaako okusonsekamu awo Katonda nakakasaawo ebigambobye, bulijjo Katonda mumanyi nnyo, mugoba nsonga.
لِّيَجۡعَلَ مَا يُلۡقِي ٱلشَّيۡطَٰنُ فِتۡنَةٗ لِّلَّذِينَ فِي قُلُوبِهِم مَّرَضٞ وَٱلۡقَاسِيَةِ قُلُوبُهُمۡۗ وَإِنَّ ٱلظَّٰلِمِينَ لَفِي شِقَاقِۭ بَعِيدٖ
Open ayah 22:53(Ekikozesa ekyo kwe kuba nti) Katonda afuule Sitane byagezaako okusonseka (mu bubaka) ekikemo ku abo abalina obulwadde mu mitima gya bwe, n’abalina emitima emikakanyavu era mazima abeeyisa obubi beesambye nnyo Katonda.
وَلِيَعۡلَمَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَ أَنَّهُ ٱلۡحَقُّ مِن رَّبِّكَ فَيُؤۡمِنُواْ بِهِۦ فَتُخۡبِتَ لَهُۥ قُلُوبُهُمۡۗ وَإِنَّ ٱللَّهَ لَهَادِ ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِلَىٰ صِرَٰطٖ مُّسۡتَقِيمٖ
Open ayah 22:54Bateekeddwa okutegeera abo abaaweebwa okumanya nti mazima ddala (Kur’ani) ge mazima agavudde ewa Mukama omulabiriziwo olwo nno bagakkirize, era gyewombeke ku lw'ekyo emitima gya bwe, era mazima Katonda wa kulungamya abo abakkiriza eri ekkubo eggolokofu.
وَلَا يَزَالُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ فِي مِرۡيَةٖ مِّنۡهُ حَتَّىٰ تَأۡتِيَهُمُ ٱلسَّاعَةُ بَغۡتَةً أَوۡ يَأۡتِيَهُمۡ عَذَابُ يَوۡمٍ عَقِيمٍ
Open ayah 22:55Bulijjo abo abaakaafuwala tebagenda kulekayo kubuusabuusa ku yo, (Kur’ani) okuutuusa olunaku lwe'nkomerero lwe lulibatuukako ekibwatukira, oba ne bibatuukako ebibonerezo by'olunaku olutalibaako kulekera.
ٱلۡمُلۡكُ يَوۡمَئِذٖ لِّلَّهِ يَحۡكُمُ بَيۡنَهُمۡۚ فَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ فِي جَنَّٰتِ ٱلنَّعِيمِ
Open ayah 22:56Obufuzi ku lunaku olwo buliba bwa Katonda yekka. Agenda kulamula wakati waabwe, bo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu bagenda kubeera mu jjana ezijjudde ebyengera.
وَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَكَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا فَأُوْلَٰٓئِكَ لَهُمۡ عَذَابٞ مُّهِينٞ
Open ayah 22:57Ate abo abaakaafuwala ne balimbisa ebigambo byaffe abo bagenda kussibwako ebibonerezo ebinyoomesa.
وَٱلَّذِينَ هَاجَرُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ ثُمَّ قُتِلُوٓاْ أَوۡ مَاتُواْ لَيَرۡزُقَنَّهُمُ ٱللَّهُ رِزۡقًا حَسَنٗاۚ وَإِنَّ ٱللَّهَ لَهُوَ خَيۡرُ ٱلرَّٰزِقِينَ
Open ayah 22:58Ate abo abaaleka amaka gaabwe ne bagenda okulafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda olwo nno nebattibwa oba ne bafa, Katonda agenda kubaweera ddala ebigabwa ebirungi. Era bulijjo mazima Katonda yye y'asinga abagabi bonna.
لَيُدۡخِلَنَّهُم مُّدۡخَلٗا يَرۡضَوۡنَهُۥۚ وَإِنَّ ٱللَّهَ لَعَلِيمٌ حَلِيمٞ
Open ayah 22:59Agenda kubayingiriza ddala obuyingiro bwe balisiima. Era mazima Katonda mumanyi nnyo wa kisa.
۞ذَٰلِكَۖ وَمَنۡ عَاقَبَ بِمِثۡلِ مَا عُوقِبَ بِهِۦ ثُمَّ بُغِيَ عَلَيۡهِ لَيَنصُرَنَّهُ ٱللَّهُۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَعَفُوٌّ غَفُورٞ
Open ayah 22:60Ekyo bwe kityo bwe kiri. Era oyo yenna asasula ekyenkana obuvune obumutuusiddwako, ate oluvanyuma naalumbaganwa, mazima Katonda wa kumutaasiza ddala mazima Katonda mulekezi musonyiyi.
ذَٰلِكَ بِأَنَّ ٱللَّهَ يُولِجُ ٱلَّيۡلَ فِي ٱلنَّهَارِ وَيُولِجُ ٱلنَّهَارَ فِي ٱلَّيۡلِ وَأَنَّ ٱللَّهَ سَمِيعُۢ بَصِيرٞ
Open ayah 22:61Ekyo nno lwakuba nti mazima Katonda ayingiza ekiro mu musana era naayingiza omusana mu kiro era mazima Katonda awulira alaba nnyo.
ذَٰلِكَ بِأَنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلۡحَقُّ وَأَنَّ مَا يَدۡعُونَ مِن دُونِهِۦ هُوَ ٱلۡبَٰطِلُ وَأَنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلۡعَلِيُّ ٱلۡكَبِيرُ
Open ayah 22:62Ekyo bwe kityo bwe kiri lwakuba nti mazima Katonda ye ye mazima, era ddala bye basinza ebitali yye bye bitali bituufu era mazima Katonda yye ye wa waggulu ow'ekitiibwa.
أَلَمۡ تَرَ أَنَّ ٱللَّهَ أَنزَلَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ فَتُصۡبِحُ ٱلۡأَرۡضُ مُخۡضَرَّةًۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَطِيفٌ خَبِيرٞ
Open ayah 22:63Abaffe tolaba nti mazima Katonda assa okuva waggulu amazzi ensi neefuuka ya kiragala mazima Katonda alumirwa (ebitonde bye) amanyi ebyekusifu.
لَّهُۥ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۚ وَإِنَّ ٱللَّهَ لَهُوَ ٱلۡغَنِيُّ ٱلۡحَمِيدُ
Open ayah 22:64Bibye yekka ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi era ddala Katonda yye y'atalina kye yeetaaga atenderezebwa.
أَلَمۡ تَرَ أَنَّ ٱللَّهَ سَخَّرَ لَكُم مَّا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَٱلۡفُلۡكَ تَجۡرِي فِي ٱلۡبَحۡرِ بِأَمۡرِهِۦ وَيُمۡسِكُ ٱلسَّمَآءَ أَن تَقَعَ عَلَى ٱلۡأَرۡضِ إِلَّا بِإِذۡنِهِۦٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ بِٱلنَّاسِ لَرَءُوفٞ رَّحِيمٞ
Open ayah 22:65Abaffe tolaba nti mazima Katonda yabagondeza ebyo ebiri mu nsi, n'abagondeza n'amaato agaseeyeeya ku nnyanja olw'ekiragirokye era awanirira eggulu obutagwa ku nsi mpozzi nga ayagadde, mazima Katonda mukwata mpola musaasizi nnyo eri abantu.
وَهُوَ ٱلَّذِيٓ أَحۡيَاكُمۡ ثُمَّ يُمِيتُكُمۡ ثُمَّ يُحۡيِيكُمۡۗ إِنَّ ٱلۡإِنسَٰنَ لَكَفُورٞ
Open ayah 22:66Yye yooyo abawa obulamu oluvanyuma n'abatta n'oluvanyuma alibawa obulamu mazima omuntu mwewakanyi (wa byengera).
لِّكُلِّ أُمَّةٖ جَعَلۡنَا مَنسَكًا هُمۡ نَاسِكُوهُۖ فَلَا يُنَٰزِعُنَّكَ فِي ٱلۡأَمۡرِۚ وَٱدۡعُ إِلَىٰ رَبِّكَۖ إِنَّكَ لَعَلَىٰ هُدٗى مُّسۡتَقِيمٖ
Open ayah 22:67Buli bantu twabawa emikolo (egy'okusinza) bo gye bakola n'olwekyo (abakaafiiri) tebasaanye ku kuwakanya ku kintu kyonna, era koowoola abantu okudda ewa Mukama omulabiriziwo (okusinziira ku bye twogedde) mazima ggwe oli ku bulungamu obulambulukufu.
وَإِن جَٰدَلُوكَ فَقُلِ ٱللَّهُ أَعۡلَمُ بِمَا تَعۡمَلُونَ
Open ayah 22:68Bwe bakuwakanya gamba nti Katonda y'asinga okumanya ebyo bye mukola.
ٱللَّهُ يَحۡكُمُ بَيۡنَكُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ فِيمَا كُنتُمۡ فِيهِ تَخۡتَلِفُونَ
Open ayah 22:69Katonda agenda kusalawo wakati wa mmwe ku lunaku lw'enkomerero ku ebyo bye mwalinga mwawukanamu.
أَلَمۡ تَعۡلَمۡ أَنَّ ٱللَّهَ يَعۡلَمُ مَا فِي ٱلسَّمَآءِ وَٱلۡأَرۡضِۚ إِنَّ ذَٰلِكَ فِي كِتَٰبٍۚ إِنَّ ذَٰلِكَ عَلَى ٱللَّهِ يَسِيرٞ
Open ayah 22:70Abaffe tomanyi nti mazima Katonda amanyi ebiri mu ggulu ne mu nsi mazima ekyo kiri mu kitabo (kiwandiike okuva edda) mazima ekyo kyangu nnyo ku Katonda.
وَيَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ مَا لَمۡ يُنَزِّلۡ بِهِۦ سُلۡطَٰنٗا وَمَا لَيۡسَ لَهُم بِهِۦ عِلۡمٞۗ وَمَا لِلظَّٰلِمِينَ مِن نَّصِيرٖ
Open ayah 22:71Basinza ebitali Katonda byatassangako bujulizi bwonna, era bye batalinaako kumanya kwonna, bulijjo abeeyisa obubi tebaba na mutaasa.
وَإِذَا تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتُنَا بَيِّنَٰتٖ تَعۡرِفُ فِي وُجُوهِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ ٱلۡمُنكَرَۖ يَكَادُونَ يَسۡطُونَ بِٱلَّذِينَ يَتۡلُونَ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتِنَاۗ قُلۡ أَفَأُنَبِّئُكُم بِشَرّٖ مِّن ذَٰلِكُمُۚ ٱلنَّارُ وَعَدَهَا ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْۖ وَبِئۡسَ ٱلۡمَصِيرُ
Open ayah 22:72Ebigambo byaffe bwe bibasomerwa nga binnyonnyofu olaba mu byenyi by'abo abaakaafuwala ekifaananyi ekitali kirungi, kumpi babuukire abo ababasomera ebigambo byaffe, bagambe nti abaffe mbabuulire ekibi okusinga abo, gwe muliro Katonda gwe yalagaanyisa abo abaakaafuwala era buddo obusinga okuba obubi.
يَٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ ضُرِبَ مَثَلٞ فَٱسۡتَمِعُواْ لَهُۥٓۚ إِنَّ ٱلَّذِينَ تَدۡعُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ لَن يَخۡلُقُواْ ذُبَابٗا وَلَوِ ٱجۡتَمَعُواْ لَهُۥۖ وَإِن يَسۡلُبۡهُمُ ٱلذُّبَابُ شَيۡـٔٗا لَّا يَسۡتَنقِذُوهُ مِنۡهُۚ ضَعُفَ ٱلطَّالِبُ وَٱلۡمَطۡلُوبُ
Open ayah 22:73Abange mmwe abantu ekifaananyi kikubiddwa kale mukiwulirize mazima abo be musaba abatali Katonda tebasobola kutonda nsowera ne bwe baba nga beegasse ku lw'ekyo, era ensowera singa ebaggyako ekintu tebasobola kugikiggyako abanja munafu negwebabanja.
مَا قَدَرُواْ ٱللَّهَ حَقَّ قَدۡرِهِۦٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَقَوِيٌّ عَزِيزٌ
Open ayah 22:74Tebaawa Katonda kitiibwa kimusaanira mazima Katonda wa maanyi nnyo Nantakubwa ku mukono.
ٱللَّهُ يَصۡطَفِي مِنَ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةِ رُسُلٗا وَمِنَ ٱلنَّاسِۚ إِنَّ ٱللَّهَ سَمِيعُۢ بَصِيرٞ
Open ayah 22:75Katonda alonda mu ba Malayika ababaka, bwatyo ne mu bantu, mazima Katonda muwulizi alaba nnyo.
يَعۡلَمُ مَا بَيۡنَ أَيۡدِيهِمۡ وَمَا خَلۡفَهُمۡۚ وَإِلَى ٱللَّهِ تُرۡجَعُ ٱلۡأُمُورُ
Open ayah 22:76(N’olwekyo) amanyi ebiri mu maaso gaabwe n'ebiri emabega waabwe, n'eri Katonda ebintu byonna gye bizzibwa.
يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱرۡكَعُواْ وَٱسۡجُدُواْۤ وَٱعۡبُدُواْ رَبَّكُمۡ وَٱفۡعَلُواْ ٱلۡخَيۡرَ لَعَلَّكُمۡ تُفۡلِحُونَ۩
Open ayah 22:77Abange mmwe abakkiriza mukutame (nga mukutte ku maviivi) era muvunname, musinze Mukama omulabirizi wa mmwe, era mukole obulungi musobole okutuuka ku buwanguzi.
وَجَٰهِدُواْ فِي ٱللَّهِ حَقَّ جِهَادِهِۦۚ هُوَ ٱجۡتَبَىٰكُمۡ وَمَا جَعَلَ عَلَيۡكُمۡ فِي ٱلدِّينِ مِنۡ حَرَجٖۚ مِّلَّةَ أَبِيكُمۡ إِبۡرَٰهِيمَۚ هُوَ سَمَّىٰكُمُ ٱلۡمُسۡلِمِينَ مِن قَبۡلُ وَفِي هَٰذَا لِيَكُونَ ٱلرَّسُولُ شَهِيدًا عَلَيۡكُمۡ وَتَكُونُواْ شُهَدَآءَ عَلَى ٱلنَّاسِۚ فَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتُواْ ٱلزَّكَوٰةَ وَٱعۡتَصِمُواْ بِٱللَّهِ هُوَ مَوۡلَىٰكُمۡۖ فَنِعۡمَ ٱلۡمَوۡلَىٰ وَنِعۡمَ ٱلنَّصِيرُ
Open ayah 22:78Era mulafuubane nga muweereza (mu kkubo lya) Katonda mu bulambulukufu bw'okulafuubana okwo, yye (Katonda) ye yabalonda (ku lwe ddiiniye) era teyabateekera mu ddiini buzito bwonna, nga ye ddiini ya Mukadde wa mmwe Ibrahimu, yye y'eyabatuuma abasiraamu oluberyeberye (mu bitabo ebyakulembera) ne mu (Kur’ani) eno olwo nno omubaka abeere mujulizi ku mmwe nammwe mubeere bajulizi ku bantu (abalala) kaakano nno muyimirizeewo e sswala muwe ne Zakka era mwekwase Katonda yye ye mukuumi wa mmwe, kale mulungi nnyo omukuumi (oyo) era mulungi nnyo omutaasa oyo.