المؤمنون

Al-Muminoon

The Believers · Surah 23 · Ayahs: 118 · Meccan

Translation: Luganda - African Institution · Open the surah

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

  1. قَدۡ أَفۡلَحَ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ

    Open ayah 23:1

    Mazima abakkiriza batuuse ku buwanguzi.

  2. ٱلَّذِينَ هُمۡ فِي صَلَاتِهِمۡ خَٰشِعُونَ

    Open ayah 23:2

    Abo bbo abeewombeka mu sswala zaabwe.

  3. وَٱلَّذِينَ هُمۡ عَنِ ٱللَّغۡوِ مُعۡرِضُونَ

    Open ayah 23:3

    Era abo bbo abatabeera mu bintu bitaliimu makulu.

  4. وَٱلَّذِينَ هُمۡ لِلزَّكَوٰةِ فَٰعِلُونَ

    Open ayah 23:4

    Era abo bbo abajjumbize mu kutoola Zakka.

  5. وَٱلَّذِينَ هُمۡ لِفُرُوجِهِمۡ حَٰفِظُونَ

    Open ayah 23:5

    Era abo bbo abakuuma obwereere bwabwe.

  6. إِلَّا عَلَىٰٓ أَزۡوَٰجِهِمۡ أَوۡ مَا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُهُمۡ فَإِنَّهُمۡ غَيۡرُ مَلُومِينَ

    Open ayah 23:6

    Okugyako ku be baafumbiriganwa nabo, oba abo emikono gya bwe egya ddyo be gyafuna (abazaana) anti mazima bbo, ku ekyo tebanenyezebwa.

  7. فَمَنِ ٱبۡتَغَىٰ وَرَآءَ ذَٰلِكَ فَأُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡعَادُونَ

    Open ayah 23:7

    Naye oyo anaayiza okusukka ku ekyo abo bbo be babuuka ensalo (z'amateeka ga Katonda).

  8. وَٱلَّذِينَ هُمۡ لِأَمَٰنَٰتِهِمۡ وَعَهۡدِهِمۡ رَٰعُونَ

    Open ayah 23:8

    (Abakkiriza) era beebo bbo abakuuma obutiribiri obwesigwa bwa bwe n'endagaano zaabwe.

  9. وَٱلَّذِينَ هُمۡ عَلَىٰ صَلَوَٰتِهِمۡ يُحَافِظُونَ

    Open ayah 23:9

    Era bbo beebo abeekubiriza okutuukiriza e sswala zaabwe.

  10. أُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡوَٰرِثُونَ 

    Open ayah 23:10

    Abo nno bbo be bagenda okusikira (okuyingira e jjana).

  11. ٱلَّذِينَ يَرِثُونَ ٱلۡفِرۡدَوۡسَ هُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ

    Open ayah 23:11

    Abo abalisikira Firidausi (e jjana) nga bbo mu yo baakutuulamu bugenderevu.

  12. وَلَقَدۡ خَلَقۡنَا ٱلۡإِنسَٰنَ مِن سُلَٰلَةٖ مِّن طِينٖ

    Open ayah 23:12

    Mazima twatonda omuntu nga tumuggya mu nsibuko ya ttaka

  13. ثُمَّ جَعَلۡنَٰهُ نُطۡفَةٗ فِي قَرَارٖ مَّكِينٖ

    Open ayah 23:13

    Oluvanyuma tumufuula amazzi agazaala ge tukuumira mu kifo ekinywevu (nnabaana).

  14. ثُمَّ خَلَقۡنَا ٱلنُّطۡفَةَ عَلَقَةٗ فَخَلَقۡنَا ٱلۡعَلَقَةَ مُضۡغَةٗ فَخَلَقۡنَا ٱلۡمُضۡغَةَ عِظَٰمٗا فَكَسَوۡنَا ٱلۡعِظَٰمَ لَحۡمٗا ثُمَّ أَنشَأۡنَٰهُ خَلۡقًا ءَاخَرَۚ فَتَبَارَكَ ٱللَّهُ أَحۡسَنُ ٱلۡخَٰلِقِينَ

    Open ayah 23:14

    Oluvanyuma netutonda mu mazzi ago e kisaayisaayi ate e kisaayisaayi ne tukitondamu e kinyama ate e kinyama ne tukitonderamu amagumba olwo nno amagumba ne tugambaza e nnyama, ate oluvanyuma ne tumutonda nga kitonde kirala (naafuuka omuntu nga afuuyiddwamu omwoyo) n'olwekyo Katonda musukkulumu oyo asinga abakozi be bintu bonna.

  15. ثُمَّ إِنَّكُم بَعۡدَ ذَٰلِكَ لَمَيِّتُونَ

    Open ayah 23:15

    Mazima mmwe oluvanyuma lw'ekyo ddala mugenda kufa.

  16. ثُمَّ إِنَّكُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ تُبۡعَثُونَ

    Open ayah 23:16

    Oluvanyuma mazima mmwe olunaku lw'enkomerero muli ba kuzuukizibwa.

  17. وَلَقَدۡ خَلَقۡنَا فَوۡقَكُمۡ سَبۡعَ طَرَآئِقَ وَمَا كُنَّا عَنِ ٱلۡخَلۡقِ غَٰفِلِينَ

    Open ayah 23:17

    Era mazima twatonda waggulu wa mmwe eggulu omusanvu era tetubangako bagayaalira (kulabirira) bitonde.

  18. وَأَنزَلۡنَا مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءَۢ بِقَدَرٖ فَأَسۡكَنَّٰهُ فِي ٱلۡأَرۡضِۖ وَإِنَّا عَلَىٰ ذَهَابِۭ بِهِۦ لَقَٰدِرُونَ

    Open ayah 23:18

    Era tussa okuva waggulu amazzi mu ngeri ya kigero netugabeeza mu ttaka era nga mazima ddala ffe tuba tusobola okugabuzaawo.

  19. فَأَنشَأۡنَا لَكُم بِهِۦ جَنَّٰتٖ مِّن نَّخِيلٖ وَأَعۡنَٰبٖ لَّكُمۡ فِيهَا فَوَٰكِهُ كَثِيرَةٞ وَمِنۡهَا تَأۡكُلُونَ

    Open ayah 23:19

    Netubamereza nago e nnimiro ez'emitende ne nzabibu nga zirimu ebibala bingi era nga ku byo kwe mulya.

  20. وَشَجَرَةٗ تَخۡرُجُ مِن طُورِ سَيۡنَآءَ تَنۢبُتُ بِٱلدُّهۡنِ وَصِبۡغٖ لِّلۡأٓكِلِينَ 

    Open ayah 23:20

    Era netumeza nago omuti (omuzaituni) ogwo ogusibuka ku lusozi Sinaa, guvaamu omuzigo (abantu gwe beesiiga) era nga muwoomu eri abali.

  21. وَإِنَّ لَكُمۡ فِي ٱلۡأَنۡعَٰمِ لَعِبۡرَةٗۖ نُّسۡقِيكُم مِّمَّا فِي بُطُونِهَا وَلَكُمۡ فِيهَا مَنَٰفِعُ كَثِيرَةٞ وَمِنۡهَا تَأۡكُلُونَ

    Open ayah 23:21

    Era mazima mulina mmwe mu nsolo ezirundibwa eky'okuyiga, tubanywesa mu ebyo ebiri mu mbuto zaazo era mulina mu zo emigaso mingi era nga mulya ezimu ku zo.

  22. وَعَلَيۡهَا وَعَلَى ٱلۡفُلۡكِ تُحۡمَلُونَ

    Open ayah 23:22

    Nga era ku zo ne ku maato kwe mutwalirwa.

  23. وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا نُوحًا إِلَىٰ قَوۡمِهِۦ فَقَالَ يَٰقَوۡمِ ٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ مَا لَكُم مِّنۡ إِلَٰهٍ غَيۡرُهُۥٓۚ أَفَلَا تَتَّقُونَ

    Open ayah 23:23

    Era mazima twatuma Nuhu eri a bantube naagamba nti: abange bantu bange musinze Katonda yekka temulinaayo kintu kirala kyonna kisaana kusinzibwa. Abaffe temutya (Katonda)!.

  24. فَقَالَ ٱلۡمَلَؤُاْ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ مِن قَوۡمِهِۦ مَا هَٰذَآ إِلَّا بَشَرٞ مِّثۡلُكُمۡ يُرِيدُ أَن يَتَفَضَّلَ عَلَيۡكُمۡ وَلَوۡ شَآءَ ٱللَّهُ لَأَنزَلَ مَلَٰٓئِكَةٗ مَّا سَمِعۡنَا بِهَٰذَا فِيٓ ءَابَآئِنَا ٱلۡأَوَّلِينَ

    Open ayah 23:24

    Abakungu abo abaakaafuwala mu bantube ne bagamba nti: tali ono (Nuhu) okugyako muntu nga mmwe, ayagala kwe sukkulumya ku mmwe singa Katonda yayagala (kutuma Malayika) yaalibadde atuma ba Malayika, kino tetukiwulirangako mu bakadde baffe abaasooka.

  25. إِنۡ هُوَ إِلَّا رَجُلُۢ بِهِۦ جِنَّةٞ فَتَرَبَّصُواْ بِهِۦ حَتَّىٰ حِينٖ

    Open ayah 23:25

    Talina kyali okugyako okuba nti alina ekimulinnya ku mutwe kale mumuliindirize okumala ekiseera ekigere (ajja kuvaawo oba ajja kufa).

  26. قَالَ رَبِّ ٱنصُرۡنِي بِمَا كَذَّبُونِ

    Open ayah 23:26

    (Nuhu) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange ntaasa ku kunnimbisa (kwa bwe).

  27. فَأَوۡحَيۡنَآ إِلَيۡهِ أَنِ ٱصۡنَعِ ٱلۡفُلۡكَ بِأَعۡيُنِنَا وَوَحۡيِنَا فَإِذَا جَآءَ أَمۡرُنَا وَفَارَ ٱلتَّنُّورُ فَٱسۡلُكۡ فِيهَا مِن كُلّٖ زَوۡجَيۡنِ ٱثۡنَيۡنِ وَأَهۡلَكَ إِلَّا مَن سَبَقَ عَلَيۡهِ ٱلۡقَوۡلُ مِنۡهُمۡۖ وَلَا تُخَٰطِبۡنِي فِي ٱلَّذِينَ ظَلَمُوٓاْ إِنَّهُم مُّغۡرَقُونَ

    Open ayah 23:27

    Awo nno twamutumira nti kola eryato nga okolera ku biragiro byaffe, era ne tumutumira nti ekigambo kyaffe bwe kinaatuuka e ttanuuru neefukumukamu amazzi olwo nno pakira mu lyo (eryato) ku buli kintu bibiri ekisajja n'ekikazi era pakiramu abantubo okugyako omuntu oyo ekigambo gwe kyakakatako edda mu bo, era toyogera nange ku abo abeeyisa obubi, mazima bbo ba kuzikirira.

  28. فَإِذَا ٱسۡتَوَيۡتَ أَنتَ وَمَن مَّعَكَ عَلَى ٱلۡفُلۡكِ فَقُلِ ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ ٱلَّذِي نَجَّىٰنَا مِنَ ٱلۡقَوۡمِ ٱلظَّٰلِمِينَ

    Open ayah 23:28

    Ggwe n'abo abali naawe bwe mukkalira mu lyato olwo nno gamba nti okutenderezebwa kwonna kwa Katonda oyo atuwonyezza abantu abeeyisa obubi.

  29. وَقُل رَّبِّ أَنزِلۡنِي مُنزَلٗا مُّبَارَكٗا وَأَنتَ خَيۡرُ ٱلۡمُنزِلِينَ

    Open ayah 23:29

    Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange (bwe ntuuka okuva mu lyato lino) nzisa mu kifo eky'omukisa anti ggwe osinga bonna abasalawo ebifo (eby'okubeeramu).

  30. إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ وَإِن كُنَّا لَمُبۡتَلِينَ 

    Open ayah 23:30

    Mazima ekyo kijjuddemu obubonero (obulaga obuyinza bwa Katonda) newaakubadde nga ate tubagezesa.

  31. ثُمَّ أَنشَأۡنَا مِنۢ بَعۡدِهِمۡ قَرۡنًا ءَاخَرِينَ

    Open ayah 23:31

    Ekyo nga kiwedde twatandikawo oluvanyuma lwa bwe omulembe omulala.

  32. فَأَرۡسَلۡنَا فِيهِمۡ رَسُولٗا مِّنۡهُمۡ أَنِ ٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ مَا لَكُم مِّنۡ إِلَٰهٍ غَيۡرُهُۥٓۚ أَفَلَا تَتَّقُونَ

    Open ayah 23:32

    Netubatumamu omubaka ng'ava mu bo ng'abagamba nti musinze Katonda temulina kirala kyonna kye musaanye kusinza kitali yye, abaffe temutya (Katonda)!.

  33. وَقَالَ ٱلۡمَلَأُ مِن قَوۡمِهِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَكَذَّبُواْ بِلِقَآءِ ٱلۡأٓخِرَةِ وَأَتۡرَفۡنَٰهُمۡ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا مَا هَٰذَآ إِلَّا بَشَرٞ مِّثۡلُكُمۡ يَأۡكُلُ مِمَّا تَأۡكُلُونَ مِنۡهُ وَيَشۡرَبُ مِمَّا تَشۡرَبُونَ

    Open ayah 23:33

    Abakungu abaakaafuwala mu bantube, era abaalimbisa okusisinkana olunaku lwe'nkomerero, era abo be twawa okweyagala mu bulamu bw'ensi, baagamba nti ono talina kyali okugyako muntu buntu nga mmwe, bye mulyako byalya, ne bye munywa byanywa.

  34. وَلَئِنۡ أَطَعۡتُم بَشَرٗا مِّثۡلَكُمۡ إِنَّكُمۡ إِذٗا لَّخَٰسِرُونَ

    Open ayah 23:34

    Ate singa mugondera omuntu obuntu nga mmwe, mazima mmwe olwo munaaba mufaafaaganiddwa.

  35. أَيَعِدُكُمۡ أَنَّكُمۡ إِذَا مِتُّمۡ وَكُنتُمۡ تُرَابٗا وَعِظَٰمًا أَنَّكُم مُّخۡرَجُونَ

    Open ayah 23:35

    Mbu abalagaanyisa nti mazima mmwe singa mufa ne muba ettaka era amagumba ameereere, nti mazima mmwe mugenda kudda!.

  36. ۞هَيۡهَاتَ هَيۡهَاتَ لِمَا تُوعَدُونَ

    Open ayah 23:36

    Tekisoboka era tekisobokera ddala ekyo kye mulagaanyisibwa.

  37. إِنۡ هِيَ إِلَّا حَيَاتُنَا ٱلدُّنۡيَا نَمُوتُ وَنَحۡيَا وَمَا نَحۡنُ بِمَبۡعُوثِينَ

    Open ayah 23:37

    (Ekituufu kiri nti) tewali bulamu bulala bwonna okugyako obulamu obw'ensi abamu muffe bava mu bulamu abalala ne bayingira. Era ffe tetugenda kuzuukuzibwa.

  38. إِنۡ هُوَ إِلَّا رَجُلٌ ٱفۡتَرَىٰ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبٗا وَمَا نَحۡنُ لَهُۥ بِمُؤۡمِنِينَ

    Open ayah 23:38

    Tali yye okugyako okuba nti musajja agunja ku Katonda ebigambo eby'obulimba, era ffe tetujja kumukkiriza.

  39. قَالَ رَبِّ ٱنصُرۡنِي بِمَا كَذَّبُونِ

    Open ayah 23:39

    (Omubaka) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange ntaasa ku kunnimbisa kwa bwe.

  40. قَالَ عَمَّا قَلِيلٖ لَّيُصۡبِحُنَّ نَٰدِمِينَ 

    Open ayah 23:40

    (Katonda) naagamba nti mu kaseera katono nnyo bajja kuba bejjusa.

  41. فَأَخَذَتۡهُمُ ٱلصَّيۡحَةُ بِٱلۡحَقِّ فَجَعَلۡنَٰهُمۡ غُثَآءٗۚ فَبُعۡدٗا لِّلۡقَوۡمِ ٱلظَّٰلِمِينَ

    Open ayah 23:41

    Okubwatuka ne kubatuukako era nga kye kibasaanira ne tubafuula ebisasiro. N'olwekyo babeere wala nnyo abantu abeeyisa obubi.

  42. ثُمَّ أَنشَأۡنَا مِنۢ بَعۡدِهِمۡ قُرُونًا ءَاخَرِينَ

    Open ayah 23:42

    Ekyo nga kiwedde twatandikawo oluvanyuma lwa bwe emirembe emirala.

  43. مَا تَسۡبِقُ مِنۡ أُمَّةٍ أَجَلَهَا وَمَا يَسۡتَـٔۡخِرُونَ

    Open ayah 23:43

    Tewali mulembe guyinza kukulembera kiseera kyagugererwa, era tebayinza kwagala kwongezebwayo (nebakufuna).

  44. ثُمَّ أَرۡسَلۡنَا رُسُلَنَا تَتۡرَاۖ كُلَّ مَا جَآءَ أُمَّةٗ رَّسُولُهَا كَذَّبُوهُۖ فَأَتۡبَعۡنَا بَعۡضَهُم بَعۡضٗا وَجَعَلۡنَٰهُمۡ أَحَادِيثَۚ فَبُعۡدٗا لِّقَوۡمٖ لَّا يُؤۡمِنُونَ

    Open ayah 23:44

    Oluvanyuma twatuma ababaka baffe nga bagoberegana, buli bantu bwe bajjirwanga omubaka waabwe nga bamulimbisa, olwo nno abamu ne tubakwasa ekkubo bannaabwe lye baakwata (mu kuzikirira) ne tubafuula eky'okwogerwako kale nno babeere wala nnyo abantu abatakkiriza.

  45. ثُمَّ أَرۡسَلۡنَا مُوسَىٰ وَأَخَاهُ هَٰرُونَ بِـَٔايَٰتِنَا وَسُلۡطَٰنٖ مُّبِينٍ

    Open ayah 23:45

    Oluvanyuma twatuma Musa ne Mugandawe Haruna nga tubawadde eby'amagero byaffe n'obujulizi obw'enkukunala.

  46. إِلَىٰ فِرۡعَوۡنَ وَمَلَإِيْهِۦ فَٱسۡتَكۡبَرُواْ وَكَانُواْ قَوۡمًا عَالِينَ

    Open ayah 23:46

    Bagende ewa Firaawo n'abakungube (wabula be twatuma bwe baagenda gye bali) ne beekuza ne babeera abantu abeetwala okuba aba waggulu.

  47. فَقَالُوٓاْ أَنُؤۡمِنُ لِبَشَرَيۡنِ مِثۡلِنَا وَقَوۡمُهُمَا لَنَا عَٰبِدُونَ

    Open ayah 23:47

    Nebagamba nti tukkirize abantu ababiri abafaanana nga ffe ng'ate abantu baabwe batusinza businza!.

  48. فَكَذَّبُوهُمَا فَكَانُواْ مِنَ ٱلۡمُهۡلَكِينَ

    Open ayah 23:48

    Ne babalimbisa bombi olwo nno ne baba mu abo abaazikirizibwa.

  49. وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا مُوسَى ٱلۡكِتَٰبَ لَعَلَّهُمۡ يَهۡتَدُونَ

    Open ayah 23:49

    Era mazima twawa Musa ekitabo babe nga balungama.

  50. وَجَعَلۡنَا ٱبۡنَ مَرۡيَمَ وَأُمَّهُۥٓ ءَايَةٗ وَءَاوَيۡنَٰهُمَآ إِلَىٰ رَبۡوَةٖ ذَاتِ قَرَارٖ وَمَعِينٖ 

    Open ayah 23:50

    Twafuula Mutabani wa Mariam ne Maamawe akabonero, ne tubawa obutuulo mu kifo e kisitufu e kibeerekamu nga kirimu n'amazzi agakulukuta.

  51. يَٰٓأَيُّهَا ٱلرُّسُلُ كُلُواْ مِنَ ٱلطَّيِّبَٰتِ وَٱعۡمَلُواْ صَٰلِحًاۖ إِنِّي بِمَا تَعۡمَلُونَ عَلِيمٞ

    Open ayah 23:51

    Abange mmwe ababaka mulye ebikkirizibwa okuliibwa, era mukole emirimu emirungi mazima nze manyidde ddala ebyo bye mukola.

  52. وَإِنَّ هَٰذِهِۦٓ أُمَّتُكُمۡ أُمَّةٗ وَٰحِدَةٗ وَأَنَا۠ رَبُّكُمۡ فَٱتَّقُونِ

    Open ayah 23:52

    Mazima ddala e kibiina kya mmwe kino (eddiini yammwe) kiri ekibiina kimu nange nze Mukama omulabirizi wa mmwe kale muntye.

  53. فَتَقَطَّعُوٓاْ أَمۡرَهُم بَيۡنَهُمۡ زُبُرٗاۖ كُلُّ حِزۡبِۭ بِمَا لَدَيۡهِمۡ فَرِحُونَ

    Open ayah 23:53

    Naye abantu beekutulamu wakati waabwe ku kigambo kyaabwe (eky'eddiini), ebibiina bingi nga buli kibinja (abantu baakyo) basanyuka n'ebyo bye balina.

  54. فَذَرۡهُمۡ فِي غَمۡرَتِهِمۡ حَتَّىٰ حِينٍ

    Open ayah 23:54

    Kale baleke mu bubuze bwa bwe okutuusa ekiseera (ekyabagererwa).

  55. أَيَحۡسَبُونَ أَنَّمَا نُمِدُّهُم بِهِۦ مِن مَّالٖ وَبَنِينَ

    Open ayah 23:55

    Abaffe balowooza bye tubawa mu mmaali n'abaana.

  56. نُسَارِعُ لَهُمۡ فِي ٱلۡخَيۡرَٰتِۚ بَل لَّا يَشۡعُرُونَ

    Open ayah 23:56

    Tuba tubanguyiza kwe yongera kufuna birungi! wabula tebategeera.

  57. إِنَّ ٱلَّذِينَ هُم مِّنۡ خَشۡيَةِ رَبِّهِم مُّشۡفِقُونَ

    Open ayah 23:57

    Mazima abo abeeraliikirira okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw'okutya Mukama omulabirizi waabwe.

  58. وَٱلَّذِينَ هُم بِـَٔايَٰتِ رَبِّهِمۡ يُؤۡمِنُونَ

    Open ayah 23:58

    Era abo ebigambo ebyassibwa okuva ewa Mukama omulabirizi waabwe babikkiriza.

  59. وَٱلَّذِينَ هُم بِرَبِّهِمۡ لَا يُشۡرِكُونَ

    Open ayah 23:59

    Era abo abatagatta kintu kirala ku Mukama omulabirizi wa bwe.

  60. وَٱلَّذِينَ يُؤۡتُونَ مَآ ءَاتَواْ وَّقُلُوبُهُمۡ وَجِلَةٌ أَنَّهُمۡ إِلَىٰ رَبِّهِمۡ رَٰجِعُونَ 

    Open ayah 23:60

    Era abo abawaayo bye baba bawaddeyo (ku lwa Katonda wa bwe) nga emitima gyabwe gitidde okuba nti mazima bbo bagenda kudda ewa Mukama omulabirizi wa bwe.

  61. أُوْلَٰٓئِكَ يُسَٰرِعُونَ فِي ٱلۡخَيۡرَٰتِ وَهُمۡ لَهَا سَٰبِقُونَ

    Open ayah 23:61

    Abo nno bayaayaanira okukola ebirungi era nga bo mu ekyo be bakulembera

  62. وَلَا نُكَلِّفُ نَفۡسًا إِلَّا وُسۡعَهَاۚ وَلَدَيۡنَا كِتَٰبٞ يَنطِقُ بِٱلۡحَقِّ وَهُمۡ لَا يُظۡلَمُونَ

    Open ayah 23:62

    Era tetuwaliriza muntu (kukola) okugyako ekyo ekiri mu busobozibwe era tulina ekitabo ekiraga mu butuufu (ebikolebwa) nabo nga tebagenda kulyazaamaanyizibwa.

  63. بَلۡ قُلُوبُهُمۡ فِي غَمۡرَةٖ مِّنۡ هَٰذَا وَلَهُمۡ أَعۡمَٰلٞ مِّن دُونِ ذَٰلِكَ هُمۡ لَهَا عَٰمِلُونَ

    Open ayah 23:63

    Wabula emitima gya bwe (abakaafiiri) giri mu kugayaalirira (Kur’ani) eno, awamu n'okugatta ku Katonda ebintu ebirala, balina e mirimu emirala emibi nga Katonda abaleka ne bagikola (olwo nno ebibonerezo bya bwe byeyongere).

  64. حَتَّىٰٓ إِذَآ أَخَذۡنَا مُتۡرَفِيهِم بِٱلۡعَذَابِ إِذَا هُمۡ يَجۡـَٔرُونَ

    Open ayah 23:64

    Okutuusa bwe tussa ebibonerezo ku beejalabi mu bo olwo nno bo nebalajaana.

  65. لَا تَجۡـَٔرُواْ ٱلۡيَوۡمَۖ إِنَّكُم مِّنَّا لَا تُنصَرُونَ

    Open ayah 23:65

    Temulaajana leero, mazima mmwe temuli ba kututaasibwako.

  66. قَدۡ كَانَتۡ ءَايَٰتِي تُتۡلَىٰ عَلَيۡكُمۡ فَكُنتُمۡ عَلَىٰٓ أَعۡقَٰبِكُمۡ تَنكِصُونَ

    Open ayah 23:66

    Mazima ebigambo byange byabasomerwanga naye mmwe mwalinga mukyukira ku bisinziro bya mmwe ne mubikuba amabega.

  67. مُسۡتَكۡبِرِينَ بِهِۦ سَٰمِرٗا تَهۡجُرُونَ

    Open ayah 23:67

    Nga mwekuza olw'okugiwalana (Kur’ani), nga mugyogerako mu ngeri e mbi nga mutudde ku byoto bya mmwe ekiro.

  68. أَفَلَمۡ يَدَّبَّرُواْ ٱلۡقَوۡلَ أَمۡ جَآءَهُم مَّا لَمۡ يَأۡتِ ءَابَآءَهُمُ ٱلۡأَوَّلِينَ

    Open ayah 23:68

    Abaffe tebeetegereza ekigambo (Kur’ani ne balaba nti ntuufu) oba (ekibabuza kwe kuba nti) bajjiddwa ebyo ebitajjira bakadde baabwe abaakulembera.

  69. أَمۡ لَمۡ يَعۡرِفُواْ رَسُولَهُمۡ فَهُمۡ لَهُۥ مُنكِرُونَ

    Open ayah 23:69

    Oba tebaamanya mubaka waabwe n'eba nga y'ensonga lwaki bamuwakanya.

  70. أَمۡ يَقُولُونَ بِهِۦ جِنَّةُۢۚ بَلۡ جَآءَهُم بِٱلۡحَقِّ وَأَكۡثَرُهُمۡ لِلۡحَقِّ كَٰرِهُونَ 

    Open ayah 23:70

    Oba bagamba nti mulalu, wabula (ekituufu kiri nti) yabajjira n'amazima, naye nga abasinga obungi mu bo batamwa amazima.

  71. وَلَوِ ٱتَّبَعَ ٱلۡحَقُّ أَهۡوَآءَهُمۡ لَفَسَدَتِ ٱلسَّمَٰوَٰتُ وَٱلۡأَرۡضُ وَمَن فِيهِنَّۚ بَلۡ أَتَيۡنَٰهُم بِذِكۡرِهِمۡ فَهُمۡ عَن ذِكۡرِهِم مُّعۡرِضُونَ

    Open ayah 23:71

    Singa amazima gaagoberera okwagala kwa bwe, eggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebirimu byandi yonoonese, wabula twabawa ekyo ekibaweesa ekitiibwa (Kur’ani) naye (eky'ennaku) bbo beesamba ekitiibwa kya bwe.

  72. أَمۡ تَسۡـَٔلُهُمۡ خَرۡجٗا فَخَرَاجُ رَبِّكَ خَيۡرٞۖ وَهُوَ خَيۡرُ ٱلرَّٰزِقِينَ

    Open ayah 23:72

    Oba obasaba musaala (ne kiba nga kye kibagaana okukkiriza naye nakyo tokikola), anti omusaala gwa Mukama omulabiriziwo gwe gusinga obulungi era yye y'asinga abagabirizi bonna.

  73. وَإِنَّكَ لَتَدۡعُوهُمۡ إِلَىٰ صِرَٰطٖ مُّسۡتَقِيمٖ

    Open ayah 23:73

    Era mazima ggwe obakoowoola okujja eri e kkubo eggolokofu.

  74. وَإِنَّ ٱلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ بِٱلۡأٓخِرَةِ عَنِ ٱلصِّرَٰطِ لَنَٰكِبُونَ

    Open ayah 23:74

    Era mazima abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero ddala be bava ku kkubo.

  75. ۞وَلَوۡ رَحِمۡنَٰهُمۡ وَكَشَفۡنَا مَا بِهِم مِّن ضُرّٖ لَّلَجُّواْ فِي طُغۡيَٰنِهِمۡ يَعۡمَهُونَ

    Open ayah 23:75

    Singa twabasaasira netubaggyako obuzibu obwabatuukako bandiremedde ku bubuze bwa bwe nga babulubuuta.

  76. وَلَقَدۡ أَخَذۡنَٰهُم بِٱلۡعَذَابِ فَمَا ٱسۡتَكَانُواْ لِرَبِّهِمۡ وَمَا يَتَضَرَّعُونَ

    Open ayah 23:76

    Mazima twabatuusaako e bibonerezo naye tebeemenyera Mukama omulabirizi waabwe era tebaagonda.

  77. حَتَّىٰٓ إِذَا فَتَحۡنَا عَلَيۡهِم بَابٗا ذَا عَذَابٖ شَدِيدٍ إِذَا هُمۡ فِيهِ مُبۡلِسُونَ

    Open ayah 23:77

    Okutuusa bwe tulibaggulira omulyango gw'ebibonerezo e bikakali oligenda okubalaba nga basobeddwa.

  78. وَهُوَ ٱلَّذِيٓ أَنشَأَ لَكُمُ ٱلسَّمۡعَ وَٱلۡأَبۡصَٰرَ وَٱلۡأَفۡـِٔدَةَۚ قَلِيلٗا مَّا تَشۡكُرُونَ

    Open ayah 23:78

    (Katonda) yye, yooyo eyabatondera mmwe amatu n'amaaso n'emitima (naye) mwebaza kitono.

  79. وَهُوَ ٱلَّذِي ذَرَأَكُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَإِلَيۡهِ تُحۡشَرُونَ

    Open ayah 23:79

    Era yye yooyo (eyabatonda) n'abassa mu nsi era gyali gye mulikungaanyizibwa.

  80. وَهُوَ ٱلَّذِي يُحۡيِۦ وَيُمِيتُ وَلَهُ ٱخۡتِلَٰفُ ٱلَّيۡلِ وَٱلنَّهَارِۚ أَفَلَا تَعۡقِلُونَ 

    Open ayah 23:80

    Era yye yooyo awa obulamu era natta era ku kwe okwawukana kw'ekiro n'emisana, abaffe temutegeera!.

  81. بَلۡ قَالُواْ مِثۡلَ مَا قَالَ ٱلۡأَوَّلُونَ

    Open ayah 23:81

    Wabula (ekivaako obuzibu) bagamba nga abaabasooka kye baagamba.

  82. قَالُوٓاْ أَءِذَا مِتۡنَا وَكُنَّا تُرَابٗا وَعِظَٰمًا أَءِنَّا لَمَبۡعُوثُونَ

    Open ayah 23:82

    Bagamba nti bwe tulifa ne tuba e nfuufu n'amagumba abaffe tugenda kuzuukizibwa.

  83. لَقَدۡ وُعِدۡنَا نَحۡنُ وَءَابَآؤُنَا هَٰذَا مِن قَبۡلُ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّآ أَسَٰطِيرُ ٱلۡأَوَّلِينَ

    Open ayah 23:83

    Mazima ffe ne bakadde baffe kino kyatulagaanyisibwa dda, tekirina kye kiri okugyako okuba enfumo z'abasooka.

  84. قُل لِّمَنِ ٱلۡأَرۡضُ وَمَن فِيهَآ إِن كُنتُمۡ تَعۡلَمُونَ

    Open ayah 23:84

    Bagambe nti: ensi n'ebigirimu byani bwe muba nga mumanyi?.

  85. سَيَقُولُونَ لِلَّهِۚ قُلۡ أَفَلَا تَذَكَّرُونَ

    Open ayah 23:85

    Bajja kugamba nti bya Katonda, bagambe nti abaffe temwebuulirira!.

  86. قُلۡ مَن رَّبُّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ ٱلسَّبۡعِ وَرَبُّ ٱلۡعَرۡشِ ٱلۡعَظِيمِ

    Open ayah 23:86

    Bagambe nti ani Mukama Omulabirizi w'eggulu omusanvu era Mukama Omulabirizi wa Arishi ey'ekitiibwa?.

  87. سَيَقُولُونَ لِلَّهِۚ قُلۡ أَفَلَا تَتَّقُونَ

    Open ayah 23:87

    Bajja kugamba nti bya Katonda, bagambe nti abaffe temutya!.

  88. قُلۡ مَنۢ بِيَدِهِۦ مَلَكُوتُ كُلِّ شَيۡءٖ وَهُوَ يُجِيرُ وَلَا يُجَارُ عَلَيۡهِ إِن كُنتُمۡ تَعۡلَمُونَ

    Open ayah 23:88

    Bagambe nti obufuzi bwa buli kintu buli mu mukono gw'ani? Alina obusobozi obuwa obukuumi (oyo aba yeekubidde enduulu gyali, ate bwaba yeetaaga omuntu) takugirwa ku ye, (mwanukule) bwe muba nga mumanyi.

  89. سَيَقُولُونَ لِلَّهِۚ قُلۡ فَأَنَّىٰ تُسۡحَرُونَ

    Open ayah 23:89

    Bajja kugamba nti (obufuzi) bwa Katonda, bagambe nti mubuzibwabuzibwa mutya!.

  90. بَلۡ أَتَيۡنَٰهُم بِٱلۡحَقِّ وَإِنَّهُمۡ لَكَٰذِبُونَ 

    Open ayah 23:90

    Wabula twabaleetera amazima naye ddala bbo balimba.

  91. مَا ٱتَّخَذَ ٱللَّهُ مِن وَلَدٖ وَمَا كَانَ مَعَهُۥ مِنۡ إِلَٰهٍۚ إِذٗا لَّذَهَبَ كُلُّ إِلَٰهِۭ بِمَا خَلَقَ وَلَعَلَا بَعۡضُهُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٖۚ سُبۡحَٰنَ ٱللَّهِ عَمَّا يَصِفُونَ

    Open ayah 23:91

    Katonda teyeeteerangawo mwana era tawabangawo naye katonda mulala, singa bwe kyali buli katonda yandigenze ne bye yatonda era abamu baaliwambye bannaabwe. Katonda yeesambidde ddala ebyo bye boogera.

  92. عَٰلِمِ ٱلۡغَيۡبِ وَٱلشَّهَٰدَةِ فَتَعَٰلَىٰ عَمَّا يُشۡرِكُونَ

    Open ayah 23:92

    (Katonda) mumanyi wa byekusifu n'ebirabikako ali wala nnyo ku ebyo bye bamugattako.

  93. قُل رَّبِّ إِمَّا تُرِيَنِّي مَا يُوعَدُونَ

    Open ayah 23:93

    Gamba nti: ayi Mukama omulabirizi wange, lwolindaga (ebibonerezo) ebyo bye balagaanyisibwa.

  94. رَبِّ فَلَا تَجۡعَلۡنِي فِي ٱلۡقَوۡمِ ٱلظَّٰلِمِينَ

    Open ayah 23:94

    Ayi Mukama omulabirizi wange tonteekanga mu bantu abeeyisa obubi.

  95. وَإِنَّا عَلَىٰٓ أَن نُّرِيَكَ مَا نَعِدُهُمۡ لَقَٰدِرُونَ

    Open ayah 23:95

    Era mazima ffe ku ky'okukulaga bye tubalagaanyisa tusobolera ddala.

  96. ٱدۡفَعۡ بِٱلَّتِي هِيَ أَحۡسَنُ ٱلسَّيِّئَةَۚ نَحۡنُ أَعۡلَمُ بِمَا يَصِفُونَ

    Open ayah 23:96

    Ggyawo ekibi nga okozesa ekyo ekisinga obulungi, ffe tusinga okumanya ebyo bye boogera.

  97. وَقُل رَّبِّ أَعُوذُ بِكَ مِنۡ هَمَزَٰتِ ٱلشَّيَٰطِينِ

    Open ayah 23:97

    Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange nkusaba ompe obukuumi ku kubuzaabuza kwa Sitane.

  98. وَأَعُوذُ بِكَ رَبِّ أَن يَحۡضُرُونِ

    Open ayah 23:98

    Era Mukama omulabirizi wange nkusaba ompe obukuumi (Sitane) zireme kunsemberera.

  99. حَتَّىٰٓ إِذَا جَآءَ أَحَدَهُمُ ٱلۡمَوۡتُ قَالَ رَبِّ ٱرۡجِعُونِ

    Open ayah 23:99

    (Baakubeera mu bubuze) okutuusa okufa lwe kujjira omu ku bo, naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange munzizeeyo (ku nsi).

  100. لَعَلِّيٓ أَعۡمَلُ صَٰلِحٗا فِيمَا تَرَكۡتُۚ كَلَّآۚ إِنَّهَا كَلِمَةٌ هُوَ قَآئِلُهَاۖ وَمِن وَرَآئِهِم بَرۡزَخٌ إِلَىٰ يَوۡمِ يُبۡعَثُونَ 

    Open ayah 23:100

    Mbe nga nkola emirimu emirungi mu ebyo byessaakola, si bwe kiri mazima kyo kigambo bugambo yye kyayogera (naye nga tagenda kusobola kudda) ate era mu maaso gaabwe waliwo e kiseera (ekyawula wakati w'obulamu bw'ensi n'obw'oluvanyuma mwe balibeera) okutuusa ku lunaku lwe balizuukizibwa.

  101. فَإِذَا نُفِخَ فِي ٱلصُّورِ فَلَآ أَنسَابَ بَيۡنَهُمۡ يَوۡمَئِذٖ وَلَا يَتَسَآءَلُونَ 

    Open ayah 23:101

    Olwo nno engombe bwerifuuyibwa tewagenda kuba nganda wakati wa bwe ku lunaku olwo, era tebagenda kwogeraganya.

  102. فَمَن ثَقُلَتۡ مَوَٰزِينُهُۥ فَأُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُفۡلِحُونَ 

    Open ayah 23:102

    Oyo yenna ebirizitowa ebipimwabye abo nno be b'okwesiima.

  103. وَمَنۡ خَفَّتۡ مَوَٰزِينُهُۥ فَأُوْلَٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ خَسِرُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ فِي جَهَنَّمَ خَٰلِدُونَ 

    Open ayah 23:103

    Ate oyo ebiriwewuka ebipimwabye abo nno be bafaafaaganirwa emyoyo gya bwe nga baakutuula lubeerera mu muliro Jahannama.

  104. تَلۡفَحُ وُجُوهَهُمُ ٱلنَّارُ وَهُمۡ فِيهَا كَٰلِحُونَ 

    Open ayah 23:104

    Omuliro gulisiriiza ebyenyi bya bwe, balibeera mu gwo nga banyinyibadde.

  105. أَلَمۡ تَكُنۡ ءَايَٰتِي تُتۡلَىٰ عَلَيۡكُمۡ فَكُنتُم بِهَا تُكَذِّبُونَ 

    Open ayah 23:105

    Abaffe ebigambo byange byali tebibasomerwa ate mmwe ne muba nga mubilimbisa.

  106. قَالُواْ رَبَّنَا غَلَبَتۡ عَلَيۡنَا شِقۡوَتُنَا وَكُنَّا قَوۡمٗا ضَآلِّينَ 

    Open ayah 23:106

    Nebagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe obwonoonefu bwaffe bwatusinza amanyi, era twali abantu abaabula.

  107. رَبَّنَآ أَخۡرِجۡنَا مِنۡهَا فَإِنۡ عُدۡنَا فَإِنَّا ظَٰلِمُونَ 

    Open ayah 23:107

    Ayi Mukama omulabirizi waffe tuggye mu gwo (omuliro), olwo nno bwe tuddamu okwonoona mazima tujja kuba abeeyisa obubi.

  108. قَالَ ٱخۡسَـُٔواْ فِيهَا وَلَا تُكَلِّمُونِ 

    Open ayah 23:108

    Naagamba nti mubeere mu gwo nga munyoomebwa era temwogera nange.

  109. إِنَّهُۥ كَانَ فَرِيقٞ مِّنۡ عِبَادِي يَقُولُونَ رَبَّنَآ ءَامَنَّا فَٱغۡفِرۡ لَنَا وَٱرۡحَمۡنَا وَأَنتَ خَيۡرُ ٱلرَّٰحِمِينَ 

    Open ayah 23:109

    Mazima ekitundu mu baddu bange baali bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tukkirizza kale tusonyiwe era otusaasire era ggwe osinga abasaasizi bonna.

  110. فَٱتَّخَذۡتُمُوهُمۡ سِخۡرِيًّا حَتَّىٰٓ أَنسَوۡكُمۡ ذِكۡرِي وَكُنتُم مِّنۡهُمۡ تَضۡحَكُونَ 

    Open ayah 23:110

    Ne mubafuula ekisekererwa okutuusa lwe baaberabiza okunjogerako era mwali mubasekerera.

  111. إِنِّي جَزَيۡتُهُمُ ٱلۡيَوۡمَ بِمَا صَبَرُوٓاْ أَنَّهُمۡ هُمُ ٱلۡفَآئِزُونَ

    Open ayah 23:111

    Mazima nze olwa leero mbasasudde olw'ebyo bye baagumiikiriza mazima bbo be b'okwesiima.

  112. قَٰلَ كَمۡ لَبِثۡتُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ عَدَدَ سِنِينَ

    Open ayah 23:112

    (Katonda) aligamba nti mu nsi mwatuulamu emyaka emeka?

  113. قَالُواْ لَبِثۡنَا يَوۡمًا أَوۡ بَعۡضَ يَوۡمٖ فَسۡـَٔلِ ٱلۡعَآدِّينَ

    Open ayah 23:113

    Baligamba nti: twamalamu lunaku oba kitundu kya lunaku, wabula buuza ababazi.

  114. قَٰلَ إِن لَّبِثۡتُمۡ إِلَّا قَلِيلٗاۖ لَّوۡ أَنَّكُمۡ كُنتُمۡ تَعۡلَمُونَ

    Open ayah 23:114

    Aligamba nti temwatuula okugyako ebbanga ttono singa mazima mmwe mwali mumanyi.

  115. أَفَحَسِبۡتُمۡ أَنَّمَا خَلَقۡنَٰكُمۡ عَبَثٗا وَأَنَّكُمۡ إِلَيۡنَا لَا تُرۡجَعُونَ

    Open ayah 23:115

    Abaffe mwalowooza nti mazima twabatonda nga tewali kigendererwa, era nti mazima mmwe temugenda kuzzibwa gye tuli.

  116. فَتَعَٰلَى ٱللَّهُ ٱلۡمَلِكُ ٱلۡحَقُّۖ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ رَبُّ ٱلۡعَرۡشِ ٱلۡكَرِيمِ

    Open ayah 23:116

    Yasukkuluma Katonda Omufuzi (era yye) ye mazima tewali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako yye, Mukama omulabirizi wa Arishi ey'ekitiibwa.

  117. وَمَن يَدۡعُ مَعَ ٱللَّهِ إِلَٰهًا ءَاخَرَ لَا بُرۡهَٰنَ لَهُۥ بِهِۦ فَإِنَّمَا حِسَابُهُۥ عِندَ رَبِّهِۦٓۚ إِنَّهُۥ لَا يُفۡلِحُ ٱلۡكَٰفِرُونَ

    Open ayah 23:117

    Oyo yenna asinza ekintu ekirala awamu ne Katonda so nga ate takirinaako bujulizi, mazima okubalibwa kwe kuli wa Mukama omulabiriziwe, mazima abakaafiiri tebayinza kwesiima.

  118. وَقُل رَّبِّ ٱغۡفِرۡ وَٱرۡحَمۡ وَأَنتَ خَيۡرُ ٱلرَّٰحِمِينَ

    Open ayah 23:118

    Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange sonyiwa osaasire. Era ggwe osinga abasaasizi bonna.