الزخرف

Az-Zukhruf

Ornaments of gold · Surah 43 · Ayahs: 89 · Meccan

Translation: Luganda - African Institution · Open the surah

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

  1. Ha Miim.

  2. وَٱلۡكِتَٰبِ ٱلۡمُبِينِ

    Open ayah 43:2

    Ndayidde ekitabo ekinnyonnyofu.

  3. إِنَّا جَعَلۡنَٰهُ قُرۡءَٰنًا عَرَبِيّٗا لَّعَلَّكُمۡ تَعۡقِلُونَ

    Open ayah 43:3

    Mazima ffe twagissa Kur’ani nga eri mu luwarabu oba olyawo ne mutegeera.

  4. وَإِنَّهُۥ فِيٓ أُمِّ ٱلۡكِتَٰبِ لَدَيۡنَا لَعَلِيٌّ حَكِيمٌ

    Open ayah 43:4

    Era mazima yo eri ku nsibuko ye bitabo (Lauhul mahfudh) ddala yo ya waggulu nnyo ejjudde amagezi.

  5. أَفَنَضۡرِبُ عَنكُمُ ٱلذِّكۡرَ صَفۡحًا أَن كُنتُمۡ قَوۡمٗا مُّسۡرِفِينَ

    Open ayah 43:5

    Abaffe tunabajjirako ddala okubuulirira olwokuba muli abantu abasukka ekikemo (abatagoberera mateeka ga Katonda).

  6. وَكَمۡ أَرۡسَلۡنَا مِن نَّبِيّٖ فِي ٱلۡأَوَّلِينَ

    Open ayah 43:6

    Bameka ba Nabbi betwatuma mu baasooka?.

  7. وَمَا يَأۡتِيهِم مِّن نَّبِيٍّ إِلَّا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ

    Open ayah 43:7

    Tewali Nabbi yenna yabajjira okugyako bamujeejanga.

  8. فَأَهۡلَكۡنَآ أَشَدَّ مِنۡهُم بَطۡشٗا وَمَضَىٰ مَثَلُ ٱلۡأَوَّلِينَ

    Open ayah 43:8

    Olwo nno netuzikiriza abamaanyi okusinga abo (abakafiiri be Makkah) era ekyatuuka ku baakulembera kimanyiddwa (abalala bandikitutte nga ekyokuyiga).

  9. وَلَئِن سَأَلۡتَهُم مَّنۡ خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ لَيَقُولُنَّ خَلَقَهُنَّ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡعَلِيمُ

    Open ayah 43:9

    Singa obabuuza nti ani yatonda eggulu omusanvu ne nsi, ddala bajja kugamba nti yabitonda nantakubwa ku mukono omumanyi ennyo.

  10. ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُمُ ٱلۡأَرۡضَ مَهۡدٗا وَجَعَلَ لَكُمۡ فِيهَا سُبُلٗا لَّعَلَّكُمۡ تَهۡتَدُونَ 

    Open ayah 43:10

    Oyo eyabateerawo ensi nga nyanjuluze nagibateeramu amakubo mulyoke mulungame (mutuuke gye mulaga).

  11. وَٱلَّذِي نَزَّلَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءَۢ بِقَدَرٖ فَأَنشَرۡنَا بِهِۦ بَلۡدَةٗ مَّيۡتٗاۚ كَذَٰلِكَ تُخۡرَجُونَ

    Open ayah 43:11

    Era oyo assa okuva waggulu amazzi nga ga kigero (ekyetaagisa) netuzza bugya nago ekitundu ekifu (olwekyeya) bwemutyo bwe mulifulumizibwa (nga muzuukira).

  12. وَٱلَّذِي خَلَقَ ٱلۡأَزۡوَٰجَ كُلَّهَا وَجَعَلَ لَكُم مِّنَ ٱلۡفُلۡكِ وَٱلۡأَنۡعَٰمِ مَا تَرۡكَبُونَ

    Open ayah 43:12

    Era yooyo eyatonda emitindo ebiri ebiri gyonna era nabateerawo amaato n’ebisolo ebyawaka ebyo bye mwebagala.

  13. لِتَسۡتَوُۥاْ عَلَىٰ ظُهُورِهِۦ ثُمَّ تَذۡكُرُواْ نِعۡمَةَ رَبِّكُمۡ إِذَا ٱسۡتَوَيۡتُمۡ عَلَيۡهِ وَتَقُولُواْ سُبۡحَٰنَ ٱلَّذِي سَخَّرَ لَنَا هَٰذَا وَمَا كُنَّا لَهُۥ مُقۡرِنِينَ

    Open ayah 43:13

    Mube nga mutebenkera ku migongo gyazo, oluvanyuma musiime ekyengera kya Mukama omulabirizi wa mmwe wemuzituulirako, era mugambe nti, musukkulumu oyo eyatugondeza kino tetwandibadde bakisobola.

  14. وَإِنَّآ إِلَىٰ رَبِّنَا لَمُنقَلِبُونَ

    Open ayah 43:14

    Era mazima ddala ffe tuli ba kudda ewa Mukama omulabirizi waffe.

  15. وَجَعَلُواْ لَهُۥ مِنۡ عِبَادِهِۦ جُزۡءًاۚ إِنَّ ٱلۡإِنسَٰنَ لَكَفُورٞ مُّبِينٌ

    Open ayah 43:15

    Naye abatakkiriza bateeka ku Katonda abamu ku baddube (nti nabo ba Katonda), mazima omuntu mwewakanyi omweyolefu.

  16. أَمِ ٱتَّخَذَ مِمَّا يَخۡلُقُ بَنَاتٖ وَأَصۡفَىٰكُم بِٱلۡبَنِينَ

    Open ayah 43:16

    Oba mwebyo byatonda mweyasalawo okwegyira abawala ate mmwe naasalawo okubawa abalenzi.

  17. وَإِذَا بُشِّرَ أَحَدُهُم بِمَا ضَرَبَ لِلرَّحۡمَٰنِ مَثَلٗا ظَلَّ وَجۡهُهُۥ مُسۡوَدّٗا وَهُوَ كَظِيمٌ

    Open ayah 43:17

    So nga omu kubo bwaba aweereddwa amawulire nti afunye omwana agwa mu kiti kyabo be bapaatiika ku Katonda ekyenyi kye kisiiba kifumye era nga naye munyiikaavu.

  18. أَوَمَن يُنَشَّؤُاْ فِي ٱلۡحِلۡيَةِ وَهُوَ فِي ٱلۡخِصَامِ غَيۡرُ مُبِينٖ

    Open ayah 43:18

    Abaffe oyo akuzibwa ng’ali mu bya kwenyiriza, era nga yye mu kunnyonnyola taba na nsonga nywevu (gwemuwa Katonda!).

  19. وَجَعَلُواْ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةَ ٱلَّذِينَ هُمۡ عِبَٰدُ ٱلرَّحۡمَٰنِ إِنَٰثًاۚ أَشَهِدُواْ خَلۡقَهُمۡۚ سَتُكۡتَبُ شَهَٰدَتُهُمۡ وَيُسۡـَٔلُونَ

    Open ayah 43:19

    Ba Malayika abo, abaddu ba Katonda omusaasizi ne babafuula abakazi! abaffe baaliwo nga batondwa? Obujulizi bwabwe (bwe bepampalika okuwa) bujja kuwandiikibwa era bagenda kubuuzibwa.

  20. وَقَالُواْ لَوۡ شَآءَ ٱلرَّحۡمَٰنُ مَا عَبَدۡنَٰهُمۗ مَّا لَهُم بِذَٰلِكَ مِنۡ عِلۡمٍۖ إِنۡ هُمۡ إِلَّا يَخۡرُصُونَ 

    Open ayah 43:20

    Era bagamba nti singa Katonda omusaasizi ennyo yayagala tetwandibasinzizza ekyo tebakirinaako kumanya kwonna, tebali (mu kukola ekyo) okugyako bateebereza buteebereza.

  21. أَمۡ ءَاتَيۡنَٰهُمۡ كِتَٰبٗا مِّن قَبۡلِهِۦ فَهُم بِهِۦ مُسۡتَمۡسِكُونَ

    Open ayah 43:21

    Abaffe twabawa ekitabo oluberyeberye lwakino (ekikolwa kyabwe) balyoke babe nga kye bekwatako.

  22. بَلۡ قَالُوٓاْ إِنَّا وَجَدۡنَآ ءَابَآءَنَا عَلَىٰٓ أُمَّةٖ وَإِنَّا عَلَىٰٓ ءَاثَٰرِهِم مُّهۡتَدُونَ

    Open ayah 43:22

    Wabula bagamba nti mazima ffe twasanga baganda baffe nga bali ku nkola, era mazima ffe tuli ku buwufu bwabwe kwe tulungamira.

  23. وَكَذَٰلِكَ مَآ أَرۡسَلۡنَا مِن قَبۡلِكَ فِي قَرۡيَةٖ مِّن نَّذِيرٍ إِلَّا قَالَ مُتۡرَفُوهَآ إِنَّا وَجَدۡنَآ ءَابَآءَنَا عَلَىٰٓ أُمَّةٖ وَإِنَّا عَلَىٰٓ ءَاثَٰرِهِم مُّقۡتَدُونَ

    Open ayah 43:23

    Nabwekityo tetwatuma luberyeberyelwo mu kitundu kyonna mutiisa okugyako nga babinojjo baamu bagamba nti mazima ffe twasanga bakadde baffe nga bali ku nkola, era mazima ffe tuli ku buwufu bwabwe tugoberera.

  24. ۞قَٰلَ أَوَلَوۡ جِئۡتُكُم بِأَهۡدَىٰ مِمَّا وَجَدتُّمۡ عَلَيۡهِ ءَابَآءَكُمۡۖ قَالُوٓاْ إِنَّا بِمَآ أُرۡسِلۡتُم بِهِۦ كَٰفِرُونَ

    Open ayah 43:24

    Omubaka waabwe kwe kugamba nti (kiba bwekityo) newakubadde nga mbaleetedde ekirungamu okusinga ekyo kye mwasangako bakadde ba mmwe ne bagamba nti mazima ffe, tuwakanya ekyo kye mutumiddwa nakyo.

  25. فَٱنتَقَمۡنَا مِنۡهُمۡۖ فَٱنظُرۡ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلۡمُكَذِّبِينَ

    Open ayah 43:25

    Olwo nno netubabonereza, kale tunuulira enkomerero ya balimbisa yali etya.

  26. وَإِذۡ قَالَ إِبۡرَٰهِيمُ لِأَبِيهِ وَقَوۡمِهِۦٓ إِنَّنِي بَرَآءٞ مِّمَّا تَعۡبُدُونَ

    Open ayah 43:26

    Jjukira Ibrahim bwe yagamba kitawe n’abantu be, nti mazima nze neganye ebyo bye musinza.

  27. إِلَّا ٱلَّذِي فَطَرَنِي فَإِنَّهُۥ سَيَهۡدِينِ

    Open ayah 43:27

    Okugyako (okusinza) oyo eyantonda anti mazima yye yajja okunnungamya.

  28. وَجَعَلَهَا كَلِمَةَۢ بَاقِيَةٗ فِي عَقِبِهِۦ لَعَلَّهُمۡ يَرۡجِعُونَ

    Open ayah 43:28

    (Ibrahim) yakiteekawo nga kigambo ekyokusigalawo oluvanyuma lwe, balyoke babe nga badda (eri okwawula Katonda).

  29. بَلۡ مَتَّعۡتُ هَٰٓؤُلَآءِ وَءَابَآءَهُمۡ حَتَّىٰ جَآءَهُمُ ٱلۡحَقُّ وَرَسُولٞ مُّبِينٞ

    Open ayah 43:29

    Wabula nawa abo ne bakadde baabwe okweyagalira mu bulamu bwensi, okutuusiza ddala nga amazima gabajjidde (Kur’ani) n’omubaka annyonnyola (amazima ago).

  30. وَلَمَّا جَآءَهُمُ ٱلۡحَقُّ قَالُواْ هَٰذَا سِحۡرٞ وَإِنَّا بِهِۦ كَٰفِرُونَ 

    Open ayah 43:30

    Naye nno amazima bwe gaamala okubajjira nebagamba nti lino ddogo, era mazima ffe tuliwakanya.

  31. وَقَالُواْ لَوۡلَا نُزِّلَ هَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانُ عَلَىٰ رَجُلٖ مِّنَ ٱلۡقَرۡيَتَيۡنِ عَظِيمٍ

    Open ayah 43:31

    Era nebagamba nti singa Kur’ani eno essiddwa ku musajja owekitiibwa ngava mu kimu ku bitundu ebibiri.

  32. أَهُمۡ يَقۡسِمُونَ رَحۡمَتَ رَبِّكَۚ نَحۡنُ قَسَمۡنَا بَيۡنَهُم مَّعِيشَتَهُمۡ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۚ وَرَفَعۡنَا بَعۡضَهُمۡ فَوۡقَ بَعۡضٖ دَرَجَٰتٖ لِّيَتَّخِذَ بَعۡضُهُم بَعۡضٗا سُخۡرِيّٗاۗ وَرَحۡمَتُ رَبِّكَ خَيۡرٞ مِّمَّا يَجۡمَعُونَ

    Open ayah 43:32

    Abaffe bo be bagabanya okusaasira kwa Katonda, (obwa Nabbi nga bwe baagala) ffe tubagabanyiza ebibabeesaawo mu bulamu bwensi, ne tusukkulumya abamu ku balala mu madaala, abamu balyoke bafuule bannaabwe abaweereza, wabula okusaasira kwa Katonda kwe kusinga obulungi kwebyo byonna bye bakungaanya.

  33. وَلَوۡلَآ أَن يَكُونَ ٱلنَّاسُ أُمَّةٗ وَٰحِدَةٗ لَّجَعَلۡنَا لِمَن يَكۡفُرُ بِٱلرَّحۡمَٰنِ لِبُيُوتِهِمۡ سُقُفٗا مِّن فِضَّةٖ وَمَعَارِجَ عَلَيۡهَا يَظۡهَرُونَ

    Open ayah 43:33

    Singa sikuba nti abantu bonna bajja kufuuka ekibiina kimu (eky'obukafiiri), buli eyandibadde awakanya Katonda omusaasizi ennyo twalitadde ku mayumba gaabwe obusolya nga bwa ffeeza ne ku madaala gebalinnyirako (bonoonekere ddala).

  34. وَلِبُيُوتِهِمۡ أَبۡوَٰبٗا وَسُرُرًا عَلَيۡهَا يَتَّكِـُٔونَ

    Open ayah 43:34

    Nga ne ku nyumba zaabwe twanditaddeko emiryango ne ku bitanda bye bawummulirako (nakwo twanditaddeko ffeeza).

  35. وَزُخۡرُفٗاۚ وَإِن كُلُّ ذَٰلِكَ لَمَّا مَتَٰعُ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۚ وَٱلۡأٓخِرَةُ عِندَ رَبِّكَ لِلۡمُتَّقِينَ

    Open ayah 43:35

    Era (twandibawadde) ebyokwewunda nga bya zzaabu, ebyo byonna tebiri okugyako okuba nga bya kweyagala bya bulamu bwansi, so nga enkomerero ewa Mukama omulabiriziwo, ya batya Katonda.

  36. وَمَن يَعۡشُ عَن ذِكۡرِ ٱلرَّحۡمَٰنِ نُقَيِّضۡ لَهُۥ شَيۡطَٰنٗا فَهُوَ لَهُۥ قَرِينٞ

    Open ayah 43:36

    (Nooyo yenna eyesulubabba ebigambo bya Katonda (Kur’ani) tumuteerawo Sitane olwo nno neba nga ye mukwanogwe.

  37. وَإِنَّهُمۡ لَيَصُدُّونَهُمۡ عَنِ ٱلسَّبِيلِ وَيَحۡسَبُونَ أَنَّهُم مُّهۡتَدُونَ

    Open ayah 43:37

    Era mazima bo bannaabwe (ba Sitane) ddala babaziyiza okutuuka ku kkubo (eggolokofu) ate mazima bo ne basuubira nti balungamu.

  38. حَتَّىٰٓ إِذَا جَآءَنَا قَالَ يَٰلَيۡتَ بَيۡنِي وَبَيۡنَكَ بُعۡدَ ٱلۡمَشۡرِقَيۡنِ فَبِئۡسَ ٱلۡقَرِينُ

    Open ayah 43:38

    Okutuusa (omuntu oyo eyesulubabba) lwalijja gyetuli aligamba nti nga ndabye, singa wakati wange naawe waliwo ebbanga eryenkana wakati we buvanjuba ne bugwanjuba, agenda kuba munywanyi mubi!.

  39. وَلَن يَنفَعَكُمُ ٱلۡيَوۡمَ إِذ ظَّلَمۡتُمۡ أَنَّكُمۡ فِي ٱلۡعَذَابِ مُشۡتَرِكُونَ

    Open ayah 43:39

    Mazima mmwe ekyokuba nti mwegattidde mu bibonerezo tekijja kubagasa olwaleero okuva lwe mweyisa obubi mwekka.

  40. أَفَأَنتَ تُسۡمِعُ ٱلصُّمَّ أَوۡ تَهۡدِي ٱلۡعُمۡيَ وَمَن كَانَ فِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٖ 

    Open ayah 43:40

    Abaffe ggwe (Muhammad) osobola okuwuliza kiggala oba okulaga muzibe ekkubo nooyo ali mu bubuze obweyolefu.

  41. فَإِمَّا نَذۡهَبَنَّ بِكَ فَإِنَّا مِنۡهُم مُّنتَقِمُونَ

    Open ayah 43:41

    Singa tukugyawo (noofa nga tetunnaba kubonereza bajeemu abo) mazima ffe tuba ba ku babonereza.

  42. أَوۡ نُرِيَنَّكَ ٱلَّذِي وَعَدۡنَٰهُمۡ فَإِنَّا عَلَيۡهِم مُّقۡتَدِرُونَ

    Open ayah 43:42

    Oba tulikulaga ekyo kye twa balaganyisa anti mazima ffe tusobola.

  43. فَٱسۡتَمۡسِكۡ بِٱلَّذِيٓ أُوحِيَ إِلَيۡكَۖ إِنَّكَ عَلَىٰ صِرَٰطٖ مُّسۡتَقِيمٖ

    Open ayah 43:43

    Kale wekwate kwekyo ekikuweebwa (Kur’ani) anti mazima ggwe oli ku kkubo eggolokofu.

  44. وَإِنَّهُۥ لَذِكۡرٞ لَّكَ وَلِقَوۡمِكَۖ وَسَوۡفَ تُسۡـَٔلُونَ

    Open ayah 43:44

    Era mazima yo (Kur’ani) kitiibwa gyoli neeri abantu bo era lumu mugenda kubuuzibwa (ku ngeri gye mwagigobereramu).

  45. وَسۡـَٔلۡ مَنۡ أَرۡسَلۡنَا مِن قَبۡلِكَ مِن رُّسُلِنَآ أَجَعَلۡنَا مِن دُونِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ءَالِهَةٗ يُعۡبَدُونَ

    Open ayah 43:45

    Buuza abo betwatuma oluberyeberye lwo mu babaka baffe nti, abaffe twaleka Katonda omusaasizi ennyo netuteekawo bu katonda obulala obusinzibwa!.

  46. وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا مُوسَىٰ بِـَٔايَٰتِنَآ إِلَىٰ فِرۡعَوۡنَ وَمَلَإِيْهِۦ فَقَالَ إِنِّي رَسُولُ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

    Open ayah 43:46

    Mazima twatuma Musa n’obubonero bwaffe nti genda eri Falawo na bakungu be, olwo nno nabagamba nti mazima nze ndi mubaka w'omulabirizi w’ebitonde.

  47. فَلَمَّا جَآءَهُم بِـَٔايَٰتِنَآ إِذَا هُم مِّنۡهَا يَضۡحَكُونَ

    Open ayah 43:47

    Wabula bwe yabajjira n’obubonero bwaffe wagenda okulaba nga babusekerera.

  48. وَمَا نُرِيهِم مِّنۡ ءَايَةٍ إِلَّا هِيَ أَكۡبَرُ مِنۡ أُخۡتِهَاۖ وَأَخَذۡنَٰهُم بِٱلۡعَذَابِ لَعَلَّهُمۡ يَرۡجِعُونَ

    Open ayah 43:48

    Tetwabalaga kabonero konna okugyako nga kko kaba kanene okusinga kannaako (wabula era tebakkiriza) netubatusaako ebibonerezo oba olyawo ne bekyusa (okuva ku kye babaddeko).

  49. وَقَالُواْ يَٰٓأَيُّهَ ٱلسَّاحِرُ ٱدۡعُ لَنَا رَبَّكَ بِمَا عَهِدَ عِندَكَ إِنَّنَا لَمُهۡتَدُونَ

    Open ayah 43:49

    (Bwe balaba ebibonerezo) olwo nno ne bagamba nti owange ggwe omulogo tusabire Mukama omulabirizi wo ng’okozesa ebyo bye yakuwa (ebisabisibwa) mazima ffe ddala tujja kulungama.

  50. فَلَمَّا كَشَفۡنَا عَنۡهُمُ ٱلۡعَذَابَ إِذَا هُمۡ يَنكُثُونَ 

    Open ayah 43:50

    Bwe twabagyako ebibonerezo amangu ago bo ne bamenya endagaano.

  51. وَنَادَىٰ فِرۡعَوۡنُ فِي قَوۡمِهِۦ قَالَ يَٰقَوۡمِ أَلَيۡسَ لِي مُلۡكُ مِصۡرَ وَهَٰذِهِ ٱلۡأَنۡهَٰرُ تَجۡرِي مِن تَحۡتِيٓۚ أَفَلَا تُبۡصِرُونَ

    Open ayah 43:51

    Era Firawo nalangirira mu bantu be naagamba nti abange bantu bange obufuzi bwa Misiri si bwange, nga nagino emigga gikulukutira wansi wange abaffe temulaba!.

  52. أَمۡ أَنَا۠ خَيۡرٞ مِّنۡ هَٰذَا ٱلَّذِي هُوَ مَهِينٞ وَلَا يَكَادُ يُبِينُ

    Open ayah 43:52

    Wabula nze nsinga ono (Musa) oyo yye anyomwa, era nga kumpi tasobola na kunnyonnyola (nsonga) yonna.

  53. فَلَوۡلَآ أُلۡقِيَ عَلَيۡهِ أَسۡوِرَةٞ مِّن ذَهَبٍ أَوۡ جَآءَ مَعَهُ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةُ مُقۡتَرِنِينَ

    Open ayah 43:53

    Singa yanaanikibwa ebikomo ebya zaabu oba ba Malayika nebajja naye nga ba muwerekera (olwo nno) twanditegedde nti mubaka wa Katonda.

  54. فَٱسۡتَخَفَّ قَوۡمَهُۥ فَأَطَاعُوهُۚ إِنَّهُمۡ كَانُواْ قَوۡمٗا فَٰسِقِينَ

    Open ayah 43:54

    (Firawo) bwatyo bwe yazannyira ku bwongo bwa bantu be, olwo nno ne bamugondera era mazima bo nebaba abantu abonoonyi.

  55. فَلَمَّآ ءَاسَفُونَا ٱنتَقَمۡنَا مِنۡهُمۡ فَأَغۡرَقۡنَٰهُمۡ أَجۡمَعِينَ

    Open ayah 43:55

    Bwe bamala okutunyiiza twababonereza ne tubazikiriza n’amazzi bonna.

  56. فَجَعَلۡنَٰهُمۡ سَلَفٗا وَمَثَلٗا لِّلۡأٓخِرِينَ

    Open ayah 43:56

    Ne tubafuula abedda abogerwako era ne tubafuula eky'okulabirako eri ab'oluvanyuma.

  57. ۞وَلَمَّا ضُرِبَ ٱبۡنُ مَرۡيَمَ مَثَلًا إِذَا قَوۡمُكَ مِنۡهُ يَصِدُّونَ

    Open ayah 43:57

    Mutabani wa Mariam (Issa) bwe yakubirwako ekifaananyi, ogenda okulaba nga abantu bo kibawogganya (olwessanyu).

  58. وَقَالُوٓاْ ءَأَٰلِهَتُنَا خَيۡرٌ أَمۡ هُوَۚ مَا ضَرَبُوهُ لَكَ إِلَّا جَدَلَۢاۚ بَلۡ هُمۡ قَوۡمٌ خَصِمُونَ

    Open ayah 43:58

    Nebagamba nti abaffe ba katonda baffe bebasinga oba yye, tebakukubira kifaananyi ekyo okugyako lwa kuwalaaza mpaka, nedda (si ekyo kyokka kye bawakanya) bulijjo bo bantu bawakanyi.

  59. إِنۡ هُوَ إِلَّا عَبۡدٌ أَنۡعَمۡنَا عَلَيۡهِ وَجَعَلۡنَٰهُ مَثَلٗا لِّبَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ

    Open ayah 43:59

    (Isa) tali yye okugyako okuba nti muddu waffe nga abalala, twamugabira ekyengera (kyo bwa Nabbi) era netumufuula ekyokulabirako eri abaaana ba Israil.

  60. وَلَوۡ نَشَآءُ لَجَعَلۡنَا مِنكُم مَّلَٰٓئِكَةٗ فِي ٱلۡأَرۡضِ يَخۡلُفُونَ 

    Open ayah 43:60

    Singa twayagala abamu mu mmwe twandibafudde ba Malayika nga basikiragana mu nsi.

  61. وَإِنَّهُۥ لَعِلۡمٞ لِّلسَّاعَةِ فَلَا تَمۡتَرُنَّ بِهَا وَٱتَّبِعُونِۚ هَٰذَا صِرَٰطٞ مُّسۡتَقِيمٞ

    Open ayah 43:61

    Era mazima yye (Isa) kabonero akaliranga okusembera kw'olunaku lw'enkomerero, n'olwekyo temukibuusabusaamu naakamu era mungoberere, lino lye kkubo eggolokofu.

  62. وَلَا يَصُدَّنَّكُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُۖ إِنَّهُۥ لَكُمۡ عَدُوّٞ مُّبِينٞ

    Open ayah 43:62

    Era Sitane tabasuuliranga emisanvu (mu kkubo) anti mazima yye ku mmwe mulabe owolwatu.

  63. وَلَمَّا جَآءَ عِيسَىٰ بِٱلۡبَيِّنَٰتِ قَالَ قَدۡ جِئۡتُكُم بِٱلۡحِكۡمَةِ وَلِأُبَيِّنَ لَكُم بَعۡضَ ٱلَّذِي تَخۡتَلِفُونَ فِيهِۖ فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ

    Open ayah 43:63

    (Nabbi) Isa bweyajja nobunnyonnyofu yagamba nti mazima mbajjidde nebigambo ebyamagezi era mbannyonnyole ebimu kwebyo bye muwakanamu kale mutye Katonda era mungondere.

  64. إِنَّ ٱللَّهَ هُوَ رَبِّي وَرَبُّكُمۡ فَٱعۡبُدُوهُۚ هَٰذَا صِرَٰطٞ مُّسۡتَقِيمٞ

    Open ayah 43:64

    Mazima Katonda ye Mukama omulabirizi wange era Mukama omulabirizi wa mmwe, kale mumusinze lino lye kkubo eggolokofu.

  65. فَٱخۡتَلَفَ ٱلۡأَحۡزَابُ مِنۢ بَيۡنِهِمۡۖ فَوَيۡلٞ لِّلَّذِينَ ظَلَمُواْ مِنۡ عَذَابِ يَوۡمٍ أَلِيمٍ

    Open ayah 43:65

    Wabula ebibiina byayawukana nga biva mu bo bennyini (ku nsonga ya Isa) kale okubonabona okwe bibonyobonyo by'olunaku oluzito kugenda kubeera kwabo abeeyisa obubi.

  66. هَلۡ يَنظُرُونَ إِلَّا ٱلسَّاعَةَ أَن تَأۡتِيَهُم بَغۡتَةٗ وَهُمۡ لَا يَشۡعُرُونَ

    Open ayah 43:66

    Abaffe (balina kye) balindirira okugyako ekiseera eky'enkomerero okuba nga kibajjira ekibwatukira nga nabo tebamanyi.

  67. ٱلۡأَخِلَّآءُ يَوۡمَئِذِۭ بَعۡضُهُمۡ لِبَعۡضٍ عَدُوٌّ إِلَّا ٱلۡمُتَّقِينَ

    Open ayah 43:67

    Abomukwano ku lunaku olwo, abamu baliba balabe ba bannabwe okugyako abatya Katonda.

  68. يَٰعِبَادِ لَا خَوۡفٌ عَلَيۡكُمُ ٱلۡيَوۡمَ وَلَآ أَنتُمۡ تَحۡزَنُونَ

    Open ayah 43:68

    (Era Katonda alilangirira nti) abange baddu bange temuggya kubaako kutya olwaleero era mmwe temuli ba kunakuwala.

  69. ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ بِـَٔايَٰتِنَا وَكَانُواْ مُسۡلِمِينَ

    Open ayah 43:69

    Abo abakkiriza ebigambo byaffe era nebaba abewaayo gyetuli (abasiramu).

  70. ٱدۡخُلُواْ ٱلۡجَنَّةَ أَنتُمۡ وَأَزۡوَٰجُكُمۡ تُحۡبَرُونَ 

    Open ayah 43:70

    Muyingire e jjana ne bakkiriza bannammwe nga mwegazaanya.

  71. يُطَافُ عَلَيۡهِم بِصِحَافٖ مِّن ذَهَبٖ وَأَكۡوَابٖۖ وَفِيهَا مَا تَشۡتَهِيهِ ٱلۡأَنفُسُ وَتَلَذُّ ٱلۡأَعۡيُنُۖ وَأَنتُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ

    Open ayah 43:71

    Essowani eza zzaabu n’a magiraasi biryetolozebwa mu bo, era (e jjana) eribaamu buli kintu emyoyo gye kyagala, era ekiwoomera amaaso, era nga mmwe muli ba kutuula bugenderevu mu yo.

  72. وَتِلۡكَ ٱلۡجَنَّةُ ٱلَّتِيٓ أُورِثۡتُمُوهَا بِمَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ

    Open ayah 43:72

    Era eyo e jjana, eyo gye mugisikiziddwa olwebyo bye mwakola (ku nsi).

  73. لَكُمۡ فِيهَا فَٰكِهَةٞ كَثِيرَةٞ مِّنۡهَا تَأۡكُلُونَ

    Open ayah 43:73

    Mulina mu yo ebibala bingi nga ku byo kwemulya.

  74. إِنَّ ٱلۡمُجۡرِمِينَ فِي عَذَابِ جَهَنَّمَ خَٰلِدُونَ

    Open ayah 43:74

    Mazima abonoonyi ba kutuula bugenderevu mu bibonerezo byo muliro Jahannama.

  75. لَا يُفَتَّرُ عَنۡهُمۡ وَهُمۡ فِيهِ مُبۡلِسُونَ

    Open ayah 43:75

    Tegugenda kukendezebwa ku bo, era nga bo tebalina na ssuubi lyonna lya kuguvaamu.

  76. وَمَا ظَلَمۡنَٰهُمۡ وَلَٰكِن كَانُواْ هُمُ ٱلظَّٰلِمِينَ

    Open ayah 43:76

    Tetwabayisa bubi naye bo be baali beeyisa obubi.

  77. وَنَادَوۡاْ يَٰمَٰلِكُ لِيَقۡضِ عَلَيۡنَا رَبُّكَۖ قَالَ إِنَّكُم مَّٰكِثُونَ

    Open ayah 43:77

    (Abaliba mu muliro) balikowoola nti owange Maliki (Malayika akuuma omuliro tusaba nti) Mukama omulabirizi wo atumalirewo ddala (tufe), alibagamba nti mazima mmwe muli ba kugubeeramu (awatali kufa oba okuguvaamu).

  78. لَقَدۡ جِئۡنَٰكُم بِٱلۡحَقِّ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَكُمۡ لِلۡحَقِّ كَٰرِهُونَ

    Open ayah 43:78

    Mazima twabaleetera amazima naye abasinga obungi mu mmwe batamwanga amazima.

  79. أَمۡ أَبۡرَمُوٓاْ أَمۡرٗا فَإِنَّا مُبۡرِمُونَ

    Open ayah 43:79

    Bwebaba nga baasalawo ekigambo (ekyokusalira (Muhammad enkwe) naffe twasalawo (okuba nti tezigenda kuyitamu).

  80. أَمۡ يَحۡسَبُونَ أَنَّا لَا نَسۡمَعُ سِرَّهُمۡ وَنَجۡوَىٰهُمۚ بَلَىٰ وَرُسُلُنَا لَدَيۡهِمۡ يَكۡتُبُونَ 

    Open ayah 43:80

    Oba balowooza nti mazima ffe tetuwulira ebyo bye balowooza mu mitima gyabwe oba bye bakubaganyaako ebirowoozo, nedda (tetukoma ku kubimanya bumanya, wabula webabikolera) nabatumwa baffe baba mu maaso gaabwe nga bawandiika.

  81. قُلۡ إِن كَانَ لِلرَّحۡمَٰنِ وَلَدٞ فَأَنَا۠ أَوَّلُ ٱلۡعَٰبِدِينَ

    Open ayah 43:81

    Gamba nti singa Katonda omusaasizi ennyo aba alina omwana olwo nno nze mbeera musaale mu bamusinza.

  82. سُبۡحَٰنَ رَبِّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ رَبِّ ٱلۡعَرۡشِ عَمَّا يَصِفُونَ

    Open ayah 43:82

    Mukama omulabirizi weggulu omusanvu ne nsi (era) omulabirizi wa Arish musukkulumu nnyo kwebyo bye bamujwetekako.

  83. فَذَرۡهُمۡ يَخُوضُواْ وَيَلۡعَبُواْ حَتَّىٰ يُلَٰقُواْ يَوۡمَهُمُ ٱلَّذِي يُوعَدُونَ

    Open ayah 43:83

    Kale baleke balimbe era bazannye okutuusa lwe balisisinkanyizibwa olunaku lwabwe lwe balaganyisibwa.

  84. وَهُوَ ٱلَّذِي فِي ٱلسَّمَآءِ إِلَٰهٞ وَفِي ٱلۡأَرۡضِ إِلَٰهٞۚ وَهُوَ ٱلۡحَكِيمُ ٱلۡعَلِيمُ

    Open ayah 43:84

    Anti yye (Katonda) ye Katonda mu ggulu, era ne mu nsi ye Katonda. Era yye ye mugoba nsonga omumanyi ennyo.

  85. وَتَبَارَكَ ٱلَّذِي لَهُۥ مُلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَا وَعِندَهُۥ عِلۡمُ ٱلسَّاعَةِ وَإِلَيۡهِ تُرۡجَعُونَ

    Open ayah 43:85

    Era yatukula oyo, byonna bibye ebiri mu ggulu omusanvu ne nsi, n'ebyo ebiri wakati wa byombi, era ye yekka yalina okumanya ebikwata ku lunaku lw'enkomerero (ddi lwelituuka) era gyali gye mulizzibwa.

  86. وَلَا يَمۡلِكُ ٱلَّذِينَ يَدۡعُونَ مِن دُونِهِ ٱلشَّفَٰعَةَ إِلَّا مَن شَهِدَ بِٱلۡحَقِّ وَهُمۡ يَعۡلَمُونَ

    Open ayah 43:86

    Abo bebasinza nebava ku ye tebalisobola kuwolereza, be ppo oyo aliwa obujulizi mu mazima (yaliyogera) ate era bo nebaba nga baliba bamanyi amazima.

  87. وَلَئِن سَأَلۡتَهُم مَّنۡ خَلَقَهُمۡ لَيَقُولُنَّ ٱللَّهُۖ فَأَنَّىٰ يُؤۡفَكُونَ

    Open ayah 43:87

    Singa obabuuza nti ani yabatonda? ddala bajja kugamba nti Katonda, kale ate bawugulwa batya!.

  88. وَقِيلِهِۦ يَٰرَبِّ إِنَّ هَٰٓؤُلَآءِ قَوۡمٞ لَّا يُؤۡمِنُونَ

    Open ayah 43:88

    (Katonda amanyi) ekigambo kye (Muhammad kyayogera olutata nga awanjagira Katonda nti) ayi Mukama omulabirizi wange mazima abo (benkowoola) bantu abatakkiriza.

  89. فَٱصۡفَحۡ عَنۡهُمۡ وَقُلۡ سَلَٰمٞۚ فَسَوۡفَ يَعۡلَمُونَ

    Open ayah 43:89

    Kale nno baleke era ogambe nti mirembe kya ddaaki balianya.