ص

Saad

The letter Saad · Surah 38 · Ayahs: 88 · Meccan

Translation: Luganda - African Institution · Open the surah

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

  1. صٓۚ وَٱلۡقُرۡءَانِ ذِي ٱلذِّكۡرِ

    Open ayah 38:1

    Swad. Ndayidde Kur’ani ejjudde okujjukiza.

  2. بَلِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ فِي عِزَّةٖ وَشِقَاقٖ

    Open ayah 38:2

    Wabula abaakaafuwala bali mu kwekuza na kuwalaaza mpaka.

  3. كَمۡ أَهۡلَكۡنَا مِن قَبۡلِهِم مِّن قَرۡنٖ فَنَادَواْ وَّلَاتَ حِينَ مَنَاصٖ

    Open ayah 38:3

    Emirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwabwe, abaatuuka okukuba ebiwoobe (nga banoonya okutaasibwa), naye nga tewakyali buwonero.

  4. وَعَجِبُوٓاْ أَن جَآءَهُم مُّنذِرٞ مِّنۡهُمۡۖ وَقَالَ ٱلۡكَٰفِرُونَ هَٰذَا سَٰحِرٞ كَذَّابٌ

    Open ayah 38:4

    Nebeewuunya okuba nga omutiisa abajjira ng'ava mu bo, era abakaafiiri ne bagamba nti ono mulogo omulimba (awedde emirimu).

  5. أَجَعَلَ ٱلۡأٓلِهَةَ إِلَٰهٗا وَٰحِدًاۖ إِنَّ هَٰذَا لَشَيۡءٌ عُجَابٞ

    Open ayah 38:5

    Abaffe abasinzibwa abangi abafudde omu! mazima ekyo kintu ekyewunyisa ennyo.

  6. وَٱنطَلَقَ ٱلۡمَلَأُ مِنۡهُمۡ أَنِ ٱمۡشُواْ وَٱصۡبِرُواْ عَلَىٰٓ ءَالِهَتِكُمۡۖ إِنَّ هَٰذَا لَشَيۡءٞ يُرَادُ

    Open ayah 38:6

    Ekibinja kya bakungu mu bo nekigenda (nga kikunga abantu) nti: mugende mu maaso era mugumiikirize mulemere ku ba katonda ba mmwe.

  7. مَا سَمِعۡنَا بِهَٰذَا فِي ٱلۡمِلَّةِ ٱلۡأٓخِرَةِ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا ٱخۡتِلَٰقٌ

    Open ayah 38:7

    Mazima kino (eky'okubaggya ku ba katonda ba mmwe) kkobaane (Muhammad mwayagalira okuyita abaggye ku nsinza yammwe), kino tetukiwulirangako mu nzikiriza (ey'abagoberezi ba Issa) eyasembayo, kino tekiri okugyako kiyiiye (buyiiya).

  8. أَءُنزِلَ عَلَيۡهِ ٱلذِّكۡرُ مِنۢ بَيۡنِنَاۚ بَلۡ هُمۡ فِي شَكّٖ مِّن ذِكۡرِيۚ بَل لَّمَّا يَذُوقُواْ عَذَابِ

    Open ayah 38:8

    Muffe fenna yye (Muhammad) yassiddwaako obubaka! wabula (ekibaleetera obuzibu) lwa kuba bo bali mu kubuusabuusa okubuulirira kwange wabula (bakola ekyo) lwa kuba tebannakomba ku bibonerezo byange.

  9. أَمۡ عِندَهُمۡ خَزَآئِنُ رَحۡمَةِ رَبِّكَ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡوَهَّابِ

    Open ayah 38:9

    Oba (kyebava beeyisa bwe batyo) lwakuba balina amawanika g'okusaasira kwa Mukama omulabirizi wo, nantakubwa ku mukono, omugabi.

  10. أَمۡ لَهُم مُّلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَاۖ فَلۡيَرۡتَقُواْ فِي ٱلۡأَسۡبَٰبِ 

    Open ayah 38:10

    Oba bo balina obufuzi bw'eggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi, bwe kiba bwekityo, kale baleke bakozese kyonna kyebasobola bafuneyo byebaagala.

  11. جُندٞ مَّا هُنَالِكَ مَهۡزُومٞ مِّنَ ٱلۡأَحۡزَابِ

    Open ayah 38:11

    Bo, ggye eriri awo lya kuwangulwa, libalibwa mu bibinja (ebyawangulwa).

  12. كَذَّبَتۡ قَبۡلَهُمۡ قَوۡمُ نُوحٖ وَعَادٞ وَفِرۡعَوۡنُ ذُو ٱلۡأَوۡتَادِ

    Open ayah 38:12

    Mazima oluberyeberye lwabwe abantu ba Nuhu ne A-adi ne Farawo nannyini nkondo baalimbisa.

  13. وَثَمُودُ وَقَوۡمُ لُوطٖ وَأَصۡحَٰبُ لۡـَٔيۡكَةِۚ أُوْلَٰٓئِكَ ٱلۡأَحۡزَابُ

    Open ayah 38:13

    Ne ba Thamud n’abantu ba Luut n’abantu b’omukibira, ebyonno bye bibinja (ebyogeddwaako mu Aya ).

  14. إِن كُلٌّ إِلَّا كَذَّبَ ٱلرُّسُلَ فَحَقَّ عِقَابِ

    Open ayah 38:14

    Tewali muntu yenna mwabo okugyako nga yalimbisa ababaka, olwo nno ebibonerezo byange nebikakata (ku bo).

  15. وَمَا يَنظُرُ هَٰٓؤُلَآءِ إِلَّا صَيۡحَةٗ وَٰحِدَةٗ مَّا لَهَا مِن فَوَاقٖ

    Open ayah 38:15

    Era abo tebalindirira okugyako lubwatuka lumu (oluliba olw'amaanyi) nga telwetaaga kuddibwamu mulundi mulala.

  16. وَقَالُواْ رَبَّنَا عَجِّل لَّنَا قِطَّنَا قَبۡلَ يَوۡمِ ٱلۡحِسَابِ

    Open ayah 38:16

    Era (abatakkiriza) bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe twanguyirize omugabo gwaffe (ogw'ebibonerezo) ng'olunaku lw'okubalibwa terunnatuuka.

  17. ٱصۡبِرۡ عَلَىٰ مَا يَقُولُونَ وَٱذۡكُرۡ عَبۡدَنَا دَاوُۥدَ ذَا ٱلۡأَيۡدِۖ إِنَّهُۥٓ أَوَّابٌ

    Open ayah 38:17

    (Katonda agamba Nabbi Muhammad nti:) gumikiiriza ku bye boogera ojjukire omuddu waffe Dauda eyalina amaanyi amasuffu (awamu n'ekyo) yali adda nnyo eri Katonda.

  18. إِنَّا سَخَّرۡنَا ٱلۡجِبَالَ مَعَهُۥ يُسَبِّحۡنَ بِٱلۡعَشِيِّ وَٱلۡإِشۡرَاقِ

    Open ayah 38:18

    Mazima ffe twagonza ensozi neziba nga zitendereza awamu naye olweggulo n’obudde nga busaasaana.

  19. وَٱلطَّيۡرَ مَحۡشُورَةٗۖ كُلّٞ لَّهُۥٓ أَوَّابٞ

    Open ayah 38:19

    Era twagonza n’ebinyonyi nga biri mu bibinja (byabyo) buli kimu ku byo nga kigondera Dauda (nebitendereza nga bwatendereza).

  20. وَشَدَدۡنَا مُلۡكَهُۥ وَءَاتَيۡنَٰهُ ٱلۡحِكۡمَةَ وَفَصۡلَ ٱلۡخِطَابِ 

    Open ayah 38:20

    Era twanyweza obufuzibwe era netumuwa okumanya ensonga n’okusalawo ekituufu ku bigambo ebiba byogeddwa.

  21. ۞وَهَلۡ أَتَىٰكَ نَبَؤُاْ ٱلۡخَصۡمِ إِذۡ تَسَوَّرُواْ ٱلۡمِحۡرَابَ

    Open ayah 38:21

    Abaffe amawulire g’abaakaayana bwe baawalampa ekisenge (Dauda mweyasinzizanga) gaakutuukako.

  22. إِذۡ دَخَلُواْ عَلَىٰ دَاوُۥدَ فَفَزِعَ مِنۡهُمۡۖ قَالُواْ لَا تَخَفۡۖ خَصۡمَانِ بَغَىٰ بَعۡضُنَا عَلَىٰ بَعۡضٖ فَٱحۡكُم بَيۡنَنَا بِٱلۡحَقِّ وَلَا تُشۡطِطۡ وَٱهۡدِنَآ إِلَىٰ سَوَآءِ ٱلصِّرَٰطِ

    Open ayah 38:22

    Bwe baayingira Dauda weyali naabekanga nebagamba nti: totya (ffe) tuli abakaayana ababiri ng'omu kuffe asobezza munne, kale lamula wakati waffe n’amazima teweekubiira era otulage enkola entuufu.

  23. إِنَّ هَٰذَآ أَخِي لَهُۥ تِسۡعٞ وَتِسۡعُونَ نَعۡجَةٗ وَلِيَ نَعۡجَةٞ وَٰحِدَةٞ فَقَالَ أَكۡفِلۡنِيهَا وَعَزَّنِي فِي ٱلۡخِطَابِ

    Open ayah 38:23

    Mazima muganda wange ono alina endiga kyenda mu mwenda ng’ate nze nnina endiga emu, ate angamba nti gimpe ngikulundire ate nga ansinga ebigambo.

  24. قَالَ لَقَدۡ ظَلَمَكَ بِسُؤَالِ نَعۡجَتِكَ إِلَىٰ نِعَاجِهِۦۖ وَإِنَّ كَثِيرٗا مِّنَ ٱلۡخُلَطَآءِ لَيَبۡغِي بَعۡضُهُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٍ إِلَّا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ وَقَلِيلٞ مَّا هُمۡۗ وَظَنَّ دَاوُۥدُ أَنَّمَا فَتَنَّٰهُ فَٱسۡتَغۡفَرَ رَبَّهُۥ وَخَرَّۤ رَاكِعٗاۤ وَأَنَابَ۩

    Open ayah 38:24

    (Dauda) naagamba nti: mazima akuyisizza bubi bwakusabye endiga yo agigatte ku ndigaze, ate nga bangi mu bagatta emirimu basobya bannaabwe, okugyako abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu wabula ate abo batono, Dauda naamanya nti mazima tumugezesezza neyeegayirira Mukama omulabiriziwe naakutama ku maviivi neyeemenya era nadda eri Katonda.

  25. فَغَفَرۡنَا لَهُۥ ذَٰلِكَۖ وَإِنَّ لَهُۥ عِندَنَا لَزُلۡفَىٰ وَحُسۡنَ مَـَٔابٖ

    Open ayah 38:25

    Olwo nno ekyo netukimusonyiwa, era mazima alina gye tuli ekifo ekyo ku mwanjo n’obuddo obulungi.

  26. يَٰدَاوُۥدُ إِنَّا جَعَلۡنَٰكَ خَلِيفَةٗ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَٱحۡكُم بَيۡنَ ٱلنَّاسِ بِٱلۡحَقِّ وَلَا تَتَّبِعِ ٱلۡهَوَىٰ فَيُضِلَّكَ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِۚ إِنَّ ٱلَّذِينَ يَضِلُّونَ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ لَهُمۡ عَذَابٞ شَدِيدُۢ بِمَا نَسُواْ يَوۡمَ ٱلۡحِسَابِ

    Open ayah 38:26

    Owange Dauda mazima ffe twakufuula omusigire ku nsi, lamula wakati wa bantu mu mazima era togobereranga okwagala (kwo) nekukubuza okuva ku kkubo lya Katonda, mazima abo abaabula nebava ku kkubo lya Katonda, balifuna ebibonerezo ebikakali olw'ebyo ebyabeerabiza olunaku lw'okubalibwa.

  27. وَمَا خَلَقۡنَا ٱلسَّمَآءَ وَٱلۡأَرۡضَ وَمَا بَيۡنَهُمَا بَٰطِلٗاۚ ذَٰلِكَ ظَنُّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْۚ فَوَيۡلٞ لِّلَّذِينَ كَفَرُواْ مِنَ ٱلنَّارِ

    Open ayah 38:27

    Eggulu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi, tetwabitonda nga bya lusaago, eyo ndowooza yaabo abaakaafuwala, kale nno okubonaabona okw'omuliro kuliba ku abo abaakaafuwala.

  28. أَمۡ نَجۡعَلُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ كَٱلۡمُفۡسِدِينَ فِي ٱلۡأَرۡضِ أَمۡ نَجۡعَلُ ٱلۡمُتَّقِينَ كَٱلۡفُجَّارِ

    Open ayah 38:28

    Oba (basuubira nti) abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu, tulibayisa nga aboonoona mu nsi, oba abatya Katonda betuliyisa nga aboonoonyi!.

  29. كِتَٰبٌ أَنزَلۡنَٰهُ إِلَيۡكَ مُبَٰرَكٞ لِّيَدَّبَّرُوٓاْ ءَايَٰتِهِۦ وَلِيَتَذَكَّرَ أُوْلُواْ ٱلۡأَلۡبَٰبِ

    Open ayah 38:29

    (Kur’ani eno) kitabo twakissa gyoli nga kya mukisa babe nga beekenneenya ebigambo byakyo era ab'amagezi agakola babe nga beebuulirira.

  30. وَوَهَبۡنَا لِدَاوُۥدَ سُلَيۡمَٰنَۚ نِعۡمَ ٱلۡعَبۡدُ إِنَّهُۥٓ أَوَّابٌ 

    Open ayah 38:30

    Era twagabira Dauda Sulaiman, yali muddu mulungi, (anti) mazima yye yali adda nnyo eri Katonda.

  31. إِذۡ عُرِضَ عَلَيۡهِ بِٱلۡعَشِيِّ ٱلصَّٰفِنَٰتُ ٱلۡجِيَادُ

    Open ayah 38:31

    Jjukira bwe yayanjulirwa mu kiseera eky'olweggulo enfaraasi ezirabika obulungi nga ziyimiridde (ate) empenyusi (bwe ziba zidduse).

  32. فَقَالَ إِنِّيٓ أَحۡبَبۡتُ حُبَّ ٱلۡخَيۡرِ عَن ذِكۡرِ رَبِّي حَتَّىٰ تَوَارَتۡ بِٱلۡحِجَابِ

    Open ayah 38:32

    Naagamba nti mazima nze nkulembezza okwagala ebirungi ku kutendereza Mukama omulabirizi wange (nenzira mu kutunuulira enfaraasi) okutuusa enjuba lwebuliddeyo!.

  33. رُدُّوهَا عَلَيَّۖ فَطَفِقَ مَسۡحَۢا بِٱلسُّوقِ وَٱلۡأَعۡنَاقِ

    Open ayah 38:33

    (Oluvanyuma yagamba nti) muzinkomezeewo, olwo nno naatandika okuzisala amagulu n'ensingo (naasaddaaka ennyama yaazo).

  34. وَلَقَدۡ فَتَنَّا سُلَيۡمَٰنَ وَأَلۡقَيۡنَا عَلَىٰ كُرۡسِيِّهِۦ جَسَدٗا ثُمَّ أَنَابَ

    Open ayah 38:34

    Era mazima twagezesa Sulaiman netuteeka omubiri (ogutaliimu bulamu) ku nnamulondo ye, (naye) oluvanyuma yeenenya.

  35. قَالَ رَبِّ ٱغۡفِرۡ لِي وَهَبۡ لِي مُلۡكٗا لَّا يَنۢبَغِي لِأَحَدٖ مِّنۢ بَعۡدِيٓۖ إِنَّكَ أَنتَ ٱلۡوَهَّابُ

    Open ayah 38:35

    Naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange nsonyiwa ongabire obwakabaka obutalisaanira mulala yenna oluvanyuma lwange, (anti) mazima ggwe mugabi.

  36. فَسَخَّرۡنَا لَهُ ٱلرِّيحَ تَجۡرِي بِأَمۡرِهِۦ رُخَآءً حَيۡثُ أَصَابَ

    Open ayah 38:36

    Olwo nno netumugondeza empewo nga etambula ku lw'ekiragirokye mu ngeri ya mirembe neegenda wonna waaba asazeewo.

  37. وَٱلشَّيَٰطِينَ كُلَّ بَنَّآءٖ وَغَوَّاصٖ

    Open ayah 38:37

    Era twamugondeza Sitane (nga mu zo mwalimu) enkugu mu kuzimba n'endala nga zibbira mu nnyanja.

  38. وَءَاخَرِينَ مُقَرَّنِينَ فِي ٱلۡأَصۡفَادِ

    Open ayah 38:38

    Era nga ne (Sitane) endala zisibiddwa ku njegere (anti zo zaagaana okukola).

  39. هَٰذَا عَطَآؤُنَا فَٱمۡنُنۡ أَوۡ أَمۡسِكۡ بِغَيۡرِ حِسَابٖ

    Open ayah 38:39

    Netumugamba (nti) okwo kwe kugaba kwaffe, kale gabako oba omme (nga bwolaba) awatali kubuuzibwa.

  40. وَإِنَّ لَهُۥ عِندَنَا لَزُلۡفَىٰ وَحُسۡنَ مَـَٔابٖ 

    Open ayah 38:40

    Era mazima (Sulaiman) alina gye tuli ekifo kya ku mwanjo n’obuddo obulungi.

  41. وَٱذۡكُرۡ عَبۡدَنَآ أَيُّوبَ إِذۡ نَادَىٰ رَبَّهُۥٓ أَنِّي مَسَّنِيَ ٱلشَّيۡطَٰنُ بِنُصۡبٖ وَعَذَابٍ

    Open ayah 38:41

    Era jjukira omuddu waffe Ayub bwe yakoowoola Mukama omulabirizi we (naagamba nti) mazima nze Sitane andeEtedde ennaku n’obuzibu (Ayi Mukama nkusaba omponye).

  42. ٱرۡكُضۡ بِرِجۡلِكَۖ هَٰذَا مُغۡتَسَلُۢ بَارِدٞ وَشَرَابٞ

    Open ayah 38:42

    (Katonda naamugamba nti) samba ettaka n'ekigerekyo awo amazzi negafukula era ne bamugamba nti amazzi gano mannyogovu g'a kunaaba na kunywa (lye ddagala erikuweereddwa).

  43. وَوَهَبۡنَا لَهُۥٓ أَهۡلَهُۥ وَمِثۡلَهُم مَّعَهُمۡ رَحۡمَةٗ مِّنَّا وَذِكۡرَىٰ لِأُوْلِي ٱلۡأَلۡبَٰبِ

    Open ayah 38:43

    Era netumuwa (nga tuzzaawo) abantu be era awamu nabo (netumuwa) abalinga bo (ebyo byonna) nga kusaasira okuva gyetuli era nga kubuulirira eri abo abalina amagezi.

  44. وَخُذۡ بِيَدِكَ ضِغۡثٗا فَٱضۡرِب بِّهِۦ وَلَا تَحۡنَثۡۗ إِنَّا وَجَدۡنَٰهُ صَابِرٗاۚ نِّعۡمَ ٱلۡعَبۡدُ إِنَّهُۥٓ أَوَّابٞ

    Open ayah 38:44

    Era (n'alagirwa nti) kwata ekisaaganda ky'obuti olwo nno okimukubise (mukyalawo) anti bwotyo bwe walayira obenga tomenye kilayiro kyo, mazima ffe twamusanga (Ayub) nga mugumiikiriza (yye) muddu mulungi, anti mazima yye adda nnyo eri Katonda.

  45. وَٱذۡكُرۡ عِبَٰدَنَآ إِبۡرَٰهِيمَ وَإِسۡحَٰقَ وَيَعۡقُوبَ أُوْلِي ٱلۡأَيۡدِي وَٱلۡأَبۡصَٰرِ

    Open ayah 38:45

    Era jjukira abaddu baffe Ibrahim ne Ishaak ne Yakub abaalina amaanyi n’okulengera ewala.

  46. إِنَّآ أَخۡلَصۡنَٰهُم بِخَالِصَةٖ ذِكۡرَى ٱلدَّارِ

    Open ayah 38:46

    Mazima ffe twabaawula n'enkizo ey’okujjukira e nyumba ey’olubeerera (enkomerero).

  47. وَإِنَّهُمۡ عِندَنَا لَمِنَ ٱلۡمُصۡطَفَيۡنَ ٱلۡأَخۡيَارِ

    Open ayah 38:47

    Era mazima bo gye tuli ba mu baawule abalondemu.

  48. وَٱذۡكُرۡ إِسۡمَٰعِيلَ وَٱلۡيَسَعَ وَذَا ٱلۡكِفۡلِۖ وَكُلّٞ مِّنَ ٱلۡأَخۡيَارِ

    Open ayah 38:48

    Era jjukira Ismail ne Eliyasa-a ne Zul kifuli, nabuli omu kwabo wa mu balondemu.

  49. هَٰذَا ذِكۡرٞۚ وَإِنَّ لِلۡمُتَّقِينَ لَحُسۡنَ مَـَٔابٖ

    Open ayah 38:49

    Kuno kujjukiza, era mazima ddala abatya Katonda bagenda kufuna obuddo obulungi.

  50. جَنَّٰتِ عَدۡنٖ مُّفَتَّحَةٗ لَّهُمُ ٱلۡأَبۡوَٰبُ 

    Open ayah 38:50

    (Obuddo obwo buliba) Janna ez’emirembe, nga kulwabwe emiryango (gyazo) giriba miggule.

  51. مُتَّكِـِٔينَ فِيهَا يَدۡعُونَ فِيهَا بِفَٰكِهَةٖ كَثِيرَةٖ وَشَرَابٖ

    Open ayah 38:51

    Balibeera beesigamye nga bali mu zo, nga bwe batumya mu zo ebibala ebingi nga bya njawulo n'eby'okunywa.

  52. ۞وَعِندَهُمۡ قَٰصِرَٰتُ ٱلطَّرۡفِ أَتۡرَابٌ

    Open ayah 38:52

    Era baliba balina abakyala abakkakkamu ab'amaaso ab'emyaka egyenkana.

  53. هَٰذَا مَا تُوعَدُونَ لِيَوۡمِ ٱلۡحِسَابِ

    Open ayah 38:53

    (Baligambibwa nti) kino (kye mutuseeko) kyekyo kye mwalagaanyisibwa okuweebwa ku lunaku lw'okubalibwa.

  54. إِنَّ هَٰذَا لَرِزۡقُنَا مَا لَهُۥ مِن نَّفَادٍ

    Open ayah 38:54

    Mazima ebyo kwe kugabiririra kwaffe tekuyinza kukalira.

  55. هَٰذَاۚ وَإِنَّ لِلطَّٰغِينَ لَشَرَّ مَـَٔابٖ

    Open ayah 38:55

    Ekyo kyekyo, naye mazima abeewagguzi balifuna obuddo obubi.

  56. جَهَنَّمَ يَصۡلَوۡنَهَا فَبِئۡسَ ٱلۡمِهَادُ

    Open ayah 38:56

    Nga muliro Jahannama gwe balyesonseka naye buliba buliri bubi ddala.

  57. هَٰذَا فَلۡيَذُوقُوهُ حَمِيمٞ وَغَسَّاقٞ

    Open ayah 38:57

    Kino (kye balimu bye bibonerezo ebiruma ennyo) kale balibikombako nga nabyo mazzi agookya n'amasira ag'olusaayisaayi.

  58. وَءَاخَرُ مِن شَكۡلِهِۦٓ أَزۡوَٰجٌ

    Open ayah 38:58

    Ne (bibonerezo) ebirala ebiringa ebyo ebyengeri ez'ejawulo (nabyo biribatuukako).

  59. هَٰذَا فَوۡجٞ مُّقۡتَحِمٞ مَّعَكُمۡ لَا مَرۡحَبَۢا بِهِمۡۚ إِنَّهُمۡ صَالُواْ ٱلنَّارِ

    Open ayah 38:59

    (Buli aboonoonyi abapya lwe banaaleetebwanga mu muliro, nga abasookayo bagambibwa nti:) kino kibinja kyesozze omuliro awamu nammwe (olwo abalisangwamu bagambe nti) abo tebaanirizibwa (tebalina mirembe) mazima bo beesozze muliro.

  60. قَالُواْ بَلۡ أَنتُمۡ لَا مَرۡحَبَۢا بِكُمۡۖ أَنتُمۡ قَدَّمۡتُمُوهُ لَنَاۖ فَبِئۡسَ ٱلۡقَرَارُ 

    Open ayah 38:60

    (Abaagoberera) baligamba (abaasooka) nti wabula mmwe, mmwe mutaanirizibwa, mmwe mwabituleetera, bugenda kuba butuulo bubi.

  61. قَالُواْ رَبَّنَا مَن قَدَّمَ لَنَا هَٰذَا فَزِدۡهُ عَذَابٗا ضِعۡفٗا فِي ٱلنَّارِ

    Open ayah 38:61

    Baligamba nti: ayi Mukama omulabirizi waffe oyo eyatuleetera bino mwongere ebibonerezo eby'okuba mu muliro nga bibazziddwamu.

  62. وَقَالُواْ مَا لَنَا لَا نَرَىٰ رِجَالٗا كُنَّا نَعُدُّهُم مِّنَ ٱلۡأَشۡرَارِ

    Open ayah 38:62

    Era (aboonoonyi) baligamba nti lwaki tetulaba bantu betwali tubalira mu babi!.

  63. أَتَّخَذۡنَٰهُمۡ سِخۡرِيًّا أَمۡ زَاغَتۡ عَنۡهُمُ ٱلۡأَبۡصَٰرُ

    Open ayah 38:63

    Abaffe twabafuula eky'okujeeja (so nga baali balungi) oba amaaso ge gatabalaba.

  64. إِنَّ ذَٰلِكَ لَحَقّٞ تَخَاصُمُ أَهۡلِ ٱلنَّارِ

    Open ayah 38:64

    Mazima ebyo (ebyogeddwa) ddala (okwo kwe kuliba) okuyombagana kw'abantu bo mu muliro.

  65. قُلۡ إِنَّمَآ أَنَا۠ مُنذِرٞۖ وَمَا مِنۡ إِلَٰهٍ إِلَّا ٱللَّهُ ٱلۡوَٰحِدُ ٱلۡقَهَّارُ

    Open ayah 38:65

    Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) mazima nze ndi mutiisa era tewali kisinzibwa kyonna mu butuufu okugyako Katonda ali omu nantalemwa.

  66. رَبُّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَا ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡغَفَّٰرُ

    Open ayah 38:66

    Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi, nantakubwa ku mukono, omusonyiyi ennyo.

  67. قُلۡ هُوَ نَبَؤٌاْ عَظِيمٌ

    Open ayah 38:67

    Bagambe nti kyo (kye mbagamba) kigambo kikulu ddala.

  68. أَنتُمۡ عَنۡهُ مُعۡرِضُونَ

    Open ayah 38:68

    (Ate) mmwe kye mwawukanako.

  69. مَا كَانَ لِيَ مِنۡ عِلۡمِۭ بِٱلۡمَلَإِ ٱلۡأَعۡلَىٰٓ إِذۡ يَخۡتَصِمُونَ

    Open ayah 38:69

    Sibangako na kumanya kwonna ku bikwata ku bakungu ab'awaggula webakaayanira, (ba Malayika bwe beemulugunya nga baagala Katonda baaba asindika ku nsi mu kifo kya Adam).

  70. إِن يُوحَىٰٓ إِلَيَّ إِلَّآ أَنَّمَآ أَنَا۠ نَذِيرٞ مُّبِينٌ 

    Open ayah 38:70

    Ssaatumirwa kirala kyonna okugyako (okuba) nti mazima ddala nze ndi mutiisa ow'olwatu.

  71. إِذۡ قَالَ رَبُّكَ لِلۡمَلَٰٓئِكَةِ إِنِّي خَٰلِقُۢ بَشَرٗا مِّن طِينٖ

    Open ayah 38:71

    Jjukira ekiseera Mukama omulabirizi wo bwe yagamba ba Malayika, nti mazima nze nja kutonda omuntu nga mugya mu kadongo.

  72. فَإِذَا سَوَّيۡتُهُۥ وَنَفَخۡتُ فِيهِ مِن رُّوحِي فَقَعُواْ لَهُۥ سَٰجِدِينَ

    Open ayah 38:72

    Bwe nnaamala okukola engeri nga bwanabeera era nemmufuuwamu omwoyo oguva gyendi, kale mubutame nga mumuvunnamira.

  73. فَسَجَدَ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةُ كُلُّهُمۡ أَجۡمَعُونَ

    Open ayah 38:73

    Olwo nno ba Malayika bonna nga bali wamu baavunnama.

  74. إِلَّآ إِبۡلِيسَ ٱسۡتَكۡبَرَ وَكَانَ مِنَ ٱلۡكَٰفِرِينَ

    Open ayah 38:74

    Okugyako Ibliis yeekuluntaza naaba mu bakaafiiri.

  75. قَالَ يَٰٓإِبۡلِيسُ مَا مَنَعَكَ أَن تَسۡجُدَ لِمَا خَلَقۡتُ بِيَدَيَّۖ أَسۡتَكۡبَرۡتَ أَمۡ كُنتَ مِنَ ٱلۡعَالِينَ

    Open ayah 38:75

    (Katonda) naagamba nti owange Ibliis kiki ekikugaanye okuvunnamira oyo gwe nnatonda n’omukono gwange abaffe wetwala nti oli wa kitiibwa (okusinga Adam), oba lwakuba nti bulijjo oli mu ba kiwagi ku Katonda.

  76. قَالَ أَنَا۠ خَيۡرٞ مِّنۡهُ خَلَقۡتَنِي مِن نَّارٖ وَخَلَقۡتَهُۥ مِن طِينٖ

    Open ayah 38:76

    (Ibliis) naagamba nti: nze mmusinga, wantonda mu muliro ate (yye) noomutonda mu kadongo.

  77. قَالَ فَٱخۡرُجۡ مِنۡهَا فَإِنَّكَ رَجِيمٞ

    Open ayah 38:77

    (Katonda) naagamba nti: kale gifulume (e jjana) mazima ggwe ogobeddwa (era oli mukolimire).

  78. وَإِنَّ عَلَيۡكَ لَعۡنَتِيٓ إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلدِّينِ

    Open ayah 38:78

    Era mazima okakaseeko ekikolimo kyange okutuusa ku lunaku lw'okusasulwa.

  79. قَالَ رَبِّ فَأَنظِرۡنِيٓ إِلَىٰ يَوۡمِ يُبۡعَثُونَ

    Open ayah 38:79

    (Ibliis) naagamba nti: ayi Mukama omulabirizi wange nindiriza okutuusa ku lunaku lwe balizuukizibwa.

  80. قَالَ فَإِنَّكَ مِنَ ٱلۡمُنظَرِينَ 

    Open ayah 38:80

    (Katonda) naagamba nti: mazima ggwe oli mu balindiriziddwa.

  81. إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡوَقۡتِ ٱلۡمَعۡلُومِ

    Open ayah 38:81

    Okutuuka ku lunaku olw'ekiseera ekimanyiddwa.

  82. قَالَ فَبِعِزَّتِكَ لَأُغۡوِيَنَّهُمۡ أَجۡمَعِينَ

    Open ayah 38:82

    (Ibliis) naagamba nti: ndayira ekitiibwa kyo njakubabuliza ddala bonna.

  83. إِلَّا عِبَادَكَ مِنۡهُمُ ٱلۡمُخۡلَصِينَ

    Open ayah 38:83

    Okugyako abaddu bo abalondobemu mu bo.

  84. قَالَ فَٱلۡحَقُّ وَٱلۡحَقَّ أَقُولُ

    Open ayah 38:84

    (Katonda) naagamba nti: ago nno g'emazima, era nga bulijjo njogera mazima.

  85. لَأَمۡلَأَنَّ جَهَنَّمَ مِنكَ وَمِمَّن تَبِعَكَ مِنۡهُمۡ أَجۡمَعِينَ

    Open ayah 38:85

    Ddala ngenda kujjuza omuliro Jahannama (nga nguteekamu) ggwe n'abo bonna abakugondera mu bo.

  86. قُلۡ مَآ أَسۡـَٔلُكُمۡ عَلَيۡهِ مِنۡ أَجۡرٖ وَمَآ أَنَا۠ مِنَ ٱلۡمُتَكَلِّفِينَ

    Open ayah 38:86

    Gamba (ggwe Muhammad nti ekyokubatuusaako obubaka) sikibasabirako mpeera, era nga bwe ssiri mu beetumiikiriza.

  87. إِنۡ هُوَ إِلَّا ذِكۡرٞ لِّلۡعَٰلَمِينَ

    Open ayah 38:87

    (Kur’ani) yyo teri okugyako okuba nti kya kubuulirira eri ebitonde.

  88. وَلَتَعۡلَمُنَّ نَبَأَهُۥ بَعۡدَ حِينِۭ

    Open ayah 38:88

    Era ekigambo kyayo mujja kukimanyira ddala oluvanyuma lw'ekiseera kitono.