القصص

Al-Qasas

The Stories · Surah 28 · Ayahs: 88 · Meccan

Translation: Luganda - African Institution · Open the surah

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

  1. طسٓمٓ

    Open ayah 28:1

    Twaa Siin Miim.

  2. تِلۡكَ ءَايَٰتُ ٱلۡكِتَٰبِ ٱلۡمُبِينِ

    Open ayah 28:2

    Bino bigambo bya kitabo ekinnyonnyola.

  3. نَتۡلُواْ عَلَيۡكَ مِن نَّبَإِ مُوسَىٰ وَفِرۡعَوۡنَ بِٱلۡحَقِّ لِقَوۡمٖ يُؤۡمِنُونَ

    Open ayah 28:3

    Tukusomera mu bwesimbu ebigambo bya Musa ne Firaawo (bibe bya mugaso) eri abantu abakkiriza.

  4. إِنَّ فِرۡعَوۡنَ عَلَا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَجَعَلَ أَهۡلَهَا شِيَعٗا يَسۡتَضۡعِفُ طَآئِفَةٗ مِّنۡهُمۡ يُذَبِّحُ أَبۡنَآءَهُمۡ وَيَسۡتَحۡيِۦ نِسَآءَهُمۡۚ إِنَّهُۥ كَانَ مِنَ ٱلۡمُفۡسِدِينَ

    Open ayah 28:4

    Mazima Firaawo yeekuluntariza mu nsi, abantu baamu naabateekamu obubinjabinja, nga abonyaabonya ekibinja mu bo nga asala (natta) abaana baabwe abalenzi naalekawo abawala mu bo (mu kukola ekyo) naabeera mu boonoonyi.

  5. وَنُرِيدُ أَن نَّمُنَّ عَلَى ٱلَّذِينَ ٱسۡتُضۡعِفُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَنَجۡعَلَهُمۡ أَئِمَّةٗ وَنَجۡعَلَهُمُ ٱلۡوَٰرِثِينَ

    Open ayah 28:5

    Era twayagala okubunduggula ebyengera ku abo abaayisibwa obubi ku nsi era tubafuule abakulembeze era tubafuule abasikira (ebyengera bali bye baaleka).

  6. وَنُمَكِّنَ لَهُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَنُرِيَ فِرۡعَوۡنَ وَهَٰمَٰنَ وَجُنُودَهُمَا مِنۡهُم مَّا كَانُواْ يَحۡذَرُونَ

    Open ayah 28:6

    Era tubawe obuyinza mu nsi (era nga tukozesa bo) tulage Firaawo ne Hamana n'amagye gaabwe bombi ekyo kye baali beekeka.

  7. وَأَوۡحَيۡنَآ إِلَىٰٓ أُمِّ مُوسَىٰٓ أَنۡ أَرۡضِعِيهِۖ فَإِذَا خِفۡتِ عَلَيۡهِ فَأَلۡقِيهِ فِي ٱلۡيَمِّ وَلَا تَخَافِي وَلَا تَحۡزَنِيٓۖ إِنَّا رَآدُّوهُ إِلَيۡكِ وَجَاعِلُوهُ مِنَ ٱلۡمُرۡسَلِينَ

    Open ayah 28:7

    Era twatumira Maama wa Musa nti muyonse, naye bwoba nga omutiiriridde musuule mu mazzi era totya, era tonakuwala mazima ffe tujja ku mukuddiza era tujja kumuteeka mu ba baka.

  8. فَٱلۡتَقَطَهُۥٓ ءَالُ فِرۡعَوۡنَ لِيَكُونَ لَهُمۡ عَدُوّٗا وَحَزَنًاۗ إِنَّ فِرۡعَوۡنَ وَهَٰمَٰنَ وَجُنُودَهُمَا كَانُواْ خَٰطِـِٔينَ

    Open ayah 28:8

    Abantu ba Firaawo ne bamulonda (naye nga) ajja kubafuukira omulabe era eky'okunakuwala. Mazima Firaawo ne Hamaana n'amagye gaabwe bombi baali basobya.

  9. وَقَالَتِ ٱمۡرَأَتُ فِرۡعَوۡنَ قُرَّتُ عَيۡنٖ لِّي وَلَكَۖ لَا تَقۡتُلُوهُ عَسَىٰٓ أَن يَنفَعَنَآ أَوۡ نَتَّخِذَهُۥ وَلَدٗا وَهُمۡ لَا يَشۡعُرُونَ

    Open ayah 28:9

    Muka Firaawo naagamba nti (omwana ono) wa kusanyusa amaaso gange naawe, temumutta ayinza okutugasa oba ne tumufuula omwana, (naye) nga nabo tebamanyi (Musa kyagenda kubeera).

  10. وَأَصۡبَحَ فُؤَادُ أُمِّ مُوسَىٰ فَٰرِغًاۖ إِن كَادَتۡ لَتُبۡدِي بِهِۦ لَوۡلَآ أَن رَّبَطۡنَا عَلَىٰ قَلۡبِهَا لِتَكُونَ مِنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ 

    Open ayah 28:10

    Omutima gwa Maama wa Musa gwali gwagaana okutereera (nga yeeraliikirira) yabula kata okumulaga (nga bwe yali omwanawe) singa tetwassa bunywevu ku mutimagwe (olwo nno) alyoke abe mu bakkiriza.

  11. وَقَالَتۡ لِأُخۡتِهِۦ قُصِّيهِۖ فَبَصُرَتۡ بِهِۦ عَن جُنُبٖ وَهُمۡ لَا يَشۡعُرُونَ

    Open ayah 28:11

    (Maama wa Musa) yagamba mwannyina (wa Musa) nti mulondoole, awo nno naamulaba nga ali wala naye nga bo tebamanyi.

  12. ۞وَحَرَّمۡنَا عَلَيۡهِ ٱلۡمَرَاضِعَ مِن قَبۡلُ فَقَالَتۡ هَلۡ أَدُلُّكُمۡ عَلَىٰٓ أَهۡلِ بَيۡتٖ يَكۡفُلُونَهُۥ لَكُمۡ وَهُمۡ لَهُۥ نَٰصِحُونَ

    Open ayah 28:12

    Twamulemesa okukkiriza amabeere (g'omuyonsa yenna) okuva ku ntandikwa, (Mwannyina) naabagamba nti: abaffe mbalagirire abantu b'enyumba emu abanaamubalerera era nga nabo bajja kumubuulirira.

  13. فَرَدَدۡنَٰهُ إِلَىٰٓ أُمِّهِۦ كَيۡ تَقَرَّ عَيۡنُهَا وَلَا تَحۡزَنَ وَلِتَعۡلَمَ أَنَّ وَعۡدَ ٱللَّهِ حَقّٞ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ

    Open ayah 28:13

    Olwo nno twamuzza ewa Nnyina amaasoge gabe nga gatebenkera era aleme kunakuwala, era asobole okumanya nti mazima endagaano ya Katonda ya mazima wabula abasinga obungi mu bo tebamanyi.

  14. وَلَمَّا بَلَغَ أَشُدَّهُۥ وَٱسۡتَوَىٰٓ ءَاتَيۡنَٰهُ حُكۡمٗا وَعِلۡمٗاۚ وَكَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلۡمُحۡسِنِينَ

    Open ayah 28:14

    (Musa) bwe yakula n'asajjakula twamuwa okusengeka ensonga n'okumanya. Era bwe tutyo bwe tusasula abalongoosa.

  15. وَدَخَلَ ٱلۡمَدِينَةَ عَلَىٰ حِينِ غَفۡلَةٖ مِّنۡ أَهۡلِهَا فَوَجَدَ فِيهَا رَجُلَيۡنِ يَقۡتَتِلَانِ هَٰذَا مِن شِيعَتِهِۦ وَهَٰذَا مِنۡ عَدُوِّهِۦۖ فَٱسۡتَغَٰثَهُ ٱلَّذِي مِن شِيعَتِهِۦ عَلَى ٱلَّذِي مِنۡ عَدُوِّهِۦ فَوَكَزَهُۥ مُوسَىٰ فَقَضَىٰ عَلَيۡهِۖ قَالَ هَٰذَا مِنۡ عَمَلِ ٱلشَّيۡطَٰنِۖ إِنَّهُۥ عَدُوّٞ مُّضِلّٞ مُّبِينٞ

    Open ayah 28:15

    (Olunaku lumu Musa) yayingira e kibuga ng'abantu baamu tebategedde naasangamu abasajja babiri nga balwanagana, nga omu wa mu bantube ate omulala wa mu balabebe (wa mu bantu ba Firaawo) ow'omu bantube naamusaba amutaase ku mulabewe, awo nno Musa naamukuba ekikonde naamutta mbagirawo, (Musa) naagamba nti kino kikolwa kya Sitane, mazima yye mulabe era mubuza ow'olwatu.

  16. قَالَ رَبِّ إِنِّي ظَلَمۡتُ نَفۡسِي فَٱغۡفِرۡ لِي فَغَفَرَ لَهُۥٓۚ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلۡغَفُورُ ٱلرَّحِيمُ

    Open ayah 28:16

    (Musa) naagamba ayi Mukama omulabirizi wange mazima nze neeyisizza bubi nsaba onsonyiwe, (Katonda) naamusonyiwa, anti mazima yye ye musonyiyi omusaasizi ennyo.

  17. قَالَ رَبِّ بِمَآ أَنۡعَمۡتَ عَلَيَّ فَلَنۡ أَكُونَ ظَهِيرٗا لِّلۡمُجۡرِمِينَ

    Open ayah 28:17

    Naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange okusinziira ku byengera byongonnomoddeko sigenda kubeera muyambi wa boonoonyi.

  18. فَأَصۡبَحَ فِي ٱلۡمَدِينَةِ خَآئِفٗا يَتَرَقَّبُ فَإِذَا ٱلَّذِي ٱسۡتَنصَرَهُۥ بِٱلۡأَمۡسِ يَسۡتَصۡرِخُهُۥۚ قَالَ لَهُۥ مُوسَىٰٓ إِنَّكَ لَغَوِيّٞ مُّبِينٞ

    Open ayah 28:18

    Okuva olwo Musa yabeera mu kibuga ng'atya nga yeekengera. Yali akyali awo nga eyamusabye jjo okumutaasa ate amukubira enduulu amudduukirire, Musa naamugamba nti: mazima ggwe mulumbaganyi ow'olwatu.

  19. فَلَمَّآ أَنۡ أَرَادَ أَن يَبۡطِشَ بِٱلَّذِي هُوَ عَدُوّٞ لَّهُمَا قَالَ يَٰمُوسَىٰٓ أَتُرِيدُ أَن تَقۡتُلَنِي كَمَا قَتَلۡتَ نَفۡسَۢا بِٱلۡأَمۡسِۖ إِن تُرِيدُ إِلَّآ أَن تَكُونَ جَبَّارٗا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَمَا تُرِيدُ أَن تَكُونَ مِنَ ٱلۡمُصۡلِحِينَ

    Open ayah 28:19

    Olwo nno (Musa) bwe yayagala okuvumbagira oyo omulabe waabwe bombi, naagamba nti owange Musa oyagala kunzita nga bwe wasse omuntu jjo, tolina kyoyagala okugyako okubeera nantagambwaako mu nsi era (olabika) toyagala kubeera wa mu bakozi ba bulungi.

  20. وَجَآءَ رَجُلٞ مِّنۡ أَقۡصَا ٱلۡمَدِينَةِ يَسۡعَىٰ قَالَ يَٰمُوسَىٰٓ إِنَّ ٱلۡمَلَأَ يَأۡتَمِرُونَ بِكَ لِيَقۡتُلُوكَ فَٱخۡرُجۡ إِنِّي لَكَ مِنَ ٱلنَّٰصِحِينَ 

    Open ayah 28:20

    Awo nno omusajja kwe kujja nga adduka ng'ava e kibuga gye kikoma, naagamba nti owange Musa mazima abakungu bakuteesaako okukutta, kale fuluma (mu nsi eno) mazima nze ndi mu bakubuulirira.

  21. فَخَرَجَ مِنۡهَا خَآئِفٗا يَتَرَقَّبُۖ قَالَ رَبِّ نَجِّنِي مِنَ ٱلۡقَوۡمِ ٱلظَّٰلِمِينَ

    Open ayah 28:21

    Awo nno naakifuluma (ekibuga) nga atidde yeekengera, naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mponya abantu abeeyisa obubi.

  22. وَلَمَّا تَوَجَّهَ تِلۡقَآءَ مَدۡيَنَ قَالَ عَسَىٰ رَبِّيٓ أَن يَهۡدِيَنِي سَوَآءَ ٱلسَّبِيلِ

    Open ayah 28:22

    Bwe yamala okwolekera oludda lw'e Madiyana yagamba nti nsaba Mukama omulabirizi wange annungamye ku kkubo ettuufu.

  23. وَلَمَّا وَرَدَ مَآءَ مَدۡيَنَ وَجَدَ عَلَيۡهِ أُمَّةٗ مِّنَ ٱلنَّاسِ يَسۡقُونَ وَوَجَدَ مِن دُونِهِمُ ٱمۡرَأَتَيۡنِ تَذُودَانِۖ قَالَ مَا خَطۡبُكُمَاۖ قَالَتَا لَا نَسۡقِي حَتَّىٰ يُصۡدِرَ ٱلرِّعَآءُۖ وَأَبُونَا شَيۡخٞ كَبِيرٞ

    Open ayah 28:23

    Bwe yatuuka ku mazzi g'eMadiyana yasangawo ekibinja ky'abantu nga banywesa (ensolo zaabwe) era nga waliwo ku (bbali) abakazi babiri, nga bagaana (ensolo zaabwe okunywa amazzi) naabagamba nti ate mmwe ogubadde gwe gwaki? Nebagamba nti tetunywesa okutuusa abalunzi abalala lwe baggyawo ensolo zaabwe, ate nga ne kitaffe mukadde nnyo.

  24. فَسَقَىٰ لَهُمَا ثُمَّ تَوَلَّىٰٓ إِلَى ٱلظِّلِّ فَقَالَ رَبِّ إِنِّي لِمَآ أَنزَلۡتَ إِلَيَّ مِنۡ خَيۡرٖ فَقِيرٞ

    Open ayah 28:24

    Naabanyweseza, bwe yamala ne yeewogoma mu kisiikirize olwo naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mazima nze ndi mwetaavu nnyo eri ekirungi kyonna kyoba ompadde.

  25. فَجَآءَتۡهُ إِحۡدَىٰهُمَا تَمۡشِي عَلَى ٱسۡتِحۡيَآءٖ قَالَتۡ إِنَّ أَبِي يَدۡعُوكَ لِيَجۡزِيَكَ أَجۡرَ مَا سَقَيۡتَ لَنَاۚ فَلَمَّا جَآءَهُۥ وَقَصَّ عَلَيۡهِ ٱلۡقَصَصَ قَالَ لَا تَخَفۡۖ نَجَوۡتَ مِنَ ٱلۡقَوۡمِ ٱلظَّٰلِمِينَ

    Open ayah 28:25

    (Aba ali awo) omu ku bombi (abakazi) najja gyali mu ngeri ey'ensonyi, naagamba nti mazima Kitange akuyita abe nga akusasula empeera y'okutunyweseza, (Musa) bwe yatuuka waali (Kitaawe wa bawala) era naamunyumiza emboozi (y'ebimufaako) yamugamba nti totya omaze okuwona abantu abeeyisa obubi.

  26. قَالَتۡ إِحۡدَىٰهُمَا يَٰٓأَبَتِ ٱسۡتَـٔۡجِرۡهُۖ إِنَّ خَيۡرَ مَنِ ٱسۡتَـٔۡجَرۡتَ ٱلۡقَوِيُّ ٱلۡأَمِينُ

    Open ayah 28:26

    (Omuwala) omu naagamba nti owange Taata muwe omulimu mazima omupakasi asinga obulungi ye wa maanyi omwesigwa

  27. قَالَ إِنِّيٓ أُرِيدُ أَنۡ أُنكِحَكَ إِحۡدَى ٱبۡنَتَيَّ هَٰتَيۡنِ عَلَىٰٓ أَن تَأۡجُرَنِي ثَمَٰنِيَ حِجَجٖۖ فَإِنۡ أَتۡمَمۡتَ عَشۡرٗا فَمِنۡ عِندِكَۖ وَمَآ أُرِيدُ أَنۡ أَشُقَّ عَلَيۡكَۚ سَتَجِدُنِيٓ إِن شَآءَ ٱللَّهُ مِنَ ٱلصَّٰلِحِينَ

    Open ayah 28:27

    (Kitaawe wa Bawala) naagamba nti mazima nze njagala kukufumbiza omu ku bawala bange abo ababiri nga ojja kunkolera emyaka munaana naye bw'ojjuza e kkumi ekyo kiri gyoli, wabula saagala ku kukaluubiriza ojja kunsanga nga ndi mu bantu abakozi b'obulungi.

  28. قَالَ ذَٰلِكَ بَيۡنِي وَبَيۡنَكَۖ أَيَّمَا ٱلۡأَجَلَيۡنِ قَضَيۡتُ فَلَا عُدۡوَٰنَ عَلَيَّۖ وَٱللَّهُ عَلَىٰ مَا نَقُولُ وَكِيلٞ

    Open ayah 28:28

    (Musa) naagamba nti ekyo kiri wakati wange naawe ekimu ku biseera ebibiri kyennaaba nkoze njakuba sivunaanwa, era Katonda ye mweyimirize ku byonna bye twogera.

  29. ۞فَلَمَّا قَضَىٰ مُوسَى ٱلۡأَجَلَ وَسَارَ بِأَهۡلِهِۦٓ ءَانَسَ مِن جَانِبِ ٱلطُّورِ نَارٗاۖ قَالَ لِأَهۡلِهِ ٱمۡكُثُوٓاْ إِنِّيٓ ءَانَسۡتُ نَارٗا لَّعَلِّيٓ ءَاتِيكُم مِّنۡهَا بِخَبَرٍ أَوۡ جَذۡوَةٖ مِّنَ ٱلنَّارِ لَعَلَّكُمۡ تَصۡطَلُونَ

    Open ayah 28:29

    Musa bwe yamala okutuukiriza ekiseera (kye baalagaana), yatambula n'abantube (nga bagenda e misiri) naalaba omuliro ku ludda lw'olusozi, naagamba abantube nti: mulindeeko wano katono, mazima nze nina wendabye omuliro, si kulwa nga mbaleetera amawulire okuva we guli oba nembaleetera e kitawuliro mulyoke mwote.

  30. فَلَمَّآ أَتَىٰهَا نُودِيَ مِن شَٰطِيِٕ ٱلۡوَادِ ٱلۡأَيۡمَنِ فِي ٱلۡبُقۡعَةِ ٱلۡمُبَٰرَكَةِ مِنَ ٱلشَّجَرَةِ أَن يَٰمُوسَىٰٓ إِنِّيٓ أَنَا ٱللَّهُ رَبُّ ٱلۡعَٰلَمِينَ 

    Open ayah 28:30

    Musa bwe yatuuka weguli, yakoowoolwa (nga eddoboozi) liva ku lubalama lwe'kisenyi olwa ddyo mu kifo eky'omukisa nga liva mu muti (nga limugamba) nti owange ggwe Musa, mazima nze Katonda Omulabirizi w'ebitonde.

  31. وَأَنۡ أَلۡقِ عَصَاكَۚ فَلَمَّا رَءَاهَا تَهۡتَزُّ كَأَنَّهَا جَآنّٞ وَلَّىٰ مُدۡبِرٗا وَلَمۡ يُعَقِّبۡۚ يَٰمُوسَىٰٓ أَقۡبِلۡ وَلَا تَخَفۡۖ إِنَّكَ مِنَ ٱلۡأٓمِنِينَ

    Open ayah 28:31

    Era (Katonda naamugamba nti) kasuka omuggogwo (naye kwe kugukasuka) olwo nno bwe yagulaba nga gwenyeenya, nga gulinga omusota omwangu mu ntambula yaagwo, yakyuka nga adda emabega era n'atatunula gyava (Katonda kwe kumukoowoola nti) owange ggwe Musa komawo era totya anti mazima oli mu balina e mirembe.

  32. ٱسۡلُكۡ يَدَكَ فِي جَيۡبِكَ تَخۡرُجۡ بَيۡضَآءَ مِنۡ غَيۡرِ سُوٓءٖ وَٱضۡمُمۡ إِلَيۡكَ جَنَاحَكَ مِنَ ٱلرَّهۡبِۖ فَذَٰنِكَ بُرۡهَٰنَانِ مِن رَّبِّكَ إِلَىٰ فِرۡعَوۡنَ وَمَلَإِيْهِۦٓۚ إِنَّهُمۡ كَانُواْ قَوۡمٗا فَٰسِقِينَ

    Open ayah 28:32

    Yingiza omukono gwo mu kimeeme ky'ekyambalokyo gujja kufuluma nga mweru ng'ate tewali kabi kagutuuseeko, ssa omukonogwo ku kifubakyo. Obwo nno bwombiriri bwe bubonero okuva eri Katondawo bwotwalira Firaawo n'abakungube, anti mazima okuva emabega babadde bantu boonoonyi.

  33. قَالَ رَبِّ إِنِّي قَتَلۡتُ مِنۡهُمۡ نَفۡسٗا فَأَخَافُ أَن يَقۡتُلُونِ

    Open ayah 28:33

    (Musa) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mazima nze nabattamu omuntu, n'olwekyo ntya si kulwa nga banzita.

  34. وَأَخِي هَٰرُونُ هُوَ أَفۡصَحُ مِنِّي لِسَانٗا فَأَرۡسِلۡهُ مَعِيَ رِدۡءٗا يُصَدِّقُنِيٓۖ إِنِّيٓ أَخَافُ أَن يُكَذِّبُونِ

    Open ayah 28:34

    Ate Muganda wange Haruna y'ansinga olulimi olwatufu, kale nno mutume wamu nange nga muyambi abe nga akkaatiriza amazima gange, anti mazima nze ntya okuba nga bajja kunnimbisa.

  35. قَالَ سَنَشُدُّ عَضُدَكَ بِأَخِيكَ وَنَجۡعَلُ لَكُمَا سُلۡطَٰنٗا فَلَا يَصِلُونَ إِلَيۡكُمَا بِـَٔايَٰتِنَآۚ أَنتُمَا وَمَنِ ٱتَّبَعَكُمَا ٱلۡغَٰلِبُونَ

    Open ayah 28:35

    Katonda naamugamba nti tujja kunyweeza omukonogwo (kukuwagira) ne mugandawo, era tubawe mwembiriri obusobozi babe nga tebasobola kubatuusaako kabi. olw'obubonero bwaffe, mmwe mwembiriri nabuli yenna abagoberera mmwe mujja okuwangula.

  36. فَلَمَّا جَآءَهُم مُّوسَىٰ بِـَٔايَٰتِنَا بَيِّنَٰتٖ قَالُواْ مَا هَٰذَآ إِلَّا سِحۡرٞ مُّفۡتَرٗى وَمَا سَمِعۡنَا بِهَٰذَا فِيٓ ءَابَآئِنَا ٱلۡأَوَّلِينَ

    Open ayah 28:36

    Musa bwe yabajjira n'obubonero bwaffe nga bunnyonnyofu, baagamba nti kino tekiri okugyako okuba e ddogo e jjingirire, era tetuwuliranga ku kintu nga kino mu bakadde baffe abaasooka

  37. وَقَالَ مُوسَىٰ رَبِّيٓ أَعۡلَمُ بِمَن جَآءَ بِٱلۡهُدَىٰ مِنۡ عِندِهِۦ وَمَن تَكُونُ لَهُۥ عَٰقِبَةُ ٱلدَّارِۚ إِنَّهُۥ لَا يُفۡلِحُ ٱلظَّٰلِمُونَ

    Open ayah 28:37

    Musa naagamba nti Mukama omulabirizi wange y'asinga okumanya oyo azze n'obulungamu ng'abuggya gyali era n'oyo aliba n'enkomerero e nnungi, anti bulijjo abeeyisa obubi tebayinza kutuuka ku buwanguzi.

  38. وَقَالَ فِرۡعَوۡنُ يَٰٓأَيُّهَا ٱلۡمَلَأُ مَا عَلِمۡتُ لَكُم مِّنۡ إِلَٰهٍ غَيۡرِي فَأَوۡقِدۡ لِي يَٰهَٰمَٰنُ عَلَى ٱلطِّينِ فَٱجۡعَل لِّي صَرۡحٗا لَّعَلِّيٓ أَطَّلِعُ إِلَىٰٓ إِلَٰهِ مُوسَىٰ وَإِنِّي لَأَظُنُّهُۥ مِنَ ٱلۡكَٰذِبِينَ

    Open ayah 28:38

    Ate Firaawo naagamba nti: abange mmwe abakungu ssibamanyiddeeyo Katonda mulala atali nze, ggwe Haamaan nkumira omuliro oyokye amataffaali onzimbire omulongooti nsobole okulaba Katonda wa Musa, era mazima nze mulowooleza ddala okuba nga ali mu balimba.

  39. وَٱسۡتَكۡبَرَ هُوَ وَجُنُودُهُۥ فِي ٱلۡأَرۡضِ بِغَيۡرِ ٱلۡحَقِّ وَظَنُّوٓاْ أَنَّهُمۡ إِلَيۡنَا لَا يُرۡجَعُونَ

    Open ayah 28:39

    Olwo nno ne yeekuza mu nsi yye n'eggyerye, awatali nsonga yonna (kwe basinziira) ne balowooza nti mazima tebagenda kuzzibwa gye tuli.

  40. فَأَخَذۡنَٰهُ وَجُنُودَهُۥ فَنَبَذۡنَٰهُمۡ فِي ٱلۡيَمِّۖ فَٱنظُرۡ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلظَّٰلِمِينَ 

    Open ayah 28:40

    Netumukwata n'eggyerye ne tubanyugunya mu nnyanja, kale tunuulira olabe enkomerero ya beeyisa obubi bwe yali.

  41. وَجَعَلۡنَٰهُمۡ أَئِمَّةٗ يَدۡعُونَ إِلَى ٱلنَّارِۖ وَيَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ لَا يُنصَرُونَ

    Open ayah 28:41

    Ne tubafuula abakulembeze nga bakoowoola abantu okuyingira omuliro, era nga ne ku lunaku lw'enkomerero tebagenda kutaasibwa.

  42. وَأَتۡبَعۡنَٰهُمۡ فِي هَٰذِهِ ٱلدُّنۡيَا لَعۡنَةٗۖ وَيَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ هُم مِّنَ ٱلۡمَقۡبُوحِينَ

    Open ayah 28:42

    Era twabagobereza e kikolimo mu nsi muno nga ne ku lunaku lw'enkomerero bbo be balifuulibwa abalabika obubi.

  43. وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا مُوسَى ٱلۡكِتَٰبَ مِنۢ بَعۡدِ مَآ أَهۡلَكۡنَا ٱلۡقُرُونَ ٱلۡأُولَىٰ بَصَآئِرَ لِلنَّاسِ وَهُدٗى وَرَحۡمَةٗ لَّعَلَّهُمۡ يَتَذَكَّرُونَ

    Open ayah 28:43

    Mazima twawa Musa e kitabo bwe twamala okuzikiriza emirembe egyasooka nga mumuli eri abantu, era nga bulungamu era kusaasira kibayambe okwebuulirira.

  44. وَمَا كُنتَ بِجَانِبِ ٱلۡغَرۡبِيِّ إِذۡ قَضَيۡنَآ إِلَىٰ مُوسَى ٱلۡأَمۡرَ وَمَا كُنتَ مِنَ ٱلشَّٰهِدِينَ

    Open ayah 28:44

    Era (ggwe Muhammad) tobangako ku ludda olw'ebugwanjuba bwe twawa Musa ekigambo (ekiragiro eky'okugenda ewa Firaawo) era tewali mu baaliwo (mu kiseera ekyo).

  45. وَلَٰكِنَّآ أَنشَأۡنَا قُرُونٗا فَتَطَاوَلَ عَلَيۡهِمُ ٱلۡعُمُرُۚ وَمَا كُنتَ ثَاوِيٗا فِيٓ أَهۡلِ مَدۡيَنَ تَتۡلُواْ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتِنَا وَلَٰكِنَّا كُنَّا مُرۡسِلِينَ

    Open ayah 28:45

    Naye mazima ffe twasibulawo e mirembe ebbanga neriyitawo ddene (era nga ggwe tonnatumwa) era tobangako mutuuze mu bantu b'eMadiyana n'oba nga obasomera ebigambo byaffe naye mazima ffe bulijjo tubadde tutuma ababaka.

  46. وَمَا كُنتَ بِجَانِبِ ٱلطُّورِ إِذۡ نَادَيۡنَا وَلَٰكِن رَّحۡمَةٗ مِّن رَّبِّكَ لِتُنذِرَ قَوۡمٗا مَّآ أَتَىٰهُم مِّن نَّذِيرٖ مِّن قَبۡلِكَ لَعَلَّهُمۡ يَتَذَكَّرُونَ

    Open ayah 28:46

    Era tewaliiwo ku ludda lw'olusozi mu kiseera we twakoowolera (Musa tumuwe obubaka), wabula kwali kusaasira kwa Mukama omulabiriziwo (ggwe okumanya ebyaaliyo), obe nga weekesa abantu abatajjirwanga mutiisa yenna nga ggwe tonnajja olwo nno babe nga beebuulirira.

  47. وَلَوۡلَآ أَن تُصِيبَهُم مُّصِيبَةُۢ بِمَا قَدَّمَتۡ أَيۡدِيهِمۡ فَيَقُولُواْ رَبَّنَا لَوۡلَآ أَرۡسَلۡتَ إِلَيۡنَا رَسُولٗا فَنَتَّبِعَ ءَايَٰتِكَ وَنَكُونَ مِنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ

    Open ayah 28:47

    (Era tetwandikutumye gye bali singa) si bantu kutuukibwako buzibu olw'ebyo e mikono gya bwe bye gyakola ate nebagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe singa watutumira omubaka ne tugoberera ebigambobyo era ne tubeera mu bakkiriza.

  48. فَلَمَّا جَآءَهُمُ ٱلۡحَقُّ مِنۡ عِندِنَا قَالُواْ لَوۡلَآ أُوتِيَ مِثۡلَ مَآ أُوتِيَ مُوسَىٰٓۚ أَوَلَمۡ يَكۡفُرُواْ بِمَآ أُوتِيَ مُوسَىٰ مِن قَبۡلُۖ قَالُواْ سِحۡرَانِ تَظَٰهَرَا وَقَالُوٓاْ إِنَّا بِكُلّٖ كَٰفِرُونَ

    Open ayah 28:48

    Naye ate amazima bwe gaamala okubajjira okuva gye tuli baagamba nti singa aweereddwa nga ebyaweebwa Musa (naye) abaffe tebaawakanya ebyo ebyaweebwa Musa oluberyeberye ne bagamba nti (ebigambo bya Musa ne Muhammad) byombi ddogo, erimu liyamba linnaalyo era ne bagamba nti mazima ffe tuwakanya buli kyonna ekigwa mu kiti ky'ebyo.

  49. قُلۡ فَأۡتُواْ بِكِتَٰبٖ مِّنۡ عِندِ ٱللَّهِ هُوَ أَهۡدَىٰ مِنۡهُمَآ أَتَّبِعۡهُ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ

    Open ayah 28:49

    Bagambe (ggwe Muhammad) nti (bwe kiba bwe kityo) kale (mmwe) muleete ekitabo okuva ewa Katonda nga kyo kirungamu okusinga biri ebibiri nja kukigoberera bwe muba nga mwogera mazima.

  50. فَإِن لَّمۡ يَسۡتَجِيبُواْ لَكَ فَٱعۡلَمۡ أَنَّمَا يَتَّبِعُونَ أَهۡوَآءَهُمۡۚ وَمَنۡ أَضَلُّ مِمَّنِ ٱتَّبَعَ هَوَىٰهُ بِغَيۡرِ هُدٗى مِّنَ ٱللَّهِۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يَهۡدِي ٱلۡقَوۡمَ ٱلظَّٰلِمِينَ 

    Open ayah 28:50

    Bwe batakwanukula manya nti mazima bagoberera kwagala kwa bwe, era ani mubuze okusinga oyo agoberera okwagalakwe okutaliiko kulungamya kuva wa Katonda, mazima Katonda talungamya bantu beeyisa bubi.

  51. ۞وَلَقَدۡ وَصَّلۡنَا لَهُمُ ٱلۡقَوۡلَ لَعَلَّهُمۡ يَتَذَكَّرُونَ

    Open ayah 28:51

    Mazima ekigambo tukibalambululidde kibayambe okwebuulirira.

  52. ٱلَّذِينَ ءَاتَيۡنَٰهُمُ ٱلۡكِتَٰبَ مِن قَبۡلِهِۦ هُم بِهِۦ يُؤۡمِنُونَ

    Open ayah 28:52

    Abo betwawa ekitabo oluberyeberye lwa kino abamu (mu) bo bagikkiriza (Kur'ani).

  53. وَإِذَا يُتۡلَىٰ عَلَيۡهِمۡ قَالُوٓاْ ءَامَنَّا بِهِۦٓ إِنَّهُ ٱلۡحَقُّ مِن رَّبِّنَآ إِنَّا كُنَّا مِن قَبۡلِهِۦ مُسۡلِمِينَ

    Open ayah 28:53

    Bweba ebasomeddwa bagamba nti tugikkirizza, ddala yo g'emazima agava ewa Mukama omulabirizi waffe, mazima ddala ffe nga tenajja twali basiraamu.

  54. أُوْلَٰٓئِكَ يُؤۡتَوۡنَ أَجۡرَهُم مَّرَّتَيۡنِ بِمَا صَبَرُواْ وَيَدۡرَءُونَ بِٱلۡحَسَنَةِ ٱلسَّيِّئَةَ وَمِمَّا رَزَقۡنَٰهُمۡ يُنفِقُونَ

    Open ayah 28:54

    Abo bagenda kuweebwa empeera yaabwe emirundi ebiri olw'ebyo bye baagumiikiriza era n'olwokuba nti ekibi bakiggyisaawo ekirungi era nga bawaayo ku ebyo bye tubagabirira.

  55. وَإِذَا سَمِعُواْ ٱللَّغۡوَ أَعۡرَضُواْ عَنۡهُ وَقَالُواْ لَنَآ أَعۡمَٰلُنَا وَلَكُمۡ أَعۡمَٰلُكُمۡ سَلَٰمٌ عَلَيۡكُمۡ لَا نَبۡتَغِي ٱلۡجَٰهِلِينَ

    Open ayah 28:55

    Era bwe bawulira eby'olubalaato babyesamba era ne bagamba nti tulina enkola yaffe nammwe mulina enkola yammwe, emirembe gibeere ku mmwe, tetwagala batategeera.

  56. إِنَّكَ لَا تَهۡدِي مَنۡ أَحۡبَبۡتَ وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ يَهۡدِي مَن يَشَآءُۚ وَهُوَ أَعۡلَمُ بِٱلۡمُهۡتَدِينَ

    Open ayah 28:56

    Mazima ggwe (Muhammad) tolungamya oyo gwoba oyagadde naye mazima Katonda alungamya oyo gwaba asazeewo era y'asinga okumanya abalungamu.

  57. وَقَالُوٓاْ إِن نَّتَّبِعِ ٱلۡهُدَىٰ مَعَكَ نُتَخَطَّفۡ مِنۡ أَرۡضِنَآۚ أَوَلَمۡ نُمَكِّن لَّهُمۡ حَرَمًا ءَامِنٗا يُجۡبَىٰٓ إِلَيۡهِ ثَمَرَٰتُ كُلِّ شَيۡءٖ رِّزۡقٗا مِّن لَّدُنَّا وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ

    Open ayah 28:57

    Era (abatakkiriza) ne bagamba nti singa tugoberera naawe obulungamu tujja kusikulwa mu nsi yaffe (naye) abaffe tetwabatebenkereza Haram (Makkah) nga ejjudde e mirembe nga ebibala ebya buli kika bireetebwa gyeri, nga okwo kugabirira okuva gye tuli naye wabula abasinga obungi mu bo tebamanyi.

  58. وَكَمۡ أَهۡلَكۡنَا مِن قَرۡيَةِۭ بَطِرَتۡ مَعِيشَتَهَاۖ فَتِلۡكَ مَسَٰكِنُهُمۡ لَمۡ تُسۡكَن مِّنۢ بَعۡدِهِمۡ إِلَّا قَلِيلٗاۖ وَكُنَّا نَحۡنُ ٱلۡوَٰرِثِينَ

    Open ayah 28:58

    Bitundu bimeka bye twazikiriza ebyayonoona obulamu bwa byo (olw'okufuula obulamu obw'okweyagaliramu obweyagazi) amayumba gaabwe gaago, tegaddangayo kusulwamu oluvanyuma lwa bwe okugyako matono era ffe twafuuka abaagasikira.

  59. وَمَا كَانَ رَبُّكَ مُهۡلِكَ ٱلۡقُرَىٰ حَتَّىٰ يَبۡعَثَ فِيٓ أُمِّهَا رَسُولٗا يَتۡلُواْ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتِنَاۚ وَمَا كُنَّا مُهۡلِكِي ٱلۡقُرَىٰٓ إِلَّا وَأَهۡلُهَا ظَٰلِمُونَ

    Open ayah 28:59

    Mukama Omulabiriziwo tabangako wa kuzikiriza bitundu okugyako nga atumye omubaka mu makkati gaabyo ng'abasomera ebigambo byaffe era tetubangako baakuzikiriza bitundu okugyako abantu ba mu nga beeyisa bubi.

  60. وَمَآ أُوتِيتُم مِّن شَيۡءٖ فَمَتَٰعُ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا وَزِينَتُهَاۚ وَمَا عِندَ ٱللَّهِ خَيۡرٞ وَأَبۡقَىٰٓۚ أَفَلَا تَعۡقِلُونَ 

    Open ayah 28:60

    Buli kintu kye muweebwa bya kweyagala bya bulamu bwa nsi na kwewunda kw'ayo. So ng'ate ebiri ewa Katonda bye bisinga obulungi era bye by'okusigalawo. Abaffe temutegeera!.

  61. أَفَمَن وَعَدۡنَٰهُ وَعۡدًا حَسَنٗا فَهُوَ لَٰقِيهِ كَمَن مَّتَّعۡنَٰهُ مَتَٰعَ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا ثُمَّ هُوَ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ مِنَ ٱلۡمُحۡضَرِينَ

    Open ayah 28:61

    Abaffe oyo gwe twalagaanyisa endagaano ennungi era nga w'akugituukako ayinza okuba nga oyo gwe twawa eby'okweyagala by'obulamu bw'ensi, ate nga yye ku lunaku lw'enkomerero agenda kubeera mu balireetebwa okubonerezebwa.

  62. وَيَوۡمَ يُنَادِيهِمۡ فَيَقُولُ أَيۡنَ شُرَكَآءِيَ ٱلَّذِينَ كُنتُمۡ تَزۡعُمُونَ

    Open ayah 28:62

    Era bategeeze olunaku (Katonda) lwali bakoowoola naagamba nti baliwa be mwangattangako.

  63. قَالَ ٱلَّذِينَ حَقَّ عَلَيۡهِمُ ٱلۡقَوۡلُ رَبَّنَا هَٰٓؤُلَآءِ ٱلَّذِينَ أَغۡوَيۡنَآ أَغۡوَيۡنَٰهُمۡ كَمَا غَوَيۡنَاۖ تَبَرَّأۡنَآ إِلَيۡكَۖ مَا كَانُوٓاْ إِيَّانَا يَعۡبُدُونَ

    Open ayah 28:63

    Abo abaliba bakakatiddwako ekigambo (eky'okubonerezebwa nga gubasinze) baligamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe, abo bbo betwabuza twababuza nga bwe twabula, tubeesamudde netwemalira ku ggwe. Baali tebasinza ffe.

  64. وَقِيلَ ٱدۡعُواْ شُرَكَآءَكُمۡ فَدَعَوۡهُمۡ فَلَمۡ يَسۡتَجِيبُواْ لَهُمۡ وَرَأَوُاْ ٱلۡعَذَابَۚ لَوۡ أَنَّهُمۡ كَانُواْ يَهۡتَدُونَ

    Open ayah 28:64

    Baligambibwa nti: muyite bannammwe (be mwangattangako), balibayita nebatabanukula era baliraba ebibonerezo (ne bagamba nti) singa mazima bbo baali baalungama.

  65. وَيَوۡمَ يُنَادِيهِمۡ فَيَقُولُ مَاذَآ أَجَبۡتُمُ ٱلۡمُرۡسَلِينَ

    Open ayah 28:65

    Era (bajjukize) olunaku (Katonda) lwalibakoowoola naagamba nti: kiki kye mwayanukula ababaka.

  66. فَعَمِيَتۡ عَلَيۡهِمُ ٱلۡأَنۢبَآءُ يَوۡمَئِذٖ فَهُمۡ لَا يَتَسَآءَلُونَ

    Open ayah 28:66

    Ku lunaku olwo ebigambo biribakalira ku matama, nga era bbo tebagenda kwewuunaganya.

  67. فَأَمَّا مَن تَابَ وَءَامَنَ وَعَمِلَ صَٰلِحٗا فَعَسَىٰٓ أَن يَكُونَ مِنَ ٱلۡمُفۡلِحِينَ

    Open ayah 28:67

    Naye oyo eyeenenya, nakkiriza naakola e mirimu e mirungi, ddala oyo y'alibeera mu bawanguzi.

  68. وَرَبُّكَ يَخۡلُقُ مَا يَشَآءُ وَيَخۡتَارُۗ مَا كَانَ لَهُمُ ٱلۡخِيَرَةُۚ سُبۡحَٰنَ ٱللَّهِ وَتَعَٰلَىٰ عَمَّا يُشۡرِكُونَ

    Open ayah 28:68

    Mukama Omulabiriziwo atonda kyaba ayagadde era y'asalawo, (abantu) tebabangako na kwesalirawo, yasukkuluma Katonda era ali wala nnyo ku ebyo bye bamugattako.

  69. وَرَبُّكَ يَعۡلَمُ مَا تُكِنُّ صُدُورُهُمۡ وَمَا يُعۡلِنُونَ

    Open ayah 28:69

    Era Mukama Omulabiriziwo amanyi ebyo ebifuba bye bikwese n'ebyo bye bassa mu lwatu.

  70. وَهُوَ ٱللَّهُ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۖ لَهُ ٱلۡحَمۡدُ فِي ٱلۡأُولَىٰ وَٱلۡأٓخِرَةِۖ وَلَهُ ٱلۡحُكۡمُ وَإِلَيۡهِ تُرۡجَعُونَ 

    Open ayah 28:70

    Era yye Katonda tewali kisinzibwa kyonna mu butuufu okugyako yye okutenderezebwa ku kwe, ku ntandikwa ne ku nkomerero era obuyinza bwonna bubwe era gyali gye mulizzibwa.

  71. قُلۡ أَرَءَيۡتُمۡ إِن جَعَلَ ٱللَّهُ عَلَيۡكُمُ ٱلَّيۡلَ سَرۡمَدًا إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ مَنۡ إِلَٰهٌ غَيۡرُ ٱللَّهِ يَأۡتِيكُم بِضِيَآءٍۚ أَفَلَا تَسۡمَعُونَ

    Open ayah 28:71

    Bagambe nti mulaba mutya singa Katonda abassaako ekiro ne kiba kyalubeerera okutuusa ku lunaku lw'enkomerero, ani asinzibwa atali Katonda ayinza okubaleetera ekitangaala, abaffe temuwulira!.

  72. قُلۡ أَرَءَيۡتُمۡ إِن جَعَلَ ٱللَّهُ عَلَيۡكُمُ ٱلنَّهَارَ سَرۡمَدًا إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ مَنۡ إِلَٰهٌ غَيۡرُ ٱللَّهِ يَأۡتِيكُم بِلَيۡلٖ تَسۡكُنُونَ فِيهِۚ أَفَلَا تُبۡصِرُونَ

    Open ayah 28:72

    Bagambe nti mulaba mutya singa Katonda abassaako obudde bw'emisana nga bwa lubeerera okutuusa ku lunaku lw'enkomerero, ani asinzibwa atali Katonda ayinza okubaleetera ekiro kye muwummuliramu, abaffe temulaba!.

  73. وَمِن رَّحۡمَتِهِۦ جَعَلَ لَكُمُ ٱلَّيۡلَ وَٱلنَّهَارَ لِتَسۡكُنُواْ فِيهِ وَلِتَبۡتَغُواْ مِن فَضۡلِهِۦ وَلَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ

    Open ayah 28:73

    Ebimu ku bibalibwa mu kusaasirakwe, kwe kuba nti yabateerawo ekiro n'emisana muwummuliremu era mube nga munoonya ebigabwabye era kibayambe okwebaza.

  74. وَيَوۡمَ يُنَادِيهِمۡ فَيَقُولُ أَيۡنَ شُرَكَآءِيَ ٱلَّذِينَ كُنتُمۡ تَزۡعُمُونَ

    Open ayah 28:74

    Era (bategeeze) olunaku (Katonda) lwalibakoowoola naagamba nti baliwa abo bemwangattangako bemwagambanga.

  75. وَنَزَعۡنَا مِن كُلِّ أُمَّةٖ شَهِيدٗا فَقُلۡنَا هَاتُواْ بُرۡهَٰنَكُمۡ فَعَلِمُوٓاْ أَنَّ ٱلۡحَقَّ لِلَّهِ وَضَلَّ عَنۡهُم مَّا كَانُواْ يَفۡتَرُونَ

    Open ayah 28:75

    Era tuliggya mu buli kibiina omujulizi ne tugamba nti muleete abajulizi ba mmwe, awo nno balimanya nti ddala obutuufu bwa Katonda, era bigenda kubabulako ebyo bye baagunjanga.

  76. ۞إِنَّ قَٰرُونَ كَانَ مِن قَوۡمِ مُوسَىٰ فَبَغَىٰ عَلَيۡهِمۡۖ وَءَاتَيۡنَٰهُ مِنَ ٱلۡكُنُوزِ مَآ إِنَّ مَفَاتِحَهُۥ لَتَنُوٓأُ بِٱلۡعُصۡبَةِ أُوْلِي ٱلۡقُوَّةِ إِذۡ قَالَ لَهُۥ قَوۡمُهُۥ لَا تَفۡرَحۡۖ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُحِبُّ ٱلۡفَرِحِينَ

    Open ayah 28:76

    Mazima Karuna yali wa mu bantu ba Musa naabeewaggulako, ate nga twamuwa amawanika nga ddala e bisumuluzo byago bizitoowerera e kibinja eky'amaanyi. Jjukira abantube bwe baamugamba nti tosanyuukirira mazima Katonda tayagala basanyuukirira bitaliimu.

  77. وَٱبۡتَغِ فِيمَآ ءَاتَىٰكَ ٱللَّهُ ٱلدَّارَ ٱلۡأٓخِرَةَۖ وَلَا تَنسَ نَصِيبَكَ مِنَ ٱلدُّنۡيَاۖ وَأَحۡسِن كَمَآ أَحۡسَنَ ٱللَّهُ إِلَيۡكَۖ وَلَا تَبۡغِ ٱلۡفَسَادَ فِي ٱلۡأَرۡضِۖ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُحِبُّ ٱلۡمُفۡسِدِينَ

    Open ayah 28:77

    Noonya e nyumba ey'enkomerero nga okozesa ebyo Katonda bye yakuwa, era teweerabiranga omugabogwo mu nsi, kolera (abalala) obulungi nga Katonda bwa kukolera obulungi, toluubiriranga okwonoona mu nsi. Mazima Katonda tayagala boonoonyi.

  78. قَالَ إِنَّمَآ أُوتِيتُهُۥ عَلَىٰ عِلۡمٍ عِندِيٓۚ أَوَلَمۡ يَعۡلَمۡ أَنَّ ٱللَّهَ قَدۡ أَهۡلَكَ مِن قَبۡلِهِۦ مِنَ ٱلۡقُرُونِ مَنۡ هُوَ أَشَدُّ مِنۡهُ قُوَّةٗ وَأَكۡثَرُ جَمۡعٗاۚ وَلَا يُسۡـَٔلُ عَن ذُنُوبِهِمُ ٱلۡمُجۡرِمُونَ

    Open ayah 28:78

    (Karuna) naagamba mazima (bye nnina) nnabiweebwa lwa kumanya kwe nnina. Abaffe teyamanya nti ddala Katonda yazikiriza oluberyeberyerwe e mirembe gy'abo abaali bamusinga amaanyi era nga baakungaanya bingi okumusinga. Era aboonoonyi tebasabibwa (kunnyonnyola bikwata ku) byonoono bya bwe (anti Katonda abimanyi).

  79. فَخَرَجَ عَلَىٰ قَوۡمِهِۦ فِي زِينَتِهِۦۖ قَالَ ٱلَّذِينَ يُرِيدُونَ ٱلۡحَيَوٰةَ ٱلدُّنۡيَا يَٰلَيۡتَ لَنَا مِثۡلَ مَآ أُوتِيَ قَٰرُونُ إِنَّهُۥ لَذُو حَظٍّ عَظِيمٖ

    Open ayah 28:79

    (Olwo nno Karuna) yafuluma (naagenda) awali abantube nga ali mu byambalobye ebirungi ennyo, abo abaagala obulamu bw'ensi ne bagamba nti singa naffe tulina ng'ebyo ebyaweebwa Karuna mazima yye wa mukisa munene.

  80. وَقَالَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَ وَيۡلَكُمۡ ثَوَابُ ٱللَّهِ خَيۡرٞ لِّمَنۡ ءَامَنَ وَعَمِلَ صَٰلِحٗاۚ وَلَا يُلَقَّىٰهَآ إِلَّا ٱلصَّٰبِرُونَ 

    Open ayah 28:80

    Abo abaaweebwa okumanya ne bagamba nti nga mulabye empeera za Katonda z'ezisinga obulungi eri oyo akkiriza n'akola emirimu emirungi (kyokka ekyo) tekiweebwa okugyako abagumiikiriza.

  81. فَخَسَفۡنَا بِهِۦ وَبِدَارِهِ ٱلۡأَرۡضَ فَمَا كَانَ لَهُۥ مِن فِئَةٖ يَنصُرُونَهُۥ مِن دُونِ ٱللَّهِ وَمَا كَانَ مِنَ ٱلۡمُنتَصِرِينَ

    Open ayah 28:81

    Olwo nno netulagira ettaka nelimumira n'enyumba ye teyalina kabinja k'abantu baamutaasa awatali Katonda era teyali wa mu bayinza kwetaasa.

  82. وَأَصۡبَحَ ٱلَّذِينَ تَمَنَّوۡاْ مَكَانَهُۥ بِٱلۡأَمۡسِ يَقُولُونَ وَيۡكَأَنَّ ٱللَّهَ يَبۡسُطُ ٱلرِّزۡقَ لِمَن يَشَآءُ مِنۡ عِبَادِهِۦ وَيَقۡدِرُۖ لَوۡلَآ أَن مَّنَّ ٱللَّهُ عَلَيۡنَا لَخَسَفَ بِنَاۖ وَيۡكَأَنَّهُۥ لَا يُفۡلِحُ ٱلۡكَٰفِرُونَ

    Open ayah 28:82

    Abo abeegomba e mbeeraye olunaku lwa jjo, baatuuka okugamba nti weewaawo ddala Katonda ayanjuluza riziki kwoyo gwaba ayagadde mu baddube era nga bwasobola okugifunza. Singa Katonda teyatwagaliza kirungi, naffe yaaliragidde ettaka neritumira yye abaffe tokiraba nti abakaafiiri tebayinza kutuuka ku buwanguzi.

  83. تِلۡكَ ٱلدَّارُ ٱلۡأٓخِرَةُ نَجۡعَلُهَا لِلَّذِينَ لَا يُرِيدُونَ عُلُوّٗا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَا فَسَادٗاۚ وَٱلۡعَٰقِبَةُ لِلۡمُتَّقِينَ

    Open ayah 28:83

    Eyo e nyumba ey'enkomerero (e jjana) tugiteerawo abo abatayagala kwesukkulumya mu nsi wadde okwonoona, era enkomerero ennungi y'abatya Katonda.

  84. مَن جَآءَ بِٱلۡحَسَنَةِ فَلَهُۥ خَيۡرٞ مِّنۡهَاۖ وَمَن جَآءَ بِٱلسَّيِّئَةِ فَلَا يُجۡزَى ٱلَّذِينَ عَمِلُواْ ٱلسَّيِّـَٔاتِ إِلَّا مَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ

    Open ayah 28:84

    Oyo yenna akola ekirungi alisasulwa e kirungi e kikisinga, wabula oyo akola ekibi, abo abakola ebibi tebagenda kusasulwa okugyako ebyo bye baakola.

  85. إِنَّ ٱلَّذِي فَرَضَ عَلَيۡكَ ٱلۡقُرۡءَانَ لَرَآدُّكَ إِلَىٰ مَعَادٖۚ قُل رَّبِّيٓ أَعۡلَمُ مَن جَآءَ بِٱلۡهُدَىٰ وَمَنۡ هُوَ فِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٖ

    Open ayah 28:85

    Mazima oyo eyakukasaako Kur’ani agenda kukuddiza ddala eri obuddo obulagaanye, gamba nti Mukama omulabirizi wange y'asinga okumanya oyo aleese obulungamu, era n'oyo ali mu bubuze obw'olwatu.

  86. وَمَا كُنتَ تَرۡجُوٓاْ أَن يُلۡقَىٰٓ إِلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبُ إِلَّا رَحۡمَةٗ مِّن رَّبِّكَۖ فَلَا تَكُونَنَّ ظَهِيرٗا لِّلۡكَٰفِرِينَ

    Open ayah 28:86

    Era wali tosuubira ekitabo okuba nga kikuweebwa, (ekyo tekyali) okugyako okusaasira okuva ewa Mukama omulabiriziwo n'olwekyo tobeeranga omuyambi wa bakaafiiri.

  87. وَلَا يَصُدُّنَّكَ عَنۡ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ بَعۡدَ إِذۡ أُنزِلَتۡ إِلَيۡكَۖ وَٱدۡعُ إِلَىٰ رَبِّكَۖ وَلَا تَكُونَنَّ مِنَ ٱلۡمُشۡرِكِينَ

    Open ayah 28:87

    Era tewabangawo akuggya ku bigambo bya Katonda oluvanyuma lw'okuba nti byassibwa gyoli, era koowoola (abantu) okujja ewa Mukama omulabiriziwo era tobeeranga mu bagatta ebintu ebirala ku Katonda.

  88. وَلَا تَدۡعُ مَعَ ٱللَّهِ إِلَٰهًا ءَاخَرَۘ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۚ كُلُّ شَيۡءٍ هَالِكٌ إِلَّا وَجۡهَهُۥۚ لَهُ ٱلۡحُكۡمُ وَإِلَيۡهِ تُرۡجَعُونَ

    Open ayah 28:88

    Era tosabanga awamu ne Katonda ekisinzibwa ekirala kyonna, tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako yye, buli kintu kyakuggwawo okugyako yye, okusalawo kwonna kukwe era gyali gye mulizzibwa.