الأنفال
Al-Anfaal
Translation: Luganda - African Institution · Open the surah
بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ
يَسۡـَٔلُونَكَ عَنِ ٱلۡأَنفَالِۖ قُلِ ٱلۡأَنفَالُ لِلَّهِ وَٱلرَّسُولِۖ فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَصۡلِحُواْ ذَاتَ بَيۡنِكُمۡۖ وَأَطِيعُواْ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥٓ إِن كُنتُم مُّؤۡمِنِينَ
Open ayah 8:1Bakubuuza (ggwe Nabbi Muhammad) ebikwata ku minyago, gamba nti e minyago gy’a Katonda n’omubaka, kale nno mutye Katonda, era mulongoose e nkolagana wakati wa mmwe, era mugondere Katonda n’omubakawe bwe muba nga muli bakkiriza.
إِنَّمَا ٱلۡمُؤۡمِنُونَ ٱلَّذِينَ إِذَا ذُكِرَ ٱللَّهُ وَجِلَتۡ قُلُوبُهُمۡ وَإِذَا تُلِيَتۡ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتُهُۥ زَادَتۡهُمۡ إِيمَٰنٗا وَعَلَىٰ رَبِّهِمۡ يَتَوَكَّلُونَ
Open ayah 8:2Mazima ddala abakkiriza, be bo buli Katonda lwayogerwako, e mitima gy'abwe gitya, era bwe basomerwa e bigambobye, kibongera obukkiriza, era nga Mukama omulabirizi waabwe yekka gwe beekwasa.
ٱلَّذِينَ يُقِيمُونَ ٱلصَّلَوٰةَ وَمِمَّا رَزَقۡنَٰهُمۡ يُنفِقُونَ
Open ayah 8:3Abo abayimirizaawo e sswala, era nga ne ku bye tubawa bagabako.
أُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ حَقّٗاۚ لَّهُمۡ دَرَجَٰتٌ عِندَ رَبِّهِمۡ وَمَغۡفِرَةٞ وَرِزۡقٞ كَرِيمٞ
Open ayah 8:4Abo b’e bakkiriza abannamaddala, balina e bifo ebya waggulu ewa Mukama omulabirizi waabwe n’ekisonyiwo n’okugabirirwa okuyitirivu.
كَمَآ أَخۡرَجَكَ رَبُّكَ مِنۢ بَيۡتِكَ بِٱلۡحَقِّ وَإِنَّ فَرِيقٗا مِّنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ لَكَٰرِهُونَ
Open ayah 8:5(Kino kifaanana) nga Mukama omulabiriziwo bwe yakulagira, era nga kye kituufu ofulume (ogende ku lutalo lwe badri), so nga ettengetenge mu bakkirizza baali tebakyagadde.
يُجَٰدِلُونَكَ فِي ٱلۡحَقِّ بَعۡدَمَا تَبَيَّنَ كَأَنَّمَا يُسَاقُونَ إِلَى ٱلۡمَوۡتِ وَهُمۡ يَنظُرُونَ
Open ayah 8:6Bakuwakanya ku kintu e kituufu (kyoliko), oluvanyuma lw'okuba nti kimaze okweyoleka, nebaba nga abawalulwa, nga batwalibwa eri okufa, nga batunula.
وَإِذۡ يَعِدُكُمُ ٱللَّهُ إِحۡدَى ٱلطَّآئِفَتَيۡنِ أَنَّهَا لَكُمۡ وَتَوَدُّونَ أَنَّ غَيۡرَ ذَاتِ ٱلشَّوۡكَةِ تَكُونُ لَكُمۡ وَيُرِيدُ ٱللَّهُ أَن يُحِقَّ ٱلۡحَقَّ بِكَلِمَٰتِهِۦ وَيَقۡطَعَ دَابِرَ ٱلۡكَٰفِرِينَ
Open ayah 8:7Mujjukire Katonda bwe yabalagaanyisa okufuna e kimu ku bibiri, nti mazima kyo mujja ku kifuna, wabula mmwe mwali mwagala ekitaliimu buzibu kye muba mufuna, naye nga Katonda ayagala amazima gayimirirewo okusinziira ku biragirobye, era akutulire ddala e mirandira gya bakaafiiri.
لِيُحِقَّ ٱلۡحَقَّ وَيُبۡطِلَ ٱلۡبَٰطِلَ وَلَوۡ كَرِهَ ٱلۡمُجۡرِمُونَ
Open ayah 8:8Olwo nno abe nga ayimirizaawo amazima, asaanyeewo obwonoonefu, newaakubadde nga aboonoonyi tebaakyagala.
إِذۡ تَسۡتَغِيثُونَ رَبَّكُمۡ فَٱسۡتَجَابَ لَكُمۡ أَنِّي مُمِدُّكُم بِأَلۡفٖ مِّنَ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةِ مُرۡدِفِينَ
Open ayah 8:9Mujjukire bwe mwasaba Mukama omulabirizi wa mmwe obuyambi, n’abaanukula nti mazima nze, nja ku badduukirira ne ba Malayika lukumi nga bagoberagana.
وَمَا جَعَلَهُ ٱللَّهُ إِلَّا بُشۡرَىٰ وَلِتَطۡمَئِنَّ بِهِۦ قُلُوبُكُمۡۚ وَمَا ٱلنَّصۡرُ إِلَّا مِنۡ عِندِ ٱللَّهِۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَزِيزٌ حَكِيمٌ
Open ayah 8:10Kino tewali Katonda kyeyakireetera okugyako nti kibe amawulire ag’essanyu, era e mitima gya mmwe gyeyongere okunywera ku lw'ekyo, naye nga kwo okutaasa tekulina we kuli okugyako ewa Katonda, bulijjo mazima Katonda ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga.
إِذۡ يُغَشِّيكُمُ ٱلنُّعَاسَ أَمَنَةٗ مِّنۡهُ وَيُنَزِّلُ عَلَيۡكُم مِّنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ لِّيُطَهِّرَكُم بِهِۦ وَيُذۡهِبَ عَنكُمۡ رِجۡزَ ٱلشَّيۡطَٰنِ وَلِيَرۡبِطَ عَلَىٰ قُلُوبِكُمۡ وَيُثَبِّتَ بِهِ ٱلۡأَقۡدَامَ
Open ayah 8:11Mujjukire (Mukama Katonda) bwe yabatuusaako okusumagira, nga kukkakkanya okuva gyali, n’abassiza amazzi okuva waggulu (e nkuba) abe nga abatukuza nago, era abaggyirewo e mitego gya Sitane, era agumye e mitima gyammwe, era anyweze nayo e bigere bya mmwe.
إِذۡ يُوحِي رَبُّكَ إِلَى ٱلۡمَلَٰٓئِكَةِ أَنِّي مَعَكُمۡ فَثَبِّتُواْ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْۚ سَأُلۡقِي فِي قُلُوبِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ ٱلرُّعۡبَ فَٱضۡرِبُواْ فَوۡقَ ٱلۡأَعۡنَاقِ وَٱضۡرِبُواْ مِنۡهُمۡ كُلَّ بَنَانٖ
Open ayah 8:12Jjukira Mukama omulabiriziwo, bwe yatumira ba Malayika nti, mazima nze ndi wamu na mmwe, mugumye abo abakkiriza, njakussa okutya mu mitima gyabo abaakaafuwala, kale muteme waggulu w’ensingo, era mubatemeko n’engalo.
ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ شَآقُّواْ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥۚ وَمَن يُشَاقِقِ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ فَإِنَّ ٱللَّهَ شَدِيدُ ٱلۡعِقَابِ
Open ayah 8:13Ekyo nno lwa kuba nti mazima bo beesimba mu Katonda n’o mubakawe, anti omuntu eyeesimba mu Katonda n’omubakawe, mazima Katonda muyitirivu wa kubonereza.
ذَٰلِكُمۡ فَذُوقُوهُ وَأَنَّ لِلۡكَٰفِرِينَ عَذَابَ ٱلنَّارِ
Open ayah 8:14Ebyo nno ebibatuuseeko (bye bibasaanira), kale mukombe ku bukaawu bwabyo (nga muttibwa mu ntalo kuno ku nsi), era nga ddala abakaafiiri bagenda kussibwako e bibonerezo by’o mu muliro.
يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِذَا لَقِيتُمُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ زَحۡفٗا فَلَا تُوَلُّوهُمُ ٱلۡأَدۡبَارَ
Open ayah 8:15Abange mmwe abakkiriza, bwe mugasimbagananga n'abo abaakaafuwala, ababa bazze okubalwanyisa, temubaddukanga.
وَمَن يُوَلِّهِمۡ يَوۡمَئِذٖ دُبُرَهُۥٓ إِلَّا مُتَحَرِّفٗا لِّقِتَالٍ أَوۡ مُتَحَيِّزًا إِلَىٰ فِئَةٖ فَقَدۡ بَآءَ بِغَضَبٖ مِّنَ ٱللَّهِ وَمَأۡوَىٰهُ جَهَنَّمُۖ وَبِئۡسَ ٱلۡمَصِيرُ
Open ayah 8:16Oyo yenna abalaga e mabegawe (nadduka), ku lunaku olwo, mpozzi ng’ali ku kakodyo ka lutalo, oba nga adda eri kibinja kya balwanyi banne, mazima aba akakaseeko obusungu bw’a Katonda, nga n’obuddobwe muliro Jahannama, ate nga buddo bubi.
فَلَمۡ تَقۡتُلُوهُمۡ وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ قَتَلَهُمۡۚ وَمَا رَمَيۡتَ إِذۡ رَمَيۡتَ وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ رَمَىٰ وَلِيُبۡلِيَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ مِنۡهُ بَلَآءً حَسَنًاۚ إِنَّ ٱللَّهَ سَمِيعٌ عَلِيمٞ
Open ayah 8:17Simmwe mwabatta, naye mazima Katonda y’e yabatta, era bwe wakanyuga, si ggwe wakanyuga, naye mazima Katonda y’eyakanyuga, era abeere nga agezesa abakkiriza olugezesa olulungi n’ekikolwa ekyo, mazima Katonda awulira nnyo, mumanyi.
ذَٰلِكُمۡ وَأَنَّ ٱللَّهَ مُوهِنُ كَيۡدِ ٱلۡكَٰفِرِينَ
Open ayah 8:18E byo byebyo (mubimanye), era mumanyire ddala nti, mazima Katonda anafuya enkwe z’a bakaafiiri.
إِن تَسۡتَفۡتِحُواْ فَقَدۡ جَآءَكُمُ ٱلۡفَتۡحُۖ وَإِن تَنتَهُواْ فَهُوَ خَيۡرٞ لَّكُمۡۖ وَإِن تَعُودُواْ نَعُدۡ وَلَن تُغۡنِيَ عَنكُمۡ فِئَتُكُمۡ شَيۡـٔٗا وَلَوۡ كَثُرَتۡ وَأَنَّ ٱللَّهَ مَعَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ
Open ayah 8:19(Mwe abakaafiiri) bwe muba nga musaba Katonda kusalawo, okusalawo kuzze, era bwe muneekomako, ekyo kye kirungi gye muli, naye bwe munaddamu, nga naffe tuddamu, ate ekibinja kya mmwe tekigenda kubagasa kintu kyonna, ne bwe kiba kinene kitya, anti mazima Katonda ali wamu n’abakkiriza.
يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ أَطِيعُواْ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ وَلَا تَوَلَّوۡاْ عَنۡهُ وَأَنتُمۡ تَسۡمَعُونَ
Open ayah 8:20Abange mmwe abakkiriza, mugondere Katonda n’omubakawe, temumuvangako, ate nga muwulira (bya bagamba).
وَلَا تَكُونُواْ كَٱلَّذِينَ قَالُواْ سَمِعۡنَا وَهُمۡ لَا يَسۡمَعُونَ
Open ayah 8:21Temubeera nga abo ab’agamba nti tuwulidde so nga tebawulira.
۞إِنَّ شَرَّ ٱلدَّوَآبِّ عِندَ ٱللَّهِ ٱلصُّمُّ ٱلۡبُكۡمُ ٱلَّذِينَ لَا يَعۡقِلُونَ
Open ayah 8:22Mazima e kiramu e kisinga obubi ewa Katonda, be ba kiggala, ba kasiru abo abatategeera.
وَلَوۡ عَلِمَ ٱللَّهُ فِيهِمۡ خَيۡرٗا لَّأَسۡمَعَهُمۡۖ وَلَوۡ أَسۡمَعَهُمۡ لَتَوَلَّواْ وَّهُم مُّعۡرِضُونَ
Open ayah 8:23Singa Katonda yabamanyaamu akalungi konna, yaalibawulizza, ate ne bwe yaalibawulizza, baaliwuguse nebava ku mazima.
يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱسۡتَجِيبُواْ لِلَّهِ وَلِلرَّسُولِ إِذَا دَعَاكُمۡ لِمَا يُحۡيِيكُمۡۖ وَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ يَحُولُ بَيۡنَ ٱلۡمَرۡءِ وَقَلۡبِهِۦ وَأَنَّهُۥٓ إِلَيۡهِ تُحۡشَرُونَ
Open ayah 8:24Abange mmwe abakkiriza, mwanukule Katonda n’omubaka bwabayita okujja eri ekyo ekibawa obulamu, era mumanye nti, mazima Katonda, assa ekyawula wakati w’omuntu n’omutimagwe, so ng’ate bulijjo, mazima gyali gye mugenda okukunganyizibwa.
وَٱتَّقُواْ فِتۡنَةٗ لَّا تُصِيبَنَّ ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ مِنكُمۡ خَآصَّةٗۖ وَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ شَدِيدُ ٱلۡعِقَابِ
Open ayah 8:25Mutye e kikemo e kitagenda kukwata ku abo abeeyisa obubi mu mmwe bokka, era mumanye nti mazima Katonda muyitirivu wa kubonereza.
وَٱذۡكُرُوٓاْ إِذۡ أَنتُمۡ قَلِيلٞ مُّسۡتَضۡعَفُونَ فِي ٱلۡأَرۡضِ تَخَافُونَ أَن يَتَخَطَّفَكُمُ ٱلنَّاسُ فَـَٔاوَىٰكُمۡ وَأَيَّدَكُم بِنَصۡرِهِۦ وَرَزَقَكُم مِّنَ ٱلطَّيِّبَٰتِ لَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ
Open ayah 8:26Mujjukire we mwali abatono, nga muyisibwa bubi mu nsi, nga mutya abantu okubagajambula, n'abawa obubudamu, n’abawagira n’okutaasakwe, n’abagabirira mu birungi, olwo nno mube nga mwebaza.
يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَخُونُواْ ٱللَّهَ وَٱلرَّسُولَ وَتَخُونُوٓاْ أَمَٰنَٰتِكُمۡ وَأَنتُمۡ تَعۡلَمُونَ
Open ayah 8:27Abange mmwe abakkiriza, temukumpanyanga Katonda n’omubaka, nemukumpanya obuvunaanyizibwa bwa mmwe, ng’ate ddala mumanyi.
وَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّمَآ أَمۡوَٰلُكُمۡ وَأَوۡلَٰدُكُمۡ فِتۡنَةٞ وَأَنَّ ٱللَّهَ عِندَهُۥٓ أَجۡرٌ عَظِيمٞ
Open ayah 8:28Era mumanye nti mazima e mmaali ya mmwe, n’abaana ba mmwe kikemo, era nga bulijjo mazima ddala Katonda, alina empeera ensukkulumu.
يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِن تَتَّقُواْ ٱللَّهَ يَجۡعَل لَّكُمۡ فُرۡقَانٗا وَيُكَفِّرۡ عَنكُمۡ سَيِّـَٔاتِكُمۡ وَيَغۡفِرۡ لَكُمۡۗ وَٱللَّهُ ذُو ٱلۡفَضۡلِ ٱلۡعَظِيمِ
Open ayah 8:29Abange mmwe abakkiriza, singa mutya Katonda, ajja kubasobozesa okwawula (wakati w’ekirungi n’ekibi) era abasanguleko e byonoono bya mmwe, era abasonyiwe, era nga bulijjo Katonda ye nannyini bigabwa e bisuffu.
وَإِذۡ يَمۡكُرُ بِكَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لِيُثۡبِتُوكَ أَوۡ يَقۡتُلُوكَ أَوۡ يُخۡرِجُوكَۚ وَيَمۡكُرُونَ وَيَمۡكُرُ ٱللَّهُۖ وَٱللَّهُ خَيۡرُ ٱلۡمَٰكِرِينَ
Open ayah 8:30Era jjukira abo abaakaafuwala bwe baakukolera olukwe, bakusibe oba bakutte, oba bakugobe, nebasala olukwe, ne Katonda naayanukula olukwe olwo (n'abataasa), Katonda ali waggulu nnyo w’abasala enkwe.
وَإِذَا تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتُنَا قَالُواْ قَدۡ سَمِعۡنَا لَوۡ نَشَآءُ لَقُلۡنَا مِثۡلَ هَٰذَآ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّآ أَسَٰطِيرُ ٱلۡأَوَّلِينَ
Open ayah 8:31Bwe basomerwa e bigambo byaffe bagamba, nti mazima ffe ebyo twabiwulira dda, era singa tuba twagadde naffe tusobola okwogera nga ebyo (byoyogera), ebyo tebirina kye biri okugyako okuba enfumo z’a bedda.
وَإِذۡ قَالُواْ ٱللَّهُمَّ إِن كَانَ هَٰذَا هُوَ ٱلۡحَقَّ مِنۡ عِندِكَ فَأَمۡطِرۡ عَلَيۡنَا حِجَارَةٗ مِّنَ ٱلسَّمَآءِ أَوِ ٱئۡتِنَا بِعَذَابٍ أَلِيمٖ
Open ayah 8:32Era jjukira (ggwe Nabbi Muhammad abatakkiriza) bwe baagamba nti, ayi Mukama Katonda, gano (ebigambo by’a Muhammad )bwe biba nga g’emazima agavudde gyoli, tubonereze nenkuba nga y’amayinja okuva waggulu, oba tuleetere ebibonerezo e biruma ennyo.
وَمَا كَانَ ٱللَّهُ لِيُعَذِّبَهُمۡ وَأَنتَ فِيهِمۡۚ وَمَا كَانَ ٱللَّهُ مُعَذِّبَهُمۡ وَهُمۡ يَسۡتَغۡفِرُونَ
Open ayah 8:33Naye Katonda teyali w’akubabonereza, nga naawe okyali nabo, era Katonda teyali w’akubabonereza nga beegayirira.
وَمَا لَهُمۡ أَلَّا يُعَذِّبَهُمُ ٱللَّهُ وَهُمۡ يَصُدُّونَ عَنِ ٱلۡمَسۡجِدِ ٱلۡحَرَامِ وَمَا كَانُوٓاْ أَوۡلِيَآءَهُۥٓۚ إِنۡ أَوۡلِيَآؤُهُۥٓ إِلَّا ٱلۡمُتَّقُونَ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ
Open ayah 8:34Kale nga lwaki Katonda teyaalibabonerezza! ng’ate baziyiza (abantu) abakkiriza okutuuka eri omuzikiti ogw’emizizo, so nga tebabangako bakuumi baagwo, abakuumi baagwo, si balala okugyako abatya Katonda, wabula ddala abasinga obungi mu bo tebamanyi.
وَمَا كَانَ صَلَاتُهُمۡ عِندَ ٱلۡبَيۡتِ إِلَّا مُكَآءٗ وَتَصۡدِيَةٗۚ فَذُوقُواْ ٱلۡعَذَابَ بِمَا كُنتُمۡ تَكۡفُرُونَ
Open ayah 8:35Okusaba kwe basabira ku Kaaba temuli, anti kubeera kufuuwa mpa na kukuba mu ngalo, kale nno mukombe ku bukaawu bwe bibonerezo, olw'ebyo bye mwawakanyanga.
إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ يُنفِقُونَ أَمۡوَٰلَهُمۡ لِيَصُدُّواْ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِۚ فَسَيُنفِقُونَهَا ثُمَّ تَكُونُ عَلَيۡهِمۡ حَسۡرَةٗ ثُمَّ يُغۡلَبُونَۗ وَٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ إِلَىٰ جَهَنَّمَ يُحۡشَرُونَ
Open ayah 8:36Mazima abo abaakaafuwala, bawaayo e mmaali yaabwe, baggye abantu ku kkubo lya Katonda, kale bajja kugiwaayo, oluvanyuma ebafuukire e ky'okwejjusa, era bawangulwe, ng’ate abo abaakaafuwala, bagenda kukunganyizibwa batwalibwe mu muliro Jahannama.
لِيَمِيزَ ٱللَّهُ ٱلۡخَبِيثَ مِنَ ٱلطَّيِّبِ وَيَجۡعَلَ ٱلۡخَبِيثَ بَعۡضَهُۥ عَلَىٰ بَعۡضٖ فَيَرۡكُمَهُۥ جَمِيعٗا فَيَجۡعَلَهُۥ فِي جَهَنَّمَۚ أُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡخَٰسِرُونَ
Open ayah 8:37Olwo nno Katonda abe nga ayawula omubi ku mulungi, ababi abakasuke ku bannaabwe bonna babeere entuumu. Entuumu eyo agisse mu muliro Jahannama. Abo nno be baafaafaganirwa.
قُل لِّلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ إِن يَنتَهُواْ يُغۡفَرۡ لَهُم مَّا قَدۡ سَلَفَ وَإِن يَعُودُواْ فَقَدۡ مَضَتۡ سُنَّتُ ٱلۡأَوَّلِينَ
Open ayah 8:38Gamba abo abaakaafuwala, nti bwe baneekomako, baggya kusonyiyibwa e byakulembera, naye bwe banaddamu, ekyatuuka ku baasooka kimanyiddwa.
وَقَٰتِلُوهُمۡ حَتَّىٰ لَا تَكُونَ فِتۡنَةٞ وَيَكُونَ ٱلدِّينُ كُلُّهُۥ لِلَّهِۚ فَإِنِ ٱنتَهَوۡاْ فَإِنَّ ٱللَّهَ بِمَا يَعۡمَلُونَ بَصِيرٞ
Open ayah 8:39Era mubalwanyise waleme kubeerawo bukaafiiri, e ddiini yonna ebeere y’a Katonda. Bwe baba beekomyeko, mazima ddala Katonda alaba bye bakola.
وَإِن تَوَلَّوۡاْ فَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ مَوۡلَىٰكُمۡۚ نِعۡمَ ٱلۡمَوۡلَىٰ وَنِعۡمَ ٱلنَّصِيرُ
Open ayah 8:40Naye bwe batakola ekyo, mumanye nti mazima Katonda ye mukuumi wa mmwe, (era nga yye) ye mukuumi asinga era omutaasa asinga.
۞وَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّمَا غَنِمۡتُم مِّن شَيۡءٖ فَأَنَّ لِلَّهِ خُمُسَهُۥ وَلِلرَّسُولِ وَلِذِي ٱلۡقُرۡبَىٰ وَٱلۡيَتَٰمَىٰ وَٱلۡمَسَٰكِينِ وَٱبۡنِ ٱلسَّبِيلِ إِن كُنتُمۡ ءَامَنتُم بِٱللَّهِ وَمَآ أَنزَلۡنَا عَلَىٰ عَبۡدِنَا يَوۡمَ ٱلۡفُرۡقَانِ يَوۡمَ ٱلۡتَقَى ٱلۡجَمۡعَانِۗ وَٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٌ
Open ayah 8:41Era mumanye nti omunyago gwonna gwemuba muggye ku mulabe, mazima kimu kyakutaano kyagwo kya Katonda, n’omubaka, nab’oluganda olw'okumpi olwa Nabbi, ne ba mulekwa, n’a banaku, n’omutambuze, bwe muba nga mwakkiriza Katonda n'ebyo bye twassa ku muddu waffe (Muhammad) ku lunaku Katonda lwe yayawula amazima ku bulimba, olunaku e bibinja e bibiri lwe byasisinkana (ku lutalo e Badri), bulijjo Katonda w’a buyinza ku buli kintu.
إِذۡ أَنتُم بِٱلۡعُدۡوَةِ ٱلدُّنۡيَا وَهُم بِٱلۡعُدۡوَةِ ٱلۡقُصۡوَىٰ وَٱلرَّكۡبُ أَسۡفَلَ مِنكُمۡۚ وَلَوۡ تَوَاعَدتُّمۡ لَٱخۡتَلَفۡتُمۡ فِي ٱلۡمِيعَٰدِ وَلَٰكِن لِّيَقۡضِيَ ٱللَّهُ أَمۡرٗا كَانَ مَفۡعُولٗا لِّيَهۡلِكَ مَنۡ هَلَكَ عَنۢ بَيِّنَةٖ وَيَحۡيَىٰ مَنۡ حَيَّ عَنۢ بَيِّنَةٖۗ وَإِنَّ ٱللَّهَ لَسَمِيعٌ عَلِيمٌ
Open ayah 8:42Mujjukire e kiwonvu bwe mwakiri ku ludda oluli okumpi (n'ekibuga Madinah, nga ate abalabe ba mmwe bali mitala, ate nga n’a baali mu kibinja kya basuubuzi nga bali mu kifo ekiri wansi wa mmwe, singa mwali mulagaanye okusisinkana mwandiyawukanye ku ndagaano eyo, naye (mwasisinkana), Katonda alyoke atuukirize ekyo kye yasalawo okukolebwa, olwo nno oyo anaazikirira, azikirire nga azikirira lwa nsonga, n’asigadde nga mulamu asigale lwa nsonga, bulijjo mazima Katonda muyitirivu wa kuwulira, era mumanyi nnyo.
إِذۡ يُرِيكَهُمُ ٱللَّهُ فِي مَنَامِكَ قَلِيلٗاۖ وَلَوۡ أَرَىٰكَهُمۡ كَثِيرٗا لَّفَشِلۡتُمۡ وَلَتَنَٰزَعۡتُمۡ فِي ٱلۡأَمۡرِ وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ سَلَّمَۚ إِنَّهُۥ عَلِيمُۢ بِذَاتِ ٱلصُّدُورِ
Open ayah 8:43Jjukira Katonda bwe yabakulaga (abalabebo) mu kirootokyo, nga batono, so nga singa yabakulaga nga bangi mwalinafuye ne mukubagana empawa mu kusalawo, naye mazima Katonda yabataasa, anti Katonda muyitirivu w'a kumanya ebiri mu bifuba bya mmwe.
وَإِذۡ يُرِيكُمُوهُمۡ إِذِ ٱلۡتَقَيۡتُمۡ فِيٓ أَعۡيُنِكُمۡ قَلِيلٗا وَيُقَلِّلُكُمۡ فِيٓ أَعۡيُنِهِمۡ لِيَقۡضِيَ ٱللَّهُ أَمۡرٗا كَانَ مَفۡعُولٗاۗ وَإِلَى ٱللَّهِ تُرۡجَعُ ٱلۡأُمُورُ
Open ayah 8:44Era jjukira Katonda bwe yababalaga nga batono mu maaso ga mmwe, bwe mwasisinkana, mmwe naabafuula batono mu maaso gaabwe, Katonda alyoke atuukirize ekyo kye yasalawo okukolebwa, era bulijjo e nsonga zonna ewa Katonda gye zizzibwa.
يَٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِذَا لَقِيتُمۡ فِئَةٗ فَٱثۡبُتُواْ وَٱذۡكُرُواْ ٱللَّهَ كَثِيرٗا لَّعَلَّكُمۡ تُفۡلِحُونَ
Open ayah 8:45Abange mmwe abakkiriza bwe musisinkananga e kibinja kya balabe munywere, mwogere nnyo ku Katonda, mulyoke muwangule.
وَأَطِيعُواْ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ وَلَا تَنَٰزَعُواْ فَتَفۡشَلُواْ وَتَذۡهَبَ رِيحُكُمۡۖ وَٱصۡبِرُوٓاْۚ إِنَّ ٱللَّهَ مَعَ ٱلصَّٰبِرِينَ
Open ayah 8:46Era mugondere Katonda n’omubakawe, temukubagananga e mpawa ne kibanafuya, nemuggwamu amaanyi, era mugumiikirize, anti Katonda ali wamu n'abagumiikiriza.
وَلَا تَكُونُواْ كَٱلَّذِينَ خَرَجُواْ مِن دِيَٰرِهِم بَطَرٗا وَرِئَآءَ ٱلنَّاسِ وَيَصُدُّونَ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِۚ وَٱللَّهُ بِمَا يَعۡمَلُونَ مُحِيطٞ
Open ayah 8:47Temubeera nga (abakaafiiri) abaafuluma mu mayumba gaabwe nga beekuluntaza n’okweraga eri abantu, era nga baziyiza abantu okuyingira mu ddiini y’a Katonda, nga bulijjo Katonda yeetoolodde ebyo byonna bye bakola.
وَإِذۡ زَيَّنَ لَهُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ أَعۡمَٰلَهُمۡ وَقَالَ لَا غَالِبَ لَكُمُ ٱلۡيَوۡمَ مِنَ ٱلنَّاسِ وَإِنِّي جَارٞ لَّكُمۡۖ فَلَمَّا تَرَآءَتِ ٱلۡفِئَتَانِ نَكَصَ عَلَىٰ عَقِبَيۡهِ وَقَالَ إِنِّي بَرِيٓءٞ مِّنكُمۡ إِنِّيٓ أَرَىٰ مَا لَا تَرَوۡنَ إِنِّيٓ أَخَافُ ٱللَّهَۚ وَٱللَّهُ شَدِيدُ ٱلۡعِقَابِ
Open ayah 8:48Jjukira Sitane bwe yabalaga bye baali bakola nti birungi, (Sitane) n'abagamba nti tewali muntu yenna waakubawangula olwa leero, era nti mazima nze nja kubataasa, naye ate e bibinja by’ombiriri bwe byasisinkana, Sitane neyeefuula, era naagamba nti, mazima nze siri nammwe, anti mazima nze ndaba bye mutalaba, era mazima nze ntya Katonda, nga bulijjo Katonda muyitirivu wa kubonereza.
إِذۡ يَقُولُ ٱلۡمُنَٰفِقُونَ وَٱلَّذِينَ فِي قُلُوبِهِم مَّرَضٌ غَرَّ هَٰٓؤُلَآءِ دِينُهُمۡۗ وَمَن يَتَوَكَّلۡ عَلَى ٱللَّهِ فَإِنَّ ٱللَّهَ عَزِيزٌ حَكِيمٞ
Open ayah 8:49Jjukira abannanfusi n’abalina obulwadde mu mitima gyabwe bwe baagamba nti, e ddiini yaabo abakkiriza ebabuzizza, sso nga buli eyeekwasa Katonda (y’aba akoze e kituufu), anti mazima Katonda ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga.
وَلَوۡ تَرَىٰٓ إِذۡ يَتَوَفَّى ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةُ يَضۡرِبُونَ وُجُوهَهُمۡ وَأَدۡبَٰرَهُمۡ وَذُوقُواْ عَذَابَ ٱلۡحَرِيقِ
Open ayah 8:50Singa olaba (ggwe Nabbi Muhammad) engeri malayika gye ziggyamu e myooyo gy’abakaafiiri, nga babakuba mu maaso gaabwe, ne ku migongo gyabwe, nga bwe babagamba nti, mukombe ku bukaawu bwe binorezo ebyokya.
ذَٰلِكَ بِمَا قَدَّمَتۡ أَيۡدِيكُمۡ وَأَنَّ ٱللَّهَ لَيۡسَ بِظَلَّٰمٖ لِّلۡعَبِيدِ
Open ayah 8:51Ekyo ekibatuuseeko, kiva ku ebyo bye mwakola (mu bulamu bwensi) era nti mazima Katonda tayisa bubi baddube.
كَدَأۡبِ ءَالِ فِرۡعَوۡنَ وَٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡۚ كَفَرُواْ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ فَأَخَذَهُمُ ٱللَّهُ بِذُنُوبِهِمۡۚ إِنَّ ٱللَّهَ قَوِيّٞ شَدِيدُ ٱلۡعِقَابِ
Open ayah 8:52(Ebyo ebituuse ku bakaafiiri) bifaanana n’ebyatuuka ku bantu ba Firawo, n'abo abaabakulembera, baawakanya ebigambo bya Katonda, Katonda naababonereza olw'e byonoono bya bwe, mazima ddala Katonda wa maanyi era muyitirivu wa kubonereza.
ذَٰلِكَ بِأَنَّ ٱللَّهَ لَمۡ يَكُ مُغَيِّرٗا نِّعۡمَةً أَنۡعَمَهَا عَلَىٰ قَوۡمٍ حَتَّىٰ يُغَيِّرُواْ مَا بِأَنفُسِهِمۡ وَأَنَّ ٱللَّهَ سَمِيعٌ عَلِيمٞ
Open ayah 8:53Ebyo ebituuse ku bakaafiiri (bibasaanira), anti mazima Katonda takyusa kyengera kyaba awadde bantu, okutuusa nga bo bennyini bakyusizza embeera zaabwe, era nga bulijjo mazima Katonda muyitirivu wa kuwulira, mumanyi nnyo.
كَدَأۡبِ ءَالِ فِرۡعَوۡنَ وَٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡۚ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِ رَبِّهِمۡ فَأَهۡلَكۡنَٰهُم بِذُنُوبِهِمۡ وَأَغۡرَقۡنَآ ءَالَ فِرۡعَوۡنَۚ وَكُلّٞ كَانُواْ ظَٰلِمِينَ
Open ayah 8:54Bafaanana nga abantu ba Firawo, n'abo abaaliwo oluberyeberye lwa bwe, baalimbisa e bigambo bya Mukama omulabirizi waabwe, netubazikiriza olw'ebibi bya bwe, netusaanyaawo abantu ba Firawo, era bonna baali beeyisizza bubi.
إِنَّ شَرَّ ٱلدَّوَآبِّ عِندَ ٱللَّهِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ فَهُمۡ لَا يُؤۡمِنُونَ
Open ayah 8:55Mazima ekiramu ekisinga obubi mu maaso g’a Katonda, beebo abaakaafuwala nekiba nti tebagenda kukkiriza.
ٱلَّذِينَ عَٰهَدتَّ مِنۡهُمۡ ثُمَّ يَنقُضُونَ عَهۡدَهُمۡ فِي كُلِّ مَرَّةٖ وَهُمۡ لَا يَتَّقُونَ
Open ayah 8:56Abo bewakozesa endagaano, ate nebamenya endagaano yaabwe buli mulundi, era tebayinza kutya Katonda.
فَإِمَّا تَثۡقَفَنَّهُمۡ فِي ٱلۡحَرۡبِ فَشَرِّدۡ بِهِم مَّنۡ خَلۡفَهُمۡ لَعَلَّهُمۡ يَذَّكَّرُونَ
Open ayah 8:57Buli lwo bagwikirizanga mu lutalo, babonereze mu bukambwe, kibe ekyokutiisa, eri abo abalibaddirira, babe nga beebuulirira.
وَإِمَّا تَخَافَنَّ مِن قَوۡمٍ خِيَانَةٗ فَٱنۢبِذۡ إِلَيۡهِمۡ عَلَىٰ سَوَآءٍۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُحِبُّ ٱلۡخَآئِنِينَ
Open ayah 8:58Bwe weekengeranga obukumpanya mu bantu, baddize e ndagaano yaabwe mu lwatu, anti mazima ddala Katonda tayagala bakumpanya.
وَلَا يَحۡسَبَنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ سَبَقُوٓاْۚ إِنَّهُمۡ لَا يُعۡجِزُونَ
Open ayah 8:59Abo abaakaafuwala tebeeyibaalanga ne balowooza nti basimattuse ku Katonda, anti mazima bbo tebayinza kulemesa (Katonda).
وَأَعِدُّواْ لَهُم مَّا ٱسۡتَطَعۡتُم مِّن قُوَّةٖ وَمِن رِّبَاطِ ٱلۡخَيۡلِ تُرۡهِبُونَ بِهِۦ عَدُوَّ ٱللَّهِ وَعَدُوَّكُمۡ وَءَاخَرِينَ مِن دُونِهِمۡ لَا تَعۡلَمُونَهُمُ ٱللَّهُ يَعۡلَمُهُمۡۚ وَمَا تُنفِقُواْ مِن شَيۡءٖ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ يُوَفَّ إِلَيۡكُمۡ وَأَنتُمۡ لَا تُظۡلَمُونَ
Open ayah 8:60Era mubeetegekere, nga mukozesa ekyo kyonna kye musobola mu by’okulwanyisa, nga e nfalaasi e ntendeke, era mutiise nakyo omulabe w’a Katonda era omulabe wa mmwe, n’abalala abatali abo be mutamanyi naye nga Katonda abamanyi, (mukutuukiriza ekyo), e kintu kyonna kye muwaayo mu kkubo lya Katonda, kigenda kubasasulwa mu bujjuvu, era temugenda kuyisibwa bubi.
۞وَإِن جَنَحُواْ لِلسَّلۡمِ فَٱجۡنَحۡ لَهَا وَتَوَكَّلۡ عَلَى ٱللَّهِۚ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ
Open ayah 8:61Singa bayaayaanira e mirembe naawe giyaayaanire, era weekwase Katonda, anti mazima yye awulira nnyo, mumanyi.
وَإِن يُرِيدُوٓاْ أَن يَخۡدَعُوكَ فَإِنَّ حَسۡبَكَ ٱللَّهُۚ هُوَ ٱلَّذِيٓ أَيَّدَكَ بِنَصۡرِهِۦ وَبِٱلۡمُؤۡمِنِينَ
Open ayah 8:62Naye singa baba baagadde okukukwenyakwenya, akumalira byonna ye Katonda, anti yye yooyo eyakudduukirira n’akutaasa (era n’akuwagira) ng’akozesa abakkiriza.
وَأَلَّفَ بَيۡنَ قُلُوبِهِمۡۚ لَوۡ أَنفَقۡتَ مَا فِي ٱلۡأَرۡضِ جَمِيعٗا مَّآ أَلَّفۡتَ بَيۡنَ قُلُوبِهِمۡ وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ أَلَّفَ بَيۡنَهُمۡۚ إِنَّهُۥ عَزِيزٌ حَكِيمٞ
Open ayah 8:63Era naagatta wakati w’emitima gyabwe, nga singa wawaayo ebiri mu nsi byonna, tewandigasse wakati w’a mitima gyabwe, naye mazima ddala Katonda yagatta wakati waabwe, anti mazima ddala yye ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga.
يَٰٓأَيُّهَا ٱلنَّبِيُّ حَسۡبُكَ ٱللَّهُ وَمَنِ ٱتَّبَعَكَ مِنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ
Open ayah 8:64Owange ggwe Nabbi, Katonda akumalira era naamalira n’abali naawe nga bakkiriza.
يَٰٓأَيُّهَا ٱلنَّبِيُّ حَرِّضِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ عَلَى ٱلۡقِتَالِۚ إِن يَكُن مِّنكُمۡ عِشۡرُونَ صَٰبِرُونَ يَغۡلِبُواْ مِاْئَتَيۡنِۚ وَإِن يَكُن مِّنكُم مِّاْئَةٞ يَغۡلِبُوٓاْ أَلۡفٗا مِّنَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِأَنَّهُمۡ قَوۡمٞ لَّا يَفۡقَهُونَ
Open ayah 8:65Owange gwe Nabbi, kubiriza abakkiriza okugenda okulwana, kale nno mu mmwe bwe mubaamu amakumi abiri abagumiikiriza bawangula e bikumi bibiri, ate e kikumi mu mmwe bawangula lukumi, mu abo abaakaafuwala olw'okuba nti bo bantu abatategeera.
ٱلۡـَٰٔنَ خَفَّفَ ٱللَّهُ عَنكُمۡ وَعَلِمَ أَنَّ فِيكُمۡ ضَعۡفٗاۚ فَإِن يَكُن مِّنكُم مِّاْئَةٞ صَابِرَةٞ يَغۡلِبُواْ مِاْئَتَيۡنِۚ وَإِن يَكُن مِّنكُمۡ أَلۡفٞ يَغۡلِبُوٓاْ أَلۡفَيۡنِ بِإِذۡنِ ٱللَّهِۗ وَٱللَّهُ مَعَ ٱلصَّٰبِرِينَ
Open ayah 8:66Kaakati Katonda abawewulidde, era amanyi nti mazima mu mmwe mulimu obunafu, kale mu mmwe bwe mubangamu e kikumi ekigumiikiriza, bawangula e bibiri, ate olukumi mu mmwe bawangula e nkumi bbiri ku lwo kukkiriza kwa Katonda, nga bulijjo Katonda aliwamu n'abagumiikiriza.
مَا كَانَ لِنَبِيٍّ أَن يَكُونَ لَهُۥٓ أَسۡرَىٰ حَتَّىٰ يُثۡخِنَ فِي ٱلۡأَرۡضِۚ تُرِيدُونَ عَرَضَ ٱلدُّنۡيَا وَٱللَّهُ يُرِيدُ ٱلۡأٓخِرَةَۗ وَٱللَّهُ عَزِيزٌ حَكِيمٞ
Open ayah 8:67Tekisaanira Nabbi yenna kuba na bawambe okutuusa nga amaze okusimba amakanda mu nsi. (Bwe musalawo okutwala abawambe nga temunnanywera) muba mwagala bya kufuna byansi, ng’ate Katonda ayagala nkomerero, ate nga bulijjo Katonda ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga.
لَّوۡلَا كِتَٰبٞ مِّنَ ٱللَّهِ سَبَقَ لَمَسَّكُمۡ فِيمَآ أَخَذۡتُمۡ عَذَابٌ عَظِيمٞ
Open ayah 8:68Singa ssi kusalawo kwa Katonda oluberyeberye, mwandituusiddwako e kibonerezo e kikakali olw'ebyo bye mwatwala.
فَكُلُواْ مِمَّا غَنِمۡتُمۡ حَلَٰلٗا طَيِّبٗاۚ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَۚ إِنَّ ٱللَّهَ غَفُورٞ رَّحِيمٞ
Open ayah 8:69Kale nno mulye mu ebyo bye mufunye, nga minyago ebiri Halal ate nga birungi, era mutye Katonda, mazima Katonda musonyiyi, musaazizi.
يَٰٓأَيُّهَا ٱلنَّبِيُّ قُل لِّمَن فِيٓ أَيۡدِيكُم مِّنَ ٱلۡأَسۡرَىٰٓ إِن يَعۡلَمِ ٱللَّهُ فِي قُلُوبِكُمۡ خَيۡرٗا يُؤۡتِكُمۡ خَيۡرٗا مِّمَّآ أُخِذَ مِنكُمۡ وَيَغۡفِرۡ لَكُمۡۚ وَٱللَّهُ غَفُورٞ رَّحِيمٞ
Open ayah 8:70Owange ggwe Nabbi gamba abawambe abali mu mikono gya mmwe nti, Katonda bwa naamanya nti mu mitima gya mmwe mulimu akalungi agenda kubawa e birungi e bisinga kw'ebyo ebyabaggyibwako era abasonyiwe, anti bulijjo Katonda musonyiyi, musaasizi.
وَإِن يُرِيدُواْ خِيَانَتَكَ فَقَدۡ خَانُواْ ٱللَّهَ مِن قَبۡلُ فَأَمۡكَنَ مِنۡهُمۡۗ وَٱللَّهُ عَلِيمٌ حَكِيمٌ
Open ayah 8:71Naye bwe baba baagadde ku kukumpanya, mazima ba kumpanyadda Katonda, wabula yakuyamba n’obawangula, nga bulijjo Katonda amanyi nnyo, agoba nsonga.
إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَهَاجَرُواْ وَجَٰهَدُواْ بِأَمۡوَٰلِهِمۡ وَأَنفُسِهِمۡ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ وَٱلَّذِينَ ءَاوَواْ وَّنَصَرُوٓاْ أُوْلَٰٓئِكَ بَعۡضُهُمۡ أَوۡلِيَآءُ بَعۡضٖۚ وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَلَمۡ يُهَاجِرُواْ مَا لَكُم مِّن وَلَٰيَتِهِم مِّن شَيۡءٍ حَتَّىٰ يُهَاجِرُواْۚ وَإِنِ ٱسۡتَنصَرُوكُمۡ فِي ٱلدِّينِ فَعَلَيۡكُمُ ٱلنَّصۡرُ إِلَّا عَلَىٰ قَوۡمِۭ بَيۡنَكُمۡ وَبَيۡنَهُم مِّيثَٰقٞۗ وَٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ بَصِيرٞ
Open ayah 8:72Mazima abo abakkiriza nebasenguka, ne balafuubana mu kkubo lya Katonda, nga bakozesa e mmaali yaabwe n’emyooyo gyabwe, era n’abo abaabudamya era ne bataasa (abaava e Mekkah) abo nno, abamu bateekwa okudduukirira bannaabwe. Ate abo abakkiriza nebatasenguka temuvunaanyizibwa ku kintu kyonna mu kubataasa, okutuusa nga basenguse. Naye bwe babakubira e nduulu ku nsonga eye ddiini, olwo nno muteekwa okubadduukirira okugyako nga bakaayagana n’abantu bemulina nabo e ndagaano. Nga bulijjo Katonda alaba bye mukola.
وَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بَعۡضُهُمۡ أَوۡلِيَآءُ بَعۡضٍۚ إِلَّا تَفۡعَلُوهُ تَكُن فِتۡنَةٞ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَفَسَادٞ كَبِيرٞ
Open ayah 8:73Ate abo abaakaafuwala abamu mikwano gya bannaabwe, bwe mutaakikole (eky'okutaasa bannammwe bemuteekwa okukikolera), olwo wajja kubaawo obuzibu mu nsi n’okwonoona kungi.
وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَهَاجَرُواْ وَجَٰهَدُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ وَٱلَّذِينَ ءَاوَواْ وَّنَصَرُوٓاْ أُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ حَقّٗاۚ لَّهُم مَّغۡفِرَةٞ وَرِزۡقٞ كَرِيمٞ
Open ayah 8:74Era abo abakkiriza nebasenguka, nebalafuubana nga baweereza mu kkubo lya Katonda, n'abo abaabudamya nebataasa (abaava e Mekkah), abo nno be bakkiriza abannamaddala. Balina e kisonyiwo n’okugabirirwa okw'ettendo.
وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ مِنۢ بَعۡدُ وَهَاجَرُواْ وَجَٰهَدُواْ مَعَكُمۡ فَأُوْلَٰٓئِكَ مِنكُمۡۚ وَأُوْلُواْ ٱلۡأَرۡحَامِ بَعۡضُهُمۡ أَوۡلَىٰ بِبَعۡضٖ فِي كِتَٰبِ ٱللَّهِۚ إِنَّ ٱللَّهَ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمُۢ
Open ayah 8:75Ate abo abakkiriza, oluvanyuma ne balafuubana wamu nammwe mu kkubo lya Katonda, abo nno ba mu mmwe, naye nga ab'oluganda abamu ku bo be basinga okukwatibwako ensonga z’a bannaabwe. Ebyo nga biri mu kitabo kya Katonda. Nga bulijjo mazima Katonda mumanyi wa buli kintu.