الواقعة
Al-Waaqia
Translation: Luganda - African Institution · Open the surah
بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ
إِذَا وَقَعَتِ ٱلۡوَاقِعَةُ
Open ayah 56:1Ekiseera ekitaliimu kubuusabuusa bwe kirituuka.
لَيۡسَ لِوَقۡعَتِهَا كَاذِبَةٌ
Open ayah 56:2Okutuuka kwakyo tekuliimu kubuusabuusa.
خَافِضَةٞ رَّافِعَةٌ
Open ayah 56:3Kirikakkanya (abeeyisa obubi era) kirisitula (abeeyisa obulungi).
إِذَا رُجَّتِ ٱلۡأَرۡضُ رَجّٗا
Open ayah 56:4Ensi bwe rikankanyizibwa olukankana.
وَبُسَّتِ ٱلۡجِبَالُ بَسّٗا
Open ayah 56:5N'ensozi nezimerengulwa olumerengulwa.
فَكَانَتۡ هَبَآءٗ مُّنۢبَثّٗا
Open ayah 56:6Olwo nno nezifuuka enfuufu efumuuka.
وَكُنتُمۡ أَزۡوَٰجٗا ثَلَٰثَةٗ
Open ayah 56:7Era mmwe nemuba emitendera esatu.
فَأَصۡحَٰبُ ٱلۡمَيۡمَنَةِ مَآ أَصۡحَٰبُ ٱلۡمَيۡمَنَةِ
Open ayah 56:8Olwo nno newabaawo ogwa ba nannyini mukono ogwa ddyo, yye omanyi okubeera ku mukono ogwaddyo kye kitegeeza?.
وَأَصۡحَٰبُ ٱلۡمَشۡـَٔمَةِ مَآ أَصۡحَٰبُ ٱلۡمَشۡـَٔمَةِ
Open ayah 56:9Era newabaawo n’ogwa ba nannyini mukono ogwa kkono, yye omanyi okubeera ku mukono ogwa kkono kye kitegeeza?.
وَٱلسَّٰبِقُونَ ٱلسَّٰبِقُونَ
Open ayah 56:10Newabaawo n’ogwabo abaakulembera, abalikulembera mu buli kimu.
أُوْلَٰٓئِكَ ٱلۡمُقَرَّبُونَ
Open ayah 56:11Abo be bo kusembezebwa (ewa Katonda).
فِي جَنَّٰتِ ٱلنَّعِيمِ
Open ayah 56:12Nga bali mu jjana ez'ebyengera.
ثُلَّةٞ مِّنَ ٱلۡأَوَّلِينَ
Open ayah 56:13Bangi mu bibiina ebyasooka.
وَقَلِيلٞ مِّنَ ٱلۡأٓخِرِينَ
Open ayah 56:14Nabatono mu kibiina kya bantu abenkomerero (abekibiina kya Nabbi Muhammad).
عَلَىٰ سُرُرٖ مَّوۡضُونَةٖ
Open ayah 56:15(Balibeera) ku bitanda ebyakolebwa mu zzaabu n'amayinja amalala agomuwendo.
مُّتَّكِـِٔينَ عَلَيۡهَا مُتَقَٰبِلِينَ
Open ayah 56:16Baliba bagalamidde ku byo nga boolekaganye (nga banyumya).
يَطُوفُ عَلَيۡهِمۡ وِلۡدَٰنٞ مُّخَلَّدُونَ
Open ayah 56:17Abaweereza abalenzi, abolubeerera baliba babayitamu.
بِأَكۡوَابٖ وَأَبَارِيقَ وَكَأۡسٖ مِّن مَّعِينٖ
Open ayah 56:18Nga balina ebikopo, amabinika ne giraasi ebijjudde omubisi oguva mu nsulo.
لَّا يُصَدَّعُونَ عَنۡهَا وَلَا يُنزِفُونَ
Open ayah 56:19Tebagenda kulumwa mutwe olwagwo era tebagenda kutamiira.
وَفَٰكِهَةٖ مِّمَّا يَتَخَيَّرُونَ
Open ayah 56:20N’ebibala (ebye njawulo) mwebyo bye baliba nga basazeewo.
وَلَحۡمِ طَيۡرٖ مِّمَّا يَشۡتَهُونَ
Open ayah 56:21Ne nnyama y’ebinyonyi eyo gye baliyagala.
وَحُورٌ عِينٞ
Open ayah 56:22N'abakyala abalungi abamaaso agatemagana.
كَأَمۡثَٰلِ ٱللُّؤۡلُوِٕ ٱلۡمَكۡنُونِ
Open ayah 56:23Nga balinga Luulu akuumibwa obutiribiri.
جَزَآءَۢ بِمَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ
Open ayah 56:24(Ebyo byonna) nga mpeera yeebyo bye baali bakola (ebirungi ku nsi).
لَا يَسۡمَعُونَ فِيهَا لَغۡوٗا وَلَا تَأۡثِيمًا
Open ayah 56:25Tebagenda kuwulira mu yo luyogaano wadde ebigambo ebyesittaza.
إِلَّا قِيلٗا سَلَٰمٗا سَلَٰمٗا
Open ayah 56:26Okugyako okugamba nti mirembe, mirembe.
وَأَصۡحَٰبُ ٱلۡيَمِينِ مَآ أَصۡحَٰبُ ٱلۡيَمِينِ
Open ayah 56:27Abantu bo ku mukono ogwa ddyo, abaffe omanyi abantu bo ku mukono ogwa ddyo baliba batya?.
فِي سِدۡرٖ مَّخۡضُودٖ
Open ayah 56:28Balituula (mu bittuluze) by'emiti gya Sidiri atemeddwako amaggwa.
وَطَلۡحٖ مَّنضُودٖ
Open ayah 56:29N'ensuku ezirimu amatooke agaliko ebiwagu ebiberekaganye.
وَظِلّٖ مَّمۡدُودٖ
Open ayah 56:30N'ebisikirize ebigazi.
وَمَآءٖ مَّسۡكُوبٖ
Open ayah 56:31N'amazzi agakulukuta awatali kusalako.
وَفَٰكِهَةٖ كَثِيرَةٖ
Open ayah 56:32N'ebibala ebingi.
لَّا مَقۡطُوعَةٖ وَلَا مَمۡنُوعَةٖ
Open ayah 56:33Ebitaggwawo ate ebitatekebwako kkomo.
وَفُرُشٖ مَّرۡفُوعَةٍ
Open ayah 56:34N'ebyaliiro ebisuffu ebya waggulu.
إِنَّآ أَنشَأۡنَٰهُنَّ إِنشَآءٗ
Open ayah 56:35Mazima ffe twatonda abakyala bo mu jjana olutonda.
فَجَعَلۡنَٰهُنَّ أَبۡكَارًا
Open ayah 56:36Olwo nno twabatonda nga mbeerera.
عُرُبًا أَتۡرَابٗا
Open ayah 56:37Nga bulijjo baganzi eri ba bbaabwe nga tebakakiddwa.
لِّأَصۡحَٰبِ ٱلۡيَمِينِ
Open ayah 56:38Nga bo ba bantu abalibeera ku mukono ogwa ddyo.
ثُلَّةٞ مِّنَ ٱلۡأَوَّلِينَ
Open ayah 56:39Bangi mu bibiina ebyasooka.
وَثُلَّةٞ مِّنَ ٱلۡأٓخِرِينَ
Open ayah 56:40Era bangi mu kibiina kya bantu ab'enkomerero (ab’ekibiina kya Nabbi Muhammad).
وَأَصۡحَٰبُ ٱلشِّمَالِ مَآ أَصۡحَٰبُ ٱلشِّمَالِ
Open ayah 56:41Ate abantu bo ku mukono ogwa kkono, abaffe omanyi abantu bo ku mukono ogwa kkono baliba batya?.
فِي سَمُومٖ وَحَمِيمٖ
Open ayah 56:42Balibeera mu kibuyaga ayokya n’amazzi ageeseze.
وَظِلّٖ مِّن يَحۡمُومٖ
Open ayah 56:43Nga nebisikirize mwe balyewogoma, biriba bya mu mukka omuddugavu ogwokya.
لَّا بَارِدٖ وَلَا كَرِيمٍ
Open ayah 56:44Biriba tebinnyogoga era nga tebisanyusa.
إِنَّهُمۡ كَانُواْ قَبۡلَ ذَٰلِكَ مُتۡرَفِينَ
Open ayah 56:45Anti mazima bo oluberyeberye lwa kino baali baamalibwawo ebyo kwe jalabya.
وَكَانُواْ يُصِرُّونَ عَلَى ٱلۡحِنثِ ٱلۡعَظِيمِ
Open ayah 56:46Era baalemeranga ku kibi ekinene (bwe baalayiranga nti tewali kuzuukira).
وَكَانُواْ يَقُولُونَ أَئِذَا مِتۡنَا وَكُنَّا تُرَابٗا وَعِظَٰمًا أَءِنَّا لَمَبۡعُوثُونَ
Open ayah 56:47Era baagamba nga nti bwetufa netufuuka ettaka, era netusigala ngumba gumba abaffe tulizuukizibwa!.
أَوَءَابَآؤُنَا ٱلۡأَوَّلُونَ
Open ayah 56:48Ne bakadde baffe abasooka (nabo bwe batyo)!.
قُلۡ إِنَّ ٱلۡأَوَّلِينَ وَٱلۡأٓخِرِينَ
Open ayah 56:49Bagambe ggwe (Nabbi Muhammad) nti mazima abasooka n'aboluvanyuma.
لَمَجۡمُوعُونَ إِلَىٰ مِيقَٰتِ يَوۡمٖ مَّعۡلُومٖ
Open ayah 56:50Ddala ba kukunganyizibwa ku lunaku olwasalibwawo olumanyiddwa.
ثُمَّ إِنَّكُمۡ أَيُّهَا ٱلضَّآلُّونَ ٱلۡمُكَذِّبُونَ
Open ayah 56:51Oluvanyuma mazima mmwe, abange mmwe ababuze abalimbisa.
لَأٓكِلُونَ مِن شَجَرٖ مِّن زَقُّومٖ
Open ayah 56:52Ddala mugenda kulya ku muti gwa zakkumu.
فَمَالِـُٔونَ مِنۡهَا ٱلۡبُطُونَ
Open ayah 56:53Nulijjuza nagwo embuto (gujjuze embuto zammwe).
فَشَٰرِبُونَ عَلَيۡهِ مِنَ ٱلۡحَمِيمِ
Open ayah 56:54Olwo nno munywereko amazzi ageeseze.
فَشَٰرِبُونَ شُرۡبَ ٱلۡهِيمِ
Open ayah 56:55Mugenda kunywa ng'ennywa ye ngamiya erina ennyonta.
هَٰذَا نُزُلُهُمۡ يَوۡمَ ٱلدِّينِ
Open ayah 56:56Obwo bwe buliba obugenyi bwabwe ku lunaku lwo kusasula.
نَحۡنُ خَلَقۡنَٰكُمۡ فَلَوۡلَا تُصَدِّقُونَ
Open ayah 56:57Ffe twabatonda, kale singa mukkiriza (okusinziira kwekyo).
أَفَرَءَيۡتُم مَّا تُمۡنُونَ
Open ayah 56:58Abaffe mulaba amazzi (agazaala) ge muteeka mu nnabaana.
ءَأَنتُمۡ تَخۡلُقُونَهُۥٓ أَمۡ نَحۡنُ ٱلۡخَٰلِقُونَ
Open ayah 56:59Abaffe mmwe mugatonda oba ffe batonzi!.
نَحۡنُ قَدَّرۡنَا بَيۡنَكُمُ ٱلۡمَوۡتَ وَمَا نَحۡنُ بِمَسۡبُوقِينَ
Open ayah 56:60Ffe twagera netussa wakati wa mmwe okufa, (netubakakasaako okufa) era tetuli ffe ba kulemesebwa.
عَلَىٰٓ أَن نُّبَدِّلَ أَمۡثَٰلَكُمۡ وَنُنشِئَكُمۡ فِي مَا لَا تَعۡلَمُونَ
Open ayah 56:61Okuba nga tuwaanyisa abalinga mmwe (mu mmwe) olwo nno mmwe, netubakolamu ebirala bye mutamanyi.
وَلَقَدۡ عَلِمۡتُمُ ٱلنَّشۡأَةَ ٱلۡأُولَىٰ فَلَوۡلَا تَذَكَّرُونَ
Open ayah 56:62Ate nga ddala mwamanya entandikwa eyasooka (engeri Katonda gye yabatondamu) kale singa mwebulirira.
أَفَرَءَيۡتُم مَّا تَحۡرُثُونَ
Open ayah 56:63Abaffe mulaba ebyo bye mulima.
ءَأَنتُمۡ تَزۡرَعُونَهُۥٓ أَمۡ نَحۡنُ ٱلزَّٰرِعُونَ
Open ayah 56:64Abaffe mmwe mubimeza oba ffe tumeza!.
لَوۡ نَشَآءُ لَجَعَلۡنَٰهُ حُطَٰمٗا فَظَلۡتُمۡ تَفَكَّهُونَ
Open ayah 56:65Singa twagadde tusobola okubifuula ebikaze nemusigala nga mwewunaganya.
إِنَّا لَمُغۡرَمُونَ
Open ayah 56:66(Nga mugamba nti) mazima ffe tetufunye ate nga tubanjibwa.
بَلۡ نَحۡنُ مَحۡرُومُونَ
Open ayah 56:67(Si kye kyokka) wabula ffe tummiddwa.
أَفَرَءَيۡتُمُ ٱلۡمَآءَ ٱلَّذِي تَشۡرَبُونَ
Open ayah 56:68Abaffe mulaba amazzi ago gemunywa.
ءَأَنتُمۡ أَنزَلۡتُمُوهُ مِنَ ٱلۡمُزۡنِ أَمۡ نَحۡنُ ٱلۡمُنزِلُونَ
Open ayah 56:69Mwe mugassa okuva mu bire oba ffe tugassa.
لَوۡ نَشَآءُ جَعَلۡنَٰهُ أُجَاجٗا فَلَوۡلَا تَشۡكُرُونَ
Open ayah 56:70Singa twagadde twaligafudde olukalabule kale singa mwebaza (Katonda olwo kugafuula amalungi).
أَفَرَءَيۡتُمُ ٱلنَّارَ ٱلَّتِي تُورُونَ
Open ayah 56:71Abaffe mulaba omuliro ogwo gwe mukuma.
ءَأَنتُمۡ أَنشَأۡتُمۡ شَجَرَتَهَآ أَمۡ نَحۡنُ ٱلۡمُنشِـُٔونَ
Open ayah 56:72Abaffe mmwe mwatandikawo omuti gwagwo, oba ffe twagutandika.
نَحۡنُ جَعَلۡنَٰهَا تَذۡكِرَةٗ وَمَتَٰعٗا لِّلۡمُقۡوِينَ
Open ayah 56:73Ffe twagufuula kya kujjukiza, era nga gwa mugaso eri abatambuze (abataba na byoto bibakumira muliro).
فَسَبِّحۡ بِٱسۡمِ رَبِّكَ ٱلۡعَظِيمِ
Open ayah 56:74Kale tendereza erinnya lya Mukama omulabirizi wo owekitiibwa.
۞فَلَآ أُقۡسِمُ بِمَوَٰقِعِ ٱلنُّجُومِ
Open ayah 56:75Tewali kingaana kulayira bifo bya munyeenye.
وَإِنَّهُۥ لَقَسَمٞ لَّوۡ تَعۡلَمُونَ عَظِيمٌ
Open ayah 56:76Era mazima kwo ddala kulayira kunene singa mubadde mumanyi.
إِنَّهُۥ لَقُرۡءَانٞ كَرِيمٞ
Open ayah 56:77Okuba nti ddala yo Kur’ani yakitiibwa.
فِي كِتَٰبٖ مَّكۡنُونٖ
Open ayah 56:78Eri mu kitabo ekikuumibwa obutiribiri (ku Lawuhu al mahfudhu)
لَّا يَمَسُّهُۥٓ إِلَّا ٱلۡمُطَهَّرُونَ
Open ayah 56:79Takikwatako okugyako abaatukuzibwa (ba malayika abatalina bukyafu bwa mibiri oba obwe nzikiriza).
تَنزِيلٞ مِّن رَّبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ
Open ayah 56:80Essibwa okuva ewa Mukama omulabirizi w’ebitonde.
أَفَبِهَٰذَا ٱلۡحَدِيثِ أَنتُم مُّدۡهِنُونَ
Open ayah 56:81Abaffe ebigambo bino (ebya Kur’ani) mmwe bye mugayaalirira.
وَتَجۡعَلُونَ رِزۡقَكُمۡ أَنَّكُمۡ تُكَذِّبُونَ
Open ayah 56:82Okugirimbisa mmwe ne mukifuula okuba nga ye Riziki yammwe.
فَلَوۡلَآ إِذَا بَلَغَتِ ٱلۡحُلۡقُومَ
Open ayah 56:83Singa omwoyo wegutuukira mu ddokooli (musala amagezi nemugutaasa).
وَأَنتُمۡ حِينَئِذٖ تَنظُرُونَ
Open ayah 56:84Ate nga mmwe mu kiseera ekyo mubaawo nga mutunula.
وَنَحۡنُ أَقۡرَبُ إِلَيۡهِ مِنكُمۡ وَلَٰكِن لَّا تُبۡصِرُونَ
Open ayah 56:85Era ffe tuba okumpi naye okusinga mmwe, naye temulaba.
فَلَوۡلَآ إِن كُنتُمۡ غَيۡرَ مَدِينِينَ
Open ayah 56:86Kale singa mwali temufugibwa (Katonda).
تَرۡجِعُونَهَآ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ
Open ayah 56:87Muyinza okugamba nti mwandiguzizzaamu mu mubiri, bwe muba mwogera mazima.
فَأَمَّآ إِن كَانَ مِنَ ٱلۡمُقَرَّبِينَ
Open ayah 56:88Naye (omufu) bwaba mu bo kumpi (ne Katonda).
فَرَوۡحٞ وَرَيۡحَانٞ وَجَنَّتُ نَعِيمٖ
Open ayah 56:89Aliba mu kwesiima na mirembe na jjana eye byengera.
وَأَمَّآ إِن كَانَ مِنۡ أَصۡحَٰبِ ٱلۡيَمِينِ
Open ayah 56:90Ate bwaba mu bantu bo ku mukono ogwa ddyo.
فَسَلَٰمٞ لَّكَ مِنۡ أَصۡحَٰبِ ٱلۡيَمِينِ
Open ayah 56:91(Aliyozebwayozebwa nti) emirembe gibeere ku ggwe, olwokuba oli mu bantu bo ku mukono ogwa ddyo.
وَأَمَّآ إِن كَانَ مِنَ ٱلۡمُكَذِّبِينَ ٱلضَّآلِّينَ
Open ayah 56:92Wabula bwabeera nga ali mu balimbisa ababuze.
فَنُزُلٞ مِّنۡ حَمِيمٖ
Open ayah 56:93(Oyo nno) obugenyi (bwe) bwalwegye lwa mazzi.
وَتَصۡلِيَةُ جَحِيمٍ
Open ayah 56:94Nakwesogga muliro Jahiimu.
إِنَّ هَٰذَا لَهُوَ حَقُّ ٱلۡيَقِينِ
Open ayah 56:95Mazima ebyo ge mazima agannamaddala.
فَسَبِّحۡ بِٱسۡمِ رَبِّكَ ٱلۡعَظِيمِ
Open ayah 56:96Kale nno tendereza erinnya lya Mukama omulabirizi wo owekitiibwa.