ق
Qaaf
Translation: Luganda - African Institution · Open the surah
بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ
قٓۚ وَٱلۡقُرۡءَانِ ٱلۡمَجِيدِ
Open ayah 50:1Kaaf, ndayidde Kur’ani eyekitiibwa (mazima ggwe Muhammad oli mubaka wa Katonda era olunaku lw’enkomerero lwa kubaawo).
بَلۡ عَجِبُوٓاْ أَن جَآءَهُم مُّنذِرٞ مِّنۡهُمۡ فَقَالَ ٱلۡكَٰفِرُونَ هَٰذَا شَيۡءٌ عَجِيبٌ
Open ayah 50:2Wabula bewunya okuba nti omutiisa (Nabbi Muhammad) yabajjira nga ava mu bo olwo nno abakaafiiri nebagamba nti kino kintu kya kitalo.
أَءِذَا مِتۡنَا وَكُنَّا تُرَابٗاۖ ذَٰلِكَ رَجۡعُۢ بَعِيدٞ
Open ayah 50:3(Nebagamba nti) abaffe bwetufa netufuuka ettaka (ate tuli bakuzzibwa!), bwekiba bwekityo okwo kudda okuli ewala ennyo.
قَدۡ عَلِمۡنَا مَا تَنقُصُ ٱلۡأَرۡضُ مِنۡهُمۡۖ وَعِندَنَا كِتَٰبٌ حَفِيظُۢ
Open ayah 50:4(Ekyo kibalemera bwereere okukkiriza anti) mazima tumanyi ekyo ettaka kye libakendezaako (nga lirya emibiri gyabwe) era tulina eggwanika erikuuma (buli kintu).
بَلۡ كَذَّبُواْ بِٱلۡحَقِّ لَمَّا جَآءَهُمۡ فَهُمۡ فِيٓ أَمۡرٖ مَّرِيجٍ
Open ayah 50:5Wabula (tebakoma kwekyo era) baalimbisa amazima bwe gabajjira olwo nno bo baali mu mbeera ey’ekigambo ekitali kinywevu, (olumu bagamba bati olulala ne bagamba kirala).
أَفَلَمۡ يَنظُرُوٓاْ إِلَى ٱلسَّمَآءِ فَوۡقَهُمۡ كَيۡفَ بَنَيۡنَٰهَا وَزَيَّنَّٰهَا وَمَا لَهَا مِن فُرُوجٖ
Open ayah 50:6Abaffe tebatunula ku ggulu waggulu waabwe (ne balaba) nga bwe twalizimba era netulinyiriza nga teririna bituli.
وَٱلۡأَرۡضَ مَدَدۡنَٰهَا وَأَلۡقَيۡنَا فِيهَا رَوَٰسِيَ وَأَنۢبَتۡنَا فِيهَا مِن كُلِّ زَوۡجِۭ بَهِيجٖ
Open ayah 50:7Ne nsi twagiseeteeza era netugissaamu ensozi ennywevu, netumeza mu yo mu buli mutindo oguwa essanyu.
تَبۡصِرَةٗ وَذِكۡرَىٰ لِكُلِّ عَبۡدٖ مُّنِيبٖ
Open ayah 50:8Bibe ekizibula amaaso era ekyokubuulirira buli muddu adda eri Katonda.
وَنَزَّلۡنَا مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ مُّبَٰرَكٗا فَأَنۢبَتۡنَا بِهِۦ جَنَّٰتٖ وَحَبَّ ٱلۡحَصِيدِ
Open ayah 50:9Era tussa amazzi okuva waggulu agoomukisa, olwo nno netumeza nago amalimiro n'empeke ebikungulwa.
وَٱلنَّخۡلَ بَاسِقَٰتٖ لَّهَا طَلۡعٞ نَّضِيدٞ
Open ayah 50:10N’emitende emitumbiivu egirina ebirimba ebyeberese ku binnabyo.
رِّزۡقٗا لِّلۡعِبَادِۖ وَأَحۡيَيۡنَا بِهِۦ بَلۡدَةٗ مَّيۡتٗاۚ كَذَٰلِكَ ٱلۡخُرُوجُ
Open ayah 50:11Nga byakulya bya baddu, era tulamusa nago (amazzi) ettaka effu eriba likaze, nabwekutyo okuzuukira bwe kuliba.
كَذَّبَتۡ قَبۡلَهُمۡ قَوۡمُ نُوحٖ وَأَصۡحَٰبُ ٱلرَّسِّ وَثَمُودُ
Open ayah 50:12Oluberyeberye lwabwe (abantu be Makkah) abantu ba Nuhu baalimbisa, n’abantu ababbika Nabbi wabwe mu luzzi, n’abekika kya Thamud.
وَعَادٞ وَفِرۡعَوۡنُ وَإِخۡوَٰنُ لُوطٖ
Open ayah 50:13Nabekika kya Aadi ne Firaawo ne baganda ba Luutu.
وَأَصۡحَٰبُ ٱلۡأَيۡكَةِ وَقَوۡمُ تُبَّعٖۚ كُلّٞ كَذَّبَ ٱلرُّسُلَ فَحَقَّ وَعِيدِ
Open ayah 50:14N’abantu be nsi y’ebibira, n’abantu ba Tubbai, bonna baalimbisa ababaka, olwo nno nebikakata (ebibonerezo) byange bye nalagaanyisa.
أَفَعَيِينَا بِٱلۡخَلۡقِ ٱلۡأَوَّلِۚ بَلۡ هُمۡ فِي لَبۡسٖ مِّنۡ خَلۡقٖ جَدِيدٖ
Open ayah 50:15Abaffe twakoowa olwokutonda okwasooka (tube nga tweganya okubazzaawo)! nedda bo bali mu kutabulwa ku bikwata ku kutonda okupya.
وَلَقَدۡ خَلَقۡنَا ٱلۡإِنسَٰنَ وَنَعۡلَمُ مَا تُوَسۡوِسُ بِهِۦ نَفۡسُهُۥۖ وَنَحۡنُ أَقۡرَبُ إِلَيۡهِ مِنۡ حَبۡلِ ٱلۡوَرِيدِ
Open ayah 50:16Ng’ate ddala twatonda omuntu era tumanyi ekyo omwoyogwe kye gumulabankanya nakyo naye nga ffe tuli okumpi naye okusinga omusuwa (gwe) ogwobulamu.
إِذۡ يَتَلَقَّى ٱلۡمُتَلَقِّيَانِ عَنِ ٱلۡيَمِينِ وَعَنِ ٱلشِّمَالِ قَعِيدٞ
Open ayah 50:17Mu kiseera we bamugyirako ebimukwatako (ba Malayika) abakwatibwako ensonga ababiri, nga bakikola ku mukono ogwa ddyo, n’ogwa kkono nga buli omu atudde ku ludda lwe.
مَّا يَلۡفِظُ مِن قَوۡلٍ إِلَّا لَدَيۡهِ رَقِيبٌ عَتِيدٞ
Open ayah 50:18Olwo nno (omuntu) tayatula kigambo kyonna okugyako ng’aliko omulondoozi amubeerako buli kiseera.
وَجَآءَتۡ سَكۡرَةُ ٱلۡمَوۡتِ بِٱلۡحَقِّۖ ذَٰلِكَ مَا كُنتَ مِنۡهُ تَحِيدُ
Open ayah 50:19Olwo nno obukambwe bwokufa nebujja mu mazima (nagambibwa nti) kino bulijjo kyobadde weewala.
وَنُفِخَ فِي ٱلصُّورِۚ ذَٰلِكَ يَوۡمُ ٱلۡوَعِيدِ
Open ayah 50:20Era engombe nefuuyibwa olwo lwe luliba olunaku olwalagaanyisibwa.
وَجَآءَتۡ كُلُّ نَفۡسٖ مَّعَهَا سَآئِقٞ وَشَهِيدٞ
Open ayah 50:21Buli muntu alijja nga aliko (Malayika) amugoba n’omujulizi.
لَّقَدۡ كُنتَ فِي غَفۡلَةٖ مِّنۡ هَٰذَا فَكَشَفۡنَا عَنكَ غِطَآءَكَ فَبَصَرُكَ ٱلۡيَوۡمَ حَدِيدٞ
Open ayah 50:22(Omukozi weebibi aligambwa nti) mazima wali mu bulagajjavu ku nsonga eno, kakano tukuggyeko ekibikka olwo nno eriiso lyo olwaleero lyogi nnyo.
وَقَالَ قَرِينُهُۥ هَٰذَا مَا لَدَيَّ عَتِيدٌ
Open ayah 50:23Munne (Malayika eyamuberangako) aligamba nti, bino bye nnina ebimuwaako obujulizi binywevu nnyo.
أَلۡقِيَا فِي جَهَنَّمَ كُلَّ كَفَّارٍ عَنِيدٖ
Open ayah 50:24(Katonda aliragira Malayika alijja amugoba n'alimuwaako obujulizi nti) mukasuke mu muliro Jahannama buli mukafiiri omuwalaza we mpaka.
مَّنَّاعٖ لِّلۡخَيۡرِ مُعۡتَدٖ مُّرِيبٍ
Open ayah 50:25Eyekiikanga mu kkubo lyo bulungi, eyabukanga ebikomo (bya mateeka ga Katonda) omubusabuusa.
ٱلَّذِي جَعَلَ مَعَ ٱللَّهِ إِلَٰهًا ءَاخَرَ فَأَلۡقِيَاهُ فِي ٱلۡعَذَابِ ٱلشَّدِيدِ
Open ayah 50:26Oyo eyassa ku Katonda ekisinzibwa ekirala, kale nno mumukasuke mu bibonerezo ebikambwe.
۞قَالَ قَرِينُهُۥ رَبَّنَا مَآ أَطۡغَيۡتُهُۥ وَلَٰكِن كَانَ فِي ضَلَٰلِۭ بَعِيدٖ
Open ayah 50:27(Sitane) munywanyiwe aligamba nti, ayi Mukama omulabirizi waffe simubuzanga, wabula (ye yennyini) yali mu bubuze obwewala.
قَالَ لَا تَخۡتَصِمُواْ لَدَيَّ وَقَدۡ قَدَّمۡتُ إِلَيۡكُم بِٱلۡوَعِيدِ
Open ayah 50:28(Katonda) aligamba nti temukayanira mu maaso gange nabawa dda okulabula (kwange nga mukyali ku nsi).
مَا يُبَدَّلُ ٱلۡقَوۡلُ لَدَيَّ وَمَآ أَنَا۠ بِظَلَّٰمٖ لِّلۡعَبِيدِ
Open ayah 50:29Ekigambo tekikyusibwa gyendi (kasita mala okusalawo) era nze siyinza kuba mulyazamanyi eri abaddu.
يَوۡمَ نَقُولُ لِجَهَنَّمَ هَلِ ٱمۡتَلَأۡتِ وَتَقُولُ هَلۡ مِن مَّزِيدٖ
Open ayah 50:30(Mutye) olunaku lwe tuligamba omuliro Jahannama nti abaffe ojjudde, negugamba nti abaffe waliyo enyongeza?.
وَأُزۡلِفَتِ ٱلۡجَنَّةُ لِلۡمُتَّقِينَ غَيۡرَ بَعِيدٍ
Open ayah 50:31E jjana erisembezebwa eri abo abatya Katonda, nga tekyali wala.
هَٰذَا مَا تُوعَدُونَ لِكُلِّ أَوَّابٍ حَفِيظٖ
Open ayah 50:32Nebagambibwa nti, ekyo kye mwalaganyisibwa nga kya kufunwa oyo yenna eyadda ewa Katonda, n'akuma butiribiri (amateekage).
مَّنۡ خَشِيَ ٱلرَّحۡمَٰنَ بِٱلۡغَيۡبِ وَجَآءَ بِقَلۡبٖ مُّنِيبٍ
Open ayah 50:33(Yye yooyo) eyatya Katonda omusaasizi ennyo awamu nokuba nga tamulabako, era najja (olwaleero ku lunaku lw’enkomerero) n’omutima ogwemalira ku Katonda.
ٱدۡخُلُوهَا بِسَلَٰمٖۖ ذَٰلِكَ يَوۡمُ ٱلۡخُلُودِ
Open ayah 50:34(Baligambibwa nti) mugiyingire (e jjana) mu mirembe, olwo lwe lunaku olulitandika obulamu obwolubeerera.
لَهُم مَّا يَشَآءُونَ فِيهَا وَلَدَيۡنَا مَزِيدٞ
Open ayah 50:35Balifuna byonna bye baagala nga bali mu yo (e jjana), era tulina ebyo kubongeza.
وَكَمۡ أَهۡلَكۡنَا قَبۡلَهُم مِّن قَرۡنٍ هُمۡ أَشَدُّ مِنۡهُم بَطۡشٗا فَنَقَّبُواْ فِي ٱلۡبِلَٰدِ هَلۡ مِن مَّحِيصٍ
Open ayah 50:36Era emirembe emeka gye twazikiriza oluberyeberye lwabwe (bano abakuwakanya ggwe Nabbi Muhammad), nga bo baali bamaanyi okubasinga, nebetoloola ensi (nga bakola buli kye bagala), abaffe waliwo obuwonero.
إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَذِكۡرَىٰ لِمَن كَانَ لَهُۥ قَلۡبٌ أَوۡ أَلۡقَى ٱلسَّمۡعَ وَهُوَ شَهِيدٞ
Open ayah 50:37Mazima mwekyo mulimu okubuulirira eri oyo alina omutima oba atega amatu era nga yenna waali (awuliriza).
وَلَقَدۡ خَلَقۡنَا ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ وَمَا بَيۡنَهُمَا فِي سِتَّةِ أَيَّامٖ وَمَا مَسَّنَا مِن لُّغُوبٖ
Open ayah 50:38Era mazima twatonda eggulu omusanvu ne nsi neebiri wakati wa byombi mu nnaku mukaaga era tetwatukwako kukoowa kwonna.
فَٱصۡبِرۡ عَلَىٰ مَا يَقُولُونَ وَسَبِّحۡ بِحَمۡدِ رَبِّكَ قَبۡلَ طُلُوعِ ٱلشَّمۡسِ وَقَبۡلَ ٱلۡغُرُوبِ
Open ayah 50:39Kale gumikiriza ebyo bye bagamba, otendereze ebitendo bya Mukama omulabirizi wo nga enjuba tennavaayo, ne nga tennagwa.
وَمِنَ ٱلَّيۡلِ فَسَبِّحۡهُ وَأَدۡبَٰرَ ٱلسُّجُودِ
Open ayah 50:40Era omutendereze ekiro nabuli luvannyuma lwa kuvunnama (okusaala e sswala ezalaalikibwa).
وَٱسۡتَمِعۡ يَوۡمَ يُنَادِ ٱلۡمُنَادِ مِن مَّكَانٖ قَرِيبٖ
Open ayah 50:41Era wuliriza (ng’olinda) olunaku omukowooze lwalikowoola nga asinziira mu kifo kyo kumpi.
يَوۡمَ يَسۡمَعُونَ ٱلصَّيۡحَةَ بِٱلۡحَقِّۚ ذَٰلِكَ يَوۡمُ ٱلۡخُرُوجِ
Open ayah 50:42Olunaku lwe bali wulira okubwatuka okwa mazima, olwo nno lwe luliba olunaku lwokufuluma (okuzuukira okuva mu ntaana).
إِنَّا نَحۡنُ نُحۡيِۦ وَنُمِيتُ وَإِلَيۡنَا ٱلۡمَصِيرُ
Open ayah 50:43Mazima ffe, ffe tuwa obulamu era netutta, era gye tuli yokka yeeri obuddo.
يَوۡمَ تَشَقَّقُ ٱلۡأَرۡضُ عَنۡهُمۡ سِرَاعٗاۚ ذَٰلِكَ حَشۡرٌ عَلَيۡنَا يَسِيرٞ
Open ayah 50:44Ku lunaku ettaka lweriyatika neribavaako (nga bazuukira) nebajja misinde (gye tuli), okwo kwe kukungaanya era kuliba kwangu ku ffe.
نَّحۡنُ أَعۡلَمُ بِمَا يَقُولُونَۖ وَمَآ أَنتَ عَلَيۡهِم بِجَبَّارٖۖ فَذَكِّرۡ بِٱلۡقُرۡءَانِ مَن يَخَافُ وَعِيدِ
Open ayah 50:45Ffe tusinga okumanya bye bagamba, era ggwe toli ku bo asobola kubawaliriza, n’olwekyo buulirira nga okozesa Kur’ani, oyo yenna atya ebitiisa byange.