القلم

Al-Qalam

The Pen · Surah 68 · Ayahs: 52 · Meccan

Translation: Luganda - African Institution · Open the surah

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

  1. نٓۚ وَٱلۡقَلَمِ وَمَا يَسۡطُرُونَ

    Open ayah 68:1

    Nuni, yemu kunyukuta ezikola walifu empalabu. Ndayidde e kalamu nebyebagiwandiisa.

  2. مَآ أَنتَ بِنِعۡمَةِ رَبِّكَ بِمَجۡنُونٖ

    Open ayah 68:2

    Mazima Gwe Muhammad ekyengera kyobwa Nabbi Katonda wo kyeyakuwa tekiyinza ku kufuula mulalu.

  3. وَإِنَّ لَكَ لَأَجۡرًا غَيۡرَ مَمۡنُونٖ

    Open ayah 68:3

    Era ddala oteekwa okufuna empeera etakutukawo.

  4. وَإِنَّكَ لَعَلَىٰ خُلُقٍ عَظِيمٖ

    Open ayah 68:4

    Era mazima ddala Ggwe oli wampisa nungi nnyo.

  5. فَسَتُبۡصِرُ وَيُبۡصِرُونَ

    Open ayah 68:5

    Ojja kulaba nga nabo bwebagenda okulaba.

  6. بِأَييِّكُمُ ٱلۡمَفۡتُونُ

    Open ayah 68:6

    Ani kumwenna eyatukwako ekizibu kyeddalu.

  7. إِنَّ رَبَّكَ هُوَ أَعۡلَمُ بِمَن ضَلَّ عَن سَبِيلِهِۦ وَهُوَ أَعۡلَمُ بِٱلۡمُهۡتَدِينَ

    Open ayah 68:7

    Mazima Katondawo amanyidde ddala ani eyabula okuva ku kkubolye era nga bwamanyidde ddala abalungamu.

  8. فَلَا تُطِعِ ٱلۡمُكَذِّبِينَ

    Open ayah 68:8

    Kale nno togondera abo abalimbisa.

  9. وَدُّواْ لَوۡ تُدۡهِنُ فَيُدۡهِنُونَ

    Open ayah 68:9

    Bandyagadde nti singa obagondera nabo nebakugondera.

  10. وَلَا تُطِعۡ كُلَّ حَلَّافٖ مَّهِينٍ 

    Open ayah 68:10

    Era togeza n'ogondera buli alayiralayira ataliimu nsa.

  11. هَمَّازٖ مَّشَّآءِۭ بِنَمِيمٖ

    Open ayah 68:11

    Omugeyi atambuza olugambo.

  12. مَّنَّاعٖ لِّلۡخَيۡرِ مُعۡتَدٍ أَثِيمٍ

    Open ayah 68:12

    Omukodo, omulumbaganyi omwononefu.

  13. عُتُلِّۭ بَعۡدَ ذَٰلِكَ زَنِيمٍ

    Open ayah 68:13

    Mubi nnyo ate awamu n'ekyo mwana w'abwenzi.

  14. أَن كَانَ ذَا مَالٖ وَبَنِينَ

    Open ayah 68:14

    Tomugondera olwokuba alina emmali n'abaana.

  15. إِذَا تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِ ءَايَٰتُنَا قَالَ أَسَٰطِيرُ ٱلۡأَوَّلِينَ

    Open ayah 68:15

    Omuntu oyo bwasomerwa ebigambo byaffe agamba nti nfumo z'abantu abedda.

  16. سَنَسِمُهُۥ عَلَى ٱلۡخُرۡطُومِ

    Open ayah 68:16

    Kulunaku lw’enkomerero tugenda kussa kunyindo ye akabonero akamulamba nga tanayingizibwa muliro.

  17. إِنَّا بَلَوۡنَٰهُمۡ كَمَا بَلَوۡنَآ أَصۡحَٰبَ ٱلۡجَنَّةِ إِذۡ أَقۡسَمُواْ لَيَصۡرِمُنَّهَا مُصۡبِحِينَ

    Open ayah 68:17

    Mazima ffe twagezesa abantu be Makkah bwetwabaleetera enjala nga bwetwagezesa abantu abaalina enimiro yaabwe abalayira nti baali bagenda kukungula kumakya nnyo, olwo nno baleme kugabirako bantu balala.

  18. وَلَا يَسۡتَثۡنُونَ

    Open ayah 68:18

    Wabula beerabira okugamba nti Insh'allah.

  19. فَطَافَ عَلَيۡهَا طَآئِفٞ مِّن رَّبِّكَ وَهُمۡ نَآئِمُونَ

    Open ayah 68:19

    Katonda n'agisindikira nabbambula w'omuliro ogwa gizikiriza ekiro nga beebase.

  20. فَأَصۡبَحَتۡ كَٱلصَّرِيمِ 

    Open ayah 68:20

    Okugenda okukya ngankalu nga enkungule.

  21. فَتَنَادَوۡاْ مُصۡبِحِينَ

    Open ayah 68:21

    Ku lunaku olulaganye baakeera nnyo era nga buli omu agenda atemya kumunne.

  22. أَنِ ٱغۡدُواْ عَلَىٰ حَرۡثِكُمۡ إِن كُنتُمۡ صَٰرِمِينَ

    Open ayah 68:22

    Ngabagamba nti muzuukuke mugende mu nimiro yammwe bwe muba ddala nga munakungula nga bwemwagambye.

  23. فَٱنطَلَقُواْ وَهُمۡ يَتَخَٰفَتُونَ

    Open ayah 68:23

    Baatambula nga bogera bwama.

  24. أَن لَّا يَدۡخُلَنَّهَا ٱلۡيَوۡمَ عَلَيۡكُم مِّسۡكِينٞ

    Open ayah 68:24

    Nga bwebagamba nti tebagenda kukkiriza Masikiini yenna kuyingira mu ssamba yaabwe.

  25. وَغَدَوۡاْ عَلَىٰ حَرۡدٖ قَٰدِرِينَ

    Open ayah 68:25

    Baatambula kumakya okwo nga bakakasa nti bagenda kutuukiriza kyebaali basazeewo eggulo limu.

  26. فَلَمَّا رَأَوۡهَا قَالُوٓاْ إِنَّا لَضَآلُّونَ

    Open ayah 68:26

    Bwebaalaba ennimiro yaabwe b'agamba nti tubuze.

  27. بَلۡ نَحۡنُ مَحۡرُومُونَ

    Open ayah 68:27

    Sinakindi Katonda yagizikirizza olwe kigendererwa kyaffe ekibi ekyobutakkiriza kugabirako ba Masikiini.

  28. قَالَ أَوۡسَطُهُمۡ أَلَمۡ أَقُل لَّكُمۡ لَوۡلَا تُسَبِّحُونَ

    Open ayah 68:28

    Eyali abasingako eddiini n'obuntu bulamu nabagamba nti ssabagambye nti obutawaako banaku buba bulyazamanyi bwennyini, era kati kyetuteekwa okukola kwekutendereza Katonda kuba tetunamanya yatusonyiye oba nedda.

  29. قَالُواْ سُبۡحَٰنَ رَبِّنَآ إِنَّا كُنَّا ظَٰلِمِينَ

    Open ayah 68:29

    Olwo nno nebagamba nti yayawukana Katonda waffe mazima twabadde tweyisizza bubi.

  30. فَأَقۡبَلَ بَعۡضُهُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٖ يَتَلَٰوَمُونَ 

    Open ayah 68:30

    Awamu nekyo baatandika okuwaanyisiganya ebigambo nga abamu banenya bannabwe.

  31. قَالُواْ يَٰوَيۡلَنَآ إِنَّا كُنَّا طَٰغِينَ

    Open ayah 68:31

    Nebagamba nti mazima ffe tubadde bajeemu.

  32. عَسَىٰ رَبُّنَآ أَن يُبۡدِلَنَا خَيۡرٗا مِّنۡهَآ إِنَّآ إِلَىٰ رَبِّنَا رَٰغِبُونَ

    Open ayah 68:32

    Tusaba Katonda waffe emmali yaffe etokomose atuwanyisizeemu ebirungi, mazima ddala ew'a Katonda waffe yokka gyetusaba obuyambi.

  33. كَذَٰلِكَ ٱلۡعَذَابُۖ وَلَعَذَابُ ٱلۡأٓخِرَةِ أَكۡبَرُۚ لَوۡ كَانُواْ يَعۡلَمُونَ

    Open ayah 68:33

    Bwebityo nno ebibonerezo bwebiba naye wabula ebibonerezo by'olunaku lw’enkomerero byebisinga obukakali singa baba ddala nga bamanyi.

  34. إِنَّ لِلۡمُتَّقِينَ عِندَ رَبِّهِمۡ جَنَّٰتِ ٱلنَّعِيمِ

    Open ayah 68:34

    Mazima abatya Katonda baategekerwa e jjana ez'ebyengera ewa Katonda waabwe

  35. أَفَنَجۡعَلُ ٱلۡمُسۡلِمِينَ كَٱلۡمُجۡرِمِينَ

    Open ayah 68:35

    Gwe ate abakkiriza twalibayisizza nga abonoonyi.

  36. مَا لَكُمۡ كَيۡفَ تَحۡكُمُونَ

    Open ayah 68:36

    Mwaba ki, e nsonga muzisalawo mutya!

  37. أَمۡ لَكُمۡ كِتَٰبٞ فِيهِ تَدۡرُسُونَ

    Open ayah 68:37

    Simanyi mulinayo ekitabo mwemubisoma.

  38. إِنَّ لَكُمۡ فِيهِ لَمَا تَخَيَّرُونَ

    Open ayah 68:38

    Era nga mukitaba ekyo mulimu nti mwe mulyesalirawo kyemwagala ku lunaku lw'enkomerero.

  39. أَمۡ لَكُمۡ أَيۡمَٰنٌ عَلَيۡنَا بَٰلِغَةٌ إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ إِنَّ لَكُمۡ لَمَا تَحۡكُمُونَ

    Open ayah 68:39

    Oba mulina e ndagano gye twabawa nga etuukira ddala ku lunaku lw'enkomerero ngebawa ebbeetu okwesalirawo nga bwemulaba.

  40. سَلۡهُمۡ أَيُّهُم بِذَٰلِكَ زَعِيمٌ 

    Open ayah 68:40

    Babuuze ani eyesowolayo abe nga akulembera endowooza eyo.

  41. أَمۡ لَهُمۡ شُرَكَآءُ فَلۡيَأۡتُواْ بِشُرَكَآئِهِمۡ إِن كَانُواْ صَٰدِقِينَ

    Open ayah 68:41

    Oba balinayo (ababeesiguza) nga babayita babeezi ba Katonda, kale nno bajjanga nabo bwebaba nga bogera mazima.

  42. يَوۡمَ يُكۡشَفُ عَن سَاقٖ وَيُدۡعَوۡنَ إِلَى ٱلسُّجُودِ فَلَا يَسۡتَطِيعُونَ

    Open ayah 68:42

    Ku lunaku olulibeera olw'okubikkula ku ntumbwe. Balikowoolwa okuvunnamira Katonda naye nga tebasobola.

  43. خَٰشِعَةً أَبۡصَٰرُهُمۡ تَرۡهَقُهُمۡ ذِلَّةٞۖ وَقَدۡ كَانُواْ يُدۡعَوۡنَ إِلَى ٱلسُّجُودِ وَهُمۡ سَٰلِمُونَ

    Open ayah 68:43

    Nga amaaso gaabwe makakkamu olw'obuswavu, nga bajjudde okunyomebwa so nga ate baakowolwa okuvunnamira Katonda nga bakyali balamu ne batakikola.

  44. فَذَرۡنِي وَمَن يُكَذِّبُ بِهَٰذَا ٱلۡحَدِيثِۖ سَنَسۡتَدۡرِجُهُم مِّنۡ حَيۡثُ لَا يَعۡلَمُونَ

    Open ayah 68:44

    Kale ndeka noyo alimbisa ebigambo bino tujja kubatwaliriza mpola mpola nga tebamanyi.

  45. وَأُمۡلِي لَهُمۡۚ إِنَّ كَيۡدِي مَتِينٌ

    Open ayah 68:45

    Era mbalindiriza, anti entegeka zange nnywevu.

  46. أَمۡ تَسۡـَٔلُهُمۡ أَجۡرٗا فَهُم مِّن مَّغۡرَمٖ مُّثۡقَلُونَ

    Open ayah 68:46

    Abaffe wali obasabye empeera nebakaluubirirwa kusasula.

  47. أَمۡ عِندَهُمُ ٱلۡغَيۡبُ فَهُمۡ يَكۡتُبُونَ

    Open ayah 68:47

    Oba bamanyi ebyewala nga babiwandiika (nga bebyelamuza, era nga biraga nti bagenda kubeera bulungi).

  48. فَٱصۡبِرۡ لِحُكۡمِ رَبِّكَ وَلَا تَكُن كَصَاحِبِ ٱلۡحُوتِ إِذۡ نَادَىٰ وَهُوَ مَكۡظُومٞ

    Open ayah 68:48

    Kale nno beera mugumikiriza ku kusalawo kwa Katondawo, tobeera nga ow'ekyennyanja (Nabbi Yunus) eyatuuka okukowoola (Katondawe okumutaasa) nga ajjudde obunyiikaavu.

  49. لَّوۡلَآ أَن تَدَٰرَكَهُۥ نِعۡمَةٞ مِّن رَّبِّهِۦ لَنُبِذَ بِٱلۡعَرَآءِ وَهُوَ مَذۡمُومٞ

    Open ayah 68:49

    Singa teyafuna kyengera ekyava ewa Katondawe (ekyokukiriza okwenenyakwe) yandikasukiddwa mu nsi e nkalu (etariiko bulamu) nga naye anenyezebwa.

  50. فَٱجۡتَبَٰهُ رَبُّهُۥ فَجَعَلَهُۥ مِنَ ٱلصَّٰلِحِينَ 

    Open ayah 68:50

    Wabula Katonda yamulekera obwa Nabbi era namuteeka mu bantu abalongofu.

  51. وَإِن يَكَادُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَيُزۡلِقُونَكَ بِأَبۡصَٰرِهِمۡ لَمَّا سَمِعُواْ ٱلذِّكۡرَ وَيَقُولُونَ إِنَّهُۥ لَمَجۡنُونٞ

    Open ayah 68:51

    Abakafiiri basemberera ddala okukuzikiriza n'amaaso gaabwe amabi (olw'ekkonda eriri ku myoyo gyabwe) bwe bawulira Kur'ani era ne bagamba nti mazima yye (Nabbi) mulalu.

  52. وَمَا هُوَ إِلَّا ذِكۡرٞ لِّلۡعَٰلَمِينَ

    Open ayah 68:52

    So ng'ate (Kur'ani) teri okugyako kya kujjukiza eri e bitonde.