الملك
Al-Mulk
Translation: Luganda - African Institution · Open the surah
بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ
تَبَٰرَكَ ٱلَّذِي بِيَدِهِ ٱلۡمُلۡكُ وَهُوَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٌ
Open ayah 67:1Mukama Katonda nanyini buyinza bwonna musukkulumu, era nga muyinza w'abuli kintu.
ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلۡمَوۡتَ وَٱلۡحَيَوٰةَ لِيَبۡلُوَكُمۡ أَيُّكُمۡ أَحۡسَنُ عَمَلٗاۚ وَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡغَفُورُ
Open ayah 67:2Oyo eyatonda okufa n'obulamu, olwokubageseza alabe ani asinga okukola obulungi. Naye ye Nnantakubwa ku mukono omusonyiyi.
ٱلَّذِي خَلَقَ سَبۡعَ سَمَٰوَٰتٖ طِبَاقٗاۖ مَّا تَرَىٰ فِي خَلۡقِ ٱلرَّحۡمَٰنِ مِن تَفَٰوُتٖۖ فَٱرۡجِعِ ٱلۡبَصَرَ هَلۡ تَرَىٰ مِن فُطُورٖ
Open ayah 67:3Oyo eyatonda eggulu omusanvu nga myaliro, toyinza kulaba mu kutonda kwa Katonda kamogo konna w'etegereze abaffe olabamu obukyamu bwonna.
ثُمَّ ٱرۡجِعِ ٱلۡبَصَرَ كَرَّتَيۡنِ يَنقَلِبۡ إِلَيۡكَ ٱلۡبَصَرُ خَاسِئٗا وَهُوَ حَسِيرٞ
Open ayah 67:4Era zzaayo amaaso emirundi nemirundi eriiso lijja ku kuddira nga likooye era nga tolina kyofunyeeyo.
وَلَقَدۡ زَيَّنَّا ٱلسَّمَآءَ ٱلدُّنۡيَا بِمَصَٰبِيحَ وَجَعَلۡنَٰهَا رُجُومٗا لِّلشَّيَٰطِينِۖ وَأَعۡتَدۡنَا لَهُمۡ عَذَابَ ٱلسَّعِيرِ
Open ayah 67:5Mazima eggulu eriri okumpi n'ensi twalinyiriza nemunyeeye ezaaka, era nga bitawuliro ebigoba Sitani era Sitani ezo twazitegekera ebibonerezo byomuliro Ssair.
وَلِلَّذِينَ كَفَرُواْ بِرَبِّهِمۡ عَذَابُ جَهَنَّمَۖ وَبِئۡسَ ٱلۡمَصِيرُ
Open ayah 67:6Ate bbo abaawakanya Katonda waabwe twabategekera ebibonerezo byamuliro Jahannama era buliba buddo bubi.
إِذَآ أُلۡقُواْ فِيهَا سَمِعُواْ لَهَا شَهِيقٗا وَهِيَ تَفُورُ
Open ayah 67:7Bwe baligusuulwamu bagenda kuguwulira nga gutokota era nga gufuuwa.
تَكَادُ تَمَيَّزُ مِنَ ٱلۡغَيۡظِۖ كُلَّمَآ أُلۡقِيَ فِيهَا فَوۡجٞ سَأَلَهُمۡ خَزَنَتُهَآ أَلَمۡ يَأۡتِكُمۡ نَذِيرٞ
Open ayah 67:8Nga gubula kuyulikamu buli lwegunasulwangamu ekibinja abakuumi bagwo banababuuzanga nti temwajjirwa muntu yenna abatiisa (muliro guno)?
قَالُواْ بَلَىٰ قَدۡ جَآءَنَا نَذِيرٞ فَكَذَّبۡنَا وَقُلۡنَا مَا نَزَّلَ ٱللَّهُ مِن شَيۡءٍ إِنۡ أَنتُمۡ إِلَّا فِي ضَلَٰلٖ كَبِيرٖ
Open ayah 67:9Baliddamu nti weewawo omutiisa yatujjira naye netumulimbisa era netumugamba nti Katonda tassanga bubaka bwonna, ebyo byemulimu bubuze obuyitirivu.
وَقَالُواْ لَوۡ كُنَّا نَسۡمَعُ أَوۡ نَعۡقِلُ مَا كُنَّا فِيٓ أَصۡحَٰبِ ٱلسَّعِيرِ
Open ayah 67:10Baligamba nti singa twali tuwulira oba nga tutegeera (ebyatugambwanga) tetwandibadde bamu kwabo abayingira omuliro.
فَٱعۡتَرَفُواْ بِذَنۢبِهِمۡ فَسُحۡقٗا لِّأَصۡحَٰبِ ٱلسَّعِيرِ
Open ayah 67:11Nebeekakasaako ekyonoono kyabwe okufaafaganirwa kuli ku bantu bo mu muliro.
إِنَّ ٱلَّذِينَ يَخۡشَوۡنَ رَبَّهُم بِٱلۡغَيۡبِ لَهُم مَّغۡفِرَةٞ وَأَجۡرٞ كَبِيرٞ
Open ayah 67:12Mazima abo abatya Katonda wabwe awamu n'okuba nga talabika, bagenda okufuna ekisonyiwo n'empeera ensuffu.
وَأَسِرُّواْ قَوۡلَكُمۡ أَوِ ٱجۡهَرُواْ بِهِۦٓۖ إِنَّهُۥ عَلِيمُۢ بِذَاتِ ٱلصُّدُورِ
Open ayah 67:13Kyekimu mukwese ebigambo byamwe oba mubyatudde mazima yye amanyi ebiri mu bifuba
أَلَا يَعۡلَمُ مَنۡ خَلَقَ وَهُوَ ٱللَّطِيفُ ٱلۡخَبِيرُ
Open ayah 67:14Abaffe eyatonda ayinza obutamanya nga ate ye muyitirivu w'okumanya era nga mukugu nnyo!.
هُوَ ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُمُ ٱلۡأَرۡضَ ذَلُولٗا فَٱمۡشُواْ فِي مَنَاكِبِهَا وَكُلُواْ مِن رِّزۡقِهِۦۖ وَإِلَيۡهِ ٱلنُّشُورُ
Open ayah 67:15Yye yoyo eyabafuulira ensi enyangu, kale mutambule mu bitundu byayo mulye mu bigabwabye era gyali gye mugenda okudda.
ءَأَمِنتُم مَّن فِي ٱلسَّمَآءِ أَن يَخۡسِفَ بِكُمُ ٱلۡأَرۡضَ فَإِذَا هِيَ تَمُورُ
Open ayah 67:16Musuubidde okuwona oyo ali waggulu ensi n'etabamira singa eba etabanguse.
أَمۡ أَمِنتُم مَّن فِي ٱلسَّمَآءِ أَن يُرۡسِلَ عَلَيۡكُمۡ حَاصِبٗاۖ فَسَتَعۡلَمُونَ كَيۡفَ نَذِيرِ
Open ayah 67:17Oba musuubidde okuwona oyo ali waggulu n'atabasindikira muyaga, wabula mugenda kumanya okulabula kwange nga bwekwali okukulu.
وَلَقَدۡ كَذَّبَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡ فَكَيۡفَ كَانَ نَكِيرِ
Open ayah 67:18Abo abaaliwo oluberyeberye lwabwe baalimbisa, naye tewamanya kyennabatusaako.
أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ إِلَى ٱلطَّيۡرِ فَوۡقَهُمۡ صَٰٓفَّٰتٖ وَيَقۡبِضۡنَۚ مَا يُمۡسِكُهُنَّ إِلَّا ٱلرَّحۡمَٰنُۚ إِنَّهُۥ بِكُلِّ شَيۡءِۭ بَصِيرٌ
Open ayah 67:19Abaffe tebalaba ebinyonyi ebibuukira waggulu wabwe nga byanjuluza ebiwawaatiro ate nga n'oluusi biwumbako, tewali kibikuumira mu bbanga okugyako Katonda omusaasizi, mazima ye alaba buli kintu.
أَمَّنۡ هَٰذَا ٱلَّذِي هُوَ جُندٞ لَّكُمۡ يَنصُرُكُم مِّن دُونِ ٱلرَّحۡمَٰنِۚ إِنِ ٱلۡكَٰفِرُونَ إِلَّا فِي غُرُورٍ
Open ayah 67:20Oba ani oyo asobola okubalwanirira n'abataasa atali Katonda, abawakanyi tebalina kyebaliko okugyako mawaggali.
أَمَّنۡ هَٰذَا ٱلَّذِي يَرۡزُقُكُمۡ إِنۡ أَمۡسَكَ رِزۡقَهُۥۚ بَل لَّجُّواْ فِي عُتُوّٖ وَنُفُورٍ
Open ayah 67:21Ye abaffe ani oyo ayinza okubagabirira singa Katonda abajjako okugabirirakwe. Wabula baagwa mu kateebe k'okuwalaaza empaka n'okwewaggula.
أَفَمَن يَمۡشِي مُكِبًّا عَلَىٰ وَجۡهِهِۦٓ أَهۡدَىٰٓ أَمَّن يَمۡشِي سَوِيًّا عَلَىٰ صِرَٰطٖ مُّسۡتَقِيمٖ
Open ayah 67:22Ye abaffe oyo atambula abwamiridde ku kyenyikye y'abeera kubulungamu oba oyo atambula nga yeegolodde ngali ku Kkubo eggolokofu.
قُلۡ هُوَ ٱلَّذِيٓ أَنشَأَكُمۡ وَجَعَلَ لَكُمُ ٱلسَّمۡعَ وَٱلۡأَبۡصَٰرَ وَٱلۡأَفۡـِٔدَةَۚ قَلِيلٗا مَّا تَشۡكُرُونَ
Open ayah 67:23Bagambe nti Katonda y'eyabatandikawo n'abassako amatu n'amaaso n'abawa n'emitima wabula mwebaza kitono.
قُلۡ هُوَ ٱلَّذِي ذَرَأَكُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَإِلَيۡهِ تُحۡشَرُونَ
Open ayah 67:24Bagambe nti Katonda yoyo eyabassa mu nsi era nga mugenda kuzuukizibwa mudde gyali.
وَيَقُولُونَ مَتَىٰ هَٰذَا ٱلۡوَعۡدُ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ
Open ayah 67:25Bagamba mu kubalaata nti ebyo byemutulaganyisa biribaawo ddi bwe mubanga byemwogera bituufu.
قُلۡ إِنَّمَا ٱلۡعِلۡمُ عِندَ ٱللَّهِ وَإِنَّمَآ أَنَا۠ نَذِيرٞ مُّبِينٞ
Open ayah 67:26Bagambe nti okumanya okujjuvu okukwata ku nsonga eyo kuli wa Katonda, naye nze ndi mutiisa owolwatu.
فَلَمَّا رَأَوۡهُ زُلۡفَةٗ سِيٓـَٔتۡ وُجُوهُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَقِيلَ هَٰذَا ٱلَّذِي كُنتُم بِهِۦ تَدَّعُونَ
Open ayah 67:27Bwe baliraba e bibonerezo nga bisembedde, ebyenyi byabo abakafuwala bigenda kwekaba, awo balyoke bategezebwe nti ekyo nno kye mwagambanga nti kirituukaddi.
قُلۡ أَرَءَيۡتُمۡ إِنۡ أَهۡلَكَنِيَ ٱللَّهُ وَمَن مَّعِيَ أَوۡ رَحِمَنَا فَمَن يُجِيرُ ٱلۡكَٰفِرِينَ مِنۡ عَذَابٍ أَلِيمٖ
Open ayah 67:28Bagambe nti, mulaba mutya singa Katonda anzikiriza n'abo abali nange oba n'atusaasira anti obuyinza bwonna buli gyali, naye ani alitaasa abakafiiri ku bibonerezo ebiruma.
قُلۡ هُوَ ٱلرَّحۡمَٰنُ ءَامَنَّا بِهِۦ وَعَلَيۡهِ تَوَكَّلۡنَاۖ فَسَتَعۡلَمُونَ مَنۡ هُوَ فِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٖ
Open ayah 67:29Bagambe nti yye Katonda omusaasizi gwetukkiriza era yekka gwetwesiga wabula lumu mulimanya ani ali mu bubuze obweyolefu.
قُلۡ أَرَءَيۡتُمۡ إِنۡ أَصۡبَحَ مَآؤُكُمۡ غَوۡرٗا فَمَن يَأۡتِيكُم بِمَآءٖ مَّعِينِۭ
Open ayah 67:30Bagambe nti mulaba mutya singa amazzi gammwe bukya nga gakalidde ani ayinza okubawa amazzi agakulukuta amayonjo.