الانسان
Al-Insaan
Translation: Luganda - African Institution · Open the surah
بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ
هَلۡ أَتَىٰ عَلَى ٱلۡإِنسَٰنِ حِينٞ مِّنَ ٱلدَّهۡرِ لَمۡ يَكُن شَيۡـٔٗا مَّذۡكُورًا
Open ayah 76:1Omuntu tajjukira nti waayitawo ekiseera kinene nga tayogerwako (nga tannatondebwa).
إِنَّا خَلَقۡنَا ٱلۡإِنسَٰنَ مِن نُّطۡفَةٍ أَمۡشَاجٖ نَّبۡتَلِيهِ فَجَعَلۡنَٰهُ سَمِيعَۢا بَصِيرًا
Open ayah 76:2Mazima ffe twatonda omuntu nga ava mu kwetabula kwamazzi (ag'omusajja n'omukazi) naye nga waakugezesebwa mu bulamu bwe. Kyetwava tumuwa okuwulira n'okulaba.
إِنَّا هَدَيۡنَٰهُ ٱلسَّبِيلَ إِمَّا شَاكِرٗا وَإِمَّا كَفُورًا
Open ayah 76:3Mazima ddala twamulaga e kkubo, kiri gyali yeebaza naasinza Katonda omu oba ajeema n'awakanya.
إِنَّآ أَعۡتَدۡنَا لِلۡكَٰفِرِينَ سَلَٰسِلَاْ وَأَغۡلَٰلٗا وَسَعِيرًا
Open ayah 76:4Mazima ddala abakafiiri twabategekera enjegere n'amakoligo n'omuliro ogutuntumuka.
إِنَّ ٱلۡأَبۡرَارَ يَشۡرَبُونَ مِن كَأۡسٖ كَانَ مِزَاجُهَا كَافُورًا
Open ayah 76:5Mazima abakozi bobulungi bagenda kunywa ekyokunywa nga kitabuddwa mu kafuura.
عَيۡنٗا يَشۡرَبُ بِهَا عِبَادُ ٱللَّهِ يُفَجِّرُونَهَا تَفۡجِيرٗا
Open ayah 76:6Olwo nno luliba luzzi abaddu b'a Katonda abeeyisa obulungi kwebagendanga okunywa, lugenda kukulukuta nga buli muntu lumutuukako waali.
يُوفُونَ بِٱلنَّذۡرِ وَيَخَافُونَ يَوۡمٗا كَانَ شَرُّهُۥ مُسۡتَطِيرٗا
Open ayah 76:7(Bagenda kutuuka kwebyo kubanga) kuno ku nsi baatuukiriza nnaziri zaabwe, era nga batya olunaku olwo obuzibu bwalwo obugenda okubuutikira e nsi n'eggulu.
وَيُطۡعِمُونَ ٱلطَّعَامَ عَلَىٰ حُبِّهِۦ مِسۡكِينٗا وَيَتِيمٗا وَأَسِيرًا
Open ayah 76:8Era bagabira abanaku ne bamulekwa nabasibe emmere awamu n'okuba nti bo bennyini bagyetaaga.
إِنَّمَا نُطۡعِمُكُمۡ لِوَجۡهِ ٱللَّهِ لَا نُرِيدُ مِنكُمۡ جَزَآءٗ وَلَا شُكُورًا
Open ayah 76:9Nga bagamba nti mazima tubaliisa lwa Katonda tetubaagalamu mpeera wadde okwebaza.
إِنَّا نَخَافُ مِن رَّبِّنَا يَوۡمًا عَبُوسٗا قَمۡطَرِيرٗا
Open ayah 76:10(Ekitukozesa bino lwakuba nti) mazima ddala ffe tutya engeri gye tulisisinkanamu Katonda waffe ku lunaku e byenyi (bya bantu) lwe birijjula emitaafu nga byekabye.
فَوَقَىٰهُمُ ٱللَّهُ شَرَّ ذَٰلِكَ ٱلۡيَوۡمِ وَلَقَّىٰهُمۡ نَضۡرَةٗ وَسُرُورٗا
Open ayah 76:11N'olwekyo nno Katonda wakubawonya obuzibu bw'olunaku olwo era abawe okutangalijja kwe byenyi awamu n'essanyu.
وَجَزَىٰهُم بِمَا صَبَرُواْ جَنَّةٗ وَحَرِيرٗا
Open ayah 76:12Era wakubasasula olwobugumikiriza, nga abayingiza e jjana omuli ebyambalo bya Siliki (awamu nokuba nti kunsi abasajja baaziyizibwa okumwambala).
مُّتَّكِـِٔينَ فِيهَا عَلَى ٱلۡأَرَآئِكِۖ لَا يَرَوۡنَ فِيهَا شَمۡسٗا وَلَا زَمۡهَرِيرٗا
Open ayah 76:13Balituula mu ntebe ez'omuwendo nga besigamye, tebagenda kutukwako kwokya kwanjuba wadde obutiti.
وَدَانِيَةً عَلَيۡهِمۡ ظِلَٰلُهَا وَذُلِّلَتۡ قُطُوفُهَا تَذۡلِيلٗا
Open ayah 76:14Era nga mulimu emiti egiribakolera ebisiikirize, era nga nebibala byamu bigenda kuba byangu byakunoga.
وَيُطَافُ عَلَيۡهِم بِـَٔانِيَةٖ مِّن فِضَّةٖ وَأَكۡوَابٖ كَانَتۡ قَوَارِيرَا۠
Open ayah 76:15Baligabulirwa ku sowane eza feeza era bakunywera ku girasi ezitemagana.
قَوَارِيرَاْ مِن فِضَّةٖ قَدَّرُوهَا تَقۡدِيرٗا
Open ayah 76:16Ziritemegana anti ziriba zaakolebwa mu feeza, ziriba zimala bumazi okubeeramu ekyokunywa ekimalawo obwetaavu bwoyo anywa.
وَيُسۡقَوۡنَ فِيهَا كَأۡسٗا كَانَ مِزَاجُهَا زَنجَبِيلًا
Open ayah 76:17Era bagenda kuweebwa eby'okunywa ebiri mu girasi nga bitabulwamu entangawuzi.
عَيۡنٗا فِيهَا تُسَمَّىٰ سَلۡسَبِيلٗا
Open ayah 76:18Eyo nno egenda kuba nsulo mu jjana eyitibwa "Salsabiila".
۞وَيَطُوفُ عَلَيۡهِمۡ وِلۡدَٰنٞ مُّخَلَّدُونَ إِذَا رَأَيۡتَهُمۡ حَسِبۡتَهُمۡ لُؤۡلُؤٗا مَّنثُورٗا
Open ayah 76:19Bagenda kuweerezebwanga abaweereza abolubeerera, nga bwobatunulako bwoti olaba lu'ulu asasanyiziddwa.
وَإِذَا رَأَيۡتَ ثَمَّ رَأَيۡتَ نَعِيمٗا وَمُلۡكٗا كَبِيرًا
Open ayah 76:20Buli wonotunulanga mu jjana ng'olaba ebyengera ebisuffu n'obwanannyini obutaliiko kkomo.
عَٰلِيَهُمۡ ثِيَابُ سُندُسٍ خُضۡرٞ وَإِسۡتَبۡرَقٞۖ وَحُلُّوٓاْ أَسَاوِرَ مِن فِضَّةٖ وَسَقَىٰهُمۡ رَبُّهُمۡ شَرَابٗا طَهُورًا
Open ayah 76:21Baliba bambadde engoye eza Siliki omuweweevu owakiragala ne Siliki omuzito, era bagenda kuba bawundiddwa nebikomo ebya feeza, era Mukama Katonda waabwe agenda kubawa ebyokunywa ebitukuvu.
إِنَّ هَٰذَا كَانَ لَكُمۡ جَزَآءٗ وَكَانَ سَعۡيُكُم مَّشۡكُورًا
Open ayah 76:22(Baligambwa nti) Mazima ebyo byonna yempeera yammwe, mazima okutegana kwa mmwe kusiimiddwa.
إِنَّا نَحۡنُ نَزَّلۡنَا عَلَيۡكَ ٱلۡقُرۡءَانَ تَنزِيلٗا
Open ayah 76:23Mazima ffe twakussaako Kur'ani (gwe Nabbi Muhammad) olussa.
فَٱصۡبِرۡ لِحُكۡمِ رَبِّكَ وَلَا تُطِعۡ مِنۡهُمۡ ءَاثِمًا أَوۡ كَفُورٗا
Open ayah 76:24Kale nno beera mugumikiriza ku kugera kwa Katondawo, togezaako okugondera omwonoonyi oba omuwakanyi yenna.
وَٱذۡكُرِ ٱسۡمَ رَبِّكَ بُكۡرَةٗ وَأَصِيلٗا
Open ayah 76:25Era yogeranga kulinnya lya Mukama Katondawo enkya neggulo.
وَمِنَ ٱلَّيۡلِ فَٱسۡجُدۡ لَهُۥ وَسَبِّحۡهُ لَيۡلٗا طَوِيلًا
Open ayah 76:26Ne mukiro muvunnamire ng'osaala era omutendereze mu ttumbi ebbanga ggwanvu.
إِنَّ هَٰٓؤُلَآءِ يُحِبُّونَ ٱلۡعَاجِلَةَ وَيَذَرُونَ وَرَآءَهُمۡ يَوۡمٗا ثَقِيلٗا
Open ayah 76:27Mazima abatakkiriza basinga kwagala birungi byansi ebyamangu, ne basuulayo gwannaggamba ku bikwata ku lunaku lw'enkomerero oluzito.
نَّحۡنُ خَلَقۡنَٰهُمۡ وَشَدَدۡنَآ أَسۡرَهُمۡۖ وَإِذَا شِئۡنَا بَدَّلۡنَآ أَمۡثَٰلَهُمۡ تَبۡدِيلًا
Open ayah 76:28Ffe twabatonda ne tugumya e biyungo byabwe, naye nga bwe tuba twagadde (tuyinza okubazikiriza) ne tuleeta abantu abalala.
إِنَّ هَٰذِهِۦ تَذۡكِرَةٞۖ فَمَن شَآءَ ٱتَّخَذَ إِلَىٰ رَبِّهِۦ سَبِيلٗا
Open ayah 76:29Mazima obubaka bwa Kur'ani buno kya kwebulirira era nga kyakujjukiza, n'olwekyo aba ayagadde asanye y'eteerewo ekkubo erimutuusa eri Katondawe.
وَمَا تَشَآءُونَ إِلَّآ أَن يَشَآءَ ٱللَّهُۚ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ عَلِيمًا حَكِيمٗا
Open ayah 76:30Naye ate temusobola kwagala okugyako nga Katonda ayagadde, mazima Katonda lubeerera amanyi, assa buli kintu mussa lyako.
يُدۡخِلُ مَن يَشَآءُ فِي رَحۡمَتِهِۦۚ وَٱلظَّٰلِمِينَ أَعَدَّ لَهُمۡ عَذَابًا أَلِيمَۢا
Open ayah 76:31Ayingiza oyo gwaba ayagadde mu kusaasirakwe, ate bbo abalyazamanyi yabategekera ebibonerezo ebiruma.