الجاثية

Al-Jaathiya

Crouching · Surah 45 · Ayahs: 37 · Meccan

Translation: Luganda - African Institution · Open the surah

بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ

  1. Ha Mim.

  2. تَنزِيلُ ٱلۡكِتَٰبِ مِنَ ٱللَّهِ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡحَكِيمِ

    Open ayah 45:2

    Okussa kwe kitabo (Kur’ani) kyava wa Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.

  3. إِنَّ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ لَأٓيَٰتٖ لِّلۡمُؤۡمِنِينَ

    Open ayah 45:3

    Mazima mu (ggulu omusanvu n'ensi mulimu obubonero obwenkukunala (obulaga obuyinza bwa Katonda) eri abakkiriza.

  4. وَفِي خَلۡقِكُمۡ وَمَا يَبُثُّ مِن دَآبَّةٍ ءَايَٰتٞ لِّقَوۡمٖ يُوقِنُونَ

    Open ayah 45:4

    Era ne mu kutondebwa kwa mmwe, neebyo byasasaanya mu bitambulira (ku nsi) bubonero eri abantu abakakasa (okubeerawo kwa Katonda n’obuyinza bwe).

  5. وَٱخۡتِلَٰفِ ٱلَّيۡلِ وَٱلنَّهَارِ وَمَآ أَنزَلَ ٱللَّهُ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مِن رِّزۡقٖ فَأَحۡيَا بِهِ ٱلۡأَرۡضَ بَعۡدَ مَوۡتِهَا وَتَصۡرِيفِ ٱلرِّيَٰحِ ءَايَٰتٞ لِّقَوۡمٖ يَعۡقِلُونَ

    Open ayah 45:5

    N’okwawukana kw'ekiro n’emisana nebyo Katonda byassa okuva waggulu (enkuba) mu bigabwabye naalamusa nabyo ensi olubvannyuma lw'okufa kwayo, n'okutambuza empewo bubonero eri abantu abategeera.

  6. تِلۡكَ ءَايَٰتُ ٱللَّهِ نَتۡلُوهَا عَلَيۡكَ بِٱلۡحَقِّۖ فَبِأَيِّ حَدِيثِۭ بَعۡدَ ٱللَّهِ وَءَايَٰتِهِۦ يُؤۡمِنُونَ

    Open ayah 45:6

    Ebigambo bya Katonda ebyo (ebiraga obubonero bwe) tubikusomera mu butuufu, olwo bigambo ki oluvanyuma lwo kuwakanya Katonda n’ebigambo bye bye balikkiriza!

  7. وَيۡلٞ لِّكُلِّ أَفَّاكٍ أَثِيمٖ

    Open ayah 45:7

    Okubonabona kuli ku buli omuyitirivu w’okulimba omwonoonyi.

  8. يَسۡمَعُ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِ ثُمَّ يُصِرُّ مُسۡتَكۡبِرٗا كَأَن لَّمۡ يَسۡمَعۡهَاۖ فَبَشِّرۡهُ بِعَذَابٍ أَلِيمٖ

    Open ayah 45:8

    Awulira ebigambo bya Katonda nga bimusomerwa oluvanyuma naakalambira nga yeekuluntaza ng'alinga atabiwulidde, kale musanyuse nga (omuwa amawulire) g’ebibonerezo ebiruma ennyo.

  9. وَإِذَا عَلِمَ مِنۡ ءَايَٰتِنَا شَيۡـًٔا ٱتَّخَذَهَا هُزُوًاۚ أُوْلَٰٓئِكَ لَهُمۡ عَذَابٞ مُّهِينٞ

    Open ayah 45:9

    Bwamanya ekintu kyonna mu bigambo byaffe akifuula kya kujeeja, abo balina ebibonerezo ebinyoomesa.

  10. مِّن وَرَآئِهِمۡ جَهَنَّمُۖ وَلَا يُغۡنِي عَنۡهُم مَّا كَسَبُواْ شَيۡـٔٗا وَلَا مَا ٱتَّخَذُواْ مِن دُونِ ٱللَّهِ أَوۡلِيَآءَۖ وَلَهُمۡ عَذَابٌ عَظِيمٌ 

    Open ayah 45:10

    Mumaaso gaabwe omuliro Jahannama gubalinze era bye bakola tebigenda kubagasa kintu kyonna wadde ab’emikwano bebeteerawo nebava ku Katonda era balina ebibonerezo ebisuffu.

  11. هَٰذَا هُدٗىۖ وَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِـَٔايَٰتِ رَبِّهِمۡ لَهُمۡ عَذَابٞ مِّن رِّجۡزٍ أَلِيمٌ

    Open ayah 45:11

    (Kur’ani) eno, kyakulungamya. era abo abawakanya ebigambo bya Mukama omulabirizi waabwe balina ebibonerezo ebimu kwebyo ebikambwe ebiruma ennyo.

  12. ۞ٱللَّهُ ٱلَّذِي سَخَّرَ لَكُمُ ٱلۡبَحۡرَ لِتَجۡرِيَ ٱلۡفُلۡكُ فِيهِ بِأَمۡرِهِۦ وَلِتَبۡتَغُواْ مِن فَضۡلِهِۦ وَلَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ

    Open ayah 45:12

    Katonda yooyo eyabagondeza ennyanja, amaato gabe nga gatambulira ku yo olwekiragiro kye, era mube nga musobola okunoonya mu bigabwa bye, era musobole okwebaza.

  13. وَسَخَّرَ لَكُم مَّا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِ جَمِيعٗا مِّنۡهُۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يَتَفَكَّرُونَ

    Open ayah 45:13

    Era yabagondeza ebyo ebiri mu ggulu omusanvu nebyo ebiri mu nsi, nga byonna biva gyali. Mazima mwekyo mulimu obubonero (obulaga okubaayo kwa Katonda n’obuyinza bwe) eri abantu abafumitiriza.

  14. قُل لِّلَّذِينَ ءَامَنُواْ يَغۡفِرُواْ لِلَّذِينَ لَا يَرۡجُونَ أَيَّامَ ٱللَّهِ لِيَجۡزِيَ قَوۡمَۢا بِمَا كَانُواْ يَكۡسِبُونَ

    Open ayah 45:14

    Gamba abo abakkiriza basonyiwe abo abatasuubira (kusisinkana) naku za Katonda, alyoke asasule abantu olwebyo bye bakola.

  15. مَنۡ عَمِلَ صَٰلِحٗا فَلِنَفۡسِهِۦۖ وَمَنۡ أَسَآءَ فَعَلَيۡهَاۖ ثُمَّ إِلَىٰ رَبِّكُمۡ تُرۡجَعُونَ

    Open ayah 45:15

    Oyo akola emirimu emirungi akolera mwoyo gwe, ate oyo ayonoona (akabi k'okwonoona kwe) kadda eri mwoyo gwe, oluvanyuma eri Mukama omulabiririz wa mmwe gye mulizzibwa.

  16. وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا بَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحُكۡمَ وَٱلنُّبُوَّةَ وَرَزَقۡنَٰهُم مِّنَ ٱلطَّيِّبَٰتِ وَفَضَّلۡنَٰهُمۡ عَلَى ٱلۡعَٰلَمِينَ

    Open ayah 45:16

    Mazima twawa abaana ba Israil ekitabo n’okulamula wakati wa bantu n’obwa Nabbi netubagabirira ebirungi era netubasukkulumya ku bantu abalala (abaaliwo ku mulembe gwabwe).

  17. وَءَاتَيۡنَٰهُم بَيِّنَٰتٖ مِّنَ ٱلۡأَمۡرِۖ فَمَا ٱخۡتَلَفُوٓاْ إِلَّا مِنۢ بَعۡدِ مَا جَآءَهُمُ ٱلۡعِلۡمُ بَغۡيَۢا بَيۡنَهُمۡۚ إِنَّ رَبَّكَ يَقۡضِي بَيۡنَهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ فِيمَا كَانُواْ فِيهِ يَخۡتَلِفُونَ

    Open ayah 45:17

    Era twabawa obunnyonnyofu bwe kigambo (ekikwata ku kutumwa kwa Nabbi Muhammad) olwo nno tebayawukana okugyako luvannyuma lwa kumanya kubajjira (nga ekyo baakikola) olwo bukyayi obwali wakati waabwe, mazima Mukama omulabirizi wo agenda kulamula wakati waabwe ku lunaku lw’enkomerero mwebyo bye bayawukanangamu.

  18. ثُمَّ جَعَلۡنَٰكَ عَلَىٰ شَرِيعَةٖ مِّنَ ٱلۡأَمۡرِ فَٱتَّبِعۡهَا وَلَا تَتَّبِعۡ أَهۡوَآءَ ٱلَّذِينَ لَا يَعۡلَمُونَ

    Open ayah 45:18

    Oluvanyuma twakussa (ggwe Muhammad) ku nkola ennambulukufu ku kigambo kye (ddiini) kale gigoberere, era togoberera okwagala kwabo abatamanyi.

  19. إِنَّهُمۡ لَن يُغۡنُواْ عَنكَ مِنَ ٱللَّهِ شَيۡـٔٗاۚ وَإِنَّ ٱلظَّٰلِمِينَ بَعۡضُهُمۡ أَوۡلِيَآءُ بَعۡضٖۖ وَٱللَّهُ وَلِيُّ ٱلۡمُتَّقِينَ

    Open ayah 45:19

    Anti mazima bo tebayinza kukuyamba kintu kyonna kukutaasa Katonda, era mazima abeeyisa obubi abamu mu bo banywanyi ba bannaabwe, naye Katonda ye munywanyi w'abamutya.

  20. هَٰذَا بَصَٰٓئِرُ لِلنَّاسِ وَهُدٗى وَرَحۡمَةٞ لِّقَوۡمٖ يُوقِنُونَ 

    Open ayah 45:20

    Eno (Kur’ani) mumuli eri abantu, era bulungamu na kusaasira eri abantu abatya Katonda abannamaddala.

  21. أَمۡ حَسِبَ ٱلَّذِينَ ٱجۡتَرَحُواْ ٱلسَّيِّـَٔاتِ أَن نَّجۡعَلَهُمۡ كَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ سَوَآءٗ مَّحۡيَاهُمۡ وَمَمَاتُهُمۡۚ سَآءَ مَا يَحۡكُمُونَ

    Open ayah 45:21

    Abaffe oba abo abeewerebye ebibi basuubira nti tuyinza okubafuula nga abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu nga obulamu bwabwe n’okufa kwabwe bifaanana (nedda) okulamula kwabwe kubi.

  22. وَخَلَقَ ٱللَّهُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ بِٱلۡحَقِّ وَلِتُجۡزَىٰ كُلُّ نَفۡسِۭ بِمَا كَسَبَتۡ وَهُمۡ لَا يُظۡلَمُونَ

    Open ayah 45:22

    Era Katonda yakola eggulu ne nsi mu butuufu era buli mwoyo gulyoke gube nga gusasulwa olwebyo, bye gwakola era bo si bakulyazamanyizibwa.

  23. أَفَرَءَيۡتَ مَنِ ٱتَّخَذَ إِلَٰهَهُۥ هَوَىٰهُ وَأَضَلَّهُ ٱللَّهُ عَلَىٰ عِلۡمٖ وَخَتَمَ عَلَىٰ سَمۡعِهِۦ وَقَلۡبِهِۦ وَجَعَلَ عَلَىٰ بَصَرِهِۦ غِشَٰوَةٗ فَمَن يَهۡدِيهِ مِنۢ بَعۡدِ ٱللَّهِۚ أَفَلَا تَذَكَّرُونَ

    Open ayah 45:23

    Abaffe olabye oyo okwagalakwe nga kwafuula Katonda we, Katonda naamubuza awamu n’okuba nti (omuntu oyo) amanyi ekituufu era naazibikira amatuuge n'omutimagwe, era nassa ku maasoge ekibikka, olwo nno ate ani ayinza okumulungamya oluvanyuma lwa Katonda (okumutusa awo), abaffe temwebulirira!.

  24. وَقَالُواْ مَا هِيَ إِلَّا حَيَاتُنَا ٱلدُّنۡيَا نَمُوتُ وَنَحۡيَا وَمَا يُهۡلِكُنَآ إِلَّا ٱلدَّهۡرُۚ وَمَا لَهُم بِذَٰلِكَ مِنۡ عِلۡمٍۖ إِنۡ هُمۡ إِلَّا يَظُنُّونَ

    Open ayah 45:24

    Era (abakafiiri) bagamba nti (obulamu) tebuli okugyako obulamu bwaffe obw'okunsi, tufa era netuba balamu, tewali kituggya mu bulamu okugyako myaka (gya muntu) kuggwako, naye nga tebalina kumanya kwonna ku kikwatako, tebali bo okugyako bateebereza buteebereza.

  25. وَإِذَا تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتُنَا بَيِّنَٰتٖ مَّا كَانَ حُجَّتَهُمۡ إِلَّآ أَن قَالُواْ ٱئۡتُواْ بِـَٔابَآئِنَآ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ

    Open ayah 45:25

    Ebigambo byaffe bwe bibasomerwa mu bunnyonnyofu (bwabyo), ekyekwaso kyabwe tekiba okugyako bagamba (bweba nga eriyo okuzuukira kale) mukomyewo bakadde baffe (abaafa) mwemuba mwogera mazima.

  26. قُلِ ٱللَّهُ يُحۡيِيكُمۡ ثُمَّ يُمِيتُكُمۡ ثُمَّ يَجۡمَعُكُمۡ إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ لَا رَيۡبَ فِيهِ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَعۡلَمُونَ

    Open ayah 45:26

    Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti Katonda y'abawa obulamu oluvanyuma nabatta ate oluvanyuma agenda kubakungaanya nga batwala eri olunaku lw’enkomerero teruliimu kubuusabuusa naye abantu abasinga obungi tebamanyi.

  27. وَلِلَّهِ مُلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ وَيَوۡمَ تَقُومُ ٱلسَّاعَةُ يَوۡمَئِذٖ يَخۡسَرُ ٱلۡمُبۡطِلُونَ

    Open ayah 45:27

    Bwa Katonda yekka obufuzi bwe ggulu omusanvu ne nsi, era era bubwe olunaku lw’enkomerero lwelituuka, olunaku olwo abonoonyi balifafaganirwa.

  28. وَتَرَىٰ كُلَّ أُمَّةٖ جَاثِيَةٗۚ كُلُّ أُمَّةٖ تُدۡعَىٰٓ إِلَىٰ كِتَٰبِهَا ٱلۡيَوۡمَ تُجۡزَوۡنَ مَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ

    Open ayah 45:28

    (Kwolwo) oliraba buli kibiina nga kifukamidde (olwokutya). Buli kibiina kiriyitibwa okugenda awali ekitabo kyakyo (ekyo ekirimu emirimu gyabwe era baligambibwa nti) olwaleero muli ba kusasulwa ebyo bye mwali mukola.

  29. هَٰذَا كِتَٰبُنَا يَنطِقُ عَلَيۡكُم بِٱلۡحَقِّۚ إِنَّا كُنَّا نَسۡتَنسِخُ مَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ

    Open ayah 45:29

    (Era baligambibwa nti) ekitabo kyaffe kino kiboogerako mu mazima (anti) mazima ffe twawandikanga buli kye mwakolanga.

  30. فَأَمَّا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ فَيُدۡخِلُهُمۡ رَبُّهُمۡ فِي رَحۡمَتِهِۦۚ ذَٰلِكَ هُوَ ٱلۡفَوۡزُ ٱلۡمُبِينُ 

    Open ayah 45:30

    Olwo nno abaakola emirimu emirongoofu Mukama omulabirizi waabwe ali bayingiza mu kusaasira kwe (era) ekyo kwe kwesiima okweyolefu.

  31. وَأَمَّا ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ أَفَلَمۡ تَكُنۡ ءَايَٰتِي تُتۡلَىٰ عَلَيۡكُمۡ فَٱسۡتَكۡبَرۡتُمۡ وَكُنتُمۡ قَوۡمٗا مُّجۡرِمِينَ

    Open ayah 45:31

    Ate abo abakafuwala (Katonda alibagamba nti) abaffe ebigambo byange tebyabasomerwa ne mwekuluntaza ne mubeera abantu abonoonyi.

  32. وَإِذَا قِيلَ إِنَّ وَعۡدَ ٱللَّهِ حَقّٞ وَٱلسَّاعَةُ لَا رَيۡبَ فِيهَا قُلۡتُم مَّا نَدۡرِي مَا ٱلسَّاعَةُ إِن نَّظُنُّ إِلَّا ظَنّٗا وَمَا نَحۡنُ بِمُسۡتَيۡقِنِينَ

    Open ayah 45:32

    Era bwe mwagambwanga nti ddala endagaano ya Katonda ya mazima era nti ekiseera ekyenkomerero tekiriimu kubuusabuusa, mwagamba nti ekiseera ekyenkomerero tetumanyi kye ki. (Ebikikwatako) tuwammanta biwammante, era ffe tetukirinaako bukakafu.

  33. وَبَدَا لَهُمۡ سَيِّـَٔاتُ مَا عَمِلُواْ وَحَاقَ بِهِم مَّا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ

    Open ayah 45:33

    Era (awo) obubi bwebyo bye bakola buli beeyoleka era biribebungulula ebibonerezo byebyo bye baali bajeeja.

  34. وَقِيلَ ٱلۡيَوۡمَ نَنسَىٰكُمۡ كَمَا نَسِيتُمۡ لِقَآءَ يَوۡمِكُمۡ هَٰذَا وَمَأۡوَىٰكُمُ ٱلنَّارُ وَمَا لَكُم مِّن نَّٰصِرِينَ

    Open ayah 45:34

    Era baligambibwa nti olwaleero tubeerabidde nga bwe mwerabira okusisinkana olunaku lwa mmwe luno, era omuliro bwe butuulo bwa mmwe era temugenda kufuna badduukirize.

  35. ذَٰلِكُم بِأَنَّكُمُ ٱتَّخَذۡتُمۡ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ هُزُوٗا وَغَرَّتۡكُمُ ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَاۚ فَٱلۡيَوۡمَ لَا يُخۡرَجُونَ مِنۡهَا وَلَا هُمۡ يُسۡتَعۡتَبُونَ

    Open ayah 45:35

    Ekyo nno mmwe (ekibatuusaako) lwakuba nti mazima mmwe ebigambo bya Katonda mwabifuula bya kujeeja era obulamu bwe nsi ne bubagayaaza, n’olwekyo olwaleero si bakugujjibwamu (omuliro) era tebagenda kugambibwa kwetonda.

  36. فَلِلَّهِ ٱلۡحَمۡدُ رَبِّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَرَبِّ ٱلۡأَرۡضِ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

    Open ayah 45:36

    Ebitendo byonna bya Katonda Mukama omulabirizi we ggulu omusanvu, era Mukama omulabirizi we nsi, Mukama omulabirizi w’ebitonde byonna.

  37. وَلَهُ ٱلۡكِبۡرِيَآءُ فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ وَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ

    Open ayah 45:37

    Ebitiibwa byonna mu ggulu omusanvu ne nsi bibye yekka, era yye, ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga.