المدثر
Al-Muddaththir
Translation: Luganda - African Institution · Open the surah
بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ
يَٰٓأَيُّهَا ٱلۡمُدَّثِّرُ
Open ayah 74:1Owange ggwe eyeebikiridde (olwokutya Malayika Jiburilu lwe yakuleetera obubaka okuva eri Katonda).
قُمۡ فَأَنذِرۡ
Open ayah 74:2Golokoka otiise abantu ebibonerezo bya Katonda.
وَرَبَّكَ فَكَبِّرۡ
Open ayah 74:3Ne Mukama Katondawo yekka gwoba ogulumiza.
وَثِيَابَكَ فَطَهِّرۡ
Open ayah 74:4N'engoyezo zitukuze.
وَٱلرُّجۡزَ فَٱهۡجُرۡ
Open ayah 74:5Amasanamu geewalire ddala.
وَلَا تَمۡنُن تَسۡتَكۡثِرُ
Open ayah 74:6Tokoleranga abantu obulungi ng'ogenderera kufunamu bulungi kuno ku nsi.
وَلِرَبِّكَ فَٱصۡبِرۡ
Open ayah 74:7Beeranga mugumikiriza osobole okufuna okusiima kwa Mukama Katondawo.
فَإِذَا نُقِرَ فِي ٱلنَّاقُورِ
Open ayah 74:8Engombe bwerifuuyibwa (kulwokuzuukira).
فَذَٰلِكَ يَوۡمَئِذٖ يَوۡمٌ عَسِيرٌ
Open ayah 74:9Olunaku olwo lugenda kuba lunaku luzito.
عَلَى ٱلۡكَٰفِرِينَ غَيۡرُ يَسِيرٖ
Open ayah 74:10Terugenda kuba lwangu eri abakafiiri.
ذَرۡنِي وَمَنۡ خَلَقۡتُ وَحِيدٗا
Open ayah 74:11(Owange ggwe Nabbi Muhammad) ndeka nooyo gwe nnetondera.
وَجَعَلۡتُ لَهُۥ مَالٗا مَّمۡدُودٗا
Open ayah 74:12Nemuwa ebyobugagga ebiyitirivu.
وَبَنِينَ شُهُودٗا
Open ayah 74:13Nemuwa nabaana abatutumufu.
وَمَهَّدتُّ لَهُۥ تَمۡهِيدٗا
Open ayah 74:14Ne mugaziyiriza olugaziya (e byenfuna obukulembeze n'ekitiibwa).
ثُمَّ يَطۡمَعُ أَنۡ أَزِيدَ
Open ayah 74:15Oluvanyuma alulunkanira okumwongera okusingako awo.
كَلَّآۖ إِنَّهُۥ كَانَ لِأٓيَٰتِنَا عَنِيدٗا
Open ayah 74:16Nedda sijja kumwongera kuba yawakanya ebigambo byaffe (Kur'ani).
سَأُرۡهِقُهُۥ صَعُودًا
Open ayah 74:17Nja kumussaako e bibonerezo e bizito.
إِنَّهُۥ فَكَّرَ وَقَدَّرَ
Open ayah 74:18Anti mazima yye (Al Walid bin Mugiira) yalowooza era naasalawo okuvvoola Kur'ani.
فَقُتِلَ كَيۡفَ قَدَّرَ
Open ayah 74:19Nakolimirwa okusinziira ku ngeri gyeyasalawo.
ثُمَّ قُتِلَ كَيۡفَ قَدَّرَ
Open ayah 74:20Era ddala yakolimirwa ku ngeri gyeyasalawo.
ثُمَّ نَظَرَ
Open ayah 74:21Oluvanyuma yakirowozaako.
ثُمَّ عَبَسَ وَبَسَرَ
Open ayah 74:22Olwo nno ne yeekaba najja emitaafu.
ثُمَّ أَدۡبَرَ وَٱسۡتَكۡبَرَ
Open ayah 74:23Ne kyaddirira ebituufu yabivaako neyekuluntaza.
فَقَالَ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا سِحۡرٞ يُؤۡثَرُ
Open ayah 74:24Olwo nno n'alangirira nti e bigambo bya Muhammad temuli wabula ddogo erijjibwa ku balogo abasooka.
إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا قَوۡلُ ٱلۡبَشَرِ
Open ayah 74:25Era byayogera tebisukka ku kuba bigambo bya muntu!
سَأُصۡلِيهِ سَقَرَ
Open ayah 74:26(Katonda naagamba nti:) nja kumuyingiza omuliro Sakara.
وَمَآ أَدۡرَىٰكَ مَا سَقَرُ
Open ayah 74:27Naye omanyi Sakara kyeki.
لَا تُبۡقِي وَلَا تَذَرُ
Open ayah 74:28Gwo muliro ogutagenda kulekawo kintu wadde okukitaliza.
لَوَّاحَةٞ لِّلۡبَشَرِ
Open ayah 74:29Gwokera ddala negusiriiza eddiba lyomuntu.
عَلَيۡهَا تِسۡعَةَ عَشَرَ
Open ayah 74:30Gukuumibwa ba Malayika kkumi na mwenda.
وَمَا جَعَلۡنَآ أَصۡحَٰبَ ٱلنَّارِ إِلَّا مَلَٰٓئِكَةٗۖ وَمَا جَعَلۡنَا عِدَّتَهُمۡ إِلَّا فِتۡنَةٗ لِّلَّذِينَ كَفَرُواْ لِيَسۡتَيۡقِنَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ وَيَزۡدَادَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِيمَٰنٗا وَلَا يَرۡتَابَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡمُؤۡمِنُونَ وَلِيَقُولَ ٱلَّذِينَ فِي قُلُوبِهِم مَّرَضٞ وَٱلۡكَٰفِرُونَ مَاذَآ أَرَادَ ٱللَّهُ بِهَٰذَا مَثَلٗاۚ كَذَٰلِكَ يُضِلُّ ٱللَّهُ مَن يَشَآءُ وَيَهۡدِي مَن يَشَآءُۚ وَمَا يَعۡلَمُ جُنُودَ رَبِّكَ إِلَّا هُوَۚ وَمَا هِيَ إِلَّا ذِكۡرَىٰ لِلۡبَشَرِ
Open ayah 74:31Ate omulimu gwokukuuma omuliro tetwaguwa okugyako ba Malayika, era omuwendo gwabwe tetwaguteekawo okugyako nga kikemo eri abatakkiriza Katonda, so nga abo abaweebwa ekitabo ekyo kibongera kukakasa (ebyo bye baalina), ate bo abakkiriza (abagoberezi ba Nabbi Muhammad) kyongera kunyweza bukkiriza bwabwe, era abaweebwa ekitabo n'abakkiriza babe nga tebasigalamu kakunkuna, wabula nga (abanafunsi) abalina obulwadde mu mitima gyabwe n'abatakkiriza bagamba nti Katonda kiki kyagenderera mu kifananyi kino, bwatyo nno Katonda abuza nalungamya oyo gwaba ayagadde, ate tewali amanyi ggye lya Mukama Katondawo okugyako yye, ebyo byonna ebyogeddwa tewali kibigendererwamu okugyako okubuulirira omuntu.
كَلَّا وَٱلۡقَمَرِ
Open ayah 74:32Nedda (tekiri ng'abantu abamu bwe balowooza), mazima ndayidde omwezi.
وَٱلَّيۡلِ إِذۡ أَدۡبَرَ
Open ayah 74:33Ne ndayira n'ekiro mu kiseera we kiggwerako.
وَٱلصُّبۡحِ إِذَآ أَسۡفَرَ
Open ayah 74:34Ne ndayira n'amakya ngabusasaana.
إِنَّهَا لَإِحۡدَى ٱلۡكُبَرِ
Open ayah 74:35Mazima ggwo (omuliro Sakara) kye kimu ku binene.
نَذِيرٗا لِّلۡبَشَرِ
Open ayah 74:36Ebyandibadde bibuulirira omuntu.
لِمَن شَآءَ مِنكُمۡ أَن يَتَقَدَّمَ أَوۡ يَتَأَخَّرَ
Open ayah 74:37Eri oyo aba ayagadde mu mmwe okudda eri Katondawe oba okumwesamba.
كُلُّ نَفۡسِۭ بِمَا كَسَبَتۡ رَهِينَةٌ
Open ayah 74:38Buli muntu agenda kubeera musingo gwa mirimugye.
إِلَّآ أَصۡحَٰبَ ٱلۡيَمِينِ
Open ayah 74:39Okugyako abo abalibeera ku mukono ogwaddyo.
فِي جَنَّٰتٖ يَتَسَآءَلُونَ
Open ayah 74:40Bagenda kubeera mu jjana nga babuuza ebifa.
عَنِ ٱلۡمُجۡرِمِينَ
Open ayah 74:41Ku bonoonyi.
مَا سَلَكَكُمۡ فِي سَقَرَ
Open ayah 74:42Nga babagamba nti ki ekibayingizza omuliro.
قَالُواْ لَمۡ نَكُ مِنَ ٱلۡمُصَلِّينَ
Open ayah 74:43Baligamba nti tetubangako mu basaaze.
وَلَمۡ نَكُ نُطۡعِمُ ٱلۡمِسۡكِينَ
Open ayah 74:44Era tetwaliisanga banaku.
وَكُنَّا نَخُوضُ مَعَ ٱلۡخَآئِضِينَ
Open ayah 74:45Twabeeranga nabakubi bambekuulo.
وَكُنَّا نُكَذِّبُ بِيَوۡمِ ٱلدِّينِ
Open ayah 74:46Era twali tulimbisa olunaku lw'enkomerero.
حَتَّىٰٓ أَتَىٰنَا ٱلۡيَقِينُ
Open ayah 74:47Okutuusa okufa lw'ekwatutuukako.
فَمَا تَنفَعُهُمۡ شَفَٰعَةُ ٱلشَّٰفِعِينَ
Open ayah 74:48Kale tebagenda kuganyulwa mu kuwolereza kwa bawolereza.
فَمَا لَهُمۡ عَنِ ٱلتَّذۡكِرَةِ مُعۡرِضِينَ
Open ayah 74:49Kakano kiki ekibaddusa okuva ku kubuulirira kwa (Kur'ani kuno).
كَأَنَّهُمۡ حُمُرٞ مُّسۡتَنفِرَةٞ
Open ayah 74:50Nga balinga entulege ezigobeddwa.
فَرَّتۡ مِن قَسۡوَرَةِۭ
Open ayah 74:51Ezidduka e mpologoma.
بَلۡ يُرِيدُ كُلُّ ٱمۡرِيٕٖ مِّنۡهُمۡ أَن يُؤۡتَىٰ صُحُفٗا مُّنَشَّرَةٗ
Open ayah 74:52Wabula buli omu mubo ayagala aweebwe ebiwandiiko ebibikuddwa.
كَلَّاۖ بَل لَّا يَخَافُونَ ٱلۡأٓخِرَةَ
Open ayah 74:53Nedda ekituufu kiri nti bbo tebakkiriza nkomerero.
كَلَّآ إِنَّهُۥ تَذۡكِرَةٞ
Open ayah 74:54Mazima ddala yo (Kur'ani) kyakubuulirira.
فَمَن شَآءَ ذَكَرَهُۥ
Open ayah 74:55Oyo aba ayagadde yeebulirira nayo.
وَمَا يَذۡكُرُونَ إِلَّآ أَن يَشَآءَ ٱللَّهُۚ هُوَ أَهۡلُ ٱلتَّقۡوَىٰ وَأَهۡلُ ٱلۡمَغۡفِرَةِ
Open ayah 74:56Wabula tebayinza kwebuulirira okugyako nga Katonda ayagadde, yye ye nanyini kutiibwa era ye nanyini kusonyiwa.