نوح
Nooh
Translation: Luganda - African Institution · Open the surah
بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ
إِنَّآ أَرۡسَلۡنَا نُوحًا إِلَىٰ قَوۡمِهِۦٓ أَنۡ أَنذِرۡ قَوۡمَكَ مِن قَبۡلِ أَن يَأۡتِيَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٞ
Open ayah 71:1Mazima ffe twatuma Nuhu eri abantu be. Nti tiisa abantubo nga ebibonerezo abiruma ennyo tebinabajjira.
قَالَ يَٰقَوۡمِ إِنِّي لَكُمۡ نَذِيرٞ مُّبِينٌ
Open ayah 71:2Naabagamba nti mazima nze ndi mutiisa omunnyonnyozi.
أَنِ ٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ وَٱتَّقُوهُ وَأَطِيعُونِ
Open ayah 71:3Nti musinze Katonda era mu mutye nange mungondere.
يَغۡفِرۡ لَكُم مِّن ذُنُوبِكُمۡ وَيُؤَخِّرۡكُمۡ إِلَىٰٓ أَجَلٖ مُّسَمًّىۚ إِنَّ أَجَلَ ٱللَّهِ إِذَا جَآءَ لَا يُؤَخَّرُۚ لَوۡ كُنتُمۡ تَعۡلَمُونَ
Open ayah 71:4Olwo nno ajja kubasonyiwa ebyonoono byammwe (bye mwakola nga temunnaba kukkiriza mubaka era alyoke abawonye okuzikirira n'ebibonerezo ebibamalawo olumu). Abalindirize abatuuse ku ntuuko ze yabagerera. Mazima entuuko za Katonda bweziba zituuse tezirindirizibwa singa muba mumanyi.
قَالَ رَبِّ إِنِّي دَعَوۡتُ قَوۡمِي لَيۡلٗا وَنَهَارٗا
Open ayah 71:5"Awamu nekyo tebakkiriza", Nuhu naagamba nti ayi Katonda wange nkowodde abantu bange ekiro n'emisana.
فَلَمۡ يَزِدۡهُمۡ دُعَآءِيٓ إِلَّا فِرَارٗا
Open ayah 71:6Wabula okukowoola kwange tekubongedde okugyako okunnesamba.
وَإِنِّي كُلَّمَا دَعَوۡتُهُمۡ لِتَغۡفِرَ لَهُمۡ جَعَلُوٓاْ أَصَٰبِعَهُمۡ فِيٓ ءَاذَانِهِمۡ وَٱسۡتَغۡشَوۡاْ ثِيَابَهُمۡ وَأَصَرُّواْ وَٱسۡتَكۡبَرُواْ ٱسۡتِكۡبَارٗا
Open ayah 71:7Mazima buli lwembadde mbakowoola badde eri okusonyiwa kwo bassa ennwe zaabwe mu matu gaabwe, ne beebikka engoye zaabwe, ne bakalambira era ne beekuluntaza olw'ekuluntaza.
ثُمَّ إِنِّي دَعَوۡتُهُمۡ جِهَارٗا
Open ayah 71:8Ate era mazima mbakowodde mulwatu.
ثُمَّ إِنِّيٓ أَعۡلَنتُ لَهُمۡ وَأَسۡرَرۡتُ لَهُمۡ إِسۡرَارٗا
Open ayah 71:9Era njogedde nabo mu lujjudde nga bwenjogedde nabo kinnomu.
فَقُلۡتُ ٱسۡتَغۡفِرُواْ رَبَّكُمۡ إِنَّهُۥ كَانَ غَفَّارٗا
Open ayah 71:10Nembagamba nti mwegayirire Katonda wa mmwe anti mazima yye bulijjo musonyiyi.
يُرۡسِلِ ٱلسَّمَآءَ عَلَيۡكُم مِّدۡرَارٗا
Open ayah 71:11Olwonno ajja kubatonnyeseza enkuba ey'omuddiringanwa.
وَيُمۡدِدۡكُم بِأَمۡوَٰلٖ وَبَنِينَ وَيَجۡعَل لَّكُمۡ جَنَّٰتٖ وَيَجۡعَل لَّكُمۡ أَنۡهَٰرٗا
Open ayah 71:12Era abawe mu bungi emmaali n'abaana abawe n'amasamba abateeremu n'emigga.
مَّا لَكُمۡ لَا تَرۡجُونَ لِلَّهِ وَقَارٗا
Open ayah 71:13Naye lwaki Katonda temumuwa kitiibwa.
وَقَدۡ خَلَقَكُمۡ أَطۡوَارًا
Open ayah 71:14Sso nga yabatonda ngabayisa mumitendera egyenjawulo.
أَلَمۡ تَرَوۡاْ كَيۡفَ خَلَقَ ٱللَّهُ سَبۡعَ سَمَٰوَٰتٖ طِبَاقٗا
Open ayah 71:15Abaffe temulaba engeri Katondawo gyeyakolamu eggulu omusanvu nga myaliiro.
وَجَعَلَ ٱلۡقَمَرَ فِيهِنَّ نُورٗا وَجَعَلَ ٱلشَّمۡسَ سِرَاجٗا
Open ayah 71:16Nassaamu omwezi nga kitangaala nga bweyassamu enjuba nga eyaka.
وَٱللَّهُ أَنۢبَتَكُم مِّنَ ٱلۡأَرۡضِ نَبَاتٗا
Open ayah 71:17Katonda yabatandika ng'abajja muttaka nemujja nga mukula nga ebimera bwe bikula.
ثُمَّ يُعِيدُكُمۡ فِيهَا وَيُخۡرِجُكُمۡ إِخۡرَاجٗا
Open ayah 71:18Oluvanyuma abazza mu ttaka nga era bwagenda okubazuukiza alibagyemu bulambalamba (nga temuyise mu mitendera nga ebimera).
وَٱللَّهُ جَعَلَ لَكُمُ ٱلۡأَرۡضَ بِسَاطٗا
Open ayah 71:19Era Katonda yabateerawo ensi nga esoboka okuwangalirwako.
لِّتَسۡلُكُواْ مِنۡهَا سُبُلٗا فِجَاجٗا
Open ayah 71:20Mube nga musobola okutambulira muyo nga mukwata amakubo ge muba mwagadde.
قَالَ نُوحٞ رَّبِّ إِنَّهُمۡ عَصَوۡنِي وَٱتَّبَعُواْ مَن لَّمۡ يَزِدۡهُ مَالُهُۥ وَوَلَدُهُۥٓ إِلَّا خَسَارٗا
Open ayah 71:21Nuhu kwekugamba nti, ayi mukama wange mazima ddala abantu abo banjemedde nebasalawo okugoberera oyo yenna emmaali ye n'abaana be bebitayongera okugyako okufafaganirwa.
وَمَكَرُواْ مَكۡرٗا كُبَّارٗا
Open ayah 71:22Nebakola olukwe sinziggu (bwebagezaako okutta Nuhu).
وَقَالُواْ لَا تَذَرُنَّ ءَالِهَتَكُمۡ وَلَا تَذَرُنَّ وَدّٗا وَلَا سُوَاعٗا وَلَا يَغُوثَ وَيَعُوقَ وَنَسۡرٗا
Open ayah 71:23Era nebagamba nti temugeza nemuva ku ba Katonda ba mmwe naddala Wadda ne Suwa'a ne Yagutha ne Yauka ne Nasira.
وَقَدۡ أَضَلُّواْ كَثِيرٗاۖ وَلَا تَزِدِ ٱلظَّٰلِمِينَ إِلَّا ضَلَٰلٗا
Open ayah 71:24Olwekyo baabuza abantu bangi (Nange kyenva nkusaba nti) mukama Katonda abantu abeyisa obubi tobongera okugyako kubula.
مِّمَّا خَطِيٓـَٰٔتِهِمۡ أُغۡرِقُواْ فَأُدۡخِلُواْ نَارٗا فَلَمۡ يَجِدُواْ لَهُم مِّن دُونِ ٱللَّهِ أَنصَارٗا
Open ayah 71:25Olwobwonoonyi bwabwe baazikiziribwa nebayingizibwa omuliro baali tebayinza kufuna abataasa yenna.
وَقَالَ نُوحٞ رَّبِّ لَا تَذَرۡ عَلَى ٱلۡأَرۡضِ مِنَ ٱلۡكَٰفِرِينَ دَيَّارًا
Open ayah 71:26Ye Nuhu kwekugamba nti, ayi Katonda wange toleka kunsi mukafiiri yenna.
إِنَّكَ إِن تَذَرۡهُمۡ يُضِلُّواْ عِبَادَكَ وَلَا يَلِدُوٓاْ إِلَّا فَاجِرٗا كَفَّارٗا
Open ayah 71:27Anti singa obalekawo bajja kubuza abaddu bo era buli gwebanazaala ajja kuba mwononefu omukafiiri.
رَّبِّ ٱغۡفِرۡ لِي وَلِوَٰلِدَيَّ وَلِمَن دَخَلَ بَيۡتِيَ مُؤۡمِنٗا وَلِلۡمُؤۡمِنِينَ وَٱلۡمُؤۡمِنَٰتِۖ وَلَا تَزِدِ ٱلظَّٰلِمِينَ إِلَّا تَبَارَۢا
Open ayah 71:28Ayi Mukama Katonda wange nsonyiwa ne bakadde bange na buli yenna anaayingira mu nju yange kavuna anaaba nga mukkiriza, era nkusaba osonyiwe abakkiriza abasajja n'abakkiriza abakazi, wabula bo abeeyisa obubi tobongera okugyako okuzikirira.