البروج
Al-Burooj
Translation: Luganda - African Institution · Open the surah
بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ
وَٱلسَّمَآءِ ذَاتِ ٱلۡبُرُوجِ
Open ayah 85:1Ndayira e ggulu eririmu ebifo omutambulira e munyeenye (nga mwe muli e njuba n’omwezi).
وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡمَوۡعُودِ
Open ayah 85:2Era ndayira olunaku olwalagaanyisibwa (olunaku lw’enkomerero)
وَشَاهِدٖ وَمَشۡهُودٖ
Open ayah 85:3Era ndayira oyo aliwa obujulizi n’oyo gwe balibuwaako (ku lunaku lw’enkomerero).
قُتِلَ أَصۡحَٰبُ ٱلۡأُخۡدُودِ
Open ayah 85:4Katonda yagoba mu kusaasirakwe abo abaasima agannya.
ٱلنَّارِ ذَاتِ ٱلۡوَقُودِ
Open ayah 85:5Gebaakumamu omuliro ogubumbujja.
إِذۡ هُمۡ عَلَيۡهَا قُعُودٞ
Open ayah 85:6Bwe baatuula awo ku mabbali waagwo.
وَهُمۡ عَلَىٰ مَا يَفۡعَلُونَ بِٱلۡمُؤۡمِنِينَ شُهُودٞ
Open ayah 85:7Nga bo (bennyini) balaba buli kyonna kyebakola ku bakkiriza.
وَمَا نَقَمُواْ مِنۡهُمۡ إِلَّآ أَن يُؤۡمِنُواْ بِٱللَّهِ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡحَمِيدِ
Open ayah 85:8Tebaalina kye baali babavunaana okugyako okukkiriza Katonda oweekitiibwa atenderezebwa.
ٱلَّذِي لَهُۥ مُلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ وَٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ شَهِيدٌ
Open ayah 85:9Oyo, obufuzi bwe ggulu omusanvu n'ensi bwonna bubwe. Era Katonda alaba buli kintu.
إِنَّ ٱلَّذِينَ فَتَنُواْ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ وَٱلۡمُؤۡمِنَٰتِ ثُمَّ لَمۡ يَتُوبُواْ فَلَهُمۡ عَذَابُ جَهَنَّمَ وَلَهُمۡ عَذَابُ ٱلۡحَرِيقِ
Open ayah 85:10Mazima abo abaawalagganya abakkiriza abasajja n’abakkiriza abakazi ate ne bateenenya, bakutuukibwako e bibonerezo by’omuliro Jahannama era balina e bibonerezo by’omuliro ogwokya ennyo.
إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ لَهُمۡ جَنَّٰتٞ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُۚ ذَٰلِكَ ٱلۡفَوۡزُ ٱلۡكَبِيرُ
Open ayah 85:11Mazima abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi bajja kufuna e jjana nga mukulukutira muyo emigga. Okwo nno kwe kwesiima okwannamaddala.
إِنَّ بَطۡشَ رَبِّكَ لَشَدِيدٌ
Open ayah 85:12Mazima okukwata kwa Mukamaawo kwamaanyi nnyo.
إِنَّهُۥ هُوَ يُبۡدِئُ وَيُعِيدُ
Open ayah 85:13Kubanga yye ye mutandisi wa buli kintu era yewookubizzaawo.
وَهُوَ ٱلۡغَفُورُ ٱلۡوَدُودُ
Open ayah 85:14Era musonyiyi nnyo, era abaagala nnyo.
ذُو ٱلۡعَرۡشِ ٱلۡمَجِيدُ
Open ayah 85:15Yye ye nannyini Arishi, Oweekitiibwa.
فَعَّالٞ لِّمَا يُرِيدُ
Open ayah 85:16Akola buli ky’aba ayagadde.
هَلۡ أَتَىٰكَ حَدِيثُ ٱلۡجُنُودِ
Open ayah 85:17Wali owulidde ku byafaayo by’amagye.
فِرۡعَوۡنَ وَثَمُودَ
Open ayah 85:18Aga Firawo n’abantu ba Thamuud?
بَلِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ فِي تَكۡذِيبٖ
Open ayah 85:19Wabula abo abatakkiriza bali mu kulimbisa.
وَٱللَّهُ مِن وَرَآئِهِم مُّحِيطُۢ
Open ayah 85:20So nga Katonda abeetoolodde.
بَلۡ هُوَ قُرۡءَانٞ مَّجِيدٞ
Open ayah 85:21Wabula yo Kur'ani (eyassibwa ku Nabbi Muhammad) ya kitiibwa.
فِي لَوۡحٖ مَّحۡفُوظِۭ
Open ayah 85:22Eri mu ggwandiikiro erikuumwa obutiribiri.