التكوير
At-Takwir
Translation: Luganda - African Institution · Open the surah
بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ
إِذَا ٱلشَّمۡسُ كُوِّرَتۡ
Open ayah 81:1Enjuba bw'erizingwako.
وَإِذَا ٱلنُّجُومُ ٱنكَدَرَتۡ
Open ayah 81:2Nga n’emunyeenye zikunkumuse.
وَإِذَا ٱلۡجِبَالُ سُيِّرَتۡ
Open ayah 81:3Era ensozi bwe zirikungunsibwa (ne zigibbwawo).
وَإِذَا ٱلۡعِشَارُ عُطِّلَتۡ
Open ayah 81:4Nga n’ebisolo ebyo mu maka nga tebikyafiibwako (newakubadde nga biriba mawako).
وَإِذَا ٱلۡوُحُوشُ حُشِرَتۡ
Open ayah 81:5N’ebisolo by’omu nsiko nabyo nga bikungaanyiziddwa.
وَإِذَا ٱلۡبِحَارُ سُجِّرَتۡ
Open ayah 81:6Nga n’ennyanja zikuumiddwako omuliro (ne zibumbujja).
وَإِذَا ٱلنُّفُوسُ زُوِّجَتۡ
Open ayah 81:7Nga n’emyoyo gigatiddwa buli egifaanagana nga giri wamu (Emirungi nga giri n’emirungi, e mibi nga giri n’emibi).
وَإِذَا ٱلۡمَوۡءُۥدَةُ سُئِلَتۡ
Open ayah 81:8Era omwana omuwala eyaziikibwa nga mulamu bw'aliba abuuziddwa.
بِأَيِّ ذَنۢبٖ قُتِلَتۡ
Open ayah 81:9Kibi ki ekyamussa?.
وَإِذَا ٱلصُّحُفُ نُشِرَتۡ
Open ayah 81:10Ebiwandiiko bwe biribeera nga bisasaanyiziddwa (nga buli kiwandiiko kituuka ku nnannyini kyo, omuli ebyo bye yakola ku nsi).
وَإِذَا ٱلسَّمَآءُ كُشِطَتۡ
Open ayah 81:11E ggulu bwe liriba liggyiddwawo.
وَإِذَا ٱلۡجَحِيمُ سُعِّرَتۡ
Open ayah 81:12Nga n’omuliro gukoleezeddwa.
وَإِذَا ٱلۡجَنَّةُ أُزۡلِفَتۡ
Open ayah 81:13Nga n’ejjana esembezeddwa.
عَلِمَتۡ نَفۡسٞ مَّآ أَحۡضَرَتۡ
Open ayah 81:14Olwo omuntu alimanya ekyo kye yakola (kibe kirungi oba kibi).
فَلَآ أُقۡسِمُ بِٱلۡخُنَّسِ
Open ayah 81:15Ndayira e munyeenye ezibulawo.
ٱلۡجَوَارِ ٱلۡكُنَّسِ
Open ayah 81:16Ezibula emisana ne zirabika ekiro.
وَٱلَّيۡلِ إِذَا عَسۡعَسَ
Open ayah 81:17Era ndayira ekiro bwe kiba nga kyolekedde okuggwaawo.
وَٱلصُّبۡحِ إِذَا تَنَفَّسَ
Open ayah 81:18Era ndayira n’amakya g’obudde nga busaasaana.
إِنَّهُۥ لَقَوۡلُ رَسُولٖ كَرِيمٖ
Open ayah 81:19Mazima yyo (Kur'ani) kigambo kya mubaka (Jiburilu) ow'ekitiibwa (ky’aggya eri Katonda n’akireetera Nabbi Muhammad).
ذِي قُوَّةٍ عِندَ ذِي ٱلۡعَرۡشِ مَكِينٖ
Open ayah 81:20Oyo (Jiburilu) owaamaanyi era ow'ekitiibwa eri nnannyini Arishi.
مُّطَاعٖ ثَمَّ أَمِينٖ
Open ayah 81:21Agonderwa (ba Malayika banne) eyo (mu ggulu) ng'ate mwesigwa.
وَمَا صَاحِبُكُم بِمَجۡنُونٖ
Open ayah 81:22Era munnammwe (Nabbi Muhammad) si mulalu.
وَلَقَدۡ رَءَاهُ بِٱلۡأُفُقِ ٱلۡمُبِينِ
Open ayah 81:23Mazima ddala ye (Muhammad) yamulaba (Jiburilu) mu bweyolefu nga ajjudde obwengula.
وَمَا هُوَ عَلَى ٱلۡغَيۡبِ بِضَنِينٖ
Open ayah 81:24Era tali (Nabbi Muhammad) ku bigambo ebyekwese (ebikwata ku bubaka obuva eri Katonda n'ebigambo by'omu ggulu) ayinza obutatuukiriza.
وَمَا هُوَ بِقَوۡلِ شَيۡطَٰنٖ رَّجِيمٖ
Open ayah 81:25(Ebigambo bya Kur'ani Muhammad byayogera) si bigambo bya sitaani omukolimire.
فَأَيۡنَ تَذۡهَبُونَ
Open ayah 81:26Naye ddala mulaga wa?
إِنۡ هُوَ إِلَّا ذِكۡرٞ لِّلۡعَٰلَمِينَ
Open ayah 81:27Wabula Yo (Kur'ani) kyakubuulirira eri ebitonde byonna.
لِمَن شَآءَ مِنكُمۡ أَن يَسۡتَقِيمَ
Open ayah 81:28Eri oyo mu mmwe aba ayagadde okulungama.
وَمَا تَشَآءُونَ إِلَّآ أَن يَشَآءَ ٱللَّهُ رَبُّ ٱلۡعَٰلَمِينَ
Open ayah 81:29Naye ate temujja kwagala okugyako nga Katonda Omulezi w’ebitonde ayagadde.