الإنفطار
Al-Infitaar
Translation: Luganda - African Institution · Open the surah
بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ
إِذَا ٱلسَّمَآءُ ٱنفَطَرَتۡ
Open ayah 82:1E ggulu bwe ririba lyeyasizzaamu.
وَإِذَا ٱلۡكَوَاكِبُ ٱنتَثَرَتۡ
Open ayah 82:2N'emunyenye bwe ziriba nga zivudde waggulu ne zisaasaana.
وَإِذَا ٱلۡبِحَارُ فُجِّرَتۡ
Open ayah 82:3N'ennyanja bwe ziriba nga ziwaguludde.
وَإِذَا ٱلۡقُبُورُ بُعۡثِرَتۡ
Open ayah 82:4Ne Kabbuli bwe ziriba nga zifuukuddwa (abafu bonna ne bavaayo).
عَلِمَتۡ نَفۡسٞ مَّا قَدَّمَتۡ وَأَخَّرَتۡ
Open ayah 82:5Omuntu alimanya ebyo bye yakulembeza okukola ne bye yasembyayo.
يَٰٓأَيُّهَا ٱلۡإِنسَٰنُ مَا غَرَّكَ بِرَبِّكَ ٱلۡكَرِيمِ
Open ayah 82:6Owange ggwe omuntu kale kiki ekyakugayaaza okukuggya ku muleziwo (Katonda) Omugabi.
ٱلَّذِي خَلَقَكَ فَسَوَّىٰكَ فَعَدَلَكَ
Open ayah 82:7Oyo eyakutonda n’akutereeza era n’akwenkanyankanya.
فِيٓ أَيِّ صُورَةٖ مَّا شَآءَ رَكَّبَكَ
Open ayah 82:8Mu kifaananyi kyonna kye yayagala mwe yakutondera.
كَلَّا بَلۡ تُكَذِّبُونَ بِٱلدِّينِ
Open ayah 82:9Nedda, wabula mulimbisa olunaku olw’okusasulwa (olw’enkomerero).
وَإِنَّ عَلَيۡكُمۡ لَحَٰفِظِينَ
Open ayah 82:10Mazima muliko abakuumi (Ba Malayika).
كِرَامٗا كَٰتِبِينَ
Open ayah 82:11Abeekitiibwa abawandiisi (abawandiika ebyo byonna ebikolebwa)
يَعۡلَمُونَ مَا تَفۡعَلُونَ
Open ayah 82:12Bamanyi ebyo byonna byemukola.
إِنَّ ٱلۡأَبۡرَارَ لَفِي نَعِيمٖ
Open ayah 82:13Mazima abakozi b’obulungi balibeera mu byengera.
وَإِنَّ ٱلۡفُجَّارَ لَفِي جَحِيمٖ
Open ayah 82:14Era mazima abakozi b’ebibi bagenda kubeera mu muliro oguyitibwa Jahiimu.
يَصۡلَوۡنَهَا يَوۡمَ ٱلدِّينِ
Open ayah 82:15Bagenda kuguyingira ku lunaku olw’okusasulwa (olw'enkomerero).
وَمَا هُمۡ عَنۡهَا بِغَآئِبِينَ
Open ayah 82:16Tebagenda ku gwebulankanyako.
وَمَآ أَدۡرَىٰكَ مَا يَوۡمُ ٱلدِّينِ
Open ayah 82:17On'omanyira ku ki olunaku olw'okusasulwa (olw’enkomerero).
ثُمَّ مَآ أَدۡرَىٰكَ مَا يَوۡمُ ٱلدِّينِ
Open ayah 82:18Naye ddala on'omanyira ku ki olunaku olwokusasulwa (Katonda yakiddamu olwokuggumiza obukulu bw’olunaku olwo).
يَوۡمَ لَا تَمۡلِكُ نَفۡسٞ لِّنَفۡسٖ شَيۡـٔٗاۖ وَٱلۡأَمۡرُ يَوۡمَئِذٖ لِّلَّهِ
Open ayah 82:19Olunaku omwoyo lwe gutaliba na buyinza bugasa mwoyo mulala na kintu kyonna. N’ebiragiro ku lunaku olwo biriba bya Katonda yekka.