الشمس
Ash-Shams
Translation: Luganda - African Institution · Open the surah
بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ
وَٱلشَّمۡسِ وَضُحَىٰهَا
Open ayah 91:1Ndayira e njuba n’okwaka kwayo.
وَٱلۡقَمَرِ إِذَا تَلَىٰهَا
Open ayah 91:2Era ndayira o mwezi bweguba nga gugoberedde e njuba (ng’egudde)
وَٱلنَّهَارِ إِذَا جَلَّىٰهَا
Open ayah 91:3Era ndayira obudde obw’emisana nga bwerudde enjuba.
وَٱلَّيۡلِ إِذَا يَغۡشَىٰهَا
Open ayah 91:4Era ndayira ekiro bwe kiba nga kigibisse.
وَٱلسَّمَآءِ وَمَا بَنَىٰهَا
Open ayah 91:5Era ndayira e ggulu n’eyalitonda.
وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا طَحَىٰهَا
Open ayah 91:6Era ndayira e nsi n’oyo eyajaaliira.
وَنَفۡسٖ وَمَا سَوَّىٰهَا
Open ayah 91:7Era ndayira omuntu n’eyamutonda.
فَأَلۡهَمَهَا فُجُورَهَا وَتَقۡوَىٰهَا
Open ayah 91:8N’amuwa okwawula wakati w’ekibi n’ekirungi.
قَدۡ أَفۡلَحَ مَن زَكَّىٰهَا
Open ayah 91:9Yeesiimye alongoosa omwoyogwe okuguggya mu bibi.
وَقَدۡ خَابَ مَن دَسَّىٰهَا
Open ayah 91:10Aviiriddemu awo oyo agunnyika mu bibi.
كَذَّبَتۡ ثَمُودُ بِطَغۡوَىٰهَآ
Open ayah 91:11Abantu ba Thamuud, olw'obwonoonefu bwabwe baalimbisa (omubaka waabwe).
إِذِ ٱنۢبَعَثَ أَشۡقَىٰهَا
Open ayah 91:12Asinga obwonoonefu mu bo bwe yeesowolayo (naafumita engamiya).
فَقَالَ لَهُمۡ رَسُولُ ٱللَّهِ نَاقَةَ ٱللَّهِ وَسُقۡيَٰهَا
Open ayah 91:13Omubaka wa Katonda n’abagamba “muleke e ngamiya ya Katonda n’okunywa kwayo”.
فَكَذَّبُوهُ فَعَقَرُوهَا فَدَمۡدَمَ عَلَيۡهِمۡ رَبُّهُم بِذَنۢبِهِمۡ فَسَوَّىٰهَا
Open ayah 91:14Kyokka ne bamulimbisa ne bagifumita. Katonda omulabirizi waabwe kwe kubabuutikira olw’obwonoonefu bwabwe awatali n’omu kuwona
وَلَا يَخَافُ عُقۡبَٰهَا
Open ayah 91:15Era tatya nkomerero y'ekyo (eky'okubazikiriza).