الضحى
Ad-Dhuhaa
Translation: Luganda - African Institution · Open the surah
بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ
وَٱلضُّحَىٰ
Open ayah 93:1Ndayira ekiseera ky’a kalasa mayanzi.
وَٱلَّيۡلِ إِذَا سَجَىٰ
Open ayah 93:2Era ndayira e kiro bwekiba nga kikutte.
مَا وَدَّعَكَ رَبُّكَ وَمَا قَلَىٰ
Open ayah 93:3Omuleziwo Katonda takwabuliranga (gwe Nabbi Muhammad) era takukyawanga.
وَلَلۡأٓخِرَةُ خَيۡرٞ لَّكَ مِنَ ٱلۡأُولَىٰ
Open ayah 93:4Era ddala e nkomerero y’ennungi gy’oli okusinga entandikwa.
وَلَسَوۡفَ يُعۡطِيكَ رَبُّكَ فَتَرۡضَىٰٓ
Open ayah 93:5Era ddala Omuleziwo ajja kukuwa naawe osiime.
أَلَمۡ يَجِدۡكَ يَتِيمٗا فَـَٔاوَىٰ
Open ayah 93:6Teyakusanga ng’oli mulekwa n'akulabirira?
وَوَجَدَكَ ضَآلّٗا فَهَدَىٰ
Open ayah 93:7Era teyakusanga nga tomanyi n’akulungamya?
وَوَجَدَكَ عَآئِلٗا فَأَغۡنَىٰ
Open ayah 93:8Era teyakusanga nga oli mwavu n’akugaggawaza?
فَأَمَّا ٱلۡيَتِيمَ فَلَا تَقۡهَرۡ
Open ayah 93:9Kale nno mulekwa tomukaayuukiranga.
وَأَمَّا ٱلسَّآئِلَ فَلَا تَنۡهَرۡ
Open ayah 93:10N’omuntu asaba tomuboggoleranga.
وَأَمَّا بِنِعۡمَةِ رَبِّكَ فَحَدِّثۡ
Open ayah 93:11Ate era e kyengera kyonna Omuleziwo Katonda ky’abanga akuwadde kinyumyengako.