العاديات
Al-Aadiyaat
Translation: Luganda - African Institution · Open the surah
بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ
وَٱلۡعَٰدِيَٰتِ ضَبۡحٗا
Open ayah 100:1Ndayira embalaasi ezizinda(ezidduka) nga ziweevuuma.
فَٱلۡمُورِيَٰتِ قَدۡحٗا
Open ayah 100:2Nezimansula e nsasi z’omuliroolw’okukoona enjazi.
فَٱلۡمُغِيرَٰتِ صُبۡحٗا
Open ayah 100:3Ezizinda ku maliiri.
فَأَثَرۡنَ بِهِۦ نَقۡعٗا
Open ayah 100:4Nezisiikuula enfuufu, mu kutyekuula emisinde okwo.
فَوَسَطۡنَ بِهِۦ جَمۡعًا
Open ayah 100:5Neziyingira mu balabe wakati.
إِنَّ ٱلۡإِنسَٰنَ لِرَبِّهِۦ لَكَنُودٞ
Open ayah 100:6Mazima ddala omuntu mutomi eri omuleziwe.
وَإِنَّهُۥ عَلَىٰ ذَٰلِكَ لَشَهِيدٞ
Open ayah 100:7Era mazima ye (omuntu) ku ky'obutomi mujulizi.
وَإِنَّهُۥ لِحُبِّ ٱلۡخَيۡرِ لَشَدِيدٌ
Open ayah 100:8Era mazima yye muyitirivu nnyo mu kwagala ebyenfuna.
۞أَفَلَا يَعۡلَمُ إِذَا بُعۡثِرَ مَا فِي ٱلۡقُبُورِ
Open ayah 100:9Abaffe (omuntu) tamanyi nti ebiri mu kabbuli bwe biriba bizuukiziddwa.
وَحُصِّلَ مَا فِي ٱلصُّدُورِ
Open ayah 100:10N’ebiri mu bifuba ne byolesebwa.
إِنَّ رَبَّهُم بِهِمۡ يَوۡمَئِذٖ لَّخَبِيرُۢ
Open ayah 100:11Mazima Katonda omulezi waabwe (nga bulijjo ne) ku lunaku olwo agenda kuba ng'amanyi byonna ebibakwatako.