المسد
Al-Masad
Translation: Luganda - African Institution · Open the surah
بِسۡمِ ٱللَّهِ ٱلرَّحۡمَٰنِ ٱلرَّحِيمِ
تَبَّتۡ يَدَآ أَبِي لَهَبٖ وَتَبَّ
Open ayah 111:1Mu Hadith eri mu kitabo kya Bukhari Nabbi yagenda ku Batwhahu naakuba wuuli abantu bangi bajja nga balowooza nti waliyo ebya maguzi, Nabbi bweyatandika okubabuulira ebikwata ku Katonda, Abu Lahbi naakasuka e mikono nga bwagamba nti kino kyotukunganyirizza era kyotuyitidde? Zikirira. Katonda kwe kumwanukula mu ssura eno naagamba nti: (Gizikirire e mikono gya Abu Lahbi (gyawuuba), era ddala yenna yazikirira.
مَآ أَغۡنَىٰ عَنۡهُ مَالُهُۥ وَمَا كَسَبَ
Open ayah 111:2Eby'obugaggabwe tebimugasizza, wadde n’ebirala bye yafuna, (nga e kitiibwa).
سَيَصۡلَىٰ نَارٗا ذَاتَ لَهَبٖ
Open ayah 111:3Ajja kwesonseka mu muliro ogubumbujja.
وَٱمۡرَأَتُهُۥ حَمَّالَةَ ٱلۡحَطَبِ
Open ayah 111:4Ne mukyalawe omwetissi w’enku (naye bwatyo).
فِي جِيدِهَا حَبۡلٞ مِّن مَّسَدِۭ
Open ayah 111:5Nga mu nsingoye mulimu omuguwa omulange.